OBWANGU BW'OBUSIRAAMU

OBWANGU BW'OBUSIRAAMU

OBWANGU BW'OBUSIRAAMU

سماحة الإسلام باللغة اللوغندية

 

 

Abd Ar-Rahman bin Abd Al-Kareem Ash-Sheha

د. عبد الرحمن بن عبد الكريم الشيحة

 

 

Kivvunuddwa:

European Islamic Research Center (EIRC)

المركز الأوروبي للدراسات الإسلامية

& Khalid Jemba

Nekikasibwa:

Muhammad Ahmad Kaweesi

 

www.islamland.com

 

 

 

بسم الله الرحمن الرحيم

Mu linnya lya Allah omusaasizi ow'ekisa ekingi

Entandikwa.

Amatendo amalungi ga Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku nabbi waffe Muhammad n'abantu b'ennyumba ye n'abayigirizwa be Allah abawe emirembe.

Bwekuyitiridde okukonjera obusiraamu n'obutujju, era ne babutekako ebitali mu bitendo bya bwo nga bagenderera okubuddusa (okubwewaza) abantu, nga n'ekyo kivudde ku kubeera nti abantu babwettanidde nnyo okubuyingira, b'atandika okulanga okutemerera n'ebibuzabuuza ebyo ebitaliiko nsibuko yadde obutuufu bwabyo wabula enzivuunura n'endaba z'omuntu kinnoomu eziwalana obusiraamu n'abantu b'abwo, shk / Muhammad yusuf ddiini akulira ekifo ekisomesa obusiramu mu Bugirimani y'ansaba mpandiike mubufuunze ekitabo enkinyonyola obwangu bw'obusiraamu era nga yayina omukono munene ku kufuluma kw'ekitabo kino oluvannyuma lwa Allah. Nnaali nnewunya nnyo ensonga eno okusingira ddala mu Bugirimani kubanga mazima njogera n'obwanjulukuvu nti abantu ba Bugirimani bantu balungi era obulungi bwa bwe buyitirira buli wennyongera okubamanya, okwo nno okulamula nkubataddeko olw'okuwangala enyo na Bagirimani abajja mu nsi yange okusuubula oba okukola, era nga abantu bwebali abalungi era n'obukulembeze bw'abwe bwe butyo olw'ensonga nti abantu abalungi tebasobola kulonda bakulembeze okujjako abalungi, era n'engeri ennunngamu(ey'obwenkanya) obukulembeze bwa Bugirimani gyebuyimirira mu ku nsonga ezitali zimu ezigwaawo mu nsi. Era mazima njozayoza abagirimani olw'obukolembeze obulungi butyo era nga bwenjozayoza obukulembeze bwa Bugirimani olw'okubeera n'abantu abalungi batyo, era nneyogera nze nga omuntu nti ; njala Bugirimani era njagaliza ebirunji byonna n'obututumuvu era n'enkulakulana, era njagala okutebenkeza emitima gyabwe nti tewali kiri mabega wa busiraamu obutuufu okujjako okwagaliza emirembe eri buli omu, ekyo kyebagenda okumanya bwebanaba basoma ekitabo kino, era njagaliza abagirimani n'obukulembeze bwa Bugirimani okulowooza okulungi eri okusiramuka okutuufu n'okuwagira obusiraaamu era n'okuwaayo ekisinga okuba ekirungi eri okututumuka kw'obusiraamu, ekyo kye kibasuubilwamu olw'ensonga nti webanaaba basiramuse bajja kugonjoola ebizibu bingi byebalimu olwaleero nga bizze lw'ekyo kyebayita obunguunjufu obuliwo okugeza nga okusasaana kwebitamiiza n'empisa embi wamu n'okunyiziganya n'okusasika kw'amaka … n'ebirala. Era bajja kulongoosa eby'enfuna byabwe nga bakkiriza ensegeka y'obusiraamu mu by'enfuna etamanyi kuseebengerera mu bya nfuna, wadde okukyuka kyuka kw'ebyenfuna okwannamuzisa ensi yonna kwerimu olwaleero, kikumalira okuba nti ensi yonna olwaleero ekowoola bantu kudda ku nkola y'obusiraamu mu by'enfuna, era nemu by'obufuzi bajja kufuna okugobererwa abasiramu biliyoni 1.57 abakola kimu kya kuna ku bantu abali mu nsi eno yonna era bafune omukwano omulungi ennyo ogugasa Bugirimani okuva mu bitundu 90% mu nsi z'obusiraamu. Naffe tetugaana nti waliwo abamu ku basiraamu abakosa obusiraamu olw'enneyisa za bwe mu bugenderevu nemubutali bugenderevu, wabula kiri mubwenkanya obutavunaana busiraamu olw'ebyo ebikoleddwa abamu ku bagoberezi ba bwo ebyawukana n'enjigiriza y'obusiraamu obutuufu. Nga mmaliriza njogera mu mazima nti njagala Bugirimani n'abantu baayo. n'ekiraga ekyo kwe kwanguwa mangu ddala oluvannyuma lw'okusaba kwa sheikh Muhammad yusuf ddiini oyo gwe njozayoza Bugirimani olw'okubeera naye n'abamufaanana mu yo, olw'okuba nti ye muntu mwesimbu mu kukowoola kwe ate nga w'amazima mu ndowooza ze era nga mwanjulukufu mu bigendererwa bye, ate ayagaliza ensi ye, n'abantu baayo. Ekyo kyetumusuubiramu era nga Allah yasinga okumumanya.

 

 

 

MU LINYA LYA ALLAH OMUSAASIZI OWEKISA EKINJI

ENNYANJULA

Amatendo amalungi ga Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku nabbi waffe Muhammad n'abantu be nyumba n'abayigirizwa be Allah abawe emirembe.

Ezimu ku nsonga eziyambye obusiraamu okuba nti busasaana era n'abatali basiraamu okubukkiriza; bwebwangu bwebuyina mu kubutegeera n’emukubusoma era n'obwangu mu nkolagana ate nga tebukontantana nabubumbwa obutuufu obwo Allah bweyabumbirako abantu era nga bukowoola abantu awatali ku bikkirira okudda eri obubumbwa awatali ku bwawukana ko, era nga Allah wekyannyonyola nagamba nti; {n'olwekyo yolekeza amaaso go ku ddiini entukuvu nga kwe kutonda kwa Allah okwo kwe yatondera ko abantu. Tewali kukyusa ntonda ya Allah, eyo ye ddiini engolokofu, kyokka abantu abasing obungi tebamanyi} (Ar-Ruum; 30).

Katufune eky'okulabirako ekinnyonnyola ekyo nga bwe butonde bw'obwagazi ku kunyumya akaboozi k'ekikulu, obusiraamu tebukafuula ngako kyenyinyalwa era tebukagaanangako wabula bukubiliza okukateeka mu nkola. agamba Allah owa wagguli; “muwase ab'obusa mu mmwe n'abalongoofu mu baddu bammwe abasajja oba abakyala. Bwebabeera nga baavu, Allah abagaggawaza mu bigabwa bye. Ne Allah mugazi mumanyi" (An-Nuur: 32).

Era omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yayagaza abantu okwanguyiriza okukkusa obutonde obwo n'agamba nti: " abange mmwe abavubuka, oyo yenna aba asobodde okuwasa awase, kuba nga kukakkanya amaaso ate kukuuma obwereere, oyo aba tasobedde mukuutira okusiiba kubanga kwo ku kyo ngabo" (Bukhali)

Ate obusiraamu tebwakita nga tebutaddeewo bukwakkulizo, na kkomo wabula bwa kikomeka (bwakisiba) era ne bunyonnyola ekkubo ettuufu erilongoofu mu kukkusa obwagazi obwo, era nebufuula okuwasa nga lye kkubo eri ekyo, mu kuwasa omuntu afuna obutebenkevu buli omu muffe bwanonya era omuva n'obwagazi obwo obuyamba okugenda mu maaso n'empangaala y'obufumbo era nga mwemuva abaana n'endyo era abafumbo bombi ne batebenkera olwamagoba ago agavudde mu kkubo erikkirizibwa mu mateeka nga Allah we kinnyonyola mu kigambo kye: " ne mu bubonero bwe kwe kubatondera mmwe nga aggya mu mmwe mwennyini abakyala mulyooke mutebenkerere gye bali, era yassa wakati wammwe okwagalana n'okusaasirigana. Mazima mw'ebyo mulimu obubonero eri ekibiina ekifumiitiriza " (Ar-Ruum: 21)

Era n'afuula eritali kkubo eryo, mu kutuukiriza obutonde obwo nga liba terikkirizibwa era neyeekesa abantu ku lyo olw'ebyo ebivaamu nga endwadde, n'okututulawo endyo, n'okujja kwa abaana b'obwenzi ababeera ne myooyo egitali mitebenkevu, era egitali migolokofu, abayina ensaalwa ku abo bebawangaala nabo, nagamba Allah owa waggulu; “era temusemberenga obwenzi. Mazima bwo kyali kibi okuva ddi na ddi era ly'ekkubo erisinga obubi." (Al-Israai; 32).

Wamu n'ekyo tebwafuula bufumbo obwo nti bwalubeerera singa omu kubafumbo ababiri aba tayagala kubeera namunne, nebuteekawo okwawukana (talaka)wakati waabwe nga kugoberera amateeka agakuuma emigabo gya buli omu ku bo, kubanga obusiraamu bwagala kuzimba maka amasanyufu ago agakola abantu abalungi, nga buli muntu mu bo asobola okutaambuza obulamu bwe ku ddiini ne n'ebyensi nga tayina amukuba ku mukono, olwo n'abeera omuntu omukozi ow'omugaso, na bwekityo mu mbeera z'abuntu zonna ez'obubumbwa, obusiramu twateekawo enkola y'obwangu n'okwanguyiza, era awatali ku ttika muntu ekyo ky'atasobola bibe bigambo oba bikolwa. nekiba nga mazima ye ddiini esembayo eyo Allah omutukuvu owa waggulu gyeyayagala okubeera ey'abantu bonna n'agikkiriza, oyo yenna agikkiriza afuna okwesiima kwo ku nsi mu butebenkevu bw'omutima obwo obutasobola kufunibwa okujjako oyo abeera awangalidde mu buwoomu bw'obukkiriza, era n'alindirira okwesiima kw'enkomerero olw'obuyinza bwa Allah, obw'okubeera olubeerera mu jannah eyo obugazi bwayo bulinga obugazi bw'ensi n'eggulu nga Allah yagitegekera abamutya era nagiziyiza ku abo beyayagala olw'obwenkanya bwe. Era awangalira mu kanyigo mu nsi muno newankubadde ku ngulu kwe kuba kwesiima naye nga ku nkomerero alindiridde akanyigo akasinga okuba akanene ate akataggwawo, tusaba Allah okutuwonya era atuwe emirembe.

Olw'okuba nti obutonde bw'omuntu bukendeevu, obusiraamu bwajja nga bwangu okusinga amadiini gonna naddala ku bikwatagana ku bukendeevu ku buvunanyizibwa bwo eri Allah, kubanga obuvunanyizibwa bw'omuddu eri Allah buyimiridde ku kuddiramu n'okusonyiwa, era nga okusonyiwa okwo bubuna obuvunanyibwa bwo muddu bwonna eri Allah we, okujjako obuvunanyizibwa bumu obw'okwawula Allah mu kusinzibwa ne mu kutonda kwe, kuba yye tasiima kumusinza nakintu kirala oba okusinza ekintu ekirala ekitali ye, nga bweyakinyonyola omutukuvu owa waggulu mu kigambo kye: " mazima Allah tasonyiwa oyo amugatta n'ekintu ekilala. Wabula asonyiwa ebitali ekyo eri oyo gw'aba ayagadde..." (Al-Nisaai; 116)

Obusiraamu nebuteerawo omusiraamu ku buli nsobi jaakola obufulumiro nebwogerzeganya n'amagezi ge, era nebuvumula okutankana kwe, nga buyita mu kuggula omulyango gw'okwenenya mu maaso ge asobole okwesamba ebyonoono bye, era nebufuula okwejjusa ensobi nga byebimu ku bisonyiyisa amazambi, Allah mugabi, mu kiseera ky'ekimu mu kusonyiyibwa ekyonoono ekyo, omuddu ate afunamu empera okuva ewa Allah kubanga mazima aleka ezzambi eryo ku lwa kutya Allah nakusuubira ebyo ebiri ewa Allah, kale bulungi ki obusinga awo! Agamba Allah owa waggulu; " bagambe nti: abange abaddu bange abo abayitiriza okwonoona ku myoyo gyabwe! Temukutuka nga n'okuuubira okusaasira kwa Allah, mazima Allah asonyiwa ebibi byonna; mazima Allah musonyiyi musaasizi" (Az-Zumara; 53)

Era obusiraamu bwagonza ensonga y'okwenenya ku muddu nebigifuula nga nsonga nyangu nnyo nga temuli buzibu wadde okukoowa kwonna, Agamba Allah owa waggulu nti: "nooyo akola ekibi yenna, oba ayeelyazaamanya oluvannyuma n'asaba Allah okumusonyiwa, ddala ajja kusinngana Allah nga Musonyi Musaasizi " (Annisaa: 110) Era agamba Allah nti: " era ye Y'oyo akkiriza okwenenya kw'abaddu Be, n'asonyiwa ebibi, era amanyi ebyo byemukola" (Ashuurah:25)

Era obusiraamu butunuulira omuntu gw'obuntu nti gusobola okuddiringgana ensobi mukukola ekisobyo n'obujeemu nebufuula okusonyiwa kwe nga kwesigamidde kwenenya kwe nebwaba nga addiringanye ekisobyo nga omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye weyakinyonnyola mu kigambo kye nti mazima sitani yagamba ; mukitiibwa kyo owaye omulezi wange nja kusigala nga nkema abaddu bo ebbanga emyoyo gyabwe lyeginaamala nga gikyali mu mibiri gyabwe, Omulezi nagamba ; " mukitiiwa kyange nja kusigala nga mbasonyiwa ebbanga lyebanaamala nga beetonda" (ahmad albaani nagiramula nti ntuufu mu kitabo kye swahihi)

Era nga webutavunaana nsobi yonna ekolebwa mu omuddu mu kukakibwa oba mu butanwa oba nga yerabidde awatali bugenderevu, agamba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: " mazima Allah yasonyiwa ekibiina kyange (amazzambi agakolebwa" obutanwa, n'okwelabira oba okukakibwa" (ibin majah, albani nagiramula nti ntuufu, almishkaat ;6284, al-irwaai 82)

Era nga n'omulyango gw'okwenenya muggule obulamu bw'omuntu bwonna okutuusa mu kaseera akasembayo mu bulamu bwe, n'olwekyo tewali kiseera oba kifo kigere ku kwenenya, agamba Allah owa waggulu; “mazima okwenenya okukkirizibwa awali Allah kw'abo abakola ebibi mu butamanya bwe bamala ne benenya mu bbanga ery’okumpi. Abo Allah akkiriza okwenenya kwabwe. Allah ye mumanyi omukakasa. (17) tekuli okwenenya kw'abo abakola ebibi okutuusa okufa lwekuba nga kusemberedde omu mu bo, awo n'agamba nti: mazima neenenyezza olwa leero ; era si abo abafa nga nabo bakafiiri. Abo twabateekerateekera ebibonyobonyo ebiruma" (An-Nisai: 17-18)

N'agamba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " mazima Allah akkiriza okwenenya kw'omuddu ebbanga ly'amala nga tannayiriitira (omwoyo tegunnatuuka mu ddokoli)" (ahmad ne ibin hibban ne tirmith ne ibin majah, albaani n'agiramula nti ntuufu mu swahil aljaami-I; 1903

Tewali kukutukawo ssuubi mu busiraamu eri okusaasira kwa Allah n'okusonyiwa kwe kuba obusiraamu bwaggalawo omulyango ogwo era nebunnyonyola nti ekyo kimu kunkola y'abakafiiri abawakanyi, agamba Allah owa waggulu: “mazima tewali akutuka na kusaasira kwa Allah wabula ekibiina ky'abakafiiri" (Yusuf: 87)

Kuba kiri nti okusonyiwa ebisobyo kubaawo olw’obulungi bwa Allah nga omuntu akoze okwenenya n'asaba n'okusonyiyibwa nga omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye weyakinyonyola n'ekigambo kye: " nga ndayira oyo omwoyo gwange oguli mu ngalo ze, singa mwaali temusobya Allah yandibadde abajjawo n'aleeta ekibiina ekisobya ne kyenenya n'akisonyiwa" (Muslim)

N'ebuggula omulyango gw'okusuubira nebufuula okudda kwo muddu ewa Allah n'okuva ku bibi neyeenenya nga by'ebimu ku bintu Allah by'ayagala era by'asiima era by'asanyukira, ekyo nga kireetera omuddu okwanguyiriza okwenenya, agamba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: " Allah asanyukira nnyo okwenenya kw'omuddu we okusinga omusajja abadde mu ddungu namuzisa nga ayina ekyebagalo kye nga kwekuli eby'okulya bye n'ebyokunywa. Ne yeebaka n'azukuuka nga tekiriiwo, nakinonya okutuusa enyoota lwemuyitirira ko oluvanyuma n’agamba nti: kanzireyo mu kifo wembadde neebake okutuusa wendifa, n'ateeka omutwe gwe ku nzira ze alindirire okufa. N'azuukuka nga ali n'ensolo ye okuli entanda ye n'emmere ye n'ebyokunywa bye. Mazima Allah asanyukira nnyo okwenenya kw'omuddu omukkiriza okusinga omuntu oyo wasanyukira ekyebagalo kye n'entanda ye " (Muslim)

Mu kitabo kino kijja kweyoleka jooli n'obwanjulukufu era ojja kumanya okusingawo obwangu bw'obusiraamu. N'obwangu bwebwateekawo mu buli mbeera y’obulamu yonna, kaibeere kusinzizra ku kinnoomu, oba okusinziira ku bibinja by'eddiini oba mu by'ensi mu ngeri yeemu.

Funayo akadde mu budde bwo osome era otegeere obusiraamu wabula si kubufuna okuva ku namula yo nga osinziira ku bikolwa ebimu ebikolebwa abasiraamu ababuyabuya aba wansi, bw’oba nga omatiddwa nabwo, kibeera kirungi Allah kyaleese gyooli (n'obukkiriza) oba ssi ekyo kubeera kumanya kw'oba oyongedde ku kitereke kyo eky'okumanya, n'ekifananyi ekituufu ku busiraamu oba okifunye awatali kubiijjisa oba okukyupula ebituufu ebyo abiteekebwa wo abalabe b’obusiraamu. Era kimanye nti mazima buli kintu kyonna ekyawukana n’obutonde n’amagezi amatuufu tekiba kya mu busiraamu. Era mazima ddala kyewunyisa abantu okutambula ku kkono ne ddyo nga banonya eddiini enabaawa okweyagala nebageenda ku madiini agagaanibwa amagezi n'obubumbe obutuufu era agagobwa emitima emigolokofu, kyokka nebaleka eddiini ey'amazima. Wabula ekiviirako ekyo ye sitani eyo ebuza abaana adaamu n'ebagoba ku ddiini entuufu eyo gyemanyi nti webaba bagiyingidde bajja kweyagalira mu kwesiima okw'emirundi ebiri (okw'ennyumba ebbiri, ensi n'enokmerero), era nga ekyo kyeyeewera olunaku lwebaagigoba era nebagifulumya, Allah owa waggulu agamba: "(ibliisa) n'agamba nti: ku lwekitiibwa kyo, mazima nja kubabuliza ddala bonna. Okuggyako abaddu bo mu bo abakola ku lulwo" (Swad; 82-83)

Kiyina okumanyibwa nti okuyingira obusiraamu kiba kyengera kya mulezi n'akwanguyizibwa okuva ewa Allah, akiwa oyo gw'aba ayagadde mu baddu be. omuntu Allah gwamanyi nti ayina okumalira okw'amazima, n'okwolekera okulungi, n'okwagala okw'amazima eri okumanya amazima n'okugagoberera; Allah amwanguyiza ekkubo erimutuusa ku go, n'plwekyo fuba okulaba nti obeera mw'abo abanguyizibwa eri obusiraamu, agamba Allah: " bakwenyumiririzaako olw'okuba basiramuse. Bagambe nti; temunneenyumiririzaako ku lwa busiraamu bwammwe; nedda wabula Allah abeenyumiririzaako olw'okubalunngamya eri obukkiriza bwe muba ab'amazima" (al-hujuraati: 17)

 

Dr. Abd Ar-Rahman Bin Abd Al-Karim Ashehah

 

 

MAZIMA EDDIINI EBALWA AWALI ALLAH BWE BUSIRAAMU.

Obusiraamu ye ddiiini Allah gyeyatuma nayo ba nabbi bonna okuva ku Adam emirembe gibeere ku ye era nga ye ddiini jeyasiimira ebitonde ebibiri amageege n'abantu okutuusa ensi ensi lwerisaanawo agamba Allah owa waggulu: “mazima eddiini (ebalwa) awali Allah bwe busiraamu" (Al-Imran: 19).

Yajja n'okukowoola abantu okudda eri okwawula Allah n'okukola emirimu emirungi ku lulwe yekka awatali kumugattako kintu kirala, era okwo kwe kukowoola kw'abatume bonna ne ba nabbi, agamba Allah owa waggulu: "yabalaalika (mu) ddiini ekyo kye yalaamira nuuhu – n'ebyo byetukuweerezza, n'ebyo bye twalaamira Ibrahim ne musa ne Isa nti: muyimirizeewo eddiini, temugyawukanangamu." (Ash-Shuuraa: 13).

Banabbi abaaliwo olubereberye lwa Muhammad baali nga batumwa mu bantu abakomeko era mu kaseera nga kakomeke, nga nabbi wabwe bw'afa newayitawo ebbanga eppanvu abantu nebava ku kuteeka amateeka mu nkola, okugatta ku Allah n'ekintu ekirala n'ekweyoleka era abantu nebesamba enjigiriza y'obusiraamu, obulyazaamanya n'okwekubira nebyeyoleka; nga Allah atuma nabbi omulala azze obujja amateeka agasengukiddwa era azze obujja okukowoola eri okusinza Allah awatali kumugattako kintu kirala, Allah agamba: "Era mazima twatuma nga mu buli kibiina omubaka (abalagire nti:) musinze Allah, mwekeke abobulimba.." (An-Nahl: 36).

Oluvannyuma yali ow'enkomerero wa bannabbi n'ababaka abo nga ye Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, Allah yamutuma nga wayiseewo ebbanga nga tatuma babaka abeere ow'enkomerero wa batume ne bannabi era amateeka ge gabeere agasembayo ate nga gabuna abantu bonna nga musanyusa era nga mutiisa, eri abantu n'amageege, abeeru n'abaddugavu, abawalabu n'abatali, kyenkanyi. n'agamba Allah owa waggulu: "tetwakutuma wabula eri abantu bonna ng'oli mubuulizi asanyusa abakkiriza era nga oli mutiisa (atiisa abajeemu) " (Sabaa: 28)

Nekiba nga obubaka obwo bwali bulina okuba n'ebitendo ebibwawula ku obwo obwakulembera nga mulimu amateeka agabufuula okubeera nti bukwatagana n’enkulakulana z'abantu era nga bwogerezeganya n'abantu bonna mu nsibuko ez'enjawulo era nga ebimu ku bitendo bya bwo kwekuba nti bwa nsi yonna ate nga bwakusaasira eri abantu nga omulezi waffe omutukuvu owa waggulu wagamba nti: "tetwakutuma wabula ng'oli kyakusaasira eri ebitonde (byonna) " (Al-Anbiya: 107).

Era ebeere nga nzijuvu ebuna mw'ebyo byeyina mu mateeka agasengeka omuntu mu kinnoomu ne mu kibinja wamu n'abantu abamwetolodde gagisobozese obutakutukawo n'okubeerawo nga Allah bweyagiwandikako. era ebeere nga egwanira buli kaseera na buli mulembe okutuusa ensi lwerisaanawo, agamba Allah owa waggulu: "olwaleero mbajjulizza eddiini yammwe era ne mbajjuliza n'ekyengera kyange, ne mbasiimira obusiraamu okuba eddiini " (Al-Maaida: 3).

Olw'okuba nti obwangu ky'ekimu kubyagazisa era ebimatiza omutima okuyingira enzikiriza, obwangu okuva edda nga by'ebimu ku bitendo by'eddiini busiraamu nga bweyoleka mu mateeka ga bwo n'obwangu mu ngeri y'okusinza, obugazi bwabwo n'okwanguyiriza okuli mu mateeka gaabwo n'engeri y'okusinza kisobozese abantu bonna okuteeka mu nkola okulamula n'okusinza okusinziira ku busobozi bwabwe mu buli bulembe na buli kifo kyonna mu nsi eno nga Allah weyabalagira n'omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, era nga butambulira ku kigambo kya Allah ekigamba nti: "Allah tawaliriza mwoyo wabula ekyo kyegusobola." (Al-Baqarah: 286).

Nekigambo ky'omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: " mwesonyiwe byemba ndese (nga ssibibaligedde kukola), mazima ekyazikiriza abaliwo oluberyeberye lwa mwe kuyitiriza bibuuzo, n’okwawuna ku ba nabbi baabwe, wemba mbaziyizza ekintu kyonna mukyewale ate wemba mbalagidde ensonga yonna mukole okusinziira ku busobozi bwa mwe " (Al-Bukhali).

