OBUSIRAAMU DIINI (NZIKIRIZA) YA MIREMBE

OBUSIRAAMU DIINI (NZIKIRIZA) YA MIREMBE

OBUSIRAAMU DIINI (NZIKIRIZA) YA MIREMBE
الإسلام دين السلام باللغة اللوغندية

 

Abd Ar-Rahman bin Abd Al-Kareem Ash-Sheha
د. عبد الرحمن بن عبد الكريم الشيحة


Kivvunuddwa:
European Islamic Research Center (EIRC)
& Khalid Jemba
Nekikasibwa:
Muhammad Ahmad Kaweesi

 
www.islamland.com

 


بسم الله الرحمن الرحيم
Amatendo amajjuvu ga Allah omulezi w'ebitonde, okusaasira n'emirembe bigende eri nabbi waffe Muhammad, wamu n'abantu be n'abagoberezi be.
ENNYANJULA
Nga obusiraamu tebunnaba kujja ensi yali ejudde entalo n'okuyiwa omusaayi nga ekigambo butebenkevu abantu bakyerabira nti kiynza n'okubaawo.
Mubiseera ebyo ssemazinga wabazungu (Europe) eky'okulabirako, ojja kwesanga nti ensi eyaanyi yali nga erumba ennafu, oluvannyuma nejikakasaako okuwa omusolo akabonero akalaga nti limu ku masaza gayo, mwana wattu omwana Adam nabeera nti yatambulira nga mu kunyigirizibwa okusinziira ku langi, enzikiriza, oba obubinja mu nzikiriza emu, wamu n'ebigendererwa bye dunia.
Mumbeera ezo omuntu yali taweebwa kitiibwa kya buntu, alwana oba talwana. Ekitiibwa kya amaka tekyaliwo, nga oli ayinza okujja nasaanjaga amaka gonna nga talina gweyeebuzizzaako. Nabwekityo n'ebyobugagga by'abantu byali tebiweebwa kitiibwa, abantu tebalina nsa, nga oli ayinza okutwala emmaali nabakyala ba munne wamu n'abaana n'abatunda mubutale bwa baddu.
Omuntu yali tamanyi kyebayita mirembe oba obutebenkevu mu nsi eno. Wabula ekyaliwo zaali ntalo, kulumbagana, bunkenke, kuwambagana, buddu, nakizikiza wamu n'obujeemu.
Obusiraamu nga tebunnaba kujja, abantu baali tebeesalirawo mu kusinza era byetulaba nti omuntu asinza ky'ayagadde tekyaliwo mu kaseera ako. Wabula omuntu yali alina kugobereeara nzikiriza ya kabaka we, era nga tekikkirizibwa omuntu ali mu bwakabaka bwa ba rooma okuba nti akkiririza mu ddini y'obwakabaka bwa farisaawo omulabe, era nga ekyo kyatwalibwnga nga okulya munsi olukwe era nga oyo omuntu aba alina okusibwa oba okuttibwa.
Omubaka okusaasira n'emirembe bibeere kuyye ayogera ku nsonga eyo bwati " Mazima Allah yatunuulira abali kunsi, nga tannaba kuntuma n'abasunguwalira nnyo abawarabu mubo n'abatali bawarabu, okujjako abaasigalira mubannannyini bitabo ( abagoberezi ba Aryuusi, abaali bawula Allah" (sahiih Ibn Hibbaan)
Mumbeera eyo obusiraamu bwajja n'obubaka eri ensi yonna, nebuwera obulyazaamanya n'obujeemu, nebuwera okulumbagana omuntu wabulijjo, era nebusengeka amateeka g'amaka emyaka 1400 nga endagaano ya jeneva tennabaawo. Bwalagira obwenkanya era nebuwera okusosola okuva ku langi, enkula, ebika oba obubinja.era obusiraamu bwanenya abakulembeze abaakakanga abantu okugoberera enzikiriza zaabwe, nebuwera obulumbaganyi obukorebwa ku by'obugagga ne ensa z'abantu, bwateekawo obuvunanyizibwa bwa b'enzikiriza ezitali busiraamu nga bawangaalira mu nsi y'obusiraamu era nebukubiriza okukuuma endagaano nebuvumirira n'okujawukanako.
Ebyo byonna tugenda kubiraba mu kitabo kyaffe kino mubugazi inshAllah taala, era nga tusaba Allah afuule ekitabo kino eky'omugaso eri oyo yenna ayagala okutegeera eddiini ya Allah, era Allah ayanjuluze ekifuba kye ku busiraamu. Amen.
 
www.islamland.com
OBUSIRAAMU KYE KKI
Omuntu okutegeera amakulu g'emirembe mu busiraamu, kyetaagisa okusooka okumanya obusiraamu kyebutegeeza mu makulu agabuna. Obusiraamu, Kigambo kirina amakulu mangi naye nga getooloolera ku butebenkevu nabutasinza bitonde bya Allah.
Obusiraamu: kitegeeza okwewaayo n'okugonda (omwoyo n'omubiri) kulwa Allah omulezi w'ebitonde mu kutuukiriza ebyo byeyalagira n'okwewala ebyo byeyagaana. Era n'okukkiriza ebyo byasalawo nebyagera. Allah ayogera ku kitaffe Ibrahim bwati:
Amakulu: {akaseera omulezi we (Allah) bweyamugamba nti ngoberera (Siramuka), nagamba nti ngoberedde oyo omulezi webitonde} Kn; Al-Bakarat: 131
Obwonno bwe busiraamu obutuufu omuntu yenna bwalina okuteeka mu nkola nga era Allah bwatugamba nti:
Amakulu: {mazima okusaala kwange, n'emirimu gyange gyenkola, n'obulamu bwange, n'okufa kwange, byonna bya Allah omulezi w'ebitonde}. Kn; al-aniaam: 162
Emirembe linya mu mannya ga Allah amalungi jalla jalaaluhu. Allah agamba mu kur'ane nti:
Amakulu: {ye ye Allah oyo awatali asinzibwa mu butuufu okujjako yye, kabaka, omutukuvu, ensibuko y'emirembe n'obutebenkevu..}. Kn; Hashir: 23
Emirembe linnya mu mannya ge jannah, Allah agamba nti:
Amakulu: {balina ennyumba eyemirembe (ejjanah) awali mukama wabwe..} Kn; Al-anaam:127
Emirembe kye kiramuso ky'abantu bo mu jannah wakati waabwe. Tusaba Allah fenna atuteeke mu bo. Allah agamba bwati:
Amakulu: {ekiramuso kyabwe olunaku lwe balimusisinkana (kiriba kigambo) mirembe..} Kn; Ahzaab:44
Emirembe ky'ekiramuso ky'abasiraamu wakati wabwe (emirembe gya Allah jibeere kuggwe), waliwo embuuza esingako awo? nga kigambo kiwoomu! Nnamusa mu kugiwulira esembeza emitima, nejjawo obukyawo n'ekko, n'ereeta obutenkevu n'emirembe ku mutima. Ennamusa ejudde emirembe n'okuwoona nga nabbi waffe Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere kuyye bweyatugamba nti byebimu kubijjuza obukkiriza bw'omuntu “temujja kuyingira jjanah okujjako nga mukkiriza Allah, ate temusobola kukkiriza okujjako nga mwagalanye, mbabulireyo ekintu bwemunaaba mukikoze mujja kwagalana, musaasanye emirembe (salaam) wakati wammwe” Muslim.
Era nga nabbi waffe Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere kuyye yakiteeka mu mirimu egisinga okuba emirungi, webamubuuza nti busiraamu ki obulungi? Nagamba “okuliisa emmere, n'okutoolera ssalamu oyo gwomanyi ne gwotamanyi” Bukhari ne Muslim.
Nabwekityo obusiraamu bwajja kulaga bantu ekkubo eggolokofu, n'okubajja mu kizikiza badde mu kitangaala, okubajja ku kusinza abantu badde mukusinza katonda w'abantu, oyo yenna atambulira ku kkubo ly'obusiraamu nagoberera obusiraamu nga anonyaamu kusiimisa Allah, owekitiibwa Allah amwanguyiza ekkubo eryo ery'emirembe era namwanguyiza okunywerera ku kkubo eggolokofu kukwagala kwe Allah subuhanahu wataala. Agamba Allah nti:
Amakulu: {abange banannyini kitabo, mazima abajidde omubaka waffe abannyonnyole mmwe ebingi mwebyo byemukweka ebiri mu kitabo, era alekere ebingi: mazima ekitangaala kibajjidde okuva eri katonda nekitabo ekyeyolefu. Allah alunngamya nakyo omuntu agoborera okusima kwe eri amakubo agemirembe, nabaggya mu bizikiza okubalaza eri ekitangaala olwokwagala kwe, nabalungamya eri ekkubo eggolokofu}. Kn; Al-Maaidat: 15
Obusiraamu ye ddini yokka ekunnganya amakulu g'ekigambo mirembe, nabbi waffe Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere kuyye agamba bwati: “omusiramu omutuufu yooyo awonya banne obubi bwolulimi lwe nemikono gye, era n'omusenguse omutuufu, yooyo asenguka ebyo Allah byeyaziyiza” Bukhari ne Muslim.
Era n'agamba okusaasira n'emirembe bibeere kuyye "omukkiriza omutuufu yooyo atebenkeza abantu (gwebeesiga) ku musaayi gwabwe n'emmali yaabwe” Ahamad, Tirmith, Ibin Majah Ne Albaani.
 
ABAFFE OBUSIRAAMU BWASASAANA NAKUKAKA BANTU?
Omusinjgi gw'enjigiriza y'obusiraamu gumenyawo okuwaayiriza okwo abalina effutwa kubusiraamu kwebatambuliza ku nnimi zaabwe enkya neggulo, owekitiibwa Allah agamba bwati;
Amakulu: {tewali kuwaliriza mu ddini, mazima obulunngamu bweyolese nga bweyawula ku bubuze, …}. Kn; Bakarat: 256
Awalala nagamba era Allah nti:
Amakulu: {singa yayagala mukama wo bandikiriza abantu abali munsi bonna, gwe (Muhammad) oyinza okukaka abantu okutuusa babeere bakkiriza (bonna)?}. Kn; Yunusu:99
Era n'agamba Allah:
Amakulu: {bagambe nti: amazima amatuufu gava eri mukama wammwe, oyo aba ayagala okukkiriza akkirize noyo ayagala okugana agaane.}. Kn; Al-Kahafu: 29
Era n'agamba Allah waffe:
Amakulu: {bwe baba bakyuse (okuva kumazima), mazima ekiri kuggwe kukyusa obweyolefu} Kn; Aal-Imran: 20
Era nagamba Allah:
Amakulu: {buulira ggwe, mazima ggwe oli mubuulizi. Toli wa manyi ku bo} Kn; Algaashiya: 21-22
Obujulizi kw'ekyo bungi, olw'ensonga nti obusiraamu nzikiriza ate enzikiriza yonna yeetaagisa okukakasa n'omutima so ssi kwogera bwogezi, ate nga obukakafu bw'omutima tebumala gajjikako namanyi kubanga omuntu kyangu nnyo okwogera ekyo kyatakkiririzaamu ku mutima gwe. kyova olaba Allah agamba nti:
Amakulu: {omuntu awakanya Allah oluvannyuma lw'okukkiriza kwe (nakyuka, alindiriddwa ebibonyobonyo ebinene) okujjako oyo aba akakiddwa nga nomutima ggwe guteredde ku bukkiriza, naye oyo ayanjululiza ekifuba kye eri obukafiiri…..}. Kn; Annahali: 106


