ENDABA Y'OBUSIRAAMU KU KABOOZI K'ABAKULU (OKW'EGATTA N'OMUKYALA)

ENDABA Y'OBUSIRAAMU KU KABOOZI K'ABAKULU (OKW'EGATTA N'OMUKYALA)

ENDABA Y'OBUSIRAAMU KU KABOOZI K'ABAKULU (OKW'EGATTA N'OMUKYALA)
نظرة الإسلام للجنس باللغة اللوغندية

 

Abd Ar-Rahman bin Abd Al-Kareem Ash-Sheha
د. عبد الرحمن بن عبد الكريم الشيحة


Kivvunuddwa:
European Islamic Research Center (EIRC)
& Muhammad Ahmad Kaweesi
Nekikasibwa:
Khalid Jemba
 

www.islamland.com

 


بسم الله الرحمن الرحيم
Kulwe'rinnya lya Allah Omusaasizi ow'ekisa ekingi ennyo
Amatendo amalungi era amajjuvu ga Allah, n'okusaasira n'emirembe bibeere eri Nnabbi waffe Muhammad, n'abantu be, nemikwano gye emirembe gyonna.
Mazima obusiraamu butunuulira obwetaavu eri akaboozi k'ekikulu nga ekimu ku byetaago ebyetaagisa okukkusa (okumatiza), ssinakindi akaboozi kaagalibwa era kakubirizibwa mu busiraamu singa kabeera kakoleddwa mu kkubo Allah lyeyakkiriza, era akaboozi tekeesittaza era tekalina kwewalibwa. Allah Agamba nti:
" زُيِّنَ لِلنَّاسِ حُبُّ الشَّهَوَاتِ مِنَ النِّسَاءِ وَالْبَنِينَ وَالْقَنَاطِيرِ الْمُقَنْطَرَةِ مِنَ الذَّهَبِ وَالْفِضَّةِ وَالْخَيْلِ الْمُسَوَّمَةِ وَالْأَنْعَامِ وَالْحَرْثِ ذَلِكَ مَتَاعُ الْحَيَاةِ الدُّنْيَا وَاللَّهُ عِنْدَهُ حُسْنُ الْمَآبِ (14) "  
Amakulu: {kwawundirwa abantu okwagala ebyegombebwa, ng'abakyala, n'abaana, n'endulundu za zaabu ne feeza, nembalaasi enjigirize, n'ebisolo ebirundibwa, n'ennimiro. Ebyo byeby'okwewunda by'obulamu bw'ensi, era Allah y'alina obuddo obulungi}
Era omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yagamba nti: " nawundibwa (nawebwa okwagala) ebintu bibiri; abakyala (bakyala ba Nnabbi) n'akawoowo, era okutebenkera kwange kwateekebwa mu swala". (Mustadraku 'ala swahiihayini 2/174, Ahmad ne Annasae)
Obusiraamu bwagaana okwewala akaboozi k'ekikulu, olw'ensonga nti ediini y'obusiraamu ekwatagana n'obubumbwa obutuufu obwo obutakontana nayo, era bitambulira wamu. Era obusiraamu butuukiriza obwetaavu eri akaboozi nga buyita mu makubo agakkirizibwa okwekkusa nago, ssaako okukuuma ensa n'okwewala okweyisa nga ebisolo. Obwagazi buno busobola okufuuka ensonga y'omuntu okuyingira omuliro singa abukozesa mu ngeri etakkirizibwa mu busiraamu (singa abuteeka mu haraam).
Mu Hadithi nga eva ku Abu Huraira Allah amusiime yagamba nti: "yabuuzibwa Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye ku kintu ekigenda okusinga okuyingiza abantu ejjana n'agamba nti: okutya Allah n'empisa ennungi. Era naabuuzibwa ku kigenda okusinga okuyingiza abantu omuliro nagamba nti: omumwa n'obwerere" Tirimithiyyu 4/363 (2004) aswahiihat (977).
Mu kitabo kino ekifunze tujja kugezaako okumanya ekkubo obusiraamu lyebwagoberera okuteekateeka akaboozi k'ekikulu, n'okukagulumiza okutuuka ku ddaala nti bwakafuula ibaada (ekikolwa ekirimu empeera) singa kabeera kakoleddwa mu makubo amatuufu ag'obusiraamu. Era afunamu empeera nga bwazifuna mu mirimu emirungi gyonna emirala.
Hadithi nga eva ku Abu hurairah asiime ku ye yagamba nti abasajja mu ba swahaaba ba Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye baagamba Nnabbi nti: owange Omubaka wa Allah, abagagga batutte empeera zonna, basaala nga ffe bwetusaala, era nebasiiba nga bwetusiiba, naye ate bo basaddaaka mu nfissi y'emmaali yaabwe, n'abaddamu nti: " Allah teyabateerawo makubo gaakusaddaaka?! Buli tasibiiha (SUBUHAANA LLAH) saddaaka, ne ttakibiirat (ALLAAHU AKBARU) saddaaka, n'okutendereza Allah (AL HAMDU LILLAHI) saddaaka, ne tahaliili (ekigambo; LAA ILAAHA ILLA LLAHU) saddaaka, okulagira obulungi saddaaka, okuziyiza ekibi saddaaka, n'okwegatta ne bakyala bammwe saddaaka" nebagamba nti: owange omubaka wa Allah, omu kuffe bwamalira obwagazi bwe eri mukyala we namwo mulimu saddaaka?! Nabagamba nti: mulaba mutya singa abumalidde mu haraamu, yandibadde n'omusango? nabwekityo bwakimalira ewakkirizibwa (mu halaali) afuna empeera" Bukhari ne Muslim (1006).
Mazima obusiraamu bwateekawo obufumbo nga ly'ekkubo ettuufu omusiraamu mwalina okumalira obwagazibwe (eri akaboozi k'ekikulu), era nebukubiriza okubwettanira, Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yagamba nti: " abange mmwe abavubuka, alina mu mmwe obusobozi (kirungi) awase, kubanga kyekisinga okukkakkanya amaaso, n'ekikuuma n'obwerere, wabula atalina busobozi yeekuumire ku kusiiba, mazima kwo kujja kumutaasa (obutagwa mu bwenzi)". Bukhari ne Muslimu.
Era obusiraamu butwala obufumbo ngakyabuwaze mu butonde bw'omuntu okusobola okukkakkanya omw'oyo. ate mumpangaala y'abantu obufumbo y'ensibuko y'omukwano n'okusaasiragana wamu n'okwerekereza. ate mu ndaba y'obuntu lye kkubo eriwaniridde okubeerawo kw'ekitonde "muntu" nanti nga liyita mukuzaala. y'ensonga lwaki okusuula obufumbo kubeera kusuula kw'egyo emigaso gyonna, era kubeera kuva ku nkola ey'obutonde n'obuwangwa ate nga kwebyo byombiriri obubumba bw'omuntu kwebwatondebwa.
Ekiruubirirwa ky'obufumbo mu busiraamu kwekwekkusa n'okutebenkera kw'omwoyo, n'okubeerawo kw'okusaasiragana wakatiw'abafumbo ababiri. Allah agamba nti:
"وَمِنْ آيَاتِهِ أَنْ خَلَقَ لَكُمْ مِنْ أَنْفُسِكُمْ أَزْوَاجًا لِتَسْكُنُوا إِلَيْهَا وَجَعَلَ بَيْنَكُمْ مَوَدَّةً وَرَحْمَةً إِنَّ فِي ذَلِكَ لَآيَاتٍ لِقَوْمٍ يَتَفَكَّرُونَ (21) "
Amakulu: {nemububonero bwe (Allah) mazima yabatondera nga aggya mu mmwe mwennyiniabakyala mulyoke mutebenkere gyebali, era n'ateeka wakati wammwe okwagalana n'okusaasiragana. Mazima mw'ebyo mulimu obubonero (obulaga obuyinza bwa Allah) eri abantu bafumiitirize}
N'ekigendererwa ekirala kwekukkakkanya n'okukuuma abafumbo buli omu eri munne obutaseerera oba obutagwa mu ttosi ly'ebyambyone (nga obwezi). Allah agamba nti:
"هُنَّ لِبَاسٌ لَكُمْ وَأَنْتُمْ لِبَاسٌ لَهُنَّ"
Amakulu: {bo (abakyala) kyambalo kyammwe, nammwe (abasajja) muli kyambalo kyabwe}
Y'ensonga lwaki obusiraamu busanga nga ababwawukanako oba abakontana nabwo, omuli n'abo obutonde bwabwe bwebwefuulira, naabo abakowoola eri ebbeetu ly'okwegatta, eryo erikuubagana n'amateeka g'eddiini. Obusiraamu bwawaggulu nnyo bwewaza abagoberezi baabwo okubeera nga ebisolo ebyo ebitalina nsalo, nanti bimala eby'etaago byabyo nga bwebyagadde, era mu mbeera yonna gyebisisinkanyeemu. Ngazzambi ddene nnyo, era nga musango gwannagomola, omuntu okusiga ensigoye munda etakkirizibwa, yagamba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: "tebiyinza kweyoleka obwenzi ne ribaa (ennyongeza eziyizibwa) mu bantu (mu kifo) okuleka nti babeera beekakasizzaako ebibonerezo bya Allah okubatuukako."swaheeh attargiib (1860)
Obusiraamu bulera abagoberezi baabwo okwewala obwenzi, n'okwetukuza, era bubabuulirira embulirira ennungi, mu nkola eyo buwa obweyamu olw'okwagala kwa Allah okunyweza enneeyisa yaabwe, n'okuteekawo ekkubo ettuufu eryo mwebasobola okuyita okukkusa obwagazibwabwe. Hadith nga eva ku Abu Umaamat agamba nti: omuvubuka yajja eri Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye n'agamba nti: owange Omubaka wa Allah, mpa olukusa lw'okukola obwenzi (bubeere halaali gyendi)!! Abantu nebamusitukiramu nebamukambuwalira, nga bamugamba, ssirika, ssirika. Nnabbi nagamba musembeze eno, n'asembera kumpi waali. (Omwogezi wa hadithi) yagamba nti: naatuula. Nnabbi namubuuza nti; oyagala ekikolwa ekyo kikolebwe kunnyoko. Naddamu nti: nedda ndayira Allah, nsaba Allah anfuule omutango gwo , n'agamba: nabwekityo abantu tebaagala kikolwa ekyo ku ba nnyaabwe. Namugamba nti: oyagala kikolebwe ku mwana wo, naddamu nti: nedda ndayira Allah, Nsaba Allah anfuule omutango gwo, n'agamba nti: nabwekityo abantu tebakyagala eri bawala baabwe. N'agamba: oyagala kikolebwe ku mwannyoko. Naddamu nti: nedda ndayira Allah, Allah anfuule omutango gwo. N'agamba nti; nabwekityo abantu tebakyagala ku bannyinaabwe, nagamba nti: oyagala kikolebwe ku ssengawo? Naddamu nti: nedda ndayira Allah, Allah anfuule omutango gwo, n'agamba nti: nabwekityo abantu tebakyagala ku ba ssengabwe, n'agamba nti: oyagala kikolebwe ku maamawo omuto, naddamu nti: nedda ndayira Allah, n'amugamba nti: nabwekityo abantu tebakyagala kukolebwakubamaama baabwe abato. Yagamba (omw'ogezi wa hadithi) nti: Nnabbi n'amukwatako n'amusabira nti: Ayi Allah sonyiwa amazambi ge, otukuze omutima gwe, okuume obwerere (obutagwa mu bwenzi), okuva olwo omuvubuka tewaalinga kimuwugula." Ahmad (22265)
Mu busiraamu temuli busossodooti (okweziyizaako okuwasa oba okufumbirwa), wadde okuva ku dduniya n'okuleka okunyumirwa ebirungi by'ensi ebyo Allah byeyakkiriza. Hadithi nga eva ku Anasi bun Maliki Allah asiime ku ye yagamba nti: Abasajja basatu bajja ku mayumba ga Nnabbi Okusaasira kwa Allah n'emirembe bibeere ku ye nga babuuza bakyalabe ku kusinza kwa Nnabbi Okusaasira kwa Allah n'emirembe bibeere ku ye, bwebamala okubaabuulira baalaba ng'emirimu emitono gyebasobola nabo okukola (nebagala ate basukke ku Nnabbi) nebagamba nti: mazimaddala ffe tuli luddawa kukusinza kwa Nnabbi, ate nga yye yasonyibwa ebyakulembera mu byonoono bye n'ebyoluvannyuma. Omu ku bo n'agamba nti: " wamma nze, njakusaalanga ekiro kiramba obuwangaazi bwange bwonna. Omulala n'agamba nti: ngenda kusiibanga omwaka gwonna, sijja kusiibulukukamu lunaku nalumu. Omulala n'agamba nti: nze ngenda kwerekereza abakazi, sigenda kuwasa obuwangaazi bwange. Nnabbi bweyajja n'abagamba nti: mwe mwayogedde kino ne kino?! Mbalayirira Allah nti nze mbasinga obugonvu eri Allah, era nze mbasinga okumutya, wabula nze nsiiba nensibulukuka, nensaala nenneebaka, era mpasa n'abakyala, oyo yenna anaava kunkola yange ssi wa mukibiina kyange." Bukhari (4776).
Era mu busiraamu temuli kugwira bugwizi nga bisolo okutaliiko kkomo mu kukkusa ebyetaago. Muhammad kutwubu agamba: akaboozi k'abakulu mu busiraamu tekalina buzibu, obusiraamu buteekawo buli mu maaso ga bwagazi obw'obutonde ensalo ezitaggalira makubo gaabwo, wabula ennongosereza okubulinnyisa eddaala.Obusiraamu buteekawo amakubo g'okumalamu obw'etaavu, okufaananako nga bwolaba olutindo oluliindiddwa waggulu ku mazzi agakulukuta (okugeza nga omugga), teluziyiza nkulukuta y'amazzi, wabula lugateeka ku mutindo ogwawaggulu, n'okuteleeza obukulukutiro bwago, neluwa amazzi ebbeetu okutuuka mukifo ekirala gyegandibadde gatatuuka mu kusooka, nabwekityo obusiraamu bwebukola kubuli byetaago ebiri mu bubumbwa bw'omuntu… Obusiraamu buteekawo amateeka agateekateeka obutonde so si kubutangira. Obusiraamu tebwenyinyara byetaago eby'obutonde wabula buteekawo amakubo agakkirizibwa, agali mu nsalo za Allah ezo zeyasala era bweyamala n'atulagira nti: (" لا تعتدوها ") Amakulu: {temuzisukka nga} ensalo ezo Allahazimanyi okusinziira kukumanya kwe okw'enkomeredde, n'okugera kwe nti z'ensalo ezeesigibwa okukkusizaamu obwagazi obwo busobole okuzaala ebirungi (n'emigaso) eri buli kinnoomu n'abantu bonna okutwaliza awamu… n'obugwenyufu bujulira era bukakasa obwetaavu bw'okutegeka n'okuteekateeka ebyetaago by'obutonde ebirala okuleka ebikolwa eby'obukaba!! Ebyo byo abagwenyufu bagaala bibeerewo nga tebirina kkomo, wabula beesigamire ku njakirizi y'obwagazi bwabwe, n'omukwano ogw'empatiira.
Obugwenyufu tebukkiriziganya nakuleka bwannanyini (mu by'obugagga) nga bwa kireereese nga ssi buteeketeeke, era tebuleka muntu kufuga buli kimu nga bwayagadde, oba kyayagadde kyonna, era ekyo abagwenyufu nabo bakitwala nga bubbi obwetaaga okukangavvulwa mu mateeka. . . nabwekityo eby'okulya, n'okwambala, n'okusula. . . tebaagala birekebwe awo ttayo!!