Mazima obwangu bw'obusiramu mpagi eyesigamirwako amateeka go busiraamu okuviira ddala ku nsonga esinga obunene mu ddiini nga nayo y'enzikiriza, okutuusa ku esembayo obutono, awatali kukaluubiriza oba okumyumyula okugaana ebyo ebiri halali oba okulegaya ennyo okukkiriza ebyagaanibwa. Olw'ensonga nti go mateeka agassibwa ku muntu ayina obukendeevu, era ayina empulira y'omyooyo n'omubiri n'obusobozi obugereke. Amateeka g'obusiraamu negabeera nga gaatunuulira ebintu ebyo byonna olw’okuba nti bwo obusiraamu ddiini yabutonde, tekontana nabwo wabula ekwatagana nabwo era nga ewa omwaganya buli muntu okubeera nti asinza Allah okusinziira ku busobozi bwe n'embeera ze, agamba Allah owa waggulu “era teyabateera mu ddiini kunyigibwa kwonna” [1]

N'olwekyo amateeka g'obusiraamu mangu olw'obwangu obugalimu awatali kunyigiliza, n'okujja obuzito ku bagoberezi babwo ekibwagaza emitima gy'abasiraamu mu mitendeero egy'enjawulo n'endowooza ez'enjawulo ne bafuna obuwoomi muteeka amateeka g'abwo mu nkola, ekyo nno abatayina kyekubira bakikakasa mu batali basiraamu, go mateeka agafaayo ku mugagga wamu n'omwavu, omulamu wamu n'omulwadde, omusajja wamu n'omukazi, omukulembeze negwebakulembera era nga gatunulira ebiseera n'ebifo, omuntu bukya abaawo talaba nga ku mateeka agatambulira ku musingi oguzimbiddwa ku bwenkanya n'obwangu nga obusiraamu, ekyo nno kiri bwekityo lwansonga nti amateeka ago gakwatagana n'obutonde bw'omuntu oyo Allah gweyatonda nga munafu. Agamba Allah owa waggulu nti: " era Allah ayagala okubakendeereza ku bizibu byammwe kuba yatondebwa omuntu nga munafu " [2]

Mazima obwangu bw'obusiramu mu kujjawo okunyigirizibwa n'obuzito tebuli ku basiramu bokka, wabula okuva ku ntandikwa y'okutumwa kw'omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, gwali mugabo era nga bulungi eri abagoberezi ba madiini agasooka, era abo abali balina obuzito mu madiini gaabwe obusiraamu bwajja nebukendeeza obuzito obwo, agamba Allah: "Abo abagoberera omubaka, nabbi atasoma biwandiike era atawandiika, oyo gwebasanga nga awandiikibbwa we bali mu taurat n’enjiri. nga abalagira empisa ennungi n'abagaana empisa embi, abakkiriza okulya ebirungi n'aziza ku bo okulya ebibi, era nga abajjako obuzito bwabwe n'ebikoligo ebyo ebyabaliko. Kale n'abo abamukkiriza ne bamuwagira, ne bamutaasa era ne bagoberera ekitangaala ekyo kye yassibwa nakyo; Abo be b'okuwangula." (Al-Aaraaf:157).

Era mubu ku bwangu obwo, kwe kuggulawo omulyango gw'okukozesa obwongo okutuuka ku mazima ogwo omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye gweyakkiriza bweyatuma Muazi e Yemeni namugamba nti: ogenda kulamuza ki? Namugamba nti kitabo kya Allah, namugamba nti bwotasangayo kulamula? namugamba nti enkola z'omubaka wa Allah, namugamba bwotasangayo? Namugamba nti njakufuba okukozesa amagezi gange, agamba nti: omubaka wa Allah nakuba ku kifuba kye okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nagamba nti: amatendo ga Allah oyo ayanguyirizza omubaka w'omubaka wa Allah eri ekyo ekisiimwa/ ekisiimya omubaka wa Allah" yagiramula nti ntuufu Ahmad Shakir.

Nga kiri bwekityo ebeere eddiini etambula nenkulakulana era egwanidde buli kifo nabuli mulembe, nekiba nti enzikiriza y'obusiraamu yajja n'ebikolo ebibuna n'emisingi egibuna nga minywevu tegikyukakyuka nankyukana ya bifo n'obudde mu nzikiriza ne mu kusinza nga obukkiriza, esswaala ne raka zaazo n'ebiseera byazo, zakka n'ebipimo byayo ne mmaali mweyina okuweebwa, okusiiba n'obudde bwakwo, okukola hijja nengeri wekolebwa n'ebiseera byayo, n'ebibonerezo by'eddiini...n'ebirala, olwo ebibaawo mu biguddewo n'ebintu ebipya tubipimira ku kur'ane bwetusisinkana yo okulamula ku byo nga tugenda nakwo netuleka ebisigadde,, bwetuba tetufunye awo nga tunonya mu bituufu ebigibwa ku mubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye wetufunayo ennamula nga tugenda nayo era netuleka ebisigadde, wetuba tetufunyemu tutandika okunonya n'okutunula mu ndaba z'abamanyi baabuli kiseera na buli kifo ezitambula n'emigaso egibuna era eziri awamu n'embeera y'omulembe gwabwe wamu n'abantu babwe era nga endowooza ezo zituukibwako oluvannyuma lw'okutunula mu Kur'ane n'enkola z'omubaka n'okugerageranya ku misingi gy'amateeka emikulu egijjibwa mu Kur'ane ne sunna z'omubaka okugeza nga emisingi egigamba nti "ensibuko ku bintu byonna ku kkirizibwa", "okukuuma emigaso", "obwangu n'okujjawo obuzibu", "okujjawo okukosebwa", "nakola ntya akkirizisa ebyagaanibwa", "n'akola atya apimibwa ku bipimo bye", "okujjawo okukosebwa (ekikosa) kukulembezebwa ku kuleeta omugaso", "okukola (okulondako) ekibi ekisinga obutono ku bibiri (singa tolina buddiro okujjako okulondako ekimu ku byo)" ne "okukosebwa tekujjibwa wo nakukosebwa" ne "okugumikiriza okukosebwa kwa kinnomu okusobola okujjawo okukosebwa okubuna", nendala nyingi, era nga wetugamba okukozesa amagezi tekitegeeza kwagala kwa mutima na kugoberera bwagazi, wabula tutegeeza mu kyo okutuuka kumugaso ogudda eri abantu nga tewali kukontana nabujuluzi (okuva mu Kur'ane oba hadithii), era nga tekiri bwekityo okujjako kubeera nti obusiraamu butambula na buli mulembe n'ebyo ebyetaagisa abantu buli mulembe, era nga ebyo ssi bigambo ebitaliiko bujuluzi. Omuntu agoberera obujuluzi bwa Kur'ane n'ebigambo by'omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, kumweyolekera bulungi okukowoola kw'obusiraamu eri obwangu n'okwanguyiza.

 

 

Obusiraamu n'ekkubo ly'obwangu (enkola y'okwanguyiriza).

Mazima okwogera ku bwangu mu busiraamu ssi kwogera ku kitundu mu bitundu bya bwo, wabula kwogera ku busiraamu bwonna, anti obusiraamu bwonna bujudde bwangu. Lwaki nedda nga omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye agamba nti: “obusiraamu bwammwe obusinga obulungi bwebwangu" yayogerebwa Ahmad, Albaani nagiramula nti ntuufu mu kitabo kye swahih aljaamiu 3309.

Era mwennyini agamba okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti “eddiini esinga okwagalwa ewa Allah yeeyo eyawula Allah ku bintu ebirala ate enyangu” Al-Bukhali, nekiba nti obusiraamu bwonna kubo lyangu, mazima yo ddiini ya wakati, kuba agamba Allah owa waggulu " era bwe kityo twabafuula mmwe ekibiina eky'omu makkati, mubeere abawa obujuluzi ku bantu, era omubaka abeere abawaako obujulizi" [3]

  1. Era ddiini nnyangu mu by'obufuzi n'enkolagana wakati w'amawanga, agamba Allah owa waggulu “Allah tabagaana nga kubayisa bulungi n'okwenkanya gye bali abo abatabalwanyisa nga mu ddiini era ne batabaggya mu nsi yammwe. mazima Allah ayagala benkanya." (Al-Mumtahna 8).
  2. Era ddiini nyangu mu kuwangala n’abantu agamba owekitiibwa Allah "Abange mmwe abantu! Ddala ffe twabatonda nga tubaggya mu musajja omu n’omukazi, ne tubafuula okuba amawanga n'ebika mumanyagane, musobole okuyambagana. Mazima abasinga mu maaso ga Allah y'abasinga okumutya" (Al-Hujurat 13).
  3. Era ddini nnyangu mu by'empisa agamba Allah " weekuumire ku kusonyiwa, era olagire empisa ennungi, wabula oyawukane ku batamanyi ". (Al-A’araaf 199).

Nagamba Allah owa waggulu nti: “Abagaba mu bugagga ne mu bwavu, era abo abagumiikiriza mu busungu, era abo abasonyiwa abantu, ne Allah ayagala baloongosa." (Al-Imran:134).

Era nagamba Allah owa waggulu nti: “Ekirungi era tekyenkanankana na kibi. Ggyawo (ekibi) nga (okiggisaawo) ekyo ekikisinga obulungi: olwo nno onoogenda okulaba nga oyo awabadde wakati wo naye obulabe nga olinga ow’oluganda, era ow'omukwano nfiirabulago". (Fussilat :34).

  1.  Era ddiini nnyangu mu by'okusinza, agamba Allah: " N'abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu – tetuwaliriza mwoyo wabula kyegusobola – abo be bannannyini kuyingira jjana. bo mu yo ba kubeeramu bugenderevu" (Al-A’araf 42).
  2. Era ddiini nyangu mu by'enfuna agamba Allah owa waggulu nti: " abo abalya emmaali ey'okuwola kw'okuzzaamu (riba) tebagenda kuyimuka (okuva mu ntaana zaabwe) wabula nga bw'ayimuka oyo sitaane gw'akubye n'amusuula eddalu. n'ekyo lwa kubanga mazima bo bagamba nti: mazima okusuubula kufaanana n'okuwola okw'okuzzaamu (riba). Sso nga Allah yakkiriza okusuubula n'aziyiza okuwola kw'okuzzaamu. Omuntu gwe kuba kutuseeko okubuulira okuva ewa Allah we n'alekera awo, bibye ebyo bye yafuna ebyayita; n'ekigambo kye kiri eri Allah, n'abo abaddayo (okukola riba) abo be bannannyini kuyingira muliro. Bo ba kubeera lubeerera mu ggwo. Ssi ba kuvaamu " (Al-Baqarah 274).
  3. Era ddini ya bwangu mu nkolagana agamba Allah owa waggulu: " Abaddu bange bagambe boogere nga ekyo ekisinga obulungi, mazima sitaane atabulatabula n'ayonoona wakati waabwe. Mazima sitaane yali okuva edda nga mulabe wa muntu ow'olulango" (Al-Israai 53).
  4. Era ddiini yakwanguyiza mu kugunjula n'okusomesa, agamba okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " mwanguyize temuzibuwaza, musanyuse temuddusa " yegattibwako.

Era okuva edda nedda obujuluzi bw'amateeka g'obusiraamu bukowoola okunyweza ekkubo ly'obwangu mu kwagazisa okuliteeka mu nkola mu basiraamu ku ddaala erya kinnoomu ku lw'ekigambo (Kya Nabbi) ekigamba nti: " mazima obukwata mpola tebubeera mu kintu okujjako nga kizitowa era tebuva mu kintu okujjako kikendeera " Muslim. nekigambo kye okusaasira kwa Allah kube ku ye " sonyiwa bakusonyiwe " Ahmad mu swahih aljaami-I 982.

Era agamba omubaka Okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " Ddiramu (sonyiwa) abalala naawe ojja kuddirwamu." Ahmad eri mu swahiihu-l-jaameu.

Nagamba okusaasira n'emireembe bibeere ku ye nti: " mazima Allah ayagala obukwaata mpola mu mbeera yonna " yegattibwako.

Wabula ate ku ddala y'abantu okutwaliza awamu omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yasabira omuntu agondeza era akwata empola abantu be kibiina kye era nakozesa ekkubo ly'okwanguyiza mu kukulembera ekibiina kye mu kigambo kye nti: " Ayi Allah oyo yenna aweebwa obukulembeze mu kibiina kyange n'akaluubiriza abantu mukaluubirize, era oyo yenna aweebwa okukulembera mu kibiina kyange nakwaata mpola abantu ayi Allah mukwate mpola " Muslim.

Obusiraamu nebuteekawo ebintu ebizzaamu amaanyi nga bikowoola eri okwanguyiza era nebukifuula ekimu ku kintu ekiyingiza omuntu ejjana era nekimwewaza omuliro, nagamba okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " oyo yenna abeera omwangu nga mugoovu (wa mutima) era nga ali ku mpi (n'abantu); Allah yamuziyizaako omuliro" alhaakimu albaani nagamba nti ntuufu mu kitabo kye swahihi targiibu wa altarhiibu.

Wabula kiyina okumanyibwa nti obwangu bweyawulidde mu nsonga z'okusinza Allah tekitegeeza kuva ku bigenderera by'amateeka ga busiraamu, teri kugaana kyakkirizibwa wadde okukkiriza ekyagaanibwa oba okulagaya mu kuteeka amateeka mu nkola n'ebiragiro, oba okukendeeza mu ntegeera z'obusiraamu n'empisa ezibuna, wabula obwangu kwe kwewala okwekalubiriza n'amazambi wamu n'okujeemera Allah, agamba Aisha okusiima kwa Allah kube ku ye mukyala w'omubaka okusaasira n'emireembe bibe ku ye nti: "omubaka tebaamuteera wo kko bintu bibiri alondeku kimu okujjako nga alonda kisinga kuba kyangu ebbanga lyekimala nga ssi zambi, era bweriba zambi yali nga y'asinga okulibera ewala, era teyawolera ku gwanga omubaka wa Allah ku lulwe okujjako webayingirira emizizo gya Allah nga awo awolera eggwanga ku lwa Allah " yegattibwako.era enjogera eyo ya bukhali.

Era nga tujjamu embeera z'obuwaze, yyo eyina amateeka gaayo ageeyawulidde, tufune ku bifaananyi ebiraga obwangu bw'obusiraamu mu njuyi zino wammanga:

 

 

Obwangu bw'obusiraamu mu nzikiriza:

Mazima enzikiriza mu busiraamu gw'omusingi oguzimbibwako eddiini era kye kinyusi ekitaliiko kuteesa, nanti awatali nzikiriza tewaba ddiini, n'olwekyo yatubuulira omulezi waffe omutukuvu kwekyo nti: " mazima Allah tayinza kusonyiwa oyo amugatta n'ebintu ebirala, naye asonyiwa kyonna ekitali ekyo ku oyo gw'ayagala. " (An-Nisaai 48).

Era nga n'ebimu ebiraga obwangu bw'obusiraamu mu nzikiriza by'ebino wammanga:

  1. Mu biraga obwangu bw'obusiraamu mu nzikiriza, kwekuba nga nyanjulukufu teriiko kizikiza era terimu bitategeerekeka, nyangu era esobola okutegeerebwa atamanyi olubereberye lw'omumanyi, n'omuto olubereberye lw'omukulu kuba eragira okukkiriza Allah n'okumusinza yekka awatali kumugattako, nga tewali kayungirizi. Buli muntu ategeera enzikiriza eyo kuba teyeyawulidde kibinja okuleka ekirala, era ssi nzikiriza egaya okutegeera kw'omuntu n'emukakkanya okumufuula asinza ejjinja oba omuti oba ensolo. Nemubwangu bw'ayo kwekuba nti ne munnamalungu atayina ky'amanyi yagitegeera webamubuuza nti ategeerera ku ki omulezi we? n'agamba nti ku butonde bwe: obusa (bw'ensolo) bulaga kubaawo kwa nsolo, n'emikululo gy'ebigere gitegeeza nti waliwo ayise (kubaawo kwa muyise). Ekiro ekikutte ekizikiza n'ensi erimu amakubo, n'eggulu erilimu emyaliro abaffe tebikakasa kubaayo kw'omukwaatampola omumanyi w'ebyama (Allah)?.
  2. Era mu biraga obwangu bw'obusiraamu mu nzikiriza kwekuba nti bukakasa kubuli abugoberera okukkiriza ababaka bonna abaasooka n'ebitabo ebyabakkako. agamba Allah owa waggulu: " Omubaka akkiriza ebyo ebissiddwa gy'ali nga biva eri mukama we, n'abakkiriza (nabo bakkiriza). Buli omu ku bo akkiriza Allah, ne bamalaika Be n'ebitabo Bye n'ababaka Be, nebagamba nti: tuwulidde era tugonze. tukusaba mukama waffe okusonyiwa kwo era eri gwe y'eri obuddo" (Al-baqarah 285).
  3. Era mu biraga obwangu bw'obusiraamu mu nzikiriza kwekuba nti tebuyina gwebukaka kubuyingira nga tayagala oba nga tasiimye, agamba Allah owa waggulu: " tewali kuwaliriza mu ddiini: mazima obulunngamu bweyolese nga bweyawula ku bubuze: omuntu yenna awakanya sitaane na buli kyonna ekimubuza okumuggya ku bulunngamu n'akkiriza Allah. mazima aba yekutte ku nngango enngumu etalina kukutuka. ne Allah awulira. amanyi byonna" (Al-Baqarah 256).

Ekyo nno lwakuba nti okwawukana kwa bantu mu madiini weekiri lwa kwagala kwa Allah, tewali ayina kukakka bantu kubeera basiraamu, agamba Allah owa waggulu: " singa yayagala mukama wo bandikkiriza abantu abali mu nsi bonna. Gwe (Muhammad oyinza) okukaka abantu okutuusa babeere abakkiriza (bonna) " (Yunusu 99).

Era oyo yenna atuusibwako okukowoola kw'obusiraamu era nekumunnyonnyolwa, aba waddembe okusalawo okukkiriza obusiraamu oba okugaana, Anti Allah Agamba"Bagambe nti: amazima amatuufu (ago) gava eri mukama wammwe. Kale oyo ayagala akkirize, n'oyo atayagala agaane, mazima ffe twateekerateekera abo abalyazaamaanyi (abatakkiriza) omuliro. Nga lubeetoolodde olukomera lwagwo. Bwe balibanga basabye okunywesebwa amazzi (olwenkalamata) balinywesebwanga amazzi agalinga ekyuma ekisaanuusiddwa agasiriiza ebyenyi. (ekyo) ky'ekyokunywa ekisinga obubi era (omuliro) bwe butuulo obusinga obubi" (Al-Kahf: 29)

  1. Era mu biraga obwangu bw'obusiraamu mu nzikiriza kwekuba nti okulamula (omuntu) ku yo kuba kwebyo byayolesa mu bikolwa n'ebigambo okuleka byakweka munda nga okunuyirira kwe. Omuntu tavunaanwa lwa kumulowoolereza ku kunuyirira kwe kubanga ekyo kintu kya munda kiri wakati wa muddu ne mukama we (Allah) tewali ayinza kukitegeera.
  2. Era mu bwangu bw'obusiraamu mu nzikiriza kwekuba nti omuntu bwaba akakiddwa tavunaanwa kubeera nti ayogera ekyennyume ky'enzikiriza ye olw'okubonerezebwa; asobole okuva mu mbeera eyo embi, agamba Allah owa waggulu nti: " Omuntu awakanya Allah oluvannyuma lw'okukkiriza kwe (n'akyuka alindiriddwa ebibonerezo ebinene) okuggyako oyo aba akakiddwa (obukakibwa) nga n'omutima gwe guteredde ku bukkiriza – Naye oyo ayanjuluza ekifuba kye (eri) obukafiiri: Baliko abo okusunguwalira okuva eri Allah. Era balina ebibonyobonyo ebinene " (An-Nahl 106).

Ekyo nno omusiraamu aleme kufuna bibonyobonyo bya mubiri ebinene, ono Ammar bin Yasir okusiima kwa Allah kube ku ye abagatta ku Allah bamukwaata nebagaana okumuta okutuusa weyavuma nabbi okusaasira kwa Allah n'emirembe bibe ku ye era nayogera birungi eri bakatonda babwe oluvannyuma nebamuta, bweyajja ew'omubaka okusaasira kwa Allah kubeere ku ye yamugambi nti: " kiki ekiri emabega wo?" namugamba nti: bibi owaye omubaka wa Allah, ssitereddwa okujjako nga mmaze kukuvvoola era nenjogera birungi eri bakatonda babwe, namugamba nti: " omutima gwo guli gutya" namugamba nti: mutebenkevu ku bukkiriza, nagamba nti: " webaddamu okukubonereza nga ovuma" alhaakim n'agamba hadithi eyo ntuufu kubukkwakkulizo bwa bukhali ne muslim wadde tebajoogera.

Era nga bwekyali ku Bilal okusiima kwa Allah kube ku ye, agamba Abdul llahi Bin masiud okusiima kwa Allah kube ye nti: abasooka okwolesa obusiraamu bwabwe musanvu; omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye ne Abubakar ne Amaar ne maamawe sumayyah, ne suhhayibu ne Bilal ne Mikdad, ye omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye Allah yamutangira nga ayita mu taata we omuto Abi twalib, ate Abubakar Allah n'amutangira nga ayisiza mu bantu be, wabula abasigadde abagatta ku Allah babakwaata nebabambaza amagandula gebyuma nebabakanyuga mu musana, tewali yabataasa okutuusa bwebakola ekyo abashiriku kyebaali baagala okujjako Bilal yye ebibonerezo byamugondera ku lwa Allah yeeraba nga wa wansi nnyo okusinga Allah (natawaayo nzikiriza ye) naafuuka owa wansi eri abantu be, nebamukwata nebamuwa abaana nebamuwalula nga bamwetolooza engundo zo mu Makka naye nga agamba ekigambo kimu nti: ali omu, ali omu. Albaani yagamba nti ntuufu mu kitabo kye swahih sirat alnabawiyyah.

  1. Era mu biraga obwangu bw'obusiramu mu nzikiriza kwekutaasa omuntu okusinza ebitali Allah nebwekiba kiki, kabeere nabbi omutume oba malaika eri okumpi (ne Allah), ekyo nno okusobola okusiga obukkiriza mu mutima gw'omusiraamu nti tewali atiibwa okujjako Allah, era tewali agasa wadde akosa okujjako Allah, era tewali asobola newaaba afaanana atya okugasa wadde okukosa oba okumma wadde okuwa okujjako nga Allah ayagadde era n'agera, agamba Allah owa waggulu nti: "ne bateekawo atali Ye (Allah oyo) ali omu bakatonda abatatonda kintu kyonna ate nga nabo baatondebwa butondebwa, era nga tebalina buyinza kwetuusaako kabi oba ekirungi. Era nga tebafuga kufa wadde obulamu oba okuzuukira." (Al-Furqaan :3).

Nekiba nti buli kimu kiri mu mikono gya Allah kabaka wa bakabaka, agamba Allah owa waggulu: " bw'aba Allah nga akutuusizzaako akabi, tewali akaggyawo wabula Ye era bw'aba nga akwagalizza obulungi, tewali azzaayo birungi Bye, abifunyisa oyo gw'aba ayagadde mu baddu be. naye Ye musonyiyi, omusaasizi." (Yunusu :107).

Obusiraamu okujjawo ekkubo ly'okwesigamira ku bantu nokubatitiibya bwannyonnyola nti omubaka wa Allah Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga ye nannyini kifo ekya waggulu era ekifo eky'ekitiibwa mu maaso ga Allah bimukwatako ebyo ebikwaata ku bantu abasigadde kati awo ate atali ye agamba Allah owa waggulu nti: " Gamba nti: ssiyinza kufunira mwoyo gwange mugaso oba akabi, wabula ekyo Allah ky'aba ayagadde, Era singa nali mmanyi ebitalabikako nandiyitirizza okufuna ebirungi era sandituukiddwako kabi konna, siri nze kirala kyonna wabula omutiisa, era omubuulizi eri ekibiina ekikkiriza" (Al-A’araaf 188).

  1. Era ebimu kubiraga obwangu bw'obusiraamu mu nzikiriza; ye musiraamu okukkiriza nti Allah alagira okwenkanya wakati w'abantu bonna awatali kusosola mu madiini oba langi oba ekikula wadde amadaala, agamba Allah owa waggulu: "mazima Allah alagira bwenkanya na kuyisa bulungi, n'okuwa ab'oluganda olw'okumpi, nagaana eby'obuseegu n'ebibi n'okulumbagana abantu. Ababuulirira oba olyawo ne mujjukira " (An-nahl 90).

Okwenkanya kwetaagisa ku muntu w'okumpi n'owewala nga Allah owa waggulu bwagamba nti: " era bwe mubanga mwogedde (nga mujulira oba ekirala kyonna) mwenkanyenga newankubadde nga abadde ow'oluganda olw'okumpi (yasingibwa): nendagaano za Allah muzituukirize, ekyo mwwe, ky'ekyo Allah kye yabalaamira mulyoke mujjukire" (Al-An'am 152).

Obwenkanya bwetaagisa mu kusiima ne mu busuungu ku musiraamu n'atali musiraamu, agamba Allah owa waggulu: "era tebubawalirizanga obulabe bw'ekibiina okulema okwenkanya, mwenkanyenkanye ekyo ky'ekisinga okuba okumpi n'okutya Allah " (Al-Maaida 8).

  1. Era nekirala ekiraga obwangu bw'obusiraamu mu nzikiriza ye musiraamu okukkiriza nti Allah yasitula abantu bonna awatali kwawula mu madiini oba langi oba ensibuko oba amadaala ku bingi mu bitonde Bye, agamba Allah owa waggulu: " mazima twawa ekitiibwa omwana w'omuntu ne tubawa ebyokubasaabaza ku lukalu ne mu nnyanja, era ne tubagabira mu birungi ne tubasukkulumya olusukkulumya ku bingi mw'ebyo bye twatonda" (Al-Israai 70).

 

 

Obwangu bw'obusiraamu mu kubaga amateeka:

Amateeka lye kkubo omuntu lyayitamu okutuukiriza ebiruubirirwa oba okutuuka ku makungula gayagala emabega wakyo, omuntu okusobola okutuukiriza ekiruubirirwa kye, ekkubo ly'ayitamu liyina okuba nga lyanjulukufu, linnyonnyofu era nga limanyikiddwa nga lyangu lisoboka okukwatibwa okusinziira ku busobozi bw'omuntu, eryo nno ly'ekkubo lyo busiraamu mu kubaga amateeka. Era katufune ebimu ku biraga obwangu bw'obusiraamu mu ngeri eyo:

  1. Mu bwangu bw'obusiraamu mu kubaga amateeka; kwekuba nga obujuluzi bw'ago bwangu era bwayanguyizibwa, agamba Allah: "Era ddala twagifuula Kur'ane enyangu ku lw'okubuulirira: abaffe waliwo abuuliriddwa? " (Al-Qamar 17).

