BILAL BIN RABAH OBUSIRAAMU N'OKULWANYISA OBUSOSOZE

BILAL BIN RABAH OBUSIRAAMU N'OKULWANYISA OBUSOSOZE

BILAL BIN RABAH
OBUSIRAAMU N'OKULWANYISA OBUSOSOZE

الإسلام ومكافحة التمييز العنصري باللغة اللوغندية
قصة الصحابي الجليل بلال بن رباح رضي الله عنه


Abd Ar-Rahman bin Abd Al-Kareem Ash-Sheha
د. عبد الرحمن بن عبد الكريم الشيحة


Kivvunuddwa:
European Islamic Research Center (EIRC)
& Khalid Jemba
Nekikasibwa:
Muhammad Ahmad Kaweesi
 

www.islamland.com

 


BILAL BIN RABAH
OBUSIRAAMU N'OKULWANYISA OBUSOSOZE
Mu kaseera obutamanya webwakyaakira n'okulamula kwe kibira (etteeka ly'ettale ligamba nti: ow'amanyi y'alya omunaafu), asanamu gaasinzibwa, ebikaafu (ebifudde byokka) n'ebiriibwa, obwononefu bwakolebwa, ennganda nezikutulwa era olwo okusosolagana nekuyitirira. Abantu nebensengekamu amadaala nga buli omu alaba wanjawulo ku mulala. Ow'amanyi yalyazaamanya omunafu, omugagga n’alya emmali y'omwavu era abantu nebafuula bannabwe abaddu.
Ensi eno yafuna ekitangaala n'okutumibwa kwa nabbi Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere kuye oyo eyajja n'obusiramu obwasasaana nga omuliro mu ssaanja (enku) okutuusa embeera eyapimirwangako abantu bweyakyuka era nelinnyibwa ku nfeete, ekyo nno kyakontana nendaba wamu nendowooza z'abantu abasinga obungi era nga kyavaako buli mulyazaamanya nabuli yenna eyali omuli w'emmali y'abantu mu bukyaamu okubeera nti awalana omubakaka n'obusiramu, era nga tewali kyamulanga okujjako okuba nti yajja n'amateeka g’okwawula Allah ago agalagira omuntu okuba nti asinza Allah yekka era nga gamujja kukusinza muntu munne nga ekyo kijjawo okuba nti omuntu atuula kummune oba okumufuula omuddu, amateeka agalwanyisa obutamanya wamu n’obwononefu obweyolese n’obwekwese, amateeka agalwanyisa obulyazaamaanya wamu n’okwekubira (mu mateeka) era nga gajjawo obusosoze obwali butinse mu kaseera ako nga buzimbibwa ku kwawukana mu langi, oba ekika ky'omuntu (mukazi oba musajja), oba ku musaayi (ndyo). Amateeka agawa omuntu ekifo kye Allah ky’amwagalamu ekyo'kuwebwa ekitiibwa negamutaasa obunyoomeefu n'okumukakkanyizibwa okuva eri abo abamufuula omuddu.era negamuwa emigabo gye egyo egyamuggibwako abo bakanywa musaayi.
Nabbi Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere kuye nga tannaba kutumwa Omuntu yali asinza muntu munne, oba kibumbe kya jjinja, oba kibajje, era nga omuntu afuula munne omuddu we okusinziira ku mateeka ago agakyekubira agaaliwo mu byenfuna oba mu mpangaala, nga akozesa amateeka ago okukuluusanya munne n'okutyoboola ekitiibwa kye wamu n'okubba ebyo ebiva mu ntuuyo ze.
Nabwekityo obusiraamu bwalwanyisa amateeka ago gonna agawagira obusosoze mu mpangaala y’abantu, nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuye yavaayo nagamba nti: “abange mwe abantu mazima ddala Mukama wammwe ali omu era nekitammwe ali omu, mazima tewali njawulo wakati wa muwarabu na mugwiira oba omugwiira n'omuwarabu, era tewali kusinngana wakati w’omumyufu n’omuddugavu oba omuddugavu n’omumyufu okujja mu kutya Allah” (musnad imam Ahmad).
Ebitabo bya abayindi abagoberezi ba Baraham byaali bikakasa nti abantu basinngana okusinziira ku nsibuko zaabwe, era nga bagamba Barahamu yatonda ababarahamu nga abaggya mu mumwa gwe, ate abakashitari n'abaggya mu lubiriizi lwe, olwo ate abafaisaai nebava mu bisaambi, n’abasudari nebava mu bigere, era okugaba emirimu nga kwesigamira kw'ago amadaala ga abantu, era nga abasinga obungi beebenyinyalwa, abaawansi abalinnyibwako ebigere abo abakolebwa mu bisaambi n'ebigere. Tebafuna mirimu okujjako egyawansi era nga bbo baakolebwa kuwereza ba baraham.
Nabwekityo bwe kyali ku ba yonani n’abaRomani, anti baali bagamba nti bo bakolebwa mu ngeri ya njawulo etali eyo eyakolebwamu abantu abalala abo be bayita nga baribari, era omukulu wabwe omufilosofa Aristo yakyogerako bwati; bakatonda batonda abantu mu miteeko ebiri; abamu batondebwa nga balina amagezi nga basobola n'okwesalirawo era nga be bayonani abo bebaatondebwa nga bajjuvu okusobola okubeera abasika ba bakatonda kuno kunsi era n'okubeera bakama b'abo abasigadde. Ate omuteeko omulala gwe gw'abo abatali ba yonani ababaribara, nga batondebwa nga balina amaanyi ag'omubiri wamu n'ebikwatagana n'omubiri era nga bakendevu basobole okuwereza abo abalonde ba bakatonda b'abayonani.
Era ng'abayudaaya n'abakaturiki bwebaali nga obusiraamu tebunnaba kubaawo, anti nabo baali bagamba nti kyekibinja ekironde okuva ewa katonda nti era banjawulo ku bantu abasigadde era nga batunuulira abala nga bawansi era nga erinya lyabwe lye juwaimu nga kitegeeza omukafiiri kazaambi!!, eryo nno erinnya lyayitibwa nga omuntu yenna atali mu yudaaya, era nga bagamba nti bo bakkirizibwa okukozesa n'okufuula yenna atali mu yudaaya omuddu kuba bantu ba wansi, ekyo nno Allah yakyogerako mu kur'an nagamba bwati: {ne mu bannannyini kitabo mulimu omuntu, bw’oba nga omwesize ku mmaali endulungu, agikuddiza. Era mu bo mulimu omuntu nga bw’oba omwesize ku dinaari emu, tagikuwa okuggyako nga omaze ebbanga nga omwesibyeko. Ekyo kulwokubanga bo bagamba nti tewali kuffe kkubo lyakutukiriza mazima eri abo abatamanyi kusoma. Nebogera ku Allah eby'obulimba sso nga nabo bamanyi} (q:3:75).
Ibin kathir bweyali avvuunula etteeka eryo yagamba nti “kitegeeza nti ekyabaleetera okuba nti bagaana amazima kwekuba nti bagamba mbu tebalina musango mu ddini yaabwe kulya mmaali y'abo abatamanyi nga be bawalabu kuba Allah yabakkiriza okugitwala, endaba yaabwe eri abasigadde yakunyooma era babatwala nti ba wansi abaakolebwa okuweereza abayudaaya. Bwato Allah nayogera nga annyonnyola obutuufu bwa abayudaaya nti era abantu mu maaso ge bali kimu nti era ekyo kigambo abayudaaya bakyoogera bwogezi olwokuba kyebaagala okubeera naye nga ssi kituufu: {ate nebagamba abayudaaya n’abakristayo nti: ffe tuli baana ba Allah era tuli baagalwa be. Gamba nti: lwaki nate ababonereza ku lw'ebibi bya mmwe? Nedda, wabula na mmwe muli bantu mw’abo be yatonda. Asonyiwa oyo gw’aba ayagadde era n'abonereza oyo gw’aba ayagadde. Ne Allah muyinza wa buli kimu} (q:5:18).
Na bwekityo abawalabu mu kaseera k'obutamanya beeraba ng'abantu abajjuvu bokka era nga abasigadde baali bayitibwa a-ajimu era nga balabibwa nga bawansi era bakendeevu, omubakaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere kuye yabannyonnyola nti enzikiriza yabwe eyo nfu era bubuze era nayogera ebigambo ebyafuuka ekitangaala eky'okulabirwako engeri y'okuwa muntu munno ekitiibwa era obutamuyisaamu maaso okusinziira ku nsomesa y’obusiraamu, obwo obwajja okujjawo obusosoze. mutabani wa Umar okusima kwa Allah kube kubo bombi agamba nti: yagamba omubakaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere kuye; “nalabye embuzi enzirugavu nga nnyingi nga ziyingibwamu embuzi nnyingi enjeru” ne bamubuuza nti; okivvunudde otya owaye omubakaka wa Allah? Nagamba “abatali bawarabu bagenda kwegatta na mmwe mu ddini ya mmwe n'endyo za mmwe”, ne bamugamba nti; omubakaka wa Allah otegeeza bannamawanga!! Nagamba nti; “singa obukkiriza buwanikibwa ku munyenye waggulu, abasajja abatali bawalabu bandifubye nebabujjayo abantu nebabeesiimisa nabwo” (almustadrak ala swahihayini v4 p437).
Abantu balinga eby'obugagga, anti buli omu alina eky'enjawulo Allah kyeyamubumba nakyo nga omuntu wabula ssi ng'ensibuko. Obujjuvu bwa Allah yekka, era n’obukendevu n'obumogo kimu kubitendo by’omwana adam okujjako ababaka ne ba nabbi emirembe gibeere kubo. Ekyo nno kyayingira mu mitima gyabasiraamu nebatandika okwenkanya mu nkolagana n’abalala nga bagoberera enjigiriza y'obusiraamu, Mustawrdi alkurashi ayogera nga ali mumaaso ga amru bin al-aas nti yawulira omubakaka wa Allah nga agamba nti “enkomerero ejja kuyimirirawo nga abazungu (abarooma) bebasinga obungi”amru namugamba nti kakasa wetegereze) byogera, na mugamba nti; njogera byennawulira okuva ku mubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere kuye, amru namugamba nti bwoba nga bwotyo bwogambye amazima abantu abo balina ebitendo bina; balina obunywevu nga bagezesebbwa, ate webafuna ekizibu bakinogera mangu eddagala, era tebaggwaamu maanyi newankubadde bawanguddwa, era nga bayisa bulungi nnyo abatesobola bamulekwa wamu n'abanafu, wabula ekyokutano kirungi kisuffu kwekuba nti tebalyazamanya bakulembeze baabwe. (muslim).