ABAFFE OBUSIRAAMU BWASASAANIRA KUMANYI (GA KITALA)?
Buli ntegeka (nkola) yonna eba erina okubaako n'amanyi ag'enjawulo agasobola okugikuuma nga eteekebwa mu nkola wamu n'okubonereza oyo yenna aba agivuddeko, amaanyi ago gegabeera nga omusingo ku kutambula kwe ntegeka eyo n'okusigala nga etekebwa mu nkola. Uthaman bin Affan agamba “mazima ddala Allah asobola okujjawo ekintu n'omufuzi ekitasobola kuvaawo na kur'ane”. yafulumizibwa Razini.
Amakulu nti abantu abamu batya okukola omusango olw'okutya ekibonerezo omukulembeze kyayinza okumutusaako ku dduniya, ate newesinngaana nga omuntu bwatyo tatya ebyo kur'ane byeyagaana nga biriko ebiboneezo ebinene ku nkomerero, kyova olaba nti Allah subuhanahu wataala yawa abakulembeze okuwa abakozi b'emisango ebibonerezo, abantu basobole okuva ku kukola emisango.
Bwetutunulako mu byafaayo b'yobusiraamu, tukiraba nti mu ntandikwa nga Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuyye yakatumwa, yamala emyaaka 15 okusaasira n'emirembe bibeere kuyye nga akowoola bantu mu kubuulirira okwengeri ennungi, yalimbisibwa, nanyigirizibwa mu ngeri ez'enjawulo wabula n'agumiikiriza okunyizibwa n'okunyigirizibwa ye n'abo abaamugoberera.
Ensonga yalinnya enkandaggo, baatandika okubonyaabonya abagoberezi be okusaasira n'emirembe bibeere kuyye, yabayitangako naye nga talina kyayinza kubakolera okujjako okubagamba nti mugumiikirize.
Lunaku lumu yayita ku Ammar bin yasir ne maama we Sumayyah nga babatulugunya okusaasira n'emirembe bibeere kuyye n'abagamba nti: “obugumiikiriza abange mmwe ab'enju ya Yasir, mazima obuddiro bwa mmwe jannah” (Yafulumizibwa Haakim, ne Alban, nagamba nti ntuufu).
Ekiseera kyatuuka nebapanga okumutta bamujjewo basobole okumuwona bawone n'okusaasaana kw'obusiraamu obwali bufuuse ekizibu gyebali, wabula wadde byonna byaliwo naye nga ye yayongeeranga kusaba nti: “ayi Allah sonyiwa abantu bange kuba tebamanyi” (Bukhari ne Muslim).
Mukama we yamugumyanga n'obubaka obugumya era obusanyusa nti abamusooka (ba nabbi) balimbisibwa era banyizibwa, era ekkubo ly'okukowoola abantu liwanvu ate lizibu, olw'okuba nti luba lutalo wakati w'amazima n'obulimba, era wakati w'ekirungi n'ekiibi. Allah agamba nti:
Amakulu: {kale gumiikiriza ggwe Muhammad nga bwe bagumiikiriza ababaka abavumu banannyini bumalirivu era tobabuguutanira ..}. Kn; Ahkaaf: 35
Yagenda mu maaso omubaka okusaasira n'emirembe bibeere kuyye, bwe yeyanjula eri abantu abajja nga okulambula emmakah okutuusa ekibinja ekyava emadinah bwekyamukkiriza, era nekimusuubiza okumutaasa wamu n'okumukuuma singa abeera asenguse ye n'abagoberezi be nebagenda emadinah.
Yasenguka okusaasira n'emirembe bibeere kuyye n'agenda emadinah, naye nga mu myaka 13 gyeyamala nga ali mu makkah teyayiwako kumusayi wabula aba kuraishi baatwala eby'obugagga bye wamu n'ebyabo abaamugoberera wamu n'ekyo teyalagirwako kulwana oba okwetaasa okutuusa nga wayiseewo emyaaka ebiri (2) oluvannyuma lw'okusenguka, era nga kyava ku nsonga nti abalabe bali bayitiridde okumulumba n'okumukyokooza era si yeyatandika olutalo wabula basooka kumulumba.
Olw'okuba nti madinah basuubuzi webayita nga okugeenda eshami, era nga webayisanga ebyamaguzi byabwe, okulwana okwasooka kwava kukubeera nti nabbi Muhammad yayagala okujja ku basuubuzi abayita emadinah omusolo, era abakake okulekera awo okulumbagana obusiraamu wamu nababugoberera, era asobole okubajjako emmali eyo eyawambibwa ku basiraamu emakkah. Aba Kuraishi abali bakulemberwa abu sufiyani nga tannaba kusiramuka, baasobola okukyepena wabula nebakitegeera era nabetegeka okulumba abasiraamu emadinah, baategeka abasajja abalwanyi wamu n'ensolo nebayolekera emadinah okusisinkana abasiraamu, olwo no lwe lutalo olwasooka mu busiraamu omubaka ne ba swahaabah mwebetaasiza. Allah agamba nti:
Amakulu: {kwakkirizibwa (okulwana) kwabo abalwanyisibwa olw'okubanga mazima bo baba balyazaamaanyiziddwa, era mazima Allah ku kubataasa muyinza. Abo abaggyibwa mu mayumba gaabwe, mu butali bwa mazima wabula olw'okugamba nti mukama waffe ye Allah, sso nga singa tekwali kulwanirira kwa Allah abantu abamu kubannaabwe, zandimenyeddwa yekaalo, n'amakanisa, n'amasinzizo, amalala n'emizikiti, omwogererwa ennyo erinnya lya Allah, era ddala Allah ajja kutaasa oyo amutaasa, mazima Allah wa manyi ow'ekitiibwa. Abo (be bo), bwe tuba nga tubatebenkezza mu nsi bayimirizaawo esswala ne batoola ne zakkah ne balagira empisa ennungi ne bagaana empisa embi. Era ewa Allah y'eri enkomerero y'ebintu byonna} Kn; Al-hajj: 39-41
Kikumalira okumanya nti entalo zonna ezalwanibwa Nnabbi (mu kwetaasa) mu myaka 23 okuva weyatumibwa okutuusa weyafa ssemazinga wabawarabu yonna nakakkana, omuwendo gwa bantu abattibwa mu basiraamu n'abatali basiraamu tebasukka 375.
Nabwekityo nebaswahabah abajja oluvannyuma baasaasanya obusiraamu mu bwa kabaka obw'enjawulo nga bakozesa empisa n'enkolagana ennungi, n'okukowoola eri eddini y'obusiraamu mu ngeri esinga obulungi. Baali tebasinga bwa kabaka obwo bungi, oba manyi.
Omu ku basiraamu abapya ayitibwa Bashir Ahmad chad agamba bwati: Ebimu kubibuuzo bye nnalina nga sinnaba kusiramu nti ffe aba naswara (catholic), tugamba nti obusiraamu bwa saasaana na kitala, naye lwaki abantu basiraamuka enkya neggulo mu nsonda z'ensi yonna? lwaki abantu bayingira eddini eno munsi yonna buli kaseera nga tewali abakase yenna?  
Ekirala nti bw'otunuulira ebitabo ebyasooka wensingaana nti obusiraamu ssi bwebwasooka okulagira abagoberezi ba bwo okwetegekera omulabo, mu ssemateeka; essuula20: olunyiriri olw'ekkumi 10 n'okugeenda mu maas, mulimu amateeka g'entalo wamu n'emitendera egiyitibwamu okulumba ekitundu, okufuula abawambe abaddu wamu n'obutatta bakyaala n'abaana nga kiragiro okuva ewa katonda.
Era mu kitabo kyennyini olunyiriri lwa 25 mulimu nti Isa Emirembe gibeere ku ye yajja kulwana na kiso, nezifaanaganako bwezityo nyingi. Jothan Ropean mu kitabo kye (okulakulana kwa abawarabu p127-128) agamba nti abawarabu tebakozesangako manyi mu ddiini yabwe, bebaasinga nga mu ntalo babaleka nga mu madiini gabwe, era ekyo kyaletera abamu ku batali basiraamu okuyingira obusiraamu oluvannyuma lw'okulaba obw'enkanya abasiraamu bwebalina ekitaali munbakabona baabwe ne ba kabaka baabwe.
ABAFFE EKIGENDERERWA MU NTALO Z'EDDINI KWALI KUFUNA BUGAGGA NAKUTWALA MMALI Y'ABANTU?
Omuntu yenna atamanyi busiraamu n'ebigendererwa byabwo ayinza okulowooza nti ekigambo ekyo ekizimbibwa kundaba ye by'obugagga nti kituufu. wabula tugamba nti nabbi Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere kuyye bweyajja n'obusiraamu, aba Kuraishi baayagala okumuwa buli kintu kyonna kyayagala mu byo kwewunda by'ensi eno nga omuntu waba abifunye aba amazeeyo nga enjogera ya leero, bamusuubiza abakyaala abasinga obulungi oba baayagala, nebamusuubiza eby'obugagga waba byayagala, nebamusuubiza okumufuula omukulembeze wabwe,naye ave ku busiraamu n'okukowoola abantu eri eddini eno, anti nga batwala eddini busiraamu nti ekakkanya bakatonda babwe n'ekifo kyabwe mu bantu. Wabula mu buvumu obw'amanyi okuva ewa Allah, nabbi waffe Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere kuyye yabaddamu "ssisobola kubalekera ekyo kyemusabye okujjako nga munkumidde ekitangaalaky'enjuba" (silsilatu asswahiih 1/194) ekitegeeza nti yabagamba nga bwatasobola kuleka busiraamu n'okukowoola abantu eri obusiraamu okujjako nga bamuleetedde obujulizi obw'enkana okukuma ekitangaala ky'enjuba) oba nga afunye ekiragiro okuva ewa Allah.
Ssinga yali omuntu alina ekigendererwa kye by'enfuna oba eyali anonya eby'okwewunda by'ensi, yandibadde akozesa akakisa ako, n'akkiriza bye baali bamuwa kubanga bye baali bamuwa buli muntu byeyegomba ku nsi kuno.
N'ekirala nti Allah bweyamutuma, engeri gyeyakowoolanga ba kabaka n'abakulembeze yali nti bakkirize obusiraamu basigale n'obulembeze bwabwe. Eky'okulabirako ye bbaluwa ye gyeyawandikiira kabaka Hiraqiri “AMATENDO G'ALLAH OMUSAASIZI W'ENSAASIRA EBBIRI KUNSI OMUSAASIZI WABAKKIRIZA BOKKA KU LUNAKU LW'ENKOMERERO, OKUVA EWA MUHAMMAD ERI HIRAQIRI OMUNENE WA ROOMA, EMIREMBE GYA ALLAH GIBEERE KWO YO AGOBEREERA OBULUNNGAMU, MAZIMA NKUKOWOOLA OSIRAMUKE, SIRAMUKA OWONE, OWONE AMAZAMBI N'OMURIRO, SIRAMUKA ALLAH AKUWE EMPEERA ZA MIRUNDI EBIRI, NAYE BWONAGAANA AMAZIMA DDALA OJJA KUBA OFUNYE EZZAMBI LYA BA ARIYUUSA   ERA ABANGE BANNANYINI KITABO, MUJJE ERI EKIGAMBO EKYENKAMUNKAMU WAKATI WAFFE NAMMWE, TULEME KUSINZA MULALA YENNA WABULA ALLAH, TULEMA KUMUGATTAKO KINTU KYONNA, ERA TULEME KUSINZA ABAMU MUFFE OKULEKA ALLAH. BWEBABEERA BAKYUSE OKUVA KW'EKYO, MUGAMBE NTI, MUJULIRE NTI MAZIMA FFE TULI BASIRAAMU.
Anas Allah asiime ku ye agamba nti omubaka okusaasira n'emirembe bibeere kuyye teyasabibwa ko kintu kyonna ku busiraamu okujjako nga awaayo, olunaku lumu omusajja yajja ewa nabbi n'amusaba nabbi n'amuwa embuzi eziri wakati we ensozi ebbiri, bweyaddayo mu bantu yabagamba nti: abange musiramuke, Muhammad agaba ebintu nga tatya na bwavu. Anas nagamba nti omuntu yasiramuka nga ayagala duniya, naye weyamala nga okusiramuka, obusiraamu bwamusingira edduniya n'ebigirimu.
Olunaku lumu Umar Allah asiime ku ye yagenda ewa Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuyye, nayisaako amaaso mu kisenge nga nabbi agalamidde ku kawempe nga kamusaze ne ku njuyi ze zombi zeyebakirako, nga n'ebiri mu nyumba ye kabbo ka ngano, nga kumabbali wako waliwo omuguwa oguli ku nkondo, ebyo nga bye by'obugagga nabbi waffe bye yalina akaseera weyakulemberera ogutundu tundu gwa buwarabu, Umar weyalaba ebyo teyasobola kukuma maziga ge wabula yatulika n'akaaba, nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuyye namubuuza nti : kiki ekikukaabya? Umar namugamba: lwaki ssikaaba nga Kisra ne Qaiswar bali mu kweyagalira mu byokwewunda bye ensi eno naye nga nabbi wa Allah talina kyalina okujjako ebyo byendabye? Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuyye naddamu namugamba nti “abaffe tekikusanyusa okuba nti balina edduniya ffe netuba n'enkomerero” (Bukhar Ne Muslimu).
Ekirala bwotunula ku by'obugagga nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuyye byeyaleka, Amru bin Harith Allah asiime ku ye agamba bwati: Nnabbi talina kyabugagga kyonna kyeyaleka, ssi dirhamu, oba dinar, oba omuddu oba omuzaana nga afudde okujjako engatto ze enjeru, n'ekiso kye mpozi ne ttaka lye yaleka nga amaze okulisaddaaka (Bukhari).
Kati kuliwa okwagala ensi ne by'obugagga?
Umar omusika wa nabbi ow'okubiri, eyakulembeera ogutundu tundu gwe ensi eno, enjoka za muluma nga olubuto neruyomba olw'enjala, navaamu ekigambo kye ekimanyikiddwa “lubuto ggwe oba olumwa enjala oba tolumwa njala tojja kukutta okutuusa nga abasiraamu bonna bakkuse” (Ibin Jawzi yabyogera mu byafaayo bya Umar).
Mu lutalo lwe uhud, nabbi Muhammad yakowoola ba swahaba be nabagamba nti musituke mujje eri ejjanah obugazi bwayo bwenkana ensi neggulu omusanvu, swahabah Umairu Bin Hammam neyewunya nyo, nabbi namubuuza nti kiki ekikwewunyisa bwotyo, umairu namugamba nti sikwewunya wabula kwegomba kubeera muba nannyini jjana, nabbi namugamba nti oli mubbo, umair najjayo entende ezaali mu kisawo kyo busaale natandika okulya naye teyasobola kuzirya nagamba nti : wallahi singa mpangaala obuwangaazi obunsobozesa okulya enteende zino buba buwanvu, nakasuka entende natandiika okulwana ppaka bweyattibwa mulutalo n'afa nga muzira, Allah asiime ku ye.(Muslim).
Entalo z'obusiraamu ezasooka zaali zimala okuba abasiraamu bagaggawala wamu naabo abaligya mu maaso, wabula olw'okuba nti obugagga ssi kyekyali ekigendererwa kyabwe tebaakoma awo wabula baagenda mu maaso okusaasanya obusiraamu eri abantu bonna kuba kyekyaali ekigendererwa.
Era ekiggumiza nti baali tebaagala duniyah mu ntalo ezo kwekuba nti baawa nga abatuuze okusalawo nga tebannaba kubalumba, okusiramuka bafune ebyo abasiraamu byebafuna era baggibweeko ebyo abasiraamu bye baggibwako, webagaana okusiramuka bawe jiziyah (katundu ku mmali yabbwe okusobola okufuna okulabirirwa n'obukuumi okuva mu nsi y'obusiraamu), era nga tebalina kirala okujjako ekyo, nga webagaana ebyo olwo nga luba lutalo eddini ya Allah esobole okugenda mu maaso, anti waliwo oli nga bweyanditegedde obusiraamu yandibadde asiramuka nekiba nga kya tteeka okulwanyisa oyo yenna afuuka omuziziko eri eddini ya Allah okubeera nti esasaana mu bantu.
Khalid bin walid omulwanyi we entalo ze ddini, teyawangulwa ko mu lutalo lwonna, ssi mu busiraamu oba nga tannasiraamuka, yafa Khalid radhiya Allahu anihu nga talina kya bugagga kyonna okujjako enfalansa, n'ekiso kye n'omuleenzi amuyambako ewaka, bannange kuliwa okwagala edduniya n'ebyobugagga!!!?
N'ekirala ekiraga nti ekigendererwa kyabwe teyali mmali na byakwewunda bya nsi wabula kusaasanya ddini ya Allah, by'ebigambo bya swahaba ayitibwa shadad bin alhaadi Allah asiime ku ye, agamba: omu ku ba nnamalungu yakkiriza obusiraamu nagamba nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuyye nti ayagala kusenguka naye, nabbi nakubiriza abamu ku swahaba be babeere naye, akaseera katuuka nebalwana olutalo nebafunayo eminyago nabbi nagabira ba swahaba be, ne mu nnamalungu naye namuwa wabula yamugamba, owaye omubaka wa Allah nze bino ssi bye nasiramukidde wabula nasiramuse kulwana mu kkubo lya Allah banfumite wano akasaale (nalaza mu nsingo ye) nfe, nyingire ejjanah. Nabbi namugamba nti wooba nga byoyogera obikakasa Allah ajja ku tuukiriza ekyo kyoyagala, era wayitawo akaseera katono nebageenda mu kutabaala, bamuleeta nga bamuwanise nga bamufumise mu kifo kyennyini kye yasonga ko, nabbi nagamba nti oyo yayogera eri Allah we amazima, Allah natuukiriza ekyo kyeyayagala. Oluvannyuma bamuzinga mu jubba ya nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuyye, era nabbi namusaalira, ebimu kubigambo bye yayogera mu sswala yagamba “ayi Allah mazima omuddu ono yasenguse kululwo, nebamutta nga muzira era nange ndi mujuliuzi kwekyo” (Annasaai mu Swahih Targeeb Wa Tarheeb 1336).
N'ebitabo bye byafaayo by'obusiraamu bijudde eby'okulabirako bwebityo ebiraga nti abasiraamu abo abalwanyi abasooka tebalina kigendererwa kya kya bya kwewunda bya nsi wabula ekigendererwa kya bwe kwali kubeera nti batambuza obusiraamu butuuke ku buli muntu yenna nga we beesunga okwesiima okwo nabbi kweyabasuubiza nti “amazima ddala Allah okuyisa ku mukono okusiramuka kwo omuntu omu, kisinga okufuna ekyebagalo (enngamiya) ekimyufu (kye kidduka ekyaali kisinga obulungi mu kaseera ako)” (Bukhari ne Muslim).
Mwana wattu nabamu mu bo bafiirwa emmaali yabwe, ebitiibwa n'ebifo ebya waggulu olw'okuyingira obusiraamu, ekyo no kyava kukubeera nti abantu babwe babeewalanga, oba okubeera nti tebalina budde bwa kumalira mu ntu bwe bityo nanti obudde bwabwe bwonna bali nga balowooza ku ngeri ki obusiraamu gye bugenda okusasaana mu busobole okutuuka ku buli muntu yenna. Mu lutalo lwe (nahaawandi), swahaba ayitibwa Nuuman bin Muqrini almuzani, nga tebannaba kutandika kulwana yasaba edduwa nti ayi Allah nkusaba oyongere obusiraamu ekitiibwa era otaase abaddu bo era ofuule nuuman omujulizi asooka okufa olwalerero, ayi Allah nkusaba ontebenkeze olwalero n'oluwangula olulimu okusitula obusiraamu, mugambe ameen Allah abasasire olw'edduwa yange. Bannange mweyo edduwa mulimu okwagala ebyo kwewunda bye nsi eno.
Sooka owulire ebigambo byo batume ba muqawqasi, bwe baava ewa Amru bin al-as mu kaseera ko kulumba olukomera lwa ba babilooni, bagamba bwe baati: tulabye abantu nga okwetowaza gyebali kibasingira okwesitula, tebalina kyebaagala ku nsi, batuula ku ttaka, omukulembeze wabwe talina njawulo nabo, kizibu okwawula omukulu mu bo ku muto, oba omuddu ku mukama we….
Thomasa Carlyle agamba mu kitabo kye (abutwali) nga awakanya okuba nti obusiraamu bwa sasaana namanyi na kitala: bagamba nti eddini y'obusiraamu teyali yakusasaana singa tekyali kitala, naye kiki ekyaleeta ekitala? Ge manyi ge ddini eno era gemazima, endaba empya, mu ntandikwa yali eyimiridde ku muntu omu, omu kwo omu nebatandika okukkiriza nga abantu abo abatano bali kya nnyume kya nsi yonna, abatano abo we bakwata ekiso kizibu nnyo okuwangulwa. Agamba nti yye alaba amazima gasasaana mu mbeera yonna okusinziira abantu we bawangaala…
 
