HADIITH AMAKUMI ANA EZA NAWAWI

era nga kirimu okuvvunula hadiitha ana eza Imaam Nawawi, mu lulimi oluganda.


HADIITH AMAKUMI ANA EZA NAWAWI
اللوغاندية >- LUGANDA- Oluganda <

KYAWANDIIKIBWA:
Abu Zakaria Al-Nawawi


KIVVUNUDDWA:
FAROOQ ABDULNOOR NTANDA
KYEKENENYEDDWA:
ABDULRAHMAAN IBRAHIIM MUKISA

الأربعون النووية
        
أبو زكريا النووي


الترجمة: فاروق عبدالنور انتاندا

المراجعة: عبدالرحمن إبراهيم موكيسا
 
    


متن الأربعين النووية    Hadiith amakumi ana eza Imaam Al- Nnawawi
بسم الله الرحمن الرحيم    Ku lw'elinnya lya Allah omusaasizi ow'ekisa ekingi
الحديث الأول    Hadiith esooka
إنما الأعمال بالنيات    Mazima emirimu gituuka nakumalirira (Kunuyirira)
عَنْ أَمِيرِ الْمُؤْمِنِينَ أَبِي حَفْصٍ عُمَرَ بْنِ الْخَطَّابِ -رضي الله عنه- قَالَ: سَمِعْت رَسُولَ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم- يَقُولُ:    Eva ku Mukulembeze w’abakkiriza Abi Hafswa Umar bun Al-khatwaabi (Allah yasiima kuye) yagamba nti: Nawulira omubaka wa Allah okusaaasira n’emirembe bibeere kuye nga agamba nti:
إنَّمَا الْأَعْمَالُ بِالنِّيَّاتِ، وَإِنَّمَا لِكُلِّ امْرِئٍ مَا نَوَى، فَمَنْ كَانَتْ هِجْرَتُهُ إلَى اللَّهِ وَرَسُولِهِ فَهِجْرَتُهُ إلَى اللَّهِ وَرَسُولِهِ، وَمَنْ كَانَتْ هِجْرَتُهُ لِدُنْيَا يُصِيبُهَا أَوْ امْرَأَةٍ يَنْكِحُهَا فَهِجْرَتُهُ إلَى مَا هَاجَرَ إلَيْهِ.    “Mazima emirimu gyonna gituuka nakumalirira – okukkirizibwa n’okutuuka mu bujjuvu bwaagyo kisinziira kubigendererwa byannyini gyo (Niyyah ye) era mazima buli muntu afuna empeera z’ekyo kyaba agenderedde, omuntu bwekubeeranga okusenguka kwe, asenguse kulwa Allah n’okutaasa omubaka we, empeera z’okusenguka kwe ziri wa Allah n’omubaka we, n’omuntu okusenguka kwe bwekuba nga asenguse lwa nsi nga gyayagala okufuna oba lwakuwasa mukyala gwayagala empeera y’okusengukakwe yebeera ekyo ekimusengusizza”
رَوَاهُ إِمَامَا الْمُحَدِّثِينَ أَبُو عَبْدِ اللهِ مُحَمَّدُ بنُ إِسْمَاعِيل بن إِبْرَاهِيم بن الْمُغِيرَة بن بَرْدِزبَه الْبُخَارِيُّ الْجُعْفِيُّ [رقم:1]،    Yayogerwa Imaam w'aba Hadiith Abu Abdallah Muhammad bun Ismail bun Ibrahiim bun Mugiirah bun Bardizabah Al Bukhar No.1
وَأَبُو الْحُسَيْنِ مُسْلِمٌ بنُ الْحَجَّاج بن مُسْلِم الْقُشَيْرِيُّ النَّيْسَابُورِيُّ [رقم:1907] رَضِيَ اللهُ عَنْهُمَا    Ne Abu Al-Husain Muslim bun Al-hajjaaj bun Muslim Al-qushairy Al-naisaabuury No. 1907 - Allah asiime kubo bombiriri
فِي صَحِيحَيْهِمَا اللذِينِ هُمَا أَصَحُّ الْكُتُبِ الْمُصَنَّفَةِ.    Mu bitabo byabwe bombiriri ebisinga okuba ebituufu mubitabo bya Hadiith
الحديث الثاني    Hadiith ey'okubiri
مجىء جبريل ليعلم المسلمين أمر دينهم    Okujja kwa Jibriir okusomesa Abasiraamu eddiini yabwe
عَنْ عُمَرَ -رضي الله عنه- أَيْضًا قَالَ:    Eva Ku Umar - Allah yamusiima - era yagamba nti:
بَيْنَمَا نَحْنُ جُلُوسٌ عِنْدَ رَسُولِ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم- ذَاتَ يَوْمٍ، إذْ طَلَعَ عَلَيْنَا رَجُلٌ شَدِيدُ بَيَاضِ الثِّيَابِ، شَدِيدُ سَوَادِ الشَّعْرِ، لَا يُرَى عَلَيْهِ أَثَرُ السَّفَرِ، وَلَا يَعْرِفُهُ مِنَّا أَحَدٌ. حَتَّى جَلَسَ إلَى النَّبِيِّ -صلى الله عليه وسلم-. فَأَسْنَدَ رُكْبَتَيْهِ إلَى رُكْبَتَيْهِ، وَوَضَعَ كَفَّيْهِ عَلَى فَخْذَيْهِ، وَقَالَ: يَا مُحَمَّدُ أَخْبِرْنِي عَنْ الْإِسْلَامِ. فَقَالَ رَسُولُ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم- الْإِسْلَامُ أَنْ تَشْهَدَ أَنْ لَا إلَهَ إلَّا اللَّهُ وَأَنَّ مُحَمَّدًا رَسُولُ اللَّهِ، وَتُقِيمَ الصَّلَاةَ، وَتُؤْتِيَ الزَّكَاةَ، وَتَصُومَ رَمَضَانَ، وَتَحُجَّ الْبَيْتَ إنْ اسْتَطَعْت إلَيْهِ سَبِيلًا. قَالَ: صَدَقْت. فَعَجِبْنَا لَهُ يَسْأَلُهُ وَيُصَدِّقُهُ! قَالَ: فَأَخْبِرْنِي عَنْ الْإِيمَانِ. قَالَ: أَنْ تُؤْمِنَ بِاَللَّهِ وَمَلَائِكَتِهِ وَكُتُبِهِ وَرُسُلِهِ وَالْيَوْمِ الْآخِرِ، وَتُؤْمِنَ بِالْقَدَرِ خَيْرِهِ وَشَرِّهِ. قَالَ: صَدَقْت. قَالَ: فَأَخْبِرْنِي عَنْ الْإِحْسَانِ. قَالَ: أَنْ تَعْبُدَ اللَّهَ كَأَنَّك تَرَاهُ، فَإِنْ لَمْ تَكُنْ تَرَاهُ فَإِنَّهُ يَرَاك. قَالَ: فَأَخْبِرْنِي عَنْ السَّاعَةِ. قَالَ: مَا الْمَسْئُولُ عَنْهَا بِأَعْلَمَ مِنْ السَّائِلِ. قَالَ: فَأَخْبِرْنِي عَنْ أَمَارَاتِهَا؟ قَالَ: أَنْ تَلِدَ الْأَمَةُ رَبَّتَهَا، وَأَنْ تَرَى الْحُفَاةَ الْعُرَاةَ الْعَالَةَ رِعَاءَ الشَّاءِ يَتَطَاوَلُونَ فِي الْبُنْيَانِ. ثُمَّ انْطَلَقَ، فَلَبِثْنَا مَلِيًّا، ثُمَّ قَالَ: يَا عُمَرُ أَتَدْرِي مَنْ السَّائِلُ؟ قَلَتْ: اللَّهُ وَرَسُولُهُ أَعْلَمُ. قَالَ: فَإِنَّهُ جِبْرِيلُ أَتَاكُمْ يُعَلِّمُكُمْ دِينَكُمْ.    Twaali tutudde awali Omubaka wa Allah olunaku lumu, neyeyoleka gyetuli omusajja nga engoyeze njeru nnyo n’enviirize nga nzirugavu nnyo nga talabikako kabonero ka lugendo era nga tewali n’omu muffe omumanyi okutuusa bweyatuula awali Nabbi – (s.a.w), nasisinkanya amaviivige n'amaviivi ga Nabbi (s.a.w), nassa ebibatu bye ku bisambi bye n’agamba nti; owange Muhammadi Mbuulira (kubikwaata) kubusiraamu? Nagamba Omubaka wa Allah (s.a.w) nti: Obusiraamu kwekujulira n’okukakasa nti tewali kisinzibwa mubutuufu okujjako Allah era mazima ddala Muhammadi Mubaka wa Allah, n'okuyimirizaawo esswallah ettaano buli lunaku, n'okutoola zakkah mu mmaali yo, n'okusiiba omwezi gwa Ramadhan, n'okulambula enyumba ya Allah ey'emizizo (Kaaba okukola hijja) kwoyo alina obusobozi obumutuusa gyeri, Namugamba nti: oyogedde mazima. Nagamba (omunyumya wa hadiith eno) nti: Fenna netumwewuunya kubanga yamubuuza ate yamukakasa! Namugamba nti: Mbuulira ku bukkiriza (Imaan). Namugamba nti: Obukkiriza kwekukkiriza mu Allah,neba Malaika be, n’ebitabo bye, n’Ababaka be, n’olunaku lw’enkomerero, era n’okukkiriza okugera kwe obulungi bwakwo n’obubi bwakwo byonna biva eri Allah, nagamba nti oyogedde mazima. Nagamba (omusajja) nti: Mbuulira kukuyisa obulungi. (Nabbi) nagamba nti: Kwekusinza Allah nga olinga amulabako, newankubadde nga gwe tomulaba mazima ye (Allah) akulaba. Namugamba nti: Oyogedde mazima. Namugamba nti: Mbuulira kulunaku lw’enkomerero, namugamba nti: Tali abuzibwa kulwo nga yasinga okumanya (ebirukwata ko) okusinga abuzizza. Namugamba nti: Mbuulira kububonero bwalwo, namugamba nti: Y’omuzaana okuzaala mukamaawe, era kwekulaba abatayambala nga ngatto, ab’ayitanga obukunya, abaavu, abalunzi b’embuzi nga bavuganya mukuzimba amagoloofa, Oluvannyuma (omusajja) n’agenda bbo (baswahaaba ne Nabbi) nebamalawo akaseera, oluvannyuma Nabbi (s.a.w) nagamba nti: Owange Umar omanyi ani abadde ambuuza? Naddamu (Umar) nti: Allah n’omubaka we be bamanyi, Namugamba nti: Oyo abadde Malaika Jibulir azze kubayigiriza bikwata ku ddiini yammwe”.
رَوَاهُ مُسْلِمٌ [رقم:8].    Yayogerwa Muslim No.8
الحديث الثالث    Hadiith eyokusatu
بني الإسلام على خمس    obusiraamu byazimbibwa kumpagi taano
عَنْ أَبِي عَبْدِ الرَّحْمَنِ عَبْدِ اللَّهِ بْنِ عُمَرَ بْنِ الْخَطَّابِ رَضِيَ اللَّهُ عَنْهُمَا قَالَ: سَمِعْت رَسُولَ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم- يَقُولُ:    Eva ku Abi Abdulrahmaan Abdullah bin Umar bun Al-khatwwab (Okusiima kwa Allah kube kubo bombiriri) yagamba nti: Nawulira Omubabaka wa Allah (s.a.w) nga agamba nti:
بُنِيَ الْإِسْلَامُ عَلَى خَمْسٍ: شَهَادَةِ أَنْ لَا إلَهَ إلَّا اللَّهُ وَأَنَّ مُحَمَّدًا رَسُولُ اللَّهِ، وَإِقَامِ الصَّلَاةِ، وَإِيتَاءِ الزَّكَاةِ، وَحَجِّ الْبَيْتِ، وَصَوْمِ رَمَضَانَ.    Obusiraamu bwazimbibwa kumpagi taano, okukakasa n’okujulira nti tewali kisiinzibwa mubutuufu okujjako Allah, n'okkakasa nti Nabbi Muhammad mudduwe era mubakawe, n'okuyimirizaawo esswala (ettaano buli lunaku), n'okutoola zakkah (mu mmaali yo), n'okusiiba omwezi gwa ramadhan, n'okulambula enyumba ya Allah ey'emizizo (kaaba okukola hijja)
رَوَاهُ الْبُخَارِيُّ [رقم:8]، وَمُسْلِمٌ [رقم:16].    Yayogerwa Bukhar No.8 Ne Muslim No.16
الحديث الرابع    Hadiith eyo kuna
إن أحدكم يجمع في بطن أمه    Mazima buli omu mummwe kukunnganyizibwa okutondebwa kwe mulubuto lwa nyina
عَنْ أَبِي عَبْدِ الرَّحْمَنِ عَبْدِ اللَّهِ بْنِ مَسْعُودٍ -رضي الله عنه- قَالَ: حَدَّثَنَا رَسُولُ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم- -وَهُوَ الصَّادِقُ الْمَصْدُوقُ-:    Eva ku Abdallah bun Mas-u-d (Allah yasiima kuye) yagamba nti: “Yatunyumiza Omubaka wa Allah (Okusaasira n’emirembe bibeere kuye) naye nga yewamazima akakasibwa nti wamazima (mwebyo byeyajja nabyo) nti:
إنَّ أَحَدَكُمْ يُجْمَعُ خَلْقُهُ فِي بَطْنِ أُمِّهِ أَرْبَعِينَ يَوْمًا نُطْفَةً، ثُمَّ يَكُونُ عَلَقَةً مِثْلَ ذَلِكَ، ثُمَّ يَكُونُ مُضْغَةً مِثْلَ ذَلِكَ، ثُمَّ يُرْسَلُ إلَيْهِ الْمَلَكُ فَيَنْفُخُ فِيهِ الرُّوحَ، وَيُؤْمَرُ بِأَرْبَعِ كَلِمَاتٍ: بِكَتْبِ رِزْقِهِ، وَأَجَلِهِ، وَعَمَلِهِ، وَشَقِيٍّ أَمْ سَعِيدٍ؛ فَوَاَللَّهِ الَّذِي لَا إلَهَ غَيْرُهُ إنَّ أَحَدَكُمْ لَيَعْمَلُ بِعَمَلِ أَهْلِ الْجَنَّةِ حَتَّى مَا يَكُونُ بَيْنَهُ وَبَيْنَهَا إلَّا ذِرَاعٌ فَيَسْبِقُ عَلَيْهِ الْكِتَابُ فَيَعْمَلُ بِعَمَلِ أَهْلِ النَّارِ فَيَدْخُلُهَا. وَإِنَّ أَحَدَكُمْ لَيَعْمَلُ بِعَمَلِ أَهْلِ النَّارِ حَتَّى مَا يَكُونُ بَيْنَهُ وَبَيْنَهَا إلَّا ذِرَاعٌ فَيَسْبِقُ عَلَيْهِ الْكِتَابُ فَيَعْمَلُ بِعَمَلِ أَهْلِ الْجَنَّةِ فَيَدْخُلُهَا.    Mazima omu mummwe kukunnganyizibwa okutondebwa kwe mulubuto lwannyina ennaku amakumi a'na (40) nga tondo butondo (mazzi buzzi) oluvannyuma n’afuuka ekisaayisaayi, n’oluvannyuma n’afuuka ekinyamanyama, oluvannyuma Allah n’atuma gyali Malaika namufuwamu omwoyo, n’alagirwa ebigambo bina:Okuwandiika okugabirirwa kwe oba ebyenfuna ye (Riziq) okuwandiika ebbanga ly’obuwangaazi bwe, n’emirimu gye, mwonoonefu oba mulongoofu, ndayira Allah nga tewali musinzibwa (mulala) mu mazima atali yye, mazima omu mummwe akolera ddala emirimu gy’abantu b’omujjana okutuusa lwewatabeera wakati we nayo okujjako enzira oba akakokola (oba akaseera katono nnyo) kyokka nga kyakulembera kuye ekitabo (nti alibeera mwonoonefu) n’akola emirimu gy’abantu b’omuliriro n’aguyingira.Era mazima omu mummwe ayinza okukola emirimu gy’abantu b’omumuliro okutuusa lwewatabeera wakati we nagwo okujjako enzira (akabanga katono) naye nga kyakulembera kuye ekitabo nti alibeera mulongoofu nakola emirimu gy’abantu bo mujjana nagiyingira.