Omubakaka okusaasira n'emirembe bibeere kuye yajja okuggyawo ekitamwa ekyo eky’obusosoze, era nga ebimu ebizimbibwako enzikiriza y’obusiraamu; lyeddembe eribuna abantu bonna nga litambulira ku mateeka gennamula y’obusiraamu, eryo eryatekebwa mu nkola abo abasikira omubakaka okusaasira n'emirembe bibeere kuye oluvannyuma lw'okufa kwe nga tewali kwawula wakati wa mukulembeze negwebakulembera, oba omugagga n'omwavu. Anas okusiima kwa Allah kube kuyye, agamba nti omusajja okuva emisiri yajja ewa umar namugamba nti; nkwewaza obulyazamaanya owaye ggwe omukulembeze wabakkiriza, umar yewuunya namugamba nti: weewazizza eyeewazibwa edda. omusajja namugamba nti; nasindana ne mutabani wa Amru Bin Al-aas nemmusinga wabula yankuba obuggo nga bwayogera nti: nze omwana w'abeebitiibwa!! Umar okusiima kwa Allah kubeere kuyye yatumya Amru nemutabani we era olwatuuka nayita omusajja gwebakuba, n'amugamba nti kuba omwana w’abeebitiibwa.
Anas agamba nti yamukuba nga naffe tunyumirwa okuba nti bamukuba okutuusa wetwegomba okuba nti alekere awo, Umar n'amugamba kati omuggo guteeko mu kiwalaata kya Amru, omusajja omumisri nagamba nti: owaye omukulembeze w’abakkiriza; mazima mutabani we ye yankuba era mmaze okumusasula. Umar n'abuuza Amru nti: ani yabagamba okufuula bantu banammwe abaddu nga ba maama baabwe babazaala ssi baddu? Amru nagamba: owaye omukulembeze w’abakkiriza sakitegeera ate naye teyajja gyendi. (Ibin abdul hakamu)
Nabwekityo okukowoola eri omwenkano wakati w’abantu bonna, n'okukuba nti omuntu yenkana munne nga tewali kutunuulira byebaawukanamu kubanga bonna ekikolo n’obutonde wamu n’entandikwa kyekimu, bakyala oba basajja, beru oba baddugavu, bawarabu oba bannamawanga bonna ky’ekimu. Ekyo nno kur'an yajja nakyo era n'eyogera mu ddoboozi ery'omwanguka eryo nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuye lyeyatuusa eri abantu. Allah agamba: “Abange mmwe abantu mutye Mukama wammwe oyo eyabatonda ng’abaggya mu mwoyo ogumu, natonda nga aggya mu ye mukyaala we, n’asaasaanya nga aggya mu bombiriri abasajja n'abakazi. Mutye Allah oyo gwemusabagana naye no luganda. Mazima Allah Mukuumi ku mmwe” (q:4:1).
Ekikolo n’entandikwa era n'obuddiro bw’omuntu bumu ye Adam okusaasira n'emirembe bibeere kuye nga Allah bweyakinnyonnyola mu kur'an “mazima ekifaananyi kya (ky’okutondebwa) kwa Isa awali Allah kiri nga ekifaananyi kya Adam. Yamutonda (okuva) mu ttaka oluvannyuma n’amugamba nti: Ba n’aba” (q:3:59).
Oluvannyuma Allah yamufuula entandikwa y'okuyingiwala kw’abantu n'okusaasaana. Allah agamba mu kur'an “n’ekibalibwa mu bubonero bwe kwe kuba nga yabatonda mu ttaka, oluvannyuma nemubeera mmwe abantu abasaasaanidde mu nsi” (q;30:20).
Bwekityo nekiba nti abantu bonna bava mu taata omu ne maama omu, nga tewali njawulo wakati wabwe mu ntandikwa negyebava. Omuntu Allah gweyasooka okutonda yali Adam nga ye taata w’abantu, oluvannyuma mukyaala we Hawa nga ye maama w’abantu, oluvannyuma abantu nebatokomoka nga bava mw’abo okutuusa Allah waliragira abantu okusanawo n’enkomerero okubaawo. Kati lwaki abamu beekuluntaliza kubannaabwe n'okubakkakkanya, n'okubafuula abaddu, wamu n'okubanyooma nga ate ensibuko y’emu? Agamba okusaasira n'emirembe bibeere kuye “mazima Allah yabawonya okwekuluntaza okw’obubuyabuya n'okwewaana olw’abakitabwe, omukkiriza atya Allah, ate omwononefu yafiirwa, abantu bonna bava mu Adam ate Adam yakolebwa mu ttaka” (musnadi imam ahmad v2 p361).
Allah agamba; “tebali abantu wabula (kyali) ekibiina kimu; oluvannyuma ne baawukana; singa tekyali kigambo kyakulembera oku ewamukama wo wandiramuddwa wakati waabwe mw’ekyo kye baayawukanamu” (q:10:19).
Buli muntu yenna eyali abaddewo n'aliwo nasuubirwa okubaawo, bonna ekikolo ky’abwe n’entandikwa y’abwe eri emu, bonna mu ntandikwa baali ku nzikiriza emu n’olulimu lumu, wabula webayingiwala nebasaasaana mu nsi mu bitundu eby'enjawulo, nga ekyo mu butonde kyali kirina okuvaamu okwawukana mu langi ne mu butonde era nga bwekyali kirina okuvaako okwawukana mu ndowooza, empangaala wamu n’enzikiriza. Y'ensonga lwaki Allah yatuma ababaka basobole okubazzaayo ku ntandikwa yabwe era ensibuko yabwe ey'okusinza Allah yekka nga tebalina kyebamugattako. Allah agamba: “era mazima twatuma nga mubuli kibiina omubakaka(nti): musinze Allah mwekeke (okusinza)) ab’obulimba. Ne mu bo mulimu oyo Allah gwe yalunggamya, era ne mu bo mulimu oyo gwe bwakakatako obubuze. kale mutambule mu nsi mutunuulire engeri bwe yali enkomerero y’abaalimbisa (ababaka)” (q:16:36).
Obusiraamu tebutunuulira ndabika y’abantu (kungulu) nabbi wa Allah yagamba mwennyini nti: “ayinza okuba omuntu nga aswenyuuse enviri, agubasanye, ayambadde ebigoyegoye (ebikadde), abantu gwebatwala nga owa wansi. Nga bwalayilira Allah kunsonga; Allah agituukiriza” (mustadirak ala swahihaini v4 p364).
Awalala nagamba okusaasira n'emirembe bibeere kuye nti: “oyinza okulaba omuntu nga aswenyuuse enviri, nga bulyomu amwewala, naye nga bwalayilira Allah ku kintu; Allah akituukiriza” (muslim).
Olw'okuba nti waliwo abantu abayinza okukozesa okwawukana kw'abantu mu langi n’ensibuko wamu n’obutonde okusengeka abantu mu madaala, amateeka g’obusiraamu gaggya negaggala ekkubo eryo era nabbi nannyonnyola lwaki abantu baawukanya langi n’enkula nagamba nti: “Allah yatonda Adam nga amujja mu lukwata lw’ettaka lye yajja mu njuyi z’ensi yonna, olwo no abaana Adam nebajja okusinziira ku nkula y’ensi, mulimu abamyufu, abeeru, abaddugavu wamu n’abakyenvu, era nga mubo mulimu abakwata mpola nabakakanyavu, era nga wemulimu abalungi nabakyaamu” (swahihi bin hibban v14, p29).
Nekiba nti abantu bonna nga tewali kutunula butonde bwabwe oba langi oba ennimi oba ensi mwebava, bonna kyekimu era mu maaso ga Allah bali kimu. Okujjako mu kintu kimu ekirimu okwawula n'okusingagana era nakyo kwe kubeera okumpi oba ewala mu kuteeka amateeka ga Allah mu nkola n’ebyo ebikolebwa nga bigasa omuntu ne banne baawangaala nabo. Allah agamba bwati: “abange mmwe abantu mazima ffe twabatonda nga tubaggya mu musajja omu n'omukazi, ne tubafuula okuba amawanga n'ebika, mulyooke mumanyagane musobole okuyambagana. Mazima abasinga ekitiibwa mu maaso ga Allah yooyo abasinga okutya Allah. Maziima Allah amanyi, alaba” (q:49:13).
Nekiba nti Allah okutonda abantu mu bika n’amawanga ssikuba nti ekika ekimu kiba kyanjawulo ku kirala oba eggwanga erimu liba lyanjawulo kuddala, wabula kkubo lya kwetegeera na kumanyagana wakati wa’bantu era nga bwekiri nti buli muntu aba n’erinnya erimwawula ku mulala.
Allah owekitibwa agamba "mazima twawa ekitiibwa omwana w'omuntu, netubawa eby'okubasaabaza ku lukalu ne mu nnyanja. Era netubagabira mu birungi netubasukkulumya olusukkulumya ku bingi mw’ebyo bye twatonda” (q:17:70).
Ekitiibwa ekyo kibuna abantu bonna nga tewali kutaliza bantu b’ansi gundi oba kibinja gundi.
Era Allah owekitiibwa agamba;
“era Ye y’oyo eyabafuula abasika b’ensi nasitula abamu waggulu wabalala mu madaala, alyoke abagezese mw’ebyo by’abawadde” (q:6:165).
Abantu bonna nga tewali kutaliza bantondebwa kusinza Allah nakukulaakulanya nsi era n'okuyimirizaawo ekkakata ly'obusigire eryo eriri wakati waabwe n’eyatukula owa waggulu mu tteeka eryo waggulu, era nga batondebwa nga banjawulo mu nfuna ne ntonda ne ndabika ne mu bulungi n’obubi era ne mu langi nga ssi y'ensibuko yentandikwa y’abwe nga Allah owa waggulu bwagamba nti: "Ffe twagabanya wakati wabwe enfuna yaabwe {ebabeezaawo} mu bulamu bw’ensi, netusitula abamu waggulu wa bannaabwe mu madaala [n’olwekyo] Abamu balyoke bafuule bannabwe abaweereza [olw’okwetaaga gye bali]; n'okusasira kwa Mukama wo kwe kusinga obulungi okusinga ebyo bye bakunnganya” (q:43:32).
N'olwekyo, okusinziira ku mwenkano oggwo obusiramu gwebukakasaawo; abantu bonna bali kimu nsonga zino wa mmanga:
•    Okukuuma emigabo gyabuli muntu obusiramu gyebwatekawo nga tewali kusosola mu nsi oba ensibuko oba langi, era buli muntu alina eddembe eryo eritambulira ku mateeka g'obusiraamu nga ava ku ddembe eryo eritaliko kikomo ery'ebisolo erivaamu amagoba agakaawa, era nga ensi ezeeyita ezaakulaakulana zitandise okuloza ku magoba g’eddembe eryo, anti ebintu ebyalekebwa ababasooka bigenda bigwa nga biyita ku mikono gy’abantu nga abasinga obungi tebamanyi bakitabwe olw'emize emikyamu, era nga amakomera gajudde abakozi b'emisango mu bye maali n’empisa mweezo ensi ….n'ebirala bingi. Omubaka okusaasira n'emirembe bibeere kuye agamba “abange mmwe abantu; mazima Mukama wa mmwe ali omu, era ne kitammwe ali omu, mazima tewali njawulo wakati wa muwalabu n’atali muwalabu oba atali muwalabu n'omuwalabu, era nga wewatali njawulo wakati w'omumyufu n'omuddugavu oba omuddugavu n'omumyufu okujjako mu kutya Allah” (musnad imam ahmad v2 p361).