ENDABA Y'OBUSIRAAMU KU KABOOZI K'EKIKULU.
Mazima obusiraamu butunuulira akaboozi k'ekikulu nga ekyetaago ekiteekwa okutuukirizibwa (okukkusibwa) era nti tekalina kuziyizibwa, wabula kalina okubeera mu makubo amatuufu ago Allah geyatulambululira, Oyo eyatonda omusajja n'omukazi nga abajja mu kanyinkuuli akava mu mazzi agafukibwa. Era Allah yafuula obufumbo nga lyekkubo ly'okwekkusa ku njuyi zombi, era obusiraamu bwewaza nessekwewaza yenna okwekkusa n'ekirala ekitali bufumbo. Allah agamba nga awaana abeekwata kunkola eyo nti:
"قَدْ أَفْلَحَ الْمُؤْمِنُونَ (1) الَّذِينَ هُمْ فِي صَلَاتِهِمْ خَاشِعُونَ (2) وَالَّذِينَ هُمْ عَنِ اللَّغْوِ مُعْرِضُونَ (3) وَالَّذِينَ هُمْ لِلزَّكَاةِ فَاعِلُونَ (4) وَالَّذِينَ هُمْ لِفُرُوجِهِمْ حَافِظُونَ (5) إِلَّا عَلَى أَزْوَاجِهِمْ أَوْ مَا مَلَكَتْ أَيْمَانُهُمْ فَإِنَّهُمْ غَيْرُ مَلُومِينَ (6) فَمَنِ ابْتَغَى وَرَاءَ ذَلِكَ فَأُولَئِكَ هُمُ الْعَادُونَ (7) "
Amakulu: {mazima ddala beesimye abo abakkiiza. Abo bo mu kusaala kwabwe nga beewombeefu. Era abo bo kuby'okwegayaaza bakuba amabega. Era abo bo mu kutoola zakka zabwe bakozi. Era abo bo abakuumaobwerere bwabwe. Wabula ku bakyala baabwe, oba abo emikono gyabwe egya ddyo be gyafuna (abazaana) mazima ku bo sibanenyezebwa. Naye omuntu anonya emabega w'ekyo, nabo be baba basusse ekikomo.}
Era Allah yategeeza nti okuwasa yenkola y'ababaka n'abatume Allah asse okusaasira ku bo bonna, olw'okwagala okwagazisa abantu n'okukubiriza obufumbo. Allah agamba nti:
"وَلَقَدْ أَرْسَلْنَا رُسُلًا مِنْ قَبْلِكَ وَجَعَلْنَا لَهُمْ أَزْوَاجًا وَذُرِّيَّةً "  
Amakulu: {eratwatuma ababaka oluberyeberye lwo netubateerawo abakyala n'ezzadde}
Era obusiraamu bulagira abagoberezi baabwo okwanguwa okwanukula okusaba kw'oyo anonya okwekkusa n'obufumbo. Hadith nga eva ku Abu Hurairat Allah asiime ku ye yagamba nti: yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeereku ye nti: "bwabajjira oyo gwemusiimye empisa ze ne ddiiniye, mumuwe omukyala, bwemutaakikole kijja kubeera kikemo era obwonoonefu obunene ennyo" Tirmithi n'egololwa Albaan
Obusiraamu bwakubiriza abazadde okugonza ensonga z'okuwasa, Omubaka kyava agamba nti: " ekiwa omukyala emikisa (Baraka mu maka) kwekugonza okwogerezebwakwe, n'amahalege, n'enda ye (Allah amugondeza embeera z'olubuto n'okuzaala).
Era obusiraamu bulagira okumwaniriza, n'obutamugoba olw'obwavu. Allah agamba nti:
"وَأَنْكِحُوا الْأَيَامَى مِنْكُمْ وَالصَّالِحِينَ مِنْ عِبَادِكُمْ وَإِمَائِكُمْ إِنْ يَكُونُوا فُقَرَاءَ يُغْنِهِمُ اللَّهُ مِنْ فَضْلِهِ وَاللَّهُ وَاسِعٌ عَلِيمٌ (32) "
Amakkulu: {Mufumbize ab'obusa mummwe n'abalongoofu mu baddu bammwe, n'abazaana bammwe, bwebabeera ngabaavu, Allah ajja kubagaggawaza mu bulungi bwe, mazima Allah Mugazi era Mumanyi.}
Agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " abantu basatu Allah yeeyama okubayamba; alwana mu kkubo lya Allah, awasa nga ayagala kwekuuma (obutagwa mu bwenzi), n'omuddu asaba okwegula nga mweteefuteefu okutuukiriza."Al-Albaani mu Gaayatul maraam.
Era Nnabbi yalagira okusingira ddala abavubuka okwanguwa okuwasa, era naasomesa ekkubo erikkakkanya oyo atalina busobozi bwa kuwasa, nagamba Nnabbi okusaasira kwa Allah n'emirembe bibeere ku ye nti: "abange mwe abavubuka alina obusobozi awase, mazima ekyo kyekisinga okukkakkanya amaaso, n'okukuuma obwerere, ate oyo atalina busobozi, asiibe mazima okusiiba ku ye ngabo." (emuziyiza obwenzi).
Omuntu atalina busobozi bwa kuwasa, olw'obufunda bw'ensawo, oba nga tasobola kwetikka buvunanyizibwa bw'amaka, obusiraamu bwamulagira abeerenga yeekuuma n'okukoma kubwagazi bwe aleke kweyisa nga bisolo. Allah agamba nti:
" وَلْيَسْتَعْفِفِ الَّذِينَ لَا يَجِدُونَ نِكَاحًا حَتَّى يُغْنِيَهُمُ اللَّهُ مِنْ فَضْلِهِ "  
Amakulu: {bateekwa besseemu ensa (beekuume obutayenda) abo abatalina busobozi kuwasa okutuusa Allah lwalibagaggawaza mu bulungi bwe.}
Era Kur'ane ekuba ekifananyi ekirungi eky'obuteeyisa nga bisolo (okulya buli kiyita mu maaso) ekyafaayo kya Yusufu emirembe gibeere ku ye, kibeere eky'okulabirako eri abavubuka b'obusiraamu. Allah agamba nti:
"وَرَاوَدَتْهُ الَّتِي هُوَ فِي بَيْتِهَا عَنْ نَفْسِهِ وَغَلَّقَتِ الْأَبْوَابَ وَقَالَتْ هَيْتَ لَكَ قَالَ مَعَاذَ اللَّهِ إِنَّهُ رَبِّي أَحْسَنَ مَثْوَايَ إِنَّهُ لَا يُفْلِحُ الظَّالِمُونَ (23) وَلَقَدْ هَمَّتْ بِهِ وَهَمَّ بِهَا لَوْلَا أَنْ رَأَى بُرْهَانَ رَبِّهِ كَذَلِكَ لِنَصْرِفَ عَنْهُ السُّوءَ وَالْفَحْشَاءَ إِنَّهُ مِنْ عِبَادِنَا الْمُخْلَصِينَ (24) "  
Amakulu: {(omukyala muka- nnyinimu) ye yennyini, oyo mu nnyumba (Yusufu) mwe yaliabeera, n'amwegomba n'ayagala (Yusufu) amusobyeko. N'aggalawo enzigi, n'amugamba nti: Jjangu ndi wano nkwewadde. (Yusufu) n'amugamba: nneekingiriza ne Allah! Mazima ddala (bbaawo) mukama wange, yalongoosa ekifo kyange (n'angulumiza). Mazima ddala tebagenda kwesiima abalyazaamanyi (ab'enzi). (23) Mazima (omukazi) yamwegomba (naye Yusufu) n'amwegomba, singa teyalaba kabonero ka Allah we (kamugaana kumusobyaakoyandimwagadde). Bwe kityo (twakikola) tulyoke tumukyuse okumuggya ku bubi n'obuwemu. Mazima ye (Yusufu) yali wa mubaddu Baffe abatukuza emirimu gyabwe. (24)}
Nebwekibeera nga enkomerero y'obuteedibaga kusibwa mu kkomera. Allah agamba ng'atunyumiza ekyafaayo kya Yusufu emirembe gibeere ku ye nti:
" قَالَتْ فَذَلِكُنَّ الَّذِي لُمْتُنَّنِي فِيهِ وَلَقَدْ رَاوَدْتُهُ عَنْ نَفْسِهِ فَاسْتَعْصَمَ وَلَئِنْ لَمْ يَفْعَلْ مَا آمُرُهُ لَيُسْجَنَنَّ وَلَيَكُونًا مِنَ الصَّاغِرِينَ (32) قَالَ رَبِّ السِّجْنُ أَحَبُّ إِلَيَّ مِمَّا يَدْعُونَنِي إِلَيْهِ وَإِلَّا تَصْرِفْ عَنِّي كَيْدَهُنَّ أَصْبُ إِلَيْهِنَّ وَأَكُنْ مِنَ الْجَاهِلِينَ (33) فَاسْتَجَابَ لَهُ رَبُّهُ فَصَرَفَ عَنْهُ كَيْدَهُنَّ إِنَّهُ هُوَ السَّمِيعُ الْعَلِيمُ (34) "  
Amakulu: {(Mukyala Al-Aziizi) n'agamba nti: Oyo mmwe gwe mwabadde munnenyeza? Mazima nnamwagadde okumukolako eby'ensonyi ye n'agaana, (naye) bw'anaaba takoze ekyo kye mmulagira ajja kusibibwa ddala era ajja kubeera ow'omu bagayizibwa (32) (Yusufu) n'agamba: ayi Mukamawange(Allah)! Ekkomera lyelisinga okwagalwa gyendi okusinga (okukola) ekyo kye bampitira okugenda gye kiri, bw'onooba Ggwe tonzigyeko nkwe zaabwe nja kukyukira gye bali mbeere ow'omu batamanyi (33) Mukamawe (Allah) n'ayanukula (okusaba kwe) n'amuggyako enkwe zaabwe. Ye Awulila, era Amanyi. (34)}
Newankubadde obusiraamu bwaziyiza okumalira obwagazimu makubo agatakkirizibwa, wabula singa embeera ebeera ebizze, omuntu natya okugwa mu bwenzi akkirizibwa okwekamula (masturbation)n'akkakkanya obwagazibwe. Singa ddala abeera kukisenge nga talina kyakukola okujjako obwenzi. Mumbeera eno alondawo okwekamula, ssikubeera nti kukkirizibwa wabula mungeri yaakulondawo ekibi ekisinga obutono kubibiri. Kimanyikiddwa bulungi nti obwenzi limu ku mazambi agasinga obunene, sso nga n'okwekamula kibi era kyaziyizibwa.

