EKIFO KYOMUKAZI MU BUSIRAAMU

EKIFO KY'OMUKAZI MU BUSIRAAMU

EKIFO KY'OMUKAZI MU BUSIRAAMU

المرأة في ظلال الإسلام باللغة اللوغندية

 

 

‘Abd Ar-Rahmân bin ‘Abd Al-Karîm Ash-Sheha

د. عبد الرحمن بن عبد الكريم الشيحة

 

 

Kivvunuddwa:

EUROPEAN ISLAMIC RESEARCH CENTER (EIRC)

المركز الأوروبي للدراسات الإسلامية

&Muhammad Ahmad Kaweesi

Nekikakasibwa:

Khalid Jemba

 

 

WWW.ISLAMLAND.COM

 

 

 

 

 

EKIFO KY'OMUKAZI MU BUSIRAAMU

Amatendo amalungi era amajjuvu ga Allah, okusaasira n'emirembe bibeere ku nnabbi waffe Muhammad ne ku bantu be ne mikwano gye bonna.

Oluvannyuma:

Allah agamba nti: {Abange mmwe abantu! Ddala Ffe twabatonda nga tubajja mu musajja omu (oyo yekka Adamu) n'omukazi (era bw'atyo Haawa,) ne tubafuula okuba amawanga n'ebika mulyoke mumanyagane musobole okuyambagana (sso si okunyoomagana n'okunenenngana). Mazima abasinga ekitiibwa mu maaso ga Katonda y'abasinga okutya Katonda (ng'a-longoosa ebikolwa bye} Suurat alhujraat: 13

Mazima emu ku nsobi ennene ennyo kw'okugweteka mu busiraamu ekintu ekitaliimu, ne muzimu mu nsobi ezo kwekugamba nti obusiraamu tebwagulumiza mukazi era tebwamuwa kitiibwa kye nti era bwakodowalira eddembe rye so nga Allah agamba mu Kur'ane nti: {……Bwe muba nga mubatamiddwa (temubatanga), (kubanga) oba olyawo mwanditamwa ekintu, ate Allah n'akissaamu obulungi obungi} Essuula Annisaa: 19

Era agamba nti: {Ne mu bubonero bwe (ebyengera bya Katonda eri mmwe abantu) kwe kubatondera mmwe nga aggya mu mmwe mwennyini abakyala mulyoke mutebenkerere gye bali, era yassa wakati wammwe okwagalana n'okusaasirigana. Mazima mw'ebyo mulimu obubonero (obulaga obuyinza bwa Katonda) eri ekibiina ekifumiitiriza (ne bamanya ekyama ekyekusise mw'ekyo} Essuula Arruum: 21

Kuyitiridde nnyo okusaba eddembe ly'omukazi nebyetaago bye nabwekityo okusaba omwenkanonkano n'omusajja kyewunyisa nti ppokoppoko oyo ali ne mu bitundu ebitawa mukyala mukisa wadde okumuwa eddembe rye nga bwekyetaagisa. Wabula okutambuza ppokoppoko oyo mu bitundu by'obusiraamu so nga obusiraamu bwawa omukyala eddembe rye nebyetaago bye nga tebannaba na kubisaba okuviira ddala ku ntangikwa yabwo era nga bwafuula eddembe n'ebyetaago ebyo nga bya buwaze mu mateeka g'obusiraamu nga ssi byakulamuza bulamuza. Ekyo kireeta okwewunya eri buli muntu. Kale kisoboka okubeera nti waliwo abayinza okuyisa abakyala obubi era nebalyazaamanya eddembe rye, naye ekyo bwekibeera kibaddewo kiva kubutagoberera nsomesa ya busiraamu entuufu.

Abakoowoze be ddembe ly'omukyala n'abasaba ebyetaago bye nga bwebalowoza[1] ppokoppoko wabwe bamukubira ku bintu bisatu;

  1. Okusaba okuteebwa kw'omukyala okuva mu buddu.
  2. Okusaba omwenkanonkano.
  3. Okusaba eddembe ly'omukyala.

 

 

Okusaba okuteebwa kw'omukyala:

Ekigambo kuteebwa kiraga nti waliwo asibiddwa eyetaaga okuteebwa. Ekigambo ekyo kirimu ensobi nyingi kubanga kiranga omukyala nti ali mu buddu era nti ateekwa okuteebwa okuva mu buddu bwalimu. Wabula okuteebwa okutaliiko kkomo eri omuntu kintu ekitasoboka, kubanga omuntu mubutonde bwe akugirwa kubanga obusobozi bwe bulina webukoma. Omuntu gyebuva ne budda mu bitundu yonna gyawangaliira nebwekibeera mu nsi eziraga nti ndabufu oba mu nsi eza wansi bafugibwa mateeka ago kwebatambuliza obulamu bwabwe; abaffe ekyo kiraga nti bali mu buddu?! Nabwekityo okuteebwa n'eddembe ly'omuntu birina ekkomo, bwolisukka wesanga nga ofuuse kisolo ekyo ekitalinaako mateeka gakifuga.

Kakensa Henry Makow (kakensa era omuwandiisi ku nsoga z'abakyala mu nsi yonna) yagamba nti: " mazima okusaba okuteebwa kw'omukyala kukwenyakwenya kwenkola y'amateeka g'ensi yonna, kukwenyakwenya okukikinazza abakyala mu Amerika nekutaaguula enkulakulana ya bulaaya."[2]

Ekituufu kiri nti; obusiraamu bwebwasooka okuwa omkyala eddembe ly'enkolagana wakati we n'abantu be mwawangaalira oluvannyuma lw'okubeera nti yali akugibwa era nga ali wansi wa musajja oba oyo eyamulamirwa. Obusiraamu tebwamma mukyala ddembe okujjako eryo erimujaajaamya n'okweyambula eranga bweritaawebwa musajja.

Ekifaananyi ekisembeza eddembe ly'obuntu ky'ekigambo kya Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yagamba: " ekifaananyi ky'omuntu eyekwata ku mateeka ga Allah nooyo agaziimuula kifaananako nga abantu abeebagadde eryato erya ggoloofa, abamu nebabeera waggulu abalala wansi, naye abo abali wansi nga bwebetaaga amazzi bayita kubabali waggulu, n'ekituuka ekiseera (nebeegeya) nebagamba nti; (amazzi gatuli kumpi) singa tuwummula wano ekituli netuleka okusumbuwa bannaffe bali abali waggulu. Singa (abali waggulu) babaleka nebakola kyebagala (eryato lijja kubbira) bonna bazikirire so singa babakomako bonna bajja kuwona (okuzikirira).[3]

Ogwo nno gwemufaano gweddembe mu busiraamu, mazima ddala ebikolwa by'abantu birina okukugirwa n'amateeka ge ddiini ago agataliimu kukosa muntu kinnoomu nabwekityo abantu mwawangalira.

Wabula tubuuza abo atambuza ppokoppoko we ddembe ly'omukyala nti nkola ki oba mateeka ga nsi ki agawa omukyala eddembe erimukuumira ekitiibwa erisinga obusiraamu lyebwamuwa era nga mulimu n'okukuuma ebitundu mwawangalira? Abaffe nkola yabusiraamu eyo etwala omukyala nti muyambi ajjuliriza omusajja era mwannyina mu kitaawe ne nnyina oba gali amateeka amapaatiike agalina ebiruubirirwa ebyekusifu ebitaagudde taagudde ekitiibwa kye nebamukozesa mukukola buli kafunkunaali wa buli kibi, era negakutulakutula mu bantu, mpozzi n'okuleeta effuga bantu?

 

Omwenkanonkano:

Enngombo y'okwenkanyankanya wakati w'omukazi n'omusajja mu buli kimu tekisoboka olwensonga nti obutonde bw'omusajja bwawukana ku butonde bw'omukazi, bubeere butonde bwa mubiri oba entegeera oba omwoyo. Ye bwekibeera nti tekisoboka basajja bonna kwenkanankana oba abakyala olw'okwawukana okuli wakati wabwe so nga bali kyekimu, abaffe ekyo tekiraga nti ate omwenkanonkano wakati w'omusajja n'omukazi kyekisinga okubeera ewala.

Allah agamba: {nabuli kintu kyonna twakitonda mu ngeri bbiri (kikazi nakisajja) musobole okujjukira} Suurat azhaariyaat: 49

Owensonga nti Allah yatonda engeri ebbiri omusajja n'omukazi era buli omu yamubumba kubumumbwa bwanjawulo obukwatagana n'ekifaananyi kye okwawukanako n'omulala so nga ate buli omu ajjuliriza munne mukiseera kyekimu. Bwetulaba abantu nga bangeri bbiri kitegeeza nti tekyateekebwateekebwa bwekityo okujjako nti buli omu alina obuvunanyizibwa bwe, singa era obuvunanyizibwa bwar bwebumu, tebandibadde bangeri emu yokka. Eky'okulabirako eky'okumpi ky'ekiro n'emisana byombi biseera wabula ekiro kyawukana n'emisana, ekiro kya kuwummula so nga ate emisana gwa kukola na kupatikana… nabwekityo omusajja n'omukazi ba kiti kimu balina ebuvunanyizibwa obubagatta, oluvannyuma buli omu ku bo alina ebintu ebyeyawulidde ku ye yekka. [4]

Kyeyoleka bulungi mwebyo ebyogeddwa nti omukazi okwenkana omusajja mu buli kimu tekisoboka, era kya kumala biseera okusaba omwenkanonkano kubanga kubeera kukyusa bubumbwa bwa Allah, era mu kiseera kyekimu kigendererwamu kuwebuula mukyala afuuke ekitagasa, ekigenda okumuviirako okuva kububumbwa bwe okwo Allah kweyamutondera, era kijja kukosa abantu bonna okutwaliza awamu.