•    Abantu bonna kyekimu mu maaso g’amateeka g’obusiraamu nga tewali kwawula nsi oba ensibuko oba langi. Allah ow'ekitiibwa agamba: "Mazima Allah abalagira okuwaayo obwesigwa eri bannannyinibwo, bwemubanga mulamudde wakati w’abantu mulamulenga nabwenkanya: mazima Allah ekyo ky’ababuuridde kyengera. Ddala Katonda Awulira okuva ddi okutuusa ddi, era Alaba.” (q:4:58).
Nagamba okusaasira n'emirembe bibeere kuye; “abange mwe abantu mazima ekyazikiriza ababasooka, ow'ekitiibwa mu bo bwe yabbanga nga bamuleka, ate omunafu bweyabba nga olwo nga yye bamuwa ekibonerezo, mbalayirira Allah; singa Fatuma muwala wa Muhammad y'abbye, nandimutemyeko omukono” (muslim).
•    Era bali kyekimu mu buvunanyizibwa n'okusasulwa ne mukusasulwa empeera. Allah agamba nti: “n’omuntu eyakola obulungi nga bwenkana obuzito bwa kanyinkuuli agenda kubulaba(abusasulwe). Era n'omuntu eyakola obubi obwenkana obuzito bwa kanyinkuuli agenda kubulaba (abusasulwe)” (q:99:7-8).
•    Era bali kyekimu mu kitiibwa ky’obuntu; oli tanyizibwa lwa langi ye, oba ensi ye oba olwekyo kyagoberera oba olwe enzikiriza ye. Allah agamba “temuvumanga abo be basaba abatali Allah, kubanga (abagoberezi) bandivuma Allah ku lw’obulumbaganyi awatali kumanya. Bwe kityo twawundira buli kibiina (emirimu gyabwe) oluvannyuma eri Mukama wabwe bwe buddo bwabwe. Ne tubategeeza ebyo bye baalinga bakola” (q:6:108).
•    Era bali kyekimu mu kuba nti omusaayi gwabwe n’ensa zabwe byamizizo, omubakaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere kuye agamba nti: “mazima ddala omusayi gwammwe nemmaali yammwe n’ensa zammwe wakati wammwe byamizizo nga olunaku lwammwe luno mu mwezi gwammwe guno mu nsi yammwe eno. Oyo yenna ali wano ategeeze ataliiwo anti gwebategezezza asobola okutegeera okusinga oyo amutegezezza” (bukhali).
•    Era bali kyekimu mu kufuna obukulembeze obwo obuzimbibwa ku bisanyizo n'obusobozi. Adiyyu al-kandi agamba nti omubakaka okusaasira n'emirembe bibeere kuye yagamba; “ abange mmwe abantu; oyo yenna awebwa obukulembeze neyekunika ekintu ekyenkana wuzi oba okusingawo nga tekimuwereddwa aba amaze okukumpanya era agenda kuletebwa nakyo ku lunaku lw'enkomerero nga kiri mu nsingo ye” omusajja omuddugavu nayimuka.Anas agamba nti nga amulaba ali mu kibinja ekyabo abataasa omubakaka, nagamba: owaye omubakaka wa Allah nzijaako obukulembeze, nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuye namubuuza nti; “lwaki oyogedde bwotyo?” omusajja namugamba nti; olw'ebigambo byempulidde nga oyogera. Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuye nagamba “nkiddamu, oyo yenna gwetuwa obukulembeze aleete buli akamuwereddwa, kyebamukkirizza okutwala akitwale ate ne kyebamuganye okutwala akireke” (swahih bin bin hibban v11, p 469).
•    Era nga bwebali kyekimu mukukozesa ebirungi ebyo Allah byeyateeka kuno kunsi. Allah owekitiibwa agamba nti: “abange abantu! Mulye mw’ebyo ebiri ku nsi ebitukuvu, ebirungi, temugobereranga makubo ga sitaane mazima ye mulabe wammwe omweyolefu” (q:2:168).
•    Bali kyekimu mu kusinza Allah mu bw'omu bwe nga tebamugattako kintu kirala. Obusiraamu ddini ey’abantu bonna awatali kutaliza langi, ekikula oba ensibuko fenna tuli baddu ba Allah. Allah agamba mu kur'an “abange mmwe abantu; musinze mukama wammwe: oyo eyabatonda n’abo ababasooka olwo mubeere abatya Allah” (q:2:21).
Era nga bwekiri nti obusiraamu bujjirawo ddala ekyo kyonna ekiyinza okuleeta obusosoze obutamwa mu bantu oba n'okubwogerako obwogezi. Waathirat bin al-asqai okusiima kwa Allah kubeere kuye agamba nti: Nnabuuza omubaka wa Allah ousaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: obusosoze kyekki? Nnabbi nagamba nti: "kwekuyamba abantu bo okukola obulyazamnaya" (Abu Dawuda)
Nnabbi wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yagamba “oyo yenna alwanira wansi we bendera y'obutamanya, ng'alwana lw’abantu be era nga anyiiga lw’abantu; okulwana kwe okwo kuba kwabubuze” (swahihi nasai, ne swahihi bin majah).
Obusiraamu tebupima muntu kusinziira ku kika oba amaka mwava; kyova olaba Nnabbi yalaga okwagala kwe eri Suhaibu omuzungu ne Salman omurooma ne Bilal bin rabah omuhabasha natuuka n'okumusanyusa nti ali mu bantu b'omujjanah.
Mu ngeri yeemu yayolesa obukyayi eri taata we omuto Abu lahabi oyo eyakkibwako essuula nnamba esomebwa buli lunaku okutuusa enkomerero lwelibaawo nga emulaganyisa ebibonerezo ebikakali. Allah agamba “gizikiridde emikono gya abi-lahabi naye nazikirira. Temugasizza emmaali ye n’ebyo byeyafuna. Ajja kwesogga omuliro oguyina ennimi” (q:111: 1-3).
Bwetutunula mu kuraan ssemateeka w'abasiraamu asooka, eyo eyassibwa ku bantu bonna tulabayo erinnya ly’omuddu Lukuman omuhabashi oyo Allah gweyawa okutegeera era essuula nnamba nekka mu linnya lye nga emuwaana era nga emenya ebirungi bye, okwo nno nga kwotadde essuula ezatumibwa amannya ga ba Nnabbi n'ababaka, n'abakkiriza abannamaddala nga essuula ya Nuhu, Ibrahim, Al-imran, Mariam, yusuf, yunusu, Muhammad.. nendala nyingi, ezisomebwa abasiraamu mu kusaaala kwabwe ku makya n'ekiro. Nga ekyo kikolebwa okusobola okunyweza omusingi gw’okwenkanya wakati w'abantu bonna mu mitima gy’abasiraamu era kisigale mu birowoozo byabwe.
Habasha; kitundu mussemazinga wa afirika nga abantu baayo abasinga baddugavu, nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuye yalagira ba swahaba be mu ntandikwa y'obusiramu basengukire eyo oluvannyuma lw’abakuraish okubanyiiza n'okubanyigiriza. Yabagamba bwati: “kubutaka bwa Habasha waliwo kabaka nga tewali ayinza kulyazaamanyiza mumaaso ge yenna, mugende gy’ali okutuusa Allah wanabaterawo obufulumiro ku kino kyemuliko” (silsilatu aswahihi).
Kabaka waayo najaashi bweyafa; nabbi yagamba (baswahaba) nti “mumusaalire”, nebamugamba nti; tusalire omuddu omuhabasha! Allah nassa etteeka mu kur'an “era ddala mazima abamu mu bannannyini kitabo mulimu omuntu akkiriza Allah n’ebyo ebyassibwa ku bo, nga bagondera Allah. nga tebawaanyisa na bigambo bya Allah eby’omuwendo omutono..” (q:3:199)
Nagamba okusaasira n'emirembe bibeere kuye; “musabire muganda wammwe Allah amusonyiwe” nabasimbya ennyiriri mu kibangirizi n'akuba takibiira nnya (4).
Etteeka ly'okwenkanya w'abantu tekyaali kirowoozo na mboozi wakati wa nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuye nebagoberezi be, wabula yakiteekera ddala mu nkola. Wetulaba usaama Nnabbi gweyata okuva mu buddu era nga mutabani wa zaidi nga naye yali muddu nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuye n'amuta, yali muddugavu nga enyindo ye yagwamu naye nga nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuye amusitula ne mutabani wa muwala we fatumah; Hasan nga bwagamba “Ayi Allah nkusaba obaagale amazima nze mbaagala” (bukhali).
Aisha okusima kwa Allah kubeere kuye agamba nti tewali asanidde kunyiiza usamah oluvannyuma lwokuwulira nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuye nga agamba nti “oyo yenna ayagala Allah n'omubaka we ayagale usamah” (ahmad).
 Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuye weyagambira nti “oyo yenna anjagala ayagale usamah” (muslim).
Yali omubakaka okusaasira n'emirembe bibeere kuye nga agobereza ebigambo bye ebikolwa, Aisha okusima kwa Allah kubeere kuye agamba nti lumu nabbi yali ayagala okulongoosa usamah ennyindo namugamba nti leka nze mulongoose nabbi nagamba “Owaye Aisha mwagale mazima nze mwagala” (almushkatu).
Ekinene kwekyo nti Nnabbi yamufuula ssabaduumizi w’eggye erigenda okulwanyisa abazungu era omukulembeze w’eggye erijuddemu abagoberezi ba Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuye abanene abebitiibwa, abamu ku bagoberezi kyabasukkako era nebeemulugunya, wabula nnabi bweyakitegeerako yalinnya ekituuti kye natendereza Allah era n'amusuuta oluvannyuma nagamba nti “ okuba nti mwemulugunya kubukulembeze bwe, ssi kyekisoose, era bwemutyo bwemwakola ku kitaawe, Mbalayirira Allah, mazima yye alina ebisaanizo byabwo era nga abusanidde. Nga bwekiri nti kitaawe yali mu banfanfe bange, mazima naye ali bantu bensinga okwagala oluvannyuma lwa kitaawe” (bukhali ne muslim).
Omubakaka okusaasira n'emirembe bibeere kuye bwatyo yafa nga eggye lya Usaama terinnaba kworekera burooma, Abubakari okusiima kwa Allah kubeere kuye yasikira Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye oluvannyuma lw’okufakwe era natandika okussa mu nkola ebyo Nnabbi byeyali amaze okutegeka nga mu byo mulimu okusindika eggye lya Usaama. Umar okusiima kwa Allah kubeere ku ye yagenda ewa Abubakari namugamba nti; Abamu kubataasa ba nabbi balaba nti ekifo kya Usaama wanditaddewo omuntu amusingako ku myaka. Abubaker yanyiiga namugamba; maamawo nga yakufiirwa mutabani wa Khattwabi! Omubakaka wa Allah yamulonda abeere omudumuzi ate nze mbumujjeko! Neweziba nsolo nkambwe nga zigenda kundya; nkulayirira Allah nngenda kutuma Usaama.