ENSOMESA Y'OBUSIRAAMU EVUMIRIRA OBUKAKANYAVU BW'OMUTIMA N'OKUKOZESA AMANYI KU BANTU.
 Eddini y'obusiraamu ddini ya kusaasira, kukwata mpola na kukwasa kisa, era evumulira obukambwe n’emitima emikyamu, era nga ekowoola abantu baayo okweyisa nga nabbi Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere kuyye Allah gwayogerako nagamba nti:
Amakulu: {ne ku lw’okusaasira okuva eri Allah wabagondera (ggwe Muhammad), naye singa wali ow’ebboggo, omukakanyavu womutima, bandikudduse..} Kn; Aal-Imran: 159
Ensomesa y’obusiraamu ekubiriza okuba okuba ne kisa wamu n'okukwata obulungi abantu abawansi abateesobola. Nabbi Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere kuyye agamba bwati “abasaasizi bafuna okusaasira okuva ew'omusaasizi (Allah), musaasire ebiri ku nsi mujja kufuna okusaasira kw’oyo ali mu ggulu.” (Tirmidh Jaamiu Alswahihi3522, Alswahehah:925(.
Okusaasira kw’obusiraamu tekukoma ku bantu, wabula n’ebisoro nabyo birinamu omugabo, okubisaasira kyayingiza omuntu ejjanah, nabbi agamba nti: omusajja lumu yali atambula mu kkubo, enyoota yamuyitirira ko, okutuusa bweyafuna oluzzi nakkamu n’anywa, agenda okufuluma nga embwa eryawo ewankawanka (ekomba ettosi) nga efa enyoota, omusajja nagamba nti embwa ekijituseeko kyennyini kyekimbaddeko, naddayo mu luzzi nateeka amazzi mu ngatto najikwatisa omumwa oluvannyuma nawalaampa mpaka weyatuuka ku mbwa naginywesa, Allah nasiima omulimu gwe, namusonyiwa amazaambi ge, ba swahaba beewunya n’ebabuuza owaye omubaka wa Allah n'ebisolo biriko empeera? Nabbi naddamu nti “buli ekitonde ekirina ekibuumba kiriko empeera” (Bukhari ne Muslim).
Era okubonereza ekisolo ekyo kyaviirako omukyala omu okufuna obusungu bwa Allah n'ayingira omuliro, nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuyye agamba bwati “omukazi omu yayingira omuliro lwa kkapa gyeyasibira mu nyumba n’efa. nga tajiwa mmere kyokka n'atagita erye ebiwuka byo ku nsi..” (Bukhari Ne Muslimu).
N'enjigiriza ya nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuyye ku kuyisa obulungi ebisolo n’okubisaasira nginyi nnyo, naye bwekiba nga bwekityo bwekiri ku bisolo, kati ate omuntu Allah gwe yasitula ku bitonde byonna n'amuwa ekitiibwa eky'enjawulo!!