Obujuluzi bw'ago bwanjulukufu, tebulina kubuzaabuza wadde buzibu, kiri eri buli musiraamu yenna okubuuza ekyo ekiba kimuzibuwalidde, oba ekitawanya obwongo bwe awatali kukaluubirizibwa, wabula okuddamu ebibuuzo ebikwatagana ku ddiini tekyalekebwa nti buli omu addamu, wabula ekyo kyesigalizibwa ku bamanyi abakenkufu mu mateeka (g'obusiraamu), abo abaasoma obujuluzi bwayo nebabumanya era nebategeera byebwetisse nekyebutegeeza, agamba Allah owa waggulu nti "Kale mubuuze bannannyini kumanya (ekitabo) bwe mubeera nga mmwe temumanyi" (An-Nahl 43).

Ago nno ge mazima, eky'okulabirako omuntu bw'alwala agenda wa musawo tagenda wa makanika wadde omulimi. Era obusiraamu bwateeka ensonga y'okwogera ku bikwatagana ku ddiini nga tomanyi mu mazambi amanene kubanga omuntu bwayogera ku nsonga z'eddini nga tamanyi ayinza okuziyiza ekyakkirizibwa oba okukkiriza ekyaganibwa oba okulagajjalira emigabo n'agwa mu buzibu n'okukaluubiriza, agamba Allah owa waggulu nti: "Gamba nti: mazima mukama wange yaziza eby'obuwemu, obyo ebyeyoleka n'ebyenkiso, n'ebibi n'okulumbagana mu bitali bya mazima, era n'okugatta Allah n'ekyo ekitakkako bujuluzi, era n'okwogera ku Allah ebyo bye mutamanyi" (Al-A’araf 33).

Omubaka wa Allah yannyonnyola ebiva mu kunonya okumanya ku bikwatagana ku ddiini okuva ku bantu abatali banannyini kwo abakugu mu kwo, nagamba nti: " mazima Allah ssi wakuzingako kumanya nga akusikambula busikambuzi mu baddu, wabula azingako okumanya nakujjawo abamanyi (nebafa) okutuusa bwebaggwaawo; abantu nebafuula nebakulembeza abatamanyi, nebababuuza nebaddamu awatali kumanya, nebabula era nebabuza" yegattibwako[4].

Mu busiraamu temuli nsonga nekusifu nti oli agenda kuzesigaliza aleme kuzibuuzaako okujjako ebyo obwongo bye butasobola kutegeera mu bintu ebyekwese ebyo mukama waffe omutukuvu owa waggulu by'atatunnyonnyola, era nga kiba kityo olw'ensonga omuntu aba tabiyinamu bwetaavu kubimanya era amagezi g'omuntu amanafu gaba tegasobola kubitegeera, agamba Allah owa waggulu nti: " Bakubuuza ku myoyo, bagambe nti: omwoyo kya mu bigambo bya mukama wange, temwaweebwa mu kumanya wabula kitono ddala" (Al-Israai 85).

Era nagamba Allah owa waggulu nti: "Bakubuuza ku lunaku lw'enkomerero nti ddi lwe luyimirirawo? Wa gy'onoggya ggwe okulwogerako? Eri mukama wo (Allah) gye kukoma okulumanya. Mazima ggwe oli atiisa abo abalutya. Mazima bo olunaku olwo bwe baliba nga balulabye, baliba ng'abatatuulangako kuno ku nsi wabula ekiseera eky'olweggulo oba eky'okumakya" (An-Naaziaat 42-46).

Wabula ebyo omuntu by'ayinako omugaso ku kubimanya mu nsonga ezekwese; mukama waffe omutukuvu owa waggulu yabinnyonnyola nga ayisa ku lulimu lwa nabbi we okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, nga ejjana no omuliriro, n'okubalibwa n'ebifa kubantu abatusooka ne ba nabbi baabwe tusobole okufuna eky'okuyiga n'okwebulirira n'okujjukira Allah: " Nolwekyo mbatiisa omuliro ogubumbujja. Tagenda kugwesogga wabula omwonoonyi. Oyo eyalimbisa nakyuka (nga ava kumazima n'okukola emirimu gye ddiini), anagwewala n'okugwesamba oyo asinga okutya Allah, oyo awaayo emmali ye nga yeetukuza, nga tawaayo lwa kunonya kusasulwa muntu yenna, wabula nga awaayo lwa kunonya ludda lwa mukama we omugulumivu, kyaddaaki alyesiima " (Al-Layli 14-21).

  1. Era mu biraga obwangu bw'obusiraamu mu mbaga y'amateeka kwekuba nga gateekebwawo omutonzi omutukuvu owawaggulu, nga buli omu ayina okugagoberera, omukulembeze ne gwebakulembera, omugagga n'omwavu, owekitiibwa n'owawansi, omweeru n'omuddugavu, tewali muntu yenna kyonna kyali akkirizibwa kubeera nti agaawukanako, agamba Allah owawaggulu: " Era talina omukkiriza omusajja wadde omukkiriza omukyala, bw'abanga Allah n'omubaka we bamaze (okusalawo) ekigambo kyonna, okubeera nga balina okwesiimira mu kigambo kyabwe; n'omuntu ajeemera Allah n'omubaka we mazima aba abuze olubula olweyolefu" (Al-Ahzaabu 36).

Era yakakasa ku buli omu okubeera nti agagoberera n'okugawa ekitiibwa n'okugateeka mu nkola, k'abeere mukulembeze oba akulemberwa, agamba Allah owa waggulu: " Sso nga mazima kyali ekigambo ky'abakkiriza (abatuufu) bwe baba nga bayitiddwa eri Allah n'omubaka we alyoke alamule wakati waabwe, bagambe nti: tuwulidde era tugonze. Nabo bo be b'okwesiima” (An-nuuru 51).

Nekiba nti mu busiraamu temuli buyinza bute ku muntu yenna yadde omukulembeze, era obuyinza bwe bwonna bukomeke ku nsalosalo ezo ezateekebwawo amateeka g'obusiraamu, era nga ekyo kiri mu bwangu bw'obusiraamu nti tewali kukinabbukira ku balala wadde okwekuluntanza singa kibaawo tekiweebwa mwaganya era tewaba kugonda olw'ekigambo ky'omubaka okusaasira kwa Allah kube ku ye " kikakata ku buli musiraamu okuwuliriza n'okugonda (eri omukulembeze) kwe ebyo byayagala nebyatayagala okujjako nga alagibbwa kujeemera Allah era nga waba alagiddwa okujeema; tewaba kuwulira wadde okugonda" albukhali v3, p1469, no 1839.

Nekiba nga mweyo engeri obusiraamu bwakuuma ebibanjibwa n'eddembe ebibuna n'ebya kinnoomu era ne buteeka wala ensibuko z'amateeka akuva ku kwagala kw'emitima gy'abo abateekawo amateeka okukendeevu, kubanga amateeka gaabwe gaba gava ku kwagala kwabwe okw'ensi zabbwe, wabula ebikwatagana ku nsonga endala ezitali bikolo; amateeka g'obusiraamu gazireka abasiraamu okusobola okuggulirawo abasiraamu omulyango gw'okweterawo amateeka agasaana embeera z'abwe agalimu emigaso egibuna ku buli mulembe nabuli kifo ku kakwakkulizo okubeera nti tegakontana na misingi gya busiraamu.

  1. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu mateeka ga bwo kwe kuba nti amateeka ga bwo n'enjigiriza z'abwo ebiva ewa Allah binywevu tebikyukakyuka, tebyateekebwawo bantu abo abayina obukendeevu abasobya abakyuka okusinziira ku bintu ebibeetoolodde mu by'obuwangwa n'ensikirano wamu n'empangaala, eyagatekawo ye mutonzi w'abantu bonna omumanyi omukenkufu eri ebyo ebigwana embeera zabwe era ebirongoosa ensonga zabwe, tewali muntu yenna ayina kugawakanya oba okukyusa ekintu kyonna mu mateeka ga Allah nga ayongeramu oba okukendeeza nebwabeera akomyeyo mu kumanya, agamba Allah owa waggulu: "Abaffe okulamula kw'obutamanya kwe baagala? Naye ani asinga Allah okulamula okulungi eri ekibiina ekitegeera “(Al-Maaida 50).
  2. Ebimu ku biraga obulungi bw'obusiraamu mu mateeka ga bwo kwe kuba nti mu busiraamu temuli buyinza butuukirivu bwetongodde, nga obuweebwa abakulu ba madiini mu nzikiriza endala, era nga kiri bwekityo kubanga obusiraamu bwajja nebumenyawo obwakayungirizi obwaliwo wakati wa Allah n'abaddu be era nebunenya abashiriku okuteekawo bakayungirizi mu kusinza, Allah agamba nga atunyumiza ku bo nti: "Abange ya Allah (yekka) eddiini entukuvu. N'abo abeeteerawo abayambi abatali Ye (Allah bagamba) nti: tetubasinza abo wabula balyoke batusembeze okumpi n'eri Allah. Mazima Allah agenda kulamula " (Az-Zumar: 3).

Era omutukuvu owa waggulu (Allah) nannyonyola obutuufu bwa bakayungirizi abo era nti tebagasa wadde okukosa era bitonde nga bo N’agamba Allah owa waggulu nti: “mazima abo be musaba abatali Allah, nabo baddu ba (Allah) okufaanana nga mmwe. Kale mubasabe babaanukule, bwe mubeera ab'amazima" (Al-A’araf: 194).

Obusiraamu nebuyimirizaawo enkolagana butereevu wakati wa Allah n'abaddu be eyo eyimirira ku bukkiriza obw'enkomeredde mu ye n'okudda gy'ali yekka mu kumala ebyetaago n'okusaba okusonyiyibwa n'okuyambibwa okuva gy'ali butereevu awatali kayungirizi, oyo yenna asobya asitule emikono gye yeetoowaze eri Allah yekka asabe okusonyiyibwa mu kifo kyonna era ekiseera kyonna mu mbeera yonna, agamba Allah: "N'omuntu akola ekibi oba n'alyazaamaanya omwoyo gwe, oluvannyuma ne yeegayirira Allah okumosonyiwa, asanga Allah nga musonyiyi, omusaasizi" (An-Nisaai: 110).

Era n'agamba Allah owa waggulu nti: " mukama wammwe yagamba nti: munsabe nja kubaanukula: mazima abo abeekuliza ku kusinza, bagenda kuyingira omuliro jahannamu nga baswavu."Al-Ghafir: 60.

Mu busiraamu temuli bakulu b'amadiini abakkiriza ne bagaana era nebasonyiwa, ne beefuula abasigire ba Allah ku baddu be, nebababagira amateeka era nebafuga enzikiriza zabwe era nga bebasonyiwa era nga bayingiza gwebaba b'agadde ejjana era nebajiziyizaako gwebaba b'agadde kubanga obuyinza bw'okubaga amateeka bwa Allah yekka, agamba okusaasira kwa Allah kube ku ye nga avvuunura ekigambo kya Allah owa waggulu: "baafuula bakabona baabwe n'abasosodooti baabwe okuba bakatonda atali Allah" at-tauba: 31, yagamba nti: bo baali tebabasinza, wabula baali nga webabakkiriza nga okukola ekintu nga bakifuula ekikkirizibwa, era webabazitizaako ekintu nga bakifuula ekigaanibwa " sunani attrimith: v5: p278: h 3095.

  1. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu ye enteekateeka y'okwebuuza, ekyo nno okufuula ensonga ezikwatagana ku bulungi bw'abantu nga zetabwamu abantu okusobola okubeera nti obulungi bwa kinn'omu tebukira bw'abangi, nga wekigambibwa nti: endowooza y'emitwe emingi esinga endowooza y'omutwe ogumu, agamba Allah owa waggulu nti: "Ne ku lw'okusaasira okwava eri Allah wabagondera, naye singa wali ow'ebboggo omukakanyavu w'omutima bandikuluumulukuse okuva mu mabbali go, kale basonyiwe era obeegayiririre Allah abasonyiwe era obeebuuzengako ngako ku nsonga.." (Al-Imraan: 159).

6- Era obimu ku biraga obulungi bw'obusiraamu mu mateeka g'abwo kwe kuba nti bwaggula omulyango gw'okukozesa obwongo mu kuzuula amazima (ijtihad) ku nsonga ezitaaliko bujuluzi okuva mu Kur'ane oba mu hadithi za nabbi era nga ekyo kiri bwekityo kuba eddiini y'obusiraamu egenda n'enkulakulana era nga ekola ku buli mulembe era buli kifo, n'ekiba nti eddiini y'obusiraamu yajja n'entandikwa n'ebikolo ebibuna n'emisinji egibuna eminyevu tegikyuka lwa nkyuka kyuka ya biseera oba ebifo mu nzikiriza ne mu kusinza okugeza nga obukkiriza ne sswala n'omuwendo gwa raaka zaayo n'obudde bw'azo, ne zakka n'ebipimo byayo era n'ebikakata okujjibwamu, n'okusiiba n'obudde bwakwo, n'okukola hijja n'engeri gy'ekolebwa n'ekiseera ky'ayo, n'ebibonerezo.., wabula ebigwawo ebipya mu nsonga bitunuzibwa mu Kur'ane entukuvu, wetusangayo okulamula nga tugenda nakwo era nga tuleka okutali kkwo, wetutasangayo nga tunonya mu bituufu ebyaggibwa ku mubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, wetufunayo okulamula nga tugenda nakwo era nga tuleka ebisigadde wetutafunayo kuba kunonya na kutunula mu ndaba z'abamanyi abalongoofu mu buli mulembe na buli kifo mu ebyo ebireeta emigaso egibuna era egitambula n'obwetaavu bw'omulembe nembeera y'empangaala ekyo nno nga kibaawo nakutunula mu kur'ane ne hadithi n'okwanja ebipya ku misingi gy'okulamula egibuna egyo egijjibwa mu kur'ane ne hadithi okuba nti tebikontana nabyo, era nga tetugeeza (ijtihad) okwaagala kw'omutima n'okugoberera obwagazi, wabula tutegeeza okutuuka kw'ekyo ekirimu emigaso n'obulungi eri abantu awatali kukontana n'amateeka, era nga kiri bwekityo obusiraamu bubeere nga butambula nabuli mulembe era n'obwetaavu bwa buli bantu.

7- Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu kwe kuziba ekkubo ly'okusukka ekkomo n'okunyweza mu ddiini era nebuwera okusukka ekkomo mu ddini nga bukolera ku kigambo kya Allah owa waggulu nti: “Allah abaagaliza bwangu, era tabaagaliza buzito;” (Al-bakara:185) era nagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe gibeere ku ye nti: " mbewaza okusukka ekkomo mu ddiini, mazima baazikirila ababasooka olw'okusukka ekkomo mu ddiini" yayogerebwa imam Ahmad ne nasaai Albaani nagiramulako nti ntuufu.

Era nga omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku yatwaala ensonga y'okusukka ekikomo mu ddini nga kuba kuva ku nkola ye n'obulunggamu bwe, agamba Anas Bin Malik okusiima kwa Allah kube ku ye nti: abasajja basatu (mu ba swahaba) bwajja eri ennyumba z'abakyala ba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga babuuza ku nsinza ya Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, bwebababuulira baali nga abagitoniya nebagamba nti: tuli wa ffe ku Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga yye yasonyiyibwa ebyasooka n'ebyakeerewa, omu ku bo nagamba nti wabula nze mazima njakusaalanga ekiro kyonna ebiseera byonna, omulala nagamba nze ndi wakusiiba omwaka awatali kusiibulukuka, omulala n'agamba nze ngenda kuva ku bakyala nga ssiwasa ebbanga lyonna, omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye najja n'agamba nti: yemmwe abogedde bwemuti ne bwemuti?, wabula nze mbalayirira Allah nti nze abasinga okugondera Allah era nze abasinga okumutya wabula nsiiba ne nsibulukuka, era nsaala nenneebaka, era nempasa n'abakyala. oyo yenna ava ku nkola yange taba wa mu kibiina kyange"[5]

Era yali omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga akuumira abagoberezi be kw'ekyo asobola okubewaza enkola y'okusukka ekkomo n'okumyumyula, Abdullah Bin Amri Bin Al-asi okusiima kwa Allah kube ku ye agamba nti omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yamugamba nti: "Owaye Abdullah ; nagambibbwa nti mazima ggwe osiiba emisaana n'osaala ekiro kyonna, nagamba nti bwekiri owaye ggwe omubaka wa Allah, nagamba nti: tokikola siiba osiibulukuke, osaale era weebakeko kubanga omubiri gwo guyina omugabo ku ggwe, n'amaaso go gakuyinako omugabo, ne mukyala wo akuyinako omugabo, n'abagenyi bo bakuyinako omugabo, kikumalira okusiiba buli mwezi ennaku ssatu mazima nga buli kirungi kirimu ebirungu kkumi ebikifaanana mazima okwo kubeera kusiiba mwaka gwonna, agamba nti: n'akalubya nenkaluubirizibwa. Nagamba nti owaye omubaka wa Allah mazima nze nnina amaanyi, nagamba nti kale siiba ensiiba ya Nabbi wa Allah Dauda emireembe gibe ku ye toyongerako, nengamba nti kwo okusiiba kwa Nabbi wa Allah Dauda emirembe gibe ku ye kwali ku tya, nagamba kitundu kya mwaka. Abdullah bweyakaddiwa yagamba nga nti: kale singa nakkiriza olukusa lwa Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye " Al-Bukhali.

Era nga ekyo tekitegeeza nti obusiraamu ddiini ya bya nsi era nti erulunkanira ebyamasanyu awatali bukwakkulizo wabula yo ddiini ennenkenya eyawakati, egatta eby'ensi n'ebye ddiini tewali kikira kinnakyo, eragira okwenkanya wakati w'omwoyo n'omubiri, n'eragira omusiraamu bw'aba nga ambinkidde mu by'ensi okujjukira obwetaavu bwe obw'omyooyo n'okukola ebyo Allah byeyamukakasa ko mu kusinza, nagamba Allah owa waggulu: “Abange mmwe abakkiriza! Bwemubeeranga (muwulidde) okukoowoola (okwaziina) okugenda eri Okusaala ku Lwokutaano (Olunaku lw’Ejjuma), kale musitukirengamu (okugenda) eri okwogera ku Allah, muyimirizenga okutunda Ekyo kye kirungi gye muli bwemubeera nga mumanyi.” (Al-Jumu'ah:9)

Era nebumulagira mu mbeera nga agweredde mu kusinza okujjukira obwetaavu bwe eri emmali n'okukola n'okunonya riziki, nagamba Allah owa waggulu: “Esswala bwe'banga ewedde, kale olwo musaasaanire mu nsi munoonye mu bigabwa bya Allah.” (Al-Jumu'ah:10). Era nebukomeka okweyagarira mu birungi n'obutadibuuda okwo obubi bwako obutawonebwa mubiri, agamba Allah owa waggulu: “Era mulye era munywe, naye temudiibuuda. Mazima Allah tayagala badiibuuzi.” (Al-Aaraaf:31). Era ne mukunyonyola nti mazima tewari kukontana wakati webiruubirirwa by'Ediini wamu nebiruubirirwa by'Ensi. Allah agamba nti: “Mmwe temulina kibi okunonya ebyokufuna ebiva eri Omulezi wamwe (okusuubula nga muli ku Hijja). Bwe muba nga mugumbulukuse okuva mu (lusenyi) Arafaat, mwogerenga ku Allah awo awali obubonero Obw'emizizo (nakyo kye kifo ekiyitibwa Muzdalifa). Mumwogerengako nga bwe yabalungamya, newankubadde nga mu kusooka mwali mu babuza.” (Al-bakara:198).

8- Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu mateeka ga bwo mazima omusiraamu bw'aba atidde okufa asobola okulya oba okunywa ebyo Allah byeyaziyiza mu bifudde n'omusaai n'ennyama y'embizzi n'omwenge ekigero ekyo ekijjawo obuzibu, olw'ekigambo kya Allah ekigamba nti: “Mazima Allah yaziza ku mmwe (okulya) ennyamanfu n'omusaayi, n'ennyama y'embizzi, n'ekyo ekyogereddwako erinnya (eddala lyonna mu kusalibwa) eritali lya Allah. N'omuntu aba atuuse ku buzibu (bw’enjala), nga ssi mwonoonyi era nga tasusse mateeka, talina kibi okulya (kw'ebyo, ekigero ekikuuma obulamu bwe). Mazima Allah Musonyiyi, Musaasizi.” (Al-Bakara:173).

Agamba Sayyidi kutubi Allah amusaasire mu kuvvuunula kw'etteeka elyo nti: eyo yenzikiriza emanyi omuntu nti muntu ssi nsolo era ssi malayika oba sitaani, emumanyi nga omuntu n'obunafu bwe era n'amanyi ge emutwala nti ayina omubiri n'obwongo obugeregeranya, n'omwoyo ogwegomba era nga emukakasaako emirimu gy'asobola era nga etunuulira enkwatagana wakati w'emirimu n'obusobozi awatali kukaluubiriza.

Era obumu kubwangu bw'obusiraamu nti ebirungi bikubwamu emirundu n'emirundu wabula ate ebibi aba abikoze asasulibwa nakibi kimu, Agamba Allah owa waggulu nti: "Omuntu alijja (nga akoze) ekirungi alina (okusasulwa ebirungi) emirundi kkumi ebifaanana nga kyo, n’omuntu alijja n’ekibi tagenga kusasulwa, wabula ng’ekifaananyi kyakyo; nabo (abantu) tebagenda kulyazaamaanyizibwa. "(Al-An’am: 160)

 

 

Obwangu bw'obusiraamu mu kukowoola okudda eri bwo.

Olw'okuba nti obusiraamu ddiini y'ansi yonna era ey'abantu bonna buli mulembe era buli kifo kyali kikakata okukowoola eri bwo okuba n'ebitendo ebimanyikiddwa mu bugonvu n'obwangu mu ngeri yokubwanjula n'okukulembeza okwagaliza ebirungi eri abalala kibe nga ekyo kikkirizisa oluuyi olulala (olukowoolebwa) okuwanyisiganya ebirowoozo wamu wamu n'okubikkiriza, era nga eyo y'engeri obusiraamu gye bukowoolamu abantu, bukubiriza okukowoola ababwawukanako n'amagezi n'okubuulirira okulungi, agamba Allah owa waggulu: " Yita okujja eri ekkubo lya mukama wo n'amagezi n'okubuulira okulungi era obawakanye n'ekyo ekisinga obulungi " (An-Nahl:125).

Katufune ebifaananyi mu bulungi bw'obusiraamu mu kisaawe ky'okukowoola, n'ebimu kubifaananyi ebyo:

  1. Obwangu bw'obusiramu mu kuggula omulyango eri ab'enzikiriza endala okubuyingira era nga ekyo bukisanyukira nnyo, agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " Allah asanyuka nnyo olw'okwenenya kw'omuddu we bwaba yenenyezza okusinga (okusanyuka kwo) omu mu mumwe nga abadde mu ddungu n'ekyebagalo kye nekimubulako nga kwekuli eky'okulya kye n'ekyokunywa najjayo essuubi ku kyo (ekyebagalo) n'agenda awali omutu n'agalamira mu kisiikirize nga tayina ssuubi lyakufuna kyebagalo kye, aba akyali bwatyo nga alaba ensolo ye eyimiridde waali nakwata ku muguwa gwayo oluvannyuma olwessanyu eringi n'agamba nti: ayi Allah gwe muddu wange era nze mulezi wo, yakola ensobi olw'essanyu eringi " muslim.
  2. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu kisaawe ky'okukowoola kwekuba nti bulagira abasiraamu okukozesa ekkubo ly'okwagazisa n'okusanyusa n'ebirungi mu kukowoola, omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye agamba abakulembeze be ababiri Muazi ne Abu Musa Al-ashari weyabatuma eyamani okuyita abantu eri obusiraamu nti: " musanyuse temuddusa bantu, era mwanguye temukalubya era mubeere bumu temwaawukana" (Ahmad, Bukhali ne Muslim).
  3. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu kukowoola abantu eri bwo kwekuba nti bulagira abagoberezi ba bwo okubaganya empawa n'abatali basiraamu okusinziira ku misingi egiwa amagezi g'abwe ekitiibwa era egitunuulira embeera za bwe egiri ewala ennyo n'okukakkanya oba okusiruwaza, agamba Allah owa waggulu: "Era towakananga na Bannanyini Kitabo wabula n’ekyo ekisinga obulungi, okuggyako abo abalyazaamaanyi (abatawuliriza mazima era abalumbaganyi!) mu bo: era mugambenga nti: Ffe tukkiriza ebyo ebyassibwa gye tuli n’ebyo ebyassibwa gye muli; ne Katonda waffe nammwe Ali Omu, naffe ku Ye twewaddeyo tuli (Abasiraamu) abamugoberera" (Al-Ankabut:46)

Tewali kukasa ku muntu kugoberera ndowooza wadde okumukaka n'obutafaayo ku luuyi olulala, wabula kuwuliriza bujulizi kukubaganya birowoozo ku bwo n'okubuddamu, era nga ekkubo elyagobererwa nga mu kukubaganya ebirowoozo (n'abawukana ku mazima) ku bo lyakumatiza n'okuddamu okw'obwongo okutuufu, okwo okukwatagana n'endowooza y'abakowoolebwa, tukwate ku nsonga y'okuzuukira nga eky'okulabirako, agamba Ibin Abbas okusiima kwa Allah kube ku bo bombi nti: Al-as Bin Wa-ili yajja – nga ssi musiraamu – ew'omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye n'obuwanga (amagumba amakadde) n'abukutulakutula nagamba nti: owaye ggwe Muhammad ddala Allah wakuzuukiza kino oluvannyuma lw'okubeera amagumba agamementuse? Nagamba nti: " iyye Allah wakumuzuukiza, akutta oluvannyuma n'akuwa obulamu oluvannyuma n'akuyingiza omuliro" agamba nti: ekigambo kya Allah owa waggulu nekikka: "N'atukubiraekifaananyi (nga awakanya okuzuukira) ne yeerabira obutonde bwe, n'agamba nti: Ani alizuukiza amagumba nga nago (gamaze okuba) amamulungufu? 79. Mugambe nti: Agenda kugazuukiza oyo (Katonda) eyagatandikawo omulungi omuberyeberye. Era Ye Mumanyi ku buli kitonde). 80. Oyo eyabateekera mmwe omuliro okuva mu muti omubisi (oluvannyuma lw'okukala kwago) okwejjuukiriza nga nammwe mugukumamu omuliro! 81. Abaffe tali oyo eyatonda eggulu n'ensi ayinza ku kutonda ekifaananyi kyabwe (abantu, omulundi ogw'okubiri)? Yee (Asobola ddala)! Era Ye Mutonzi, Omuyitirivu w'okumaya! " (Yaasiin: 78-81). (yaletebwa alhaakimu nagamba nti hadithi ntuufu ku bukwakkulizo bwa bukhali ne muslim naye tebagifulumya).