Bwatyo omuvubuka omuddugavu Usaama yavaayo ayolekere eddwaniro ne Abubaker navaayo amusiibule, Usaama aba ali ku nsolo ye nga alaba Abubaker atambula, namugamba; owaye omusika w’omubakaka wa Allah, nkulayirira Allah linnya oba ssikyekyo nze ngenda kukka. Abubaker namugamba: nkulayirira newokka wansi sigenda kulinnya nsolo, nze sikirinamu buzibu kuddugala bigere nga ndi mu kkubo lya Allah.
Oluvannyuma Abubaker yasaba Usaama okusiima kwa Allah kubeere kuye akkiriza Umaru okusiima kwa Allah kubeere kuye asigale mu Madiina amuyambeko ku mirimu gy’obukulembeze. Bwatyo naawa ekyokulabirako ekirungi ekyokusaba omukulembeze olukusa newankubadde muto.
Yatandika okusaasira n'emirembe bibeere ku ye okuteeka mu nkola okwenkanya wakati w’abantu nga atandikira ku ye mwennyini. Kimanyikiddwa bulungi nti yali nabbi waffe okusaasira n'emirembe bibeere kuye asinga abantu bonna olulyo olulungi era nga wakitiibwa mu bantu be, era nga n'ekika kye kye kyaali kisinga ekifo ekyawaggulu mu bawalabu era nga kw’ekyo tewali awakana, naye wamu n’ekyo yagamba okusaasira n'emirembe bibeere kuye; “temunngulumiza nga abakurisitaayo bwebagulumiza mutabani wa Mariyamu, mazima nze ndi muddu. Mumpite muddu wa Allah era omubakaka wa Allah” (bukhali).
Era omubakaka okusaasira n'emirembe bibeere kuyemikifo kye kyalimu, mukitibwa kye, n’olulyo lwe afumbiza zaid eyali omuddu muwala wa ssenga we zainabu bint jahshi.
Yali omubakaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere kuye nga afuba okusiga omusingi g’okwenkanya (wakati wa abantu) mu mitima gy’abagoberezi be nga ayita mukuba nti yeebuza oyo yenna gw’alwawo nga tamulaba nga talina kwawula kwonna wakati waabwe. Abu-Huraira agamba nti waliwo omukyala omu omuddugavu eyali alongoosa omuzikiti, omubakaka wa Allah yamala akaseera nga tamulaba nabuuza gyeyadda, nebamugamba nti yafa, nagamba “lwaki temwangamba?” kweggamba nga balinga abanyooma okufaakwe, oluvanyuma yagamba nti “mundage entaana ye” nebagimulaga olwo nno namusaalira (okusaalira kw’omufu) oluvannyuma nagamba nti “mazima entaana zino zijjudde ekizikiza, wabula Allah azitekamu ekitangaala nakusabira abo ababa bafudde” (bukhali).
Nga bwekiri nti era yali nga okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yerekereza naawe nga mu kyo kwagala kwesamba bya kwewunda byansi eno nga tayawura mu kuwaayo nti ono walangi ki oba nsi ki. Hakim bin hizam agamba Muhammad ye muntu gwe yali asinga okwagala nga obusiraamu tebunaggya, wabula bweyakkako obubaka nagenda emadina, hakimu yagenda mukatale nasisinkana ekyambalo mu nkola ya razin (yali kabaka wa yemen), nabuuza ssente kyezigula nebamugamba nti: dirihamu amakumi ataano (50), yakigula nagenda nakyo eri nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga ayagala ku kimutonera Nnabbi nakigaana. Ubaidullah Agamba nti alowooza nabbi yagamba nti “tetukkiriza biva mw’abo abatali basiraamu wabula ndututte nakuwanyisiganya na mu wendo gwakyo” Nnabbi namuwa omuwendo gwakyo olwo nakitwala. Yagenda emadinah nakyambala nalinnya ekituuti naye teyalabako Nnabbi nga anyumye okusinga olunaku olwo awo nno oluvannyuma Nnabbi olugoye yaluwa Usaama mutabani wa zaid, hakim aba atambula nasisinkana Usaama nga alwambadde nayewuunya nagamba: Usaama; naawe oyambala olugoye lwekola ya razeen!? Namugamba iyye, nze ndi wa bbeeyi okusinga ekyambalo kya razeen, era ne taata wange wa bbeeyi okusinga taata wa razeen era nga ne maama wange yali wa bbeeyi okusinga maama wa razeen.
Kiki ekyaletera Usaama okwogera ebigambo ebyo!? Mazima busiraamu, obwo obwenkanya omuntu nga tewali kusosola mu nsi oba langi era nebumuwa emigabo nga mulimu n’eddembe ly’okwogera eryo eryali libajiddwako nga obusiraamu tebunajja.
Yali okusaasira n'emirembe bibeere kuye nga atuula n’abagoberezi be era nga anyumya nabo nga amanyi n'okubabuuza ku mbeera zaabwe era nawuliriza okwemulugunya kwabwe olwo nanti natereeza ebyo ebikontana n'enjigiriza y'obusiraamu mu mpangaala yaabwe mu bigambo wamu n'ebikolwa naddala ebyo ebibaamu okunyooma oba okunojjola abalala.
Marufu bin suwayid agamba nti yasisinkana Aba dharri erabuza nga ayambadde olugoye nga lufaanana n'omukozi we owawaka lwayambadde, namubuza lwaki akola bwatyo, abu dharri namugamba nti: nafuna omuwambe nnemulangira maama we, nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuye nangamba nti “owaye aba dharri, omalangidde nnyina? Mazima oli muntu alinamu obuyisa bwa bagwaagwa, mazima abakozi abo baganda ba mmwe, Allah yabateeka wansi wa mmwe, oyo yenna Allah gwaba atadde muganda we mu mikono gye amuliise nga yye bw'alya era amwambaze kwebyo byayambala era tamuwa mulimu gwatasobola ate bwaba amuwadde omulimu gwonna amuyambeko” (bukhali).
Ono Bilal Bin Rabah omuddu omuhabasha omuddugavu, oyo ekifo kye ekyawaggulu era kyeyafuna mu busiraamu, tekirina kye kyamwongerako okuggyako okwetoowaza n'okuwa banannyini migabo migabo gyabwe. Abantu besomba nga ewuwo nga boogera ebirungi bye n’ebyo Allah byeyamuwa mu birungi, ekyo nno kyamuleetera nga kubategeeza nti yye yaani asobole obuteyibala n’okwekuluntaza era yayogera nga n'amaziga bwegakulukuta nti: nze ndi muhabasha nabadde wano nga ndi muddu jjo.
Bwe kyamutuukako nti abantu bagamba nti asinga Abubaker omusika wa Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuye asooka era omuntu asinga obulungi oluvannyuma lwaba nabbi n’ababaka yagamba bwati: muyinza mutya okunsukkulumya ku Abubaker? Mazima ddala nze ndi kirungi kimu mu birungi bya Abubaker (tarekh damashaq).
Oyo nno ye yali ayingira mu kaaba n’awandulira amalusi amasanamu oluvannyuma nagamba nti: mazima alabye era afafaaganye oyo agasinza (tareekh dashaq).
Era yooyo omubakaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye gwe yakakasaako nti ali mu bantu b’omujjana mu kaseera weyayogerera ku sswala y’okumakya nti: “owaye Bilal mbulira omulimu gw’osinga okukola mu busiraamu kuba nawulidde enswagiro z'engatto zo mu jjanah” nagamba (Bilal) nti: sirina kya manyi kyenkola wabula ssifuna wudhu misana oba kiro okuggyako nga saala ekyo ekiba kimpandiikiddwako okusaala. (bukhali)
Era yomu n’abamufaanana mu bantu ba wansi abakkibwako kur'an nga esomebwa okutuusa enkomerero lwerituuka. Bajja aba kuraish ewa nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga atudde ne Bilal, Salman alafalisi wamu ne Suhaibu omuluumi n'abalala nga Ibin ummu abdul ne Ammaar ne khabbab n'abalala mu bantu ba wansi mu bakkiriza, babayisaamu amaaso era ne bagamba Nnabbi abafunireyo akadde akaabwe nga ka njawulo nga tutuula naawe ffe abawalabu n'otutegeeza ensonga z'obusiraamu, kubanga abagenyi abawalabu tutya okutusisinkana nga tuli n’abo abaddu, bwetuba tuzze beera naffe, wetugenda olwo nga oddayo mw’abo woba oyagadde!!
Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yaddamu nti “ iyye” nebamugamba: tuwandikire nga okakasa kyoyogedde, nabbi natumya ekitabo era nayita Ali okusiima kwa Allah kubeere kuye awandiike, era nga omubakaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye kyeyali ayagala mu kyo kukozesa kakisa abantu abo bakkirize obusiraamu kubanga kyalimu okusitula obusiraamu n'abasiraamu naye nakyo obusiraamu bwakigaana kuba amateeka gaba mateeka n'empisa ziba mpisa era obubaka bwamukkako nga Allah owawaggulu agamba nti: “ togoba nga abo abasaba mukama wabwe enkya n’eggulo nga baagala oludda, tewali kintu kyonna kiri kuggwe ku kubalibwa kwabwe, tewali kintu kyonna kiri ku bo ku kubalibwa kwo olyooke obagobe, bwonoobagoba obeere owomubakalyazaamaanya(52) era bwe kityo twagezesa abamu mu bo ku bannaabwe, balyoke bagambe nti: bano be bo Allah be yagabira wakati waffe? Tali Allah amanyi abo abeebaza? (53) bwe baba nga bakujidde abo abakkiriza obubonero bwaffe, gambanga nti: emirembe gibe kummwe! Yeeraalika ko mukama wammwe ye kennyini okusaasira nti mazima omuntu akola mu mmwe ekibi mu butamanya, oluvannyuma ne yeenenya nalongoosa, mazima ye nusonyiyi, musaasizi (54)” (q:6:52-54).
Omubakaka yakasuka ekiwandiko oluvannyuma nabayita ne bajja nga bwagamba (emirembe gibe ku mmwe yeeraalikako mukama wammwe yennyini okusaasira).
Twali nga tutuula naye nga bwayagala okugenda ayimuka nagenda Allah nassa etteka erigamba “gumikirizisa omwoyo gwo nga oli wamu n’abo abasaba mukama waabwe enkya n’eggulo nga baagala oludda lwe, era tobabuusa nga amaaso nga oyagala eby’okwewuunda by’ensi; era togondeera nga oyo gwetwagayaaza mu mutima gwe nayawukana ku kutwogera ko nagoberera obwagazi bwe n’ebeera engeri ye nga yabwonoonefu bwereere” (q:18:28).