EMITENDERA OBUSIRAAMU MWEBUYITA OKUKOMA KU BWAGAZI.
Obusiraamu bwaziyiza ensonga zonna eziralula (ezipaaluusa) obwagazi, okujjako ebyo ebibeera wakati w'abafumbo ababiri, mwekyo nno nga butya abantu okugwa mwebyo obusiraamu byebwewaza era byebwaziyiza. Kimanyikiddwa bulungi nti singa omuntu obwagazi bulinnya nebukwata enkandaggo, abeera alina okunonya gyanaamalira amanyi ago n'obwagazi, nebweribeera lya haaramu nga obwenzi oba ebisiyaga. Nga tafuddeeyo bakkiriziganyizza n'omukazi oba amukutte lwampaka, oba ssi kyookwekamula era nga ky'ekitono ate nga nakyo tekikkirizibwa. Mu bintu obusiraamu byebusomesa mwebuyita okukoma ku kupaaluuka kw'obwagazi geegano;
•    Obusiraamu bwalagira okubeera obulindaala mu kulera abaana, nebuyigiriza okwawula wakati w'abawala n'abalenzi mu bisulo. Nnabbi yagamba nti: " mulagire abaana abato okusaala bwebaweza emyaka musanvu, mubakube (singa babeera baganye okusaala) nga bawezezza emyaka kkumi, era mubaawule nemubisulo" Abu Dawuda.
Omwo mulimu okwewala ebiyinza okugwawo mu kuzannya wakati waabwe oba okukonagana kw'emibiri nga beebase ekiyinza okuviirako okuzuukusa obwagazi n'okulinnyisa obwetaavu eri ebikolwa eby'abakulu.
•    Obusiraamu bulagira abakyala abasiraamu okwebikka ku basajja abatabalinaako kakwate, mwekyo nga mulimu okukuuma obukkakkamu bwabwe n'okubeewaza obwenzi, n'okubateeka ewala n'embeera eyinza okulinnyisa obwagazibw'abasajja. Allah agamba nti:
"يَا أَيُّهَا النَّبِيُّ قُلْ لِأَزْوَاجِكَ وَبَنَاتِكَ وَنِسَاءِ الْمُؤْمِنِينَ يُدْنِينَ عَلَيْهِنَّ مِنْ جَلَابِيبِهِنَّ ذَلِكَ أَدْنَى أَنْ يُعْرَفْنَ فَلَا يُؤْذَيْنَ وَكَانَ اللَّهُ غَفُورًا رَحِيمًا (59) "
Amakulu: {Owange ggwe Nnabbi! Gamba bakyala bo ne bawala bo n'abakyala b'abakkiriza beebikirirenga enkaaya zaabwe (bwe babanga nga batambudde okuva mu maka gaabwe). Ekyo kye kisembeza okubamanya (nti bakitiibwa era ba nsa) ne batanakuwazibwa. Ne Allah yali (bulijjo) Omusonyiyi, Omusaasizi. (59)}
Obusiraamu bwakkiriza abakyala abakuze mu myaka abatakyasuubira kufumbirwa, era abo abatazunza njuki, nga tebeegomba wadde okwegombebwa okwambala engoye empewufu wabula ezitalaga bwerere bwabwe o ng'enviiri. Wabula basobola okubikkula ebyenyi byabwe n'emikono newankubadde okubibikka ky'ekisinga obulungi. Allah agamba nti:
" وَالْقَوَاعِدُ مِنَ النِّسَاءِ اللَّاتِي لَا يَرْجُونَ نِكَاحًا فَلَيْسَ عَلَيْهِنَّ جُنَاحٌ أَنْ يَضَعْنَ ثِيَابَهُنَّ غَيْرَ مُتَبَرِّجَاتٍ بِزِينَةٍ وَأَنْ يَسْتَعْفِفْنَ خَيْرٌ لَهُنَّ وَاللَّهُ سَمِيعٌ عَلِيمٌ (60) "  
Amakulu: {n'abakyala abatudde nga (beekumye mye, abakuze) abo abatakyasuubira kufumbirwa, ssi kibi okujjamu engoye zaabwe (ez'okungulu0 kyokka nga tebajaajaala na byakwenyiriza. Bwebaba nga bassizzaamu ensa, kye kirungi ku bo. Ne Allah Awulira, Amanyi.}
•    Obusiraamu bwalagira okukkakkanya amaaso kwebyo ebitakkirizibwa kutunuulira, mwekyo mulimu okwewala ebyo ebiyinza okuvaamu okusukka eddaala ly'okutunula okutaliimu kirowoozo nekituuka ku kutunuulira n'obwagazi, n'oluvannyuma nekireeta ebirowoozo ebikyamu, n'okumalirira okukolwa ekibi. Allah agamba nti:
" قُلْ لِلْمُؤْمِنِينَ يَغُضُّوا مِنْ أَبْصَارِهِمْ وَيَحْفَظُوا فُرُوجَهُمْ ذَلِكَ أَزْكَى لَهُمْ إِنَّ اللَّهَ خَبِيرٌ بِمَا يَصْنَعُونَ (30) وَقُلْ لِلْمُؤْمِنَاتِ يَغْضُضْنَ مِنْ أَبْصَارِهِنَّ وَيَحْفَظْنَ فُرُوجَهُنَّ وَلَا يُبْدِينَ زِينَتَهُنَّ إِلَّا مَا ظَهَرَ مِنْهَا "
Amakulu: {Gamba abakiriza abasajja bakkakkanye ku maaso gaabwe. Ekyo kyekisinga obulungi gye bali. Mazima Allah Mukenkufu mw'ebyo byebakola.}
Ibun Kayyimu Allah amusaasire yagamba nti: era nga bwekibeera nti ensibuko y'ekibi eva ku kutunula, ekiragiro ky'okukuuma amaaso kyekyasooka eky'okukuuma obwereere, ebibi byonna ebikolebwa bitandika nakutunula, era nga bwekiri nti omuliro ogusinga obungi entandikwa yagwo kubeera kwakirira okutono, ekisooka kwekutunula, oluvannyuma ekirowoozo, oluvannyuma kwekukuba oluta (okusembera) n'ekisembayo kwekukola ekibi. Y'ensonga lwaki kigambibwa nti: omuntu akuuma ebintu bino ebina (4), abeera ataasizza (akuumye)eddiini ye. Okutunula, ebirowoozo, ebigambo n'ebikolwa.
Engeri gyekiri nti amaaso gagwa kwebyo ebyaziyizibwa mu butanwa, n'olwekyo ekigaanibwa kwekukaliriza amaaso (okuddirinngana okutunula), Omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yagamba Ali Ibun Abiitwalib Allah amusaasire nti: " owange Ali, togobereza eriiso ku liiso, mazima tovunaanibwa liiso lisooka naye eriddako likuvunaanibwa."Mustadrak 2788, Albaan yagigilora.
N'olwokufaayo kw'obusiraamu mu kukubiriza abagoberezi baabwo okukuuma amaaso obutagatunuulizabyaziyizibwa, Omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yatubuulira ekikolebwa singa omuntu atya Allah akuba eriiso ku haraamu, Jariiri bun Abdallah yagamba nti: nnabuuza omubaka wa Allah okusaasira kwa Allah n'emirembe bibeere ku ye ku liiso ly'otagenderedde, nagamba nti: " jjayo eriiso". Swahiih abi dawuda.
•    Obusiraamu bulagira okusaba nga tonnaba kuyingira, olw'okutya amaaso okugwa kwebyo ebyaziyizibwa okutunuulira. Allah agamba nti:
" يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا لِيَسْتَأْذِنْكُمُ الَّذِينَ مَلَكَتْ أَيْمَانُكُمْ وَالَّذِينَ لَمْ يَبْلُغُوا الْحُلُمَ مِنْكُمْ ثَلَاثَ مَرَّاتٍ مِنْ قَبْلِ صَلَاةِ الْفَجْرِ وَحِينَ تَضَعُونَ ثِيَابَكُمْ مِنَ الظَّهِيرَةِ وَمِنْ بَعْدِ صَلَاةِ الْعِشَاءِ ثَلَاثُ عَوْرَاتٍ لَكُمْ لَيْسَ عَلَيْكُمْ وَلَا عَلَيْهِمْ جُنَاحٌ بَعْدَهُنَّ طَوَّافُونَ عَلَيْكُمْ بَعْضُكُمْ عَلَى بَعْضٍ كَذَلِكَ يُبَيِّنُ اللَّهُ لَكُمُ الْآيَاتِ وَاللَّهُ عَلِيمٌ حَكِيمٌ (58) "  
Amakulu nti: {Abange mmwe abakkiriza! Bateekwa babasabe okuyingira (gyemuli) abo begyafuna emikono gyammwe egya ddyo (abaddu n'abazaana) n'abo abatannatuusa kiseera kya bukulu, mu mmwe (abaana), emirundi esatu (mu biseera bisatu): olubyeryeberye lw'esswala y'okumakya (Alfajiri), n'ekiseera we muggiramu engoye zammwe mu ttuntu, n'oluvannyuma lw'esswala y'ekiro (Isha). B'ebiseera byammwe ebisatu mwe mweyambulira. Temulina kibi wadde bo oluvannyuma lw'ebyo okuyingira nga tebeeyanjudde, beetooloola abamu ku mmwe ku bannaabwe. Bwe kityo Allah bwannyonnyola obubonero Bwe. Era Allah Mumanyi, Mukakasa.}
Era Allah agamba nti:
" وَإِذَا بَلَغَ الْأَطْفَالُ مِنْكُمُ الْحُلُمَ فَلْيَسْتَأْذِنُوا كَمَا اسْتَأْذَنَ الَّذِينَ مِنْ قَبْلِهِمْ كَذَلِكَ يُبَيِّنُ اللَّهُ لَكُمْ آيَاتِهِ وَاللَّهُ عَلِيمٌ حَكِيمٌ (59) "  
Amakulu: {Abaana abato mu mmwe bwe babeera batuusizza obukulu, olwo bateekwa basebe okukkirizibwa (okuyingira ere abakulu) nga bwebasaba abo abakulembedde. Bwe kityo Allah bwannyonnyola amateeka Ge. Era Allah Mumanyi, Mukakasa}
•    Obusiraamu bwaziyiza abasajja okwefaananyiriza abakazi, n'abakazi okwefaananyiriza abasajja, Hadith nga eva ku Ibun Abbaas Allah asiime ku bo bombiriri (ye nekitaawe) agamba nti: omubaka wa Allah okusaasira kwa Allah n'emirembe bibeere ku ye yakolimira abasajja abeefaananyiriza abakazi, nabwekityo abakazi abeefaananyiriza abasajja." Bukhari (5546)
•    Obusiraamu bwaziyiza okulaba ebyo ebipaaluusa obwagazi mu bwerere bw'abakazi n'abasajja ku njuyi zombi (omukazi n'omusajja), nabwekityo okutunuulira ebimansulo (ebifananyi byabakazi abali obukunya). Hadith nga eva ku AbduRrahman bun Abii said Alkhuduriyyi anyumya nga ajja ku kitaawe nti mazima omubaka wa Allah okusaasira kwa Allah n'emirembe bibeere ku ye yagamba nti: " tatunuuliranga omusajja obwerere bwa musajja munne, nabwekityo omukazi tatunuuliranga obwerere bwa mukazi munne. Era omusasajja teyeebikkanga kikunta kimu ne musajjamunne nga bali bukunya. Nabwekityo omukazi teyeebikkanga mu kikunta kimu ne mukazimunne nga bali bukunya." Musilimu (338).
•    Obusiraamu bwaziyiza okuwuliriza ebyo ebiyinza okulinnyisa obwagazi wakati w'abasajja n'abakazi, okugeza nga ennyimba ezirimu okuwemula n'ebizifaanana, olw'ensonga nti ebintu ebyo biteekateeka ebirowoozo by'abantu okukola ekibi, era bikubiriza abantu okukola ebikyamu, mubutuufu baayogera mazima abamanyi abaasooka, bwebagereesa ku nnyimba ezirinnyisa obwagazi wakati w'abasajja n'abakazi, nti: (kusabirira bwenzi.)
•    Era obusiraamu bwaziyiza okutuula n'omuvubuka embula kalevu n'okumukandalirizaako amaaso naddala nga talina bwoya ku mubiri, kubanga omubiri gwe olw'obulungibwe guyinza okufaanana ogw'abakazi.Hadith nga eva ku Abu Huraira nga agijja ku Nnabbi okusaasira kwa Allah n'emirembe bibeere ku ye yagamba nti: ". . . n'amaaso okwenda kwago kutunula, n'amatu okwenda kwago kuwulira, n'olulimi okwenda kwalwo kwogera, n'omukono okwenda kwagwo kukwata, n'amagulu okwenda kwago kutambula, n'omutima gwagala era gwegomba, wabula obwerere bwebukakasa ebyo byonna oba nebubirimbisa(nebubiwakanya). Musilimu (2657)
•    Obusiraamu bwaziyiza omusajja okweyawula n'omukala gwatalinaako kakwate, olw'ensonga nti kireetera sitaane okubakema okugwa mu bwenzi. Agamba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " era omu mummwe tayinza kweyawula n'amukazi okujjako sitaane ebeera ya kusatu . . ." Ibun Hibbaan (4576).
Era nga bwebwaziyiza abasajja okwetabika n'abakazi olw'ebyo ebivaamu mu kusemberegana okwaziyizibwa, kubanga buli kyonna ekituusa omuntu ku haraamu kibeera haraamu. Omusomesa Muhammad Kutwubu agamba nti: okwetabika okwo wakati wabasajja n'abakazi mawanika manene nnyo abazungu gebaaleeta, kwebettanira mu ngeri y'okwagala okumalawo okwekomomma wakati wabakazi n'abasajja, wabula ate abakenkufu mu kumanya ebikwata ku mbeera z'abantu, nempangaala yaabwe bakuliriza nnyo emigaso gy'okwetabika egyo gyebeegattako, n'obulungi bwakwo okutwaliza awamu, naye abazungu bwebamala nebaddako emabega nebalowooza kubiki ebivaamu, kati olwaleerotebakyakikuliriza nnyo nga bwekyali mu kusooka oluvannyuma lw'okutegeera emize gy'okwetabika egitalinaamu kubuusabuusa. . . wabula abakenkufu mu biyungo by'abantu n'abasawo baddirira okuva kundowooza yaabwe eyasooka kunsonga y'okwetabika etambulizibwa ku mimwa gy'abantu okugeza nga okuzinira ku bidongo by'ennyimba, n'emukunywamu kakyayi, n'okulambula okulimu okweyawula nga byesigamye kukulondoolwa kw'abazadde, oba abasomesa, olwaleero bagamba nti: okwetabika kwonna wakati w'abasajja n'abakazi bipaaluusa obwagazi, so tebibukendeeza nga bwekigereesebwa. Bwekibeera nga ekigaana abaana bano okutuukiriza kyebaagala masonyisonyi lwakuba waliwo ababalabaku mikolo gino, naye nga mubutuufu babeera basigadde bayala, era ekyo kisigala kibabobbya emitwe oluvannyuma lw'okuvaayo. Era ekyo kireeta emu ku nsonga ebbiri; esooka: abavubuka bano okunonyaayo akafo akalala akeekusifu gyebamalira ebyabwe awatali abalaba, oba okusigala mu mbeera eyakanyigo eyo eyinza n'okulwaza emibiri gyabwe. Ekyebuuzibwa kiri nti: awo ddala babeera bafunyeemu ki?
•    Era obusiraamu bwagaana omukazi okutendera bba obulungi bw'omukazi omulala, olw'okwewaza abasajja okutamwa bakyala baabwe, oba okwegomba abalala olw'ebyo ebitendo byebalina, nga ate abaabwe tebabirina, oba ssi kyo sitaane okubakema nebakwana abakazi abo. Hadith nga eva ku Abdullah bun Mas-uudi agamba nti: yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: "omukazi talabanga ku mukazi munne ekintu (ekisikiriza abasajja), oluvannyuma n'akitendera bba nga alinga amurabirako ddala."Ibun hibbaani (4160).
•    Obusiraamu bwaziyiza abakazi okufuluma nga beetadde, gamba ng'okufuluma nga beekubye obuwoowo, oba nga beekozeeko ate nga tebeebikkiridde, kubanga ekyo kibaleetera okutunuulirwa ba kalimululu, mpozzi n'okulalula abasajja, n'ebeera ensonga okugwa mu bwenzi, Nnabbi okusaasira kwa Allaha n'emirembe bibeere ku ye kyava agamba nti: "omukyala yenna bweyekuba akowoowo oluvannyuma n'afuluma, nayita kukibinja ky'abasajja batere bawunyirize akawoowooke, abeera mwenzi." Swahiih Ibun Hibbaan.
Era nga bwebwagaana abakyala okwogeza ebirimi, okugonza n'okweyogeza okusikiriza abasajja. Okwo nno okugaana kwakwetaangira obutakwanibwa abo abalina ekirwadde ky'obwenzi mu mitima gyabwe, omukyala ateekeddwa okw'ogera wekyetaagisizza ate nga tawunda ddoboozirye wadde okwogerayogera ewateetaagisa. Allah agamba nti:
" فَلَا تَخْضَعْنَ بِالْقَوْلِ فَيَطْمَعَ الَّذِي فِي قَلْبِهِ مَرَضٌ وَقُلْنَ قَوْلًا مَعْرُوفًا (32) "
Amakulu: {…………. Temwegonzagonzanga (nemutta amaloboozi) mu kwogera nalulunkana oyo alina obulwadde mu mutima gwe, n'olw'ekyo mwogerenga ekigambo eky'obuntubulamu} (32)
Era agamba nti:
" وَإِذَا سَأَلْتُمُوهُنَّ مَتَاعًا فَاسْأَلُوهُنَّ مِنْ وَرَاءِ حِجَابٍ ذَلِكُمْ أَطْهَرُ لِقُلُوبِكُمْ وَقُلُوبِهِنَّ "  
Amakulu: {………Bwe muba nga mubasabye abakyala (ba nnabbi) ekintu (kyonna), mubasabirenga emabega w'ekisiikiliza (wakati wamwe nabo). Ekyo nno kye kisinga okutukuza emitima gyammwe n'emitima gyabwe ………….} (53)
era obusiraamu bwaziyiza enkunamyo. Allah agamba nti:
" يَا بَنِي آدَمَ قَدْ أَنْزَلْنَا عَلَيْكُمْ لِبَاسًا يُوَارِي سَوْآتِكُمْ وَرِيشًا وَلِبَاسُ التَّقْوَى ذَلِكَ خَيْرٌ ذَلِكَ مِنْ آيَاتِ اللَّهِ لَعَلَّهُمْ يَذَّكَّرُونَ (26) "  
Amakulu: {Abange Abaana ba Adamu! Mazima twabassiza mmwe ebyambalo ebibikka obwereere bwammwe, n'ebyambalo ebibanyiriza, naye ekyambalo ky'okutya Allah kye kisingira ddala obulungi. Ekyo kya mu Bubonero bwa Allah, oba olyawo ne bajjukira} (26)
Mu Hadithi nga eva ku Abu Huraira yagamba nti Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yagamba nti: " abantu bamirundi ebiriri baakuyingira muliro, ssinnabalabako; abantu abatambula n'emiggo emiwanvu egiriko emboobo nga emboobo z'ente, nga bagikubisa abantu (abaserikale abakubira abantu obwerere), n'abakazi abayambala nga tebambadde, batambula benyiga (bagooma) emitwe gyabwe giringa amabango g'enngamiya ssibakuyingira jjana era tebaliwunyiriza kawoowo kaayo, mazima akawoowo kaayo katuuka mu buwanvu bwebuti nebwebuti". Musilimu (2128).
Era obusiraamu bwannyonyola baani omukyala bakkirizibwa okwoleseza eby'okwewundabye, era be b'olugandabe ab'okumpi. Allah agamba nti:
" وَلَا يُبْدِينَ زِينَتَهُنَّ إِلَّا مَا ظَهَرَ مِنْهَا وَلْيَضْرِبْنَ بِخُمُرِهِنَّ عَلَى جُيُوبِهِنَّ وَلَا يُبْدِينَ زِينَتَهُنَّ إِلَّا لِبُعُولَتِهِنَّ أَوْ آبَائِهِنَّ أَوْ آبَاءِ بُعُولَتِهِنَّ أَوْ أَبْنَائِهِنَّ أَوْ أَبْنَاءِ بُعُولَتِهِنَّ أَوْ إِخْوَانِهِنَّ أَوْ بَنِي إِخْوَانِهِنَّ أَوْ بَنِي أَخَوَاتِهِنَّ أَوْ نِسَائِهِنَّ أَوْ مَا مَلَكَتْ أَيْمَانُهُنَّ أَوِ التَّابِعِينَ غَيْرِ أُولِي الْإِرْبَةِ مِنَ الرِّجَالِ أَوِ الطِّفْلِ الَّذِينَ لَمْ يَظْهَرُوا عَلَى عَوْرَاتِ النِّسَاءِ وَلَا يَضْرِبْنَ بِأَرْجُلِهِنَّ لِيُعْلَمَ مَا يُخْفِينَ مِنْ زِينَتِهِنَّ وَتُوبُوا إِلَى اللَّهِ جَمِيعًا أَيُّهَ الْمُؤْمِنُونَ لَعَلَّكُمْ تُفْلِحُونَ"  
Amakulu: {.. era teboolesanga eby'okwenyiriza kwabwe okujjako ku babbaabwe, oba ku bakitaabwe, oba ku bassezaala baabwe, oba batabani baabwe, obabatabani ba babbaabwe, oba bannyinaabwe, oba abaana ba baganda baabwe, oba bakazi bannaabwe (abasiraamu)oba abo (abazaana) emikono gyabwe egya ddyo begyafuna, oba abo mu basajja abagoberera (ng'abaweereza) abatalina bwetaavu (eri bakazi) oba abaana abato abo abatalabanga ku bwereere bwa bakazi. Era tebaggunda nga wansi magulu gaabwe ku lw'okumanyisa ebyo ebyo ebikusibwa mu byokwenyiriza kwabwe. Era mwenenye eri Allah, abange mmwe abakkiriza oba olyawo ne mulokoka.}
Obusiraamu bwaziyiza omukyala okutambula yekka nga talina musajja wakumpi amuwerekedde nga bba, kitaawe, mwanyina, oba ow'okumpi amuzira okuwasa mu busiraamu, olw'ekigambo kya Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yagamba nti: omusajja yenna teyeyawulanga n'omukazi atamuzira kuwasa, era omukazi tatambulanga olugendo okujjako nga alina amuwerekedde amuzira okuwasa" omusajja omu naabuuza nti: owange omubaka wa Allah nnawandikiddwa mulutabaalo bweluti ne nebweluti, ate mukyala wange agenda ku kukola Hijja. Nnabbi nagamba nti: "werekera mukyalawo okole naye Hijja ". Bukhari (2844)
Obusiraamu okukola ekyo bwagala okukuuma ekitiibwa ky'omukazi, n'okumutaasa, kubanga engendo ezisinga zibeeramu obuzibu n'okukaluubirizibwa, ate nga omukyala mu butondebwe omubirigwe munafu, ol'wensonga zafuna okugeza nga haidhwi, embuton'okuyonsa. Eran'omutimagwe nagwo munafu kubanga agondera mangu ekyo omutima gwe kyegwagala n'ebigwawo mu bulamu bwe, era akosebwa mangu ebyo ebimwetoolodde. N'olwensonga eyo, omukyala yeetaaga ayinza okumutaasa abantu eb'emitima emibi abo abayinza okwagala okukozesa akakisa ako okutwala ebibye nga emmaali, oba ekitiibwakye, ate nga bambi mubiseera ebisinga tasobola kwelwanako olw'obunafu bw'omubiri gwe. Era yeetaaga omusajja ayinza okubeerawo kululwe, okumuweereza byayagala, okumumalira obwetaavu bwe, n'okukola kunsonga ze, n'okumwanguyiza mu buli kimu, era omusajja yenna ow'okumpi eri omukazi yenna alagirwa okumukolera ebintu ebyo kireme kumwetaagisa musajja atamuzira kubimukolera.
•    Era obusiraamu bulagira oyo yenna alabye omukazi n'amwegomba agende amalire ekyetaago kye kumukyalawe, mwekyo mulimu okukkusaa obwagazi mu makubo agakkirizibwa, n'okuggala amakubo g'okubuzaabuzibwa n'okukemebwa sitaane, Agamba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: "..omu mu mmwe abeera atunuulidde omukazi (n'afuna obwagazi) agende amale ekyetaago kye eri mukyala we, ekyo kijja kusangula ekyo kyafunye mu mutimagwe". Musilimu (1403).
•    Obusiraamu bulagira abafumbo buli omu amalire munne obwetaavubwe singa abeera ayagadde okwesanyusaamu n'akaboozi k'ekikulu, era nebuziyiza omukazi obutayanukula bba singa amwetaaze munsonga z'obufumbo, olw'ensonga nti ekyo kiyinza okuleetera omusajja okwegomba okumalira ekyetaago kye ebweru w'obufumbo, oba ssi ekyo okumuleetera endwadde eziva mu kutuga obwagazibwe, okugeza nga endwadde z'omutima, oba ez'omubiri. Y'ensonga lwaki obusiraamu bwalemera nnyo kunsonga eno, okutuusa nti Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yagamba nti: " omusajja bwayita mukyala we okulinnya ekitanda (omukyala) naagaana naatajja, (omusajja) naasula nga amunyigidde, malayika zikolimira omukazi oyo mpaka obudde bwebunaakya." Musilimu (1436)
N'omusajja naye bwatyo, kimukakatako okutuukiriza obwetaavu bwa mukyalawe mbagirawo ensolo nga tennakutula muguwa, omukyala aleme kulowooza kwekkusiza bweru wa bufumbo. Ibun Hazim agamba nti: omusajja kimukakatako okwegatta ne mukyalawe, nga n'ekisembayo obutono yeegatte naye omulundi gumu buli lutukula (okutukula kw'omukyala okuva munsongaze eza buli mwezi). N'obujulizi kwekyo ky'ekigambo kya Allah ekigamba nti:
" فَإِذَا تَطَهَّرْنَ فَأْتُوهُنَّ مِنْ حَيْثُ أَمَرَكُمُ اللَّهُ "
Amakulu: {………Bwe babeeranga batukudde (ne banaaba, olwo) mugendenga gye bali mu kifo awo Allah we yabakkiriza (mwegattanga nabo emberi waabwe, sso ssi mabega)}
Era kitumalira okumanya nti omukyala waddembe okukuba bba mu mbuga z'amateeka singa abeera tamuwadde kyeyetaaga mu kaboozi k'ekikulu, omulamuzi amubanjize ebyetaagoobye. Obusiraamu bukola ekyo kukuuma mirembe mu bantu obwonoonefu buleme kusasaana.
•    Allah yeewerera abo abaagala obw'onoonefu okusaasaana mu bitundu by'abasiraamu okubabonereza n'ebibonerezo ebinene ennyo. Allaha agamba nti:
"إِنَّ الَّذِينَ يُحِبُّونَ أَنْ تَشِيعَ الْفَاحِشَةُ فِي الَّذِينَ آمَنُوا لَهُمْ عَذَابٌ أَلِيمٌ فِي الدُّنْيَا وَالْآخِرَةِ وَاللَّهُ يَعْلَمُ وَأَنْتُمْ لَا تَعْلَمُونَ"
Amakulu: {Mazima abo abaagala okubunyisa eby'obuwemu mw'abo abakkiriza, balina ebibonyobonyo ebiruma, mu nsi ne mubulamu bw'enkomerero. Era Allah y'Amanyi nammwe temumnayi.}
Ate kiri kitya kwoyo akola obwonoonefu mu bakkiriza oba ayamba, oba akola enteekateka y'okubusaasanya mubakkiriza, oba oyo ayamba okusaasaana kwabo?!