رَوَاهُ الْبُخَارِيُّ [رقم:3208]، وَمُسْلِمٌ [رقم:2643].    Yayogerwa Bukhar No.3208, ne Muslim No.2643
الحديث الخامس    Hadiith eyokutaano
من أحدث في أمرنا هذا ما ليس منه فهو رد    Omuntu yenna agunja muddiini yaffe ekitali kyamuyo kimuddizibwa
عَنْ أُمِّ الْمُؤْمِنِينَ أُمِّ عَبْدِ اللَّهِ عَائِشَةَ رَضِيَ اللَّهُ عَنْهَا، قَالَتْ: قَالَ: رَسُولُ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم-    Eva ku Maama w’abakkiriza (Maama Abdallah), Aisha –Allah yasiima kuye- yagamba nti: Yagamba omubaka wa Allah nti:
مَنْ أَحْدَثَ فِي أَمْرِنَا هَذَا مَا لَيْسَ مِنْهُ فَهُوَ رَدٌّ.    Omuntu yenna agunja muddiini yaffe eno ekyo kyonna ekitali kya muyo, kimuddizibwa (tekikkirizibwa)
رَوَاهُ الْبُخَارِيُّ [رقم:2697]، وَمُسْلِمٌ [رقم:1718].    Yayogerwa Bukhar No.2697, ne Muslim No.1718
وَفِي رِوَايَةٍ لِمُسْلِمٍ:    Ne munjogera endala eya Muslim
مَنْ عَمِلَ عَمَلًا لَيْسَ عَلَيْهِ أَمْرُنَا فَهُوَ رَدٌّ.    Omuntu yenna akola omulimu nga teguliiko ndagiriro yaffe gumuddizibwa (Tegukkirizibwa)
الحديث السادس    Hadiith ey'omukaaga
إن الحلال بين وإن الحرام بين    Mazima ebyakkirizibwa byeyolefu n'ebyaziyibwa byeyolefu
عَنْ أَبِي عَبْدِ اللَّهِ النُّعْمَانِ بْنِ بَشِيرٍ رَضِيَ اللَّهُ عَنْهُمَا، قَالَ: سَمِعْت رَسُولَ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم- يَقُولُ:    Eva ku Abi Abdallah Annu-umaan bin Bashiir –Allah yasiima kuye kubo bombiriri- yagamba nti: Nawulira Omubaka wa Allah nga agamba nti:
إنَّ الْحَلَالَ بَيِّنٌ، وَإِنَّ الْحَرَامَ بَيِّنٌ، وَبَيْنَهُمَا أُمُورٌ مُشْتَبِهَاتٌ لَا يَعْلَمُهُنَّ كَثِيرٌ مِنْ النَّاسِ، فَمَنْ اتَّقَى الشُّبُهَاتِ فَقْد اسْتَبْرَأَ لِدِينِهِ وَعِرْضِهِ، وَمَنْ وَقَعَ فِي الشُّبُهَاتِ وَقَعَ فِي الْحَرَامِ، كَالرَّاعِي يَرْعَى حَوْلَ الْحِمَى يُوشِكُ أَنْ يَرْتَعَ فِيهِ، أَلَا وَإِنَّ لِكُلِّ مَلِكٍ حِمًى، أَلَّا وَإِنَّ حِمَى اللَّهِ مَحَارِمُهُ، أَلَّا وَإِنَّ فِي الْجَسَدِ مُضْغَةً إذَا صَلَحَتْ صَلَحَ الْجَسَدُ كُلُّهُ، وَإذَا فَسَدَتْ فَسَدَ الْجَسَدُ كُلُّهُ، أَلَا وَهِيَ الْقَلْبُ.    Mazima ebyakkirizibwa byeyolefu n'ebyaziyizibwa byeyolefu. Newakati waabyo (ebyakkirizibwa nebyaziyizibwa) waliwo ebintu ebifanagana (ebitategerekeka bulungi) mu kulamula kwabyo abasinga obunji mubantu tebabimanyi, Omuntu yenna eyewala ebintu ebibuzaabuza aba atukuzza eddiini ye n’ekitiibwa kye, ate omuntu agwa (akola) ebintu ebibuzaabuza agwa mu byaziyizibwa nga bwolaba omulunzi alundira okumpi n’olukomera (olusalosalo olusibe) abeera kumpi n'okuluyingira, abange mukimanye nti buli mufuzi alina ekifo ekikuumwa, era mazima olukomera lwa Allah byebyo byeyaziyiza. Abange mukimanye nti mazima mu mubiri mulimu ekinyama bwekilongoka gulongoka omubiri gwonna era bwekyononeka gwononeka omubiri gwonna, era mukimanye nti gwemutima.
رَوَاهُ الْبُخَارِيُّ [رقم:52]، وَمُسْلِمٌ [رقم:1599].    Yayogerwa Bukhar No.52, ne Muslim No.1599
الحديث السابع    Hadiith ey'omusaanvu
الدين النصيحة    Eddiini kulongosa nakubuulirira
عَنْ أَبِي رُقَيَّةَ تَمِيمِ بْنِ أَوْسٍ الدَّارِيِّ -رضي الله عنه- أَنَّ النَّبِيَّ -صلى الله عليه وسلم- قَالَ:    Eva ku Ruqayya Tamiim bun Aus Al-ddaar – Allah yasiima kuye- yagamba nti: mazima Nabbi (s.a.w) yagamba nti:
الدِّينُ النَّصِيحَةُ. قُلْنَا: لِمَنْ؟ قَالَ لِلَّهِ، وَلِكِتَابِهِ، وَلِرَسُولِهِ، وَلِأَئِمَّةِ الْمُسْلِمِينَ وَعَامَّتِهِمْ .    Eddiini kulongosa nakubuulirira, netugamba nti: Kulwaani? Nagamba nti: kulwa Allah, nekulwekitabo kye, n’omubaka we nabakulembeze b’abasiraamu ne kulwabasiraamu bonna
رَوَاهُ مُسْلِمٌ [رقم: 55].    Yayogerwa Muslim No.55
الحديث الثامن    Hadiith ey'omunaana
أمرت أن أقاتل الناس    Nalagirwa okulwanyisa abantu (abatakkiriza)
عَنْ ابْنِ عُمَرَ رَضِيَ اللَّهُ عَنْهُمَا، أَنَّ رَسُولَ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم- قَالَ:    Eva ku Ibun Umar –Allah yasiima kubo bombiriri- yagamba Omubaka wa Allah (s.a.w) nti:
أُمِرْت أَنْ أُقَاتِلَ النَّاسَ حَتَّى يَشْهَدُوا أَنْ لَا إلَهَ إلَّا اللَّهُ وَأَنَّ مُحَمَّدًا رَسُولُ اللَّهِ، وَيُقِيمُوا الصَّلَاةَ، وَيُؤْتُوا الزَّكَاةَ؛ فَإِذَا فَعَلُوا ذَلِكَ عَصَمُوا مِنِّي دِمَاءَهُمْ وَأَمْوَالَهُمْ إلَّا بِحَقِّ الْإِسْلَامِ، وَحِسَابُهُمْ عَلَى اللَّهِ تَعَالَى .    Nalagirwa okulwanyisa abantu (abatakkiriza) okutuusa lwebakakasa era nebakkiriza nti tewali kisinzibwa mubutuufu okujjako Allah yekka era nebakakasa nti mazima Muhammad mubaka wa Allah, era bayimirizeewo esswala, era nebatoola zakah mu mmaali yabwe, ebyo bwebanabikola bajja kuba bakuumye kunze emisaayi gyabwe ne mmaali yabwe okujjako ebivunaanwa by’obusiraamu era n’okubalibwa kwabwe kuli eri Allah owekitiiwa.
رَوَاهُ الْبُخَارِيُّ [رقم:25]، وَمُسْلِمٌ [رقم:22].    Yayogerwa Bukhar No.25, ne Muslim No. 22
الحديث التاسع    Hadiith ey'omwenda
ما نهيتكم عنه فاجتنبوه    kyonna kyemba nga mbagaanye mukyewalire ddala
عَنْ أَبِي هُرَيْرَةَ عَبْدِ الرَّحْمَنِ بْنِ صَخْرٍ -رضي الله عنه- قَالَ: سَمِعْت رَسُولَ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم- يَقُولُ:    Eva ku Abi Hurairah Abdulrahmaan bun Swakhar- Allah yasiima kuye- yagamba nti: Nawulira Omubaka wa Allah Okusaasira n’emirembe bibeere gyali nga agamba nti:
مَا نَهَيْتُكُمْ عَنْهُ فَاجْتَنِبُوهُ، وَمَا أَمَرْتُكُمْ بِهِ فَأْتُوا مِنْهُ مَا اسْتَطَعْتُمْ، فَإِنَّمَا أَهْلَكَ الَّذِينَ مِنْ قَبْلِكُمْ كَثْرَةُ مَسَائِلِهِمْ وَاخْتِلَافُهُمْ عَلَى أَنْبِيَائِهِمْ .    Kyonna kyemba nga mbagaanye mukyewalire ddala, ate kye mbanga mbalagidde mukikole nga bwemuba musobodde. Mazima ekyazikiriza abo ababasooka wo, kuyitiriza kubuuza kwabwe n'okwawukana kuba Nabbi bwabwe.
رَوَاهُ الْبُخَارِيُّ [رقم:7288]، وَمُسْلِمٌ [رقم:1337].    Yayogerwa Bukhar No.7288, ne Muslim No.1337
الحديث العاشر    Hadiith eye kkumi
إن الله طيب لا يقبل إلا طيبا    Mazima ddala Allah mulungi takkiriza okujjako ebirungi
عَنْ أَبِي هُرَيْرَةَ -رضي الله عنه- قَالَ: قَالَ رَسُولُ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم-    Eva ku Abi Hurairah – Allah yasiima kuye- yagamba nti: Yagamba omubaka wa Allah (okusaasira n’emireembe bibeere kuye) nti:
إنَّ اللَّهَ طَيِّبٌ لَا يَقْبَلُ إلَّا طَيِّبًا، وَإِنَّ اللَّهَ أَمَرَ الْمُؤْمِنِينَ بِمَا أَمَرَ بِهِ الْمُرْسَلِينَ فَقَالَ تَعَالَى: يَا أَيُّهَا الرُّسُلُ كُلُوا مِنْ الطَّيِّبَاتِ وَاعْمَلُوا صَالِحًا، وَقَالَ تَعَالَى: يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا كُلُوا مِنْ طَيِّبَاتِ مَا رَزَقْنَاكُمْ ثُمَّ ذَكَرَ الرَّجُلَ يُطِيلُ السَّفَرَ أَشْعَثَ أَغْبَرَ يَمُدُّ يَدَيْهِ إلَى السَّمَاءِ: يَا رَبِّ! يَا رَبِّ! وَمَطْعَمُهُ حَرَامٌ، وَمَشْرَبُهُ حَرَامٌ، وَمَلْبَسُهُ حَرَامٌ، وَغُذِّيَ بِالْحَرَامِ، فَأَنَّى يُسْتَجَابُ لَهُ؟    Mazima Allah mulungi takkiriza okujjako ekirungi, era mazima Allah yalagira abakkiriza ebyo byeyalagira ababaka, nagamba owekitiibwa: “Abange mmwe ababaka mulye mubirungi (ebya halaal) era mukole n’emirimu emirungi” Era Owekitiibwa Nagamba: Abange mmwe abakkiriza mulye ebirungi (ebya halaal) mwebyo byetwabagabirira, Oluvannyuma nayogera ku musajja atindigga eggendo nga enviiri zimusunsumadde era nga agubaasidde, n'awanika emikono gye nga agamba nti: Owanga omulezi wange, naye nga eby’okulya bye bya haraamu, neby’okunya bye bya haraamu, nebyambalo bye bya haraamu, era nga awangalidde ku haraamu, Kale oyo butya Allah bwayinza okumwanukula?!