 

Okusaba ebyetaago by'omukyala:

Tewali nkola wadde amateeka mu galiwo kati oba agaaliwo nga gakuuma ebyetaago ne ddembe ly'omukyala, n'okugulumiza ekifo kye nga obusiraamu bwebyakuumira omukyala okuviira ddala ku mboneka y'abwo oluvanyuma lw'okutumibwa kw'omubaka Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye. Mazima obusiraamu bwatandikawo mu mitima gyabasiraamu abaabukkiriza nga buyita mu nkola ey'obuntu ekintu ekitaaliwo mu byafaayo ate nga kyewunyisa, entandikwa yali yewunyisa sipiidi obusiraamu kwebwasaasaanira, okubuna kwabwo, era n'obwegendereza obuli mumateeka gaabwo, so nga ate buli kumpi nentegeera y'obuntu eyabulijjo. Tebwawukana na bubumbwa bwabuntu. Era mu ndaba eyo eyatandikibwawo kwekukyusa endaba abantu gyebalabamu omukyala ne ddembe rye era nga ekyo kyekinyusi kyekitabo kino.

Omuwandiisi w'ekitabo ekiyitibwa "Enkulakulana y'abawarabu (pg 488)" agamba nti: " ebirungi by'obusiraamu tebikoma kugulumiza kifo kya mukazi kyokka, wabula gattako nti y'eddiini eyasooka okukiwa omukazi." Era agamba mu kifi ekirala mu kitabo kye (pg 497) nti: "era obuvunanyizibwa (eddembe) bw'omukyala obwanokolwa mu Kur'ane eraobwannyonnyolwa abavvuunuzi baayo busingira wala nnyo eddembe ly'abakyala erya bulaaya."

Eddembe ly'omukyala lirina kusabibwa mu bitundu ebyo ebitawa mukyala ddembe rye, oba mu bitundu ebimuwa eddembe eritalinaako kkomo ekiviirako okumutyoboola n'okusaasanya obw'onoonefu atuuke ekiseera nga wakuzannyisa buzannyisa, oba wakumalirako kyetaago, oba eky'okwewunda.

Wamma mu busiraamu, omukyala bwamuwa ekifo ekyamazima, nebumukuumira eddembe rye nebyetaago bye ebibuna n'ebibye yekka, mwasobola okweyagalira obulamu bwe bwonna kimusobozese okutuukiriza obuvunanyizibwa obwo obwamutondesa.

 

 

Embeera y'omukyala okuva emirembe egiyise

  • Omukyala mu jaahiliyya (nga obusiraamu tebunnajja mu buwarabu):

Omukyala mu kiseera ky'obuwuttufu nga obusiraamu tebunnajja mu buwarabu yali kyakuzannyisa, na kulyazaamanyizibwa. Ebintu bye byali biriibwa, emmaali ye nga etwalibwa, era nga naye atwalibwa nga ekintu ekisuuliddwa. Omukyala yali tasika ku mmaali ya bantu be kubanga emigabo mu mmaali tegiwebwa okujjako oyo alwana mu ntabaalo nawamba eminyago, wabuli ye kyali kyabusika ekisikirwa oluvannyuma lw'okufa kwa balo okufaananako nga eky'obugagga ekirala. Okutuuka nti omufu bwaleka abaana mu mukyala omulala, omwana omuggula yalina okusikira muka kitaawe nga bwasikira emmaali ya kitaawe endala. Omukyala yali takkirizibwa kuva wa bba okujjako nga yenunudde ku bba, ate bwava ewa balo, talina kuddayo lubeerera singa abeera agobeddwa. Omusajja yalinga waddembe okumugattako abakazi bayagala nga tewali kkomo. Yali talina ddembe mu kulonda musajja gwanaafumbirwa. Yali talina kyayinza kubanja musajja. Era tewaali mateeka gagaana musajja kulyazaamanya mukyalawe.

Era abawaraba baali tebayaniriza kuzaalibwa kwa muwala, wabula baakitwalanga ng'ekikwa, nga bakitwala nti okuzaala omuwala kubeera kwetikka bizibu na kweraliikirira, ekyo nno kyabatuusa ne ku ddaala ly'okutta abaana ab'obuwala olw'ensonga ez'enjawulo okusinziira kumbeera y'amaka n'ekitundu mwegali. Waliwo abaali babatta olw'okutya obwavu. Allah agamba nti: {Era temuttanga abaana bammwe olw'okutya obwavu, mazima ffe bo tubaliisa nammwe mwennyini, mazima okubatta (okuva edda) kyali kisobyo kinene nnyo} Essuula Israel: 19.

 Abalala baali nga batta abalina obumogo obw'obutonde. Allah agamba kumbeera yabwe nti: {Nga yeekweka ekibiina (ky'abantu be) ku lw'ekibi ky'abuulidwa! (Afumiitiriza ne yeebuuza): Abeera naye ng'ali ku kunyoomwa oba omuziika mu ttaka (afiiremu)? Abange kubi nnyo okwo (okulamula) kwebalamula} Essuula annahali: 59

Abawala baali tebeeyagalira mu mbeera ya butonde, waaliwo eby'okulya nga byabasajja bokka nga tebikkirizibwa kuliibwa bakyala. Allah agamba nti: {Ebyo ebiri mu mbuto za bino ebisolo byeyawudde nga bya basajja bokka mu ffe era bizila ku bakyala baffe;} Essuula an-aam:139.

Omukyali teyalina kintu kyonna kiyinza kumwewanisa okujjako okulabirirwa kw'omusajja, n'obutatyoboolebwa kitiibwa.

 

  • Omukyala mu buyindi enkadde:

Kyawandiikibwa mu kitabo (Fiidiya) ekimu ku bitabo bya buyindi ebigulumizibwa omuggibwa eddiini y'abaBarahiima nga kirambulula ebikwatagana ku mukazi nti:[5] eddiini y'abarahiima eyawula wakati w'omusajja n'omukazi mu muwendo gwabwe ogw'obuntu nabwekityo mu byetaago ebirala byonna. Etteeka eryo lijjako omukyala obuntu bwe ne limuteeka wansi w'okufugibwa kw'omusajja mu mbeera yonna ey'obulamu bwe, nga bwekirambikibwa mu tteeka lya "maanu" lirambika nti omukazi talina kwesalirawo kintu kyonna nga yetengeredde obulamu bwe bwonna ne bwekibeera ekintu ekyeyawulidde ye mu maka. Bwabeera muto alina kubeera wansi wa kitaawe, ate mubuvubuka bwe alina kubeera wansi wa bba. Balo bwafa alina kubeera wansi wabakitaawe abato, bwebabeera tebaliiwo abeera wansi wamulamuzi. N'olwekyo omukyala teyetengerera mu byakola obulamu bwe bwonna.

Embeera y'omukyala mu buyindi enkadde yali afaananako omuzaana, nga talina kwesalirawo, sinakindi nga ayinza okumufiirwa mu kukuba zaala.[6] Yali talina kufumbirwa oluvannyuma lw'okufa kwa bba, era nga talina kusigala nga mulamu oluvannyuma lw'okufaakwe, wabula yalinanga kwokyebwa wamu n'omulambo gwa bba. Ebitabo byabwe birambika nti:" ekisinga obulungi eri nnamwandu kwekwewaayo neyetwala ku nku ezigenda okwokya omulambo gwa bba". Era embeera yali nti bwebateeka nga omulambo gwa bba ku nku, nnamwandu yavangayo nga yesibye akawero mu kyenyi, abalogo baabwe namujjako akaweroke, omukyala najjako eby'okwewunda bye n'abigabira abennganda ze naasumulula ebituttwa byenviirize,omukulu wabalogo n'amukwata ku mukono n'amwetolooza enku emirundi esatu, oluvannyuma (omukyala) n'alinnya enku nasitula okugulu kw'omufu naakonya ekigere kye mu kyenyi kye okulaga obugonvu bwalina eri bba, oluvannyuma n'agenda natuula nateeka omukono gwe ogwa ddyo ku mutwe gw'omufu, olwo nno nebakoleeza omuliro nebamwokya n'omulambo gwa bba. Era bagereesa nti bwakola ekyo abeera wakubeera mubyengera ne bba, era mbu agenda kubeera naye mu ggulu emyaka obukadde asatu mu butaano (35000000).., mbu era ekyo kitukuza abennganda za nnyina, ne kitaawe ne bba, mbu era kitukuza bba ku buli kyonoono… era omukyala akola ekyo atwalibwa okuba nga ye mukyala asinga yo obutukuvu, n'erinnya lye lisinga ekitiibwa, era mbu lyatiikirira nnyo.

Enzikiriza eyo yachaaka nnyo mu buyindi okutuusa nti wakati w'emyaka 1815 – 1825 ogwa girigooli abakyala abakunuukiriza akakaaga (6000) beebayokyebwa. Era enzikiriza eno yagenda mu maaso okutuusiza ddala ku nkomerero y'ekyasa ekyekkumi namusanvu, okutuusa banna ddini mu buyindi bwebagisazaamu lwampaka. Era n'ekiraga butya omukyala bweyali alengezzebwa mu buyindi enkadde byebyawandiikibwa mu diini y aba hindu nti: "Entuuko, n'empewo n'okufa n'omuliro ogutazikira n'obutwa n'emisota egy'obusagwa wadde omuliro ssi byebisinga omukazi obubi."

Ebiseera ebimu omukyala yabeera nga n'abasajja nga embeera ye teyawukana naabo abetunda (abenzi).