ENTEKATEEKA Y'EBYENTALO MU BUSIRAAMU N'ENKOLAGANA N'ABALABE ABALWANISA OBUSIRAAMU ERAGA OBWENKANYA BW'OBUSIRAAMU N'OKUTAMWA KWABO OBULYAZAAMANYA.
Olutabaalo mu busiraamu ssikwagala kwamitima gy'abasiraamu, n'ekiraga ekyo nti abasiraamu bakenkufu mu mirimu egy'enjawulo era balina obumanyirivu obw'enjawulo, okugeza nga okubala, obusawo, ebw'obwengula, okuweesa amassawa n'amaato (ebyombo), okuzimba, okuwunda, n'ebirala, sso nga ate tebeenyigira mukuweesa byakulwanisa wadde okubikulaakulanya, newankubadde nga ekyo kyebakola nsobi nnene ewatali kubuusabuusa, newankubadde bafaayo kunnono z'obuntu, n'emitango, naye ekyo tekyabakaka kwenyigira mukuweesa byakulwanisa. Lwakuba bandibadde beekengera omulabe oyo abeetolodde ajjudde obubi mumutwe gwe, ekigendererwa kye kusaasanya bw'onoonefu munsi, ekigambo ekyefananyiriza obutujju kyajja mu kifi kimu kyokka mu Kur'ane, mukigambo kya Allah ekigamba nti:
Amakulu: {mubateekereteekere ekyo kyemusobola mumanyi nemukusiba embalasi. Nga mutiisa nakyo omulabe wa Allah era omulabe wammwe.} Kn; Al-anfaalu: 60
Era ekyandibadde kisinga obulungi, okuweesa eby'okulwanisa ebyamanyi bituukirize amagulu g'okutiisa abalala obutakola bulabe kumwenkanya aweereddwa eddembe, oyo ayogeddwako mu Kur'ane ey'ekitiibwa, okwo kutiisa okutaliimu bulumbaganyi eri abo abatebenkevu abawereddwa eddembe, era temuli kwagala kuyiwa misaayi, wadde okunyumirwa abantu abalwadde, wadde okusinda kwabafunye ebiwundu, wadde okukola ebikolwa ebikambwe kubafudde, wadde okwesasuza mukubonereza abawambe.
Swalah Ddiini omuwanguzi yayisanga bulungi abawambe, nga abalambula naabanywesa amazzi, naakaaba olwebyo ebitono ebikoleddwa mubutanwa. Mazima olutalo mu busiraamu ssi kitambo, era ssikunyumirwa kweriga namulabe omuvulunge, alumwe, wabula lutabaalo lw'okwetangira ku bulyazaamanya, n'okusaasanyaobw'enkanya n'obutebenkevu, era ensibuko munkolagana wakati weebibinja byabantu ebirala mu busiraamu, buli omu awa munne eddembe n'okukola endagaano, newankubadde obusiraamu bwakkiriza olutalo era nebululaalika oluvannyuma lw'okulemwa kw'amakubo g'okukoowola agasooka mumbeera ttaano era zeezino wammanga;
1.    Embeera y'okwerwanako, n'okutaasa abantu n'ensi, olw'ekigambo kya Allah ekigamba nti:
Amakulu: {mulwane mu kkubo lya Allah (olw'okusitula eddiini ye) nga mulwanyisa abo ababalwanyisizza. Naye temulumbagananga, mazima Allah tayagala balumbaganyi.} Kn; Bakarat: 190
2.    Okujja obulyazamanya kwabo abalyazaamanyizibwa, n'okutaasa abakuluusanyizibwa. Ekyo nno kyekifuula olutalo mu busiraamu nga ky'abuntu. Olw'ekigambo kya Allah ekigamba nti:
Amakulu: {kiki ekibagaana okulwana mu kkubo lya Allah, nga abanafuyizibwa (abateesobola) mubasajja n'abakazi n'abaana abato (tebasobola kulwana) bbo bagamba nti: ayi Mukama waffe, tujje mukino ekyalo (Makka). Abantu bakyo abalazamanyi, tuteerewo okuva gy'oli omukuumi, era tuteerewo okuva gy'oli omutaasa} Kn; Annisaa: 75
3.    Mukumenya endagaano oba obutazituukiriza. Allah agamba nti:
Amakulu: {Era bwebaba bamenye endagaano yaabwe oluvannyuma lw'okulagaana kwabwe, nebavumagana ne ddiini yammwe, olwo mulwanise abakulembeze b'obukaafiiri, kubanga mazima bbo tebalina ndagaano (ekuumibwa) olwo nno bajja kwekomako.} Kn; Attawba: 12
4.    Mukugolola baakiwagi mubasiraamu abo abalwanisa abasiraamu abo abaganye obw'enkanya n'okutabagana. Allah agmba nti:
Amakulu: {bwebibeera nga birwanaaganye (nga bisoowagane) ebibiina ebibiri mu bakkiriza, mutabaganye wakati wabyo, kyokka bwekiba nga ekimu kirumbaganye ekirala (oluvanyyuma lw'okutabaganya) mulwanyise ekyo ekirumbaganyi okutuusa lwekinaddanga eri ekiragiro kya Allah, kale bwekibanga kizzeeyo, olwo mutabaganye wakati wa byombiriri mu bwenkanya, mazima Allah abenkanya.} Kn; Al-hujraat: 9
5.    Okutaasa eddiini n'okugikuuma okulumbibwa kwabalumbaganyi n'okulwanisa buli jjiji ly'onna eriremesa okutuusa eddiini ya Allah kubantu, oba oyo abonereza abakkiriza, oba oyo atangira abaagala okugiyingira olwensonga nti okukowoowla kw'obusiraamu kwansi yonna tekweyawulidde bantu bamu, wabula buli omu alina okuwulira ebikwata kubusiraamu, n'okubumanya n'okumanya ebirungi n'obwenkanya bwebulina eri abantu bonna, ekiyinza okumusikiriza okubuyingira.
Naye entalo ez'okugaziya amatwale, obwa effuga bantu, oba okulaga amanyi n'obuyinza ezigendereddwamu okweddiza buli kalungi kaabalala, oba entalo ez'okwesasuza ezo ezivaamu okuzikiriza, n'okumenyamenya buli kimu, oba entalo ezoolesa amanyi n'okwewaana olwananyi obusiraamu zonna bwazigaana, olw'ensonga nti olutabaalo mu busiraamu lukolebwa kulwa Allah, nga ekigendererwa kya kuwanika kigambo kye (LAA ILAAHA ILLAH LLAH) so ssi bigendererwa bya kinnoomu oba okukunnganya edduniya. Allah agamba nti:
Amakulu: {Temubeeranga ng'abo abaavanga mumayumba gaabwe nga beekaaliisa n'okweragira kubantu, nga baziyiza abantu ku kkubo lya Alah, era Allah yeetolodde kw'ebyo byebakola.} Kn; Al-anfaalu: 47

AMATEEKA G'OLUTABAALO MU BUSIRAAMU
Newankubadde obusiraamu bwakukkiriza okulwana olw'obutebeereka, bulina amateeka n'empisa eby'enjawulo, agamba omubaka wa Allah nti: "mulwane kulwerinnya lya Allah mukkubo lya Allah, mulwanise abawakanya Allah, mulwane naye temukumpanya eminyago, temwawukana ku ndagaano, temukola butujju, temutta abaana". (Muslim)
Abubakar asswiddik Allah asiime kuyye omusika wa Nnabbi eyasooka yagamba nga abaduumizi b'amaje nga abatuma okugenda okutabaala nti: muyimirire mbalaamire ebintu kkumi mubijje kunze mubikwate:
Temukumpanya, temweddiza minyago, temwawukana ku ndagaano, temukola butujju, temutta mwana muto, temutta mukadde, wadde omukazi, temutema mutende era temugwokya, temutema muti gwabibala, temutta mbuzi, wadde nte, wadde nngamiya okujjako nga yaakulya, era mujja kusanga abantu nga beekuumira mu bigo, mubaleke nebyebaliko mubigo byabwe. (Attwabarii 3/226)


ABAWAMBE MU BUSIRAAMU
Tekikkirizibwa kubabonyabonya, waddeokubakkakkanya, oba okubakolako ebikolwa eby'obutujju, temubamma emmere mpaka bwebafa enjala, olw'ekigambo kya Allah ekigamba nti:
Amakulu: {ne baliisa emmere nga nabo bagyetaaga (ne mmaali), omunaku, mulekwa, n'omuwambe. (nga bagamba mumyoyo gyabwe nti) Mazima tubaliisa kulwa Allah, so tetwagala mpeera yonna kuva gyemuli wadde okwebazibwa.} Kn; Al-insaan: 8-9
Wabula ekigwana kubagulumiza n'okubasaasira, ono Abu Aziizi bun Umair muganda wa Mus'abu Bun Umair agamba nti: nnali mubawambe mulutalo lwe badir, Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuyye nagamba nti; "abawambe mubakwate bulungi, nze Nnali mu ba an-swar naye bwebaleeta nga ekyemisana n'ekyeggulo balyanga ntende nze nebampa enngano (emigaati) , olw'okukuutira kwa Nnabbi" (Attabaraani yajoogera mu mu'jam alkubrah (18410) Haithami yagamba nti olunyiriri lwayo lulungi, Majma' azzawa-id (6/86). Albani yagamba nfu (dwa-iiful Jame'i: 832)
Era Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuyye yakubirizannyo akubata, agamba Nnabbi: "mute omuwambe, muliise omuyala, mulambule omulwadde". (Bukhar 3/1109 hadiithi ya 2881)

 


EMBEERA Y'ABAMEGGEDDWA (abawanguddwa mu lutabaalo)
Tebalumbaganwa ndyo zabwe byabwe, wadde okweddiza eby'obugagga byabwe, wadde obukkanya ebitiibwa byabwe, wadde omumenyamenya ebibuga byabwe, wadde okubeesasuza, wabulwa ekiragirwa kubayisa bulungi, kubalagira bulungi, kubaziyiza kukola bikyamu, n'obwenkanya gyebali, olw'ekigambo kya Allah ekigamba nti:
Amakulu: {Abo (be bo) bwetuba tubatebenkezza mu nsi, bayimirizaawo esswala, nebatoola ne zzaka, nebalagira empisa ennungi nebagaana embi. Era ya Allah enkomerero yaabuli kintu kyonna.} Kn; Al-Hajj: 41
Era balina ebbeetu okusinza munzikiriza zaabwe ewatali kubanyigiriza okuyinza okubalemesa okukola ediini zaabwe, ekkanisa zaabwe tezimenyebwa, wadde emisalaba gyabwe.
N'obukakafu obusinga obulungi kwekyo y'endagaano ya Umaru gyeyawa abantu be Kudusi bweyagiyingira okujiggulawo yagamba, egamba nti:
Kulwerinnya lya Allah omusaasizi ow'ekisa ekingi, eno yendagaano y'obutebenkevu omuddu wa Allah Umaru Bun Khattab omukulembeze wa bakkiriza gyawadde Abantu be Kudusi: abawadde endagaano y'obutebenkevu, abantu nemmaali yaabwe, nekkanisa zaabwe, n'emisaalaba gyabwe….. tebakakibwa kuva ku ddiini yabwe, era tewali alina kukosebwa mubbo) waliyo wekyali kiwuliddwako mubyafaayo, obutegeevu n'obwenkanya, n'okuddiramu abawanguddwa ova eri omuwanguzi mulutalao lwonna?!!! Newankubadde Umaru yali waddembe obuasomera amateeka gonna geyandiyagadde naye yasalawo okw'enkanya n'okutuukiriza eddiini ya Allah kubantu bonna.
Balina ebbeetu okulya n'okunywa eddiini zaabwe byezibakkiriza, embizzi zaabwe tezirina kuttibwa, emyenge gyabwe tegiyibwa, ate kubikwatagana kumbeera zaabulijjo nga okuwasa, okugoba, n'ebyensimbi, balina ebbeetu okuteeka munkola ekyo ky'ebakkiririzaamu oba eddiini yabwe kyebalagira.