رَوَاهُ مُسْلِمٌ [رقم:1015].    Yayogerwa Muslim Hadiith No.1015
الحديث الحادي عشر    Hadiith eye kkumi n'emu
دع ما يريبك إلى ما لا يريبك    Leka ky'obuusabuusa okole kyewekakasa
عَنْ أَبِي مُحَمَّدٍ الْحَسَنِ بْنِ عَلِيِّ بْنِ أَبِي طَالِبٍ سِبْطِ رَسُولِ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم- وَرَيْحَانَتِهِ رَضِيَ اللَّهُ عَنْهُمَا، قَالَ:    Eva ku Abi Muhammadi Al-Hassan bun Ali bun Abi Twalib – Allah yasiima kubo bombiriri Muzzukulu wa Nabbi (s.a.w) era omutebenkeza w'omwoyo gwe yagamba nti:
حَفِظْت مِنْ رَسُولِ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم-    Nakwata okuva ku mubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- (ekigambo ekigamba nti):
دَعْ مَا يُرِيبُك إلَى مَا لَا يُرِيبُك.    Leka ky'obuusabuusa okole kyewekakasa
رَوَاهُ التِّرْمِذِيُّ [رقم:2520]، وَالنَّسَائِيّ [رقم: 5711]،    Yayogerwa Tirimith No.2520 ne Nnasaa-e, No.5711
وَقَالَ التِّرْمِذِيُّ: حَدِيثٌ حَسَنٌ صَحِيحٌ.     Tirimith Nagamba nti Hadiith eri Hassan ntuufu.
الحديث الثاني عشر    Hadiith eyekkumi n'ebbiri
من حسن إسلام المرء    Ekiraga nti obusiraamu bw'omuntu bujjudde
عَنْ أَبِي هُرَيْرَةَ -رضي الله عنه- قَالَ: قَالَ رَسُولُ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم-    Eva ku Abi Hurairah -Allah yasiima kuye- yagamba, Omubakaba wa Allah okusaasira n’emirembe bibeere kuye nti:
مِنْ حُسْنِ إسْلَامِ الْمَرْءِ تَرْكُهُ مَا لَا يَعْنِيهِ.    Ekiraga nti obusiraamu bw'omuntu bujjudde kwekuleka ebyo ebitamukwaatako”
حَدِيثٌ حَسَنٌ،    Hadiith eri Hassan.
رَوَاهُ التِّرْمِذِيُّ [رقم: 2318] ، ابن ماجه [رقم:3976].    Yayogerwa Tirimith No.2318, ne Ibn Maajah No.3976
الحديث الثالث عشر    Hadiith eye kumi n'essatu
لا يؤمن أحدكم حتى يحب لأخيه ما يحب لنفسه    Omu mummwe tayinza kuba mukkiriza okutuusa nga ayagalizza mugandawe ekyo kyayagaliza omwoyo gwe.
عَنْ أَبِي حَمْزَةَ أَنَسِ بْنِ مَالِكٍ -رضي الله عنه- خَادِمِ رَسُولِ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم- عَنْ النَّبِيِّ -صلى الله عليه وسلم- قَالَ:    Eva ku Abi Hamuza Anasi bun Maalik, - Allah yasiima kuye- Omuweereza wa Nabbi okusaasira n’emirembe bibeere kuye yagamba:
لَا يُؤْمِنُ أَحَدُكُمْ حَتَّى يُحِبَّ لِأَخِيهِ مَا يُحِبُّ لِنَفْسِهِ.    Omu mummwe tayinza kubeera mukkiriza (omujjuvu owannamaddala) okutuusa nga ayagalizza mugandawe (omusiraamu) ekyo (naye) kyayagaliza omwoyo gwe”
رَوَاهُ الْبُخَارِيُّ [رقم:13]، وَمُسْلِمٌ [رقم:45].    Yayogerwa Bukhar Hadiith No.13, ne Muslim No.45
الحديث الرابع عشر    Hadiith eye kumi nennya
لا يحل دم امريء مسلم إلا بإحدى ثلاث    Omusaayi gw'omuntu tegukkirizibwa kuyiibwa okujjako olw'emu kunsonga essatu
عَنْ ابْنِ مَسْعُودٍ -رضي الله عنه- قَالَ: قَالَ رَسُولُ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم-    Eva ku Ibun Mas-uud –Allah yasiima kuye- yagamba: Yagamba Omubaka wa Allah -Okusaasira n’emirembe bibeere kuye- nti:
لَا يَحِلُّ دَمُ امْرِئٍ مُسْلِمٍ [ يشهد أن لا إله إلا الله، وأني رسول الله] إلَّا بِإِحْدَى ثَلَاثٍ: الثَّيِّبُ الزَّانِي، وَالنَّفْسُ بِالنَّفْسِ، وَالتَّارِكُ لِدِينِهِ الْمُفَارِقُ لِلْجَمَاعَةِ.    Omusaayi gw’omuntu omusiraamu yenna akkiriza era nakakasa nti tewali kisinzibwa mubutuufu okujjako Allah, era nakkiriza nti mazima ddala nange (Muhammadi) ndi mubaka wa Allah, tegukkirizabwa kuyiibwa okujjako nga waliwo ensonga emu ku satu zino: Omwenzi omufumbo, Omuntu asse munne, N’oyo aleka eddiini ye (obusiraamu) ayawukana ku kibinja (kya Nabbi (s.a.w)”
رَوَاهُ الْبُخَارِيُّ [رقم:6878]، وَمُسْلِمٌ [رقم:1676].    Yayogerwa Bukhar No.6878, ne Muslim No.1676
الحديث الخامس عشر    Hadiith eye kumi n'ettaano
من كان يؤمن بالله واليوم الآخر فليقل خيرا    Omuntu yenna akkiriza Allah n’olunaku lwenkomerero kirungi ayogere birungi byereere.
عَنْ أَبِي هُرَيْرَةَ -رضي الله عنه- أَنَّ رَسُولَ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم- قَالَ:    Eva ku Abi Hurairah -Allah yasiima kuye- Nti mazima omubaka wa Allah okusaasira n’emimbe bibeere kuye yagamba nti:
مَنْ كَانَ يُؤْمِنُ بِاَللَّهِ وَالْيَوْمِ الْآخِرِ فَلْيَقُلْ خَيْرًا أَوْ لِيَصْمُتْ، وَمَنْ كَانَ يُؤْمِنُ بِاَللَّهِ وَالْيَوْمِ الْآخِرِ فَلْيُكْرِمْ جَارَهُ، وَمَنْ كَانَ يُؤْمِنُ بِاَللَّهِ وَالْيَوْمِ الْآخِرِ فَلْيُكْرِمْ ضَيْفَهُ.    Omuntu yenna akkiriza Allah n’olunaku lwenkomerero kirungi ayogere birungi byereere oba asirike, era n'omuntu akkiriza Allah n'olunaku lwenkomerero agulumize mulirwana we, era n’omuntu akkiriza Allah n’olunaku lw’enkomerero agulumize omugenyi we”
رَوَاهُ الْبُخَارِيُّ [رقم:6018]، وَمُسْلِمٌ [رقم:47].    Yayogerwa Bukhar No.6018, ne Muslim No.47
الحديث السادس عشر    Hadiith eye kumi n'omukaaga
لا تغضب    Tosunguwalanga
عَنْ أَبِي هُرَيْرَةَ -رضي الله عنه- أَنْ رَجُلًا قَالَ لِلنَّبِيِّ -صلى الله عليه وسلم- أَوْصِنِي.    Eva ku Abi Hurairah- Allah yasiima kuye- nti: Mazima omusajja yagamba Omubaka wa Allah – Okusaasira n’emirembe bibeere kuye- “ Naamirayo” (ekintu kyemba ne kwatako)
قَالَ: لَا تَغْضَبْ، فَرَدَّدَ مِرَارًا، قَالَ: لَا تَغْضَبْ.    Namugamba (Nabbi) nti: Tosunguwalanga, nakiddinngana emirundi ejiwerako nti: “Tosunguwalanga”
رَوَاهُ الْبُخَارِيُّ [رقم:6116].    Yayogerwa Bukhar No.6116
الحديث السابع عشر    Hadiith eye kumi n'omusanvu
إن الله كتب الإحسان على كل شيء    Mazima Allah yalaalika okuyisa obulungi eri buli kintu.
عَنْ أَبِي يَعْلَى شَدَّادِ بْنِ أَوْسٍ -رضي الله عنه- عَنْ رَسُولِ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم- قَالَ:    Eva ku Abi Ya-ala Ausi - Allah yasiima kuye- nga agijja ku Mubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere kuye- yagamba nti:
إنَّ اللَّهَ كَتَبَ الْإِحْسَانَ عَلَى كُلِّ شَيْءٍ، فَإِذَا قَتَلْتُمْ فَأَحْسِنُوا الْقِتْلَةَ، وَإِذَا ذَبَحْتُمْ فَأَحْسِنُوا الذِّبْحَةَ، وَلْيُحِدَّ أَحَدُكُمْ شَفْرَتَهُ، وَلْيُرِحْ ذَبِيحَتَهُ.    Mazima Allah yalaalika / yalagira okuyisa obulungi eri buli kintu, era bwe muba mutta ekintu kyonna mukitte mungeri esinga obulungi, era bwe muba musala ensolo mugisalenga mungeri esinga okuba ennungi, era muwagale nga ebiso bibeere byogi era kyosala okiwe emirembe (obutakibonya bonya nga okisala)
رَوَاهُ مُسْلِمٌ [رقم:1955].    Yayogerwa Muslim No.1955
الحديث الثامن عشر    Hadiith eye kumi n'omunaana
اتق الله حيثما كنت    Tya Allah buli wonna wobanga oli.
عَنْ أَبِي ذَرٍّ جُنْدَبِ بْنِ جُنَادَةَ، وَأَبِي عَبْدِ الرَّحْمَنِ مُعَاذِ بْنِ جَبَلٍ رَضِيَ اللَّهُ عَنْهُمَا، عَنْ رَسُولِ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم- قَالَ:    Eva ku Abi Dharri Jundabi bun Junaadah, ne Abi Abdulrahmaan Muathi bun Jabal -Allah yasiima kubo bombiriri- nga eva ku Mubaka wa Allah - Okusaasira n'emirembe bibeere kuye- yagamba nti:
اتَّقِ اللَّهَ حَيْثُمَا كُنْت، وَأَتْبِعْ السَّيِّئَةَ الْحَسَنَةَ تَمْحُهَا، وَخَالِقْ النَّاسَ بِخُلُقٍ حَسَنٍ .    Tya Allah wonna wooba ng'oli, era bw'okola nga ekibi kigobeerezeeko ekirungi kijja kukisangulawo, era okolagane n'abantu n'empisa ennungi.
رَوَاهُ التِّرْمِذِيُّ [رقم:1987]    Yayogerwa Tirimith No.1987
وَقَالَ: حَدِيثٌ حَسَنٌ، وَفِي بَعْضِ النُّسَخِ: حَسَنٌ صَحِيحٌ.    era nagamba nti Hadiith eri Hassan, era mu copiya ezimu Hassan entuufu.
الحديث التاسع عشر    Hadiith eye kumi n'omwenda.
احفظ الله يحفظك    WeKuume Allah ajja kukuuma
عَنْ عَبْدِ اللَّهِ بْنِ عَبَّاسٍ رَضِيَ اللَّهُ عَنْهُمَا قَالَ:    Eva ku Abdallah bin Abbaas -Allah yasiima kubo bombiriri- yagamba
كُنْت خَلْفَ رَسُولِ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم- يَوْمًا، فَقَالَ:    Lumu nali ne Nabbi (s.a.w) nga ampeese kunsolo nagamba nti:
يَا غُلَامِ! إنِّي أُعَلِّمُك كَلِمَاتٍ: احْفَظْ اللَّهَ يَحْفَظْك، احْفَظْ اللَّهَ تَجِدْهُ تُجَاهَك، إذَا سَأَلْت فَاسْأَلْ اللَّهَ، وَإِذَا اسْتَعَنْت فَاسْتَعِنْ بِاَللَّهِ، وَاعْلَمْ أَنَّ الْأُمَّةَ لَوْ اجْتَمَعَتْ عَلَى أَنْ يَنْفَعُوك بِشَيْءٍ لَمْ يَنْفَعُوك إلَّا بِشَيْءٍ قَدْ كَتَبَهُ اللَّهُ لَك، وَإِنْ اجْتَمَعُوا عَلَى أَنْ يَضُرُّوك بِشَيْءٍ لَمْ يَضُرُّوك إلَّا بِشَيْءٍ قَدْ كَتَبَهُ اللَّهُ عَلَيْك؛ رُفِعَتْ الْأَقْلَامُ، وَجَفَّتْ الصُّحُفُ.    Owange mulenzi ggwe! mazima ngenda kukuyigiriza ebigambo bino bikwaate butiribiri: " Wekuume Allah (nga oteeka munkola ebiragiro bye) ajja kukuuma , era wekuume Allah ojja kumusanga mu maasogo (naye ajja kubeera naawe mumbeera yonna) era bwoba nga osaba saba Allah yekka. era bwoba nga osaba obuyambi busabe Allah yekka, era manya nti singa ebitonde byonna byegatta okkugasa n'akantu konna tebiyinza kugasa okujjako ekyo Allah kyeyakuwandiikako. Ate era singa ebitonde byonna byegatta bibeeko akabi kebikutuusaako tebiyinza kukukosa okujjako nga Allah yakikuwandiikako, manya nti amakalaamu (agawandiika ebikwata ku baddu) gasitulwa dda kumpapula era nebwiino n'akala.