OBUFUMBO MU BUSIRAAMU:
Obusiraamu tebukkiriza kukkusa bwagazi okujjako nga omuntu akozesezza kkubo ly'obufumbo, olw'ensonga nti Allah tayagala bantu babeere nga bisolo kumala byetaago byabyo nga tebyefiirayo, era teyaleka musajja na mukazi kukwatagana wabweru wa mateeka, wabula Allah yabateerawo enkola ennunngamu akulembere ebisigadde, era mu nkolaeyo mwemuli okukuuma ekitiibwa kye, era Allah yafuula enkwatagana y'omusajja n'omukazi nga yakitiibwa era ezimbiddwa ku kusiimagana mbombiriri, era buli omu alina okulaga okusiima munne mu bigambo (asabwa n'akkiriza), gattako okujuliza (abajulizi babiri) nti buli omu kubombiriri afuuse wa munne. N'olwekyo Allah yateerawoobwagazi ekubo ery'emirembe, n'akuuma endyo obutabula, n'ataasa omukazi obutafuuka muddo gwa ku kkubo nti buli mulunzi aliisaako ensolo ze, n'ateekawo ettofaali ly'amaka ageetooloddwa omukwano gwa maama, negalabirirwa ekisa kya taata olwo negakula bulungi era negassa ebirimba ebyeyagaza. Enkola eyo Allah gyeyasiimira abantu, era kweyazimbira obusiraamu n'amenyawo ebirala byonna.
Oba olyawo kyetaagisa wano mu bufunze okulaga ezimu ku mpenda obusiraamu zebwateekerateekera obufumbo, era tugamba nga tusaba Allah atukwatireko nti;

Okwekennenya n'okulonda omukyala (ow'okuwasa);
Mazima obusiraamu bulina enkola mu kulonda omukyala ow'okuwasa, so si kumala bumazi kyetaago wabula obufumbo y'ensigo y'okuzimba amaka. Yensonga lwaki obusiraamu bukubiriza okulonda omukyala oyo anaawangaaza enkolagana mu bufumbo, n'okuzimba amaka amalongoofu agalimu empisa ne ddiini, amaka ago agatya Allah, era agasobola okutuukiriza obuvunanyizibwa bw'abwe Allah bweyabakwasa nga tebalagajjalidde nsonda yonna, okugeza nga obulungi bw'omukyala n'ebirala mu bitendo ebisikiriza abasajja. Allah agamba nti:
" وَأَنْكِحُوا الْأَيَامَى مِنْكُمْ وَالصَّالِحِينَ مِنْ عِبَادِكُمْ وَإِمَائِكُمْ إِنْ يَكُونُوا فُقَرَاءَ يُغْنِهِمُ اللَّهُ مِنْ فَضْلِهِ وَاللَّهُ وَاسِعٌ عَلِيمٌ (32)"
Amakulu: {Mufumbize ab'obusa mu mmwe n'abalongoofu mu baddu bammwe, n'abazaana bammwe, bwebabeera nga baavu, Allah ajja kubagaggawaza mu bulungi bwe, mazima Allah Mugazi era Mumanyi.}
Era Nnabbi yasomesa ensonga ezisikiriza abasajja okuwasa, wabula n'asimba essira ku nsonga enkulu era ewangaala nga bwetuyogeddeko mu kusooka nga bwe bulongoofu bw'omukyala n'eddiini ye. Yagamba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " omukazi awasibwa lwansonga nnya (4), olw'emmaali ye, n'ekitiibwakye (olulyolwe), n'obulungibwe, n'eddiiniye, naye wewangulire munnaddiini weefunire emikisa gyonna."Bukhari (4802)
Obusiraamu mwekyo bwagala omwami mu maka abeere oyo Nnabbi gweyayogerako n'agamba nti: " omukkiriza asinga obujjuvu yooyo asinga empisa, era abasinga mwe obulungi yooyo asinga obulungi eri bakyala be." Swahiihi Ibun Hibbaan (4176)
Era bwagala n'omukyala abeere oyo Nnabbi gweyayogerako bweyabuuzibwa nti:" mukyala ki asinga obulungi? Yagamba nti: " oyo asanyusa bba ng'amutunuulidde, n'amugondera ng'amulagidde, era na'tamuwakanya kwebyo ebimukwatako wadde mu mmaaliye ebyo (bba) byatayagala." Ir-waau algaliili (1786) hadith nnungi.
Obusiraamu bwagala ennyumba ensiraamu, eyo ezimba ekibiina ekisiraamu, omuli okwelaamira ebirungi n'okubikubiriza, ekyo Nnabbi kyeyayogerako mukigambo kye nti: " Allah asaasire omusajja asituka ekiro n'asaala n'azuukusa mukyala we, bw'alema n'amusammuliza amazzi mu kyenyi, era Allah asaasire omukyala oyo asituka ekiro okusaala n'azuukusa bba, bwagaana n'asamusammuliza mu kyenyiamazzi." Ibun Huzaimat (1148)