Agamba nti: yali omubakaka wa Allah nga atuula naffe oluvanyuma, nga bw'atuusa akaseera k'okugenda nga tuyimirira ne tumuleka okutuusa bwayimuka (ibin majah).
Muhabasha ki oyo eyali eyabadde eggulo nga mudddu nebukeera nga olwareero olw'obusiraamu ye mukungu!!!
Katulabe ku kyafaayo kye nga Khalid Muhammad bweyakiwandiika, agamba Khalid nti !! mazima ye “Bilal Bin Rabah” ye mwazinyi mu busiraamu eyasooka okwolesa enkowoola ey'amazima, ye Bilal omwasi wa masanamu, ye Bilal nga ani atamanyi Bilal oyo eyayingira mu mitima gy'abantu mu nsi yonna, kimu ku by’amagero by’obusiraaamu. Kubuli bantu kkumi (10) okuva obusiraamu webwatandika okutuusa Allah waliyagala musaanvu kubo bamanyi Bilal.
Kitegeeza waliwo nammungi w’abantu emirembe gyonna egiyise nga bategeera Bilal era nebakwata n'erinnya lye, era nebategeera nebyeyakolera obusiraamu bulungi nyo nga webategeera abasika ba nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuye Abubaker ne Umaru okusiima kwa Allah kubeere kubo!!
Osobola okubuuza omwana omuto eyakatambula mu mumyaaka gye egisooka mukusoma Emisiri, Pakistan, chaina, America, bulaaya, rusia, Iraq, Syria, iran, sudan, Tunisia, maghrib, Algeria, mu bunyomero bwa Afirika newaggulu wa asia, buli kitundu kya nsi ekirimu abasiraamu, osobola okubuuza omwana yenna omusiraamu nti: owaye mwana ggwe Bilal yaani?
Akuddamu nti: ye mwazinyi w’omubaka nti era ye muddu mukama we gweyali abonyabonya ne jjinja ery’okya aleke obusiraamu, naye nga agamba kimu nti: “ali omu, ali omu” (Allah).
Bwotunuulira okujjukira kw’olubereera okwo obusiraamu kwebwawa Bilal, kimanye nti: teyali nga obusiraamu tebunnaba kuggya okujjako omuddu alunda engamiya za mukama we afune embatu ze ntende aberereko obutafa.
Wabula obukkiriza bwe obutuufu, n’obukulu bwe ddiini gyeyakkiririzaamu yaweebwa mu buwangaazi bwe n’oluvannyuma lw'okufa ekifo ekya wa ggulu mu busiraamu wakati wa banene ab'ebitiibwa.
Mazima abawaggulu mu bantu era banannyini bitiibwa n’obuyinza wamu n’obugagga mu bo, tebasobola kufuna kwatiikirira okwo okw’olubeerera Bilal omuddu omuhabasha kwe yafuna!!
N'ekirala nti bangi mu bazira b’ebyafaayo tebasobola kwatiikirira Bilal kweyafuna. Mazima obuddugavu bw’omubiri ggwe n'obwetoowaze bw’empangaala ye wamu n’olulyo lwe, n’obunafu bwe eri abantu nga omuddu, tekyamugaana bweyasalawo okubeera omusiraamu, kufuna kifo ekyo ekyawaggulu, ekyo ekiraga amazima ge, n’okukakasa kwe, n'obutukuvu bwe, n'okukola kwe emirimu kulwa Allah (ikhras).
Abantu baali bamanyi nti omuntu omuddu nga Bilal omugwira. Atalina bantu be, atalina buyinza, atalina kyabugagga kyonna mu bulamu bwe, ye mwennyini kyabugagga kya mukama we oyo eyamugula n’emmali ye. Nga agenda n'akomawo wakati wembuzi z’amukama we ne engamiya wamu n’ebisolo bye.
Baali balowooza nti omuntu bwatyo aba talina kyasobola era tasobola kubeera kintu kyonna. Baagenda okulaba nga ye ayawukanye ku ndowooza zabwe bonna, nasobola okukkiriza obusiraamu abangi kyebataasobola, oluvannyuma n’abeera omwazinyi w’omubakaka eyasooka ne mu busiraamu, omulimu buli wa kitiibwa mu ba kuraish abo abasiramuka ne bagoberera omubakaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye gwe yali yegwanyiza.
Kituufu. Bilal Bin Rabah!
Buzira ki obwo.. era buzito ki obwo obusobola okunnyonyola erinnya BILAL BIN RABAH?!
Mazima ye muhabasha ava mu muzaana omuddugavu ayitibwa Hamamah. okugera kwa Allah kwali nti alina okubeera omuddu wa Umayyah Bin khalaf aljumhi emakkah, ekyo kyali nti maama we yali omu ku bazaana babwe.
Yali awangaala empangaala y'obuddu, yamala obuwangaazi bwe nga afananira ddala omwaavu asembayo, atalina kyalina mu bulamu bwe, era nga talina na ssuubi enkya!!
Amawulire ga Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere kuye ga mutuukako abantu webatandika okugasaasaanya naddala bweyawulira nga emboozi z’abakungu n’abagenyi babwe naddala “umayyah bin khalaf” omu ku bakulu b'ekika kya Jamuh ekyo Bilal kyeyalimu nga omuddu.
Yali mukama we umayyah nga anyumya n’emikwano gye oluusi, oba n’abantu b'ekika ekyo oluusi nga boogera ku mubaka okusaasira n'emirembe bibeere kuye emboozi ezikwasa obusungu n’ennaku era ezijjudde obubi. Amatu ga Bilal gaali nga gawulira ebimu ku bigambo by'oyo gwebayita omusunguwavu era omulalu, ebitendo ebimulaga eddiini eno empya era nebyeyajja nayo nga okwawula Allah, n'okukowoola abantu eri empisa ennungi ezo ezenkanyankanya wakati w’abantu wamu n’okubawa eddembe. Yalaba nga ebitendo ebyo bipya mu bantu bawangalira mu. Era nga bweyawulira nga emboozi ezijjudde obusungu obutisatiisa nga bakakasa ekitiibwa kya Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye n'amazima ge n’obwesigwa bwe n’okutegeera kwe okwawaggulu!!
kituufu, mazima ye yabawulira nga beewunya, nga bateesa kw'ebyo Muhammad bye yajja n’abyo!! Nga buli omu agamba munne nti: Muhammad tabangako mulimba, oba omulogo, oba omalalu. Bwetuba nga tetuyina kyakumunojjola nakyo, tuba tusigazza kutangira abo abagenda eri eddini ye!!
Yabawulira nga banyumya ku bwesigwa bwe, ne kukutuukiriza kwe, ne kubuzira bwe nekubutonde bwe, era ne kumagezi ge amatukuvu.
Yabawulira nga beegeya ku nsonga lwaki bamuwalana nti lwa mukwano gwebalina eri bajjajja baabwe ekisookera ddala, era n'okutya nti ekitiibwa ky'abakuraish kiyinza okugenda, ekitiibwa ekiva ku ddiini nga kyekibuga kyemizizo n'okusinza ku ssemazinga wa abawalabu, ekirala y’ensaalwa gyebalina ku nnyumba ya hashim okuba nti bo bebavaamu omubakako abatali balala!
Lunaku lumu Bilal alaba ekitangaala kya Allah, n'awulira okuva ku ntobo y’omutima gwe obulungi bw'eddoboozi lye, nagenda ew’omubakaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye n'asiramuka.
Obulamu bwa Bilal bweyasiramuka tebwali bwangu nga webwali nga tannaba nti: kwebaka nakulya nakunywa. era wayitawo katono amawulire g’okusiramuka kwe ne gasasaana kunsi ne mu bakungu mu kika kya Jamuh. abakungu abo abaali bajjula okwekuluntaza nga n'okweyibaala kubamenya!!
 Zanyigirizibwa Sitaane z'okunsi nga zikulembeddwa Umayyah bin khalf, oyo eyalaba okusiramuka kw’omuddu mu kika kyabwe ng'akamogo gyebali bonna nti era kunyoomwa na kukakkanyizibwa.
Omuddu wabwe omuhabasha asiramuse nagoberera Muhammad?!
Umayyah mwennyini nagamba nti: wekiba nga bwekiri tewali buzibu. mazima enjuba yaleero tegenda kugwa okujjako nga egudde n'obusiraamu bw’omuddu ono omujeemu!!
Naye enjuba teyagwa nabusiraamu bwa Bilal bwokka, wabula yagwa olunaku olwo n’amasanamu g’abakuraish gonna, n’abatangizi b’obusamize bonna.
Wabula Bilal; ate ye yanywera ku nsonga eyo olunywera nga teluwa busiraamu bwokka kitiibwa, newankubadde obusiraamu bwekisaanidde, wabula nga kitiibwa eri obuntu okutwaliza awamu.
Yanyweera, nagumira ebibonerezo ebikakali okunyweera kwabazira.
Allah alinga gweyafuula eky'okulabirako nti; obuddugavu, n'obuddu tebikosebwa bukungu bwa muntu singa biba n'obukkiriza, nebyekwata ku mutoonzi w, abyo era n’ebyekwata ku mazima.
Bilal yawa abasigadde essomo eri abasigadde mu kaseera ako nabuli kifo kyonna, abo abali ku nzikiriza ye oba ku nzikiriza endala. Essomo eririmu nti eddeembe ly’obwebaange tebalituunda na zaabu oba bibonerezo.
Abasooka okwoolesa obusiraamu mu ntandikwa yokukowoola musanvu (7);
 Omubakaka okusaasira n'emirembe bibeere kuye, Abubaker, ammaarne maama we sumayyah, ne Suhaibu, ne Bilal, ne Mikdad. Ye omubakaka okusaasira n'emirembe bibeere kuye Allah namuwa obukuumi nga ayita mu taata we omuto Abu-twalibi namutaangira abalabe, ate Abubaker abantu be bebamutaangira, wabula abasigadde abasamize babakwata nebabambaza amagaanduula g’ebyuuma nebabakasuka mukasana tewali muntu yenna yabataasa okutuusa webaakola ekyo kyebaali baagala, okujjako Bilal yabinyooma ku lwa Allah, nanyooma abantu be. Bamuwa abaana babiri nebamukulula mu makkah mwonna naye nga ayogera ekigambo kimu ali omu ali omu (swahihi bin hiban, v15, p558).
Baamwambula nebamuteeka ku ndogoyi nga ali bukunya ave ku busiraamu oba akumpanye okukkiriza kwe; naye nagaana.
Yafuula omubakaka okusaasira n'emirembe bibeere kuye, n'obusiraamu, okuva ku muddu omuhabasha owa wansi essomo eri abantu bonna okubeera nti bawenggana ekitiibwa wamu n’okulwanirira eddembe okubeerawo.