رَوَاهُ التِّرْمِذِيُّ [رقم:2516]    Yayogerwa tirimith No.2516
وَقَالَ: حَدِيثٌ حَسَنٌ صَحِيحٌ.    Era nagamba nti hadiith eri Hassan ntuufu.
وَفِي رِوَايَةِ غَيْرِ التِّرْمِذِيِّ:    Era munjogera ndala etali ya Tirimith:
احْفَظْ اللَّهَ تَجِدْهُ أمامك، تَعَرَّفْ إلَى اللَّهِ فِي الرَّخَاءِ يَعْرِفُك فِي الشِّدَّةِ، وَاعْلَمْ أَنَّ مَا أَخْطَأَك لَمْ يَكُنْ لِيُصِيبَك، وَمَا أَصَابَك لَمْ يَكُنْ لِيُخْطِئَك، وَاعْلَمْ أَنَّ النَّصْرَ مَعَ الصَّبْرِ، وَأَنْ الْفَرَجَ مَعَ الْكَرْبِ، وَأَنَّ مَعَ الْعُسْرِ يُسْرًا.    Wekuume Allah ojja kumusanga mu maasogo (olubeerera naye ajja kubeera naawe mumbeera yonna) Manya Allah nga oli mumbeera ennungi naye ajja kukumanya nga oli mumbeera ey'obuzibu, era manye nti mazima buli ekikusubye tewali wakukifuna era nabuli kyofuna tekyali kyakukusuba, era manya nti okutaasa (kwa Allah) kutambulira wamu n'obuguminkiriza, era mazima essanyu litukibwako nakumala kuyita mubuzibu era mazima oluvannyuma lw'obuzibu wabeerawo obwangu.
الحديث العشرون    Hadiith eyamakumi abiri
إذا لم تستح فاصنع ما شئت     Bwoba tolina nsonyi kola kyonna kyoyagala
عَنْ ابْنِ مَسْعُودٍ عُقْبَةَ بْنِ عَمْرٍو الْأَنْصَارِيِّ الْبَدْرِيِّ -رضي الله عنه- قَالَ: قَالَ رَسُولُ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم-    Eva ku Ibun Mas-uud Uqubah bun Amuru Al answaar Albadir -Allah yasiima kuye- yagamba: Yagamba Omubaka wa Allah -Okusaasira n'emirembe bibeere kuye nti:
إنَّ مِمَّا أَدْرَكَ النَّاسُ مِنْ كَلَامِ النُّبُوَّةِ الْأُولَى: إذَا لَمْ تَسْتَحِ فَاصْنَعْ مَا شِئْت.    Mazima mwebyo abantu byebaasanga mubigambo by'obwa Nabbi ebyasooka, (kyekigambo ekigamba) nti: Bwoba tolina nsonyi kola kyonna kyoyagala.
رَوَاهُ الْبُخَارِيُّ [رقم:3483].    Yayogerwa Bukhar No.3483
الحديث الحادي والعشرون    Hadiith ey'amakubi abiri
قل آمنت بالله ثم استقم    Gamba nti nzikirizza Allah oluvanyuma wenywereza ku mateeka ge.
عَنْ أَبِي عَمْرٍو وَقِيلَ: أَبِي عَمْرَةَ سُفْيَانَ بْنِ عَبْدِ اللَّهِ -رضي الله عنه- قَالَ:    Eva ku Abi Amru kigambibwa nti ye Amurah Sufiyaan bun Abdallah - Allah yasiima kuye- yagamba nti:
قُلْت: يَا رَسُولَ اللَّهِ! قُلْ لِي فِي الْإِسْلَامِ قَوْلًا لَا أَسْأَلُ عَنْهُ أَحَدًا غَيْرَك؛ قَالَ: قُلْ: آمَنْت بِاَللَّهِ ثُمَّ اسْتَقِمْ .    Nagamba: Owange ggwe Omubaka wa Allah mbuliraayo mubusiraamu ekigambo kyesigenda kubuuza muntu mulala nate. Nanziramu nti: "gamba nti nzikiriza Allah oluvannyuma wenywereze ku mateeka ge"
رَوَاهُ مُسْلِمٌ [رقم:38].    Yayogerwa Muslim No.38
الحديث الثاني والعشرون    Hadiith ey'abiri mw'ebbiri
أرأيت إذا صليت المكتوبات وصمت رمضان    Olaba otya singa nsaala esswala ez'obwetteeka, nensiiba ne Ramadhan
عَنْ أَبِي عَبْدِ اللَّهِ جَابِرِ بْنِ عَبْدِ اللَّهِ الْأَنْصَارِيِّ رَضِيَ اللَّهُ عَنْهُمَا:    Eva ku Abi Abdallah Jaabir bun Abdallah al-answaar- Allah yasiima kubo bombiriri:
أَنَّ رَجُلًا سَأَلَ رَسُولَ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم- فَقَالَ: أَرَأَيْت إذَا صَلَّيْت الْمَكْتُوبَاتِ، وَصُمْت رَمَضَانَ، وَأَحْلَلْت الْحَلَالَ، وَحَرَّمْت الْحَرَامَ، وَلَمْ أَزِدْ عَلَى ذَلِكَ شَيْئًا؛ أَأَدْخُلُ الْجَنَّةَ؟ قَالَ: نَعَمْ.    Mazima omusajja yabuuza Omubaka wa Allah - Okusaasira n'emirembe bibeere kuye- nagamba nti: Olaba otya singa nsaala esswala ttaano ezaalalikibwa (ez'obwetteeka), era nensiiba ramadhan, nenkola ne Allah byeyakkiriza byayagala, (ebya halaal) neneziyiza ne Allah byeyagaana (ebyaharaam) okwo nessongerako kirala kyonna, nsobola okuyingira ejjana? (Nabbi) namuddamu nti yee (oyingira ejjana)
رَوَاهُ مُسْلِمٌ [رقم:15].    Yayogerwa Muslim No.15
الحديث الثالث والعشرون    Hadiith ey'abiri mw'essatu
االطهور شطر الإيمان    Okwetukuza kitundu kyabukkiriza
عَنْ أَبِي مَالِكٍ الْحَارِثِ بْنِ عَاصِمٍ الْأَشْعَرِيِّ -رضي الله عنه- قَالَ: قَالَ رَسُولُ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم-    Eva ku Abi Maalik Al- haarith bun A'swim Al-ashi-ariyy - Allah yasiima kuye- yagamba nti: Yagamba Omubaka wa Allah -Okusaasira n'emirembe bibeere kuye nti:
الطَّهُورُ شَطْرُ الْإِيمَانِ، وَالْحَمْدُ لِلَّهِ تَمْلَأُ الْمِيزَانَ، وَسُبْحَانَ اللَّهِ وَالْحَمْدُ لِلَّهِ تَمْلَآنِ -أَوْ: تَمْلَأُ- مَا بَيْنَ السَّمَاءِ وَالْأَرْضِ، وَالصَّلَاةُ نُورٌ، وَالصَّدَقَةُ بُرْهَانٌ، وَالصَّبْرُ ضِيَاءٌ، وَالْقُرْآنُ حُجَّةٌ لَك أَوْ عَلَيْك، كُلُّ النَّاسِ يَغْدُو، فَبَائِعٌ نَفْسَهُ فَمُعْتِقُهَا أَوْ مُوبِقُهَا.    Okwetukuza kitundu kyabukkiriza, n'ekigambo "Al-hamudu lillah" (Amatendo gonna ga Allah) empeera zaakyo zijjuza minzaane, n'ebigambo ebibiri "Subuhaanallah Walihamudu lillah" bijjuza ebbanga eriri wakati w'eggulu n'ensi. Ate yo esswala kitangaala ate okusaddaaka kabonero kabukkiriza, n'obuguminkiriza kitaangaala ate yo Qur'aan yaakuwa bujulizi gyoli mubulungi oba mububi (eri oyo eyagisuula muguluka Allah abeere nga amuwa ekimusaanira) Manya nti buli muntu akeera kumakya, mulimu atunda omwoyo gwe mwebyo Allah byayagala nabeera nga aguwonyezza, oba nagutunda mwebyo Allah byatayagala nabeera nga agunnyise
رَوَاهُ مُسْلِمٌ [رقم:223].    Yayogerwa Muslim No.223
الحديث الرابع والعشرون    Hadiith ey'abiri mw'ennya
يا عبادي إني حرمت الظلم على نفسي    Abange baddu bange mazima nze neziyizaako obulyazamaanyi
عَنْ أَبِي ذَرٍّ الْغِفَارِيِّ -رضي الله عنه- عَنْ النَّبِيِّ -صلى الله عليه وسلم- فِيمَا يَرْوِيهِ عَنْ رَبِّهِ تَبَارَكَ وَتَعَالَى، أَنَّهُ قَالَ:    Eva ku Abi Dharri Al-gaffari -Allah yasiima kuye- nga agijja ku Nabbi -Okusaasira n'emirembe bibeere kuye- nga naye agijja ku Allah owekitiibwa (Hadiith Al-qudus), yagamba nti:
يَا عِبَادِي: إنِّي حَرَّمْت الظُّلْمَ عَلَى نَفْسِي، وَجَعَلْته بَيْنَكُمْ مُحَرَّمًا؛ فَلَا تَظَالَمُوا. يَا عِبَادِي! كُلُّكُمْ ضَالٌّ إلَّا مَنْ هَدَيْته، فَاسْتَهْدُونِي أَهْدِكُمْ. يَا عِبَادِي! كُلُّكُمْ جَائِعٌ إلَّا مَنْ أَطْعَمْته، فَاسْتَطْعِمُونِي أُطْعِمْكُمْ. يَا عِبَادِي! كُلُّكُمْ عَارٍ إلَّا مَنْ كَسَوْته، فَاسْتَكْسُونِي أَكْسُكُمْ. يَا عِبَادِي! إنَّكُمْ تُخْطِئُونَ بِاللَّيْلِ وَالنَّهَارِ، وَأَنَا أَغْفِرُ الذُّنُوبَ جَمِيعًا؛ فَاسْتَغْفِرُونِي أَغْفِرْ لَكُمْ. يَا عِبَادِي! إنَّكُمْ لَنْ تَبْلُغُوا ضُرِّي فَتَضُرُّونِي، وَلَنْ تَبْلُغُوا نَفْعِي فَتَنْفَعُونِي. يَا عِبَادِي! لَوْ أَنَّ أَوَّلَكُمْ وَآخِرَكُمْ وَإِنْسَكُمْ وَجِنَّكُمْ كَانُوا عَلَى أَتْقَى قَلْبِ رَجُلٍ وَاحِدٍ مِنْكُمْ، مَا زَادَ ذَلِكَ فِي مُلْكِي شَيْئًا. يَا عِبَادِي! لَوْ أَنَّ أَوَّلَكُمْ وَآخِرَكُمْ وَإِنْسَكُمْ وَجِنَّكُمْ كَانُوا عَلَى أَفْجَرِ قَلْبِ رَجُلٍ وَاحِدٍ مِنْكُمْ، مَا نَقَصَ ذَلِكَ مِنْ مُلْكِي شَيْئًا. يَا عِبَادِي! لَوْ أَنَّ أَوَّلَكُمْ وَآخِرَكُمْ وَإِنْسَكُمْ وَجِنَّكُمْ قَامُوا فِي صَعِيدٍ وَاحِدٍ، فَسَأَلُونِي، فَأَعْطَيْت كُلَّ وَاحِدٍ مَسْأَلَته، مَا نَقَصَ ذَلِكَ مِمَّا عِنْدِي إلَّا كَمَا يَنْقُصُ الْمِخْيَطُ إذَا أُدْخِلَ الْبَحْرَ. يَا عِبَادِي! إنَّمَا هِيَ أَعْمَالُكُمْ أُحْصِيهَا لَكُمْ، ثُمَّ أُوَفِّيكُمْ إيَّاهَا؛ فَمَنْ وَجَدَ خَيْرًا فَلْيَحْمَدْ اللَّهَ، وَمَنْ وَجَدَ غَيْرَ ذَلِكَ فَلَا يَلُومَن إلَّا نَفْسَهُ.    Abange baddu bange mazima nze neziyizaako obulyazamaanyi era nembuziyiza wakati wammwe (nabufuula haraam) kale temwelyazamanyanga. Abange baddu bange, mwenna muli babuze okujjako oyo gwemba nunngamizza kale munsabe okulungamizibwa nja kubalunngamya, Abange baddu bange mwenna muli bayala okujjako oyo gwemba ndisizza, kale munsabe okubaliisa nja kubaliisa. Abange baddu bange mwenna muli bukunya okujjako oyo gwemba nyambazizza kale munsabe okubambaza nja kubambaza, Abange baddu bange mwenna musobya ekiro n'emisana ate nze nsonyiwa ebisobyo byonna, kale munsabe okubasonyiwa nja kubasonyiwa, Abange baddu bange mazima mmwe temusobola kwekobaana kuntuusako kabi nekantuukako era nga nebwemwegatta okubaako kyemungasa nakyo tekisobola kungasa, Abange baddu bange, singa abaabasookawo nabenkomerero mu bantu namajinni mummwe babeera kubukkiriza nga obuli ku mutima gw'omusajja asinga okutya Allah mummwe, tekirina kyekyongera ku bufuzi bwange n'akamu, Abange baddu bange singa abaabasookawo nabenkomerero mu bantu namajinni mummwe babeera ku bujeemu nga obuli ku mutima gw'omusajja asinga obujeemu mummwe, tekirina kyekiyinza kukendeeza ku bufuzi bwange (obwakabaka bwange) nakamu, Abange baddu bange singa abaabasookawo nabenkomerero mu bantu namajinni mummwe bakunnganira mu lusenyi lumu buli omu nansaba kyeyetaaga era nenkimuwa byennina tebiyinza kukendeerako nakamu wadde wabula kibanga bwolaba (otuzzi otujjira) kumpiso ennyuluddwa munyanja, Abange baddu bange mazima egyo emirimu (gyemukola) giyamba mmwe, nze ngibakumiira bukuumi (mubuwandiike) era oluvannyuma gijja kubanjulirwa (kubaddizibwa) oyo alisanga obulungi mugyo yebazanga Allah, n'oyo alisanga ekitali ekyo (ekibi) anenyanga mwoyo gwe (anti gwe gwamulagiranga okukola ebikyamu).