 

  • Omukyala mu China enkadde:

Omukyala mu China enkadde nga nnannyini kitabo " engero z'enkulakulana"[7]: " muwerekezi wa musajja amala obuwangazi bwe mu kugondera omusajja, okugattako okumumma eddembe rye nebyetaago bye mu byenfuna ne mubulamu obwabulijjo, mukendeevu, teyerinaako buvunananyizibwa, okujjako nti yalaamirwa musajja. Okwongereza kwebyo talina kusomesebwa wadde okubangulwa, alina kusigala waka nga awereza, ayige okutunga n'emirimo egyenjawulo, era nga alina okukendeeza enviiri ze bwaweza emyaka kumi netaano, era afumbirwe nga awezezza emyaka abiri, era kitaawe yamulondera omusajja nga akwataganye ne kayungirizi.

Okuzaalibwa kw'omuwala kyali kikwa, W. Durant agamba mukitabo kye[8]… ba ssemaka baali basaba mu saala zaabwe kuzaala balenzi bokka, era kyali kivve abakyala obutazaala balenzi, kubanga abalenzi bebasobola okukola emirimo, era bagumu okusinga abawala mu ntabaalo, era abawala baatwalibwanga okuba ekizibu eri baakitaabwe, kubanga bateekamu amanyi mangi okubalabirira ate nebamala nebabasindika okutuula mu mayumba ga babbabwe… eraoluusi abawala battibwanga, abawala abasukka ekigero jyebagaala mu maka bwebazaalibwa nga nebakaluubirirwa okubalabirira baabalekanga mu kyererezi ekiro kibatwale, oba ensolo okubalya nga tewali noomu afunyemu kwejjusa.

Olugera oluchaina olukadde lugamba nti:" sirika owulirize mukyalawo naye tomugondera."

 

  • Omukyala mu burooma enkadde:

Agamba nannyini kitabo Engero z'enkulakulana: okuzaalibwa kw'omwana ow'obuwala kwali tekwagalibwa, okutuusa nti embeera eyaliwo nti ssemaka bweyazaalanga omwana aliko obulemu, oba omuwala nga akkirizibwa okumutta.. ate ku luuyi olulala baayagala nga nnyo okuzaala abalenzi.

Mu rooma omukazi yali mukendeevu, nga talina kyeyesalirawo omusajja nga yamusalirawo mu buli nsonga yonna, obuyinza bwonna bwa musajja nga asobola n'okusalawo okukomya omukazi okuzaala olw'okumusuubiriza, era nga ssemaka yalina obuyinza ku bak'abaana, ne bak'abazzukulu, era nga obuyinza obwo muyingiramu okutunda n'okugula, okubonerezebwa, okugobebwa, sinakindi n'okuttibwa.

Omukyala omulimo gwe kwali kuwuliriza nakugondera biragiro, nga talina buyinza kuwakanya wadde okwekubira enduulu, talina kusikira byabugagga by'abafu kubanga obusika bwali bwa mwana omulenzi omukulu, kyatuuka ne ku ddaala nga omusajja asobola okuteekebwa mu nnyumba etali yiye, era ateereddwamu najjamu baalaba nti ssi ba mu nnyumba eyo mu ngeri y'okubatunda".

 

  • Omukyala mu buyonaani enkadde:

Mu Buyonaani, embeera y'omukyala teyali nnungi kusinga abo aboogeddwako waggulu, yali akkakkanyizibwa okutuuka nti yali asobola n'okwazikibwa nga bwolaba embazzi. Agamba Tur weleng[9]: " omukyala alina enzaalo yayazikibwanga okuva ewa bba, agende azaalire eggwanga mu musajja omulala."

Omukyala yali tasomesebwa okutuusa nti bamuyitanga " ekyenyinyalwa ekiri mu mirimu gya sitaane".[10]

Tewaali mateeka gataasa mukyala, yali tafuna byabusika, talina magezi ga kusaasanya, talina ddembe lyonna wadde okusalawo, nga alina kubeera wansi wa musajja obulamu bwe bwonna. era nga talina lukusa lwakusaba kwawukana, kubanga yali wa musajja era alina kugobebwa bugobebwa.[11]

Kyatuuka abamu kubakubaganya beebirowozo baabwe okugamba nti: " ekigambo MUKAZI kirina kukoma mu nju era nga omubiri gwe bwegukoma mu nju"[12].

Omukyala teyalina muwendo mu buyonaani okujjako okusangulizibwako ebisooto. Omuwandiisi w'ekitabo "okukulakulana kw'abawarabu (pg 406)" aba angirikaani bali tebalaba mukyala okujjako nga ekintu eky'owansi, ekitalina mugaso okuleka okuzaala abaana n'okulabirira awaka. Omukyala bweyazaalanga omwana omubi, olwo nga ebibye biwedde.

Omu kuboogezi baabwe abakukuutivu "Demostin" yatuwa ekifaananyi ky'omukyala gyebali bweyagamba nti: " tukozesa baamalaaya okunyumirwa, netukozesa abawala abatali bafumbo okukuuma emibiri gyaffe nga miramu buli lunaku, netuwasa abakyala okutuzaalira abaana abali mu mateeka."

Mazima omukyala alina kifo ki, mu bantu abo oyo eyayogebwako omumanyi wabwe bwatyo?!!

 

  • Omukyala mu buyudaaya enkadde:

Omukyala mu bayudaaya yensibuko y'ekibi nga bwekyawandikibwa nti: " omukazi y'entandikwa y'ekibi, era yensonga y'okubula kwabantu bonna." Oluberyebye 3:1.

Embeera y'omukazi mu bayudaaya ssi yeyali ennungi, kubanga amateeka gaabwe gabakkakkanya era negabeewaza, nga bwekyajja mu Omubuulizi 7:25-26. " nakyuka, omutima gwange ne ngukakasa okumanyanga n'okukenneenyanga, n'okunoonyanga amagezi n'ensonga z'ebigambo n'okumanyanga ng'obubi busirusiru, era ng'obusirusiru ddalu. Era ndaba ekigambo ekisinga okufa okubalagala, ye mukazi, omutima gwe byambika n'ebitimba, n'emikono gye giri ng'enjegere: buli asanyusa katonda alimuwona; naye alina ebibi alikwatibwa ye."

Era ssemaka y'alina obuyinza obwenkomeredde ku maka okusingira ddaala abakazi, abafumbiza gw'ayagadde, era abagabira gwayagadde, asobobola n'okubatunda bwabeera ayagadde, nga bwekyajja mu okuva 21:7-11. " omuntu bwatundanga muwala we okubeeraomuzaana, tagendanga ng'abaddu bwe bagenda…"

Okw'ongereza kwekyo, eddiini ya bayudaaya tesikiza mwana muwala ku bugagga bwa kitaawe singa abeera omufu alina abalenzi, mu okubala 27:8. " era onogamba abaana ba Israeri nti omusajja bw'anaafanga nga tazadde mwana wa bulenzi, kale muwala we munaamusisanga obusika bwe."

Omukyala mu ddiini yabwe osikirwa muganda w'omufu abeere nga akkiriza oba nedda, okujjako nga amwesambye nga bwe kyajja mu ekyamateeka 25:8. " Ab'olugandabwe banabeeranga awamu, omu kubo n'afa, nga talina mutabani, omukazi w'oyo afudde tafumbirwanga walala atali wa luganda: muganda wa bba ayingire gy'ali, amuwase, amukolere ebigwanira muganda wa bba."

Omukyala bwagenda mu nsonga za buli mwezi tebalya naye wadde okunywa naye, era tebabeera naye okutuusa nga atukudde. Era amateeka gaabwe galambika nti;" omukyala tabeera mutukuvu okuva ekiseera waawulirira nti ensonga ze ez'abuli mwezi zisembedde nebwewabeera tewannabaawo kabonero konna kalaga, era bba tamukwatako wadde akagalo akakazi, teyesiimuza kiwero kye, wadde okumukwasa ekintu mu mukono, wabula alina kumukasukira mukasukizi, wadde ye omukyala okukola ebyo tekikkirizibwa…." [13]

 

  • Omukyala mu bukurisitaayo obukadde:

Ba faaza bekkanisa basukkulumya nnyo mu mirembe egy'omumasekkati, kubanga bakitwalanga nti omukyala y'ensibuko y'ekibi, nebyonoono, n'ebizibu abyajjira abantu bonna, okuvaawo enkolagana wakati w'omusajja n'omukazi yafuuka kazambi ateekwa okwewalibwa, wadde nebwekibeera okuwasa okuli mu mateeka. Omutuukirivu torotooliyan agamba nti: " omukyala kubo lya sitaane mwayita okutuuka eri omwoyo, era lye kkubo ly'okulya omuti omukolimire, era ayonoona amateeka ga Katonda, era attattanya ekifaananyi kye (omusajja).

Omuwandiisi wieth Knudesen ekiyitibwa " ekifo ky'omukazi mu mirembe egy'omasekkati" yagamba nti: "okufaayo ku mukazi kwali kutono nnyo, olw'enzikiriziya y'obukulisitaayo eyatwalanga omukazi okubeera nti yatondebwa mu kifo eky'okubiri".

Agamba petero mu bbaluwa gyeyawandikira abakkolinso ekisooka 11: 3-7-9. " naye njagala mmwe okumanya ng'omutwe gwa buli musajja ye Kristo, n'omutwe gw'omukazi ye musajja, n'omutwe gwa Kristo ye Katonda… kubanga omusajja tekimugwanira kubikkibwanga ku mutwe, kubanga oyo ky'ekifaananyi n'ekitiibwa kya Katonda: naye omukazi kye kitiibwa ky'omusajja… era kubanga omusajja teyatondebwa lwa mukazi; wabula omukazi olw'omusajja."

Era agamba mu bbaluwa gyewandiikira Abaefeeso 5:22. "abakazi muwulirenga babbammwe, nga bwe muwulira Mukama waffe."

Agamba Bernard shew omuwandiisi omungereza: " mu kaseeraomukazi bwagattibwa ne bba, ebibye byonna bifuuka bya musajja okusinziira ku mateeka ga bulaaya."