Ekiluubirirwa mu ddiini obusiraamu kyebulagira era kyebukubiriza
Obusiraamu buluubirira okusiba obufumbo obutakutulwa kifundikwa kyabwo, kubanga eddiini n'empisa bwebibeera nga ky'ekikulu mu kulonda omubeezi, wabula tebwaziimuula ndabika yooyo gwolonda okubeera omubeezi. Abafumbo bombi basalawo okufumbirigana oluvannyuma lwa buli omu okumatira munne mundabika. Obusiraamu bwakkiriza buli omu kubaagalana okulaba ku munne nga tebannafumbirigana, ono omubaka wa Allah omusajja omu yamujjira n'amugamba nti yayogerezza omukazi okuva ba An-swaar, Nnabbi n'amubuuza nti: " wamulabyeko? Nagamba nti: nedda, Nnabbi n'amugamba nti: " genda omulabeko mazima amaaso ga ba an-swaarigalimu akantu." (ategeeza nti amaaso gabwe matono).
Era omubaka yasomesa ekyama ekiri mu kulaba ku mukazi gwoyogereza. Hadithi nga eva ku Anasi yagamba nti, mazima Mugiira Bun Shu-uba yayogereza omukazi, Nnabbi n'amugamba nti: " genda omulabeko, ekyo kyekisinga obulungi okuwangaaza obufumbo bwammwe." Ibun Hibbani (4043).
Obusiraamu bubeere obulamu bw'abantu obulongoofu, bubateeke wala nnyo olw'okwagala kwa Allah kubizibu n'emize egiwangaalira mu bantu, nga bwekiri ntiomukwano kintu kyabutonde mu busiraamu – okwagalana wakati w'omusajja n'omukazi – walina okusigalawo okwagalana okuataliimu bwonoonefu, omuntu yeeziyize nakwo obuswavu n'obunyoomeefu bw'obwenzi, era obusiraamu butulaga ekkubo ly'okubunyweza n'okubuwangaaza, Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye agamba nti: " tewalabwangayo (kirungi kisinga) abaagalanaababiri singa bafumbirigana." Swahiihu aljaami-u (5200).
Wabula era obusiraamu bukubiriza okuwolereza okugatta wakati wabagalana singa babeera abolongoofu, n'okubasaasira mu kuteekamu amaanyi agasoboka okubagatta mu bufumbo, Ibun Abbaas anyumya nti: bba wa Bariirat yali muddu nga ayitibwa Mugiithu, ninga amulaba kati nga yeetooloola emabega wa Bariirat nga bw'akaaba, amaziga nga gakulukuta ku kirevu kye, Nnabbi nagamba Abbaasi: " teweewunya okwagala Mugithikwayagala Bariirat, n'obukyayi Bariirat bwalina eri Mugithi? Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nagamba Bariirat, singa omuddiramu." (Bariirat) nagamba nti: owange omubaka wa Allah, ondagira (nkikole kugondera ggwe)? Naddamu nti: "(nedda) nze mpolereza buwolereza." Nagamba nti: ssimuliinamu bwetaavu." Bukhari (4979)
Era bukubiriza omuntu okwanjulira muwalawe oba omuzaanawe abasajja abalongoofu bamuwase, naye oluvannyuma lw'okusiima kw'omuwala n'okukkiriza okumufumbirwa. Kubanga alina obuvunanyizibwa ku muzaana abeera afaayo nnyo ku ye. Era okukola ekyo temuli kamogo wadde obukendeevu bwonna. Allah agamba nga anyumya ekyafaayo kya Nnabbi Musa nti:
" وَلَمَّا وَرَدَ مَاءَ مَدْيَنَ وَجَدَ عَلَيْهِ أُمَّةً مِنَ النَّاسِ يَسْقُونَ وَوَجَدَ مِنْ دُونِهِمُ امْرَأَتَيْنِ تَذُودَانِ قَالَ مَا خَطْبُكُمَا قَالَتَا لَا نَسْقِي حَتَّى يُصْدِرَ الرِّعَاءُ وَأَبُونَا شَيْخٌ كَبِيرٌ (23) فَسَقَى لَهُمَا ثُمَّ تَوَلَّى إِلَى الظِّلِّ فَقَالَ رَبِّ إِنِّي لِمَا أَنْزَلْتَ إِلَيَّ مِنْ خَيْرٍ فَقِيرٌ (24) فَجَاءَتْهُ إِحْدَاهُمَا تَمْشِي عَلَى اسْتِحْيَاءٍ قَالَتْ إِنَّ أَبِي يَدْعُوكَ لِيَجْزِيَكَ أَجْرَ مَا سَقَيْتَ لَنَا فَلَمَّا جَاءَهُ وَقَصَّ عَلَيْهِ الْقَصَصَ قَالَ لَا تَخَفْ نَجَوْتَ مِنَ الْقَوْمِ الظَّالِمِينَ (25) قَالَتْ إِحْدَاهُمَا يَا أَبَتِ اسْتَأْجِرْهُ إِنَّ خَيْرَ مَنِ اسْتَأْجَرْتَ الْقَوِيُّ الْأَمِينُ (26) قَالَ إِنِّي أُرِيدُ أَنْ أُنْكِحَكَ إِحْدَى ابْنَتَيَّ هَاتَيْنِ عَلَى أَنْ تَأْجُرَنِي ثَمَانِيَ حِجَجٍ فَإِنْ أَتْمَمْتَ عَشْرًا فَمِنْ عِنْدِكَ وَمَا أُرِيدُ أَنْ أَشُقَّ عَلَيْكَ سَتَجِدُنِي إِنْ شَاءَ اللَّهُ مِنَ الصَّالِحِينَ (27) قَالَ ذَلِكَ بَيْنِي وَبَيْنَكَ أَيَّمَا الْأَجَلَيْنِ قَضَيْتُ فَلَا عُدْوَانَ عَلَيَّ وَاللَّهُ عَلَى مَا نَقُولُ وَكِيلٌ (28) "
Amakulu: {Bwe yamala okutuuka (awakimwa n'okunyweseza ensolo) ku mazzi g'e Madiyana n'asangako ekibiina ky'abasajja nga banywesa (amagana g'embuzizaabwe), era n'asanga (awo kumabbali) abakazi babiri abatali (abo abanywesa) nga batangira (embuzi zaabwe obuteegatta mu za basajja abo). (Musa) n'abagamba nti: Ngeri ki mmwe (Lwaki mmwe muziyiza ezzamwe)? Ne bamugamba nti: Tetuyinza kunywesa (zaffe) okutuusa abalunzi lwe bamala (okunywesa ezaabwe ne baziggyawo, olwo naffe ne tunywesa). Ne kitaffe, mukadde mukulu (23). Kale (Musa) n'abanyweseza (ensolo zaabwe) bwe yamala n'akyuka okudda eri ekisikirize (awummule) olwo n'agamba nti: Mukama wange! Mazima nze (nsiima) ekyo kyonna ky'onooba onzisilizza mu bulungi ku lw'obwavu (24).(Oluvannyumako katono) n'amujjira omuwala omu ku bombi (abo be yanyweseza ensolo zaabwe), nga atambula (agenda w'ali) n'ensonyi. N'agamba nti: Mazima kitange akuyita okukusasula empeera olw'okutunyweseza (embuzi zaffe). (Musa) bwe yamala okumujjira (kitaawe w'abawala) n'amunyumiza ekyafaayo (kye kyonna), n'amugamba nti: Totya owonye! Owonye mu kibiina ky'abalyazaamaanyi (25).(Omuwala) o,u ku bombiriri n'agamba: Owange kitange! Mukozese (abeereomulunzi mu kifo kyaffe). Mazima omulungi oyo (asaanye okukozesa) ye (musajja) ow'amanyi omwesigwa (26). (Swaibu, kitaawe w'abawala) n'amugamba nti: Mazima nze njagala okukufumbiza omu ku bawala bange abo bombi (n'akakalu)ak'okuba nga onkolera (okumala) emyaka munaana. Naye bw'onooba ojjuzizza ekkumi ekyo kinaava gy'oli, era saagala kukuzitooyereza. Ojja kunsanga, Allah bwanaaba ayagadde (nga ndi) mu balongoofu (abakolaganika nabo) (27). (Musa) n'agamba nti: Ekyo kiri wakati wange naawe. Ekimu ku biseera (by'endagaano ebyo) ebibiri kye naamala, tewaabe kunnumbagana, ne Allah ye Mujulizi kw'ebyo bye twogera (28).}
Era mu hadith eva ku Salimu bun Abdillah bun Umaru Allah asiime ku bo bombiriri (Umaru ne Abdallah) yagamba: Hafswa bweyafiirwako bba eyali ayitibwa khunaisi bun Huzhafa Assahaamiyyi e Madiina, eyali omu ku bagoberezi ba Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, Umaru yagamba nti: najja ewa Uthman bun Affani nemmwanjulira okuwasa Hafswa nagamba nti: njakwetunulamu ndabe. Newayita ebiro, oluvannyuma nasisinkana nanngamba nti: nnalabye nga sijja kuwasa kati, Umaru agamba nti: nensisinkana Abubakar nemmugamba nti; wetaaga okuwasa nkuwe muwala wange Hafswa, Abubakar n'asirika n'atanziramu kigambo kyonna. Nennakuwala nnyo olw'ekyo Abubakar kyeyakola n'okusinga bwennanakuwala kulwa Uthumani, nemmala ebiro nga biibyo Nnabbi n'amwogereza nemmumuwa, oluvannyuma Abubakar yansanga nangamba; nkimanyi wanakuwala nnyo kulwange ekiseera bwewannyanjulira Hafswa okumuwasa nessikuddamu? Umaru agamba nti: nenziramu nti yye kituufu. Abubakar nagamba nti: sakuddira wadde okukuddamu ekyo kyewasaba okujjako nti nnali nnawulidde Nnabbi nga ayogera kukuwasa Hafswa, naye nnali ssisobola kulaalaasa kyama kya Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, naye singa Nnabbi yamuleka nnandikkiriza okumuwasa." Bukhari (4830).

ENDAGAANO Y'OBUFUMBO N'AMAHALE N'EMBAGA.
Mu mpagi z'okuwasa mu busiraamu n'obulombolombo obutuusa obufumbo mulimu;
1.    Okusiimagana n'okukkiriziganya kw'abafumbirwa ababiri, olw'ekigambo kya Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " tafumbizibwa omukazi eyafumbirwako okutuusa nga asabiddwa olukusa, ate omuwala emberera tafumbizibwa okujjako nga yeebuuziddwako." Nebagamba nti: okukkiriza kwe kubeera kutya? Nagamba nti: " bwasirika." (kubanga abawala abato batya okwatula nti bakkirizza, so nga tebatya kwolesa kugaana kwabwe.) Bukhari (4843)
Era omukazi yenna afumbiziddwa nga tasiimye alina eddembe okusaba okusazibwamu kw'obufumbo olwa hadithi ya Khanisa bint Juzaam al-answariyya elambika nti kitaawe yamufumbiza oluvannyumalw'okufumbirwako natasiima musajja, najja ewa Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, Nnabbi n'asazaamu obufumbo obwo." Bukhari (6546).
Ebyo byonna bikwolebwa kulw'okwagala okukuuma amaka obutasajjuka, nabwekityo okutangira okusasa ana kw'obwenzi olw'embaliga eziva ku kubulawo kw'omukwano wakati w'abafumbo ababiri.
2.    Era tulina okumanya nti okubeerawo kwa taata w'omuwala (oba omusajja alina obuvunanyizibwa ku muwala) n'okukkiriza ke kalombolombo mu bulombolombo obutuusa obufumbo, olw'ekigambo kya Nnabbi ekigamba nti: " tewali bufumbo ewatali Taata wa muwala (oba alina obuvunanyizibwa omulala) n'abazulizi babiri abeesigwa, era obufumbo bwonna obuzimbiddwa ewatali ebyo bufu, bwebafuna obutakkanya, omukulembeze y'alina obuvunanyizibwa kumuwala atalina amuvunanyizibwako." Ibun Hibbaan (4075).
Obusiraamu bukola ekyo okuyunga oluganda obutakutulwa, kubanga omusajja alina obuvunanyibwa ku muwala yabeera asinga okumanya n'okufaayo kwebyo ebigasa omuwala oyo, tayinza kumulonderawo wadde okumugaba okujjako jeyeekakasa nti gyagenda okufunira emirembe.
Ate mu mbeeray'okubeera nti omuwala talina amuvunanyizibwako oba nga bamunyigirizza (nebamulemesa okufumbirwaolw'omulugube) obuvunaanyizibwa budda eri omukulembeze (w'abasiraamu), olw'ekigambo kya Nnabbi kyetwogeddeko nti: "…. omukulembeze y'alina obuvunanyizibwa kumuwala atalina amuvunanyizibwako."
Ibun Abbaas Allah asiime ku ye yagamba nga annyonnyola ekigambo kya Allah ekigamba nti:
(يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا لَا يَحِلُّ لَكُمْ أَنْ تَرِثُوا النِّسَاءَ كَرْهًا وَلَا تَعْضُلُوهُنَّ لِتَذْهَبُوا بِبَعْضِ مَا آتَيْتُمُوهُنَّ)
Amakulu: {Abange mmwe abakkiriza! Temukkirizibwa mmwe okusikila abakazi (Bannamwandu b'ab'ennganda zammwe) olw'empaka. Era temubaziyizanga mulyoke mugende n'ebimu kw'ebyo bye mwabawa, …}
nti: baalinga omusajja bwafa mu bo nga abantu b'omusajja bebabeera n'obuvunanyizibwa ku mukazi we, ayagala mu bo amuwasa, oba ssi ekyo bamufumbiza gwebaagadde, oba oluusi nebatamufumbiza n'abeerawo, nga beebalina obuvunanyizibwaku ye n'okusinga ab'oluganda be. Ayat eno nekka okugaana ekyo."Bukhari (4303)
3.    Bwebamala okusimagana boombiriri, omusajja alina okuwa omukazi amahale, kulw'ekigambo kya Allah ekigamba nti:
" وَآتُوا النِّسَاءَ صَدُقَاتِهِنَّ نِحْلَةً فَإِنْ طِبْنَ لَكُمْ عَنْ شَيْءٍ مِنْهُ نَفْسًا فَكُلُوهُ هَنِيئًا مَرِيئًا (4) "
Amakulu: {Era muwenga abakyala (abo be muwasa) amahare gaabwe. (Naye bo abakyala bammwe) bwe babanga balongoosezza emyoyo ku lwammwe ku kintu mw'ebyo bye mubawadde, mukiryenga bulungi mu ddembe n'essanyu}
Era kisaanira obutaleega mahale, Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yagamba nti: "Mazima ebimu kubiwa omukazi emikisa, okugonza okwogerezebwakwe, n'amahalege, n'endaaye. (Allah amugondeza embeera z'olubuto n'okuzaala)." Ahmad, Albaani n'agogolora mu Ir-waau (1928).
Ku nsonga eyo Umar Bun Khatwab Allah asiime ku ye yagamba nti:" abange temuleega mahale, mazima singa kyali kyakitiibwa ku nsi, oba nga kikolwa kya kutya Allah, Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yeyendibakulembedde mu kyo. Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye teyawaako mukazi yenna mahare wadde okugaba muwalawe ekisukka awukiya ekkumi n'ebbiri."Ibun Hibbaani (4620).
Awukiya buzito bwa zzaabu obwenkana guraamu bibiri (200)
-    Era obukwakkurizo obuteekebwawo abafumbo ababiribulina okutuukirizibwa oluvannyuma lw'okufumbirigana, olw'ekigambo kya Nnabbi kyagamba nti: " obukwakkurizo obulina okusookebwako okutuukirizibwa bwebwo kwemuwasiza abakazi (obubaweesa ebbeetu okwegazanya mu bwerere bwabwe)."Bukhari (2572)
-    Olw'okkujjuliriza essanyu n'okweyagala mu bufumbo, obusiraamu bwalaalika (bwakubiriza okukola) embaga eyitibweko ab'oluganda n'abemikwano, basobole okulangirira obufumbo. Hadithi nga eva ku Anasi Allah asiime ku ye yagamba nti: Abdu Rahmaani bun Aufu yasenguka okujja emadiinah Nnabbi natta omukago wakati we ne saadi bun Arrabiia Al-answaariyyi, (saad) namwanjulira okumutemera kimu kyakubiri ku mmaali ye nebakyala be, AbduRahmaan namugamba nti: Allah akuteere emikisa mu bakyala bo n'emmaali yo, wabula nze ndagirira ewali akatale, n'akola amagoba amatonotono mu mata ag'obuwunga n'omuzigo, Nnabbi namulaba oluvannyuma lwennaku nga alina obuufu bw'obuwoowo (bwabagole). Nnabbi nagamba nti: " owange Abdu Rahmaan mawulire ki? Nagamba nti: owange Omubaka wa Allah nnawasizza omukazi mu ba an-swaar. Nnabbi namugamba nti:"wamuwadde ki amahare?" nagamba nti: zzaabu ey'enkana akasigo (alimu dirhamu ssatu). Nnabbi namugamba nti: " kola embaga nebwonaabeera oliisizza kabuzi" Bukhari (3722)
Tetulina kudibuuda mu mbaga, olw'ekigamba kya Allah ekigamba nti:
" وَلَا تُبَذِّرْ تَبْذِيرًا (26) إِنَّ الْمُبَذِّرِينَ كَانُوا إِخْوَانَ الشَّيَاطِينِ وَكَانَ الشَّيْطَانُ لِرَبِّهِ كَفُورًا (27) "  
Amakulu: {… naye toduubuudanga (emmali yo) oluduubuuda (26). Mazima abaduubuuzi (okuva edda n'edda) baali baganda ba sitaane, nga ye sitaane yali (bulijjo) omuwakanyi (atasiima eri) Mukama we. (27)}
Erakikakata kw'oyo ayitiddwa okugenda ku mbaga okwanukula okujjako nga alina ekimusonyiyisa, olw'ekigambo ky'omubaka ekigamba nti: " omu mummwe bwabeera okoowoddwa okugenda ku mbaga (kyatteeka) agendenga" Bukhari (4878).
Era kirungi oyo azze kumbaga okusabira bannannyini mukolo edduwa eyava ku Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye egamba nti: " Ayi Allah basonyiwe obasaasire, era obawe emikisa mwebyo by'obagabiridde" ibun Hibbaani (5299).
Era n'okusabira abagole edduwa eyava ku Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, egamba nti: "Allah akuwe emikisa, akusseeko obulungi bungi, era agate wakati wammwe mu bulungi." Mustadiriku (2745).
Era obusiraamu bwakkiriza okukuba amataali ku mukolo guno, n'obuyimba omutali bwonoonefu (buwemu) eri abakyala bokka, okwolesa obufumbo. Olw'ekigamba kya Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye kyeyagamba Aisha Allah asiime ku ye, omukyala omu bweyawasibwa omusajja mu ba an-swar nti: " owange Aisha, tewabadde tewabaddeeyo ku buyimba? Mazima ba an-swaar banyumirwa ennyimba." Bukhar (4867)