Era nga okw'ogereganya n'okuzzaayo (obujuluzi) okw'amagezi, n'obujulizi obw'amagezi wamu n'obubonero obweyolefu, obwo obutalekaawo kubusabuusa eri abayina amagezi amatuufu era abanonya amazima nti mazima eddiini eno (busiraamu) y'eddiini entuufu era nga yeesanidde okugobererwa, yewangula ku kunkomerero, agamba Allah owa waggulu mu mboozi ya Ibrahim emirembe gya Allah gibe ku ye ne kabaka Baabiri Namuruudu Bin Kani-ani …. "Tolaba oyo eyawakana ne Ibrahiimu mu Bw’omu bwa Mukama we, olw’okubanga Allah yamuwa obufuzi? Mu kiseera Ibrahiimu bwe yagamba nti: Katonda wange y’oyo Awa obulamu era N’atta. (kabaka) n’agamba nti: Nze mpa obulamu era nzita. Ibrahiimu n’agamba nti: Mazima Katonda Aggya enjuba e Buvanjuba: kale ggwe giggye e Bugwanjuba (bw’obanga oli Katonda nga bwe weeyita). N’abuguyala oyo eyawakanya okubaawo kwa katonda (nga yeesukkulumya). Ne Katonda Talunngamya kibiina kya balyazaamaanyi (abawakanya amazima)" (Al-baqarah 258).

  1. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu kukowoola: kwekubeera ewala ennyo n'enkola y'okusojja n'okujeeja n'abuli kyonna ekirimu okukakkanya, agamba Allah owa waggulu "Abaddu Bange (abakkiriza) bagambe boogerenga ekyo ekisinga obulungi. Mazima sitaanee atabutabula n’ayonona wakati waabwe. Mazima sitaane yali okuva edda nga mulabe wa muntu ow’olulango." (Al-Israi 53).
  2. Era obulungi obulala mu kukowoola kwekukozesa enkola y'okwagazisa n'okusaasira eri abo abakowoolebwa, anti bwo bukowoola eri enkola ewumba wumba emitima n'ebigambo ebyagazisa emitima, agamba Allah owa waggulu nti: "Abange bannannyini kitabo! lwaki mukaayana (ku bikwaata ku ddiini) ya Ibrahim nga teyassibwa taurati n'Enjiri wabula luvannyuma lwe, abaffe temugeziwala " (Al-imraan: 65)
  3. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu kukowoola bwe bugonvu n'obukwata mpola mu kw'ogera awatali bukambwe, agamba Allah omutukuvu owa waggulu eri Musa emirembe gibeere ku ye n'emuganda we Harouna weyabasindika ewa Falawo nga oyo yeyali yeyita katonda era nga akawoola abantu okumusinza: "Mugende mwembiriri eri Falawo. Mazima ye yabula (n’asukka ekikomo). 44. Mumugambe ebigambo ebigonvu, oba olyawo n’ajjukira n’atya (Katonda)." (Ta-Ha 43-44)
  4. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu kukowoola kwekusaba ababwawukanako abawanyisiganya nabwo ebigambo okuleeta obujuluzi n'obubonero n'okubawa omukisa okuleeta ebyo byebayina n'okubikubaganyako ebirowoozo, agamba Allah owa waggulu: "Bagambe (Ggwe Muhammadi) nti: “Mumbuulire (mulowooza ki) ku ebyo bye musaba ebitali Allah? Mundage ebyo bye byatonda mu nsi, oba birina omugabo (gwonna gwe beegatta ne Katonda) mu ggulu? Mundeetere Ekitabo ekyakka oluberyeberye lwa kino oba eyassigalawo (yonna mu kumanya kw’abasooka bye mukyalina) bwe muba ab’amazima (mu kusinza ebirala ebitali Katonda)! " (Al-Ahqaf:4)
  5. Era obumu ku bulungi bw'obusiraamu mu kukowoola kwe kusaba ababwawukanako okwogereganya n'abo okwekigendererwa okwo okubagatta ku nkola y’omulenzi era okuli ewala ennyo n’okwawukana, omuli okwagalana n'okubagaliza ebirungi agamba Allah owa waggulu "Gamba nti: Abange Bannannyini Kitabo mujje eri ekigambo ekyenkamu wakati waffe nammwe: Tuleme kusinza mulala yenna wabula Allah! Tuleme okumugattako kintu kyonna, era tuleme kusinza abamu mu ffe okuggyako Allah. Bwe babeera nga bakyuse (okuva kw’ekyo), mugambe: Mujulire nti mazima ffe tuli Basiraamu (abakkiriza Obw’omu bwa Katonda).” (Aal-‘Imran: 64)
  6. Era obumu ku bulungi bw'obusiraamu mu kukowoola kwe ku ggulawo omulyango gw'okubuyingira n'okwegatta ku bagoberezi ba bwo awatali bukalubo bwonna oba buzibu wadde obukwakkulizo bw'eddini nti kiyina kubeera mu kifo bwekiti era mu maaso g'abantu abamanyikiddwa ekyo nno nga kiri bw'ekityo kuba nti eyo nkolagana wakati wa muddu n'amulezi we butereevu awatali kayungirizi wakati w'omuddu n'omulezi we, ebigambo byangu okwogerwa, binene mu makulu abyogera oyo amaliridde okubeera omusiraamu n'ayingira mu nziiriza y'obusiraamu, nga kwe kwogera enkakasa ebbiri (shahadataini) "nkakasa nti tewali kisinzibwa mu butuufu okujjako Allah, ne nkakasa nti mazima Muhammad muddu we era mubaka we ", ebyo ebibiri ky'ekisimuluzo ekiyingiza omuntu obusiraamu, aba abyogedde aba yesambye buli ddini etali busiraamu n'enzikiriza ezibwawukanako era abasiraamu baba bamuyinako obuvunanyizibwa nga naye abayinako obuvananyizibwa.
  7. Era n'obumu ku bwangu bw'obusiraamu kwe kuba nti omuntu yenna abeera abuyingidde Allah amusonyiwa ebibi byabeera nabyo nga tannaba kuyingiira busiraamu agamba Allah owa waggulu: "Gamba abo abatakkiriza nti: Bwe baba nga bakomezza ebyo bye babaddeko eby’okuyigganya abakkiriza bajja kusonyiyibwa ebyo eby’akulembeza; …" (Al-Anfal:38).

N'agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " obusiraamu busangulawo ebyo ebyasooka era n'okwenenya kusangulawo ebyo ebyaliwo olubereberye" yaletebwa ahmad era nga ntuufu.

  1. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu kwekuba nti atali musiraamu wabuyingira Allah amuwa empeera z'ebyo ebirungi byeyali akola nga tannaba kusiramuka, agamba Hakim Bin Hizaam okusiima kwa Allah kubeere ku ye yagamba nti: owaye omubaka wa Allah olaba otya emirimu emirungi gyennakola nga sinnaba kusiramuka mu saddaaka n'okuta abaddu, n'okuyunga oluganda abaffe mulimu empeera? Nagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: “osiramuse n'ebirungi ebyakulembera" (Al-Bukhali).
  2. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu kukowoola kwekuba nti oyo aba abuyingidde okuva mu nzikiriza endala afuna empeera za mirundi ebiri olw'okukkiriza omubaka wa bwe ate nebakkiriza n'obubaka bwa Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, agamba Allah owa waggulu: "N'abo be twawa ekitabo oluberyeberye bo bagikkiriza. Bwe baba nga ebasomeddwa bagamba nti: tugikkiriza ddala yo mazima agavudde eri mukama waffe, mazima ffe (okuva) oluberyeberye twali nga tuli bakkiriza. Abo baliweebwa empeera yaabwe emirundi ebiri ku lw'ebyo bye baagumiikiriza era ne baggisaawo ne kirungi ekibi, era nga bagaba okuggya mw'ebyo bye twabagabira" (surat: Al-kasasi; 52-54)

 

 

 

Obwangu bw'obusiraamu mu kukolagana n'abatali basiraamu:

Mu ntandikwa y'emboozi ku bwangu bw’obusiraamu mu nkolagana n'abatali basiraamu katujulize ekigambo ky'omu kubakenkufu mu misomo gy'okugeregeranya wakati wa amadiini Luis young kibeere ekituyingiza mu mboozi ku bumu ku bwangu bw'obusiraamu mu nkolagana n'abatali basiraamu anti agamba: mazima ebintu bingi abazungu byebayiga okuva mu bulabufu bw'obusiraamu nga mu byo mwe muli endaba y'abawalabu enyangu[6].

  1. Obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu nkolagana n'abatali basiraamu kwe kuba nti bukkiriza enkolagana zonna ezeby'enfuna nabo mu kugulagana n'okukolera awamu n'empa nkuwe ebyesigamidde ku bukwakkulizo bw'amateeka g'obusiraamu obujjawo okukosa era nebukuuma emigabo nga buyita mu kubo ly'okusiima wakati w'enjuyi ebbiri n'okumanya, n'okutegeera ekyettunzi n'omulamwa gwakyo n'obukwakkulizo, agamba Aisha okusiima kwa Allah kube ku ye nti Nabbi wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yagula emmere ku mu yudaaya ku bbanja n'asigayo engabo ye (ekyambalo kye eky'olutalo) " (Al-bukhali).

Obusiraamu tebugaana mu nkolagana ezo okujjako omuli okukosa n'okulyazaamaanya nga enyongeeza n'ezzaala n'okusimbawo ssente mu zzaala, era nga tebikkiriza newakati wabasiramu, agamba Allah owa waggulu nti: "Abange mmwe abakkiriza! Temulyanga ennyongeza, eyo eyeetuuma (obutakoma), (ku mmaali gye muwolaganye). Mutye Katonda mulyoke mulokoke (muwangule). " (Al-Imraani: 130).

Era nagamba Allah owa waggulu nti: "Abange mmwe abakkiriza! mazima omwenge ne zzaala, n'amasanamu n'obusaale (obulagula n'ebirala ng'ebyo), byenyinyalwa bya mu mirimu gya sitaane. Mubyewale olwo mubeere abesiimye. Mazima ayagala sitaane okuyingiza wakati wammwe obulabe n'okukyawagana, mu mwenge ne zzaala era abaziyize ku kwogera ku Allah n'okusaala abaffe mmwe temwekomeko " (surat; Almaaida; 90-91)

  1. Obumu ku bwangu bw'obusiraamu n'abatali basiraamu kwe kukkiriza esswala esaliddwa mu masinzizo g’abwe, kyaleetebwa nti Abu Musa yasaalira mu kkanisa eDamasikaas eyitibwa Kanisa ya Nahya. Muswannafu Bin Abi Shayibah. Newankubadde kitamwa singa mubaamu ebifaananyi n'ebibumbe wewaba tewali wakusaalira walala.
  2. Ne mu bumu ku bwangu bw'obusiraamu mu nkolagana n'abatali basiraamu okubeera nti bakkirizibwa okuyingira omuzikiti bwewabaawo obwetaavu, oba omugaso ogubuna okujjako omuzikiti ogw'emizizo ogw'e Makka, Nabbi yali ayaniriza ebibinja by'abantu abazze gyali mu muzikiti gwe, era yali tabagaana kuguyingira, okwongereza kw'ekyo yasibira Thumaama bun Aathaal Allah asiime ku ye mu muzikiti gwe e Madina nga tannaba kusiramuka.
  3. Era obu ku bwangu bw'obusiraaamu mu nkolagana n'abatali basiraamu kwe kuba nti bukkiriza okulambula abeera alwadde mu bo n'okumusabira okuwona, agamba Anas okusiima kwa Allah kubeere ku ye nti: yali omulenzi omuyudaaya nga aweereza Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye n'alwala nabbi nagenda okumulambula n'atuula emitwetwe we namugamba nti: " siramuka" n'atunula ewa kitaawe nga naye ali awo namugamba nti: gondera taata kasimu okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, n'asiramuka, Nabbi n'afuluma nga bwagamba okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " amatendo amalungi ga Allah oyo amujje mu muliro" (Al-bukhali).
  4. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu nkolagana n'abatali basiraamu kwe kukkiriza okubakubagiza webaba bafiiriddwa ow'oluganda lwa bwe, hadithi okuva ku Abu Huraira okusiima kwa Allah kubeere ku ye mazima Nabbi wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yagamba nti: " nasaba omulezi wange okusabira maama wange okumusonyiwa n'atanzikiriza, nemussaba anzikirize okulambula entaana ye nanzikiriza"(Muslim).
  5. Era obumu kubwangu bw'obusiraamu mu nkolagana n'abatali basiraamu kwe kukkiriza okubasaddaakira webaba tebalwanyisa busiraamu, n'okubawa ebirabo, ono Abdu llah Bin Amri yasalirwa embuzi ewuwe, bweyajja nagamba nti: muwaddeko mulilwaana, muwaddeko mulilwaana omuyudaaya? Nnawulira omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga gamba nti: “jibril teyalekera awo kunnaamira mulilwaano okutuusa wennatuuka okulowooza nti obubaka bugenda kujja nga bumusikiza ku mmaali yange" (Muslim).

Ensonga yayitawo nebutuuka n'okukkiriza okubawa ku zakka omugabo gw'etteeka ogw'abetaavu mu basiraamu abo emitima gy'abwe egikyamanyiizibwa (obusiraamu) bwekikakasibwa nti ddala mu kugibawa mulimu omugaso eri abasiraamu oba bo okuyingira obusiraamu oba okwewonya obubi obwandi bavuddemu.

agamba Allah owa waggulu nti: "Mazima saddaaka za baavu na banaku, n'abazikolako n'abo emitima gyabwe egikyamanyiizibwa (obusiraamu), n'abaddu abalina endagaano z'okwenunula mu buddu n'abamabanja n'abalwana mu kkubo lya Allah, n'abatambuze; (nga) kugera okwava eri Allah. ne Allah Amanyi, Mukakasa" (At-Tauba: 60).

Okuva ku Umar Bin Abdul Aziz yagamba: nafuna amawulire nti mazima yalaba omusajja mu kubali wansi w'obukuumi bw'abasiraamu nga asabiliza ku miryango gy'abasiraamu n'agamba nti: mazima tetubadde benkanya gy'ali, tukujjeko omusolo nga oli muvubuka kyokka olwaleero tukuyabulire, n'alagira bamuwe nga eky'okulya okuva mu mmaali y’obusiraamu. (Alkashifu wal-bayaani) alnnayisabuuli era nereetebwa (Abu Ubaid ne Bin zanjawayhi).

  1. Era obumu ku bwangu mu nkolagana y'obusiraamu n'abatali basiraamu kwe kukkiriza okuyunga oluganda wakati w'abennganda abatali basiraamu, okuva ku Asma Bint Abubakar okusiima kwa Allah kubeere ku bombi yagamba nti maama we yagenda ewuwe nga mushiriku ku mulembe gw'omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye n'embuuza omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nengamba nti: mazima maama wange azze n'okwagala, abaffe nnyunge maama wange? Nagamba nti " yunga oluganda lwa maama wo" (Al-Bukhali).
  2. Era n'obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu nkolagana n'abatali basiraamu, kwekukkiriza okulira mu byombo bya bwe byebataliriddemu oba byebatafumbiramu ebyo ebyaziyizibwa nga embizzi n'okunywa omwenge, n'okwambala engoye za bwe weziba tezaakolebwa mu bintu ebitakkirizibwa nga ebyombo bya zaabu ne feeza oba eddiba ly'embizzi n'embwa ebyo tebikkirizibwa kubikozesa nebwebiba by'abasiraamu olwa hadithi ya Abi Tha-alabah Alkhushani yagamba nti: owaye omubaka wa Allah mazima ffe tuwangaala ne banannyini kitabo, abaffe tuliire mu byombo by'abwe? Nagamba nti: " bwemuba mufunye ebitali byo temubiliira mu, wabula bwemuba temuyina bilala okujjako byo mubyoze mubiliiremu" (Al-Bukhali).
  3. Era obumu kubwangu bw'obusiraamu mu nkolagana n'abatali basiraamu kwe kukkiriza okuwasa banannyini kitabo nga webukkiriza okulya emmeere yabwe eyakkirizibwa, olwekigambo kya Allah owa waggulu: "Olwa leero mukkirizibwa ebirungi byonna. N’ebyo eby'okulya by’abo abaaweebwa ekitabo (bye basaze) bibakkirizibwa n’eby'okulya byammwe (bye musaze) nabo bibakkirizibwa. (Era mukkirizibwa okuwasa) n’abakazi ab’ensa abakkiriza abo abaana baboowo, n’abensa abaana baboowo mw’abo abaaweebwa Ekitabo oluberyeberye lwammwe, bwe mubanga mubawadde empeera yaabwe (Amahare) nga mubawasa mu butuufu, sso ssi lwa kubendako era nga temuli bataddewo buganzi bwa bubba nabo. N’omuntu awakanya obukkiriza, mazima guba gwonoonese omulimu gwe, naye ku nkomerero aliba wa mu bafaagaaganiddwa " (Al-Ma-idah: 5).
  4. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu n'abatali basiraamu kwe ku kkiriza obufumbo bw'oyo asiramuse obwaliwo nga tannaba kusiramuka nga omubaka okusaasira n'emirembe weyakola nga kwa abo abasiramuka nga okuva mu batali basiraamu, Ono Girani Bin Salma Athakafi, yasiramuka nga ayina abakyala kkumi (10) nabbi n'amugamba nti " londako bana mu bo" (altrimith, albaani n'agamba nti nnungi mu al-irwaai 1885.
  5. Era obwangu obulala mu nkolagana wakati w'absiraamu n'abatali basiraamu kwe kukkiriza okulya ennyama y'ebisolo esaliddwa ba nannyini kitabo webaba basomye erinnya lya Allah basala, Allah owa waggulu agamba nti: " temulya nga mu bisaliddwa nga tebisomeddwako linnya lya Allah ku byo, mazima ekyo (okulya ebitasomeddwako linnya lya Allah) bwonoonyi " (Al-Aneaam: 121).
  6. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu nkolagana n'abatali basiraamu kwekukkiriza okubabudamya, agamba Allah owa waggulu: "Bw’abeera omu mu bakafiiri nga akusabye obubudamu (Ggwe Muhammadi) bumuwe okutuusa lw’awulira ekigambo kya katonda, n’oluvannyuma omutuuse mu kifo ky’eddembe lye. Ekyo (kikoleddwa) ku lw’okubanga mazima bo kibiina ekitamanyi " (At-Taubah: 6).
  7. Era obumu ku bwangu bw'obusiraaamu mu nkolagana n'abatali basiraamu kwekubeera nti omu mu bo abeera akoze ekikolobero ekimukakasaako ekibonerezo mu nsi y'obusiraamu, b'asobezza oba abayina obuvunanyizibwa kugwebasobezza baddembe okumusonyiwa oba okumusaba omutango oba okumuteekako ekibonerezo, agamba Allah owa waggulu nti: "Ne Tukakasa ku bo mu yo (Tauraati) nti Mazima omuntu (attibwa) lwa kutta muntu, n’eriiso ku liiso, n'ennyindo ku nnyindo, n’okuttu ku kutu, n’erinnyo ku linnyo, n’ebiwundu biriko okuwoolera eggwanga. N’oyo aba asonyiye (oyo amusobezza n’eba nga saddaaka) nakwo kuba kwekingiriza eri ye ku bibi bye. N’omuntu atalamula n’ebyo Katonda bye Yassa: nabo be bo abalyazaamaanyi" (Al-Maidah; 45).
  8. Era obumu ku bulungi bw'obusiraamu mu nkolagana n'abatali basiraamu, kwekugaana abasiraamu okutyoboola amadiini g'abwe nga bagavuma oba okuganyomoola, agamba Allah owa waggulu nti: "Temuvumanga abo be basaba abo abatali Alla, kubanga bandivuma Allah ku lw'obulumbaganyi awatali kumanya " (Al-Aniaanu; 108).
  9. Era obumu ku bulungi bw'ousiraamu mu nkolagana n'abatali basiraamu, kwe kifuula eky'etteeka eri abasiraamu okutuukiriza endagaano ezibeera wakati w’abwe, agamba Allah owa waggulu nti: "Abange mmwe abakkiriza! Mutuukirizenga endagaano …. " (Al-Maidah; 1).

Nebubakakasaako okutuukiriza n'abo endagaano eziba wakati w'abwe era nebubaziyizaako okukumpanya n'okupalappalanya ku bo, agamba Allah owa waggulu nti: “Era mutuukirizenga endagaano. mazima endagaano yali y'akubuzibwako (ku lunaku lw'enkomerero) " (Al-Israai; 34)

  1. Era obumu ku bulungi bw'obusiraamu mu nkolagana n'abatali basiraamu kwekutwaala omusaayi gw'abwe n'emmali yabwe n'ensa z'abwe nga bitangirwa, tekikkirizibwa kubalyazamaanya oba okubalumbagana mu ku kendeeza emigabo gy’abwe, oba okubanyiiza mu nkolagana, agamba Allah owa waggulu nti: "Allah tabagaananga kubayisa bulungi n’okwenkanya gye bali abo abatabalwanyisanga mu ddini era ne batabaggya mu nsi yammwe. Mazima Allah ayagala benkanya." (Al-Mumtahna: 8).

N'agamba okusaasira n'emirembe bibeere ku nti: " abaffe oyo yenna alyazaamaanya atali musiraamu ali ku ndagaano oba namukakkanya oba okumutikka ekiri waggulu w'obusobozi bwe oba okumujjako ekintu nga tasiimye, ngeenda kubeera mujulizi ku ye olunaku lw'enkomerero" (Albaani yagamba nti ntuufu mu kitabo kye Alswahihi)

Nagamba okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti " oyo yenna atta atali musiraamu ali ku ndagaano tajja kufuna ku kawoowo ka jjana, ate mazima akawoowo ke jjana kafunibwa (nga tonnatuuka ku jjana) obuwanvu obutambulilwa emyaka amakumi ana (40) " (Al-Bukhali).

  1. Era obumu ku bulungi mu nkolagana y'obusiraamu n'abatali basiraamu mu abo abali mu mikono gy'abasiraamu, yendabirira eya wamu ebbanga lyebamala nga bali wansi y'abusiraamu, olw'ekikolwa ky'omukulembeze wa abakkiriza Alkhalifa owokubiri Umar Bin Al-khatwab okusiima kwa Allah kubeere ku ye, bweyasisinkana omukadde akuze mu ba yudaaya nga sabiriza abantu weyamubulirizaako nakimanya nti ali mu abo bawi b'omusolo n'agamba nti: tetwenkanyiza ku ggwe singa tukujjako omusolo nga oli muvubuka kyokka netukwabulira nga okaddiye, n'amukwaata ku mukono nebageenda ewuwe namuwa n'amuwa emmere jeyasangayo n'engoye oluvannyuma n'awandika eri akuma emmali y'obusiraamu nga amugamba nti: tunulira oyo nabamufaanana obawe ekyo ekibamala n'abantu b'abwe okuva mu mmaali y'obusiraamu kubanga Allah omutukuvu agamba nti: " nti zaka ya baavu n'abeetaavu… " era abaavu be basiraamu ate abetaavu beebo banannyini kitabo[7].
  2. Era obumu ku bulungu bw'obusiraamu nkolagana n'abatali basiraamu kwekulagira okusonyiwa balabe mu bo ssinga babeera bazze wansi w'abasiraamu okusobola okuwamba emitima gy'abwe era n'okwolesa obulungi bw'obusiraamu nti era ddiini ya kusaasira nakwagalana so ssi ddiini yakukozesa kakisa kubonereza nakukinabbuka, agamba Allah owa waggulu Nabbi we: "Ne ku lw’okumenya kwabwe endagaano yaabwe, Twabakolimira ne Tufuulan emitima gyabwe emikakanyavu. Kubanga baakyusa ebigambo okubigya mu bifo byabyo (ebituufu) ne beerabira omugabo ogumu kw’ebyo bye baabuulirwa. Tojja kukoma kulaba ku nkwe ziva mu bo wabula abatono ddala mu bo. (wabula) sonyiwa ku bo era olekere. Mazima Katonda Ayagala balongoosa" (Al-Maidah; 13).

Nagamba Allah owa waggulu nti: "Bangi mu Bannannyini kuba na kitabo baagala singa babazizza (mmwe abakkiriza) mu butakkiriza oluvannyuma lw’okukkiriza kwammwe, ku lw’ensaalwa gye balina mu mitima gyabwe oluvannyuma lw’amazima okubeeyolekera (bo). Musonyiwe, mulekere okutuusa Allah lw’anatuukiriza ekiragiro kye, Mazima Allah Muyinza wa buli kintu " (Al-Baqarah: 109).

Era n'agamba Allah owa waggulu nti: "Bagambe abo abakkiriza basonyiwe abo abatasuubira kusisinkana manyi ga Allah (mu bibonerezo bye); alyoke asasule (buli) kibiina ebyo bye baalinga bakola (kunsi) " (Al-Jaathiya: 14).