EMBEERA Y'ABATALI BASIRAAMU MU NSI Y'OBUSIRAAMU.
Abatali basiraamu abo abali kundagaano, tebalyazamanyizibwa wadde okukendeeza ebyetaago byabwe, wadde okwonoona enkolagana nabo, olw'ekigambo kya Allah ekigamba nti:
Amakulu: {Tabagaana Allah (kukolagana bulingi) naabo abatabalwanyisa mu ddiini, era nebatabafulumya munsi yammwe, okulongoosa gyebali n'okwekanya gyebali, mazima Allah ayagala abenkanya.} Kn; Al-Mumtahinat: 8
N'olwekigamba kya Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuyye ekigamba nti: "oyo yenna alyazamanya gwetulina naye endagaano mubatali basiraamu, oba amukkakkanya, oba naamukaka kyatasobola, oba amujjako ekintu kye nga teyeesimidde, nze nja okuwoza naye kulunaku lw'enkomerero". (Abu Dauda aswahiiha)
Wabula obusiraamu bulagira enkolagana ennungi, n'okubaagaliza ebirungi, n'okufaayo kubibagasa, hadiithi nga eva ku Anasi Allah asiie kuyye yagamba nti: "omulenzi omuyahudi yali aweereza Nnabbi nalwala, Nnabbi nagamba baswahaaba be nti; muntwale gyali mmulambuleko nebamutwala, nasanga nga kitaawe nga atudde ku mutwe gwe. Nnabbi nagamba omulenzi nti; gamba nti Laa ilaaha illah llah, nkuwolereze nakyo kulunaku lw'enkomerero, omuvubuka nga bwatunuulira kitaawe, kitaawe namugamba nti; tunula munsonga Abu Kasim, nagamba nti; nzikirizza era nenjatunti teri kisinzibwa mubutuufu okujjako Allah, ne Muhammad mubaka wa Allah, Nnabbi nagamba nti: atenderezebwe Allah oyo amutaasizza okumujja mu mumuliro Jahannama". (Ibn Hibaan)
Ono Abudullah Bun A'mru baamusalira embuzi mubakyala be, bweyajja naabuuza nti: muweerezzaako mulirwana waffe omuyahuudi? Nnawulira Nnabbi nga agamba nti: "Jibriil yaddirinngana nnyo okunnamira omulirwano okutuusa bwennalowoonza nti anaamuteeka mu basika". (Attirmithi)