Okugatta kwekyo bwebufumbo obutasazibwamu eddiini n'amateeka bwebikakaatika nebwebabeera abafumbo bakomyeyo mu kukyawagana, n'emitawaana wakati wabwe, tewali musajja kugoba mukazi, wabula balina kwawukanya mibiri, ekireeetera omusajja okufuna abakazi ebebbali, nabwekityo omukazi okufuna abamukwana abalala.

Era nga bwekibeera mu mbeera y'okufa, nti nnamwandu oba ssemwandu takkirizibwa kuddamu kuwasa wadde okufumbirwa oluvann yuma lw'okufa kw'omwagala we, ekireese okuwebuula omukazi n'okuzaala emitawaana eri embeera ya bulaaya. Naye nga kyava kubagezi baabwe okusaba nti omusajja n; omukazi bonna bawebwe eddembe ery'obwebange nga tewali akubibwa ku mukono, ekyo kyekivuddemu embeera gyebawangaaliramu mu busiiwufu bw'empisa, n'okusaanawo kw'amaka. ekyo kkanisa kyeyasiga n'amateeka gaabwe ag'obulyazaamanya negakigula, naye nga mwebyo balwanisa bubumbwa.

 

 

Ebyetaago (eddembe) ly'omukyala mu busiraamu.

Oluvannyuma lw'ebyo byetulabye mu bufunze ebiraga ekifo ky'omukazi n'eddembe rye mu mirembe egyayita nga obusiraamu tebunnajja, kati tutunuleko ku kifo n'ebyetaago n'eddembe obusiraamu bwe byakakasa ku mukazi. Omukazi mu busiraamu alina ebyataago ebyawamu n'ebyetaago ebyeyawulidde omukazi yekka.

Mu byetaago bye ebibuna mulimu;

  1. Omukazi ali kyekimu n'omusajja mu mateeka ge diini, era alaalikibwako ebyo ebyalaalikibwa ku musajja bwabeera nga obulombolombo butuukiridde era bwebuno: (obusiraamu, obukulu, n'amagezi). Ebyo nno byetaagisa okulaalikibwako eswala, nezzakat, n'okusiiba, ne hijja, newankubadde nga obusiraamu bulina webwamugondezaamu mu mateeka gamba nga obutaliwa swalat singa abeera mu nsongaze ez'omwezi n'oluvannyuma lw'uzaala, nakkirizibwa okulya mu Ramadhan mu mbeera ezo n'aliwa nga amze okutukula, mwebyo nga bufaayo ku mbeera y'omubiri gwe nga ali mu heizi ne nifaasi.
  2. Omukyala asasulwa empeera z'emirimu gye ng'omusajja nabwekityo abonerezebwa olw'ebibi byakoze, kuno kunsi ne kunkomerero. Allah agamba nti: {oyo yenna anaakola omulimu omulungi nga musajja oba nga mukazi, era nga mukkiriza, tujja kumuweera ddala obulamu obulungi (ku nsi), era tujja kubasasulira ddala empeera zaabwe olw'ebirungi bye balinga bakola} Essuula annahali: 97
  3. Omukyala muntu ng'omusajja, so ssi nsibuko ya kibi era si yeyagobesa Adam mu jjana, era muntu atuukiridde tali wansi wa musajja kutondebwa kwe, nga abantu be ddiini endala bwebagamba. Allah agamba nti: {Abange mmwe abantu! Mutye Mukama wammwe oyo ayabatonda ng'abaggya mu mwoyo ogumu (Jjajjamwe Adamu), era n'atonda nga aggya mu ye mukyala we (Haawa), n'assaasaanya nga aggya mu bo bombiriri abasajja bangi n'abakazi. Era mutye Allah oyo gwe musabagana naye (ebyetaago byammwe wakati wammwe), (era mutye) n'oluganda. Mazima ye Allah yali (okuva edda nedda) omulondoozi (omukuumi) ku mmwe (alaba buli kamu kemukola)} Essuula annisaa: 1

Allah alambika bulungi nti yatonda omusajja n'omukazi bombi ng'abajja mu nsibuko emu, tebalina njawulo mu nsibuko y'okutondebwa kwabwe, wadde mu kwesalirawo. N'olwekyo obusiraamu bwasazaamu amateeka ag'obulyazaamanya, agaali galy'azaamanya omukazi, n'okugamba nti tatuukiridde ekyaviirako okumumma ebyetaago bye eby'obuntu. Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: " mazima abakazi be b'oluganda b'abasajja." [14]

  1. Omukazi kyekimu n'omusajja, kikakata okukuuma ekitibwa kye n'okumukuumira ekifo kye, y'ensonga lwaki bwateekawo ekibonerezo okukangavvula abeera amutemeredde. Allah agamba: {Era abo abakasuukirira abakyala abakkiriza n'obwenzi nebataleeta bajulizi bana, mubakubenga kibooko kinaana, era temukkirizanga bujulizi bwabwe ebbanga lyonna. Era abo bo beboonoonefu.} Essuula anuuru: 4
  2. Omukyala alina omugabo mu mmaali y'omufu we nga bwekiri ku musajja. Allah agamba nti: {Abasajja balina omugabo mwebyo ebirekeddwa abazadde ababiri n'abennganda, n'abakazi balina omugabo mwebyo ebirekeddwa abazadde ababiri n'abennganda, ebitoniwadde mu byo n'ebiyingiwadde, nga mutemwa omugereke} Essuula annisaa:7

Obusiraamu bwamuwa omugabo oluvannyuma lw'okuba nti yali asikirwa busikirwa nga ekyamaguzi. Allah agamba nti: {Abanga mmwe abakkiriza! Temukkirizibwa mmwe okusikiranga abakazi (bannamwandu b'abennganda zammwe) olw'empaka. Era temabaziyizanga mulyoke mugende n'ebimu kw'ebyo bye mwabawa…} Essuula annisaa: 19

Umaru Allah asiime ku ye yagamba nti: " ffe twali mu kiseera ky'obubuze nga omukazi tetulina ketumuwa okutuusa Allah bweyassa obubaka obubakwatako, n'abagabira ekyo kyeyabagabira…" [15]

  1. Omukyala alina okwesalirawo nga omusajja, era yesalirawo mu kubeera nekyettunzi, okugula n'okutunda n'ebifaanana nga ebyo, talina kutangirwa wansi wa muntu yenna, okujjako mwebyo ebiyinza okumukosa oba ebyawukana n'amateeka g'eddiini. Allah agamba nti: {Abange mmwe abakkiriza muweeyo nga muggya mu birungi (ebitukuvu) bye muba mukoze…} Essuula bakara: 267

Era Allah agamba nti: {Mazima abasiraamu abasajja n'abasiraamu abakazi, n'abakkiriza abasajja n'abakkiriza abakazi, n'abasajja abagondera Katonda n'abakazi abagondera Katonda, n'abasajja abakkiriza ab'amazima n'abakazi abakkiriza ab'amazima, n'abasajja abagumiikiriza n'abakazi abagumiikiriza, n'abasajja abeewombeeka n'abakazi abeewombeka, n'abasajja abasaddaasi n'abakazi abasaddaasi, n'abasajja abasiibi n'abakazi abasiibi, n'abasajja abakuuma obwereere bwabwe n'abakazi abakuuma obwereere bwabwe, n'abasajja aboogera ku Allah ennyo n'abakazi aboogera ku Allah ennyo. Allah yabateerateekera okusonyiyibwa n'empeera ennene ennyo} Essuula ahzaab: 35.

  1. Obusiraamu bwafuula okugulumiza omukyala mu maka mu bintu omuntu omukkiriza omujjuvu byalina okutuukiriza. Agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye agamba nti: " asinga obujjuvu mu bakkiriza, yooyo abasinga empisa ennungi, ate asinga mu mmwe obulungi yooyo abasinga obulungi eri bakyala be."[16]
  2. Okuyiga n'okuyigiriza abalala kwatteeka ku mukazi n'omusajja. Agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " okunoonya okumanya kwatteeka ku buli musiraamu" Abamanyi bonna baakkiriziganya nti ekigambo musiraamu kibuna omusajja n'omukazi.
  3. Omukazi ateekwa okulerwa obulungi ng'omusajja, n'okukuzibwa nga mulongoofu, okutuusa nti obusiraamu bwafuula okulera omwana omuwala n'okumulabirira nga nsonga eyingiza omuntu ejjana, ekyo nno kimu ku busiraamu kyebwasukkulumyamu omukazi ku musajja. Agamba omubaka wa Allah akusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " omuntu alina abaana ab'obuwala basatu, n'agumiikiriza obuzibu bwabwe, n'abaliisa, n'abanywesa n'abambaza mu mmaali ye, bajja kubeera jjiji erimutaasa omuliro ku lunaku lw'enkomerero."
  4. Omukala alina obuvunanyizibwa bwebumu nga omusajja mu kulongoosa abantu mwawangaalira, obulagira obulungi n'okuziyiza ebikyamu. Allah agamba nti: {N'abakkiriza abasajja n'abakkiriza abakazi, abamu mu bo mikwano gya bannabwe, balagira empisa ennungi nebagaana empisa embi, ne bayimirizaawo esswala ne bawaayo zzakaati, n'ebagondera Allah n'Omubaka We. Abo Allah agenda kubasaasira. Mazima Allah wa kitiibwa mukakasa.} Essuula Tawuba: 71.
  5. Omukyala alina obuyinza okweyimirira omuntu yenna nga bwekiri ku musajja. Allah agamba nti: {Bw'abeera omu mu bakafiiri nga akusabye obubudamu (Gwe Muhammad) bumuwe kimusobozese okuwulira ebigambo bya Allah…} Essuula Tawuba: 6. Agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " okweyimirirwa kw'abasiraamu (ku Batali basiraamu) kwekumu, n'asembayo wansi (mu basiraamu) asobola okweyimirira atali musiraamu. Omuntu amenya okweyimirirwa (endagaano) kw'omusiraamu, aliko ekikolimo kya Allah ne bamalayika n'abantu bonna, talina mulimu gukkirizibwa kuva gyali…"[17]