رَوَاهُ مُسْلِمٌ [رقم:2577].    Yayogerwa Muslim No.2577
الحديث الخامس والعشرون    Hadiith ey'abiri mw'ettaano
ذهب أهل الدثور بالأجور    Abagagga batututteko empeera zonna
عَنْ أَبِي ذَرٍّ -رضي الله عنه- أَيْضًا، أَنَّ نَاسًا مِنْ أَصْحَابِ رَسُولِ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم- قَالُوا لِلنَّبِيِّ -صلى الله عليه وسلم- يَا رَسُولَ اللَّهِ ذَهَبَ أَهْلُ الدُّثُورِ بِالْأُجُورِ؛ يُصَلُّونَ كَمَا نُصَلِّي، وَيَصُومُونَ كَمَا نَصُومُ، وَيَتَصَدَّقُونَ بِفُضُولِ أَمْوَالِهِمْ. قَالَ: أَوَلَيْسَ قَدْ جَعَلَ اللَّهُ لَكُمْ مَا تَصَّدَّقُونَ؟ إنَّ بِكُلِّ تَسْبِيحَةٍ صَدَقَةً، وَكُلِّ تَكْبِيرَةٍ صَدَقَةً، وَكُلِّ تَحْمِيدَةٍ صَدَقَةً، وَكُلِّ تَهْلِيلَةٍ صَدَقَةً، وَأَمْرٌ بِمَعْرُوفٍ صَدَقَةٌ، وَنَهْيٌ عَنْ مُنْكَرٍ صَدَقَةٌ، وَفِي بُضْعِ أَحَدِكُمْ صَدَقَةٌ. قَالُوا: يَا رَسُولَ اللَّهِ أَيَأْتِي أَحَدُنَا شَهْوَتَهُ وَيَكُونُ لَهُ فِيهَا أَجْرٌ؟ قَالَ: أَرَأَيْتُمْ لَوْ وَضَعَهَا فِي حَرَامٍ أَكَانَ عَلَيْهِ وِزْرٌ؟ فَكَذَلِكَ إذَا وَضَعَهَا فِي الْحَلَالِ، كَانَ لَهُ أَجْرٌ.    Eva ku Abi Dharri -Allah yasiima kuye- yagamba nti: Mazima abamu kuba swahaaba b'Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- b'agamba Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- nti: Owange gwe omubaka wa Allah, abagagga batututteko empeera zonna, kubanga basaala nga bwetusaala, nebasiiba nga bwetusiiba,era basaddaaka kwebyo byebaba bafisizza mu mmaali zaabwe N'abaddamu nti: Abaffe Allah teyabateerawo byemuyinza okusaddaaka? Mazima buli kutendereza nti "Subuhaana Allah" saddaaka, n'okugamba nti " Allahu akibar" (Allah yasinga buli kintu kyonna), saddaaka, n'okugamba nti " Alihamudu lillah" saddaaka, n'okugamba nti "Laa ilaaha illa Allah" (Tewali kisinzibwa mubutuufu okujjako Allah) saddaaka.N'okulagira empisa ennungi, saddaaka n'okuziyiza empisa embi, saddaaka, n'omu mummwe okugenda eri mukyalawe (munsonga z'obufumbo) saddaaka.Nebagamba nti: Owange omubaka wa Allah, Omu muffe amala ekyetaago kye ate nafunamu empeera? Naddamu nti mulaba mutya singa ekyetaago kye akimalira muharaam (mu bwenzi) afuna omusango? Nagamba nti nabwekityo singa akimalira mu halaal afuna empeera.
رَوَاهُ مُسْلِمٌ [رقم:1006].    Yayogerwa Muslim No.1006
الحديث السادس والعشرون    Hadiith ey'abiri mw'omukaaka
كل سلامى من الناس عليه صدقة    Buli kiyungo ku muntu kiriko Sadaaka
عَنْ أَبِي هُرَيْرَةَ -رضي الله عنه- قَالَ: قَالَ رَسُولُ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم-    Eva ku Abi Hurairah -Allah yasiima kuye- yagamba nti: Yagamba Omubaka wa Allah -okusaasila n'emirembe bibeere kuye- nti:
كُلُّ سُلَامَى مِنْ النَّاسِ عَلَيْهِ صَدَقَةٌ، كُلَّ يَوْمٍ تَطْلُعُ فِيهِ الشَّمْسُ تَعْدِلُ بَيْنَ اثْنَيْنِ صَدَقَةٌ، وَتُعِينُ الرَّجُلَ فِي دَابَّتِهِ فَتَحْمِلُهُ عَلَيْهَا أَوْ تَرْفَعُ لَهُ عَلَيْهَا مَتَاعَهُ صَدَقَةٌ، وَالْكَلِمَةُ الطَّيِّبَةُ صَدَقَةٌ، وَبِكُلِّ خُطْوَةٍ تَمْشِيهَا إلَى الصَّلَاةِ صَدَقَةٌ، وَتُمِيطُ الْأَذَى عَنْ الطَّرِيقِ صَدَقَةٌ.    Buli kiyungo kyonna ekiri ku muntu kiriko saddaaka buli lunaku enjuba lwevaayo (nga kyebaza Allah olw'okukiwa obulamu) bwewenkanyankanya wakati wababiri ababadde bakayagana eyo saddaaka, era omuntu bwomuyambako mukwebagala ensoloye, oba okulinnya ekidduka kye, oba okumusitulirako omugugu, ebyo byonna saddaaka, nabuli kigambo kyonna ekirungi saddaaka, nabuli kigere kyositula nga otambula okugenda eri esswala eba saddaaka, n'okujja ekintu ekyakabi oba ekinakuwaza mu kkubo saddaaka.
رَوَاهُ الْبُخَارِيُّ [رقم:2989]، وَمُسْلِمٌ [رقم:1009].    Yayogerwa Bukhar No.2989, ne Muslim No.1009
الحديث السابع والعشرون    Hadiith ey'abiri mw'omusanvu.
البر حسن الخلق    Okkola obulungi z'empisa ennungi
عَنْ النَّوَّاسِ بْنِ سَمْعَانَ -رضي الله عنه- عَنْ النَّبِيِّ -صلى الله عليه وسلم- قَالَ:    Eva ku Nawwaasi bun Sam-an -Allah yasiima kuye- nga agijja ku Nabbi- okusaasira nemirembe bibeere kuye- yagamba nti:
الْبِرُّ حُسْنُ الْخُلُقِ، وَالْإِثْمُ مَا حَاكَ فِي صَدْرِك، وَكَرِهْت أَنْ يَطَّلِعَ عَلَيْهِ النَّاسُ    Okkola obulungi z'emumpisa ennungi n'ekibi kyekyo ekitatebenkera mu mutima gwo nga toyagala bantu bakimanye, era n'otwamwa abantu bakirabe.
رَوَاهُ مُسْلِمٌ [رقم:2553].    Yayogerwa Muslim No.2553
وَعَنْ وَابِصَةَ بْنِ مَعْبَدٍ -رضي الله عنه- قَالَ: أَتَيْت رَسُولَ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم- فَقَالَ:    Ate era nga eva ku Waabiswah bun Ma-a-bad -Allah yasiima kuye- yagamba nti: Nagenda eri Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- nagamba nti:
جِئْتَ تَسْأَلُ عَنْ الْبِرِّ؟ قُلْت: نَعَمْ. فقَالَ: استفت قلبك، الْبِرُّ مَا اطْمَأَنَّتْ إلَيْهِ النَّفْسُ، وَاطْمَأَنَّ إلَيْهِ الْقَلْبُ، وَالْإِثْمُ مَا حَاكَ فِي النَّفْسِ وَتَرَدَّدَ فِي الصَّدْرِ، وَإِنْ أَفْتَاك النَّاسُ وَأَفْتَوْك .    Ozze kubuuza kubulungi? nemugamba nti: Ye, nagamba nti: buuza omutima gwo, obulungi kyekyo omutima kwegutebenkerera awamu n'omwoyo gwo, ate kyo ekibi kyekikukubisa amameeme nekitanyerera mukifuba kyo wadde nga obuzizza abantu nebakubuulira (naye bwekitaba kirungi abantu kyebaba bakubuulidde tekitebenkera mu mutima).
حَدِيثٌ حَسَنٌ،    Hadiith eri Hassan
رَوَيْنَاهُ في مُسْنَدَي الْإِمَامَيْنِ أَحْمَدَ بْنِ حَنْبَلٍ [رقم:4/227]، وَالدَّارِمِيّ [2/246] بِإِسْنَادٍ حَسَنٍ.    Yayogerwa mu musinad gwa Imaam Ahmad bun Hambal No. 4/227, ne Musinad gwa Al-ddarmi No.2/246, nga olujegere lwayo luli Hassan.
الحديث الثامن والعشرون    Hadiith ey'abiri mw'omunaana
أوصيكم بتقوى الله وحسن الخلق    Mbalaamira okutya Allah n'empisa ennungi
عَنْ أَبِي نَجِيحٍ الْعِرْبَاضِ بْنِ سَارِيَةَ -رضي الله عنه- قَالَ:    Eva ku Abi Najiih Al-irbaadhi bun Saariyah -Allah yasiima kuye- yagamba nti:
وَعَظَنَا رَسُولُ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم- مَوْعِظَةً وَجِلَتْ مِنْهَا الْقُلُوبُ، وَذَرَفَتْ مِنْهَا الْعُيُونُ، فَقُلْنَا: يَا رَسُولَ اللَّهِ! كَأَنَّهَا مَوْعِظَةُ مُوَدِّعٍ فَأَوْصِنَا، قَالَ: أُوصِيكُمْ بِتَقْوَى اللَّهِ، وَالسَّمْعِ وَالطَّاعَةِ وَإِنْ تَأَمَّرَ عَلَيْكُمْ عَبْدٌ، فَإِنَّهُ مَنْ يَعِشْ مِنْكُمْ فَسَيَرَى اخْتِلَافًا كَثِيرًا، فَعَلَيْكُمْ بِسُنَّتِي وَسُنَّةِ الْخُلَفَاءِ الرَّاشِدِينَ الْمَهْدِيينَ، عَضُّوا عَلَيْهَا بِالنَّوَاجِذِ، وَإِيَّاكُمْ وَمُحْدَثَاتِ الْأُمُورِ؛ فَإِنَّ كُلَّ بِدْعَةٍ ضَلَالَةٌ.    Yatubuulirira Omubaka wa Allah (s.a.w) olubuulirira olwa twewanisa emitima gyaffe, nelutuyungula amaziga, netumugamba nti: Owange Omubaka wa Allah! nga olubuulirira luno lulinga olutusiibula, tulaamire, nagamba nti: Mbalaamira okutya Allah, n'okuba abawulize era abangonvu wadde nga abakulembera muddu, mazima anaabeera awangadde mummwe oluvannyuma lwange ajja kulaba enjawukana nyingi, Naye mbakuutira okwekwata kunkola yange (Sunnah) nenkola yabasigire bange abalunngamu era abalunngamya, mugyekwateko namagego, mbekesa ebintu byonna ebizuule mu ddiini kubanga buli kizuule (muddiini) kyabubuze.
رَوَاهُ أَبُو دَاوُدَ [رقم:4607]، وَاَلتِّرْمِذِيُّ [رقم:266]    Yayogerwa Abu dawuuda No.4607, ne Tirimith No.266.
وَقَالَ: حَدِيثٌ حَسَنٌ صَحِيحٌ.    nagamba nti Hadiith eri Hassan ntuufu.