  1. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu nkolagana n'abatali basiraamu kwe kubakowoola n'ekisinga okubeera ekirungi n'okubaggulirawo omulyango gw'okusuubira n'okubajjukiza okusaasira kwa Allah gyebali n'obutakutukawo nakusaasira kwa Allah nakusonyiwa kwe, agamba Allah owa waggulu nti: "Gamba abo abatakkiriza nti: Bwe baba nga bakomezza ebyo bye babaddeko ebyo kuyigganya abakkiriza bajja kusonyiyibwa ebyo eby’akulembera; (naye) bwe banaaba nga bazzeemu okukola ebibi ne batalekaayo, mazima lyayita dda etteeka nga eky’okulabirako ku baasooka ery’okuzikirizibwa " (Al-Anfaal ; 38).
  2. Era obumu ku bulungi bw'obusiraamu mu nkolagana n'abatali basiraamu kwekufuula okwagaliza abantu ebirungi akamu ku bubonero bw'obukkiriza, era nga kiri bwekityo kubanga nzikiriza yamirembe na kwagalana, agamba okusaasira kwa Allah n'e,irembe bibeere ku ye nti: " owaye Abu huraira beera atya Allah ojja kuba ggwe muntu asinga okumusinza, era beera mumativu ojja kuba ggwe muntu asinga okwebaza, era oyagalize abantu kyeweyagaliza ojja kuba mukkiriza omutuufu, era oyise bulungi akuli okumpi ojja kuba musiraamu omutuufu, era kendeeza okuseka kubanga enseko enyingi zitta omutima " (ntuufu, swahih jaami-I ;4580).

 

 

Obwangu bw'obusiraamu mu kusinza;

Mazima okusinza kwonna mu busiraamu kuyimiridde ku musingi gwa kwanguyiriza kubanga ekyo kimu kwe ebyo Allah byeyayawulira eddiini y'obusiraamu, nga kiri bwekityo buli musiraamu okusinziira ku mbeera ye n'obusobozi asobole okutuuka kubuwoomu bw'okusinza era aleme kuziyizibwako buwoomu bw'okuyita Allah n'okuwulira obutebenkevu n'essanyu ebiri mu kusinza Allah, Allah owa waggulu nti: " Abo abakkiriza ne gitebenkera emitima gyabwe ku lw’okwogera ku Allah. Abange, ku lw’okwogera ku Allah emitima gitebenkera!" (Ar-Ra’ad; 28).

Temuli kuttika muntu kyatasobola, agamba okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: “mwekwate ku kyemusobola kubanga Allah teyetamwa (takoowa kusasula mpeera) okutuusa nga mmwe abeetamiddwa (abakooye okumusinza)." (Al-Bukhali).

  • Mu bwangu bw'obusiraamu kwekubeera nti okusinza kwonna kukwatatagana n'obutonde wamu n'obusobozi bw'omuntu oyo atakakasibwako okujjako kyasobola era nga talagirwa okujjako kyayinza nebwekuba kusinza Allah, agamba Anas okusiima kwa Allah kubeere ku ye nti: Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yalaba omukadde nga yekutte kubatabani be ababiri nga yeekulula (atambula mu buzito) n'abuuza nti " oyo abadde ki"? Negamba nti: yeeyama okutambula, nagamba okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " Allah tayina kyeyetaaga mu kwebonyabonya kw'oyo (omwooyo/omubiri) gwe " era namulagira alinnye ekyebagalo. (Al-Bukhali).
  • Era mu bulungi bw'obusiramu mu kusinza kwekuba nti Allah awandiika ku musiraamu ali mu mbeera emusonyiyisa nga obulwadde n'olugendo n'ebibifaanana empeera z'ebyo byakola nga mulamu tali mu lugendo, agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: “omuddu bwalwaala oba n'agenda mu lugendo awandikiibwako empeera nga z'abadde afuna nga tali mu lugendo nga mulamu" (Al-Bukhali).

 Era obwangu bw'obusiraamu bwafuula olukusa nga by'ebimu omusiraamu byayina okukolerako okusobola okufuna empeera okuva ewa Allah, olwekigambo ky'omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: “mazima Allah ayagala nyo okukozesa olukusa lwe nga bwayagala okuteeka mu nkola ebiragiro bye” (swahih Aljaami-u; 1885, Al-irwai; 564).

  • Era obumu kubulungi bw'obusiramu mu kusinza kwekuba nti ebiragiro ebyo n'okusinza okwo nempangi bikenderezebwa oba okuvaawo mumbeera ezimu:

1– Obwangu bw'obusiraamu mu kwetukuza

Mazima okwetukuza kalombolombo mu bikolwa by'okusinza eby'enjawulo era olw'okuba nti amazzi gatunuulibwa nga ekintu omusiramu kye yeetaaga okwetukuza ku swaala ettaano buli kanaku nendala mu sswala ezakyeyagalire n'okunaaba okuva mu (janaba) n'okunaana okw'emikolo ej'enjawulo egy'eddiini nga esswaala ya juma ne iddi ebbiri mazima okunyweza mu kwetukuza kuteeka omuntu mu kanyigo n'ekumuleetera okwetamwa ibada yennyini nga tannaba kwetamwa kwetukuza, obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu kwetukuza by'ebino wammanga:

  1. Mu bwangu bw'obusiraamu mu kwetukuza kwekufuula ekikolo ku mazzi okuba nti matukuvu gonna kasita gaba nga tegakyuse langi oba okuwunya oba obuwoomi omuddu aleme kuggwa mu kunyigirizibwa, agamba okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti “mazima amazzi tewali kigakyafuwaza kyonna”.
  2. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu kwetukuza kwekufuula mazzi agasigalawo nga ensolo enyweddeko okuba nti gaba matukuvu omusiramu asobola okuganywa n’okugeetukuzisa. Hadithi okuva ku Kabshat Bint Ka-abi Bin Malik nga yali wansi wa mukyala wa Bin Abi Katada nti Aba katada yayingira gy'ali namuleeretera ekyombo kya wudhu kakappa nekajja okunywa Abu katada nakateerawo nekanywa, agamba Kabusha nti: nandaba nga mutunulidde!! Nagamba nti: wewuunya owaye ggwe muwala wa muganda wange? Nemugamba: ye, nagamba nti: mazima omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yagamba nti: " nti kappa ssi kyenyinyaza (najsi) ewangaalira nnyo wetuli " (Swahihi abi Daud).
  3. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu kwetukuza kwekuba nti omuntu wabulwa amazzi oba nga tasobola kugakozesa olw'obulwadde oba ekiwundu oba okutya olw'obudde obunnyogovu ennyo oba okuba nga amazzi wegali naye nga matono gamala kunywa bunywi, oba ensonga endala mu bisonyiyisa ebikkiriza okusaaba enfuufu (tayammam), akkirizibwa okusaaba enfuufu okwetukuza nga okwo kwanguyizibwa okuva ewa Allah, agamba Allah owa waggulu nti: "Bwe mubanga nga muli balwadde obanga muli ku lugendo, oba azze omu mu mmwe ng'ava okukyama, oba mwegasse ne bakyala bammwe, ne mutafuna mazzi, olwo mugenderere okukozesa ettaka eddungi, musiige mu maaso ga mmwe ne ku mikono gya mmwe nalyo. tayagala Allah kubassaako buzito bwonna, naye (ayagala) kubatukuza, era alyoke ajjuze ekyengera kye ku mmwe oba olyawo ne mwebaza" (Al-maaida: 6).
  4. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu kwetukuza kwekukkiriza okusiiga ku huffu zombi (huffu: kika kya sitokisi ezikolebwa mu ddiba) - era nga kiriko obukwakkulizo, nekireemba ne bandegi (akawero akasibwa ku kiwundu), awatali kubijjako, omusiraamu aleme kufuna buzibu mu kubijjako n'okubyambala naddala mu kaseera k'empewo, hadithi okuva ku Jafaali Bin Amri Bin Umayyah Aldhamri nga aja ku kitaawe yagamba nti: yalaba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga afuna wudhu n'asiiga ku khuffu ne kukitambaala (Muslim ne Abu Daud).

 Obusiraamu bwakambuwala ku nsonga y'okukaluubiriza abantu n'obutabanguyiza, agamba Jabir nti: twagenda mu lugendo omusajja omu ejjinja nerimusala nerimureeta ekiwundu ku mutwe gwe, oluvannyuma neyeroterera, kwekubuuza banne oba ayina olukusa okuba nti akozesa enfuufu okwetukuza, nebamugamba nti tebalawo lukusa lwonna bwaba asobola okukozesa amazzi, n'anaaba n'afa, wetwaddayo ewa Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye n'ategeezebwa ekyaliwo n'agamba nti: " baamusse, Allah abatte, lwaki tebabuuzizza singa babadde tebamanyi, mazima eddagala ly'obutamanya kubuuza, ky'abadde kimumalira okukozesa enfuufu neyeetukuza, n'asiba ku kiwundu akawero nga asiimuulako busiimuuzi, n'anaaba omubiri ogusigadde. " (Abu-Daud, era nga ntuufu; aljaamiu 4363).

  1. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu kwe kufuula ensi yonna nga ntukuvu omusiraamu asobole okuyimirizaawo okusinza Allah mu kifo kyonna kyayagadde,- okujjako limbo ne kabuyonjo- ebbanga wewaba nga tewagenzeewo mbitambi enneyolefu, esswaala tebaajikolera kifo kyeyawulidde omusiraamu asobole obutagwa mu kukaluubirizibwa mu kusinza olw'ekigambo ky'omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye ekigamba nti: " nafuulibwa ensi nga nnungi, ntukuvu era nga kifo kya kusinzizaamu, omuntu yenna asangibbwawo esswaala agisaalire wonna wabeera abadde " (yegattibwako).
  2. Era obumu ku bwangu bw'obusiramu mu kwetukuza kwekuba nti ekifo bwekigwamu obukyafu tekiwa buzibu kukitukuza, era nga ekyo kyeyoleka bulngi mu kyafaayo kya munnamalungu eyafuka mu muzikiti abantu nebamwambalira, Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nabagamba nti "mumuleke era mumansire ku musulo ggwe amazzi oba ekidomola ky'amazzi, muzima mwatumwa kwanguyiriza temutumwa ngako kukalubiriza " (Al-Bukhali).
  3. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu kwekufuula omusulo n'obusa bw'ebisolo ebiribwa n'omusaayi ogutali mu nkumu nga biyonjo era nga tebikyafuwaza muntu oba kifo okujjako ebisulo by'enggamiya byokka, okuva ku Jabir Bin Samurah mazima omusajja yabuuza omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti; nfuna wudhu nga ndidde ennyama ye mbuzi n'agamba nti: " bw'oba oyagadde ofuna bwoba toyagadde tofuna " namugamba nti: nfuna wudhu nga ndidde ennyama ye enggamiya ? n'amugamba nti: " ye funa wudhu nga olidde ennyama y'enngamiya" namugamba nti : ye funa wuzu bw'olya ennyama y'enngamiya. Namubuuza nti: nsaalire mu kisibo ky'embuzi? namugamba nti: yye: " ye" n'agamba nti: nsaalire mu kiyumba kye nngamiya? n'amugamba nti: " nedda" (Muslim).

 

2 - obwangu bw'obusiraamu mu kusaala

Ebimu ku byama by'esswala yalaalikibwa ebeere nkolagana wakati w'omuddu n'omulezi we yeyawula mu yo omuddu n'omulezi we n'amukoowoola mu kyama, neyetoowaza gy'ali, omusiraamu bwabbinkira mu buwoomu bwe dduniya ye natandika okuwulira nga obukkiriza bwe busebengerera, omwazinyi nga ayaziina obukkiriza nga bulinnya kweggamba omusiraaamu nasigala n'akakwaate wakati we n'omutonzi we buli kaseera olw'okuba nti ziri sswala ttaano buli lunaku omusiraamu z'asaala mu muzikiti mu kibinja okujjako nga ayina ekimusonyiyisa, n'ebamanyigana olwo n'ekibongera okwagalana n'okumanyagana buli omu n'amanya ebifa ku munne era mu swalla ejjawo enjawukana mu mpangaala anti abasiraamu bonna bayimirira nga simbye ennyiriri kigere ku kigere omukulu n'omuto, omugagga n'omwaavu, owekitiibwa n'owawansi bonna nga bali kimu mu kwetoowaza ewa Allah n'okuyimirira mu maaso ge nga bayolekedde ekibula kimu era bonna bakola ekintu kimu, era nga y'empagi ekyasinze obukulu oluvannyuma lwa (shahada), mu hadithi okuva ku Anas Bin Malik okusiima kwa Allah kubeere ku ye agamba nti: yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: "mazima ekintu ekigenda okusooka okubalibwa olunaku lw'enkomerero ku muddu ye sswala ye, bwelilongooka emirimu gye gy'onna gijja kuba mirongoofu, bw'eriba enfu emirimu gye gy'onna gijja kuba nfu" (yafulumizibwa Ahmad ne Ibin Majah Albani n'agamba nti ntuufu).

N'olwokuba nti eddirinnganwa buli lunaku emisana n'ekiro emirundi etaano obwangu mu yo bweyolefu omusiraamu asobole okugiyimirizaawo nga musiimu ku yo nga tawulira buzibu, era nga tusobola okuleeta ebimu ku bilaga obwangu n'okwanguyiriza mu tteeka lye sswala nga tuyina mu bino wammanga:

  1. Obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu kusaala kwe kuba nti omusiraamu asaala okusinziira ku busobozi bwe, ebimu ku bimukakatako mu sswala kwe kuyimirira nga asaala waba asobola naye waba tasobola asaala nga atudde, wabeera tasobola kutuula, asaala nga agalamidde wabeera tasobola kugalamira asaala alaza, agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " saala nga oyimiridde, bwobeera tosobodde nga otudde, bwobeera tosobodde saalira ku lubiriizi (ngaweebase) " (Al-Bukhali).
  2. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu ku sswala kwekuba nga engeri bwesaalibwamu ez'enjawulo okusinziira ku mbeera y'omuntu mu mirembe ne mu kutya, agamba Allah owa waggulu nti: "Mwekuume okuyimirizaawo esswala (zonna ettaano), n'esswala ey'omumakkati era muyimirirenga ku lwa Allah nga muli bawombeefu. Bwe mubanga muli ku lutalo (ne mutya abalabe, musaalenga nga bwe musobola) – nga mutambula oba nga mwebagadde " (Al-bakara; 238-239).
  3. Era obumu ku bwangu mu sswala kwekukkiriza okugisalako Bweba ya raka nnya n'edda ku bbiri n'okugatta esswala ebiri eri omutambuze, n'okuzisala nga bukyali oba ekikeerezi nga okolera ku kisinga okuba ekyangu, okuva ku Yaela Bin Umayya yagamba nti: nagamba Umar Bin Alkhatwabu nti: "Bwe muba nga mutambudde mu nsi tewali kibi ku mmwe okusala ku sswala, bwe muba nga mwekengedde okukolebwa akabi abo abatakkiriza. Mazima abakkiriza balabe bammwe abeeyolefu " (surat Nisa-I; 101) Abantu bali mu mirembe kati (tewakyali ntalo), n'agamba nti: nange nakyewunya nga wewewunyizza ne mbuuza omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye ku ekyo n'agamba nti: " eyo saddaaka Allah yagibasaddaakira, mukkirize saddaaka ye" (Muslim).
  4. Obumu ku bwangu bw'obusiraamu ku sswala kwekukkiriza omulwadde okugatta esswala ebbiri oba obudde nga bunnyogoga nnyo oba enkuba enyingi, n'oyo yenna ayina obwetaavu nebwaba tali mu lugendo, okuva ku Ibin Abbas yagamba nti: omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yasaala esswala ya zukur ne aswir nga azigasse nga ali mu Madina nga tali mu lugendo wadde okutya, Abu Zubair n'agamba nti: nembuuza saeda nti: kulwaki yakola ekyo? N'agamba nti: nabuuza Ibin Abbas nga bw''ombuzizza n'agamba nti: yayagala butakaluubiriza muntu yenna mu kibiina kye" (Muslim).
  5. Obumu era ku bwangu bw'obusiraamu ku sswala kwekugaziya ebiseera by'esaalirwamu, tewali ku nyigiriza musiraamu mu byo, okuva ku Jabir BinAbdullah yagamaba nti: jibreel yajja ewa Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye enjuba nga yakasukka wakati w'eggulu n'amugamba nti: yimuka osaale zukur, oluvannyuma newayitawo akaseera okutuusa nga ekisiikirize kyenkana nnyini kyo najja okumutegeeza aswir namugamba nti: "yimuka Muhammad osaale aswir, newayitawo akaseera okutuusa enjuba weyaggwa era najja n'amugaba nti: " yimuka owaye Muhammad osaale magrib" nayimuka n'agisaala, oluvannyuma newayitawo akaseera ekire ekimyufu nekivaawo (nekibula) era najja n'amugamba nti: " yimuka osaale ishai, nagisaala oluvannyuma namujjira nga emmambya esaze kumakya namugamba nti: " yimuka osaale Muhammad n'asituka n'asaala subuhi, oluvannyuma n'amujjira olunako olwaddako mu kaseera ekisiikirize ky'omuntu nga kimwenkana namugamba nti: "situka Muhammad osaale zukur, oluvannyuma namujjira mu kaseera nga ekisiikirize ky'omuntu kimugatta emirundi ebiri n'amugamba nti: "situka owaye Muhammad osaale aswir, oluvannyuma namujjira mu kaseera ka magrib nga enjuba egudde ekiseera kyekimu tekikyuka namugamba nti: " situka osaale magrib oluvannyuma n'amujjira ku ishai mu kiseera nga wayise kimu kya kusatu eky'ekiro ekisooka n'amugamba nti situka osaale ishai, oluvannyuma n'amujjira kumakya obudde nga eggulu limyukidde ddala (nga obudde butangadde) n'amugamba nti: "situka osaale subuhi oluvannyuma n'amugamba nti: " wakati w'ebiseera ebyo ebibiri bwebudde bwa buli sswala " (Alnasaai, swahih altrimith ; 150).
  6. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu ku sswala kwekuba nti omusiraamu waba ajongeddemu oba okukendeeza olw'okwerabira tagiddamu yonna wabula avunnama envunnma bbiri ez'okwelabira okusobola okumwanguyiza n'okuswaza sitaani eyeesunga ennyo okwonoona okusinza kw’omusiraamu, n'okusiimisa omusaasizi. Hadithi okuva ku Abi Saed Al-khudri yagamba nti: yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " omu mu mmwe wabeera nga afunye okubuusabuusa mu sswala ye nga tamanyi asadde raka mmeka? Satu oba nnya, ajjawo okubuusabuusa agende n'ekyo kye yeekakasa oluvannyuma avunname envunnama bbiri nga tannaba kutoola ssaalamu, bwabeera asadde ttaano tumujjuliriza ku sswala ye, wabeera asadde okuweza ennya kubeera kukakkanya sitani " (Muslim).
  7. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu ku sswala kwekiba nti omuntu alemereddwa okumanya kibula weeri era nga tayina asobola kumubuulira weeri akozesa amagezi ge, agamba Allah owa waggulu nti: "Obuvanjuba n’Obugwanjuba bya Allah: Buli wonna we muba mwolekedde awo we waba Allah. Mazima Allah Mugazi era Mumanyi wa byonna " (Al-Baqarah; 115).
  8. Era obwangu obulala ku sswala kwekugaana imamu okuwanvuya mu sswala y'awamu, okuva ku Abi Huraira mazima omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yagamba nti: " omu mu mmwe bwasaazanga abantu afunzenga kubanga mu bbo mubaamu abanafu n'abalwadde n’abakadde ate bwasaala nga yekka awanvuye nga bw'ayagala " (Al-Bukhali).

 

3 - Obwangu bw'obusiraamu mu ku laalika Zaka.

Ebimu ku byama lwaki zaka yalaalikibwa kwe kujjawo obwavu mu basiraamu n'okujjanjaba obulabe obubuvaamu nga okubba n'obutemu n'okulumbagana ensa z’abantu, n'okuzuukusa omutima gw'okuyambagana wakati w'abasiraamu mu kumala eby'etaago by'abetaavu n'abo abatayina mu baavu n'ebamasikini n'okubawonya okusabiriza, era nga n'ebimu ku biraga obwangu bw'obusiraamu mu laalika zakka by'ebino wammanga:

  1. Obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu zakka kwekuba nti eggibwa mu mmaali eya wakati so ssi mw'eyo esinga okwagalwa abantu, era mu hadithi ya muazi: " weewale emmaali yabwe gyebasinga okw'agaala) (Al-Bukhali)
  2. Era mu bwangu bw'obusiraamu kwekuba nti ekigero ekiwebwayo nga zakka kitono nnyo wogerageranya n'emmali eyo ewebwamu zakka, era nga wekiri nti tatoola zakka okujjako nga wayiseewo omwaaka, agamba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " Toyina kyowaayo mu zaabu- okutuusa nga owezezza dinari makumi abiri, bw'oweza dinari abiri mu taano newayitawo omwaaka mulimu kitundu kya dinari, nekiba kiyiseemu bwotyo bwobala era nga teri zakka mu mmali okutuusa nga eyiseewo omwaka " (Ahmad, ntuufu yaletebwa Abu Daud).
  3. Era mu bwangu bw'obusiraamu mu zakka y'ebirime kwekuba nti bwatunuulira amaanyi agateereddwamu mu kulima mu kujjamu zakka anti bwalaalika ekimu kya kkumi ku bikulidde ku mazzi g'enkuba ate nebulaalika kimu kya kubiri ekya kimu eky'ekkumi mw'ebyo ebikulidde ku kufukirirwa n'okubikolera ensulo, olw'ekigambo ky’omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: “ebyo ebifukiriddwa eggulu nensulo oba ebyenyweesa mulimu kimu kya kkumi, ate ebikulidde kukufukirira (kw'abantu) kitundu kya kimu kya kkumi) " (Al-Bukhali).
  4. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu ku zakka kwekugisonyiwa oyo atasobola kugiwa olw'obwavu oba olw'ensonga endala nga okuba n'obuvunanyizibwa bw'amabanja n'ebikifaanana, agamba okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: “tewali zakka okujjako nga omuntu mugagga " (Ahmad).

Ssi ekyo kyokka wabula waddembe okuweebwa mu zakka kubanga ali mubannyini kugiweebwa, agamba omulezi waffe omutukuvu nti: "Mazima saddaaka za baavu na banaku, n’abazikolako, n’abo emitima gyabwe egikyamanyiizibwa (Obusiraamu), na’abaddu abalina endagaano z’okwenunula mu buddu, n’abamabanja, n’abalwana mu kkubo lya Allah, n’abatambuze; (nga) kugera okwava eri Allah. Era mazima Allah Amanyi, Mukakasa " (At-Taubah; 60).

  1. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu ku zakka kwekugifuula nga nsako (egasa) eri agiwa so ssi bbanja agamba, ekyo n'ekimuleetera okuba anti ayanguwa okugiwaayo ng'omutiima mu mativu, agamba Allah owa waggulu nti: "Ggya mu mmaali yaabwe saddaaka, nga obatukuza era obalongoose nayo era basabire, mazima essaala zo ku bo kya kuwummula kwabwe. Era Allah Awulira Amanyi " At-Taubah; 103).

 

4 - Obwangu bw'obusiraamu mu kusinza kw'okusiiba.

Mu byama by'okusiiba mazima kwalalikibwa omusiraamu asobole okuwulira obwetaavu bw'abaganda be abatayina mu baavu n'abetaavu olwo akwate ekkubo okubeera nti abawa emigabo gy'abwe n'okutandika okulondoola embera z'abwe n'okumanya ebyetaago by'abwe wamu n'okubayisa obulungi, era nga bwekuli nti kulwana wakati w'omutima n'ebyo bye gw'agala, nga kujja omuntu ku bigambo eby'obwonoonefu n'ebikolwa ebikyamu, kisoboka okuleeta ebimu kubiraga obwangu bw'obusiraamu mu kulaalika okusiiba nga tuyita mu bino wammanga:

  1. Obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu kusiiba kwekuba nti kwalalikibwa omwezi gumu gwokka mu mwaka nga gwe mwezi gwa Ramadhani, agamba Allah owa wagglu nti: "(Omwezi ogwalaalikibwa okusiibwa gwe gwo) Omwezi gwa Ramanzaane ogwo ogwakkiramu Kur'ane ku lw’okulunngamya abantu n’okunnyonnyola obulunngamu, era enjawuzi (eyawula wakati w’amazima n’obulimba). N’omuntu abaaliwo mu mwezi (ogwo) ateekwa agusiibe, n’oyo abeera nga mulwadde oba nga ali mu lugendo, alina okubala (n’asasula ennaku z’atasiibye) mu nnaku endala (ezitali mu mwezi gwa kisiibo). Allah abaagaliza bwangu era Tabaagaliza buzito; muteekwa mujjuze omuwendo (gw’ennaku), era mumugulumize Allah kw’ekyo kye yabalunngamyamu, oba olyawo ne mwebaza." (Al-Baqarah ;185).
  2. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu kusiiba kwekuteekawo obudde bwakwo nga bumanyikiddwa mu kiseera ekimanyikiddwa tewali kukendeezaako oba kwongera mu, nebugereka wekutandikira newekukoma era nga kwe kuva emmambya bwesala okutuusa enjuba bwegwa, olwo nno omusiraamu aleme kufuna buzibu nakunyigirizibwa, agamba Allah owa waggulu nti: "Kukkirizibwa ku mmwe mu biro by’ekisiibo okulabagana ne bakyala bammwe. Bo (abakyala) kyambalo kyammwe nammwe (abasajja) muli kyambalo kyabwe. Allah Yamanya nga mazima mmwe mwalinga mukema emyoyo gyammwe kale N’abasonyiwa, kaakati mulabagane nabo. Kale (mwegatte nabo) munoonye ekyo Allah kye yabagerera, mulye era munywe okutuusa lw’eneebeeyolekera ewuzi enjeru (ekitangaala) nga eva ku ewuzi enzirugavu (ekizikiza) okuva ku kusala kw’emmambya. Oluvannyuma mujjuze okusiiba okutuusizanddala ekiro. Temulabagananga nabo (abakyala) nga nammwe mumaliridde okutuula mu mizigiti (mu nnaku ekkumi ezisembayo mu kisiibo – Etikaafu). Ezo z’ensalo z’amateeka ga Allah temuzisemberera (ne mugamenya) bwatyo Allah bwannyonyola amateeka Ge (eri) abantu oba olyawo ne batya (okugamenya) " (Al-Baqarah; 187).
  3. Era obumu ku bulungi bw'obusiraamu mu kusiiba kwekugaana okusiiba awatali kusiibulukuka, olw'obuzibu obukirimu n'okukalubiriza omutima, n'okugukakatako ekyo kyebataagukakasaako, agamba okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti " tewali kusiiba nga tosibulukuka mu kusiiba) (Ibin Hibban, alswahiha; 2894).
  4. Era obumu ku bulungi bw'obusiraamu mu kusiiba kwekuba nga empera y'akwo nnene era ssi ngereke newankubadde gulinga omulimu omutono, agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: "yagamba Allah nti: "buli mulimu gw'omwana adamu gugwe okujjako okusiiba mazima kwo kwange era nze akusasula". Era okusiiba ngabo, omu mu mmwe waba asiibye tayomba yadde okwogera ebigambo eby'obuwemu oli wabeera amuvumye oba n'amulwanyisa amagambe nti nze nnasiibye, nga ndayira oyo omwoyo gwa Muhammad oguli mu ngalo ze (Allah) mazima akawoowo (akava mu kamwa) k'omusiibi kalungi nyo ewa Allah okusinga misiki, omusiibi ayina ensanyuka bbiri zaasanyuka bwabeera asibulukuse nebwaba asisinkanye omulezi we asanyukira okusiiba kwe " (yegattibwako).
  5. Era obumu ku bwanngu bw'obusiraamu mu ibaada y'okusiiba kwekuwa olukusa omulwadde n'omutambuze obutasiiba wekuba nga okusiiba kumukaluubiriza oluvannyuma n'aliwa mu kaseera nga alina obusobozi, agamba Allah owa waggulu nti: "(Omwezi ogwalaalikibwa okusiibwa gwe gwo) Omwezi gwa Ramanzaane ogwo ogwakkiramu Kur'ane ku lw’okulunngamya abantu n’okunnyonnyola obulunngamu, era enjawuzi (eyawula wakati w’amazima n’obulimba). N’omuntu abaaliwo mu mwezi (ogwo) ateekwa agusiibe, n’oyo abeera nga mulwadde oba nga ali mu lugendo, alina okubala (n’asasula ennaku z’atasiibye) mu nnaku endala (ezitali mu mwezi gwa kisiibo). Allah abaagaliza bwangu era Tabaagaliza buzito; muteekwa mujjuze omuwendo (gw’ennaku), era mumugulumize Allah kw’ekyo kye yabalunngamyamu, oba olyawo ne mwebaza." (Al-Baqarah; 185).