ENSIBUKO Z'ENZIKIRIZA Y'OBUSIRAAMU ZIRAGA EMIREMBE EMY'ENKAMU EGIBUNA, ERA NTI OBUSIRAAMU BUKOWOOLA ERI;
1.    Okugulumiza omwoyo gw'omuntu, mu busiraamu omwoyo gwakitiibwa, gwabbeyi, ekifo kyagwo ne ddala lyagwo bikuumibwa, n'olwensonga eyo, obusiraamu bwalagira okuwoolera eggwanga, nebulagira asse omuntu mubugenderevu naye attibwe, wabula asse mubutanwa yye alina okutanga mu busiraamu, omutango gubeera mutemwa mu mmaali eyo ewebwa bannyini mufu. Endasi ssi muwendo gwa mufu attiddwa, wabula kubeera kukkakkanya okukosebwa okutuuse kubannannyini mufu. Ate ggwo omutango gwa kuta ensingo y'omuddu asobole okusembera nakyo eri Allah, asobole okusonyiyibwa ezzambi eryo lyakoze mubutanwa, naye ebyo byonna tebikolebwa okujjako n'ekigendererwa ky'okutaasa emyoyo, n'okutaasa omusanyi obutayiibwa, n'okukangavvula baalumira mwoyo abo abafuna embavu okutta abantu. Olw'ensonga nti bwamanya nti bwatta bagenda naye kumutta, yeekomako naaleka ekyonoono ekyo, era singa ekibonerezo ky'omussi kuttibwa, olwo tewandibadde kutya kwonna kutangira kivve ekyo. Era geraageranya kukutta ebibonerezo by'obusiraamu byonna, by'ebisinga okukanga era tebyaterwawo okujjako olw'okwagala okutaasa omuntu n'ebintu bye. Allaha agamba nti:
Amakulu: {Era mulina mmwe mu tteeka ly'okuwolera eggwanga obulamu abange mmwe abalina amagezi, mwekyo mujja kutya Allah.} Kn; Al-Bakarat: 179
Ate obusiraamu tebwakoma kubibonerezo byadduniya byokka, wabula bwateeka kukutta okugenderere ebibonerezo eby'enkomerero ebirimu obungu bwa Allah n'ebibonerezobye ebyamanyi kunkomerero. Allah agmba nti:
Amakulu: {nooyo yenna atta omukkiriza mubugenderevu, empeera ye muliro Jahannama wakubeeramu lubeerera, era Allah yamusunguwalira, n'amukolimira, n'amuteekerateekera ebibonerezo eby'amanyi.} Kn; Anisaai: 93
2.    Obusiraamu bulaga nti abntu bonna benkana era balina ensibuko emu mwebatondebwa, nga tebwawudde musajja namukazi, Allah agamba nti:
Amakulu: {abange mwe abantu mutye Mukama wammwe, oyo eyabatonda nga abajja mu mumwoyo gumu (Adam), natonda nga ajja muyye mukyalawe (Haawa), naasasaanya nga ajja mubombiriri abasajja nfaafa n'abakazi. Era mutya Allah oyo gwemukulembeza mukusaba (mubyetaago byammwe wakati wammwe) n'oluganda, Mazima Allah, mazima Allah mukuumi kumwe (okuva ddi na ddi).} Kn; Annisaai: 1
Era Nnabbi wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere kuyye yagamba nti: "abantu bonna batabani baa Adam, ate Adam yatondebwa kuva mu ttaka". (Ahmad)
N'okusinziira kukwenkanankana okwo okwogeddwako, abantu bonna benkana eddembe, era Umaru Bun Khattabi ekyo yakyatula dda ebyasa kumi nabina emabega, bweyagamba nti: mwafuula ddi abantu abaddu, nga bannyabwe baabazaala baana baaboobwe! (ekitaba; siiratu Umar ekya Ibun Jawuz)
3.    Okulaga ntu eddiini eri emu yokka. Eddiini eyassibwa okuva eri Allah eri ddiini emu, era erina ensibuko zeezimu okuviira ddala ku Adam Allah amusaasire okutuuka ku ow'enkomerero mu bannabbi n'ababaka Muhammad. Bannabbi bonna eddiini yabwe yeemu era kwekwawula Allah n'okumusinza nga bagoberera amateeka Allah gaabassizzaako, era ne bitabo ebyava mu ggulu bubaka okuva eri Allah omugulumivu. Allah agamba nti:
Amakulu: {yabalaalika (mu) ddiini ekyo (kyennyini) kye yalaamira Nuuhu n'ebyo byetussa mububaka gy'oli (ggwe Muhammad), n'ebyo byetwalamira (ba Nnabbi) Ibrahiimu, ne Musa, ne Isa (nga bigamba) nti; muyimirizeewo eddiini, temugyawukanamu, kyazitowerera (abakaafiiri) abagatta ku Allah ebintu ebirala, ekyo kyobakowoolera okujja gye kiri (okwawula Allah), Allah ayawula eri kyo (akiwa) gwayagadde (okukkiriza), era alunngama eri kyo (okukkiriza) oyo ateenenya (gyali).} (Kn; Ashuurah: 13)
Amakulu: {mazima ffe twassa gy'oli obubaka, nga bwetwassiza Nuuhu obubaka, neba Nnabbi ab'oluvannyuma lwe, era nga bwetwassa obubaka eri Ibrahiim, ne Ismael, ne Is-haaka, ne yakuub, nebazzukulu be (yakuub), ne Isa, ne Ayyub, ne Yunusu, ne Haruuna, ne Sulaiman, ne tuwa Dauda zabuli.(163) n'ababaka abamu mazima twabakunyuizaako oluberyeberye; n'ababaka (abalala) tetwabakunyumizaako, era katonda yayogera ne Musa olwogera.(164) Ababaka abaabulira ebisanyusa, era abaatiisa, abantu baleme kubeera nga balina ensonga yonna ku Allah (y'okwekwasa) oluvannyuma lwa babaka, era Allah wakitiibwa era Mukakasa(165)} (Kn; Annisaai: 163-165)
Era obosiraamu bwakata ekkubo ery'okumalawo okwawula ebika n'okwetematemamu okunyomoofu, era okwo okusiga obukuubagano, obulabe, n'obukyayi mu bantu, olw'ensonga nti bwafuula okukakasa ababaka n'ebitabo ebyassibwa okuva mu ggulu ebyasooka nga kiri munsibuko z'obukkiriza. Allah agamba nti:
Amakulu: {Mugambe (mwe abasiraamu), nti tukkiriza ebyo ebyatumiddwa gyetuli, n'ebyo ebya ssibwa ku Ibrahiim ne Ismail, ne Is-haak, ne Yakuub, nebazzukulu be (Yakuub), n'ebyo ebyaweebwa Musa, ne Isa, n'ebyo ebyaweebwa ba NNabbi bonna okuva eri omulezi waabwe, tetwawulamu omu mu bo, era ffe eri yye (Allah) tuli basiraamu (abeewaayo okugondera ebiragiro bye)}. Kn; Al-Bakara: 136
Kur'ane eraga nti Musa omwogerezeganya na Allah, wa mazima ayagala okusembera eri Allah, Allah agamba nti:
Amakulu: {Abange mmwe abakkiriza, temubeera nga abo abaakosa (abaanakuwaza) Musa (nga bamwogerako kalebule) naye Allah naamutukuza mu byo, era yye (Musa) eri Allah wakitiibwa.} Kn; Al-ahzaab: 69
Era n'eraga nti Tawrat eyo eyaweebwa Musa nti bulunngamu era kitangaala, Allah agamba nti:
Amakulu: {Mazima ffe twassa Tawraat nga mulimu okulunngama, era nga kitangaala. Bannabbi abaali abasiraamu (abeewaayo okutuukiriza amateeka ga Allah) ne baakabona abayivu mu ddiini, n'abayivu abagobererwa muddini, baalamula nayo abayudaaya, olw'ebyo byebakuumisibwa mu kitabo kya Allah, era ku kyo baali bajulizi. N'olwekyo temutyanga abantu, mutye Nze, era temugula (temutunda) amateeka gange omuwendo omuntu, era oyo atalamula n'ebyo Allah byeyassa, abo nno be bakaafiiri (abawakanyi).} Kn; Al-maida: 44
Era eraga nti ekibiina kya Musa mu baana ba Izrairi, nti kibiina kasukkulumizibwa kubibiina ebirala mukiseera ekyo. Allah agamba nti:
Amakulu: {abange mmwe abaana ba izrairi, mujjukire eky'engera kyange ekyo kyennagabirira mmwe, era nga mazima nnabasukkulumya ku balala bonna (mukugabanya obubaka).} Kn; Al-Bakarat: 122
Era bwetyo Kur'ane eraba Isa emirembe n'okusaasira bibeere kuyye nga Nnabbi ow'ekitiibwa era ekigambo kya Allah kyeyassa eri Maria (ekigambo kya Alla kitegeeza nti yatondebwa n'ekiragiro kya Allah eky'obutondebwa kwe, era nakyo kyekigambo " ba" isa yye teyatondebwa mumazzi ga kisajja nakikazi nga bwekiri mu kutonda kwabantu abala. Era Isa okubeera mwoyo gwa katonda tekitegeeza nti olwo Kitundu ku Katonda era nti yakutuka kuyye, wabula ekigendererwamu nti ekiragiro kyava eri Katonda. Era nga Allah bwagamba nti:
Amakulu: {era yabagodenza ebyo ebiri mu ggulu (mu bwengula nga enjuba, omwezi, emmunyeenye n'ebirala), n'ebyo ebiri munsi byonna (nga byengera) okuva gy'ali (Allah), mazima mwebyo mulimu obubonero eri ekibiina kirowooze.} Kn; Al-Jaathiya: 13
Era Allah agamba:
Amakulu: {nabuli kyemulina mu byengera kiva eri Allah, oluvannyuma akabi bwekabakwata, eri Allah gyemuwanjagira.} Kn; Annahali: 53
Era Allah agamba:
Amakulu: {malayika yagamba Mariyamu nti owange Mariyamu, mazima Allah akusanyusa n'ekigambo okuva gy'ali (eky'okuzala omwana), erinnya lye almaseeh Isa mutabani wa Mariyamu, wakitiibwa mu nsi era ne ku nkomerero, era ali mwabo ab'okumwanjo (ne Allah).} Kn; Al-Imran: 45-46
Era Kur'ane eraba bikira Maria nyina Isa omukyala omwogera mazima. Allah agamba nti:
Amakulu: {Tali masiiha mutabani wa Mariyamu, wabula mubaka bubaka, mazima ababaka bangi abayita oluberyeberye lwe, ne nnyina yali mukkiriza ow'amazima, boombiriri balyanga emmere, tunuulira engeri gyetubanyyonnyola obubonero (amazima), oluvannyuma otunuulire engeri bakyuka (okuva kumazima).} Kn; Al-maeda: 75
Era Kur'ane eraba Injil (ekitabo kya Isa) nga bweraba Tauraat (ekya Musa) nti bulunngamu era kitangaala, Allah agamba nti:
Amakulu: {netugobereza kubuufu bwabwe Isa mutabani wa Mariyam, nga akakasa ebyo ebiri mumaaso ge ebyasooka mu Tawrat netumussaako Injiil nga mulimu mu yo okulunngama n'ekitaangaala. Era nga ekakasa ebyo ebiri mumaaso gaayo ebiri mu Tawraat nga kwakulunngama era nga kyakubuulirira abatya Katonda}. Kn; Al-maeda: 46
Era Kur'ane era abakkiriza abaagoberera Isa nti kibiina ekisaasizi era eky'ekisa, Allah agamba nti:
Amakulu: {Oluvannyuma netugobereza kubuufu bwabwe (Ibrahiim ne Nuhu) ababaka baffe abalala netugoberezaako oluvannyuma lwabo, isa Mutabani wa Mariyamu, netumuwa injiil, netuteeka mu mitima gyabo abaamugoberera obukwata mpola n'obusaasizi, wabulo obussosodooti (bannaddiini okulekayo okuwasa) bbo bennyini beebagwenjirawo tetububalaalikangako, bo baabwebinikako, nga banoonya okusiima kwa Allah, ate nebatabukuuma nga bwebuteekwa kukuuma, awamu nekyo twawa abakkirza mu bo empeera yabwe (ennungi), kyokka nga abasinga abungi mubo boononyi.} Kn; Al-hadiid: 27
Era kikakata kubuli musiraamu okukkiriza ba Nnabbi bonna n'Ababaka ba Allah, n'ebitabo ebyassibwa kubbo okuva eri Allah, Allah agamba nti:
Amakulu: {Mazima ddala abo abawanya Allah n'abakabe, nebaagala baawukanye wakati wa Allah n'ababaka be, nga bagamba nti tukkirizaako abamu netuwakanya balala, nebaagala bateekewo ekkubo wakati webyo byombiriri (obukkiriza n'obutakkiriza) (151) Abo bo beebatakkiriza mu mazima, era twateekereteekera abatakkiriza ebibonyobonyo ebinyoomesa.} Kn; Annisai: 151-152
Era nga bwekimukakatako okugulumiza n'okuwa ekitiibwa amateeka agassibwa kubuli Nnabbi yenna, era alina okwagala n'okukakasa obwa sserugaanda eri abakkiriza baNnabbi abo bonna abaakulembera Omubaka Muhammad okusaasira n'emirembe kubeere kubbo. Allah agamba nti:
Amakulu: {Naabu abajja oluvannyuma lwabwe, nga bagamba nti, Ayi Mukama waffe, tusonyiwe ffe nebaganda baffe abaatukulembera mu kukkiriza, era tossa mumitima gyaffe akakukuuzi konna kwabo abakkiriza, Mukama waffe mazima ggwe Omukwata mpola Omusaasizi} Kn; Al-hashir: 10
Wabula okutumibwa kwa Muhammad kwakomekkereza obwa Nnabbi, obubaka bwonna okuva muggulu bwakoma. Olw'ekigambo kya Allah nga bwagamba nti:
Amakulu: {tali Muhammad kitaawe w'omu mu basajja mummwe, wabula Omubaka wa Allah, era ow'enkomerero muba Nnabbi, era Allah ku buli kintu kyonna mumanyi.} Kn; Al-ahzaab: 40
Amateeka agassibwa ku Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere kuyye gasangulawo amateeka gaabo bonna abaasooka mubabaka, ekyo nno kitegeeza nti kikakata okukolera ku Mateeka ge n'okuleka amateeka gaabakulembera mubabaka, wabula obutagakolerako tekitegeeza kugalimbisa, wabula okugakkiriza naye nootagakolerako. Allah agamba nti:
Amakulu: {n'omuntu anonya obutali busiraamu okugifuula eddiini, ssiyakukkirizibwa okuva gyali, era kulunaku lw'enkomerero alibeera mubafaafaganiddwa.} Kn; Al-Imran: 85
Era ennamula y'obusiraamu ekkiririza mu nzikiriza ezirina akakwate neGgulu okukkiriza ekyo abasiraamu kyebakkiriza, nga okukkiriza ba Nnabbi bonna abaatumwa okuva eri Allah nga tewali kusosola, okukkiriza ebitabo byonna ebyava mu Ggulu ebyassibwa ku bbo, Allah agamba nti:
Amakulu: {bwebanakkiriza okufaanana nga bwemukkiriza mumazima banaaba balunngamye, naye bwebaba nga bavudde kunzikiriza eyo, mazima bo bali mukwawukaana olw'okuwalaza empaka, naye Allah ajja kukumalira (akutaase) eri bo, mazima yye (Allah) awulira era amanyi byonna.} Kn; Al-Bakara: 135
Era ensomesa y'obusiraamu yeesamba oyo yenna abeera ayakunye kwekyo, Allah agamba nti:
Amakulu: {Mazima abo abaayawulayawula eddiini yabwe nebabeera ebibiina ebyawukamu, toli ggwe (Muhammad) avunanyizibwa kubbo kintu kyonna, mazima ekulamula kwabwe kuli eri Allah, oluvannyuma alibannyonnyola ebyo byebaali bakola (159) omuntu alijja n'ekirungi (omulimu) alina (okusasulwa ebirungi emirundi) kkumi ebifaanana nga kyo, era alijja n'ekibi tagenda kusasulwa wabula nga ekikifaanana, nabo (abantu) tebageb=nda kulyazaamanyizibwa (160) gamba nti mazima nze annunngamizza mukama wange (Allah) eri ekkubo eggolokofu, eddiini engolokofu, eddiini ya Ibrahiim eyayawukana ku ddiini (endala zonna), teyali mwabo abagatta ku Katonda n'ebintu ebirala.} Kn; Al-anaam: 159-161