EMPISA Z'EKIRO KY'EMBAGA.
Kirungi okukwata empola omugole (omukazi) n'okumubeesabeesa n'obuboozi obumugumya nebumumalako ekiwuubaalo, mpozzi n'okusembeza enkwatagana wakati w'omusajja ne mukaziwe. Olw'ekikolwa kya Nnabbi SAW, anyumya Asmah bint yazid nti: nze nnatonatona Aisha Nnabbi bweyamuwasa, oluvannyuma nempita Nnabbi amulabeko nga bwemmutonyetonye, n'ajja n'atuula okumuliraana (Aisha), ekyanzi ky'amata n'ekireetebwa, (Nnabbi) n'anywako, oluvannyuma n'akikwasa Aisha, (Aisha) n'akoteka omutwe olw'ensonyi, Asima agamba nti: nemmugaana (okukwatibwa olusonyisonyi) nemmugamba nti: kwata ekyanzi okuva mu ngalo za Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, n'akikwata n'anywako. Oluvannyuma Nnabbi n'amugamba nti: kiwe mukwano gwo. Asima agamba nti: nenngamba nti; Owange omubaka wa Allah! Ggwe oba okikwata onyweko oluvannyuma okinkwase n'omukono gwo, (Nnabbi) n'akikwata n'anywako oluvannyuma n'akinkwasa, n'entuula nenteeka ekyanzi ku maviivi gange nennywa nga bwenkyetoolooza nsobole okunywerako Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye wanyweredde, oluvannyuma n'agamba abakazi abaali nange, nammwe mukwate munyweko. (abakazi) nebamugamba nti: tetwagala! Nnabbi n'abagamba nti: "temugatta enjala n'obulimba" Ahmad (27632).

EMPISA Z'OKUZANNYA WAKATI W'ABAFUMBO.
Mazima obusiraamu era nga bwetwayogeddeko mu kusooka butwala akaboozi k'ekikulu nga obwetaavu obulala bwonna obwetaaga okumatiza, naye nga tuyita mu makubo agakkirizibwa, mu kutuukiriza obukwakkurizo n'amateeka. Bwekibeera nti eyo y'endaba y'obusiraamu ku ensonga eyo, kati nno obusiraamu bugikubiriza era nebusomesa butya bwebuyinza okutumatizibwa wakati w'abafumbo. Hadithi nga eva ku Jaabiri yagamba nti: Nnali ntambulira ku nngamiya yange (naye nga ebeera) kunkomerero y'ekibinja, Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye n'agikubako (omukono), agamba (Jaabir) oluvannyuma lw'olwo yali etambulira kuntandikwa y'ekibinja okujjako nga nze njikkakkanyizza. Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye najja nanngamba nti: " enngamiyayo eyo oginguza omuwendo bweguti nebweguti Allah akusonyiwe ebyakusobako? Nenngamba nti: njikuwadde buwi owange omubaka wa Allah. Nakiddirinngana nti: " enngamiyayo eyo oginguza omuwendo bweguti nebweguti Allah akusonyiwe ebyakusobako? Nganange bwe mmugamba nti: njikuwadde buwi owange omubaka wa Allah. Sulaiman Agamba nti: ssimanyi mirundi Nnabbi gyeyakiddirinngana. Oluvannyuma Nnabbi n'amubuuza nti: wawasa oluvannyuma lwakitaawo (okufa)? Agamba: nenziramu nti yye. Nagamba, mberera oba yafumbirwako? Nemmuddamu nti: yafumbirwako. Nagamba nti: lwaki tewawasa mbeerera, akuzannyise nga nawe bwomuzannyisa, akusese nga naawe bw'omusesa."Bukhari ne Muslim.
Era obusiraamu bwagulumiza okuzannya n'obukwatampola wakati w'abafumbo, era ebyo bimu ku byongera omukwano wakati w'abafumbo, Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye agamba nti: " buli kintu kyonna omutali kujjukira Allah kubeera kwegayaaza, muzannyo, oba bwerabize. Okujjako ebinti bina; okutambula kw'omuntu wakati w'enkasukaze ebbiri, n'okutendeka embalaasiye, n'okuzanyiikiriza mukyalwe, n'okuyiga okuwuga."Annasae ne Twabaraaniyyi
Era nga bwekyetaagisa buli omu ku bafumbo ababiri okufaayo ennyo kukweyonja n'okuwunya obulungi, n'endabika ennungi, kubanga ebyo byonna byongera omukwano n'okwagalana mu maka, era kimalawo okwekanasa wakati waabwe. Olw'ekigambo kya Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye ekigamba nti: "… Mazima Allah Mulungi era ayagala birungi (byerere)." Muslimu (91)
Ne mu Hadithi eva ku Aisha Allah asiime ku ye yagamba nti: nnakubanga Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye akawoowo akasinga obulungi kw'obwo bwalina okutuusa bwendaba langi y'akawoowo mu mutwegwe ne mu kirevu kye." Bukhari (5579)
Era ibun Abbaasi Allah asiime ku ye yagamba nti: " nze nnewundira mukazi wange nga bwannewundira, era ssaagala kulekayo kintu kyonna kubyennina okumukolera, kubanga kiyinza okumuleetera okukendeeza mwebyo byalina okunkolera., olw'ensonga nti Allah agamba nti:
" ولهن مثل الذي عليهن بالمعروف "  
Amakulu: {Era balina abakyala (bye bavunaana abasajja) okufaanana nga ebyo ebiri ku bo (abasajja bye babavunaana) naye nga babikola mu ngeri y'obuntubulamu …} (228)
Okuzanyiikiriza n'okuzannya wakati w'abafumbo ababiri mulimu;
•    Okuzannyiikiriza n'okuzannya mu buliri.
-    Buli omu akkirizibwa okweyambulira munne, n'okunyumirwa okwetunuulira buli omu eri munne. Hadithi eva ku Bahazi bun Hakiimu nga agijja ku kitaawe nga eva ku jjajja we Allah asiime ku ye yagamba nti; Nnagamba nti owange Omubaka wa Allah, obwerere bwaffe biki byetubukozesa era biki byetuleka? Nnabbi nagamba nti: " kuuma obwerere bwo okujjako ku mukyalawo oba omuzaana wo." Nenngamba nti: olaba otya singa abamu babeera waggulu (mu kalina nga balengera) w'abalala? Nnabbi nagamba nti; " bwosobola okubikka baleke kumulabako kikole." Nenngamba nti: olaba otya singa wabeera tewali kibikka? Nnabbi nagamba nti: " Allah y'alina okukwatibwa ensonyi okusinga." Almustadiriku (7358)
-    Era buli omu waddembe okuwomerwa munne mu kaboozi k'ekikulu mu ngeri buli omu gyanyumirwamu ebbanga lyebamala nga tebakoze sodoma (nga bali mu kifo ewava omwana). Hadithi eva ku Ibun Abbasi yagamba nti: Umaru lumu yajja ewa Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nagamba nti: nzikiridde! Nnabbi namugamba nti: kiki ekikuzikirizza? Umaru nagamba nti: nnakyusizza olugendo lwange ekiro (nagenze eri mukyala wange nga nviira mabega). Nabbi natamuddamu, Allah nassa eri Omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye obubaka obugamba nti:
"نِسَاؤُكُمْ حَرْثٌ لَكُمْ فَأْتُوا حَرْثَكُمْ أَنَّى شِئْتُمْ"
Amakulu: {Abakyala bammwe ze nnimiro zammwe (mwe mufuna abaana) kale mujjenga mu nnimiro zammwe mu ngeri gye mwagala …} (223)
Nagamba nti: " vva mumaaso, ove emabega, naye wewale okumusiyaga, (era omwewale) n'ebiseera bya Haidhwi (emusaayi gw'abakazi buli mwezi)."Ibun Hibbaan 9/516
Wabula hadithi eyo tetegeeza nti twewale bakyala baffe nga bali munsonga tutuuke nekuddaala ery'obutatuulako nabo, oba obutalya n'okunywa nabo. Aisha Allah asiime ku ye anyumyan'agamba nti: "nnali nnywa nga ndi mu nsonga olvannyuma nempa Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nateeka omumwa gwe wentadde ogwange nanywa, era nga nnuma ekifi nga ndi mu nsonga oluvannyuma nempa Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye n'aluma wennyini wennumye. " Musilim (300)
Era tekitegeeza nti talina kubeera na mukyalawe n'anyumirwa era tekigaana mukazi kunyumirwa bba. Anasi annyumya nagamba nti: abayahudi omukyla mu bo bweyagenda nga munsonga, nga (bamwewala) tebalya naye, tebagatta naye mu nsonga z'amaka, abagoberezi ba Nnabbi nebabuuza Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye kunsonga eyo, Allah Nasa etteeka erigamba nti:
 " ويسألونك عن المحيض قل هو أذى فاعتزلوا النساء في المحيض... "
Amakulu: {Era bakubuuza (Ggwe Muhammad) ku mukyala nga ali mu nnaku zaabwe (nga bali mu Heezi). Bagambe nti: Gwo (omusaayi), kyenyinyalwa. Kale mwawukane n'abakyala (obuteegatta nabo) nga bali mu bulwadde bwabwe (nga bali mu Heezi)} (222)    
Omubaka wa Allah nagamba nti: " mukole buli kimu okuleka okuyingira mu bukyaala" n'etuuka hadithi eyo ku bayahudi nebagamba nti: omusajja oyo tayagala kuleka yo kintu kyonna munzikiriza yaffe okujjako nga atwawukanako. Asiyadu bun Hudwairi ne Abbaadu bun Bishiri nebagamba nti: owange omubaka wa Allah: abayahudi bagambye bino na bino. Lwaki tetwegattira ddala n'ebakyala baffe (nga bali mu nsonga netubaawukanirako ddala). Ekyenyi kya Nnabbi nekikyuka okutuusa bwebalowooza nti abanyigidde (olw'obusungu), nebafuluma n'ekibasisinkana ekirabo agaali amata agaweerezeddwa Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, nnabbi nabatumya n'abanywesaako, nebakitegeera nti Nnabbi teyabanyiigidde." Muslimu (302).
Ne Jaabiri yanyumya nagamba nti: Abayudaaya baagereesanga nti omusajja bweyegatta ne mukyalawe nga ayita mabega, omwana azaalibwa nga wandali, okutuusa etteeka lya Allah bwelyakka erigamba nti: (نساؤكم حرث لكم) {bakyala ba mmwe nnimiro zammwe} bwayagala akole kabuzi (omukyala nga yeebakidde ku kyenyi kye nga alinga avunnamye), oba yeegatte naye nga bwayagadde kasita ayingira mu buwala."Ibun Hibbaani (4166).
-    Era kiri mu nkola ya Nnabbi okusoma erinnya lya Allah g'agenda okwegatta ne mukyalawe, era nasoma edduwa eyava ku Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye mukigambo kye nti: " singa omu mummwe bwayagala okwegatta nemukyalawe agamba nti: kulwerinnya lya Allah, Ayi Allah tukingirize sitaane n'omwana gwotugabiridde naye omukingirize sitaane. Mazima singa Allah abagabirira omwana mu mbeera eyo sitaane tejja kumukosa ebbanga lyonna." Bukhari (6025).
-    Era nga bwekyetaagisa okuzanyyikiriza omukyala n'okumukwata empola, n'okumunywegera okusembeza obwagazi bwe, nabwekityo okumulinda mpaka naye bwatuuka kuntikko y'omukwano.
-    Nabwekityo nkola ya Nnabbi nti bwayagala okuddamu ekitundu eky'okubiri anaabe, oba afune wuzu nga bwagifuna nga agenda okusaala. Olw'ekigambo kya Nnabbi ekigamba nti: " omu kummwe bweyegatta ne mukyalawe n'ayagala okuddamu (okwegatta naye) afune wuzu."
-    Olw'ensonga nti ekikolwa ekyo kiraga buyonjo, era kimu kibizzaamu amanyi okusobola okuddamu okwegatta.
•    Okuzannyiikiriza n'okuzannya n'omukyala mu kunaaba; okuzannya n'omukyala tekikoma mu buliri mwokka wabula mu buli kintu omuli okunyweza amaka n'okulongoosa enkolagana, n'omukwano, mu buli mbeera yonna esoboka, kasita kibeera nga tewali abalaba wadde abawulira. Hadithi eva ku Aishayagamba nti: "nnali nnaaba ne Nnabbi mu bbaafu emu nga buli omu amaliramu munne amazzi nga NNabbi bwagamba nti: ndekeraamu, nga nange mugamba: ndekeraamu. " swahiihi annasai.
•    Okuzanyiikiriza n'okuzannya mu nnyumba. Shuraihi bun Hani-I yabuuza Aisha Allah asiime ku ye Maama wa bakkiiriza nti: kintu ki Nnabbi kyeyatandikanga nakyonga ayingidde ennyumba ye? (Aisha) Nagamba nti: na kusenya." Musilimu.
Oba olyawo ekigendererwa kwalinga kutukuza nakulongoosa kamwa asisinkane mukyalawe.
•    Okuzannya n'omukyala wabweru w'ennyumba, akakwakkulizo akaliko era nga bwetwayogeddeko emabegako nti kirina okubeera wala n'okulabwa kw'abantu wadde okuwulirwa. Hadithi nga eva ku Abu salama bun AbduRahman yagamba nti: Aisha Allah asiime ku ye yanngambanti yali ne Nnabbi mu lugendo nga akyali muwala muto, Nnabbi nagamba abagoberezi be nti: mutambule mugende mu maaso" oluvannyuma nagamba Aisha nti jangu tusimbuke (mu mbiro), Aisha n'amusinga mu misinde. Oluvannyuma twafuluma okugenda mu lugendo nagamba abagoberezi be nti: mutambule mugende mumaaso, oluvannyuma nagamba Aisha jangu tusimbuke" ngannerabidde omulundi guli ogwasooka ate nga ngezze, nenngamba nti: nyinza ntya okusimbuka naawe nga ndi mu mbeera eno gyolaba! Nnabbi nagamba nti: ojja kukikola. Netusimbuka n'ansinga. Nanngamba nti: "guno gusasudde guli ogwakusooka." Attwabaraan alkuburah (8945).
Oboolyawo kyatteeka wano okukirambika nti tekikkirizibwa kwogera byama bya mu kisenge ebibeera Wakati w'abafumbo n'okugifuula emboozi ey'okutwala ebiseera, olw'ekigambo kya Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye ekigamba nti: "mazima mu bantu abasinga ekifo ekibi mu mumaaso ga Allah ku lunaku lw'enkomerero, mulimuomusajja eyeyambulira omukazi, n'omukazi eyeyambulira omusajja oluvannyuma omu kubo naayolesa ebyama bya munne." Musilimu (1437)
Era olw'okwagala okuwangaaza enkolagana wakati w'abafumbo, n'okuzimbibwa kw'ennyumba ensiraamu eyo ekuza ekitundu omutali kwawukana wadde okuyombagana, amateeka g'obusiraamu gasomesa obuvunanyizibwa bwa buli omu mubafumbo eri munne, era buli omu mu maka amanye byalina okukolera munne n'ebyo byalina okuweebwa.