Era nga obusiraamu buziyiza oyo eyekakasaako ekintu ekiri waggulu w'obusobozi bwe neweeba ibaada, agamba Jaabir Bin Abdul llah okusiima kwa Allah kubeere ku bo bombi nti: yali omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga ali mu lugendo, n'alaba omusajja nga bamwekunnganyirizzaako nga bamukoledde akasiikirize, n'agamba nti: "abadde ki?" nebamugamba nti: musiibi, n'agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti "ssi kya mu bulungi okusiibira mu lugendo" (ntuufu – al-irwaai 4\59) mu njogera endala eya muslim nti: " mbakuutira okukozesa olukusa lwa Allah olwo lweyabawa " (Muslim).

  1. Obumu era ku bwangu bw'obusiraamu mu kusiiba kwekuwa olukusa ayonsa n'owolubuto bwebaba batidde okukosebwa oba okukosa omwana okusiibulukuka oluvannyuma nebaliwa nga bafunye obusobozi, era nga bwekiri nekumuzeeyi oyo akalubirizibwa okusiiba nga kumunafuya aliise, agamba Allah owa waggulu nti: "Allah Tawaliriza mwoyo wabula ekyo kye gusobola. Gusasulwa buli kirungi kye gukoze, ne gubonerezebwa ku buli kibi kye gwekoledde. Ayi Mukama waffe! Totuvunaananga bwe tubanga twerabidde, obanga tusobezza! Ayi Mukama waffe! Totutikkanga buzito nga bwe Wabutikka abo ab’oluberyeberye lwaffe. Ayi Mukama waffe! Era Totutikka ebyo bye tutasobola. Sangulawo ebisobyo byaffe, era Tusonyiwe ffe Otusaasire. Ggwe Mukuumi waffe, Tutaase ku kibiina ky’abakafiiri " (Al-Baqarah: 286)
  2. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu kusiiba kwekuba nti omuntu wabeera alidde oba n'anywa nga yeerabidde oba nga akakiddwa okusiiba kwe kuba kutuufu era tekimusiibulula ekyo olw'ekigambo kye okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: "oyo yenna eyerabira nga asiibye n'alya oba n'anywa agende nga mu maaso n'ekisiibo kye mazima ddala Allah yabeera amulisizza era yabeera amunywesezza" (yegattibwako).

 

5 - Obwangu bw'obusiraamu mu ibaada ya hajji.

Ebimu mu bigendererwa bya hijja ebyawaggulu kwe kwawula Allah n'okuyimirizaayo okumwoogerako era n'ekigambo ekiddiringganwa mu yo " labaika Allahuma labaika, labaika la sharika laka labaika, inna alhamda wanni-imata laka wal-mulku laa sharika laka labaika " "(twanukudde Ayi Allah twanukudde, twanukudde teri kukugattako kintu kirala kyonna, twanukudde, mazima amatendo gonna, n'ebyengera byonna, bibyo n'obufuzi bwonna)" nga kitegeeza nti "Ayi Allah tuzze mu kino ekifo olw'okwanukula ekiragiro kyo era nga tuli batebenkuvu eri okusiima kwo era tukkiriza nti oli omu wekka era ggwe asanidde okusinzibwa so ssi mulala yenna, " tewali njawulo wakati wa muntu w'akitiibwa n'owawansi oba omuddugavu n'omweeru oba omuwalabu n'atali muwarabu bonna bali kimu ewa Allah tewali njawulo okujjako mu kutya Allah, era nga tekiri bw'ekityo okujjako kukakasa bwa sseruganda wakati w'abasiraamu n'okuyiga ebibakwaatako wamu n'ebigendererwa byabwe, era nga kisoboka okuleeta obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu ibaada ya hajji nga tuyita mu ngeri zino wammanga:

  1. Mu bwangu bw'obusiraamu mu ibaada ya hajji kwekuba nti tekakatibwa ku muntu okujjako omulundi gumu gwokka mu buwangaazi bwe, era nga kiri kityo olw'okuba nti okugikola buli mwaka abamu kiba kibakaluubiriza era ekyo kimu ku biraga obutuufu bw'obubaka bwa Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, kubanga singa yali yatteeka buli mwaka makka yandibadde tesobola kubudamya bantu abo abangi mu basiraamu mu kiseera kyekimu, agamaba Abu Huraira okusiima kwa Allah kubeere ku ye nti: yatubuulirira oomubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku n'agamba nti: " abaye mmwe abantu Allah amaze okubakakasaako hijja mukole hijja " omusajja n'agamba nti: buli mwaka owaye ggwe omubaka wa Allah? n'asirika okutuusa weyakiddiringgana emirundi esatu, n'agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " singa nngambye nti ye, kyandibadde kyatteeka ate temwandisobodde", oluvannyuma n'agamba nti: " kyemba ndese mukyesonyiwe, mazima ababasooka bazikirira olw'okubuuza nnyo n'okwawukana kw'abwe ku ba Nabbi ba bwe, wemba nga mbalagidde ekintu mukole kyemusobodde mu kkyo, ate wemba mbagaanye ekintu mukireke" (Muslim).
  2. Era obumu ku bwangu mu hajji kwekuba nti newankubadde mpagi mu busiraamu naye esonyibwa omuntu singa aba tayina busobozi bwa ssente oba omubuli, singa omuntu mulwadde obulwadde oba tasuubirwa kuwona nga tebumusobozesa kukola hajji naye nga mugagga asigira omuntu n'amukolera hijja, era bwekiri ku mwavu atayina ssente z'asobola kufissaako zikola hijja oluvannyuma lw'okujjako ebyetaago bye eby'etteeka n'abo b'alabirira, hijja emusonyiyibwa, nga waliwo okunnyonyola kwekyo olw'ekigambo kya Allah owa waggulu nti: "Era Allah akakasa ku bantu bonna okulamaga ennyumba eyo (nga kino kikakafu) ku muntu aba asobola ekkubo erituuka gy'eri, n'omuntu awakanya amanye nti: mazima Allah Mugagga obutetaaga eri bitonde Bye " (Al-imraani ; 97).
  3. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu ibaada ya hajji kwekuba nti yateekawo engeri ssatu omuntu z'asobola okukolamu hijja nga oli alondako ebeera emusaana okusinziira ku budde bwe n'emmali ye. (asobola okwawula hijja yokka (ifraadu), oba okuwummula wakati wa umura ne hijja (tamattu-u), oba okugatta umura ne hijja mu mikolo gyegimu (kiraanu).
  4. Obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu ibaada ya hajji kwekuteekawo engasi omuntu aba akoze ebiziyizibwa mu hajji okubikka obukendeevu, agamba Allah owa waggulu nti: "Mujjuzenga Hijja ne Umra ku lwa Katonda. Bwe muba nga muziyizibbwa (ne mutasobola kutuuka ku kaaba), Kale musaddaake ekyo ekiba kibangyidde mu birabo (nayo ye Mbuzi). Temumwanga emitwe gyammwe okutuusa ekirabo lWe kimala okutuuka mu kifo we kikkiribwa okuweebwa (ekifo awo we bakuyigirizza). Omuntu yenna abanga omulwadde mu mmwe obanga alina ebimuluma mu mutwe gwe (nga ensekere alina okumwa omutwe gwe) n’awa omutango oba okusiiba oba okusaddaaka emmere (eriise abanaku) oba okusala ensolo (embuzi). Wabula bwe muba nga muli mirembe, n’oyo asookanga (okukola) Umra ku Hijja alina okusala ekyo ekimwanguyidde mu birabo (nayo ye mbuzi). Omuntu aba tafunye (mbuzi) ateekwa okusiiba ennaku ssatu mu biseera bya Hijja, era (musiibe) ennaku musanvu bwe muba nga muzzeeyo (ewammwe); eryo ly’ekkumi enjjuvu (okugatta awamu). Ekyo kiri kw’oyo (aba) nga abantu b’omumaka ge ssi batuuze mu (Makka) ku muzigiti Ogw’emizizo. Era mutye Allah era mumanye nti mazima Allah Muytirivu mu kubonereza" (Al-baqarah; 196).
  5. Era obumu kubwangu bw'obusiraamu mu ibaada ya hajji kwekukkiriza omusiraamu okuteekawo akakwakkulizo okwetegekera ekyo ekiyinza okumutukako mu maaso by’atamanyi, okuva ku Aisha yagamba nti: yagenda omubaka wa Allah eri Dhabat-at Bin Zubair namugamba nti: “olabika ogenda kukola hijja?" nga olinga abadde ayagala okukola hijja?N’amugamba nti amazima ga Allah mbulira ndi mulwadde, namugamba nti: “genda mu hijja naye oteekewo obukwakkulizo, gamba nti: ayi Allah emikolo gyange gikoma mu kifo wemba nsikattidde" (yegattibwako).
  6. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu hijji kwekugifuula nga nsonga esonyiyisa amazambi n'egasangulawo, okuva ku Abi Huraira okusiima kwa Allah kubeere ku ye yagamba nti yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " oyo yenna alambula ennyumba (kaaba- n'akola hijja) natayogera bigambo bya bwononeefu era n'atakola bikolwa by'abwononefu, akomawo nga bweyava mu lubuto lwa nnyina" (Al-Bukhali).

 

 

 

Obwangu bw'obusiraamu n'omukyala

Omukyala mu busiraamu ayina ekifo kye ekyawaggulu obusiraamu bw'amukumira emigabo gye era bumusitula, ne bufuula okumuwa ekitiibwa nga kabonero k'omuntu omutuufu ajudde omulungi, agamba okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti "omukkiriza asinga okuba omujjuvu w'obukkiriza y'oyo asinga empisa ennungi, era nga n'abasinga obulungi b'ebo abasing obulungi eri bakyala babwe" (ntuufu).

Nebufuula omukyala nga akulembezebwa ku musajja mu kuyisa obulungi n'okugonderwa, agamba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti " mulamirigane okuyisa obulungi abakyala" (ntuufu)

Ezimu ku njuyi eziraga obulungi bw'obusiraamu n'omukyala bye bino wammanga:

  1. Okukasa amahale nga mugabo gwe ogw'etteeka, agamba Allah owa waggulu nti: "Era muwenga abakyala (Abo be muwasa) Amahare gaabwe. (Naye bo abakyala bammwe) bwe babanga balongoosezza emyoyo ku lwammwe ku kintu mw’ebyo bye mubawadde, mukiryenga bulungi mu ddembe n’essanyu." (An-Nisaai; 4).
  2. Era ebimu ku biraga obwangu bw'obusiraamu ku mukyala kwekumuwa omugabo mu mahale ge oluvannyuma lw'okwawukana n'ebba n'olubereberye nga tebannaba kwegatta, agamba Allah owa waggulu nti: " Naye bwe muba mubatadde nga temunnalabagana nabo mazima nga mwabagerera ekigero (kye munaabawa amahare), olwo muteekwa (okubawa) kimu kyakubiri kw'ekyo kye mwababalagaanyisa…." (Al-baqarah: 237).
  3. Era obumu ku bulungi bw'obusiramu ku mukyala kwe kuba nti bbaawe bwamuwa talaka tafuluma mu nyumba (okumaala akaseera akagere) osanga eyo efuuka ensonga buli omu okudda ewamunne, agamba Allah owa waggulu nti:"Owange Ggwe Muhammadi! Bwe mubanga (mwagadde) okuta abakyala (bammwe), mubateerenga mu butukuvu bwabwe (nga tebali mu biseera byaabwe bya heezi era mubalenga (obutuufu Iddat – ebiseera byabwe bye bamala nga tebannakkirizibwa kufumbirwa), era mutye Allah Omulezi wammwe. Temubaggyanga mu mayumba gaabwe (ge babaddemu nga Iddat tennaggwako) wadde nabo tebateekwa kuvaamu (nga temubakkiriza) okuggyako nga nga babaddde bakoze ekibi eky’olwatu (ne benda oba ne bawalagganya ab’oluganda lwa babbaabwe). N’ebyo by’ebikomo by’amateeka ga Allah; n’oyo yenna ayise ebikomo by’amateeka ga Allah, aba ddala yeeryazaamaanyizza yekka. Tomanyi (Owange Ggwe omuntu!) oba olyawo Allah n’aleeta oluvannyuma (olw’okwawukana) ekigambo (kye mubadde mutasuubira ne muddingana nate mwagalana). " (At-Talaq:1).
  4. Era obumu ku bulungi bw'obusiraamu ku mukyala kwe kulagira (omusajja) okumulabirira n'okumuwa n'okukola ebimuvunanyizibwako ku ye oluvannyuma lw'okumuta era n'okumuyisa obulungi awatali kumunyigiriza ebbanga ly'amala nga ali munnaku ze ezokutuula, agamba Allah owa waggulu nti: "Mubateekenga abakyala (abo be mutadde) awo (mu mayumba gammwe) we mubeera, (ku kugeraageranyiza) ku nfuna yammwe, so temubabonyabonyanga mulyoke mubanyigirize (mu nsula balemererwe). Bwe babeeranga balina embuto, kale mubagabirirenga (wamu n’okubambaza) okutuusa lwe banaazaalanga embuto zaabwe. Nga babadde babayonserezza (abaana bammwe), mubawenga empeera yaabwe (ey’okuyonsa) era muteesaganyenga wakati wammwe (mmwe abaami ne bakyala bammwe) mu bubuntubulamu (awatali omu kuzitoowereza munne); naye bwe mubanga mulemaganiddwa, olwo (omukyala) omulala amuyonsezenga (omwami) omwana we" (At-Talaq: 6).
  5. Era obumu ku bulungi bw'obusiraamu ku mukyala kwekufuula okuyonsa nga bufunanyizibwa bwe era nga mugabo ggwe wabeera akyagadde, agamba Allah owa waggulu nti: "N'abazadde abakyala bayonsa abaana baabwe (ebbanga) lya Myaka ebiri emijjuvu; (ekyo kiri) eri oyo ayagala okujjuza okuyonsa…" (Al-Baqarah: 233).
  6. Era obumu ku bulungi bw'obusiraamu kwe kulalika okumulabirira kabeere mukyala ewaka oba nga ateereddwa nga ayina abaana oluvannyuma lw'okutuula ennaku ze, agamba Allah owa waggulu nti: "Alina okuwaayo ayeesobola okusinziira mu kusobola kwe, n’oyo eyafundizibwa enfuna ye, naye alina okuwaayo mw’ebyo Allah bye yamuwa. Allah tawaliriza mwoyo wabula (agulagira kuwaayo kigeronekisaamu) mw’ebyo bye yaguwa. Allah ajja kussaawo obwangu oluvannyuma lw’obuzito (n’olw’ekyo temusaanye kutya buvunaannyizibwa)." (At-Talaq: 7).
  7. Era obumu ku bulungi bw'obusiraamu ku mukyala kwekumuteerawo omutemwa mu by'obusika oluvannyuma lw'okuba nti yali takkirizibwa kusika, agamba Allah owa waggulu nti: "Balina abasajja (Abaana ab’obulenzi) omugabo mw’ebyo bye baba balese abazadde bombiriri n’ab’oluganda olw’okumpi, n’abakazi balina omugabo mw’ebyo bye baba balese abazadde ababiri n’aboluganda olw’okumpi, (k’ebe ng’emmaali) eyo etoniye obanga eyaze-(bafuna) omugabo omugere" (An-Nisaai :7).
  8. Obumu ku bulungi bw'obusiraamu ku mukyala kwekumusonyiwa obuvunayizibwa obumu wabeera mu nsonga z'ekikyala oba nga ali mu (nifaasi) [8], esswala emugibwako era tagiriwa, era tasiiba okutuusa wafuna obusobozi, okuva ku Muazat agamba nti: nabuuza Aisha nemugamba nti: lwaki omukyala ali mu nsonga aliwa ekisiibo n'ataliwa sswala? n'agamba nti: oli mu ba khawaliji? nemugamba nti: nedda wabula nze mbuuza, n'agamba nti: ekyo ky'atutukangako naye nga tulagirwa okuliwa ekisiibo ate nga tetulagirwa kuliwa sswala. (ntuufu).

Era ebimu ku byo kwekumusonyiwa okwetolola kwa kaaba okugisiibula mu hajji nga ali mu nsonga, okuva ku Ibin Abbas – okusiima kwa Allah kubeere ku bombiriri yagamba nti: abantu baalagirwa okuba nti kyebasembayo n'akyo (nga bamaze okukola hijja) kwetoloola nyumba ya Allah, wabula nekigibwa ku mukyala ali mu nsonga. (yegattibwako).

  1. Era obumu ku bulungi bw'obusiraamu ku mukyala kwekuba nti bumukkiriza ye n'ebba okwesanyusa nga nabuli kimu nga ali mu nsonga okujjako ekikolwa kyennyini, okuva ku Anas mazima abayudaaya baali omukyala bwabeera mu mu nsonga nga tebalya naye wadde okuwangaala naye mu mayumba, abagoberezi ba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nebamubuuza Allah nassa etteeka erigamba nti: "Era bakubuuza ku mukyala nga ali mu nakku zaabwe. bagambe nti gwo (omusaai), kyenyinyalwa, kale mwawukane n'abakyala bammwe nga bali mu bulwadde bwabwe ", omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye n'agamba nti: " muswanyuse n'abuli kimu okujjako okwegatta" (Muslim).
  2. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu ku mukyala kwekumujjako etteeka ly'okulwana mu lutalo lw'eddini singa luba lubaddewo, okuva ku Aisha okusiima kwa Allha kubeere ku ye yagamba nti: owaye omubaka wa Allah abaffe abakyala bakakatibwako okulwaana mu lutalo lw'eddini? nagamba nti: " ye bayina okulwaana okutaalimu kutta, nga nayo ye hajji ne umrah " (Ahmad, era ntuufu).
  3. Era obumu ku bulungi bw'obusiraamu ku mukyala kwekuba nti teyamukakasaako kukola oba kulabirira.

 

 

Obwangu bw'obusiraamu mu nkolagana y'ebyemmali.

Emmali ky'ekinyusi mu bulamu bw'omuntu, era enkolagana wakati w'abantu mu mmaali mubaamu ebibaamu mu kubuzaabuza n'okulyazaamanya n'obukumpanya n'okunyaga ebintu by'abalala, wamu n'okuyisaawo ebigendererwa bya kinnoomu awatali kutunuulila biki ebivaamu mu bibi ku luuyi olulala n'olwekyo waali wetaagisa okuteekawo obwangu n'okwanguyiza wakati w'abantu, era obumu ku bwangu mu luuyi olwo bwebuno wammanga:

  1. Obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu kutunda n'okugula kwe kukubiriza okwanguyiza mu byo, agamba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " Allah asaasire omutu oyo ayanguyizisa nga atunda era ayanguyizisa nga agula" (Al-Bukhali).
  2. Era obumu ku bulungi bw'obusiraamu kwe kubiriza okulindiriza ebbanja singa abanjibwa abeera talina (busobozi bwa kusasula) oba okumusonyiwa era nga okwo okusalawo okusinga obulungi ewa Allah, agamba Allah owa waggulu nti: "Naye bw'abeera abanjibwa mu bizibu, olina kumulindirizaako okutuusa lwanaatuuka ku bwangu, wabula wemuba muzibasonyiye n'eba nga saddaaka kiba kirungi gye muli bwe muba nga mumanyi " (Albakara: 280).

Era yagamba okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti nga ayagazisa abantu ekyo nti: "omuntu yenna agumiikiriza atayina busobozi buli lunaku lw'aguminkiriza ebeera saddaaka era n'oyo amugumiikiriza nga obudde obw'amuweebwa buweddeko era naye afuna ky'ekimu buli lunaku " (Ibin majah, Albaani n'agamba nti ntuufu).

  1. Era obumu ku bulungi bw'obusiraamu kwe kukubiriza okusonyiwa abangibwa, agamba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " yabaliwa omusajja (emirimu gye) mu b'abasooka nga tayina kirungi kyonna okujjako okubeera nti yabeera nga wamu n'abantu, era yali mugagga. yali alagira omukozi we okusonyiwa n'okulekera omwavu " n'agamba nti: Allah n'agamba nti: " ffe abasinga okugwanira okukola ekyo, (n'alagira nti:) mumuddiremu (n'amusonyiwa)" (muslim).
  2. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu kwe kubiriza okusasula, okuva ku Abu Huraira okusiima kwa Allah kubeere ku ye yagamba nti: mazima omusajja yajja ewa Nabbi wa Allah nga amubanja n'amukambuwalira abayigirizwa be n'ebagezaako okumwambalira nabagamba okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: mumuleke mazima nannyini kintu wa ddembe okubanja, oluvannyuma n'alagira bamuwe engamiya eyenkana negyeyamuwa, nebagamba nti owaye omubaka wa Allah tewali egifanaana okujjako egisinga obukulu, nagamba nti mumuwe kubanga mazima ddala abasinga obulungi y'oyo abasinga okusaasula obulungi " (yegattibwako).
  3. Era obumu ku bulungi bw'obusiramu kwe kukubiriza n'okwagazisa okusazaamu okugulagana singa omu ku njuyi ebbiri afuna okwejjusa, agamba omubaka okusaasira n'emiremeb bibeere ku ye nti: " oyo yenna akkiriza okusazaamu okugalanngana kw'oyo eyejjusa Allah ajja kusazaamu ebyonoono bye olunaku lw'enkomerero" (Abu Daud, Ibin Hibbani, Albaihak Alswahiha: 2614).
  4. Obumu mu bwangu bw'obusiraamu kwe kunywezaawo okwesalirawo mu kugulanggana, agamba omubaka wa Alllah okusaasira nirembe bibeere ku ye nti: "Abagulanggana ababiri n'akwesalirawo ebbanga lyebamala nga bakyali wamu oba okutuusa nga bayawukanye, webayogera amazima bafuna emikisa mu kugalagana kwabwe ate webakweka nebalimba emikisa gisanyizibwawo mu kugulagana kwabwe" (Al-Bukhali).
  1. Erimu obumu ku bulungi bw'obusiraamu mu byemmaali, y'enkola y'okugabanya emmaali y'abafu eyo egabirwa abasika abagwanidde okusika(oluvannyuma lw'okujjako amabanja n'ebiraamo), abato n'abakulu, abasajja n'abakazi, okutematema okw'obwenkanya okulungi era okusiimisa buli omu, nga ekyo kijulirwako banannyini magezi amatuufu okusinziira ku luganda olw'okumpi n'olwewala n'okugasa eri nannyini mmaali ayafa, ssi nti buli omu agaba emmali y'omufu okusizira nga bwayagadde oba ku kwagala kwe, mu bulungi bw'enkola eyo kwe kuba nti etematema emmali oba nnene nebwebeera nnene etya mu butundutundu obutono, n'efuula ekintu kye mmaali okwetuuma mu mikono gy'abantu abamanyikiddwa nga kizibu okubaawo, era Kur'ane yannyonyola omugabo gw'abaana n'abazadde n'abafumbo ababiri n'aboluganda, agamba Allah owa waggulu nti: "Allah Abalaamira (engabanya y’emmaali y’obusika ku) baana bammwe; alina omusajja ekyenkanyi ky’omugabo gw’abakazi ababiri, bwe babeera abakazi babiri oba nga basukka ababiri, balina bibiri byakusatu mw’ebyo (omufu) by’aba alese, naye bw’aba omuwala ngali omu yekka alina kimu ky’akubiri. N'abazadde be (ab’omufu) buli omu ku bombiriri alina kimu kya mukaaga, bw’aba nga (omufu) alina omwana; kyoka bw’aba talina mwana ne bamusikira bakadde be, alina nnyina kimu kya kusatu, bw'aba nga (omufu) alina bagandabe (ne bannyina) nnyina alina kimu kya mukaaga oluvannyuma lw’ebiraamo ebiraamibwa oba ebbanja (okusasulibwa). Bakitammwe n’abaana bammwe: temumanyi ani mu bo (asinga okuba) ow’omugaso oguli okumpi nammwe. (Eyo) y’engereka eyava eri Allah. Era Allah Mumanyi, Mukakasa. "(Al-Nisa-I: 11).