Obuvunanyizibwa bw'okweyimirira bubuna omukazi n'omusajja kyenkanyi, ne mu hadithi ya Ummu Haani agamba nti: nnagenda ewa NNabbi omwaka gw'okuggulawo makka ne mmusanga nga anaaba nga Fatuma muwalawe amubikkiridde olutimbe, nemmutoolera ssalaamu n'agamba nti: ani oyo? Naddamu nti: nze Ummu Haani muwala wa Abi Twalibu. Nagamba nti: nkwanirizza Ummu Haani. Bweyamaliriza okunaaba n'ayimirira n'asaala eraka munaana nga yezingiridde olugoye lumu, bweyava mu swalat nemmugamba nti: owange omubaka wa Allah, omwana wa Nnyabo (ne Ssebo Ali) agamba nti agenda kutta omuntu kwenneyimiridde Gundi mutabani wa Habiirat, Nnabbi okusaasira n'emirebe bibeere ku ye n'agamba nti: tweyimiridde oyo gweweyimiridde owange Ummu Haani. Agamba Ummu Haani, ebyo byali mu kiseera ekya Dhuha (Kalasa Mayanzi). [18]

N'olwokumanya ekifo ky'omukyala mu busiraamu, asobola n'okweyimirira musiraamu munne. Hadithi eva ku Abi Huraira nga ajja ku Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yagamba nti: "Mazima omukazi asobola okweyimirira abasiraamu."[19]

Wabula olina okumanya nti waliwo ebintu ebyeyawulidde omusajja yekka, nga obusiraamu bwasukkulumya nabyo omusajja ku mukazi, tujja kulaba ebimu kubyo bwetunatuuka okw'ogera ku busonga obwekwasibwa ku mukazi.

Kisaanidde okwogera ku mbeera y'omukyala nga obusiraamu tebunnajja mu buwarabu, n'ekyo kyeyafuuka oluvannyuma lw'okujja kw'obusiraamu, kijja kweyoleka ekitiibwa obusiraamu kyebwawa omukazi.

Ebyetaago ebyeyawulidde omukazi; obusiraamu bulaba omukazi mu ndaba engazi, bulagira okufaayo eri omukazi, n'okumuwa ebyetaago bye mu mitendera egyenjawulo mu bulamu bwe, okuva bwazaalibwa mpaka bwafa, so ssi mu mutendera gumu gwokka. Obusiraamu bufaayo ku mwana ow'obuwala, nebwabeeraofuuse omukyala mu maka, era nebufaayo ku mukazi nga ettofaali mu bakazi abasiraamu. Tugenda kugezaako okulambulula mu bufunze ku bimu ku byetaago by'omukazi, anaabeera yetaaze okugaziwa mu nsonga eyo adde mu bitabo by'amateeka g'obusiraamu (fikihi) ku mulamwa ogwo.

 

 

Ebyetaago by'omwana ow'obuwala (nga muto) mu busiraamu.

  1. Okutaasa obulamu bwe:

Allah yalagira abazadde okufaayo okutaasa obulamu bw'abaana baabwe abalenzi n'abawala, era yafuula okubatta nga zzambi ddene nnyo. Allah agamba nti: {…era temuttanga abaana bammwe olw'obwavu- Ffe tubagabira mmwe nabo…} Essuula al-an-aam: 31

Era okubalabirira kya tteeka era kiri mu nsingo y'abazadde okuviira ddala nga bakyali mu nda za bannyabwe. Allah agamba nti: {… bwe babeeranga balina embuto, kale mubagabirirenga (wamu n'okubambaza) okutuusa lwe banaazaalanga embuto baabwe...} Essuula Ettalaka: 6

 

  1. Okuyonsebwa:

Allah alagira okulongoosa eri abaana babeere bbalenzi oba bawala, n'okufaayo kunsonga zaabwe, n'okubalabirira, n'okubatebenkeza mu kubawa byebeetaaga, okubawa obulamu obulungi, era obwo bwebuvunaanyizibwa bw'abazadde eri abaana baabwe. Allah agamba nti: {N'abazadde abakyala bayonsa abaana baabwe (ebbanga lya) myaka ebiri; (ekyo kiri) eri oyo ayagala okujjuza okuyonsa. Kiri ku buli musajja gwe bazaalidde (omwana) okubaliisa n'okubambaza (omwana ne nnyina) mu ngeri ennungi…} Essuula Bakara: 233.

 

  1. Okumulera n'okumugunjula:

Obusiraamu bukubiriza abazadde okugunjula abaana baabwe n'okubabangula, n'okubayigiza eddiini. Agamba omugamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " kimalira omuntu okuba ekibi singa alekerera oyo gw'aliisa (gwalabirira)"[20] era agamba okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " mwenna muli balunzi, eramwenna muli baakubuuzibwa ku Magana gammwe. Omukulembeze mulunzi era wakubuuzibwa kwabo baakulira, ssemaka naye mulunzi era wakubuuzibwa ku maka ge, omukyala naye mulunzi mu maka ga bba era wakubuuzibwa kubuvunanyizibwa bwe, omukozi naye mulunzi ku mmaali ya Mukama we era wakubuuzibwa ku yo." [21]

Era abazadde balina okulondera abaana baabwe amannya amalungi era agabagwanira, era maama w'omwana yalina omukisa ogusooka okukuza omwana we singa babeera bafunye okusoowagana ne bba, olw'ekisa kya maama n'obukwata mpola, nga bwekirambikibwa mu hadithi ya Amru Bun Shuayibu agamba nti omukyala yagamba: owange omubaka wa Allah, omwana wange oyo enda yange yemukuzizza, era anywesebwa ku bbeere lyange, asula mu kisenge kyange, balo angobye era ayagala ku munzijako. Nnabbi n'agamba nti:"omukisa gw'okumulera gugwo ebbanga ly'omala nga tofumbiddwa."[22]

 

  1. Okusaasirwa n'okukwatibwa empola:

Abaana abawala beetaaga obukwata mpola nga bwebetaaga eby'okunywa n'ebyokulya kubanga bikosa emyoyo gyabwe n'empisa zaabwe, so nga obusiraamu ddiini ya kusaasira, kusaasirigana, n'obukwatampola ku muntu owebbali, kati kibeera kitya ku muntu wo ow'okumpi. Hadithi eva ku Abu Hurairat Allah asiime ku ye agamba nti: Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yanywegera Hassan mutabani wa Ali, nga Al-Akran Bun Haabisi omutamiimi nga atudde awali Nnabbi, Akrau n'agamba nti: nze nnina abaana kumi, naye ssinywegerangako wadde n'omu!!! Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye n'amutuunira (okumwewunya)oluvannyuma namugamba nti: " atasaasira tasaasirwa."[23]

 

  1. Okusomesebwa (okuyigirizibwa):

Okunonya okumanya kwalaalikibwa ku buli musiraamu omusajja n'omukazi, agamba omubaka wa Allah n'emirembe bibeere ku ye: "Okunonya okumanya kwalaalikibwa ku buli musiraamu omusajja n'omukazi "[24]

Ate bwafuula okusomesa omuwala nga nsonga okukubisaamu empeera, agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti:" omusajja abeera n'omuzaana omuto n'amusomesa bulungi, n'amugunjula bulungi nnyo, oluvannyuma n'amuta okuva mu buddu, n'amuwasa, afuna empeera za mirundi ebiri."[25]

 

  1. Okuwebwa obwenkanya:

Obwenkanya wakati w'abaana kyatteeka eri abazadde, mu kubasaasira n'enkolagana nga tebwawuddwa wakati wa bawala na balenzi. Allah agamba: {Mazima Allah alagira bwenkanya na kuyisa bulungi, n'okuwa ab'oluganda ab'okumpi, n'agaana eby'ebwenzi n'ebibi n'okulumbagana abantu. Ababuulira oba olyawo ne mukkukira} Essuula Annahali: 90.

Ne mu Hadithi eva ku Nu'uman Bun Bashiri Allah asiime ku ye yali ku kituuti nga agamba nti:" kitange yantemera ku mmaali ye omugabo, Amrat bint rawaahat (maama) n'agamba nti ssikiriza okujjako nga ojulizza Nnabbi kwekyo ky'omuwadde, Kitange najja ewa Nnabbi nagamba nti: mpadde mutabani wange gwennina mu Arwat Bint Rawaahat omugabo nanngamba nti nkujulize ggwe omubaka wa Allah, Nnabbi n'agamba nti: " buli mwana wo omuwadde nga kyowadde ono". Naddamu nti nedda. N'agamba nti:" mutye Allah mwenkanye wakati w'abaana bammwe." Agamba nti: Kitange naddayo nasazaamu omutemwa ogwo. Bukhari ne Musilim

Mazima ddala absiiga obusiraamu enziro nti bwalazamanya omukazi, boogeraki ku Hadithi eno?

 

  1. Okwerondera omusajja o'wokufumbirwa:

Obusiraamu bwassa ekitiibwa mu kirowozo ky'omuwala okufumbirwa, era bwakiteeka mu bumu kubulombolombo obutuusisa obufumbo. Bwamuwa okusalawo okukkiriza oba okugaana amwogereza, agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " omuwala eyafumbirwako tafumbizibwa okujjako nga yesaliddewo, ate emberera tefumbizibwa okujjako nga asabiddwa olukusa. Baamugamba nti, akukkiriza kwe kwekuliwa? N'agamba nti: bwasirika (abeera akkiriza)."