Enkola y'obusiraamu mukukowoola ab'eddiini endala yenkola yookwogerezeganya nookuwanyisiganya ebirowoozo ebigasa, eyo egatta abantu kunzikiriza ey'obwakatonda n'okusomesa abantu empisa ennungi. Allah agamba nti:
Amakulu: {gamba nti, abange bannanyini kitabo, mujje eri ekigambo ekyenkamunkamu wakati waffe nammwe, tuleme kusinza mulala yenna wabula Allah, tulema kumugattako kintu kyonna, era tuleme kusinza abmau muffe okuleka Allah. Bwebabeera bakyuse okuva kw'ekyo, mugambe nti, mujulire nti mazima ffe tuli basiraamu (abakakasa obumu bwa Allah)} Kn; Al-Imran: 64
Nabw'ekityo obusiraamu bukubiriza obutalimbagana nsiza zaabo abatakkiriza, oba okuzivuma olw'enzikinkariza zaabwe neddiini. Allah agamba nti:
Amakulu: {era temuvumanga abo bebasinza abatali Allah, kubanga bandivuma Allah kulw'obulumbaganyi ewatali kumanya, bwekityo twawundira buli kibiina emirimu gyabwe, oluvannyuma eri mukama wabwe bwe buddo bwabwe, n'abategeeza ebyobyebaalinga bakola.} Kn; Al-anaam: 108
Era obusiraamu bukubiriza abagoberezi baabwo okwogerezeganya naabawukana kunzikiriza y'obusiraamu mubulungi, olw'ekigambo kya Allah nti:
Amakulu: {Era towakananga na bannanyini kitabo wabula n'ekyo ekisinga obulungi okujjako abalyazaamanyi mu bo, era mugambe nga nti ffe tukkiriza ebyo ebyassibwa gye tuli n'ebyo ebyassibwa gye muli, ne Katonda waffe nammwe Ali omu, naffe ku ye twewaddeyo tuli abasiraamu.} Kn; Al-ankabuut: 46
Era Allah agamba nti:
Amakulu: {kowoola eri ekkubo lya Mukamawo (Allah) n'amagezi n'okubuuliirira okulunga, era wakana nabo n'ekyo ekisinga obirungi (ekigasa)} Kn; Annahali :126
Okukaka abantu okukkiriza obusiraamu ssi nkola y'ansomesa ey'obusiraamu nga bwatwakirambise emabegako, Allah agamba nti:
Amakulu: {tewali kuwaliriza mu ddiini, mazima obulunngamu bweyolese ku bubuze.} Kn; Al-Baqarat: 256
Kubanga ensomesa y'obusiraamu ekozesa ekkubo ly'okumatiza abali basiraamu okukkiriza awatali kukaka wadde okukozesa amanyi, era ekyo mu busiraamu kiyitibwa " okulunngamya abantu mukubakowoola" wabula kwo okulunngamya emitima kwa Allah yekka. Allah agamba nti:
Amakulu: {bagambe nti, amazima amatuufu gava eri Mukama wammwe, kale ayagala (okukkiriza) akkirize, n'oyo ayagala awakanye, mazima ffe twateekerateekera abalyazamanyi omuliro nga lubeetoledde olukomera lwago. Bwebaliba basabye okunywesebwa amazzi, balinywesebwa amazzi agalinga ekyuma ekisaanusiddwa nga gasiiriiza ebyenyi, kyakunywa kibi nnyo, era (omuliro) buddiro bubi nnyo.} Kn; Al-Kahafu: 29
Obusiraamu bwenkanya mubuli kimu, era bwenkanya naabo ababwawukanako!!
Amakulu: {n'olw'ekyo kowoola (abantu ggwe Muhammad eri eddiini) era olunngame nga bwewalagirwa, era togoberera okwagala kwabwe, wabula ogambe nti: nzikirizza ebyo Allah bye yassa mubitabo, era ndagiddwa okwenkanya wakati wammwe, Allah ye mukama waffe nammwe. Ffe tulina emirimu egyaffe nammwe mulina emirimu egyammwe, tewali nkayaana wakati waffe nammwe. Allah agenda kusisinkanya wkati waffe nammwe, era obuddo (baffe) buli gy'ali.} Kn; Al-shuurah: 15
4.    obusiraamu bukubiriza enkolagana ennungi ezaala ebibala, era gwemusinji gw'ebirungi eri abantu bonna, era y'ensibuko y'okutuukiriza obwetaavu bwabuli muntu mumpangaala y'abantu. Allah agamba nti:
Amakulu: {era muyambaganenga ku (kukola) obulungi n'okutya Allah, so temuyambagananga ku kikyamu n'obulumbanganyi, era mutye Allah, mazima Allah muyitirivu wa bibonerezo.} Kn; Al-maaeda: 2
Mu hadithi nga eva ku Ibun Umar Allah amusiime yagamba nti; omusajja yajja eri nnabbi nabuuza nti; owange Nnabibi wa Allah, muntu ki asinga obulngi, era mulimu ki ogusinga obulungi? Nnabbi naddamu nti; "omuntu asinga obulungi oyo asinga okugasa abantu, era omulimu ogusinga obulungi essanyu ly'ateeka mumutima gw'omusiraamu, oba okumutaasa ekizibu, oba okumusasulira ebbanja, oba okumumalako enjala, mazima nze okuluma n'omusiraamu mubwetaavu bwe kinsingira okwemalira ku Ibaadah mumuzikiti guno (omuzikiti gwa Nnabbi) omwezi mulamba, omuntu akuuma obusungu bwe Allah abikkirira obumogo bwe, era omuntu eyeekomako okukolera kubusungu bwe nga yandibadde asobola okukikola, Allah ajja kujjuza omutima ggwe essuubi kulunaku lw'okubalibwa, omuntu awerekera muganda we omusiraamu mubwetaavu bwe okutuusa nga buweddewo, Allah ajja kunyweza ebigere bye ku swiratwa (olutindo) olunaku ebigere lwebiriseerera mazima ddala empisa embi zoonona emirimu emirungi nga khallu  bwayonoona omubisi gwenjuki" (Tabaraani yagyogera mu kitabo kye "Mu'ujam alkabiir", Albaani naagigolora mukitabo kye " silsilatu asswahiiha")
Obusiraamu buyita mu makubo ag'enjawulo okutuukiriza ekiruubirirwa ekyo, nago mulimu;
•    Okukubiriza okuwangaala n'okumanyagana wakati w'ebika n'embuto, nga twegattira ku nnano y'obwakatonda ey'okwawula Allah n'okukkiriza ababaka be ne bitabo bye. Allah agamba nti:
Amakulu: {abange mmwe abantu, mazima twabatonda (nga tubajja) mu musajja omu (Adam) n'omukazi omui (Haawa), era netubafuula okuba amawanga n'ebika (eby'enjawulo) mulyoke okumanyagane (musobole okuyambagana). Mazima ddala abasinga ekitiibwa mumaaso ga Allah yooyo abasing okutya (Allah). Mazima Allah mumanyi nnyo era mukenkufu (alaba byemukola).} Kn; Al-hujraat: 13
•    Okukubiriza okwagaliza buli omu ebirungi, Hadithi nga eva ku Abu Hurairat Allah asiime kuyye yagamba nti: yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere kuyye nti; ani anzijako ebigambo bino bitaano abikolereko oba abisomese anaabikolerako? Abu Hurairat agamba nti; nenngamba nti nze owange ggwe omubaka wa Allah, nankwata kumukono n'abala ebintu bitaano. Naagamba nti: weewale ebyaziyizibwa okulembere mukusinza Allah, siima ekyo Alla kyakuwadde asinga obugagga, lonoosa eri mulirwana obeere omukkiriza, yagaliza abantu kyeweyagaliza obeere omusiraamu, toyitiriza kuseka kubanga okusekereza kutta omutima. (Tirmithi)
•    Okukubiriza okubuulirira buli omu. Agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere kuyye nti: eddiini kwebuulirira, netubuuza nti; kwani? Naddamu nti: kwa Allah (ekitegeeza okukola kulwa Allah mukukola byeyalagira n'okuleka byeyagaana. Okulongoosa enniya mukwawula Allah nemukumusinza, ekitegeeza nti olongoose enniya okole omulimu nga Allah bwagwagala) era kwakitabo kye (Kur'ane, ekitegeeza okulongoosa enniya mukugyekennenya, n'okukitegeera, n'okugoberera amateeka gaayo, n'okwewala byeyaziyiza) era kwa Mubaka we (Muhammad, okulongoosa enniya mukumugondera n'okuleka byeyagaana kko n'okugoberera enkola ye n'okugirwanirira) n'abakulembeze baabakkiriza (okubasabira, okubawuliriza n'okubagondera mubulunngamu, n'okubaziyiza okukola obubi mungeri ennungi) nabantu bonna (okubasomesa n'okubakenkula mu ddini, n'okubakowoola okudda eri Allah, ssako okubalagira obulungi n'okubaziyiza obukyamu). (Muslim)
•    Okukubiriza okulagira empisa ennungi wamu n'okuziyiza obukyamu, nga buyita mumakubo gonna agasoboka okusinzira kubusobozi bwabuli muntu, kubanga lyekkundi ly'okukangira Ummah obutasaasaana mu bulyake n'obwonoonefu, kko n'obutasuula buvunanyizibwa muguluka, n'obutatambuliza ummah kumulamya gwa ttale (nanti owamanyi muttale yaalya omunafu). Mukulagira obulungi n'okuziyiza obukyamu, omusiru ayiga, omugayaavu yeddako, omusobya naalongooka, sso nga n'omulunngamu ayambibwa. olwekigambo kya Allah agamba nti:
Amakulu: {era kibeerenga mummwe (abasiraamu) ekibiina (ky'abantu), abakowoola okudda eri obulungi, era nga balagira empisa ennungi, ne baziyiza obukyamu, era abo be bo ab'okulokoka.} Kn; Al-Imraan: 104
Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuyye yagamba nti: omu kummwe abeera alabye ekikyamu, akijjengawo n'omukono gwe, bwabeera tasodde, akijjewo n'olurimi lwe, bwabeera era tasobodde akitamwe, era okukitamwa ly'eddaala erisemba wansi mubukkiriza. (Muslim)
•    Okukubiriza oknoonya okumanya n'okuyiga. Allah agmba nti:
Amakulu: {gamba nti: abaffe benkanankana abo abamanyi naabo abatamanyi? Mazima bajjukira abo abalina amagezi amalamu.} Kn; Azzumar: 9
Era omubaka agamba nti: okunoonya okumanya, kyatteeka ku buli musiraamu. Ibn Maaajat, swahiihu aljaami-u (3913), swahiihu attargiib 72.
Olwensonga nti buli omu amanyi abuvunaanyizibwa bwe, n'obuvunanyibwa bwabalala eri yye.
•    Okukubiriza okukuuma obutonde, nebyo ebitwetolodde. Ensomesa ya Nnnabbi buziyiza nessekuziyiza yenna okwonoona ekintu kyonna ekigasa abanttu, kubanga obutonde kyabugagga kya bantu bonna tekyeyawulidde bamu okuleka abalala, y'ensonga lwaki obusiraamu buziyiza ebikolwa byonna eby'onoona obutonde wano kunsi.
Amakulu: {era temwonoona kunsi oluvannyuma lw'okulongooka kwayo, wabula mumusabe (Allah) mu kutya n'essuubi. Mazima okusaasira kwa Allah kuli kumpi naabo abalongoosa.} Kn; Al-aaraaf: 56
Amakulu: {naye ate bwaba agenze okuva wooli, ayanguwa mu nsi n'ayonoona, n'azikiriza amalimiro n'ebiramu, ne Allah tayagala bwononyi.} Kn; Al-Bakara: 205
•    Okukubiriza okutambula munsi, n'okubeera nti yagondezebwa lwa migaso egidda eri abantu. Allah agamba nti:
Amakulu: {ye y'oyo eyabafuulira ensi nga nzikakkamu (musobole okugibeerako), mutambulire ku mugongo gwayo, era mulye mu bigabwa bye, era gy'ali yeeri okuzuukira.} Kn; Al-mulku: 15
•    Okukowoola eri okulwanisa ebitamiiza n'ebiragalalagala. Allah agamba nti:
Amakulu: {Abange mmwe abakkiriza, mazima omwenge, nezzaala, n'amasanamu n'obusaale obw'okweraguza, byenyinyalwa bya mirimu gya sitaane mubyewale, mujja kulokoka.} Kn; Al-maida: 90
•    Okukubiriza okukuuma endyo nebitiibwa ne mmaali. Allah agamba kukukuuma ebitiibwa byabantu nti:
Amakulu: {era temusembereranga obwenzi, mazima bwo kyali kibi okuva edda, era ly'ekkubo eisinga obubi.} Kn; Al-israai: 32
Amakulu: {n'abo abakasuukirira abakyala abakkiriza obwenzi, oluvannyuma nebataleeta bajulizi bana, mubakubenga kibooko kinaana, era temukkirizanga mu bo bujulizi ebbanga lyonna, era abo beeboononefu.} Kn; Annuuru: 4
Era obusiraamu butiisa omuntu yenna ayagala obwonoonefu okusaasana mu bakkiriza ebibonerezo ebiruma, ate kiri kitya kwoyo abusaasanya, oba oyo abwanguyiriza ekkubo, oba oyo ayamba kukubusaasanya? Allah agamba nt:
Amakulu: {Mazima abo abaagala obwonoonefu busaasaane mwabo abakkiriza balina ebibonerezo ebiruma munsi n'enkomerero, era Allah y'amanyi n'ammwe temumanyi.} Kn; Annuuru: 19
Kukukuuma emmaali Allah agamba nti:
Amakulu: {Abange abakkiriza, temulyanngananga emmaali zammwe mu bukyamu, okujjako nga kugulanngana kwemwesiimidde wakati wa mmwe, era temuttanga emyoyo gyammwe, mazima Allah musaasizi ku mmwe olubeerera.} Kn; Al-Bakarat: 188
Amakulu: {era mujjuze ebigero bwemuba nga mugera, era mupimise ebipimo eby'enkamu, ekyo ky'ekirungi, era bwebuddo obusinga obulungi.} Kn; Al-israai: 35
Amakulu: {abange mmwe abakkiriza, mutye Allah era mulekeyo ekikyasigaddewo mu mu kuwola okuzza amagoba, bwemubea nga muli bakkiriza (286) bwemutakola ekyo, mulangirire (mulindirire) olutalo okuva eri Allah n'omubaka we, ate bwemubanga mwenenyezza, mulina okusasulwa emitwe gy'emmaali yammwe, temulyazaamanya era temujja kulyazaamanyizibwa.} Kn; Al-Bakara: 278-279
•    Okukubiriza okuyimirizaawo ensonga ezirimu obulungi eri abantu bonna, nga emigaso gyamu gidda eri abantu bonna. Gamba nga okwola abalekwa naabo abatalina baabwe, Allah agamba nti:
Amakulu: {era temusembereranga emmaali ya mulekwa, okujjako olw'ekyo ekisinga obulungi (eri mulekwa), okutuusanga lwasajjakula, era mutuukirizenga endagaano, mazima endagaano ejja kubabuuzibwako.} Kn; Annahali: 34
Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere kuyye agamba nti: Nze nooyo ayola mulekwa tuli baakubeera mujjana bwetuti, naalaza nengaloze bbiri (va mumba neyoowakati) oluvannyuma naazawula. Yayogerwa Bukhar
Ayola mulekwa: yooyo akola kunsonga ze.
•    Okukubiriza okulwanisa enjala nabuli kyonna ekisoboka. Allah agamba nti:
Amakulu: {wabula teyennganga kuvvunuka buzibu (obulinga olusozi olw'ekiika mu kkubo ly'okulunngama) (11) kiki ekinaakumanyisa okwennganga obuzibu (12) kwe kuta omuddu (13) oba okuliisa (omuntu omuyala) mu lunaku olw'obubulwa.} Kn; Al-baladi: 11-14