Okwongereza ku kunnyonyola okungi okwo Allah kwe yanokola mu bifo eby'enjawulo mu Kur'ane nga wano ssi ky'ekifo ky'obireeta nga obusingaana mu bitabo by'okugaba emmaali y'omufu w'obeera obyagadde.

  1. Era obumu ku bulungi bw'obusiraamu kwe kuba nti webaba bagaba emmaali y'omufu abeera abaddewo naye bamugabirako era tebayina kwerabira kumugabira. Agamba Allah owa waggulu nti: "Bwe babanga ab'oluganda ne bamulekwa n'abanaku nga basembedde mu kiseera ky'okugaba (emmaali y'obusika), mubagabirengako era mubagambe nga ekigambo ekirungi " (Alnisaai: 8)
  2. Era obumu ku bulungi bw'obusiraamu kwe kutekawo enkola y'okulaama, omusiraamu waddembe okulamira mu mmaali eyo oluvannyuma lw'okufa ekyo ekinabeera mu mirimi emirungi ebeere saddaaka ekulukuta oluvannyuma lw'okufa, naye bwakikomeka obutasukka kimu kya kusatu, okuva ku Amri Bin Saad okusiima ka Allah kubeere ku ye agamba nti Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yali nga amulambuula nga alwadde emakka, n'amugamba nti ayina emmaali ngiramire yonna, namugamba nti nedda, namugamba nti ekitndu ky'ayo, nagamba nti nedda, namugamba kimu kya kusatu mu yo, nagamba nti kimu kya kusatu ate nga n'ekimu kya kusatu kingi, mazima okuleka abasika bo nga bagagga kisinga okubaleeka nga baavu nga basabiriza bantu" nabuli kyowaayo kyonna ebeera saddaaka neweeba ntongi yammere mukyala wo gy'alya, oba ol'awo Allah asobola okusitula amadaala abasiraamu nebakufunamu era n'okosa abalabe ba Allah" [9]

Era nga bwekiri nti mu bukwakkulizo bwako kwekuba nti alina omugabo mu mmaali takkirizibwa kumulaamira obakosa basika balala, oba okuteekawo obulabe wakati w'abwe, agamba okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " mazima Allah yawa buli nannyini mugabo omugabo gwe, tewali kulaama eri omusika" ntuufu. [10]

 

 

 

Obwangu bw'obusiraamu mu bibonerezo:

Obusiraamu okufanaganako n'amadiini amalala, bw'abaga amateeka g'okubonereza abazzi b'emisango ago wegaba gatekebbwa mu nokola gamala obuzzi bw'emisango mu bantu n'okusaasana kwagyo, era negajjawo okuyiwa omusaayi negakuuma n'ebitiibwa by'abantu, negakuuma n'emmaali z'abantu, negatiisa abakozi b'ebikolobero, abantu n'ebawona obulumbaganyi wakati w'abwe. Ebibonerezo bino nebijjawo obwonoonefu oba okubukendeeza, kyova olaba nti obusiraamu buteekawo ku buli musango ekibonerezo ekimugwanidde okusinziira ku bunene bw'agwo, n'ebufuula ekibonerezo ky'omussi mu bugenderevu naye kumutta, agamba Allah owa waggulu nti: "Abange mmwe abakkiriza! Kwalaalikwa ku mmwe okuwoolera eggwanga mu kutta omuntu... " (Al-Baqarah: 178)

Okujjako nga bannanyini mufu bamusonyiwa olw'ekigambo kya Allah owa waggulu nti: "… N’omuntu asonyiyibwa okuva eri muganda (w’oyo attiddwa – assule oyo amusonyiye) ekintu, … " (Al-Baqarah: 178)

Nebufuula ekibonerezo ky'okubba nga kumutemako mukono, agamba Allah owa waggulu nti: "omubbi omusajja n'omubbi omukazi mutemengako emikono gya bombiriri nga y'empeera y'ekyo kye bakoze, nga kibonerezo (ekyokulabirako) ekyava eri Allah. ne Allah wa Kitiibwa, Omulamuzi " (Almaa-ida: 34)

Omubbi wamanya nti bajja kumutemako omukono bwabeera abbye kimujja ku bubbi okusobola okukuuma omukono ggwe obutagutema olwo emmaali z'abantu neziwona okubbibwa.

Era nebufuula ekibonerezo ky'okulumbagana ekitiibwa ky'abantu n'obwenzi nga kukubwa miggo eri oyo atali mufumbo agamba Allah owa waggulu nti: "omwenzi omukazi n'omwenzi omusajja (abeerere) mukube buli omu ku bombiriri emiggo kikumi… " (An-Nuuru:2)

Era ekyo kiri bwekityo okusobola okukuuma endyo obuteetabika n'okukuuma emmmaali z'abantu obutasikibwa atasanidde kusika.

Era nebufuula ekibonerezo ky'okulumbagana ensa z'omuntu olw'okumutemerera obwenzi nga kuba kumukuba, agamba Allah owa waggulu nti: "N’abo abawaayiriza obwenzi abakyala ab’ensa oluvannyuma ne bataleeta bajulizi bana, mubakubenga emiggo kinaana era temukkirizanga (okuva olwo) obujulizi bwabwe emirembe n’emirembe. Nabo bo be bonoonyi. " (An-Nuru: 4).

N'emisango emirala mingi egitali egyo nga obusiraamu bwagiteerawo ebibonerezo nga bikwatagana n'obulamu obugirimu mu mpangaala y'abantu, oluvannyuma netekawo ekikolo ekibuna mu kubonereza nga kwekupimirwa ebibonerezo byonna, agamba Allah owa waggulu nti: "N'empera y'ekibi kusasulwa kibi ekikifaanana" (Ashuuraa: 40) era nga w'agamba nti: "Bwe mubonerezebwa, nammwe mubonereze nga ekyenkanyi (ky'ekyo) kye mubonerezebbwa nakyo" (Annahali: 126)

Era nga ebibonerezo ebyo biriko obukwakkulizo n'amateeka mu kubiteeka mu nkola.

  1. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu kukangavvula okukwata bintu by'abantu tebwakufuula nti kyatteeka omuntu avunaanwa ayina okukangavvula wabula ekkubo lyaggulwa eri okusonyiwa oba okukkiriza okuddizibwawo, agamba Allah wa waggul nti: " N'empera y'ekibi kusasulwa kibi ekikifaanana. N'omuntu yenna asonyiwa n'alongoosa, empeera ye eri wa Allah. mazima ye tayagala balanga banaabwe bwemage " (Ashuuraa; 40)
  2. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu ku kangavvura kwekuba nti ebikwatagana ku mazambi agali wakati w'omuntu ne Allah singa omuddu tagoolesa era negataloopebwa wa mukulembeze (mulamuzi), tateekebwako kibonerezo era kiba wakati wa muddu n'omulezi we, okuva ku Abu Huraira okusiima kwa ALllah kubeere ku ye agamba nti: yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: " Abantu b'ekibiina kyange bonna bakusonyiyibwa okujjako aboolesa (amazambi), era nga kigwa mu kwolesa (ezambi) omuntu okukola ekikola ekiro oluvannyuma n'abukeesa nga Allah yamubikiridde naye nagenda nga agamba nti owaye gundi nakoze kino nakino ekiro kyokka nga yasuze Allah amubikiridde naye najjawo olutimbe lwa Allah " (yegattibwako).

Obusiraamu webuba bukakasaawo okuteeka mu nkola kw'ebibonerezo ebyo buba bwagalamu kukuuma bintu by'abantu nakusiga mirembe n'obutebenkevu mu bantu nakutiisa abo emitima gy'abwe begiwundira okuzannyira ku butebenkevu bwa abantu, omutemu w'amanya nti ajja kuttibwa n'amanya omubbi ajja kutemwaako omukono n'omwenzi n'akimanya nti ajja kukubwa emiggo n'omutemerezi n'akimanya nti ajja kukubwa emiggo ava kuky'abadde anuyiridde okukola olwo n'awona n'abala nebawona, ayagola mazima Allah owa waggulu w'agambira nti: "Era mulina mmwe mu tteeka ly’okuwoolera eggwanga obulamu, abange mmwe abalina amagezi, oba olyawo ne mutya Katonda (ne mwesamba ekikolwa ky’obutemu). " (Al-Baqarah: 179)

Oli ayinza okugamba nti ebibonerezo obusiraamu bwebyateeka ku misango egimu bikakali ! addibwamu nti omuntu ayina amagezi akikakasa nti ebikolobero ebyo biyina obulabe obumanyikiddwa mu bantuera nga biyina okuziyizibwa okukolebwa n'okuteekawo ebibonerezo ku byo, wabula okwawukana kubeera ku kibonerezo ki? buli omu wasanidde okutunula alabe nti abaffe ebibonerezo obusiraamu bwebyateekawo bigwanidde okujjawo oba okukendeeza ku bikolebero ebyo oba ebyo abantu byateekawo ebyo ebitayina kyebikola ku bikolobero okujjako okubisasanya era nga okusinzira ku go omuntu omukozzi w'ebikolobero asobola okuwona ate akoleddwako ekikolobero n'abeera nga yye avunaanibwa. Wabula ekituufu nti ekiyungo ekifu kirina okutemwako olwo omubiri ogusigadde gutaasibwe.

 

 

 

Obwangu bw'obusiraamu mu ntabaalo (abawambe):

Mazima mu butonde bw'empangala y'abantu nti watera okubaawo obutakwatagana n'enjawukana n'entalo olw'enjawukana y'ebikolo by'abwe n'amadiini oba okusojjagana n'okulwanagana olw'okwagala okugaziwa naddala mu buyinza oba olw'obulungi bw'enfuna, agamba Allah owa waggulu nti: "…Singa tekwali kudduukirira kwa Allah abantu abamu ku (kulwanyisa) banaabwe ensi yandyonoonese. Naye Allah Ye Nnannyini birungi eri ebitonde (Bye) byonna. " (Al-Baqarah: 251).

Wabula lwo olutalo mu busiraamu lukwatibwa nakintu kiramu eky'eddaala erisooka, agamba agamba Allah owa waggulu nti "Temubeera ng'abo abaava mu mayumba gaabwe nga beekaaliisa n'okweragira ku bantu, nga baziyiza abantu mu kkubo lya Allah, ne Allah yeetoolodde kw'ebyo bye bakola"(Al-Anfaal: 47).

Olutalo mu busiraamu ebimu kubirubeezaawo kwetaasa bulabe n'akutaasa aly'azamaanyiziddwa agamba Allah owa waggulu nti: "Mulina ki mmwe (ekibagaana) okulwana mu kkubo lya Allah ne ku lw’abateesobola (abanafuyizibbwa) mu basajja n’abakazi n’abaana abato, abo abagamba nti: Ayi Mukama waffe! Tuggye mu kino ekyalo (Makka), abantu baakyo abalyazaamaanyi! Tuteerewo ffe okuva gy’Oli Omukuumi; era Otuteerewo okuva gy’Oli Omutaasa!" (An-Nisaai; 75).

Olw'okuba nti olutalo lukwatibwa na buntubulamu mu busiraamu luba luyina okubaamu oluuyi lw'okwanguyiza olweyolefu era nga n'ebimu ku biraga obwangu obwo by'ebino wammanga:

Obumu ku bwangu bw'obusiraamu kwekuba nti ssi nzikiriza yakulumbugana nakutankuula ntalo nga abalabe b'obusiraamu webabutenda abo ababuyinako ettima olw'abagoberezi abangi n'ababuyingira, naye kiyinza kuba bw'ekityo nga Allah alagira obutalumbagana? Agamba Allah owa waggulu nti: "Mulwane mu kkubo lya Allah nga mulwanyisa abo ababa babalwanyisizza naye temulumbagananga, mazima Allah tayagala balumbaganyi". (Albakara: 190)

  1. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu kulwanagana kwekulagira abasiraamu nti webaba balwana n'abalabe beesigamire nga awali emirembe singa abalabe babeera bagisabye (singa babeera basabye endagaano ey'emirembe), okusobola okulaga nti ssi nzikiriza yakutta nakunyumirwa kuyiwa musaayi, agamba Allah owa waggulu nti: "Bwe babeera nga bazze okuteesa, naawe dda gye kuli, era weesige Allah. mazima Ye Awulira, Mumanyi." (Al-Anfal :61)
  2. Era obumu ku bulungi bw'obusiraamu mu ntalo kwekulagira obutalwanyisa oyo atabulwanyisizza.
  3. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu kulwana entalo kwekutekaawo amateeka n'empisa obutajja lutalo ku buntubulamu, nga tewaba kuta mulabe okujjako oyo eyenyigidde mu kulana n'ayamba ku lwo, wabula omukadde n'omwana omuto n'omukazi n'omulwadde n'abasawo n'abakoseddwa n'ebanaddiini abo obudde bwabwe nga babumalira mu kusinza tebattibwa, era nga bwekiri nti afunye ebiwundu mu lutalo tattibwa buttibwa, era tewali kutema bunyamanyama afudde wadde okutta ebisolo, oba okumenya amayumba, era teri kwonoona mazzi oba enzizi. Era adduse tebamugoba, era nga okwo kwe kwali okusomesa kw'omubaka okusasira n'emirembe bibeere ku ye n'abamusikira oluvannyuma lwe eri abakulembeze b'amaje g'abwe, mazima bweyoleka obwangu bw'obusiraamu mu lutalo mu kikolwa ky'omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye mu kuggulawo ekibuga Makka nga abo beebamufulumya nebamunyiiza nebatta abagoberezi be nebakola n'olukwe lw'okumutta weyagambira nti: " oyo yenna ayingira amaka ga Abi sufian ye ali mu mirembe n'oyo aggalawo enyumba ye naye ali mu mirembe n'oyo assa wansi eby'okulwanyisa naye ali mu mirembe"[11]

Era nga n'abasika be bwebatyo webaali nga mu ntalo oluvannyuma lwe, agamba Abubakari Alswiddik okusiima kwa Allah kubeere ku ye omusika w'omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye asooka abaduumizi b'ejje abo beyali nga atuma nti: mbalamira ebintu kkumi mubikwaate okuva ku nze: " temukumpanya, temubba (eminyago), temuva ku ndagaano, temusaala emirambo obufi (temutemaatema bafu), temutta mwana muto, era temutta mukadde wadde omukazi, temutema mutende wadde okugwokya, era temutema omuti ogw'ebimera era temusala mbuzi oba ente oba enggamiya okujjako nga mw'agala kulya, era mujja kuyita ku bibinja bya abantu abaawayo obolamu bwabwe mu masinzizo, mubaleke kw'ebyo byebeewaayo okukola"[12]

  1. Era obumu ku bulungi bw'obusiraamu mu lutalo kwekuwa ebivunanwa n'okukuuma obuntu bw'abalabe abo abawambiddwa. Tebalina kubonerezebwa wadde okubakakkanya oba okubatiisatiisa oba okubasala obufi oba okubamma emmere n'ebyokunywa ppaka webafa – wabula baweebwa ekitiibwa n'enkolagana ennungi, agamba Allah owawaggulu nti: “Ne baliisa emmere ku lw’okwagala kwa Allah, omunaku ne mulekwa n’omuwambe. (Muli mu myoyo ggyabwe nga bagamba) Mazima tubaliisa ku lwa kufuna mpeera za Allah (zokka): so tetwagala kuva gye muli mpeera yonna oba okwebazibwa. Mazima Ffe tutya okuva eri Mukama waffe Olunaku emitaafu lwe giryetuuma (mu byenyi)”. (Al-Insaani; 8-10)

Era abagoberezi b'obusiraamu baayanguwa nnyo okuteeka amateeka gano mu nkola, ekyokulabirako ye Abi Aziizi Bun Umairi Muganda wa Musw-abu Bun Umairi yagamba nti: Nnali mu basibe b'olutalo lw'ebbadri, Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nagamba nti: mulaamire abawambe obulungi, nnali nsibiddwa mu ba an-swar (abataasa ba Nabbi) naye bwebagenda okulya ekyemisana n'ekyeggulo nga balya entende nze nebampa emigaati olw'ekiramo ky'omubaka Okusaasira n'emirembe bibeere ku ye."Attabaraani (Alkabiir:18410). Albaan (Nfu mu dwaiifu al-Jaamiu: 832).

  1. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu lutalo kwekulamira okuyisa obulungi bananyini nsi ebeera ewanguddwa abasiraamu, omubaka y'alaamira okuyisa obulungi abakibutwi obulungi, anti yagamba nti: " wemuba muwangudde misiri mbakuutira okuyisa obulungi abakibutwi, mazima bo bayina obwesigwa n'okusaasira" (ekikolo kya hadithi kya hadithi kiri eri muslim)

Embeera y'abo abawangulibwa tewali kulumbagana bitiibwa by'abwe wadde okutwala emmaali y'abwe wadde okubanyooma, oba okusanyaawo amayumba g'abwe oba okubaworerako eggwanga, wabula kubeera kulongoosa nakulagira mpisa nnungi nakugaana mpisa nkyamu, nakuyimirizaawo bwenkanya. Abasiraamu mazima bateeka mu nkola okulunggamya kwa nabbi wabwe oluvannyuma lwe, era nga obujulizi obusinga obulungi y'endaano eyo Umar Bin alkhatwab gyeyakola n'abantu be Jerusalemu bweyamala okujiyingira nga ewanguddwa n'agamba nti: (ku linnya lya Allah omusaasizi ow'ekisa ekingi, kino ky'awadde Abdul llahi Umar Bin Alkhatwabu abantu be Jerusalemu mu butebenkenvu: abawadde obutebenkevu bo n'emmaali y'abwe n'ekkanisa z'abwe, n'emisalaba gy'abwe... era nga tewali abakaka kuva ku nzikiriza y'abwe era nga tewali kukosa muntu yenna mu bo...) abaffe mu byafaayo waliwo obwenkanya bwebutyo? n'okusonyiwa okuva eri oyo awangudde? nga ogasseeko okuba nti okusiima kwa Allah kubeere ku ye yali asobola okuteekawo obukwakkulizo bwonna bw'ayagala naye obwenkanya n'obwangu, ekyo kimu ku biraga nti olutalo mu busiraamu lwa mu buntu so ssi mulugube gwa bya nsi.

 

 

 

Obwangu bw'obusiraamu n'okusonyiwa ebyonoono

Olw'okuba abantu bayitirivu ba kukola nsobi o era nga bakola nyo ebyonoono kibeere wakati waabwe ng'abantu oba eri Mukama waabwe eyabatonda, oba bbo bennyini oba bannaabwe be bawangaala nabo, ekyo kyeyatubulira omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye mu kigambo kye nti: " buli muntu asobya nnyo, wabula omusobya omulungi y'oyo ayeenenya " (yafulumizibwa tirmith ne Ibin maja era Albaani n'agamba nti ntuufu).

Era ebyonoono ebyo omuntu abikola olw'olutalo olukadde nga sitaani yawera okubuza omuntu. Agamba Allah owa waggulu ku kuwera kwa sitani eri omuntu nti: "(Sitaane) n’agamba nti: Mukama wange nga bw’ombuzizza, nja kubanyiririza mu nsi (ebibi, mbibaagazise okubikola), era bonna nja kubabuza ddala " (Al-Hijri :39).

  1. Obumu ku bwangu bw'obusiraamu kwe kuba nti Allah asonyiwa ekyonoono newekiddiringanwa ebbanga omuntu ly'amala nga asaba okumusonyiwa nga kiri bw'ekityo kuba okusobya kw'omuntu kya mu butonde bwe, ebyonoono bisangulwawo era bisonyiyibwa ebbanga omuntu ly'amala nga asaba okusonyiyibwa ew'omulezi we, agamba Abu Saed Alkhudri okuva ku Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti mazima ye yagamba nti: " yagamba sitaani nti: owaye omulezi wange nja kubulankanya abantu ebbanga emyoyo gy'abwe gyeginaamala nga giri mu mibiri gy'abwe, nagamba nti: Nagamba omulezi ow'ekitiibwa nti: " nja kusigala nga mbasonyiwa ebbanga lyebanaamala nga banneegayirira okubasonyiwa " (musinad Imam Ahmad, swahih aljamei 1650). N'agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: "mazima ndayira oyo omutima gwange, singa mwali temusobya, Allah yandibajjeewo n'aleeta ekibinja ekisobya n'ekyenenyeza Allah nga bwakisonyiwa " (Ahmad ne Muslim).
  2. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu kwekuba nti omulyango gw'okwenenya muggule obudde bwonna nabuli mbeera yonna, agamba Allah owa waggulu nti: "N’omuntu eyeenenya oluvannyuma lw’obulyazaamaanyi bwe n’alongoosa, mazima Allah Akkiriza okwenenya kwe. Ddala Allah Musonyiyi, Musaasizi." (Al-Maida ;39).

N'agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " mazima Allah ayanjuluza omukono gwe ekiro asonyiwe abasobezza emisana era nayanjuliza omukono gwe emisana asonyiwe abasobezza ekiro okutuusa enjuba lw'eriva ebugwa njuba" (muslim).

Okujjako mu mbeera entono ennyo weguggalibwa omulyango gw'okwenenya, agamba Allah owa waggulu nti: "Tekuli okwenenya kw'abo abakola ebibi okutuusa okufa lwe kuba nga kusemberedde omu mu bo n'agamba: mazima neenenyezza olwa leero; era sibo abafa nga nabo bakafiiri. Abo twabateekerateekera ebibonyobonyo ebiruma" (Alnisaai)

Omulyango gw'okwenenya muggule eri abaddu okujjako mu mbeera bbiri zanyonnyolwa omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye mu kigambo kye nti: " mazima Allah akkiriza okwenenya kw'omuddu ebbanga omwoyo gwe lyegumala nga tegunatuuka mu dokooli " (Tirmithi, ntuufu).

Era n'agamba okusaasira n'emirembe bibeere ku nti: " oyo yenna eyenenya nga enjuba tennaba kuva gy'egwa Allah amusonyiwa " (Muslim).

  1. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu kwe kwanguya ensonga y'okwenenya nebugifuula nga kibeera wakati wa muddu na Mulezi we tewali kayungirizi wakati w'abwe oba okukalubiriza anti omuddu awanika buwanisi mikono gye eri omulezi we n'akkiriza ensobi ye n'amusaba okusonyibwa, agamba Allah owa waguulu nti: "bwemuba mwewaze ebisobyo ebinene eby'ekivve ebyo byemwaganibwa, tujja kubakingiriza tubajjeko ebibi byammwe, era tuli bayingiza oluyingiza olw'ekitiibwa" (An-Nisaai: 31).
  2. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu kwekuba nti ebibi by'abakozi be bibi abeenenya okuva ku bibi by'abwe abayina amazima mu kwenenya kw'abwe, era abejjusa ebyo eby'abavaamu mu byonoono era nga bamalirivu obutaddamu kubikola bikyusibwamu ebiringu, agamba Allah owa waggulu nti: " Era be bo abatasaba abatasaba awamu ne Allah katonda mulalane batatta mwoyo owo Allah gwe yaziyiza (ekibonerezo) ky'ekibi. Birimwongezebwa ebibonyobonyobo ku lunaku lw'okuyimirira era agenda kugutuulamu obugenderevu nga anyoomwa. Wabula oyo eyeenenya n'akkiriza n'akola emirimu emirongofu: nabo Allah abakyusiza ebibadde ebibi byabwe ebirungi, era Allah (okuva ddi na ddi) yali musonyiyi, Omusaasizi " (Al-furkaani; 68-70)

Amateeka g'obusiraamu gogereganya n'obwongo bw'omwonoonyi negavumula obunafu bwe n'okweraliikirira negamuggulirawo ekkubo ly'okwenenya ave ku byonoono bye, era nga omulezi waffe omutukuvu tayina muntu mu bitonde bye gweyakutulawo n'okusonyiwa kwe eri ebyonoono bye n'okumuddiramu eri ensoobi ze ekyonoono newekiba kinene oba ensobi neweeba nnene etya, agamba Allah owa waggulu nti: "Bagambe nti: Abange abadde bange abo abaayitiriza okwonoona ku mwoyo gyabwe ! temukutukanga n'okusuubira okusaasira kwa Allah, mazima Allah asonyiwa ebibi byonna /; mazima ye ye musonyiyi omusaasizi" (Azzumara :53).

Ebyo bikwataagana ku byonoono ebibeera wakati w'omuddu ne Allah naye ebikwatagana n'ebintu by'abantu oba oyina okuzaayo ebbanja ly'omuntu n'okusaba okusonyiyibwa.