Kitaawe oba omuntu amulinako obuyinza tateekeddwa kumukaka kufumbirwa musajja gwatayagala. Era singa omuwala akakibwa okufumbirwa gwatayagala, obusiraamu bumuwa obuyinza okusaba okusazaamu obufumbo olwa hadithi ya Khanisa muwala wa Juzaamu, kitaawe yamufumbiza oluvannyuma lw'okufumbirwako nga tayagala, najja ewa Nnabbi nasazaamu obufumbo bwe.[26]

Era obusiraamu bwafuula okualbira omwana omuwala n'okufaayo gyali nga nsonga eyingiza amuzadde ejjana okusobola okukubiriza abazadde bafeeyo ku bawala. Aisha Maama w'abakkiriza agamba nti: " omukazi omwetaavu yajja gyendi nga asitudde abaana babiri, nemmuwa entende ssatu, buli mwana n'amuwa entende emu, nakwata ey'okusatu agirye, bawalabe nebagikaabira nagigabanya wakati waabwe. Nenneewunya omukazi kyeyakola, nennyumizaako omubaka w Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye n'agamba nti: "Allah amukakasizzaako ejjana olw'ekyo kyakoze, oba yagamba nti Allah atadde ensingo ye okuva mu muliro olw'ekyo."[27]

Okwenkanya wakati w'abaana tekikoma kubirabwako byokka, wabula kutuuka n'ebintu ebitono omuntu byayinza n'okunyooma, wabula bulagira n'okwenkanya ne mukunywegera abaana. Anasi agamba nti: " omusajja yali atudde ne Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, mutabani we najja, n'amukwata n'amunywegera n'amutuuza okumpi naye, oluvannyuma muwalawe najja, n'amutuuza mu mbiriizi ze. Nnabbi n'agamba nti: " tewenkanyizza wakati w'abwe." Wakati w'omulenzi n'omuwala mukubanywegera.[28]

Nga bwekiri nti tukyayogera ku kufaayo ku baana, kisaanidde netwogera mu bufunze ku kufaayo kw'obusiraamu ku bamulekwa olw'ensonga nti obwamulekwa bukosa abaana abato, ekiyinza n'okubaleetera okukona, singa babeera mu bantu abatafaayo eri ebyetaago bye, oba abatabassasira.

Obusiraamu bufaayo eri mulekwa omulenzi n'omuwala olufaayo olw'amanyi ennyo, era nebufuula okumulabirira nga kya tteeka eri abantu be ab'okumpi. Bwabeera taliiko bantu be bakumpi, ensi y'obusiraamu yebeera erina obuvunanyizibwa okumwola, okumusomesa n'okumugunjula.

Okutiisa okwamanyi kwajja okuva eri Allah eri abo abalya emmaali y'abalekwa n'abatatuukiriza byetaago byabye. Allah agamba nti: {Mazima abo abalya emmaali ya bamulekwa mu bulyazaamanyi, ddala (baba) balya muliro mu mbuto zaabwe, era bagenda kwesogga omuliro ogububuuka} Essuula annisaa: 10.

Era Nnabbi wa Allah yagamba nti: " Mazima nze mbateeredde ekibi kw'oyo alyazamaanya emmaali y'abanafu ababiri, mulekwa n'omukazi."[29]

Era Allah yagaana okukuluusanya mulekwa. Allah agamba nti: {Teyakusanga nga oli mulekwa n'akwola?} Essuula adhuhaa: 9.

Era obujulizi bungi bukubiriza okulera, n'okulongoosa gyali. Agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: " nze n'omuntu alera (alabirira) mulekwa tujja kubeera mu Jjana bwetuti; naalaze n'engalo ze bbiri nva mumba n'olwowakati oluvannyuma n'azawula katono." [30]

Nabwekityo Nnabbi yakubiriza okusaasira n'okukwata empola mulekwa nga bwagamba nti: " oyagala omutima gwo gufune ekisa, era omale n'ebyetaago byo, saasira mulekwa, era osiimuleko ne mu mutwe gwe, era omuliise ku mmere yo, omutima gwo gujja kugonda era ojja kumala ebyetaago byo."[31]

Nabwekityo obusiraamu bufaayo ku baana abalondebwa abawala n'abalenzi, alabirirwa ensawo y'obusiraamu nga bwekiri ku mulekwa. Agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " buli kintu ekirina ekibumba ekibisi (ekintu ekirina obulamu) kiriko empeera (okukisaasira)."[32]

Nemwekyo tulaze nti abantu balina okufaayo ku bantu ab'emirundi ebiri abo abalina okuyisibwa obulungi nga abantu abalala bonna.

 

 

Ebyetaago by'omukazi bwabeera afumbiddwa:

Agamba Allah: {era ne mu bubonero Bwe (ebyengera bya Katonda eri mmwe abantu) kwe kubatondera mmwe nga aggya mu mmwe mwennyini abakyala mulyoke mutebenkere gye bali, era yassa wakati wammwe okwagalana n'okusaasiragana. Mazima mwebyo mulimu obubonero eri ekibiina ekifumiitiriza.} Essuula arruum: 21.

Era ne mu bubonero bwe obulaga obugulumivu bwe okubeera nti yatondera omuntu nga ajja mu bo bennyini bakyala baabwe, basobole buli omu okuwummula eri munne, n'okukkanya emyoyo gyabwe.

Omukyala mu busiraamu y'empagi y'eggwanga kweryetengererera, era y'enkondo enkulu okuzimbibwa amaka amasiraamu. obisiraamu bwamulaalikako byalina okutuukiriza era nebulaalika byalina okufuna mu ngeri y'okumuddiza, era mwebyo ebyetaago bye byalina okuwebwa mulimu bino:

 

  1. Amahare:

Omusajja ateekeddwa okuwa omukazi omutemwa, tewali akkirizibwa kugukwatako waddeabantu be ab'okumpi okujjako nga asiimye. Era ekifundikwa ky'obufumbo tekisobola kuyimirirawo okujjako nga waliwo amahare. Era ekyo kyeyoleka bulungi nti mu busiraamu omukyala abeera n'ekikye eky'obwebange. Amahare tegavaawo nga ekifundikwa ky'obufumbo tekinnasibibwa nebwabeera nga omukyala akkiriza okutwalibwa kubwerere… wabula kasita ekifundikwa kisibibwa, omukyala asobola okusalawo kyonna kyayagala ku Mahare ge. Allah agamba nti: {Era muwenga abakyala (abo be muwasa) amahare gaabwe….} Essuula Annisaa: 4.

Amahare mmaali ya mukyala, omusajja bwagoba mukyala we takkirizibwa kumujjako mahare ge, Allah yalambika bulungi ensonga eyo bweyagamba nti: {Bwe mubanga mwagadde okuwaanyisa (muwase omulala) mu kifo ky'omukyala (oyo gwe mulina) ka mube mwawa omu mu bo (oyo gwe mwagala okuta) endulundu y'emmaali, temumuggyangako (kweddiza ku yo) kintu kyonna: Abaffe, mwandigibatutteko mu byakalebule (ne mu bulyazaamaanyi ne mugwa) mu kibi ekyenkukunala. 21. Ngeri ki bwe mugimuggako (ne mugyeddiza) nga ate yatuuka omu ku mmwe eri munne, ne baggya ku mmwe (abakyala) enagaano enzito (ey'obufumbo n'okukuumagana mu ddeme)?} Essuula Annisaa: 20-21.

Era Allah agmba nti: {abange mmwe abakkiriza! temukkirizibwa mmwe okusikiranga abakazi olwempaka. era temubaziyiza nga mulyoke mygende n'ebimu kw'ebyo bye mwabawa, wabula okubakambuwalira bwe baba nga babadde bakoze eby'obwenzi obw'olwatu. kyokka mukolaganenga nabo mu ngeri ennungi. bwe muba mubatamiddwa oba olyawo mwanditamwa ekintu, ate Allah n'akissamu obulungi obungi} Essuula Annisaa:19. Mu bujulizi obwo obukulu ennyo, mulimu okukuuma ebyetaago by'omukyala mu byo:

  • Tekikkirizibwa kusikira bakyala nga tebeesimidde. Abawarabu baali nga ssemaka bwafa, nga abantu be beefuga omukyala, abaagadde nebamuwasa, oba okumuwa gwebaagadde, oba okumubeezaawo nga tebamugabye wadde okumuwasa, era nebatamukkiriza kufumbirwa kubanga beebamulinako obuyinza n'okusinga abantu be, kweggamba nga afuuse nga bwolaba ekyettunzi.
  • Nabwekityo Allah yaziyiza okunyigiriza omukazi nga okuvuma, okumukuba, oba okulya emmaali ye atere yegobe olwo amusabe okwenunula, anobe.
  • Wabula omukazi bwabaliga mu maka, omusajja akkirizibwa okumunyigiriza yegobe, asobole okumujjako amahare ge geyamuwa.
  • Oluvannyuma Allah alagira okuyisa obulungi abakyala, n'okubeera abagonvu gyebali, n'okumugamba ebimusanyusa.