•    Okukubiriza okuta abaddu. Agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere kuyye nti: "omuntu ata ensingo okuva mubuddu Allah ateera kubuli kiyungo kye ekiyungo kyoyo atadde okuva mumuliro, okutuusa obwerere bwe bwebuteebwa kulwokuta obwerere bw'omuddu". (Muslimu 1509)

ENNONO Z'OBUSIRAAMU ZIKUBIRIZA EMIREMBE
Empisa z'obusiraamu ziragira ebintu byonna ebigasa mumpagaala y'abantu, era ziziyiza ebintu byonna abirimu okusaasanya empalana n'okubagana wakati wabantu. Okulaalikibwa kw'okutuukirza empisa zino mulinu kusasanya mirembe, obukkakkamu n'obutebenkevu mubitundu empisa zino gyeziyimirizibwawo. Wabula empisa z'obusiraamu nnyingi nnyo era zaawukana naye okutwaliza awamu, buli kikolwa kyonna oba ekigamba ekikosa abantu gubeera muze mubi, tegukkirizibwa era tegusiimisa Allah. Omuntu singa ogulemerako abeera wakufuna kikolimo kyabantu kunsi ate nekunkomerero wakukomba kubibonerezo bya Allah ebiruma ennyo. Yensonga lwa Allah yaziyiza obulyazaamanya mu bigambo ne mubikolwa, n'obutatuukiriza buvunanyizibwa bwa balala. Allah agamba:
Amakulu: {gamba nti: mazima mukama wange (Allah) yaziyiza ebyo'buwemu, obwo obw'eyoleka n'obwenkiso, n'ebibi n'okulumbagana (abantu) mu butali mazima, n'okugatta ku Allah n'ekyo ekitakkako bujulizi, era (yaziyiza) okw'ogera ku Allah ebyo byemutamanyi.} Kn; Al-aaraaf: 33
Era Allah yagamba mu hadith Qudussiyyi: {Abange mwe abaddu, nze nneziyizaako obulyazamanya, namwe temweryazaamanya nga}. (Muslim: 2577)
Era yalagira okutaasa omulyazamanya naalyazaamanyiziddwa, yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere kuyye nti: taasa muganda wo nga alyazamanyizza oba nga alyazaamanyiziddwa, omusajja omu nagamba nti; "owange omubaka wa Allah, mutaasa ssinga abeera alyazaamanyiziddwa, naye nsobola ntya okumutaasa singa alyazamanyizza? Nagamba nti: mweyimirire oba muziyize okulyazaamanya okujjakubeera omutaasizza". (Bukhar)
Nekuluuyi olulala, obusiraamu bulagira obwenkanya bwonna mubigamba nemubikolwa kumwooyo gwo n'abalala. Allah Agamba nti:
Amakulu: {Mazima Allah alagaira obwenkanya n'okuyisa obulungi n'okuwa ab'oluganda ab'okumpi, era n'agaana obw'enzi n'ebibi n'okulumbagana (abantu), ababuulirire, mujja kujjukira.} Kn; Annahali: 90
Obwenkanya bulagirwa mukusiima nemubusungu, eri omusiraamu naatali musiraamu. Allah agamba nti:
Amakulu: {era tebubaziyizanga obusungu bwa mmwe eri ekibiina (n'obukyayi) okulema okwenkanya, mwenkanyenkanye, eko kyekisinga okuba okumpi n'okutya Allah) Kn; Al-maeda: 8
Ssinakindi yatuuka n'okulagira okuyisa obulungi oyo akusobezza, plw'ekigendererwa ky'okugatta emitima n'okusangula ebyo eby'ekweka ku mutima nga ettima, naagamba Allah nti:
Amakulu: {ggyawo (ekibi) n'ekyo ekisinga obulungi, onoogenda okulaba nga oyo awabadde wakati won aye obulabe nga alinga ow'oluganda, era ow'omukwano nfiirabulago.} Kn; Fuswilat: 34


EMMALIRIZA
Mu kuwumbawumba ekitabo kino, ekifunzizza endaba y'obusiraamu kubutujju, mazima nkakasa bulungi nti omulamwa guno ssiguwadde kyegugwanira, wabula nze njagadde kulaza nakusonga kubimu ebikulu ku ndaba y'obusiraamu ku butujju nekwabo ababwawukanako, n'enkolagana eriwa wakati wabwe nabwo mu kugobolora emigaso egibuna bonna, egizimbiddwa kukwagalizanngana obulungi eri abantu bonna, era mu nsibuko z'obukkiriza ennywevu mu busiraamu, mulimu okwagala kulwa Allah n'okukyawa kululwe, sso ssi olw'ebigendererwa oba olw'okwagala kw'omutima. Kati nno kimanye nti bwonyiigira omuntu obeera tonyiigidde yye nga omuntu wabula obeera onyiigidde obugayaavu obumulemesa okusinza Allah mu butuufu, oba obeera onyigidde obumalirivu bwalina mu kukola ebyo ebyaziyizibwa. Allah agamba nti:
Amakulu: {weekuumire kukusonyiwa (ggwe Muhammad) era olugire empisa ennungi, wabula oyawukane kubaatamanyi.} Kn; Al-aaraafu: 199
Obusiraamu nga ddiini nnungi nnyo!! Olw'ensonga nga eyita munijigiriza zaayo ezassibwa okuva mu ggulu esomesa abantu okuleka okusinza ebitonde basinze omulezi w'ebitonde yekka, n'okubajja mukizikiza ky'obukafiiri ne shirik okubazza eri ekitangaala ky'obusiraamu. Allah agamba nti:
Amakulu: {Allah ye Mweyimirize (akwasaganya ensonga) w'abakkiriza abajja mubizikiza n'abazza mukitangaala, n'abo abawakanyi omweyimirize (akwasaganya ensonga) wabwe ze sitaane, zibajja mukitangaala nezibazza mu bizikiza, abo be bannanyini kuyingira muliro, bo baakutuulaamu lubeerera.} Kn; Al-Bakarat: 257
Era obusiraamu busomesa abagoberezi baabwo okulongoosa eri abantu bonna, bulyoke butuukirize obwenkanya obwawamu mubitundu by'abantu gyebawangalira n'okubalera okwagala obulungi, olwo ebitiibwa n'obuvunaanyizibwa bikuumibwe. N'okubalera okwagala okusonyiwa n'okuddiramu bannabwe basobole okwagalana wakati waabwe. N'okubalera okukuuma ensalo za Allah mukuleka ebyo byeyagaana, obutebenkevu bunywere mubantu olwo buli omu abeere ne ddemberye n'ekitiibwa kye wamu ne mmaali ye. N'okubalera owagala bannabwe n'obuteeyagaliza yekka, okuyambagana kusooke kutuukirire mubantu, omukulu asaasire omuto, n'omuto agulumize omukulu, omugagga ayambe omwavu n'omwetaavu n'ateesobola, okusaasiragana kubeewo mubantu nga Nnabbi bweyagamba nti: ekifananyi ky'abakkiriza mukwagalana wakati wabwe, n'okusaasirigana baling omubiri ogumu, ekiyungo ekimu bwekifuna obuvune, omubiri gwonna gufuna okulumwa n'omusujja. Yayogerwa muslimu
Oba olyawo ekitabo kino kinaabeera ekisumuluzo eri abanoonya amazima, era endagiriro eri abo abanoonya obuwanguzi mu Jjana n'ebyengera byayo eby'olubeerera, era abo abalulunkana okutaasa emyoyo gyabwe omuliro ogutazikira. Mazima ddala ensonga eyo yaabulabe nnyo, kubanga fenna tukimanyi nri enkomerero y'obulamu kufa, singa kibadde kikoma wano ku duniya, ensonga yandibadde ntono, nae ekizibu nti eby'oluvannyuma byebisinga obuzito, ffe abasiraamu tukkiriza okuzuukizibwa oluvannyuma lw'okufa, n'okubalibwa n'okusasulwa empeera z'emirimu gyaffe, era tikkiriza obulamu obutaggwawo nga kuwangalira mujjana oba muliro, omuntuasiramuka nalongoosa obusiraamu bwe wakusasulwa empeera ennungi mu jjana, bwasobya eri baddu banne wakunaanibwa asasule, ate bwasobya eri Allah, wakubeera wansi wakusalawo kwa Allah, bwaliyagala alimusonyiwa oba ssi kyo alimubonereza. Wabula oyo akubye obusiraamu amabega naafiira kubujeemu n'okugatta ku Allah, ffe abasiraamu tukkiriza nti wakubeera mumuliro lubeerera, noolwekyo nno buli alina amagezi alonde bulungi ekkubo ettuufu, eddiini eyamazima eyo etuusa abagooberezi baayo eri okuwona, n'obuwanguzi mujjana, n'obulamu obwessanyu obw'olubeerera, gali makubo abiri gokka tekuli lyakusatu.
Tusabe Allah asse okusaasira kwe n'emirembe gye eri oyo eyatumibwa nga kusaasira eri ebitonde byonna Nnabbi waffe era omubaka waffe Muhammad n'abantu be ne mikwano gye, naabo bonna abagobera enkola ye, ne kkubo lye okutuusa olunaku lw'okusasulwa.

 
www.islamland.com