الحديث التاسع والعشرون    Hadiith ey'abiri mw'omwenda
تعبد الله لا تشرك به شيئا    Kusinza Allah nga tomugasseeko kintu kirala kyonna
عَنْ مُعَاذِ بْنِ جَبَلٍ -رضي الله عنه- قَالَ: قُلْت يَا رَسُولَ اللَّهِ! أَخْبِرْنِي بِعَمَلٍ يُدْخِلُنِي الْجَنَّةَ وَيُبَاعِدْنِي مِنْ النَّارِ، قَالَ:    Eva ku Mu-adhi bun Jabali -Allah yasiima kuye- yagamba nti: Nagamba Omubaka wa Allah -Okusaasira n'emirembe bibeere kuye- nti mbuulirayo omulimu ogunyingiza ejjana, era gunnesambise omuliro, nanziramu nti:
لَقَدْ سَأَلْت عَنْ عَظِيمٍ، وَإِنَّهُ لَيَسِيرٌ عَلَى مَنْ يَسَّرَهُ اللَّهُ عَلَيْهِ: تَعْبُدُ اللَّهَ لَا تُشْرِكْ بِهِ شَيْئًا، وَتُقِيمُ الصَّلَاةَ، وَتُؤْتِي الزَّكَاةَ، وَتَصُومُ رَمَضَانَ، وَتَحُجُّ الْبَيْتَ، ثُمَّ قَالَ: أَلَا أَدُلُّك عَلَى أَبْوَابِ الْخَيْرِ؟ الصَّوْمُ جُنَّةٌ، وَالصَّدَقَةُ تُطْفِئُ الْخَطِيئَةَ كَمَا يُطْفِئُ الْمَاءُ النَّارَ، وَصَلَاةُ الرَّجُلِ فِي جَوْفِ اللَّيْلِ، ثُمَّ تَلَا: تَتَجَافَى جُنُوبُهُمْ عَنِ الْمَضَاجِعِ حَتَّى بَلَغَ يَعْمَلُونَ، ثُمَّ قَالَ: أَلَا أُخْبِرُك بِرَأْسِ الْأَمْرِ وَعَمُودِهِ وَذُرْوَةِ سَنَامِهِ؟ قُلْت: بَلَى يَا رَسُولَ اللَّهِ. قَالَ: رَأْسُ الْأَمْرِ الْإِسْلَامُ، وَعَمُودُهُ الصَّلَاةُ، وَذُرْوَةُ سَنَامِهِ الْجِهَادُ، ثُمَّ قَالَ: أَلَا أُخْبِرُك بِمَلَاكِ ذَلِكَ كُلِّهِ؟ فقُلْت: بَلَى يَا رَسُولَ اللَّهِ‍! فَأَخَذَ بِلِسَانِهِ وَقَالَ: كُفَّ عَلَيْك هَذَا. قُلْت: يَا نَبِيَّ اللَّهِ وَإِنَّا لَمُؤَاخَذُونَ بِمَا نَتَكَلَّمُ بِهِ؟ فَقَالَ: ثَكِلَتْك أُمُّك وَهَلْ يَكُبُّ النَّاسَ عَلَى وُجُوهِهِمْ -أَوْ قَالَ عَلَى مَنَاخِرِهِمْ- إلَّا حَصَائِدُ أَلْسِنَتِهِمْ؟! .    Obuzizza kinene ate nga mazima kyangu kwoyo Allah gwaba akigonderezza, sinza Allah nga tomugasseko ekintu kyonna, era yimirizaawo esswala, era otoole ne zakah mu mmaali yo, era osiibe (omwezi) gwa Ramadhan, era olambule ennyumba ya Allah okkola hijja, oluvannyuma nagamba nti: Abaffe nkulagirireyo emiryango gy'obulungi? Okusiiba ngabo, neswaddaaka ezikiza ebibi nga amazzi bwegazikiza omuliro, n'esswala y'omuntu mukitundu kyekiro. Oluvannyuma n'asoma a'ya egamba nti: {Embiriizi zaabwe ze samba obuliri (bwabwe)} nayogera okutuusa ku kigambo " Ya-a maluuna" (olw'ebyo byebaali bakola) oluvannyuma nagamba nti: Abaffe nkubuuire omutwe gw'ensonga zonna, nempagi yazo n'entikko yabyo byonna? Nemuddamu nti yee (mbuulira) owange gwe Omubaka wa Allah, Nangamba nti: Omutwe gw'ensonga zonna era nga kyekikolo ky'obusiraamu n'empagi luwaga (yaabwo) Swala, nentikko (yaabwo) Jihaad,(okulwana mukkubo lya Allah) Oluvannyuma nagamba nti: Ate nkubuulire ekifuga ebyo byonna? Nemugamba nti yee owange gwe Omubaka wa Allah, kyeyava akwata kululimi lwe nagamba nti: Wekuume kino (olulimi lwo) nengamba nti owange gwe Nabbi wa Allah Abaffe mazima ddala tugenda kuvunaanibwa kwebyo byetwogera nalwo (ebiyitira kunnimi zaffe) nanziramu ng'ansaasira nti nga olabye bambi! Abaffe waliwo ekigenda okuyingiza abantu omuliro nga bakululirwa ku byenyi byabwe oba ku nyindo zaabwe okusinga ebyo byezalokompoka nabyo ennimi zaabwe?!
رَوَاهُ التِّرْمِذِيُّ [رقم:2616]    Yayogera Tirimith No.2616
وَقَالَ: حَدِيثٌ حَسَنٌ صَحِيحٌ.    nagamba nti: Hadiith Hassan ntuufu
الحديث الثلاثون    Hadiith ey'asatu
إن الله تعالى فرض فرائض فلا تضيعوها    Mazima Allah yabalaalikako ebyobwetteeka temubiragajjaliranga
عَنْ أَبِي ثَعْلَبَةَ الْخُشَنِيِّ جُرْثُومِ بن نَاشِبٍ -رضي الله عنه- عَنْ رَسُولِ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم- قَال:    Eva ku Abi Tha-alabah Al-khushani Jurthumi bun Naashib -Allah yasiima kuye- nga agijja ku Mubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- yagamba nti:
إنَّ اللَّهَ تَعَالَى فَرَضَ فَرَائِضَ فَلَا تُضَيِّعُوهَا، وَحَدَّ حُدُودًا فَلَا تَعْتَدُوهَا، وَحَرَّمَ أَشْيَاءَ فَلَا تَنْتَهِكُوهَا، وَسَكَتَ عَنْ أَشْيَاءَ رَحْمَةً لَكُمْ غَيْرَ نِسْيَانٍ فَلَا تَبْحَثُوا عَنْهَا.    Mazima Allah yabalaalikako ebyobwetteeka temubiragajjaliranga, era nabateerawo ensalosalo temuziwaguzanga, era nabaziyizaako ebintu temubyebagalanga, era n'abaako ebintu byeyasirikira (natabyogerako) nga kusaasira gyemuli nga tabyerabidde bwerabizi, kale nno temubinonyerezaako.
حَدِيثٌ حَسَنٌ،    Hadiith eri Hassan
رَوَاهُ الدَّارَقُطْنِيّ ْفي سننه [4/184]، وَغَيْرُهُ.    yayogerwa Al-daar qutuni mu sunan ye No.4/84. nabalala
الحديث الحادي والثلاثون    Hadiith ey'asatu mwemu
ازهد في الدنيا يحبك الله    Werekereze eby'ensi Allah ajja kukwagala
عَنْ أَبِي الْعَبَّاسِ سَهْلِ بْنِ سَعْدٍ السَّاعِدِيّ -رضي الله عنه- قَالَ: جَاءَ رَجُلٌ إلَى النَّبِيِّ -صلى الله عليه وسلم- فَقَالَ: يَا رَسُولَ اللَّهِ‍! دُلَّنِي عَلَى عَمَلٍ إذَا عَمِلْتُهُ أَحَبَّنِي اللَّهُ وَأَحَبَّنِي النَّاسُ؛ فَقَالَ:    Eva ku Abi Al- abbaasi sahal bin Sa-ad Assaa-id -Allah yasiima kuye- yagamba nti: Omusajja yajja eri Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- nagamba nti: Owange Omubaka wa Allah ndagirira omulimu nga bwemba ngukoze Allah ajja kunjagala n'abantu banjagale, Nagamba nti:
ازْهَدْ فِي الدُّنْيَا يُحِبُّك اللَّهُ، وَازْهَدْ فِيمَا عِنْدَ النَّاسِ يُحِبُّك النَّاسُ .    Werekereze ebyensi Allah ajja kukwagala, era werekereze abantu byebalina nabo bajja kukwagala
حديث حسن،    Hadiith eri Hassan
رَوَاهُ ابْنُ مَاجَهْ [رقم:4102]، وَغَيْرُهُ بِأَسَانِيدَ حَسَنَةٍ.    Yayogerwa Ibun Maajah No.4102, nabalala munjegere ennungi
الحديث الثاني والثلاثون    Hadiith ey'asatu mw'ebbiri
لا ضرر ولا ضرار    Tokkirizibwa kwekosa wadde okukosa omulala
عَنْ أَبِي سَعِيدٍ سَعْدِ بْنِ مَالِكِ بْنِ سِنَانٍ الْخُدْرِيّ -رضي الله عنه- أَنَّ رَسُولَ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم- قَالَ:    Eva ku Abi Sa-eed Saad bun Maalik bun Sinaan Al-dhudiri -Allah yasiima kuye- Nti mazima Omubaka wa Allah yagamba nti:
لَا ضَرَرَ وَلَا ضِرَارَ .    Tokkirizibwa kwekosa wadde okukosa abalala
حَدِيثٌ حَسَنٌ،    Hadiith eri Hassan
رَوَاهُ ابْنُ مَاجَهْ [راجع رقم:2341]، وَالدَّارَقُطْنِيّ [رقم:4/228]، وَغَيْرُهُمَا مُسْنَدًا. وَرَوَاهُ مَالِكٌ [2/746] فِي الْمُوَطَّإِ عَنْ عَمْرِو بْنِ يَحْيَى عَنْ أَبِيهِ عَنْ النَّبِيِّ -صلى الله عليه وسلم- مُرْسَلًا، فَأَسْقَطَ أَبَا سَعِيدٍ،    Yayogerwa Ibn Maajah No.2341, ne Al-daariqutwini No.4/228, nabalala, era neyogerwa Maliik No.2/746, mumuwatwa-a, nga eva ku Amur bun Yahaya nga agijja ku kitaawe nga agijja ku Nabbi (S.A.W), nga eri murusala nagajjamu Abu Sa-eed
وَلَهُ طُرُقٌ يُقَوِّي بَعْضُهَا بَعْضًا.    Era erina amakubo amalala nga buli limu liwa linnaaryo amaanyi
الحديث الثالث والثلاثون    Hadiith ey'asatu mw'esatu
البينة على المدعي واليمين على من أنكر    Obujulizi buleetebwa muwaabi, n'okulayira kwa omuwawaabirwa.
عَنْ ابْنِ عَبَّاسٍ رَضِيَ اللَّهُ عَنْهُمَا أَنَّ رَسُولَ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم- قَالَ:    Eva ku Ibun Abbaasi -Allah yasiima kuye- Mazima Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- yagamba nti:
لَوْ يُعْطَى النَّاسُ بِدَعْوَاهُمْ لَادَّعَى رِجَالٌ أَمْوَالَ قَوْمٍ وَدِمَاءَهُمْ، لَكِنَّ الْبَيِّنَةَ عَلَى الْمُدَّعِي، وَالْيَمِينَ عَلَى مَنْ أَنْكَرَ .    Singa abantu baali baweebwa kusinziira kukuwoza kwabwe, abantu bandiwozezanga emmaali yabantu (nebagitwala) n'okuyiwa emisaayi gyabwe, naye obujulizi bulina kuleetebwa muwaabi, n'okulayira kwa omuwawaabirwa.
حَدِيثٌ حَسَنٌ،    Hadiith eri Hassan
رَوَاهُ الْبَيْهَقِيّ [فيالسنن 10/252]، وَغَيْرُهُ هَكَذَا، وَبَعْضُهُ فِي الصَّحِيحَيْنِ.    Yayogerwa Al-baihaqi mu sunnan No.10/252, nabalala, nga muswahiihaini (Bukhar ne Muslim)
الحديث الرابع والثلاثون    Hadiith ey'asatu mw'ennya
من رأى منكم منكرا فليغيره بيده    Abanga alabye mummwe ekitamwa akijjewo n'omukono gwe
عَنْ أَبِي سَعِيدٍ الْخُدْرِيّ -رضي الله عنه- قَالَ سَمِعْت رَسُولَ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم- يَقُولُ:    Eva ku Abi Sa-eed Al-khuduri -Allah yasiima kuye- Yagamba nti : Nawulira Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- nga agamba nti:
مَنْ رَأَى مِنْكُمْ مُنْكَرًا فَلْيُغَيِّرْهُ بِيَدِهِ، فَإِنْ لَمْ يَسْتَطِعْ فَبِلِسَانِهِ، فَإِنْ لَمْ يَسْتَطِعْ فَبِقَلْبِهِ، وَذَلِكَ أَضْعَفُ الْإِيمَانِ .    Omuntu yenna abanga alabye mummwe ekintu ekitamwa (muddiini) akijjisengawo omukono gwe, bwaba tasobodde (kukigisaawo mukono) akijjiseewo olulimi lwe, bwaba tasobodde (kukijjisaawo lulimi) akitamwe mumutima gwe, naye eky'okukitamwa mu mutima gwe buba bunafu bwabukkiriza
رَوَاهُ مُسْلِمٌ [رقم:49].    Yayogerwa Muslim No.49
الحديث الخامس والثلاثون    Hadiith ey'asatu mwettaano
لا تحاسدوا ولا تناجشوا ولا تباغضوا    Temukwataganirwanga ensaalwa, era temugulanga mukugula kwabalala, era temusunguwaliragana nga
عَنْ أَبِي هُرَيْرَةَ -رضي الله عنه- قَالَ: قَالَ رَسُولُ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم-    Eva Ku Abi Hurairah -Allah yasiima kuye- yagamba nti: Yagamba Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye nti:
لَا تَحَاسَدُوا، وَلَا تَنَاجَشُوا، وَلَا تَبَاغَضُوا، وَلَا تَدَابَرُوا، وَلَا يَبِعْ بَعْضُكُمْ عَلَى بَيْعِ بَعْضٍ، وَكُونُوا عِبَادَ اللَّهِ إخْوَانًا، الْمُسْلِمُ أَخُو الْمُسْلِمِ، لَا يَظْلِمُهُ، وَلَا يَخْذُلُهُ، وَلَا يَكْذِبُهُ، وَلَا يَحْقِرُهُ، التَّقْوَى هَاهُنَا، وَيُشِيرُ إلَى صَدْرِهِ ثَلَاثَ مَرَّاتٍ، بِحَسْبِ امْرِئٍ مِنْ الشَّرِّ أَنْ يَحْقِرَ أَخَاهُ الْمُسْلِمَ، كُلُّ الْمُسْلِمِ عَلَى الْمُسْلِمِ حَرَامٌ: دَمُهُ وَمَالُهُ وَعِرْضُهُ .    Temukwataganirwanga ensaalwa, era temugulanga mukugula kwabalala, era temusunguwaliragana nga, era temukubagananga amabega, era tatundanga omu mummwe kukutunda kwa munne, mubeere abaddu ba Allah aboluganda, Omusiraamu muganda wa musiraamu munne, tamulyazamaanya, era tamukwenakwenya,era tamulimba, era tamunyoma, awo Nabbi n'alaza eri ekifuba kye emirundi esatu nagamba nti Okutya Allah kuli wano, kimala bumazi okulaga nti omuntu mubi okunyoma mugandawe omusiraamu, buli musiraamu ku musiraamu munne kizira kuye okuyiwa omusaayi gwe, n'okutwala emmaali ye, n'okutyoboola ekitiibwa kye
رَوَاهُ مُسْلِمٌ [رقم:2564].    Yayogerwa Muslim No.2564
الحديث السادس والثلاثون    Hadiith ey'asatu mw'omukaaga
من نفس عن مسلم كربة    Omuntu atikkula kumusiraamu munne obuzibu
عَنْ أَبِي هُرَيْرَةَ -رضي الله عنه- عَنْ النَّبِيِّ -صلى الله عليه وسلم- قَالَ:    Eva ku Abi Hurairah -Allah yasiima kuye- nga agijja ku Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- yagamba nti:
مَنْ نَفَّسَ عَنْ مُؤْمِنٍ كُرْبَةً مِنْ كُرَبِ الدُّنْيَا نَفَّسَ اللَّهُ عَنْهُ كُرْبَةً مِنْ كُرَبِ يَوْمِ الْقِيَامَةِ، وَمَنْ يَسَّرَ عَلَى مُعْسِرٍ، يَسَّرَ اللَّهُ عَلَيْهِ فِي الدُّنْيَا وَالْآخِرَةِ، وَمَنْ سَتَرَ مُسْلِما سَتَرَهُ اللهُ فِي الدُّنْيَا وَالْآخِرَةِ ، وَاَللَّهُ فِي عَوْنِ الْعَبْدِ مَا كَانَ الْعَبْدُ فِي عَوْنِ أَخِيهِ، وَمَنْ سَلَكَ طَرِيقًا يَلْتَمِسُ فِيهِ عِلْمًا سَهَّلَ اللَّهُ لَهُ بِهِ طَرِيقًا إلَى الْجَنَّةِ، وَمَا اجْتَمَعَ قَوْمٌ فِي بَيْتٍ مِنْ بُيُوتِ اللَّهِ يَتْلُونَ كِتَابَ اللَّهِ، وَيَتَدَارَسُونَهُ فِيمَا بَيْنَهُمْ؛ إلَّا نَزَلَتْ عَلَيْهِمْ السَّكِينَةُ، وَغَشِيَتْهُمْ الرَّحْمَةُ، وَذَكَرَهُمْ اللَّهُ فِيمَنْ عِنْدَهُ، وَمَنْ أَبَطْأَ بِهِ عَمَلُهُ لَمْ يُسْرِعْ بِهِ نَسَبُهُ.    Omuntu atikkula ku mukkiriza yenna obuzibu mubuzibu bwensi naye Allah amutikkulako obuzibu mubuzibu bw'olunaku lwenkomerero, N'omuntu awewulira omwavu ku bbanja, oba okulimujjirako ddala (nalimusonyiwa) naye Allah amwanguyiza (obulamu) kuno kunsi nekunkomerero, N'oyo yenna abikkirira omusiraamu yenna, Allah amubikkirira kuno kunsi ne kunkomerero, Allah ayamba omuddu (munsonga ze) naye bwaba ng'ayamba muganda we, n'oyo yenna akwata ekkubo nga anoonya mulyo okumanya, Allah amwanguyiza olwekyo ekkubo erimutwaala eri ejannah, N'abantu tebakunngaana mw'emu ku nju munju za Allah, nga kyebagendereramu kusoma kitabo kya Allah n'okwejjukanya mukyo wakati wabwe okujjako nga Allah assa kubo obutebenkenvu, nebabuutikirwa n'okusaasira kwe, ne bamalayika nebabawambatira, ne Allah n'abogerako nga abawaana eri abo abali gyali (bamalayika), N'omuntu emirimu gye gwegirikeereya olulyo lwe telugenda kumuyamba
رَوَاهُ مُسْلِمٌ [رقم:2699] بهذا اللفظ.    Yayogerwa Muslim No.2699 munjogera eno.