Obuvunanyizibwa bw'okyala eri bba:
Kitumalira okunnyonnyola obuvuananyizibwa buno, okulaga ezimu ku ayaat okuva mu Kur'ane, ne hadithi z'omubaka omuli okusomesa obuvunanyizibwa bw'omukyala eri bba olw'okutya okuwanvuya, era namwo mulimu;
Allah agamba nti:
" وَعَاشِرُوهُنَّ بِالْمَعْرُوفِ فَإِنْ كَرِهْتُمُوهُنَّ فَعَسَى أَنْ تَكْرَهُوا شَيْئًا وَيَجْعَلَ اللَّهُ فِيهِ خَيْرًا كَثِيرًا (19) "  
Amakulu: {… Kyokka mukolaganenga nabo mu ngeri ennungi. Bwe muba nga mubatamiddwa (temubatanga), (kubanga)oba olyawo mwanditamwa ekintu, ate Allahn'akissaamu obulungi obungi.} (19)
" وَلَهُنَّ مِثْلُ الَّذِي عَلَيْهِنَّ بِالْمَعْرُوفِ وَلِلرِّجَالِ عَلَيْهِنَّ دَرَجَةٌ "  
Amakulu: {… Era balina abakyala (bye bavunaana abasajja) okufaanana nga ebyo ebiri ku bo (abasajja bye babavunaana) naye nga babikola mu ngeri y'obuntubulamu, kyokka abasajja balina eddaala (enkizo gye basing ku bakyala)}
Agamba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: " abasinga obulungi (mumwe) yooyo abasinga obulungi eri bakyalabe, nange nze mbasinga (okuyisa) obulungi eri bakyala bange." Ibun Maajat (1977)
Agamba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye:" asinga obukkiriza obujjuvu mu bakkiriza yooyo abasinga empisa ennungi, era abasinga obulungi beebo abasinga obulungi eri bakyala baabwe."ibun Hibbaan (4176)
Agamba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: "… mutye Allah mu bakyala bammwe, mazima mwabafuna lwandagaano ya Allah, era obwerere bwabwe nebukkirizibwa kummwe lwakigambo kya Allah." Musilimu (1218)
Agamba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: "omukkiriza (omusajja)tasaanira kwabulira mu kkiriza (mukazi), bwatamwa ku ye omuze ate asiime empisaze endala." Muslim (1469).
Era mu Hadithi nga eva ku Hakiimu bun Mu-awiyanga ajja ku kitaawe yagamba nti: nagamba nti; owange omubaka wa Allah, omukyala biki byalina okumukolera omu muffe? Nagamba nti: " muliise bwobeera olya, era omwambaze bw'obeera oyambala."Abu Dawuda (2142)
Obujjuvu bwa Allah yekka.

Obuvunanyizibwa bw'omusajja eri mukyala we;
Kitumalira okuleeta ezimu ku Ayaat, ne hadithi z'omubaka eziraga obuvunanyizibwa bw'omusajja eri mukyalawe, kitutaase obutawanvuya nnyo, era tomanya okulaza kusobola okumalira ebigambo.
Allah yagamba nga atendaabakyala abalongoofu nti:
" فَالصَّالِحَاتُ قَانِتَاتٌ حَافِظَاتٌ لِلْغَيْبِ بِمَا حَفِظَ اللَّهُ "
Amakulu: {… N'olw'ekyo abakazi abalongoofu be bo abawuilize, era abakuuma ebyama (bya babbaabwe) mu butabaawo (bwabwe) ku lw'ekyo Allah kye yabakuumisa.}
Mu Hadithi nga eva ku Huswaini bun Muhswin yagamba nti: senga yannyumiza n'agamba nti: nnagenda ewa Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga nnina obwetaavu, Nnabbi n'ambuuza nti: owange ggwe, oli omusajja. Nenngamba nti: Yye. Nagamba nti: weeyisa otya gyali? Naddamu nti: ssimujuza okujjako ekyo ekinnemeredde. Nagamba nti: kyonna ky'oli, eyo y'ejjanaayo era gwemuliro gwo." Mustadiraku 2/206.
Mu Haithi nga eva ku Abu Huraira yagamba; yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " omukazi bw'asaala eswalaze ettaano, n'asiiba omwezi gwe ogwa (ramanzaane), n'akuuma obwerere bwe, n'agondera bba, ajja kuyingira omulyango gwe jjana gwonna gwanabeera ayagadde." Ibun Hibbaani (4163).
Hadithi nga eva ku Mu-aazi ibun Jabalu Allah asiime ku ye agamba nti yagenda e shaami n'alaba abakurisitaayo nga bavunnamira bakabona baabwe, n'abakulumbeze b'e ddiini, nnalaba abayudaaya nga bavunnamira abamanyi n'abakulembeze baabwe mu ddiini, n'ababuuza lwaki mukikola ekyo? Nebamugamba nti eyo y'ennamusa eyalamusibwanga ba Nnabbi ba Allah Allah asse okusaasira ku bo, nenngamba nti; ekyo ffe abasookerwako okukikolera Nnabbi waffe okusaasira n'emirembe bibeere ku ye. Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nagamba nti: balimbiridde bannabbi baabwe, era nga bwebakyusa ebitabo byabwe, singa mbadde wakulagira muntu kuvunnamira muntu yenna, nnandiragidde omukyala avunnamire bba, olw'obuvunanyizibwa bwalina gyali, era omukyala yenna tayinza kukomba kubuwomerevu bwabukkiriza okutuusa nga atuukirizza obuvunanyizibwa bwa bba, nebwekubeera kumwewa (mu nsonga z'obufumbo) ng'ali kumugongo gw'anngamiya singa abeera akimusabye."Mustadiraku (7325).

Okutalakamu busiraamu:
Obufumbo mu busiraamu kintu ekigulumizibwa, n'olwensonga eyo, obusiraamu bwafaayo nnyo ku bintu ebinyweza enkolagana wakati w'abafumbo ababiri, olw'okutaasa endagaano y'obufumbo obutakutukawo, era tewali kiyinza kulaga kitiibwa kyabufumbo kusinga kubeera nti Allah yabuyita " endagaano enzito(eyamaanyi). Allah agamba nti:
" وَأَخَذْنَ مِنْكُمْ مِيثَاقًا غَلِيظًا (21) "  
Amakulu: {… ne baggya ku mmwe (abakyala abo) endagaano enzito (ey'obufumbo n'okukuumagana mu ddembe)?} (21)
Era kimala okulaga ekitiibwa kyendagaano eyo okubeera nti Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yagamba nti: " omuntu apaaza omukyala okumujja ku bba, oba omuddu okumujja ku mukamawe ssiwa mu ffe. N'omuntu alayira obwesigwa ssi wa mu ffe." Ibun Hibbaani (4363).
Newankubadde obusiraamu bugulumiza obufumbo nga bwetulabye, nayeera talaka mu bufumbo yateekebwawo singa obuzibu wakati w'abafumbo bulinnya enkandaggo, nga tewali kisobola kubugonjoola okujjako okwawukana (talaka), olw'okutya okusaasana kw'obukumpanya wakati wa bafumbo mu maka, n'ebivaamu nga okutabika ennganda, okusikiza abatalina kusika ku mmaali y'abafu, okumma abalina okusika, nabwekityo okusaasana kw'obwenzi mu bantu, kale n'ensonga ennafu nga okugamba nti; ennyumba eyo ebeera tesobola kulera baana bulungi olw'enjawukana n'obukyayi obubeera wakati w'abafumbo ababiri, ebyo byonna bisobola okubbulukukira mu baana.
Wabula okwawukana kuno kukomeke sso tekuteebwa bulambalamba, talaka eleme kubeera muzannyo buli omu mwazannyira. Abamanyi bannyonnyola nti talaka eyina emitteko, eyinza okubeera;
1.    Yatteeka (yaabuwaze), singa ebeera esaliddwawo abalamuzi ababiri (abava ku njuyi zombi) nga waliwo obutakkanya obwamanyi wakati w'abafumbo, olw'ekiragiro kya Allah ekigamba nti:
" وَإِنْ خِفْتُمْ شِقَاقَ بَيْنِهِمَا فَابْعَثُوا حَكَمًا مِنْ أَهْلِهِ وَحَكَمًا مِنْ أَهْلِهَا إِنْ يُرِيدَا إِصْلَاحًا يُوَفِّقِ اللَّهُ بَيْنَهُمَا إِنَّ اللَّهَ كَانَ عَلِيمًا خَبِيرًا (35) "  
Amakulu: {Bwe muba nga mutidde enjawukana wakati waabwe bombiriri (omusajja ne mukyala we), musindikeyo omutaawuluzi ku ludda lw'omusajja n'omutaawuluzi okuva mu bantu b'o mukyala. Bwe baba nga baagadde bombiriri okutabagana, Allah agatta wakati waabwe: Mazima Allah ye Mumanyi, Ategeera ebyama byonna.} (35)
2.    Talaka eri haraamu (eyaziyizibwa), okwawukana nga tewali nsonga, oba nga tewali bwetaavu, era eyo talaka ibiliisu (sitaane enkulu) gy'eluubirira. Olw'ekigambo kya Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye ekigamba nti:" Mazima ibiliisu eteeka nnamulondo yaayo ku mazzi, netuma amaje gaayo (mu bantu), sitaane esinga eddaala yeeyo esinga ebikemo eby'amanyi (mu kubuza abantu), sitaane emu ejja (neeyanjula byekoze) n'egamba nti nkoze kino ne kino, (Ibiliisu) n'egamba: tolina ky'okoze. Endala nejja n'egamba: ssi muviiriddeeko awo mpaka bwemmwawudde ku mukaziwe, (ibiliisu) n'amusembeza n'amugamba nti: wamma ggwe (wakoze bulungi)."Musilimu (2813).
3.    Talaka eyateebwa (ekkirizibwa singa kyetaagisizza), gamba singa omukazi alina emize emibi, nga n'enkolaganaye mbi, wabula kirina okumanyibwa nti obugumiikiriza mu mbeera eno bwetaagisa nnyo naddala singa babeera balina omwana.
4.    Talaka ekkibirizibwa, singa omukyala abeera tatuukiriza mateeka ga Ddiini, oba singa abeeramu embaliga, n'abuulirirwa n'alema.
Nabwekityo omusajja bwabeera tatuukiriza mateeka ga Ddiini, oba singa abeeramu embaliga, oba nga ssi wakitiibwa, oba nga wa mpisa mbi, takwata bulungi mukyalawe, oba nga alina obulemu omukyala bwatasobola kugumiikiriza, okugeza singa omusajja abeera kigoye nga tasobola kukiika, omukazi alina ebbeetu okusaba okwawukana naye.