Bamufulumya nga mukasana akangi, eddungu weryokeza nga omuliro ogutta. Nebamukasuka kuluyinja nga ali bwereere oluvannyuma nebareeta ejjinja eribabula nga omuliro nga liyiringisibwa omuwendo gwa abasajja, nebalimuteekako ku mubuli gwe nekukifuba kye.
Ebibonerezo eby’ekitemu bwebityo byaddiringgana ku Bilal buli kanaku, okutuusa abamu kubaali bamubonereza web’afunamu ekisa nebagamba bannabwe balekere awo okumubonyabonya kukakwakkulizo nti awaane bakatonda babwe newekiba kigambo kimu kyokka kikuume okwekuluntaaza kwabwe, era abantu baleme kugamba nti aba kuraishi bawanguddwa omuddu wabwe.
Wabula nekigambo ekyo ekimu ekyaangu ky’okwoogera nga takitegeeza basobole okumereka ate nga n'obukkiriza bwe busigaddewo, Bilal yagaana okukyoogera!!
Iyye, yagaana okukyoogera era nasigala nga ali kukigambo kye “omu omu”, nga webamugamba nti yogera nga wetugamba, nabaddamu mu ngeri yokujerega eyewuunyisa era okubabula nti “olulimu lwange telusobola kubyoogera ebyo!!..”.
Bilal yasigala mubibonerezo ebyookya nejjinja lye, nga obudde webuwungeera olwo nga bamujjayo nga bamuteeka omuguwa mu bulago olwo abaana nebawalula ku nsozi zo mumakkah n’amakubo, nga Bilal talina kyayogera okuggyako “omu omu”.
Nga buli lwaggulo bamulamuza nti enkya yogerayo obugambo obulungi ku bakatonda baffe, gamba nti katonda wange llata ne uzzah tukuleke, tukooye okukubonyabonya, tuli nga ffe kati abebonyabonya!
Bilal nga anyeenya mutwe nga bwagamba nti “omu. omu”!! olwo umayyah bin khalaf nasaamba nga bwajudde obusungu nga bwalekaana nti kisiraani ki kino ekyo omuddu omubi bwati? Mulinnya lya llata ne uzzah ngenda kukufuula kyenkanyi nabakungu. Wabula Bilal nda addamu n'obukkiriza obunyweevu nti “omu omu”.
 Buli webwatuuka nga obudde bwomusaana omungi, nga Bilal batwala mu mubibonerezo bye naye nga aguminkiriza era nga munyweevu, Abubaker nagenda jebali nga bamubonereza n’ababoggolera nti: abaffe temutya Allah “omusajja musazeewo mumutte olw’okuba agambye nti Allah yemukama we” ?? okutuusa ddi? Umayyah nagamba: ggwe wamwonoona kati nno mutaase mubino by’olaba!!, abubaker nga bwaboggorera umayyah nti: nkuwadde ssente ezisinga zomwagalamu naye muleke.
Umayyah yali nga gwebajje ku njegoyego z’okufa. Yatebenkeera nawulira emireembe, weyawulira nga abubaker alamuza bilal bin rabah anti essuubi lyali libaweddemu Bilal okugondera by’ebaagala. Olwokuba nti bali basuubuzi, bakiraba nti okutuunda bilal ky’amagoba nyo okusinga okufaakwe.
Bamuguza Abubaker era namuggirawo mubuddu olwo Bilal nafuna ekifufo mubasajja abalina eddembe ly’abwe.
Abubaker bweyali atwala Bilal nga amuggya mubuddu, umayyah yamugamba nti: mutwale, nkulayirira llaata ne uzzah newankubadde nga obadde omumpaamu akasero kamu mbadde mukuwa. Awo no abubaker namanya nti abasajja essuubi ly’abadde libaweddemu nti era Bilal yali kuteebwa Abubaker azze oba tazze.
 Wabula olwokuba nti mwalimu okulaga ekitiibwa ky’oyo gw’atadde, n’omwenkano wakati w’abantu, Ababaker yaddamu umayyah nga bwagamba nti: mumazima ga Allah newawandibadde omwagalamu ebisero kikumi nandibiwaddeyo omute!
Bwatyo Abubaker yatambula nemukwano gwe nebagenda ewa nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuye amasanyuse n’okuteebwa kwa Bilal era nga kaali kabaga kanene!
Babonerezebwa abasiraamu abo abakkiriza omubakaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye ebibonerezo ebinene okuva mu ba kuraish be makkah, okutuusa omubakaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye bweyabalagira basengukire emadinah basobole okufuna ku mirembe era bawone ebibonerezo by’abakuraish abasinza amasanamu.
Oluvannyuma lw'okutebenkera kw’omubakaka n’abasiraamu mu madinah etteeka lyakka ku mubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye okubeera nti bakowoola eri esswala.
Ani agenda okubeera omukowooze we sswala emirundi etaano buli lunaku.? Eddoboozi lyasituka okuva waggulu nga lirimu takibira ne la ilaha illa llahu.? Mazima ye Bilal oyo eyabadde emyaka esatu emabega nga alekaana, nga ebibonerezo bibumalawo nti “Allah ali omu. Allah ali omu”.
Omubakaka yasalawo olunaku olwo nti Bilal yagenda okubeera omukowooze w'obusiraamu eri esswala asooka. Neddoboozi lye eddungi yatandika okujjuza emitima obukkiriza, n'amatu ebirungi nga wakowoola nti:
Allah munene. Allah munene
Allah munene. Allah munene
Nkakasa nti tewali asinzibwa mu butuufu okujjako Allah.
Nkakasa nti tewali asinzibwa mu butuufu okujjako Allah.
Nkasa nti Muhammad mubaka wa Allah.
Nkakasa nti Muhammad mubaka wa Allah.
Mujje eri sswala.
Mujje eri sswala.
Mujje eri obulunggamu.
Mujje eri obulanggamu.
Allah munene. Allah munene.
Teri asiizibwa mu butuufu okujjako Allah.
Wabula abasamize baali tebasobola kutereera nga balaba eddiini empya ekula era nga abagoberezi baayo beyongera. Wabaawo okulwana wakati w’abasiraamu n’eggye lya ab’akuraish eryo eryaggya emadinah okulwana.
Okulwana kwanyooka era nekutaba, nga Bilal agenda bwakomawo mulutalo olwasooka mu busiraamu, olutalo lwa Badri, lwe lutalo omubakaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye mweyalagira okuba nti enngombo yalwo ebeere nti: “ALLAH ALI OMU, ALLAH ALI OMU”.
Mu lutalo olwo abakuraishi bawaayo ebyobugagga byabwe ebyebbeeyi, abakungu baabwe bonna nebalwetabamu okubeera nti balwana!!
Yasalawo Ummayah bin khalaf obutagenda kwetaba mu lutalo, oyo eyali mukama wa Bilal, era eyali abonyabonya Bilal mu kwagala okumutta!!
Yali asazeewo okusigala singa mukwano gwe Ukubah bin abi mueet teyagenda gyaali oluvannyuma lw’okukitegeera obugayaavu bwe n'okugaana kwe, yagenda nekikebe ky’ebyokwewuunda by’abakazi eri Ummayah nga atudde n'abantu be, n'akimuteeka mu maaso, olwo namugamba nti, wewuunde n’ebyo kuba ggwe tokyaali musajja wafuuse mukazi!!
Umayyah yasitula eddoboozi namugamba nti: Allah akubiiyise (okubiggise), era abiiyise (abiggise) n’ebyo byozze nabyo. Era teyasobola kufuna buddiro, bwatyo n’asalawo okwetaba mu lutalo.
Ukubah yeyasinga okuwagira Umayyah okubonereza Bilal n'abasiraamu abalala abaali bakkakkanyizibwa. Era essawa zino yamusenda senda okubeera nti yetaaba mu lutalo lwe Badri olwo olugenda okuberaamu okuttibwa kwe era enkomerero ye!!
Era nga wemugenda okubeera okuttibwa kwa Ukubah mwennyini!
Umayyah yali aganye okugenda mu lutalo singa tekwali kusomoozebwa Ukubah nga wetulabye waggulu teyali wakugenda.
Naye ensonga ye erina okutuukirira, Umayyah alina okugenda mu lutalo kubanga wakati we n’omu kubaddu ba Allah waliwo okubalagana nga kwa dda, ekiseera ky'okusasula kijja, ebbaanja terifa, ate kyokola munno kyebakukola!!
Ukubah Umayyah gweyali awuliriza nga amukubiriza, era nga ayanguwa okugoberera endowooza ye mu kubonereza abakkiriza abatalina musango, era mwennyini yaamuvuga okumutwala mu kattiro ke.
Nga ani agenda okumutta?
Bilal kennyini. ate Bilal yekka!!
Emikono gyennyini Umayyah gyeyasibako enjegere era nabonereze nnyini gyo. Emikono gyennyini olwalero, mulutalo lwe Badri, mu kaseera Allah keyagera edda, wamu n’abakuraishi abo abakuba nga abakkiriza n'obulumbaganyi wamu n'obukyaayi. Ky’abawo mubujjuvu.
Olutalo welwatandika wakati w’enjuyi ebbiri, olutalo neluyinda okuva mubasiraamu abalina enngombo y’abwe nti “Allah ali omu. Allah ali omu”, umayyah yafunamu okutya kumutima era omutiisa namujjira. Mazima ekigambo omuddu kyeyali addiringgana nga ali bibonerezo ebikakali eggulo essaawa zino efuuse nngombo ya ddiini era enngombo y’ekibinja ekipya kyonna!!
“ALLAH ALI OMU. ALLAH ALI OMU??!! Bwekityo? mu bwangu obwo. n'okukulakulana okunene kutyo.??
Ebiso byayitinngana era olutalo nelutaba. Olutalo lwali lunatera okuggwa Umayyah yalaba “Abdul Rahman Bin Auf” omugoberezi w’omubakaka wa Allah, namwekwekamu, namusaba abeere omuwambe we naye nga tebamazeewo bulamu bwe.
Abdul Rahman yakkiriza namuseembeza, oluvannyuma wakati w'okulwana okwamanyi n'amuteeka mu bawambe. Awo nno Bilal weyamulabira nakowoola mu ddoboozi eryawaggulu nti "omukulu w’obukafiiri Ummayah bin khalaf. bwempona tawona”.
Yawanika ekiso amujjeko omutwe ogwo ogwali gujudde okweyibaala n’okwekulutanza, Abdul rahman Bin Aufu kwekumugamba mu ddoboozi ery’omwanguka nti “owaye Bilal mazima oyo muwambe wange”.
Muwambe nga olutalo lukyayinda? Muwambe nga n’ekitala kye kikyatonnya omusayi olwebyo byabadde akola emibiri gy’abasiraamu kaseera katono nnyo emabega?
Nedda. mundaba ya Bilal okwo kuzannyira kubwongo nakukwenya kwenya. Umayyah azannyidde kubwongo era nakwenya kwenya ekimala.