الحديث السابع والثلاثون    Hadiith ey'asatu mw'omusaanvu
إن الله كتب الحسنات والسيئات    Mazima Allah yawandiika ebirungi n'ebibi
عَنْ ابْنِ عَبَّاسٍ رَضِيَ اللَّهُ عَنْهُمَا عَنْ رَسُولِ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم- فِيمَا يَرْوِيهِ عَنْ رَبِّهِ تَبَارَكَ وَتَعَالَى، قَالَ:    Eva ku Ibun Abbaas -Allah yasiima kubo bombiriri- nga agijja ku mubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- yagamba mwebyo byeyajja ku mulezi we owekitiibwa Allah (Hadiith alqudus) nti:
إنَّ اللَّهَ كَتَبَ الْحَسَنَاتِ وَالسَّيِّئَاتِ، ثُمَّ بَيَّنَ ذَلِكَ، فَمَنْ هَمَّ بِحَسَنَةٍ فَلَمْ يَعْمَلْهَا كَتَبَهَا اللَّهُ عِنْدَهُ حَسَنَةً كَامِلَةً، وَإِنْ هَمَّ بِهَا فَعَمِلَهَا كَتَبَهَا اللَّهُ عِنْدَهُ عَشْرَ حَسَنَاتٍ إلَى سَبْعِمِائَةِ ضِعْفٍ إلَى أَضْعَافٍ كَثِيرَةٍ، وَإِنْ هَمَّ بِسَيِّئَةٍ فَلَمْ يَعْمَلْهَا كَتَبَهَا اللَّهُ عِنْدَهُ حَسَنَةً كَامِلَةً، وَإِنْ هَمَّ بِهَا فَعَمِلَهَا كَتَبَهَا اللَّهُ سَيِّئَةً وَاحِدَةً.    Mazima Allah yawandiika ebirungi n'ebibi oluvannyuma ekyo nakinnyonnyola. N'oyo yenna amalirira okukola ekirungi naye natakikola Allah amuwandiikako empeera yakyo mubujjuvu nga akikoze, ate bwamalirira okukikola (ekirungi) era nakikola, Allah amuwandiikako ebirungi okuva ku kumi okutuuka ku lusaanvu nga amukubisizaamu emirundi mingi n'okusingawo, Naye ate singa omuntu amalirira okukola ekibi wabula natakikola, Allah amuwandiikako gy'ali ekirungi kiramba (kimu) naye singa amalirira okukikola era n'akikola Allah amuwandiikako ekibi kimu.
رَوَاهُ الْبُخَارِيُّ [رقم:6491]، وَمُسْلِمٌ [رقم:131]، في صحيحيهما بهذه الحروف.    Yayogerwa Bukhar No.6491 ne Muslim No.131. musawahiih zabwe munjogera ezo.
الحديث الثامن والثلاثون    Hadiith ey'asatu mw'omunaana
من عادى لي وليا فقد آذنته بالحرب    Yenna ampalanira ow'omukwano mba maze okumulangirirako olutalo
عَنْ أَبِي هُرَيْرَة -رضي الله عنه- قَالَ: قَالَ رَسُول اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم- إنَّ اللَّهَ تَعَالَى قَالَ:    Eva ku Abi Hurairah -Allah yasiima kuye- yagamba nti: Yagamba Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere kuye- nti:
مَنْ عَادَى لِي وَلِيًّا فَقْد آذَنْتهُ بِالْحَرْبِ، وَمَا تَقَرَّبَ إلَيَّ عَبْدِي بِشَيْءٍ أَحَبَّ إلَيَّ مِمَّا افْتَرَضْتُهُ عَلَيْهِ، وَلَا يَزَالُ عَبْدِي يَتَقَرَّبُ إلَيَّ بِالنَّوَافِلِ حَتَّى أُحِبَّهُ، فَإِذَا أَحْبَبْتُهُ كُنْت سَمْعَهُ الَّذِي يَسْمَعُ بِهِ، وَبَصَرَهُ الَّذِي يُبْصِرُ بِهِ، وَيَدَهُ الَّتِي يَبْطِشُ بِهَا، وَرِجْلَهُ الَّتِي يَمْشِي بِهَا، وَلَئِنْ سَأَلَنِي لَأُعْطِيَنَّهُ، وَلَئِنْ اسْتَعَاذَنِي لَأُعِيذَنَّهُ.    Yenna ampalanira ow'omukwano mba maze okumulangirirako olutalo. Omuddu wange tasembera gyendi namulimu gwonna nga gwagalwa nnyo gyendi kusinga ogwo gwe namulalikako, Omuddu wange tagenda mu maaso nga asembera gyendi nemirimu egyakyeyagalire (sunnah) okujjako nga mwagala, bwemmala okumwagala nfuuka okutu kwe kwawuliza, n'amaaso ge g'alabisa, n'emikono gye gy'akwasa, n'amagulu ge g'atambuza (nga mulunngamya munkozesa yabyo), era nebwaba ng'ansabye (ekintu kyonna) nkimuwera ddala, era singa ansaba obukuumi, mukuumira ddala.
رَوَاهُ الْبُخَارِيُّ [رقم:6502].    Yayogerwa Bukhar No.6502
الحديث التاسع والثلاثون    Hadiith ey'asatu mw'omwenda
إن الله تجاوز لي عن أمتي الخطأ والنسيان    Mazima Allah yasonyiwa abantu b'ekibiina kyange ensobi, n'okwerabira
عَنْ ابْنِ عَبَّاسٍ رَضِيَ اللَّهُ عَنْهُمَا أَنَّ رَسُولَ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم- قَالَ:    Eva ku Ibun Abbaasi -Allah yasiima kubo bombiriri- Mazima Omubaka wa Allah -Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere kuye- yagamba nti:
إنَّ اللَّهَ تَجَاوَزَ لِي عَنْ أُمَّتِي الْخَطَأَ وَالنِّسْيَانَ وَمَا اسْتُكْرِهُوا عَلَيْهِ .    Mazima Allah yasonyiwa abantu b'ekibiina kyange (ebintu bisatu) ensobi (ekoleddwa mubutanwa) n'okwerabira, n'ebyebakakiddwa kubyo
حَدِيثٌ حَسَنٌ،    Hadiith eri Hassan
رَوَاهُ ابْنُ مَاجَهْ [رقم:2045]، وَالْبَيْهَقِيّ [السنن 7 ].    Yayogerwa Ibun Maajah No.2045, ne Baihaqi No.7
الحديث الأربعون    Hadiith ey'amakumi ana
كن في الدنيا كأنك غريب أو عابر سبيل    Beera ku nsi ng'omugenyi oba ng'omuyise
عَنْ ابْن عُمَرَ رَضِيَ اللَّهُ عَنْهُمَا قَالَ: أَخَذَ رَسُولُ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم- بِمَنْكِبِي، وَقَالَ:    Eva ku Ibun Umar -Allah yasiima kubo bombiriri- yagamba nti: Lumu Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- yankwata kukibegabega nagamba nti:
كُنْ فِي الدُّنْيَا كَأَنَّك غَرِيبٌ أَوْ عَابِرُ سَبِيلٍ.    Beera ku nsi ng'omugenyi oba ng'omuyise
وَكَانَ ابْنُ عُمَرَ رَضِيَ اللَّهُ عَنْهُمَا يَقُولُ:    Ate nga Ibun Umar -Allah yasiima kubo bombiriri- yalinga agamba nti:
إذَا أَمْسَيْتَ فَلَا تَنْتَظِرْ الصَّبَاحَ، وَإِذَا أَصْبَحْتَ فَلَا تَنْتَظِرْ الْمَسَاءَ، وَخُذْ مِنْ صِحَّتِك لِمَرَضِك، وَمِنْ حَيَاتِك لِمَوْتِك.    Bwobanga obuwungezezza tolindiriranga enkya, ate bwobukeesanga tolindiriranga olw'eggulo, buli lwoba nga omulamu (mu mubiri) kola ebinakugasa ng'olwadde, era bwoba omulamu kola ebinakugasa nga ofudde
رَوَاهُ الْبُخَارِيُّ [رقم:6416].    Yayogerwa Bukhar No.6416
الحديث الحادي والأربعون    Hadiith ey'ana mw'emu
لا يؤمن أحدكم حتى يكون هواه تبعا لما جئت به    Tayinza kubeera mukkiriza omu mummwe okutuusa okwagala kwe lwekugoberera ebyo byennajja nabyo
عَنْ أَبِي مُحَمَّدٍ عَبْدِ اللَّهِ بْنِ عَمْرِو بْنِ الْعَاصِ رَضِيَ اللَّهُ عَنْهُمَا، قَالَ: قَالَ رَسُولُ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم-    Eva ku Abi Muhammad Abdallah bun Amur bun Al-aaswi -Allah yasiima kuye- yagamba nti: Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- yagamba nti:
لَا يُؤْمِنُ أَحَدُكُمْ حَتَّى يَكُونَ هَوَاهُ تَبَعًا لِمَا جِئْتُ بِهِ.    Omu mummwe tayinza kuba mukkiriza okutuusa nga okwagala kwe kugoberera ebyo byennaja nabyo
حَدِيثٌ حَسَنٌ صَحِيحٌ،    Hadiith eri Hassan ntuufu
رَوَيْنَاهُ فِي كِتَابِ الْحُجَّةِ بِإِسْنَادٍ صَحِيحٍ.    Twagyogera mukitabo Al-Hujjah mu lujegere olutuufu
الحديث الثاني والأربعون    Hadiith ey'ana mw'ebbiri
يا ابن آدم إنك ما دعوتني ورجوتني    Owange omwana wa Adam mazima ebbanga lyomala ng'onsaba era nga osuubira gyendi
عَنْ أَنَسِ بْنِ مَالِكٍ -رضي الله عنه- قَالَ: سَمِعْت رَسُولَ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم- يَقُولُ: قَالَ اللَّهُ تَعَالَى:    Eva ku Anas bun Maalik -Allah yasiima kuye- yagamba nti: Nawulira omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- agamba Allah owekitiibwa nti:
يَا ابْنَ آدَمَ! إِنَّكَ مَا دَعَوْتنِي وَرَجَوْتنِي غَفَرْتُ لَك عَلَى مَا كَانَ مِنْك وَلَا أُبَالِي، يَا ابْنَ آدَمَ! لَوْ بَلَغَتْ ذُنُوبُك عَنَانَ السَّمَاءِ ثُمَّ اسْتَغْفَرْتنِي غَفَرْتُ لَك، يَا ابْنَ آدَمَ! إنَّك لَوْ أتَيْتنِي بِقُرَابِ الْأَرْضِ خَطَايَا ثُمَّ لَقِيتنِي لَا تُشْرِكُ بِي شَيْئًا لَأَتَيْتُك بِقُرَابِهَا مَغْفِرَةً .    Owange omwana wa Adam (omuntu) mazima ebbanga lwomala ng'osaba era nga osuubira gyendi (okusonyiyibwa), nkusonyiwa byonna ebisobyo byolina nga sifuddeyo, owange omwana wa Adam, singa ebisobyo byo bituuka kuntikko y'eggulu, oluvannyuma n'osaba okukusonyiwa, nkusonyiwa, owange omwana wa Adam, mazima singa ojja gyendi n'ebisobyo ebijjuza ensi eno, oluvannyuma nonsisinkana naye nga tongasseeko kintu kyonna (shirk) nja kukuwa okusonyiyibwa okwenkana nabyo
رَوَاهُ التِّرْمِذِيُّ [رقم:3540]،    Yayogera Tirimith No.3540
وَقَالَ: حَدِيثٌ حَسَنٌ صَحِيحٌ.    Nagamba nti Hadiith Hassan ntuufu
الحديث الثالث والأربعون    Hadiith ey'ana mwessatu
ألحقوا الفرائض بأهلها    Emigabo mugiwe bannyini gyo
عَنْ ابْنِ عَبَّاسٍ رَضِيَ اللَّهُ عَنْهُمَا، قَالَ: قَالَ رَسُولُ اللهِ -صلى الله عليه وسلم- قَالَ:    Eva ku Ibun Abbaasi -Allah yasiima kubo bombiriri- yagamba nti: Yagamba Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- nti:
أَلْحِقُوا الْفَرَائِضَ بِأَهْلِهَا، فَمَا أَبْقَتَ الْفَرَائِضُ فَلِأَوْلَى رَجُلٍ ذَكَرٍ .    Emigabo mugiwe bannannyi gyo, ekinaaba nga kisigaddewo mumigabo, kiwebwenga omusajja owenkizo kubalala
رواه البخاري [رقم: 6732]، ومسلم [رقم: 1615].    Yayogerwa Bukhar No.6732 Ne Muslim No.1615
الحديث الرابع والأربعون    Hadiith ey'ana mw'ennya
الرضاعة تحرم ما تحرم الولادة    Okuyonsebwa kuziyiza ekyo okuzaalibwa kyekuziyiza
عَنْ عَائِشَةَ رَضِيَ اللَّهُ عَنْهُا عَنْ النَّبِيِّ -صلى الله عليه وسلم- قَالَ:    Eva ku Aisha -Allah yasiima kuye- nga agijja ku Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- yagamba nti:
الرَّضَاعَةُ تُحَرِّمُ مَا تُحَرِّمُ الْوِلَادَةُ.    Okuyonsebwa kuziyiza ekyo okuzaalibwa kyekuziyiza
رواه البخاري [رقم:2646]، ومسلم [رقم:1444].    Yayogerwa Bukhar No.2646 ne Muslim No.1444
الحديث الخامس والأربعون    Hadiith ey'ana mw'ettaano
إن الله ورسوله حرم بيع الخمر    Mazima Allah n'Omubaka we b'aziyiza okutunda omwenge
عَنْ جَابِرِ بْنِ عَبْدِ اللَّهِ رَضِيَ اللَّهُ عَنْهُمَا أَنَّهُ سَمِعَ رَسُولَ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم- عَامَ الْفَتْحِ وَهُوَ بِمَكَّةَ يَقُولُ:    Eva ku Jaabir bun Abdallah -Allah yasiima kubo bombiriri- nti mazima yawulira omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- omwaka gw'okuggulawo makka nga agamba nti:
إِنَّ اللَّهَ وَرَسُولَهُ حَرَّمَ بَيْعَ الْخَمْرِ وَالْمَيْتَةِ وَالْخِنْزِيرِ وَالْأَصْنَامِ، فَقِيلَ: يَا رَسُولَ اللَّهِ أَرَأَيْتَ شُحُومَ الْمَيْتَةِ فَإِنَّهَا يُطْلَى بِهَا السُّفُنُ، وَيُدْهَنُ بِهَا الْجُلُودُ، وَيَسْتَصْبِحُ بِهَا النَّاسُ؟ فَقَالَ: لَا، هُوَ حَرَامٌ، ثُمَّ قَالَ رَسُولُ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم- عِنْدَ ذَلِكَ: قَاتَلَ اللَّهُ الْيَهُودَ، إِنَّ اللَّهَ حَرَّمَ عَلَيْهِم الشُحُومَ، فَأَجْمَلُوهُ، ثُمَّ بَاعُوهُ، فَأَكَلُوا ثَمَنَهُ.    Mazima Allah n'Omubakawe b'aziyiza okutunda omwenge, n'ekifudde kyokka (nyama nfu) n'embizzi, n'amasanamu, nebagamba owange omubaka wa Allah olaba otya amasavu ge kifudde kyokka mazima nga gazibikirwa nago amaato, n'okutukuza nago amaliba, era bemulisa nago abantu? nagamba nti: Nedda, g'aziyiziwa (gali haraam) oluvannyuma n'agamba omubaka wa Allah -okusaasira nemirembe bibeere kuye- kwekyo nti: Allah yakolimira abayudaaya, Mazima Allah bweyabaziyizaako amasavu (gensolo efudde yokka) okugalya b'agaloongosa n'oluvannyuma nebagatunda nebalya omuwendo ogugavudde mu.
رواه البخاري [رقم: 2236]، ومسلم [رقم:1581] .    Yayogerwa Bukhar No.2236 ne Muslim No.1581
الحديث السادس والأربعون    Hadiith ey'ana mw'omukaaga
كل مسكر حرام    Buli kitamiiza kyaziyizibwa
عَنْ أَبِي بُرْدَةَ عَنْ أَبِيهِ عَنْ أَبِي مُوسَى الْأَشْعَرِيِّ -رضي الله عنه- أَنَّ النَّبِيَّ -صلى الله عليه وسلم- بَعَثَهُ إِلَى الْيَمَنِ، فَسَأَلَهُ عَنْ أَشْرِبَةٍ تُصْنَعُ بِهَا، فَقَالَ: وَمَا هِيَ؟ قَالَ: الْبِتْعُ وَالْمِزْرُ، فَقِيلَ لِأَبِي بُرْدَةَ: مَا الْبِتْعُ؟ قَالَ: نَبِيذُ الْعَسَلِ، وَالْمِزْرُ نَبِيذُ الشَّعِيرِ، فَقَالَ: كُلُّ مُسْكِرٍ حَرَام .    Eva ku Abi Buruda nga agijja ku Abi Muusa Al-ashi-ari -Allah yasiima kuye- nti mazima Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- yamutuma eri abantu be Yemen, namubuuza kubyokunywa ebikolebwa yo (ebisogolwayo), nagamba nti: byebiriwa? namugamba nti: Al-biti-au, ne Al-miziru, nabuzibwa Abu Buruda nti Al-bitir kyekki? nagaba nti: mubisi oguva mu ntende, ate Al-Miziru gukamulwa mu Sha-eer, (Nabbi) namugamba nti:Buli kitamiiza kyaziyizibwa
رواه البخاري [رقم:4343] .    Yayogerwa Bukhar No.4343
الحديث السابع والأربعون    Hadiith ey'ana mw'omusaanvu
ما ملأ آدمي وعاء شرا من بطن    Omuntu tajjuzaangako kisawo bubi okusinga olubuto
عَنْ الْمِقْدَامِ بْنِ مَعْدِيَكْرِبَ قَالَ سَمِعْتُ رَسُولَ اللَّهِ -صلى الله عليه وسلم- يَقُولُ:    Eva ku Al-miqidaad bun Ma-adiyakirab, yagamba nti:Nawulira Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye nga agamba nti:
مَا مَلَأَ آدَمِيٌّ وِعَاءً شَرًّا مِنْ بَطْنٍ، بِحَسْبِ ابْنِ آدَمَ أُكُلَاتٌ يُقِمْنَ صُلْبَهُ، فَإِنْ كَانَ لَا مَحَالَةَ، فَثُلُثٌ لِطَعَامِهِ، وَثُلُثٌ لِشَرَابِهِ، وَثُلُثٌ لِنَفَسِهِ .    Omuntu tajjuzangako kisawo bubi okusinga olubuto, kimalira omuntu okulya ekigero ekyo kyayimirizaawo nakyo obulamu bwe, naye bwekiba nga tekyebeereka olubuto alwawulengamu ebitundu bisatu, ekisooka kyammere, ekyokubiri kya byakunywa, eky'okusatu kyakusizaamu.
رَوَاهُ أَحْمَدُ [رقم: 4/132]، والتِّرْمِذِيُّ [رقم: 2380]، وابْنُ مَاجَهْ [رقم: 3349]،    Yayogerwa Ahmad No.4/132, ne Tirimith,No.2380, ne Ibun Maajah, No.3349
وَقَالَ التِّرْمِذِيُّ: حَدِيثٌ حَسَنٌ .    Yayogerwa Tirimith N'agamba nti Hadiith eri Hassan.
الحديث الثامن والأربعون    Hadiith ey'ana mw'omunaana
أربع من كان فيه كان منافقا    Ebintu bina yenna aba nabyo abeera munnaanfuusi
عَنْ عَبْدِ اللَّهِ بْنِ عَمْرٍو رَضِيَ اللَّهُ عَنْهُمَا أَنَّ النَّبِيَّ -صلى الله عليه وسلم- قَالَ:    Eva ku Abdallah Ibun Amru -Allah yasiima kubo bombiriri- Nti mazima Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- yagamba nti:
أَرْبَعٌ مَنْ كُنَّ فِيهِ كَانَ مُنَافِقًا، وَإِنْ كَانَتْ خَصْلَةٌ مِنْهُنَّ فِيهِ كَانَتْ فِيهِ خَصْلَةٌ مِنْ النِّفَاقِ حَتَّى يَدَعَهَا: مَنْ إِذَا حَدَّثَ كَذَبَ، وإِذَا وَعَدَ أَخْلَفَ، وإذَا خَاصَمَ فَجَرَ، وَإِذَا عَاهَدَ غَدَرَ.    Ebintu bina yenna asangibwa nabyo abeera munnaanfuusi, era singa abeerako nekimu kubyo, aba alimu ekitundu ky'ob'onnaanfuusi okutuusa lwakireka: Oyo yenna nga bwanyumya alimba, era nga bwalaganyisa ayawukana, era nga bwafuna obutakkaanya n'omuntu ayonoona (asukka ekkomo) era nga bwawerera yekyuusa
رواه البخاري [رقم:34]، ومسلم [رقم:58].    Yayogerwa Bukhar No.34 ne Muslim No.58
الحديث التاسع والأربعون    Hadiith ey'ana mw'omwenda
لو أنكم توكلون على الله حق توكله    Singa mwali mwesigamira Allah mubutuufu bw'okumwesigamira
عَنْ عُمَرَ بْنِ الْخَطَّابِ -رضي الله عنه- عن النبي -صلى الله عليه وسلم- قَالَ:    Eva ku Umar bun Al-khattwab -Allah yasiima kuye- nga agijja ku Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- yagamba nti:
لَوْ أَنَّكُمْ تَوَكَّلُونَ عَلَى اللَّهِ حَقَّ تَوَكُّلِهِ لَرَزَقَكُمْ كَمَا يَرْزَقُ الطَّيْرَ تَغْدُو خِمَاصًا وَتَرُوحُ بِطَانًا.    Singa mwali mwesigamira Allah mubutuufu bwokumwesigamira, yandibagabiridde nga bwagabirira ekikyonyi, kifuluma mukisu kyakyo mumatulutulu (kumakya ennyo) nga kiyala, nekikomayo akawungeenzi nga kikkufu
رَوَاهُ أَحْمَدُ [رقم: 1 0 و52]، وَالتِّرْمِذِيُّ [رقم:2344]، وَالنَّسَائِيُّ فِي الْكُبْرَى كَمَا فِي التُّحْفَة: [رقم: 8/79]، وَابْنُ مَاجَهْ [رقم: 4164]، وَصَحَّحَهُ ابْنُ حِبَّانَ (730)، وَالْحَاكِمُ 418،    yayogerwa Ahmad No.01, ne 52, ne Tirimith No.2344, ne Nassa-ie No. mukitabo kye ekiyitibwa Kubura nga bwekiri mu Tuhufa No.8/78, ne Ibun Maajah No.4164, nagamba Ibun Hibbaan nti ntuufu No.730, ne Al-Haakim No.418
وَقَالَ التِّرْمِذِيُّ: حَسَنٌ صَحِيحٌ.    Nagamba Tirimith nti Hadiith eri Hassan ntuufu
الحديث الخمسون    Hadiith ey'amakumi ataano
لا يزال لسانك رطبا من ذكر الله عز وجل    Olulimi lwo terulekaayo kutendereza Allah.
عَنْ عَبْدِ اللَّهِ بْنِ بُسْرٍ قَالَ:    Eva ku Abdallah bun Yusiri yagamba:
أَتَى النَّبِيَّ -صلى الله عليه وسلم- رجلٌ فَقَالَ: يَا رَسُولَ اللَّهِ إِنَّ شَرَائِعَ الْإِسْلَامِ قَدْ كَثُرَتْ عَلَيْنَا، فَبَابٌ نَتَمَسَّكُ بِهِ جَامِعٌ؟ قَالَ: لَا يَزَالُ لِسَانُكَ رَطْبًا مِنْ ذِكْرِ اللَّهِ عَزَّ وَجَلَّ.    Yajja Omusajja eri Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- nagamba nti: Owange Omubaka wa Allah, Mazima amateeka g'obusiraamu gatuyitiriddeko obungi, naye tewali mulyango gubuna gwetuyinza kwekwatako? nagamba nti: Olulimi lwo terulekaayo kujjukira (okutendereza) Allah owekitiibwa
رواه أحمد [رقم: 188 و 190].    Yayogerwa Ahmad No. 188, ne 190