  1. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu kwekuba nti bugamba empeera olw'okumalirira kw'omuntu newaaba tayina ky'akoze singa abeera amaliridde okukola ekirungi n'atakikola awandikibwako nti akoze ekirungi era nga kisukkawo awo anti omusiraamu newaaba anuyiridde okukola ekibi n'atakikola olw'okutya ebibonerezo bya Allah, Allah amuwa ebirungi olw'ekyo kubanga aba alese ekyo ky'anuyiridde lwa kutya Allah, agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti Allah owa waggulu agamba - mu hadithi Al-kudusi: " omuddu wange wamalirira okukola ekibi temukimuwandikako okutuusa nga akikoze, w'abeera akikoze mumuwandikeko ekibi kimu, wabeera akirese kulwange mumuwandikeko ekirungi, ate wabeera amaliridde okukola ekirungi mumuwandikeko ekirungi, bw'abeera akikoze mumuwandikeko ebirungi kkumi okutuusa ebirungi lusaanvu n'omusobyo" [13]
  2. Era obumu ku bwangu bw'obusiramu kwekubeera nti ekyonoono tekiziyiza kusaasira kwa Allah wabula kigenda kuleetera omuddu okwegomba nti singa abadde n'ebyonoono bingi olw'okusaasira kwa Alla kwagenda okulaba nga ayanjuliddwa ekitabo kye olunaku lw'enkomerero, agamba okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: " mazima nze mmanyi omuntu agenda okusembayo okuyingira ejjana mu bantu be jjana era agenda okusembayo okuva mu mu muliro mu bantu b'omumuliro, omuntu agenda kuleetebwa olunaku lw'ekiyama agambibwe nti mu mwanjulire ebibi bye ebitono byeyakola mu mujjeko ebinene byeyakola, bamwanjulire ebibi bye ebitono bamugambe nti wakola kino nakino ku lunaku bweluti ne bweluti, era wakola kino nakino ku lunaku luno naluno, agambe nti ye; kubanga tasobola kwegaana nga ayina okutya kungi ku bibonerezo ebinene singa bimwanjulirwa, agambibwe nti buli kibi kyewakola owereddwamu ekirungi, agambe nti owaye omulezi wange waliwo byennakola nga ssibilabye wano" nalaba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye ng'aseka okutuusa amagego ge bwegalabika) (muslim).

7. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu kw'ekuba nti Allah mukwata mpola ku oyo abeera amujeemedde mu baddu be n'amukafuwalira, agamba Allah owa waggulu nti: "Singa Allah avunaanirawo abantu ku lw’ebyo (ebisobyo) bye bakola, teyandirese kungulu kw’ensi kintu kitambula: naye abalindiriza okutuuka eri ekiseera ekigere (kye yagera okubavunaaniramu – n’olwo lwe Lunaku lw’enkomerero). Bwe kiriba kituuse ekiseera kyabwe – (olwo lwe balimanyira ddala nti) mazima Allah yali alaba abaddu Be mu buli kye bakola. " (Fatwir :45)

 

 

Obwangu bw'obusiraamu n'ebisonyiyisa ebyonoono

  1. Obumu ku bwangu bw'obusiraamu kwe kufuula ebikola by’okusinza nga gisonyiyisa ebyonoono nga ogasseko okubeera nti girimu empeera mu kugikola nga kya kusaasira okuva ewa Allah eri abaddu be n'okubatebenkeza emitima gy'abwe okuva ku byonoono ebingi, era egimu ku mirimu egyo:
  2. Obumu ku bwangu bw'obusiraamu kwe kufuula okukola emirimu egy'etteeka nga ojjeeko empeera ezifunibwa nga ogikoze wabula ate gisonyiyisa ebyonoono, agamba okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " esswaala ettaano n'ejjuma okutuuka ku jjuma endala ne ramadhan okutuuka ku ramadhan bisonyiyisa amazambi singa amanene gaba gewalibbwa " (Muslim).

N'agamba okusasira n'emirembe bibeere ku ye nti: "muliraniganye wakati wa hajji ne umra kubanga biziyiza obwavu n'ebyonoono nga omuliro bweguzizyiza obutalavvu bw'ekyuma n'ezaabu neffeeza era hijja ekkirizibbwa teyina mpeera ndala gyesasulwa okujjako ejjana" (ntuufu, asswahihat: 1200).

  1. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu kwe kuba nti okwewala ebyonoono ebinene kisonyiyisibwa ebitono, agamba Allah owa waggulu nti: "Bwe mubanga mwewaze ebisobyo ebinene eby’ekivve ebyo bye mwagaanibwa, Tujja kubasonyiwa ebyonoono byammwe, era Tujja kubayingiza oluyingiza olw’ekitiibwa." (An-Nisaai: 31)
  2. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu kwe kufuula okusasaanya salaamu n'okukwata musiraamu munno mu ngalo nga bisonyiyisa ebyonoono, okuva ku Huzaifa yagamba nti: yagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " omusiraamu bw'akwata musiraamu mune mu ngalo ebyonoono bikunkumuka nga bwolaba ebikoola by'omuti bwebikunkumuka" (yaletebwa Albazzar, Albaani n'agamba nti ntuufu).
  3. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu kwe kufuula ebizibu ebigwa ku musiraamu mu bulwadde n'okunakuwala n'ebizibu, Allah asinzirirako nasonyiwa ebyonoono by'omuddu. hadithi okuva ku Abi Saed Alkhudri okusiima kwa Allah kubeere ku ye yagamba nti: yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " tewali kintu kyonna kikosa mukkiriza mu bukoowu oba okunakuwala wadde obulwadde okutuusa nebwebibeera kweraliikirira nga okujjako nga Allah amusonyiwa ebyonoono bye" (Muslim)

Era n'agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: “tewali buzibu butuuka ku musiraamu okujjako nga Allah amusonyiwa nabyo ebyonoono Allah nebweriba liggwa nga lyerimufumise" (yegattibwako).

  1. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu kwekufuula okwetukuza nga kimu ku bisonyiyisa amazambi. Hadithi okuva ku Abi Saed Alkhudri yagamba nti: yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: abaffe mbabuulire Allah kyasonyiyisa nakyo amazambi ate n'ayongezesa n'akyo ebirungi?" nebamugamba nti ye! owaye ggwe omubaka wa Allah. n'agamba nti: "okufuna wudhu enzijuvu mu bunnyogovu, n'okulinda esswala oluvannyuma lw'esswala, tewali muntu yenna mu mmwe afuluma wuwe n'asaala ne imam oluvannyuma n'atuula n'alinda esswala endala okujjako nga malaika zigamba nti: ayi Allah musonyiwe ayi Allah musaasire" (yaleetebwa Ibin Maja ne Ibin Huzaimah ne IBIN Hibban mu kitabo asswahihi era nga enjogera eyo yiye ne Alddalimi mu kitabo kye Almusnad, Albaani n'agamba nti ntuufu).
  2. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu kwe kufuula omulimu omutono mu kujjukira Allah nga gwenkana n'okusaddaaka emmaali mu kkubo lya Allah mu miteeko gy'okusinza ejenjawulo, okuva ku Abu Huraira okusiima kwa Allah kube ku ye yagamba nti Abaavu bajja ewa Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nebagamba nti: abagagga batututteko amadaala agawaggulu n'ebyengera, basaala nga bwetusaala, n'ebasiiba nga bwetusiiba ate nga bayina emmaali nyingi bagikolamu hijja ne umra nebalwana ne mu kkubo lya Allah era nebasaddaaka, nagamba nti mbabulire omulimu bwemuba mugwekutteko mugenda kwenkana abo abaabakulembera ate nga tewali agenda kubenkana mu abo ab'oluvannyuma lwa mwe, era nga mwe mugenda okusinga abo bemuwangaala nabo, okujjako oyo anaaba akoze kyemuba mukoze, mugambe nti " subuhana llah, alhamdulillahi, Allahu Akbaru" buli luvannyuma lwa buli sswala emirundi asatu mu esatu, netwawukana wakati waffe abamu nebagamba nti tugambe" subuhana llahi" emirundi asatu mu esatu ne " alhamudu lillahi " emirundi asatu mu esatu ne "Allahu akbaru " asatu mu ena, n'enzirayo gy'ali n'agamba nti mugambe nti: subuhana llahi walhamdulillahi wallahu akbaru okutuusa buli kigambo wekiweza emirundi asatu mu esatu). (Muslim)
  3. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu kwe kufuula okuyitiriza okukola ebirungi nga kimu kubisonyiyisa ebyonoono, okuva ku Muazi yagamba nti: owaye omubaka wa Allah naamira, n'agamba nti: " tya Allah buli wonna wobeera oli " namugamba nti nyongera, namugamba nti: "gobereza ekirungi ekibi kikisangule" namugamba nti nyongera, namugamba nti: "yisa bulungi abantu " (Ahmad, ntuufu)
  4. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu kwe kufuula okukola (ibadaati) nga emu ku nsonga ezisonyiyisa amazambi amatono, olw'obujulizi obwakakasibwa okuva ku Abi Umamah okusiima kwa Allah kubeere ku ye yagamba nti omusajja yajja ewa Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye namugamba nti: owaye omubaka wa Allah n'akoze ezambi nsaba ombonereze !! n'amugamba nti " wafunye wuzu nga ojja? " n'amugamba nti: ye, n'amugamba nti: " osadde naffe wetusadde? " na'amugamba nti ye, n'amugamba nti: "genda mazima Allah amaze okukusonyiwa " (yegattibwako)

 

 

 

Obwangu bw'obusiraamu omutango n'engasi z'ebyonoono.

Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu kwekuba nti Allah yalalika ku baddu be engasi webaba bakoze ekintu ekyemizizo ku luuyi lwa Allah oba ku bantu ebeere nsonga y'okusonyiyibwa n'okusangulibwako ekyonoono ekiba kikoleddwa, era nga emitango ejo jijjawo okuwulira kw'omusiraamu kwawulira oluvannyuma lw'okuggwa mu kyonoono bwabeera amaze okuwa engasi eyo. olwo no n'awangaala nga tayina bwelalikirivu ku mutima olw'ekyonoono kyeyakola, era nga kisoboka okuwa eby'okulabirako ku bwangu bw'obusiraamu mu ngasi ezimu wano wammanga:

  1. Mu bwangu bw'obusiraamu kwekuteeka ku kutta mu butanwa engasi azaalambululwa omulezi waffe omutukuvu owa waggulu n'ekigambo kye nti: "Talina omukkiriza kutta omukkiriza wabula nga ataniddwa butanwa. N’omuntu atta omukkiriza mu butanwa alina (okuwa engasi) ya kuta omuddu omukkiriza, era awa omutango eri bannannyini ye (gw’asse) okujjako nga bamuddiddeme ku lwa Katonda. Bw’aba (oyo attiddwa nga) abadde mu kibiina bwe mulina obulabe wakati waakyo nammwe nga naye mukkiriza, (amuse) alina okuta omuddu omukkiriza. Naye bw’abeera mu kibiina wakati wammwe nakyo nga waliwo endagaano (ey’enkolagana), balina okuwa engasi eri bannannyini ye n’okuta omuddu omukkiriza. N’omuntu aba atendewariddwa (omutango) ateekwa okusiiba emyezi ebiri egiddirinnganye. Nga okwo kwenenya eri Allah. Era Allah Mumanyi, Omulamuzi. " (An-Nisaai: 92)
  2. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu bwateeka ku kukuba omugongo omutango ogulambululwa omulezi waffe omutukuvu mu kigambo kye nti: "Abo abafaananya bakyala baabwe emigongo gya bannyaabwe (Dhihaar) oluvannyuma ne beddamu mw’ekyo kye bagambye (ne baagala nate omukyala oyo asigale nga mukyala we omujjuvu, balabagana, omutango gwe bawa gwa) kuta muddu nga tebannaba kulabagana (nate na mukyala oyo). Ekyo mmwe mubuulirirwa nakyo (muleme kuddayo kukikola); ne Allah Mumanyi wa byama ebyo bye mukola." (Al-Mujadalat: 3)
  3. Era mu bwangu bw'ongu bw'obusiraamu mu kusasula okulayira obwerere kwekubeera nti bwateekako endasi Allah gyeyannyonnyola mu kigambo kye nti: "Tavunaanibwa Allah ku lw'ebyomuzannyo mu birayiro byammwe, naye abavunaana olw'ebirayiro bye mukakasa. Omutango gwakyo kuliisa abanaku kkumi, mwebyo byemuliisa abantu bammwe ab'omu maka, oba okubambaza oba okuta omuddu. N'omuta aba tafunye kimu kwebyo ateekwa asiibe ennaku ssatu. Ogwo gwe mutango gw'okulayira kwammwe bwe munaaba mulayidde; mukuumenga ebirayiro byamwe. Bwe kityo bw'annyonnyola Allah obubonero Bwe, oba olyawo ne mwebaza"
  4. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu mitango, kwe kuba nti emitango egyo gisonyiyibwa mu mbeera nga omuntu tagisobola kazibeere mu ssente oba mu bikolwa by'omubiri, era nga obujulizi obusinga obulungi kw'ekyo ky'ekyafaayo ky'omuyigirizwa oyo eyajja ew'omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye n'amugamba nti owaye omubaka wa Allah: nzikiridde, namugamba nti: obadde ki " namugamba nti: negasse ne mukyala wange nga ndi nnasiibye, omubaka wa Allah n'agamba nti: " osobola okufuna omuddu omute?" n'agamba nti nedda, n'amugamba nti: "osobola okusiiba emyezi ebiri egy'omuddiringanwa?", n'agamba nti nedda, n'amugamba nti: " osobola okuliisa abateesobola nkaaga", n'agamba nti nedda, agamba nti: Nabbi n'alindamu okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, twali tukyali kwe ekyo Nabbi najjilwa ekisero ky'entende, n'agamba nti: " aliwa omubuuza?" n'agamba nti: nze, namugamba nti: " kwata kino ky'oba osaddaaka", omusajja n'agamba nti: waliwo ansinga obwavu owaye omubaka wa Allah? nkulayirira Allah tewali wakati wa busozi obubiri buno mu Madiina maka gasinga maka gange bwavu, Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye n'aseka okutuusa bwegeeyoleka amagego ge oluvannyuma n'agamba nti: " ziriise abantu bo"[14]

 

 

 

Obwangu bw'obusiraamu n'obutakutukawo kwa birungi.

  1. Mu bwangu bw'obusiraamu kwe kuwa omuddu empeera ku birungi by'atakoze nga kibeerawo olw'okulagira omulala okukola ekirungi, agamba okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: oyo yenna akowoola eri obulunngamu afuna empeera ezenkana n'ezooyo abugoberedde awatali ku kundeeza kw'omu kubo, era oyo yenna akowoola eri obubuze afuna emisango gya buli abugoberera awatali kundezebwa kw'omu ku bo "[15]
  2. Ekyo nno kireetera omusiraamu okubeera nti afuba nnyo okulongoosa abantu bawangaala n'abo nga ayita mu kukola ebirungi n'okubiwagira era n'okukowoola eri byo, n'okulwanyisa obw'ononefu n'okubwewaza abantu, era n'obutabusaasanya oba okuwagira kyonna ekirimu okusasaanya obw'onoonefu mu bantu okusobola okufuula ekitabo kye eky'emirimu nga temuli byonoono, era bw'akola bwatyo kimulongoosa ate n'alongoosa n'abalala.
  3. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu kwe kufuula okugunjula obulungi abantu b'ewaka wo n'okusasaanya okumanya mu bantu ebimu ku biwesa omuntu empeera nga mulamu nezikulukuta n'oluvannyuma nga amaze okufa, agamba okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti "omuntu bw'afa emirimu gye gy'onna gikutukawo okujjako esatu, saddaaka ekulukuta, oba okumanya kweyagasa nakwo (abantu) oba omwana omulongoofu amusanira"[16]

 

 

Obwangu bw'obusiraamu n'obwagazi bw'omuntu.

Mazima obumu ku bwangu bw'obusiraamu n'okwagaliza ebirungu abagoberezi b'abwo kwekujjulula emize gy'abwe n'obwagazi bw'abwe n'ebubifuula emirimu egisasulirwa empeera singa babeera balongoosezza okumairira kw'abwe, era ebimu ebigwa mu byo by'ebino wammanga:

  1. Obumu ku bwangu bw'obusiraamu kwekuba nti omuntu bwayanukula obwagazi bwe mu kkubo erikkirizibwa n'emukyala we oba n'omwami we bwekigobererwa okumalirira kw'okukuuma ensa z'abwe obutaggwa mu haraamu, omulimu gw'abwe gubalibwa nga kikolwa kya kusinza Allah era kisasulwa empeera, agamba Abu Darda Abamu kubayigirizwa ba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye b'agamba nti; owaye omubaka wa Allah, abagagga b'agenze n'empeera zonna, basaala nga bwetusaala era nebasiiba nga bwetusiiba kyokka nebasaddaaka okuva mu maali y'abwe, n'agamba nti; " abaffe Allah teyabateerawo ekyokusadaka?, mazima buli (tasabiihi) saddaaka, nabuli takibiira ebeera saddaaka nabuli kutendereza Allah ebeera saddaaka n'abuli (tahalili)[17] ebeera saddaaka, n'okulagira empisa ennungi ebeera saddaaka n'okugaana empisa embi saddaaka, n'abafumbo okwegatta ebeera saddaaka" nebamugamba: owaye omubaka wa Allah omu kuffe ayanukula obwagazi bwe n'akifunamu empeera? n'agamba nti: " mulaba mutya singa nga abutadde mu haraamu akifunamu omusango?, n'abwekityo bwabeera abutadde mu halaali afunamu empeera " [18]
  2. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu kwe kujjulula ebikola by'omuntu eby'abulijjo n'ebubifuula ibaada esasulilwako empeera singa bibeera bilongooseddwa okumalirira ku byo, okulya n'okunywa omuntu wanuyirira mu byo okukuuma omubiri n'okufuna amaanyi agakola asobole okutuukiriza ebyo Allah byeyamukakatako mu kulabirira omukyala n'abaana n'abo baayinako obuvunanyizibwa n'okuyamba baganda be n'okumuwa amaanyi okusinza Allah, omulimu gwe ogwo ebeera ibaada emuweebwako empeera, agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " omusajja bwalabirira mukyala we nga anonyaamu kusiimisa Allah, ebeera saddaaka ku ye [19]"

Na buli mulimu gwonna omusiraamu gw'akola nga ayina okumalirira okulungi ebeera saddaaka, agamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " buli musiraamu yenna ayina okusaddaaka, nebamugamba nti owaye omubaka wa Allah watafuna kyakusaddaaka, n'agamba nti akole n'emikono yeegase ate asaddaake, nebamugamba nti waatafuna, n'agamba nti ayambe ayina obwetaavu, nebamugamba nti wabeera tasobodde, n'agamba nti akole empisa ennungi ave ku mpisa embi mazima eyo ebeera saddaaka ye " Albukhali.

 

 

 

Obwangu bw'obusiraamu mu kugunjula.

Mazima enkola egobererwa mu kugunjula n'okusomesa mu busiraamu nkola yabukwatampola eri ewala ennyo n'obukambwe n'okuddusa abantu, agamba okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: "mazima Allah teyantuma nga ndi muzibu oba azibuwaza wabula yantuma nga ndi musomesa era ayanguyiza abantu " [20]

  1. Obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu kubulirila y'enkola y'omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye ezimbibwa kukwagaliza ekirungi n'obukwata mpola n'okwagazisa abantu eyo gyeyakozesa nga mu kubuulirira omuvubuka eyali ayagala obwenzi n'ayagala okufuna olukusa okuva ewa Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, n'amugamba nti: okyagaliza maama wo, n'agamba nti nedda ku linnya lya Allah, era abantu bonna tebakyagaliza b'amaama b'abwe, n'amugamba nti okyagala okukolebwa ku muwala wo? n'agamba nedda nkulayirira Allah owaye ggwe omubaka wa Allah, era abantu bonna tebakyagaliza bawala b'abwe, namugamba nti: okyagala kikolebwe ku mwannyoko? n'agamba nti: nedda nkulayirira owaye ggwe omubaka wa Allah. era abantu bonna tebakyagaliza bannyinabwe, n'agamba nti: okyagaliza senga wo? n'agamba nti: nedda owaye omubaka wa Allah era abantu bonna tebakyagaliza bassenga b'abe, n'amugamba nti: okyagaliza maama wo omuto (muganda wa maama wo)? n'agamba nti: nedda owaye omubaka wa Allah. era abantu tebakyagaliza ba maama babwe abato, n'agamba nti nti: n'amukwatako n'agamba nti: "ayi Allah musonyiwe ebyonoono bye, era otukuze omutima gwe, era okuume obwereere bwe" (ntuufu, alsswahihat: 370).
  2. Era obumu ku bwangu bw'obusiraamu mu kusomesa kwe kukozesa y'enkola y'okwanguyiza mu kusomesa abagoberezi b'abwo, era nga omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yatandikawo enkola y'okwanguyiza eri abo abalijja oluvannyuma lwe okuva mu kyafaayo munnamalungu eyayingira omuzikiti n'agufukamu, abayigirizwa b'omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nebakungiriza ekikolwa kye nti, lekera awo lekera aw, Nabbi wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye n'agamba nti: " mumuleke temukutula mu kufuka kwe, oluvannyuma n'amuyita n'amugamba nti: " mazima emizikiti gino tegigwana kintu kyonna mu byenyinyalwa oba empitambi" era nga weyagamba emirembe gibeere ku ye nti: mazimo gyo (emizikiti) gya kusomeramu Kur'ane nakutendereza Allah " oluvannyuma yatumya ekirobo kya Amazzi n'agayiwawo (yegattibwako).

Mazima okwanguya kwa Nabbi tekwabonereza muvubuka oyo wadde okumukambuwalira newankubadde yali ayagala kukola erimu kumazaambi amanene mu busiraamu, wadde okukambuwalira munnamalungu oyo eyafuka mu muzikiti gwe okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga ky'ekimu ku bifo ebisinga obulungi nga tekiri ekyo okujjako obugonvu bwenkola eyo gy'ayagala abalijja oluvannyuma lwe batambulireko mu kusomesa n'okulunggamya n'okugunjula abantu.

 

 

Okufundikira

Mu kusoma ekitabo kino kikulaga bulungi okufaayo n'obwanjulukufu kw'obusiraamu ku kwanguyiriza n'okukowoola abantu eri kwo nga buyita mu kuyisa obulungi abantu n'okukubiriza okubeera omusanyufu ku buli muntu, abaffe omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye ssi yagamba nti: " tonyooma kirungi kyonna newekuba kusisinkana muganda wo n'ekyenyi ekyanjulukufu" (ntuufu, muslim).

Nekukowoola abantu okwagaliza abalala ebirungi, abaffe omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ssi ye yagamba nti: "yagaliza abantu ekyo kyeweyagaliza" (yafulumizibwa Tirmith ne Ibin Maja alswahiha :72).

N'okukowoola abantu obuteeyingiza mu nsonga z'abalala ezitabakwatako, abaffe omubaka wa Allah ssi yagamba nti:" mazima obumu ku bulungi bw'obusiraamu bw'omuntu kwe kuleka ebyo ebitamukwatako " (yaletebwa Tirmith, n'agamba nti nnungi ntuufu Albaani n'agamba nti ntuufu).

Nemukukowoola okutuusa ebirungi eri abantu n'okubatusaako essanyu, abaffe omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye ssi yagamba nti: " omuntu asinga okwagalwa ewa Allah y'oyo asinga okugasa abantu, era n'omulimu ogusinga okwagalwa ewa Allah kwe kuyingiza essanyu ku musiraamu oba okumujja mu buzibu oba okumusasulira ebbanja oba okumugobako enjala n'okubeererawo nemuganda wange mu kyetaago kye kirungi gy'endi okusinga okukola itikaafu mu muzikiti guno (omuzikiti gwa Nabbi) nabuli yenna akoma ku busungu bwe Allah abikkirira obumogo bwe, n'oyo yenna agumiikiriza mu busuungu bwe nga ayina obusobozi obubukozesa, Allah agenda kujjuza omutima gwe okusuubira olunaku lw'enkomerero, n'oyo yenna atambula ne muganda we mu kyetaago kye okutuusa bw'akifuna Allah agenda kunyweza ebigere bye olunaku olunaku lwebigenda okuseseetuka (olunaku lw'enkomerero " (Albani yagamba nti ntuufu mu kitabo Alswahihu)

Ebyo nno ssi bigambo bya muntu wabula biva mu bujulizi bw'amateeka g'obusiraamu Kur'ane ne sunna. Abaffe mazima eddiini (busiraamu) ezimbiddwa kun kola eyo ssi y'egwanidde okugobererwa n'okuwagirwa? Kale n'ekitono ekisembayo obutagilwanyisa wabula okugiggulira wo amakubo esobole okusasaana n'okukulakulana? Mazima omwesiimu y'oyo eyeeyunga ku ddiini eyo asobole okweyagalira mu bwangu bw'ayo. Ebimu ku byesambya abamu mu batali basiraamu obusiraamu by'ebyo byebasisinkana mu kukolagana n'abantu abeeyita abasiraamu mu nneeyisa z'abwe enkendeevu eziri ewala ennyo n'obusiraamu, wensabira okuba nti enneeyisa z'abasiraamu abamu embi zireme kubeere jjiji erikulemesa okumanya okutuufu eri eddiini eno ey'amaanyi, okukowoola okuyimiridde eri okwongera okumanya ku busiraamu obutuufu wabula nga buggibwa mu bikolo ebyesimbu ebyenjawulo, nga Allah gwensamba okugasa n'ekitabo kino; era akifuule ekituukirizza ekigendererwa ekyakiwandiisa, n'okwagala kwange nkutonedde oyo yenna asoma ekitabo kino n'ekyennegomba gy'emirembe okubuna ensi yonna era nga nkowoola abantu bonna okumanya amazima. Mubeere mu bulabirizi bwa Allah n'obukuumi bwe ebbanga lyonna.

 

www.islamland.com

 

 

 

[1]Surat: alhajji: 78

Surat alnisai 28

[3]Albakara 143

[4]Swahih albukhali v1, p50, no100

5-Swahih albukhali v5, p1949, no 4776

6-tunula mu kitabo: abawalabu ne bulaaya p10 nga biggibwa mu kitabo; bayogera ku busiraamu p327.

[7] Alkharaj ekya Abi yusuf

8- omusaai ogumuvaamu nga amaze okuzaala

9-swahih albukhali v 1, p435, hadith 1233

10- sunani Abu daud v 3 p114 hadith 2870

11-swahih muslim, kitabu aljihad- babu fathi makka

12- altwabari v3 p226

13- swahih albukhali v6, p 2724, hadith; 7062

14- swahih albukhali, v 2, p684, hadith 1834

15- swahih muslim, v4, p2060, hadith 2674

16- swahih muslim, v3, p1255, hadith 1631

17--kwe kugamba nti: lailaha illa Llahu

18- swahihi muslim, v2, p697, hadith 1006

19- swahihi albukhali, v1, p30, hadith 55

20-swahihi muslim v 2, p 1104, hadith, 1478