Yakwenyakwenya okutuusa ku kigero ky’okubeera nti n’olunaku bweruti mu mbeera eno nayo akwenyakwenyezaamu!!
Bilal yalaba nga tasobola kukuuma kutangira kwa muganda we mu ddiini Abdul Rahman bin Auf, bwatyo nayita n’eddoboozi eryomwangukwa mu basiraamu nti: “abange mwe abataasa ba Allah; omukulu w’obukafiiri Umayyah Bin Khalaf, bwempona tawona.”
Ekibinja ky’abasiraamu kyajja nga ebiso byabwe bitonnya okufa, nebetoroola Umayyah nemutabani we eyali alwana nga ali ku ludda lw’abakuraish, era Abdul Rahman Bin Auf teyasobola kukolawo kintu kyonna, olaba teyasobola nakutaasa byambalo bye ebyokulwana ebyo ebyasasaanira mu kavuyo.
Yamala akaseera Bilal nga atunurira omulambo gwa Umayyah nga guli wakati webiso, oluvanyuma navaawo nga bwayanguwa mubwangu nga bwakowoola nti (Allah ali omu. Allah ali omu”
Sisuubira nti kyetaagisa okubeera nti tunonyereza okusonyiwa kwa Bilal mukifo ekifanaanako bwekiti. Singa Bilal basisinkana ne Umayyah mu kifo ekitali kino, twandibadde twagwanidde okwebuuza, era nga teyandibadde omuntu nga Bilal okubeera nti akodowalira okusonyiwa.
Wabula ensisinkana wakati wabwe yali ya lutalo, buli luuyi lwajja kusanyaawo mulabe walwo.
Ebiso nga biyisingannya. Abatiddwa nga bagwa wansi era nga okufa kuyitinggana. Oluvannyuma Bilal alabe Umayyah oyo ataaleka kafo konna ku mubiri gwe okujjako nga kaliko enkovu y’ekibonerezo.
Ye nga amulabira wa era nga amulaba atya? Amulabira mu kifo kyalutalo nakuttinggana, nga ayigga n'ekiso ekyo oyo yenna gwayagala mu basiraamu, era nga abakusisinkana mutwe gwa Bilal wakiriri yandimukasukidde ekisi weyandibadde amuli walako.
Abasajja babiri webasisinkana mu mbeera bweziti, tekiba kyamumagezi amenkanya okubuuza Bilal nti: lwaki tewasonyiwa olusonyiwa olulungi??
 Ennaku ziyitawo makkah naggulwawo eri abasiraamu.
Omubaka namuyingira nga bwatoola takibira nga ali n'abasiraamu omutwalo gumu.
Yagenda eri kaabah awatali kulindiriza. Ekifo ekyo ekitukuvu abakuraish kyebaali bajjuza amasanamu emyaaka gyonna.
 Amazima gazze era obukyaamu bweyolese.
Okuva leero tewali uzzah oba llatah oba hubal (abo baali ba katonda b’abakuraish), okuva leero teri muntu agenda kuvunnamura jjinja, oba ssanamu, era tewali agenda kusinza kintu kyonna okujjako Allah oyo atalina kimufaanana kyonna, omu yekka, omunene owawaggulu.
Omubakaka ayingiira kaaba nga ali ne Bilal. Aba yakayingira yatuukira ku ssanamu lyebabajja mu kifananyi kya Ibrahimu alaihi salamu nga yeeraguza n'amasanamu, yanyiga okusaasira n'emirembe bibeere kuye nagamba nti: “Allah abakolimire, mukadde waffe teyeraguza ngako namasanamu. “tabeerangako Ibrahim mu yudaaya oba omukristaayo; naye yali ayawukanye ne ddiini zonna nga musiraamu, era tabanga wa mu bagatta katonda na bintu birala” (q;3;67).
Oluvannyuma yalagira Bilal alinnye waggulu ayaziine. Nayaziina Bilal mukaseera ak'omukisa, mu kifo eky'omukisa era ku mukolo ogwenjawulo!!
Ebintu byonna mu makkah byasikattira, abasiraamu mu langi ezenjawulo bonna nebatebenkera, nga webaddamu n'obutebenkevu wamu n'obwagazi ebigambo by'okwaziina nga bagoberera Bilal.
 Omubakaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yabuulira mu bantu be makkah nagamba nti: “abange abakuraish, mazima ddala Allah abataasizza okwewaana n’okwekuza kwababuyabuya n’endyo zaabwe. Abantu bonna bava mu Adam, ate Adam yava mu ttaka”.
Abdu llahi Bin Umar okusiima kwa Allah kubeere ku ye agamba nti: mazima omubakaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere kuye yabulirira abantu olunaku lw’okuggulawo ekibuga makkah nagamba nti: “abange mmwe abantu mazima allah abatasiizza okwewulira kw’ababuyabuya, n’okwekuza olw’endyo zabwe, abantu ba mirundi ebiri: omulongoofu atya Allah era y’owekitiibwa ewa Allah nannyini kitiibwa, n’omwononefu, omukozi wa (loosi) oyo nga wa wansi mumaaso ga Allah owekitiibwa. abantu bonna baana ba Adam, ate nga Allah yatoonda Adam okuva mu ttaka, agamba Allah owa waggulu “abange mmwe abantu! ddala ffe twabatonda nga tubaggya mu musajja n’omukazzi} okutuusa {mazima Allah amanyi, era alaba} (q:49:13).
Kigambibwa nti bweyali amaliriza khutubah ye nga yemataasibwa, abange abantu bo mu makkah mulowooza mbakolere ki?
Nebamuddamu nti kirungi muganda waffe owekitiibwa era mutabani wa muganda waffe owekitiibwa!!
Nagamba okusaasira n'emirembe bibeere kuye nti: "mugende mazima mbatadde". Olwo nno nga abasamize bonna bali mu mayumba gaabwe tebakikkiriza.
Oyo ye Muhammad n’abaavu be abo bebasindiikirizza eggulo okuva mu mayuumba gaabwe!!
Amazima ekyo nga kituufu, nga alina abantu omutwalo mulamba?
Amazima kituufu, omuntu gwetwalwanyisa, netumugoba, netutta abamu kubantu basinga okwagala??
Ekyo kituufu, omuntu ayogera naffe mu kaseera nga ensingo zaffe ziri mu mikono gye, natugamba nti: "mugende muzima muli bate!!!”
Yawangaala Bilal okusiima kwa Allah kubeere ku ye nga abeera n’omubakaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, era nga buli kibaawo abeera naye, nga mukowoozi wa sswala, nga azuukiza era nga ataangira obubonero bwe ddini eno, eyo eyamuggya mu kizikiza nemuteeka mukitangaala, nemuggya mu buddu nemussa mu ddeembe.
Nasitula ekifo ky’obusiraamu era nasitula abasiramu okutwaliza awamu. Buli bukya Bilal yayongeera nga kubeera mwagalwa eri omutima gwa Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuye, oyo eyatuuka n'okumusanyusa nti ali mu bantu bo mu jjana. Wabula era Bilal yasigala nga bwali, nga mugabi ate omwetowaze nga yeraba nga “omuhabasha abadde omuddu eggulo limu”.
Owaye Bilal tokyabalibwa mu baddu. wabula wafuuka oluvannyuma lw’okusiramuka mukama, abaffe Umar omusika w’omubakaka ow'okubiri teyakwogerako oluvannyuma lwa Abubaker okukuta nti: "Abubaker mukama waffe, yata mukama waffe” (bukhali)
Omubakaka yafa nga asiimye era nga musiimu, Abubaker omusika wa nabbi asooka natwala mumaaso ensonga z’obusiraamu.
Bilal yagenda ew’omusika w’omubaka okusaasira n'emirembe bibeere kuye namugamba nti: owaye omusika w’omubakaka; mazima omubakaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye agamba nti: “okubeera mulutalo emisana n'ekiro, kirungi nnyo okusinga omweezi mulamba n’okuguyimirira, ate bw’afa; emirimu gye tegikutukawo egyo gyabadde akola wamu ne ensako ye era awona ebibonerezo by’entaana” (muslim).
Abubaker namubuuza nti: kiki kyoyagala owaye Bilal?
Namugamba nti: njagadde ngende nnwane mu kkubo lya Allah okutuusa bwendifa.
Abubaker nagamba nti ani agenda okutwaziinira?
Bilal namugambna nga amaaso ge bwegavaamu amaziga, mazima siyina gwengenda kwaziinira oluvannyuma lw'okufa kw’omubakaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye.
Abubaker nagamba: sigala otwaziinire owaye Bilal.
Bilal nagamba: owaye omukulembeze wa bakkiriza, mazima wooba nga wangula n'onzija mu buddu kululwo; nsigaza, naye wooba nga wangula n'onzijja mu buddu lwa Allah ndeka nkole byenjagala ku lwa Allah.
Abubaker yamugamba nti: amazima nakuta ku lwa Allah owaye Bilal. amazima nakuta ku lwa Allah owaye Bilal.
Bilal yayolekera shaamu okubeerayo nga omulwanyi, era nga okwaziina kwe okwaseembayo kwaliwo mu nnaku omukulembeze w’obusiraamu Umar weyakyalirako shaamu, abasiramu nebamusaba agambe Bilal abaziinireko wakiri esswala emu.
Omukulembeze w’abasiraamu yayita Bilal nga ekiseera ky’esswala kituuse namusaba ayaziine, bwatyo Bilal yayambuka nayaziina, baswahaabah ba Nnabbi abo abalabako ku mubaka wa Allah nga ali ne Bilal nga amwaziinira, nebabuna amaziga.
Bakaaba nga abatakaaba ngako era Umar okusiima kwa Allah kubeere kuye yeyabasinga okukaaba.
Yasigala mukowooze eri eddiini y'obusiraamu owa waggulu mu nsi ye shaami, mulwanyi mu kkubo lya Allah nga bweyakyaagala okutuusa bweyafa. Mukyaala we yatuula waali mu kaseera k'okuufa nakaaba nga bwagamba nti: nga tulabye ennaku.
Bilal yasitula nga amaaso ge nga bwagamba nti: essanyu litujjidde.
Oluvannyuma yassa omukka ggwe ogusembayo nga bwaddiringgana nti:
Enkya tusisinkana abaagalwa Muhammad n’abayigirizwa be.
Enkya tusisinkana abaagalwa Muhammad n’abayigirizwa be.
Kubuwangaazi obukunuukiriza emyaaka nkaaga ne gigwaamu era ne bamuziika okumpi n'omulyango omutono mu limbo ye Damshika ettaka lyayo neribikka amagumba g'omusajja omuzira mu bazira b’obusiraamu abo abayimirira ennyimirira y'ensozi enyweevu era nebanyweera ku kwewaayo olw'amazima, mazima Allah akusiime era akuwe osiime owaye ggwe Bilal.
 EMMALIRIZA Y’EMBOOZI.