 

  1. Okwenkanya wakati w'abakyala:

Singa omusajja abeera n'abakyala abasukka kw'omu, alina okwenkanya wakati waabwe mu kulya, n'okunywa, n'okwambala, n'ebisulo. Agamba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: " omusajja alina abakazi ababiri, neyekubira kw'omu naleka omulala, ajja kujja ku lunaku lw'enkomerero nga ekintundu kye eky'omubiri nga kirema." [33]

 

  1. Okulabirirwa:

Kikakata ku musajja okulabirira mukyala we okusinziira ku busobozi bwe, okumutegekera ekisulo ekirungi, n'okumuwa emmere n'eby'okunywa, n'ebyambalo, nebwabeera omukyala nga mugagga. Agamba omubaka wa Allah akusaasira n'emirembe bibeere ku ye: "mutye Allah mu bakyala bammwe, mwabawasa kubweyamu bwa Allah, ne mukkirizibwa obwerere bwabwe lwa kigambo kya Allah, era nabo tebalina kuyingiza mu mayumba gammwe abo bemutamwa, bwebakikola mu babonereze olubonereza olutototono olutaala lubale, era nabo muteekeddwa okubalabirira n'okubambaza okusinziira ku busobozi bwa mmwe."[34]

Era omusajja alina okumuwa obuyambi bweyetaaga okusinziira ku busobozi bwe. Allah agamba nti: {Alina okuwaayo ayeesobola okusinziira mu kusobola kwe, n'yo eyafundizibwa enfuna ye, naye alina okuwaayo mw'ebyo Allah bye yamuwa. Allah tawaliriza mwoyo wabula (agulagira kuwaayo kigero kisaamu) mw'ebyo bye yaguwa. Allah ajja kussaawo obwangu oluvannyuma lw'obuzito (n'olwekyo temusaanye kutya buvunanyizibwa} Essuula Attalaaka: 7.

Omusajja alina obusobozi bwabeera aganye okulabirira mukazi we, bwabeera asobola okutoola mu mmaali ye nga tamanyi, akkirizibwa okutoolamu ekyo ekimumala, olwa Hadithi ya Hindu Bint Utbat, yagmba NNabbi nti: " owange omubaka wa Allah, Abu Sufiyaani alina omulugube (mukodo), tampa kimmala n'omwana wange okujjako kyembeera mujjeko nga tamanyi, N'agamba nti: " jjamu ekikumala n'omwana wo ne nsa." [35]

Omusajja bwabeera aweddemu nga takyasobola kuliisa mukyala we, oba nga abuze ku mukyala we omukyala nalemererwa olw'okubulwa eky'okulya, era n'agaana okudda mu maka, omukyala akkirizibwa okusaba okusazibwamu kw'obufumbo bwabeera kyayagadde. Hadithi eva ku Abi Zzanaadi agamba nti: nnabuuza sayiidi bun Musayyabu ku musajja atalina kyaliisa mukazi we? Naddamu nti: baawulwa wakti wabwe. Abu Zzannaadi n'agamba: ekyo kiri munkola ya Nnabbi? N'addamu nti: ye kiri munkola ya Nnabbi. Shafie agamba: ekigambo kya Sayyiid kitegenza ntiekyo kiri mu nkola ya Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye.

 

  1. Ebisulo n'okumukwata obulungi:

Buno bwebuvunanyizibwa bw'omusajja obusinga obukulu eshariya bwemulagira okutuukiriza, omukyala aleme kukakibwa kukola bintu bitali byansa. Omukyala yetaaga omutima ogumusaasira n'okumukwata empola, era yetaaga omusajja okumuzannyikiriza, n'akkakkanya omutima gwe, n'okumala ekyetaago kye eky'omukwano. Obusiraamu bwaziyiza omusajja okwemalira ku Ibaada asobole okutuukiriza etteeka eryo, olwa hadithi eva ku Salmaani Alfaarisi Allah asiime ku ye, yajja ewa Abu Dardaa Allah asiime ku ye okumukyalira n'asanga nga Ummu Dardaa agubaasidde, n'amubuuza nti ate ggwe olubadde? N'amuddamu nti: Nanti mukwano gwo talina kyeyetaaga ku Duniya, asula asaala era asiima bulu misana!! Abu Dardaa najja okumwaniriza n'amuleetera emmere, Salmaan n'amugamba nti: nawe lya. N'addamu nti nnasiibye. N'amugamba nti: Ndayira ogenda kulya. N'alya naye. Oluvannyuma yasula, bwekyatuuka ekiro, Adu Dardaa bwayagala okuyimirira asaale, Salmaan n'amugamba nti : Omubiri gwo gulina ebyetaago byagwo, n'Omulezi wo alina byakubanja, Ne mukyalawo alina ebyetaago bye, siiba oluusi osibulukuke, osaale, osanyuse ne mukyala wo, buli omu muwe omugabo gwe.. bwali bunaatera okukya n'amuzuukusa nti: kati oba oyagala saala kati, naazukuka nebasaala, oluvannyuma nebagenda okusaala eswala ya Fajiri, Abu Dardaa najja ewa Nnabbi n'amugamba ekibaddewo, Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye n'agamba nti: " Salmaan g'ayogedde mazima."[36]

Ibun Hazimu agamba nti: kikakata ku musajja okwebaka ne mukyala munsonga z'obufumbo ekitono ennyo omulundi gumu buli mwezi gwekikyala, bwagaana nga obusobozi abulina abeera ajeemedde Allah. N'obujulizi bwekyo Allah agamba nti: {Era bakubuuza (gwe Muhammad) ku mukyala nga ali mu nnaku baabwe (nga ali mu heezi). Bagambe nti: gwo (omuusaayi), kyenyinyaza, kale mwawukane n'abakyala (obuteegatta nabo) nga bali mu bulwadde bwabwe (nga bali mmu heezi). Temubasembereranga okutuusa nga lwe batukula. Bwe babeera nga batukudde (ne nabaaba, olwo) mugendenga gye bali mu kifo awo Allah we yabakkiriza (mwegatenga nabo emberi waabwe, sso si mabega). Mazima Allah ayagala abeenenya, era ayagala abeetukuza.} Essuula bakara: 222.

  • Ne mu bimu kubyetaago by'omukyala bba bwabeera agenze mu lugendo, talina kumalayo myezi gisukka mukaaga, wabula omukyala bwabeera agumiikirizza naddala nga obwagazi bwe ssi bungi tekirina buzibu. Wabula omukyala bwabeera asabye adde talina kukeerewa okujjako nga waliwo ensonga emukase, olw'ekikolwa kya Umaru bun Khatwab Allah asiime ku ye, omusika wa Nnabbi ow'okubiri bweyawulira omukyala nga atoontoma nti: Ekiro kiwaanvuye nekikwata n'enzikiza, era bunzibiridde kubanga ssirina wa mukwano anzannyikiriza. Wallahi singa tabadde Allah nti gwe nnondoola, obuliri buno bwandiyuuze ekintu.

Obudde bwebwakeera, U maru n'amutumira omuntu amubuuze nti ggwe wabadde otoontoma ebigambo bino? N'addamu nti ye nze. N'amubuuza nti lwaki wabyogedde. N'addamu nti: wasindika baze mu lutabaalo. Umaru n'abuuza Hafswa nti omukyala agumiikiriza bbanga nga ki nga talaba musajja we? N'amugamba emyezi mukaaga. Okuva olwo nga Umaru bwasindika amaje gamalayo emyezi mukaaga ne gadda.[37]

  • Okukuuma ebyama bye, nabutanyumya bumogo eri muntu yenna. N'okukweka ebyo byawulidde oba byalabye ku mukyala we. N'okukuuma ebyama ebibeerawo wakati wabwe mu kisenge, aleke ku binyumya mu mikwano gye, Yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " omu ku bantu abasinga ekifo ekibi mu maaso ga Allah ku nkomerero, ye musajja eyewa mukyala we naye n'amwewa, oluvannyuma omu kubo n'ayolesa ebyama bya munne."[38]

 

  1. Enkwata n'enkolagana ennungi:
  • Alina okuyisibwa obulungi n'okumuwa ekitiibwa nebwaba nga alina kyatamiddwa ku ye, olw'ekigambo kya Allah ekigamba nti: {……Bwe muba nga mubatamiddwa (temubatanga), (kubanga) oba olyawo mwanditamwa ekintu, ate Allah n'akissaamu obulungi obungi} Essuula annisaa: 19.

Bwabeera alina kyatamiddwa ku ye, talina kumukkakkanya wadde okumutwalira wansi, alina okumukwata empola, okumusaasira n'okulongoosa gyali, oba ssi kyo ayawukane naye mu bulungi era alongoose gyali. Allah agamba: {okugoba okw'okuzza omukazi kwa mirundi ebiri, okuba kubeere mu ngeri ennungi oba kwawukana mu nger ennungi} Essuula Bakara: 229.

N'olwensonga nti omukyala okubeera omujjuvu tekisoboka, yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " mubuulirire bakyala bammwe, mazima omukyala yatondebwa mu lubiriizi, era olubiriizi olusooka waggulu lwelusinga okukyama, bwoyagala okulugolola olumenya, ate bwoluleka lusigala nga lukyamye, n'olwekyo mubuulirire nnyo bakyala bammwe."[39]

N'olwensonga nti obukendeevu tebwebeereka mu mubufumbo, omusajja alagirwa obugumiikiriza, n'okugumiikiriza ensobi mukazi we z'akola okusobola okukuuma obufumbo. Asaanidde buli bwayogera ensobi z'alina ayogere n'ebirungi by'alina. Agamba Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye:" omukkiriza omusajja tasaanidde kusunguwalira mukkiriza mukazi, bwatamwa ku ye omuze, amusiimeko empisa ennungi."[40]

  • Okumusaasira n'okumwagala n'okumwaka empola. Agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: " Asinga abakkiriza obukkiriza obujjuvu, yooyo abasing empisa ennungi, eraabasinga obulungi yooyo asinga obulungi eri bakyala be."[41]
  • Okuzannya naye, okusaaga naye, okuseka naye. Hadithi nga eva ku Aisha Allah asiime ku ye yagamba: twasimbuka ne Nnabbi mu misinde nemmusinga, netumala akaseera okutuusa bwennagejja, twasimbuka nansinga; nanngamba nti "ogwo gusasudde guli ogwasooka."[42]

Obusiraamu bwafuula ekyo nga kimu kubyetaago ebiwebwa omukazi, Agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " buli kintu kyonna ekitali kutendereza Allah kyakwegayaza oba bwerabize, okujjako ebintu bina byokka; okulambula wakati w'enkasuka(z'effumu) ebbiri, n'okutendeka emabalaasi ye, n'okuzannya ne mukazi we, n'okuyiga okuwuga."[43]

  • Okukuuma emmaali ye ey'obwebange, takkirizibwa kugikozesa okujjako nga afunye olukusa okuva gyali. Era takkirizibwa kutwalako wadde nga omukyala taiimye, oba nga tamanyi. Allah agmba nti: {Era temulyanngananga emmaali yammwe mu ngeri eteri ntuufu…} Essuula annisaa: 188.
  • Okumwebuuzaako kunsonga z'amaka, n'abaana, nabwekityo ensonga ezibagatta.