Okusaba talaka (okunoba) mu busiraamu.
Obulamu bw'obufumbo bwebubeera nga temuli nkwatagana, n'omukwano, n'enkolagana ennungi wakati wabafubo, mazima obulamu buno bwefuula, mukiffo ky'okubeera okutebenkeza n'okusaasira, bufuuka obulamu obw'akanyigo n'okuzitowererwa, singa abafumbo buli omu atamwa munne, newankubadde obusiraamu mu mbeera eno bukubiriza obugumiikiriza, n'okwennganga embeera. Allah agamba nti:
" وَعَاشِرُوهُنَّ بِالْمَعْرُوفِ فَإِنْ كَرِهْتُمُوهُنَّ فَعَسَى أَنْ تَكْرَهُوا شَيْئًا وَيَجْعَلَ اللَّهُ فِيهِ خَيْرًا كَثِيرًا (19) "  
Amakulu: {… Kyokka mukolagane nga nabo mu ngeri ennungi. Bwe muba nga mubatamiddwa (temubatanga), (kubanga) oba olyawo mwanditamwa ekintu, ate Allah n'akissaamu obulungi obungi.} (19)
Wabula embeera singa etuuka ku ntikko neetasobola kwenngangibwa wadde obugumiikirizibwa, mazima obusiraamu bwakkiriza omukazi okusaba okwawukana (talaka). Wabula singa obukyayi bubeera ku ludda lwa musajja okutalaka buvunanyizibwabwe, naye singa obukyayi buva ku ludda lwa mukazi eri bba, naye alina ebbeetu lw'okusazaamu obufumbo ng'ayita mu kusaba okumuta (khulu-u), era alina okuzza amahale g'omusajja geyamuwa asazeemu obufumbo, era ekyo ky'ekiraga obwenkanya bw'obusiraamu kubanga omusajja y'agaba amahale era yeeyeetikka ebisale by'okuwasa. Allah agamba nti:
" وَلَا يَحِلُّ لَكُمْ أَنْ تَأْخُذُوا مِمَّا آتَيْتُمُوهُنَّ شَيْئًا إِلَّا أَنْ يَخَافَا أَلَّا يُقِيمَا حُدُودَ اللَّهِ فَإِنْ خِفْتُمْ أَلَّا يُقِيمَا حُدُودَ اللَّهِ فَلَا جُنَاحَ عَلَيْهِمَا فِيمَا افْتَدَتْ بِهِ "
Amakulu: {… Temukkirizibwa kutwala ekintu kyonna kw'ebyo bye mwabawa (ebyabawasa); wabula mpozzi nga batidde bombiriri obutayimirizaawo (obutakuuma) nsalo za mateeka ga Allah. Bwe muba mutidde nti tebajja kuyimirizaawo nsalo za mateeka ga Allah, (olwo) tewali kibi kubo (abaami okutwala) ekyo kye baba beenunuzza abakyala……}
Ibun Abbaasi annyumya n'agamba nti; Jamiilat Bint Saluula, yajja eri Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye n'amugamba nti: ndayira Allah ssinenya Thaabiti nsobi yonna mu ddiini, wadde mu mpisa, wabula ntya (okukola)obujeemu mu busiraamu, nnamukyawa ssikyamuyinza, Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye n'agamba nti: " okkiriza okumuddiza ennimiro ye? " n'agamba nti: yye. Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye n'alagira thabiti amujjeko ennimiro ye, aleme kumwongezaamu."Ibun Hibaani.
Ekigendererwa ky'obusiraamu emabega w'ekyo, kw'ekukuuma ebitiibwa by'abantu obutakkakkanyizibwa, nabw'ekityo okukuuma abantu nga buyita mu kuggala emiryango gyonna egisibukamu obw'ononefu buleme kutuuka eri bantu, kubanga omusajja okuwangaala n'omukazi gwatayagala, nabw'ekityo omukazi okuwangaala n'omusajja gwatayagala kireeta bwewatabeerawo kukugira kwa ddiini okw'amanyi, okusaasana kw'enkolagana etali nnunngamu (embaliga) oba eyo etakkirizibwa, yensonga lwaki talaka yakkirizibwa, Era Allah ayogera mazima bulijjo nga bweyagamba nti:
" وَإِنْ يَتَفَرَّقَا يُغْنِ اللَّهُ كُلًّا مِنْ سَعَتِهِ "  
Amakulu: {Bwe baba nga baawukanye, Allah agaggawaza buli omu ku bombiriri(ng'aggya) mu bigabwa Bye …} (130)

Ebimu ku biva mu bikolwa eby'obukaba ebitalina nsalo (obwenzi).
Obusiraamu bwaziyiza obwenzi nebubuteeka mu mazambi kungwa, era nga bwebwaziyiza ensonga zonna ezisembeza abantu eri obwenzi, Sayyid Kutwubu agamba nti: " obusiraamu bwayagala kulwanisa mbeera abantu obuteeyisa nga bisolo, ebitayawula wakati wa kirungi na kibi, era buluubirira okuzimba ennyumba, n'ekisu, n'otondawo obulamu obw'awamu obutakutukawo nakuvaawo kwa mubiri gumu, era buluubirira okuzimba enkolagana wakati w'omusajja n'omukazi kunsibuko ey'obuntu ey'owaggulu, eyo efuula okusisinkana kw'emibiri ebiri, n'emitima ebiri, n'emyooyo ebiri, mu bufunze abantu ababiri, nga balina obulamu bwebumu, n'ebiluubirirwa byebimu, n'okulumwa kumu, n'omulamwa gumu, omugenda okufunibwa ezzadde eddungi, libeere omugigi omupya, ezzadde eryo erisibuka mu kisu ekimu, ng'abazadde bombi bafaayo okubalabirira nga temuli kwawukana. Okusinziira kw'ekyo obusiraamu bwakalubya nnyo ekibonerezo ky'obwenzi, n'okutuuma obw'enzi nti ssi kikolwa kya buntu, kubanga kyonoona emigaso egyo gyonna, n'ebirubirirwa ebirungi ebyo nebisuulibwa, n'ekifuula omuntu nga ali mu kifaanayi ky'ensolo, nga tataliza kikazi wadde kisajja. Kyafaako kwemalako nnyonta mu mbeera yonna, singa ate abeera asobodde okwawula, talina kigendererwa kirala kyonna okujjako okuwomerwa n'okunyumirwa. Talinaamu kigendererwa kya kwezimba, wadde okuzimba ensiye, okutuusa nti talinaayo kwegomba kwonna kuyinza kuvaamu migaso. Wabula okufaayo okw'obukuusa abantu kwebatambuliza ku nnimi naye nga mubutuufu kufaayo kwa mu nsiko (kwabisolo) nga bakwambazza ekifananyi ky'okufaayo okw'obuntu mu mbeera ezimu. Obusiraamu tebulwanisa by'etaago eby'obuntu, era tebubitwala ng'ekyenyinyalwa, wabula bubiteekateeka nebubitukuza okuva ku ddala lye ttale, nebubilinnyisa eddaala, okutuusa lwebifuuka enkola etambulirwako empisa z'omuntu kinnoomu n'abantu bonna okutwaliza awamu. Naye obwenzi naddala obwamalaaya bwambula obwetaavu bwamayengo g'omwooyo, n'obwetaavu obw'owaggulu ennyo, n'emumpisa zonna eziri mu kwegatta mu byafaayo by'obuntu ebyaava edda ennyo, olwo nekyeyoleka bukunya nga kyamanyi, nga kyenyinyalwa, mpozzi nga bwekiri mu bisolo oba n'okusukka kubisolo, olw'ensonga nti ebisolo n'ebinyonyi ebimu biwangaala ekikazi n'ekisajja okumala ebbanga ddene nga byewaayo okubeera byombi, nga tebigenda kubirala nga bwekiri mu bwenzi mu bantu abamu.  
Wano katukufundize ebimu ku kibiva mu nkolagana wakati w'abasajja n'abakazi ezitalina kkomo, era nga n'ekimu kubivaamu eky'olubeerera bwe bwenzi:
•    Okusaasana kw'endwadde nnamuzisa, n'endwandde ez'akabi, n'endwadde ezo ezibuna nga tezikoma ku nannyini kikolwa yekka, wabula zibuna bonna (nnaalumanya ne ssaalumanya). Allah agamba nti:
" وَلَا تَقْرَبُوا الزِّنَا إِنَّهُ كَانَ فَاحِشَةً وَسَاءَ سَبِيلًا (32) "
Amakulu: {Era temusemberera nga obwenzi. Mazima bwo kyali kibi kuva ddi na ddi era ly'ekkubo erisinga obubi.} (32)
Ne Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye agamba nti: "… bannange mmwe abasenguse (Muhajiruuna) ebintu bitaano bwemunagezesebwa nabyo nebituuka mu mmwe, nnekingiriza eri Allah bireke kubasangawo.Tebuyinza kusaasana obwenzi mukitundu nebabwettanira okujjako nga amataba n'endwadde bibatuukako ebyo ebitaali mwabo abaabasooka, era tebayinza kukendeeza bipimo n'ebigero okujjako nga enjala n'obwaavu bibagwira, n'okulyazamanyizibwa kw'abakulembeze, era tebayinza kugaana kutoola zzakat okujjako nga bammibwa enkuba okuva mu ggulu, era singa tebyali bisolo bandibadde tebatonnyesebwa nkuba, era tebayinza kwawukana ku ndagaano ya Allah n'omubaka we okujjako nga abalabe baabwe babeelippako okuva ebweru, nebabawambako ebyabwe, era abakulembeze baabwe bwebalekayo okulamula n'ekitabo kya Allah okujjako nga Allah ateeka wakati wabwe enjawukana." Mustadiriku (8623).
Era obwenzi bumalawo obulungi n'ekitiibwa, olw'ensonga nti akola obwenzi ammibwa obutukuvu bw'omwooyo, n'obuteerekereza bintu binyomebwa era eby'owansi, ekyo nekimufuula ng'ensolo, nga ekigendererwa kye kya kwekkusa nakumala kyetaagokye nga tafuddeeyo mungeri ki gyakimazeemu, nabwekityo obwavu bumwetoloola olw'ensimbi n'amanyi n'obudde by'asaasanya mukweyagala okutakkirizibwa,ebyo nebireeta okusalwa n'okwejjusa mu nsi nabwekityo ebibonerezo ebiruma ennyo kunkomerero.Era kiri mu zimu kunsonga ezikendeeza obuwangaazi bw'omuntu kubanga okukola eby'onoono kiteeka obulamu bwe kubunkeeke, era nsonga ereeta endwadde ezo ezivaako okufaakwe amangu.
•    Okusaasana kw'abaana bw'obwenzi. Tewali kubuusabuusa nti okubeerawo kw'abaana abammiddwa enkuza ey'obutonde nebatafuna okufiirwakwo n'okwagalwa kw'amaka, ago agalimu taata ne maama kyenkanyi. Era nebatafuna kubuulirirwa n'okulunngamizibwa ku nneyisa okuva mu bazadde bombiriri, ebyo omuntu omulala byatasobola kubawa. Waliyo akabinja mu bantu abalina embeera ezitategeerekeka, bansaalwa mu mbeera ezisinga obungi, olw'ensonga nti tebaabafaako. Anna fruwedi agamba mukitabyo kye ekiyitibwa " Abaana abatalina baabwe ku kukosebwa kw'omwoyo, okwo okulondoola enkuza y'abaana mu bifo gyebakuumirwa n'emubifo gyebarerwa, n'ebivaamu mu kutankana mu byebakola n'obulemu mu mpisa ezitalabikalabika, emisomo egikwata ku nkula y'abantu gyegitayinza kugolola okujjako nga amanyi ag'enjawula gateereddwamu singa kibeera kisobose"
•    Okusaasana kw'endwadde z'emitima ezirimu ennaku n'obukoowu, n'okuwulira obukendeevu n'okwekubagiza buli kaseera, n'okwenyooma biri mu mpeera z'okweligomba okutakkirizibwa mu ddiiini, Allah ayoyegera mazima buli jjo era yagamba nti:
" وَمِنْ آيَاتِهِ أَنْ خَلَقَ لَكُم مِّنْ أَنفُسِكُمْ أَزْوَاجًا لِّتَسْكُنُوا إِلَيْهَا وَجَعَلَ بَيْنَكُم مَّوَدَّةً وَرَحْمَةً ۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَآيَاتٍ لِّقَوْمٍ يَتَفَكَّرُونَ (21) "
Amakulu: {ne mu bubonero bwe (Allah) mazima yabatondera nga aggya mu mmwe mwennyiniabakyala mulyoke mutebenkere gyebali, era n'ateeka wakati wammwe okwagalana n'okusaasiragana. Mazima mw'ebyo mulimu obubonero (obulaga obuyinza bwa Allah) eri abantu bafumiitirize}
•    Okusaasana kw'enkwatagana ez'akavuyo wakati w'abasajja n'abakazi kisaasanya obuvuyo mu mpagaala y'abantu. Kimaanyikiddwa bulungi nti ekiwaga era ekisunda abantu okubbinkira mu binyumo, era ssente bwezibaggwako banonya amakubo gonna agasoboka, okuzifuna. Bayinza okubba, okukwenyakwenya mu nkolagana, n'okulimba, n'obukumpanya, n'enguzi n'ebirala okufuna ssente ezinaabasobozesa okutuukiriza byebagaala n'ebinyumo byabwe, nebwezibeera zaamulala, oba ssi kyo okunyaga n'okukuluusanya abalala singa babeera tebazifunye.
•    Okukka kw'ebibonerezo ebyo Allah byeyalanganisa abantu singa obwenzi busaasana mu bo. Yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye:" ekibiina kyange kijja kusigala nga kiri bulungi ebbanga lyebanaamala nga abaana b'obwenzi tebasaasanye mubo, abaana b'obwenzi bwebanaasaasana mu bo, Allah ayinza okubabunyisa ebibonerezo." Ahmad (26873)


OKUFUNDIKIRA
Tunokoddeyo mu kitabo kino era netusonga ku bimu obusiraamu byebwogera kunsoga z'obufumbo nga ekigendererwa kibeere ekisumuluzo eri oyo ayagala okweyongera okumanya ebingi ebikwatagana kunsonga eyo enkulu ennyo mu bulamu bw'omuntu, era tulabye amakubo obusiraamu mwebuyita okulunngamya n'okugulumiza ensonga z'obufumbo okutuuka ku ddaala lya ibaada, eyo esasulwa empeera singa omusiraamu abeera obwagazi abukozesezza mu kkubo ettuufu erikkirizibwa eryo obusiraamu bweryamuteerawo. Nabwekityo ekitabo kino ky'ongere abantu amanyi okweyongera okusoma ebyo ebikwata kuddiini eno enkulu ennyo, ebuna era eyeetoolodde ensonga zonna ezigasa omuntu mu bulamu bwe nga kinnoomu n'abalala bonna okutwaliza awamu.Nabwekityo eddini eyo yeetoolodde ensonga zonna ezigasa omuntu n'oluvnnyuma lw'okufa, kubanga bwalaga nti omulimu gw'omusiraamu tegufa ttayo oluvannyuma lw'okufakwe singa agukola nga anonya mpeera mu maaso ga Allah, wabula empeera z'omulimu gw'alese zisigala zimusasulwa, yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " omuntu bwafa emirimu gye gikutukawo okuleka emirimu esatu, saddaaka ekulukuta, oba okumanya okugasa, oba omwana omulongoofu asigala amusabira." Musilimu (1631)
N'ekigambo kya Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye ekigamba nti: " omuntu akowoola eri obulunngamu afuna empeera ezenkana empeera z'abagoberezibe naye nga tebakendezeddwa ku mpeera zaabwe n'akamu, ate omuntu akowoola eri obukyamu afuna ekibi ekyenkana ebibi by'abagoberezibe nga nabo tebakendezeddwa ku bibi byabwe wadde n'akamu."Musilimu (2674)
N'ekiraga obugazi bw'obusiraamu, kwekuteeka essira ku nneyisa mu buli kimu ekikwata ku bulamu bw'abantu, Hadithi nga eva ku Salmaani yagamba nti: abatakkiriza baatugamba nti: ndaba munnamwe (Muhammad) abasomesa buli kimu okutuusa nti abasomesa empisa z'okugenda mu kaabuyonjo. Nagamba nti: yye, kituufu, yatugaana okweyonja nga tukozesa omukono ogwa ddyo, oba okumala ekyetaago nga otunudde mu kibula, era yagaana n'okweyambisa obusa n'amagumba mukweyonja (okusitanja), era yatusomesa nti: omu kummwe teyelongoosanga n'amayinja agakka wansi w'asatu (3)." Musilimu (262).

Mubutuufu obusiraamu ddiini yamaanyi nnyo elondoola omuntu mu buli kikolwakye kyonna n'okusirika kwe, nebumuteekateekera obulamu bwe mu buli nsonga yonna, embeera ye ddiini eno abasiraamu bateekeddwa okugyekwatako, n'okugikwasa amagego, n'okukowoola abantu okudda eri eddiini eyo nabo beeyagalire mu bulungi byaabwo. Era abatali basiraamu basaanidde okugisoma bamanye obutufu bwaayo, nga tebaliimu busosoze basobole okumanya emigaso gyayo, banyumirwe obulungi bwayo. Mazima abusiraamu kisumuluzo kya buli kirungi, era jjiji lya buli kibi.


 
www.islamland.com