Mbulira mu mazima ga Allah kwekuza ki era kwesitula ki n’okwekulutanza wamu n’okweyita ow'ekitiibwa, obusiraamu kwebuleka mu mitima gy’abagoberezi babwo? Mazima ddoboozi lya mazima nga liri wamu n’okumwenya kw’emitima, kifuula emitima okubeera nti gyesigamidde ku Allah owawaggulu era nga myetowaze eri obunene bwe, era (emitima egyo) negyerabira obulimu bwonna, n’obuzibu bwonna bwegisisinkana mu kkubo lya Allah, era negituuka n'okubitwala nga ebiwomu gamba nga abo bannanyini masanyu g’ensi wabawulira obuwoomu nga bagalimu, naye nga tosobola kugerageranya wakati w’okuwoomerwa kwebisanyusa by’ensi ebye ebisikirwa okwejjusa era nga oluvannyuma lwabyo kusalwa, n’obuwoomu obwo obusikirwa obulamu obutaggwawo nga bujjudde ebyengera! Mazima abantu abo basalawo ekkubo ettuufu eryo erabatuusa gyeryabatuusa mu kwesiima okwo kwesisinkana ewa Allah, mazima okutuuka kwekyo kyebatuukako mu kwesiima; ssi kizibu, wabula kyetaagisa obuzira n’obuvumu okuba nti wabaawo enkyuukakyuuka. Mazima bakitegeera nti ekkubo erigenda mu jjana kwekugoberera omubakaka oyo ataaliko mulimba oba omukumpanya oba omunyazi. Wulira omu mu bo wamwoogerako nga tannaba kusiramuka, nga ye Abu sufian Bin Harbi agamba bwati: mazima hirakra (kabaka wabazungu mu kaseera ako) yabatumya nga ali n’abakuraish abaali bagenze okusuubula eshaami mu kaseera omubakaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye weyali asirisizza okulwana mu ndagaano ne Abu sufian wamu n’abakuraish abasamize, bagenda gyaali nga nabo bali Iliyaa, nabayita mu weyali atudde nga ali n’abakungu be, yabayita era nayita n'omutaputa we olwo n’agamba nti: ani mu mmwe asinga okubeera okumpi mu lulyo n’omusajja oyo eyeyita Nnabbi? Abu sufiana agambi nti nagamba nti: nze asinga okubeera okumpi naye, nagamba nti: mu museembeze wendi era museembeze banne babeere mabega we, oluvannyuma nagamba omutaputa we nti: bagambe nti ngenda kubabuuza ebibuuzo kumusajja oyo, wanniimba mumulimbise, Abu sufiana agamba nti: Amazima ga Allah singa tekwali kuswaala kubeera nti ntekebwako obulimba mubuwangaazi bwange; nandirimbye. Era kyeyasooka okumbuza nti olulyo lwe luli lutya gyemuli? Nemugamba nti: mazima yye muffe alina olulyo olulungi, nagamba nti: waliwo eyali ayogeddeko yenna ebigambo by’ayogera mu mmwe? Nemmugamba nti: nedda, nagamba nti: mubajajja be mwalimu eyali kabaka? Nemugamba nti: nedda, nagamba nti: abebitiibwa mu bantu bebamugoberera oba aba wansi? Nemugamba nti: aba wansi, nagamba nti: beyongera bungi oba bakendeera? Nemugamba nti: bayingiwala, nagamba nti waliwo ava mu ddiini eyo olw'obukyayi ku yo oluvannyuma lw'okugiyingira? Nemmugamba nti: nedda, nagamba nti: mwali mu mulowooreza obulimba nga tannaba kwogera ebyo byayogera? Nemmugamba nti: nedda, nagamba nti: abaffe akumpanya? Nemugamba nti: nedda era nga tuli naye mu ndagaano tetumanyi kiki kyagenda kukola kuyo, Abu sufiana yagamba nti: sasobola kufuna kigambo kyennyingizaawo okujjako ekyo, nagamba nti: mwali mu mulwanyisizzaako? Nemmugamba nti: ye, nagamba nti: ennwana yammwe naye yaali nga etya? nemmugamba nti: olutalo lwaffe naye lugenda kyenkanyi, atumegga naffe netumumegga, nagamba nti: kiki kyabalagira? Nemmugamba nti: agamba nti: musinze Allah yekka era temumugattako kintu kirala era muleke ebyo bakitammwe byebayogera, era atulagira okusaala, n’okusaddaaka n’ensa, n'okuyunga oluganda. Nagamba omutaputa we nti: mugambe nti nkubuzizza olulyo lwe n'ogamba nti alina olulyo olulungi, ababaka batumwa nga bava mu ndyo ennungi mu bantu baabwe, nenkubuuza nti waliwo eyali ayogedde ebigambo byayogera n'ogamba nti nedda, singa waliwo eyali ayogedde ebigambo eby'omu mu mmwe, twandigambye nti omusajja akoppa ebigambo abyaali byogeddwako. Nenkubuuza nti waliwo mu bajjajja be eyali abaddeko kabaka? N'ogamba nti nedda, Nngamba nti singa waliwo mu bajjajja be eyali abaddeko kabaka twandigambye nti: omusajja ayagala kukomyaawo bwakabaka bwa jjajja we. Nenkubuuza nti mwali mumulowolerezzako ku bulimba n'ongamba nti nedda, kuba nkimanyi nti omuntu tayinza kuleka bulimba eri abantu, ate n'alimba ku Allah, nenkubuuza abamugoberera n'ogamba nti abantu ba wansi; abo nno bebagoberezi ba babaka. Nenkubuuza oba bakendeera n'ogamba nti beeyongera bweyongezi’, nabwekityo ensonga y'obukkiriza okutuusa bwejjula. Nenkubuuza oba waliwo ava mu ddiini olw’obukyaayi, n'ogamba nti nedda, nabwekityo obukkiriza webwegatta wamu n’obwanjulukufu bw’emitima. Nenkubuuza oba akumpanya n'ogamba nti nedda, nabwekityo ababaka tebakumpanya. Nenkubuuza nti abalagira ki n'ongamba nti kusinza Allah yekka n'obutamugattako kintu kyonna, era nabagaana okusinza amasanamu, nabalagira okusaala, n’okusaddaaka, n’ensa. Mazima wooba nga byoyogera g’emazima, mazima newendi wano aggya kufugawo, era nga nze mbadde nkimanyi nti agenda kuggya wabula nga ssimanyi nti agenda kuva mu mmwe, mazima singa mbadde mmanyi nti nsobola okumutukako nandifubye nemusisinkana, era mba kuba waali nandibadde munaaza ebigere.
Oluvannyuma yatumya ebbaluwa y’omubakaka okusaasira n'emirembe bibeere kuye eyo jeyali awadde Dihiyat okusiima kwa Allah kubeere ku ye nga egenda ewa omunene we basirah, bwatyo nagiwaayo ewa Hirakra era nagisoma nga mulimu nti: n’erinnya lya Allah omusaasizi wensaasira ebbiri kuno ku nsi agenda okusaasira abakkiriza bokka olunaku lw’enkomerero, okuva ewa Muhammad omuddu wa Allah era omubakaka we, eri Hirakra omunene wa luumu, emireembe gibeere eri oyo agoberera obulunngamu, oluvannyuma lwebyo; mazima nze nkukowoola n'enkowoola y’obusiraamu nti siramuka owone, Allah akuwe empeera za mirundi ebiri, wabula wonagaana mazima ogenda kufuna ezzambi lyaba( Arisiyyuun) gamba nti: “abange bannanyini kitabo mujje eri ekigambo ekyenkamunkamu wakati waffe nammwe: tuleme kusinza mulala yenna wabula Allah! Tuleme okumugattako kintu kyonna. Era tuleme kusinza abamu muffe okuggyako Allah. bwe babeeranga bakyuse. mugambe: mujulire nti mazima ffe tuli basiraamu” (q:3:64) agamba Abu sufian nti weyamala okwogera byeyayogera era namaliriza okusoma ebbaluwa, okuleekaana kwayitirira era malaboozi negasitulwa olwe ffe netufulumizibwa, nenggamba bannange nga tufulumye; mutabani wa Abi kabishah (nga ategeeza nabbi) ensonga ye ekutte omuliro. Nekabaka wa luumu naye amutidde! Mazima nasigala nkikakasizza nti ensonga ye ejja kweyoleka okutuusa Allah weyannyingiza obusiraamu, era nga yali Alnadhuri omukulu we kibuga iliya ne Hirakra nga ba (bishopu) mu bakristayo be shaami, agamba nti hirakra weyagenda eliya okuva olwo omutima gwe gwabiiwa, abamu abamu kubanne nebamugamba nti twetamiddwa embeera zo. Ibin alnadhuuri agamba nti hirakra yali mulaguzi nga yelaguza ne munyeenye, nabagamba wemubuuza nti: nze nalabye ekiro bwennatunudde mu mmunyenye kabaka nga mutayirire nga amaze okweyoleka, bani abekomola bantu baffe? Nebamugamba nti tewali beekomola okujjako abayudaaya, tebakumalira biseera gwe tuma butumi eri buli mukulembeze wekibuga kyonna atte buli mu yudaaya, baali bakyali ku nsonga yaabwe newabaawo omusajja eyajja ewa hirakra okuva ewa kabaka we gassaani nga ategeeza amawulire g’omubakaka okusaasira n'emirembe bibeere kuye, hirakra bweyamala okufuna amawulire ago yamugamba nti genda omwetegereze oba mukomole, nebamutunulira nebabagamba nti mukomole, nemmubuuza ku bawalabu nagamba nti bakomola, awo hirakra nagamba nti oyo ye kabaka w'ekibiina kino amaze okweyoleka, oluvannyuma yawandiika eri mukwano gwe owe ruumi era nga bombi bali beelaguza,era hirakra nagenda ehimswa era yali yakatuuka Ehimswa ebbaluwa okuva ewa mukwano gwe nemutukako nga munne yalabye kyekimu kyennyini ekyokujja kwa Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti era nti era Nnabbi wa mazima, hiraqra yakowoola abanene be mu ruumi nebakunngaana mu lubiri lwe hamswi oluvannyuma n'alagira enzigi neziggalwa olwo nayogera eri abantu be nabagamba nti wemuba mwagala okubeera nessanyu wamu n’obulunngamu era n’obwakabaka bwammwe okunyweera; mugoberere Nnabbi ono, baleekaana nga entulege nga bwebafuluma, baagenda okutuuka ku miryango nga miggale olwo Hirakra bweyalaba okudduka kwabwe najjayo essuubi ly’okukkiriza kwabwe yabakowoola nti mukomeewo gyendi, nabagamba mazima njogedde ebigambo byange gyebuvuddeko nga njagala kugezesa bunywevu bwa mmwe ku ddiini yammwe era mmaze okubalaba, baamuvunnamira era nebamusiima. eyo yeeyali enkomerero ya Hirakra. (yayogerwa swalih bin kaisaani ne yunus ne maumar nga bagijja ku zuhuri).

 
www.islamland.com