Si kya magezi omusajja okwetengerera mu kusalawo, natawuliriza ndowoza ya mukyala we singa ebeera nga ntuufu, nabwekityo ensonga ez'ongera omukwano wakati waabwe. Allah agamba nti: {Era abo abaayanukula Mukama waabwe ne bayimirizaawo esswala, nga n'ensonga zaabwe ziyita mu kuteesaganya wakati…} Essuula ashuura: 38.

  • Okumuyambako mu mirimu gy'awaka aleke okwekuluntaza. Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yali yetungira engoye ze, n'alongoosa egatto ze, era nga ayambako bakyala be ku mirimu gy'awaka. Aisha Maama w'abakkiriza yabuuzibwa nti: " Nnabbi yali akola ki awaka? N'agamba nti: " yali awereza bakyala be, eswala bwetuuka nga afuluma agenda asaala."[44] Tulina ekyo'okulabirako ekirungi ku mubaka wa Allah.
  • Okwewala okulaba ebizika ku mubiri gwe, oba okulondoola ebiswaza ku ye, agamba okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: " omu mu mmwe ebbanga bweriwanvuwa nga tadda waka, taddayo eri mukazi we kiro."[45]

Amakulu nti tagwa bugwi nga ava mu lugendo nga mukyala we tamanyi, kubanga ayinza okusanga mukyala we nga afaanana bubi, n'ebeera nsonga egenda okuleta okumwetamwa.

  • Okwewala okumukosa wadde okukozesa ebigambo ebimunakuwaza olw'ekigambo kya Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye kyeyaddamu ayamubuuza nti biki ebitukakatako eri bakyala baffe? Yagamba nti: " muliise nga olya, omwambaze bw'oyambala, tomukuba mu kyenyi, era tomuvuma, era tomusenguka wabweru wa nju."[46]
  • Alina ebbeetu singa abeera yetamiddwa omusajja okusaba okusazaamu obufumbo singa akkiriza okuddiza omusajja amahare geyamuwa, okujjako nga omusajja agamusonyiye. Ibun Abbasi yayogera hadithi egamba nti: Jamila muwala wa Saluulu n'agamba nti wallahi ssitamwa Thabiti lwampisa mbi wadde nti alina akamogo, naye kyentya kwekuwakanya (okujeemera omusajja) oluvannyuma lw'okuyingira obusiraamu. Mulinako obusungu bungi. Nnabbi n'amubuuza nti onaamuddiza ennimiro ye? N'addamu nti ye. Nnabbi n'alagira Thabiti kkiriza ennimiro yo tomwongeramu."[47]
  • Okumutaasa ebintu ebiyinza okumukkakkanya n'okuwebuula ensa ze. Agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: " abantu basatu tebagenda kuyingira jjana, ajeemera bazadde be, omusajja ssekibotte, ne mukazimusajja."[48]
  • Okumububira n'okumwewaza ebifo eby'obwonoonefu, tamutwala mu bifo birimu buseegu, n'obwonoonefu. Agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " Allah alina ebbuba, n'omukkira abuba, ebbuba ly'Allah libeerawo singa omukkiriza akola ekyamuziyizibwa okukola." [49] wabula ebbuba lirina ekkomo. Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye agmab nti: " mu bbuba mulimu Allah ly'ayagala neryatayagala, ebbuba Allah ly'agala kwekububa singa waliwo okuteeberezebwa. Ate ebbuba ly'atayagala nga tewali kuteebereza."[50]

 

 

Ebyetaago by'mukyala singa abeera afuuse Maama.

Obusiraamu bulaamira okugondera abazadde mu bifo bingi Mu Kur'ane, era buliranisa ebyetaago by'abazadde ku kugondera Allah okulaga obukulu bw'okubagondera n'okugulumizibwa kwabwe. Allah agamba nti: {Yasalawo Mukama wo nti: Temusinzanga omulala yenna wabula ye yekka (gwe muba musinza), era n'akubiriza nti n'abazadde bombiriri mubayise bulungi. Singa mazima abanga atuusizza obukulu (n'akaddiwa) nga w'oli, omu ku bombiriri oba bombiriri tobagambanga (ekigambo) ekibi (eky'obenyinyala) era tobakambuwaliranga, wabula bagambenga kigambo kya kubagulumiza.24. Era obakkakkanyize bombiriri ekiwawaatiro ky'obwetoowaze mu kusaasira. (Betoowalizenga mu bikolwa byo), era ogambe nga (nga obasabira): Ayi Mukama wange! Basaasire bombiriri nga (nabo) bwe banderanga nga ndi muto.} Essuula Israel: (23-24).

  • Era bwakulembeza okugondera Maama era nebumuwa enkizo mu kwagalibwa, okwetowaza gyali, n'obutamujeemera era nebubifuula ebintu ebiyingiza omuntu ejjana. Jaahima yajja ewa Nnabbi n'agamba nti: owange omubaka wa Allah njagala okutabaala mu kkubo lya Allah, nzize nkwebuzeeko. N'agamba okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: olina muzadde wo?" naddamu nti ye owange omubaka wa Allah. N'amugamba nti: " genda obeere waali mazima ejjana eri wansi wa bigere bye."[51]

Olwokuba nti omukazi ebiseera ebisinga akkakkanyizibwa mu bitundu ebyenjawulo, ekireetera omukyala okukozesebwa n'okumulyazamanya ebetaago bye bingi obusiraamu bwebyamuwa, yensonga lwaki obusiraamu bwakulembeza Maama ku Taata mukwagalibwa, okugonderwa, okuyisibwa obulungi. Hadithi nga eva ku Abu Huraira Allah asiime ku ye agamba nti: omusajja yajja ewa Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye n'amubuuza nti: muntu gwennina okusinga okuyisa obulungi? N'agamba nti: " Maama wo" naddamu nti: ate oluvannyuma? Naddamu nti: " Maama wo." Naddamu nti: ate oluvannyuma? Naddamu nti: " Maama wo." Naddamu nti: ate oluvannyuma? Nagamba nti:" Taata wo."[52]

Amakulu ga Hadithi eyo Maama agonderwa emirundi esatu okusukka Taata, olw'obuzito lw'olubuto lweyetikka, oluvannyuma okuyonsa. Ebyo by'ebintu ebisatu ebyeyawulidde eri Maama so nga era yenyigira wamu ne Taata mu kulera abaana.

Maama akusitula mu nda ye n'owangaalira ku mmere ye, n'obulamu bwe mubiseera ebisinga. Oluvannyuma oluyonsa okmala emyaka ebiri eri oyo ayagadde okujjuza ebbanga ly'okuyonsa, era nga Allah bwakirambika mu Kur'ani nti: {Ne tulaamira omuntu (alongoosenga) eri bazadde be bombi, Nnyina amuba olubuto nga munafu ali ku bunafu, n'amugga ku mabeere mu (bbanga lya) myaka ebiri- (kale kwata ekikulagirwa) mazima onneebaze nze ne bakadde bo bombi. Gye ndi y'eri obuddo.} Essuula Lukumaani: 14.

Obusiraamu buziyiza okumuyisa obubi n'okumujeemera, n'obutamuwa byetaago bye. Agamba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " Allah yabaziyiza okujeemera ba Maama, n'obukodo (obutawa zzakati n'ebirala), n'okusabiriza (kyotalinako mugabo), n'okutta abaana abawala, n'abeewaza kigambibwa ne yagamba (okwemalira ku nngambo ezitalina makulu), n'okubuuzabuuza, n'okwonoona emmaali."[53]

  • Okumugondera n'okukola byalagidde, n'obutamujeemera ebbanga ly'amala nga talagidde kujeemera Allah, naye bwabeera alagidde okujeemera Allah tagonderwa olw'ensonga nti okusiimisa Allah kukulembezebwa ku ye, era ekyo tekitegeeza nto osiwuke empisa gyali omuboggokere, oba omuvume… nedda wabula olina kumukwata mpola era ogezeeko okumwagazisa, era omunnyonnyole n'obuwombeefu n'obukwata mpola, nga Allah bwagamba mu kitabo kye nti: {Naye bwe baba (bakadde bo) bombiriri bakunyiikiddeko bakuwaliriza okungattako ekyo ky'otolinaako kumanya, olwo tobagonderanga; wabula era beeranga nabo mu nsi nga obayisa buungi, era ogobererenga ekkubo ly'oyo ayeenenya, n'adda gye ndi. Oluvannyuma gye ndi y'eri obuddo bwammwe, ne ndyoka mbategeeza ebyo bye mwalinga mukola.} Essuula Lukumaani: 15.
  • Omulezi waffe Allah yafuula kw'abazadde nga kwe kusiima kwe okusobola okulaga obukulu bw'okubangondera, n'okusunguwala kwe kusinziira ku busungu bwa bazadde. Abaana basobole okutegeka obulamu obweyagaza omutali kubannyiza… agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: " okusiima kwa Allah kuli mu kusiima kw'amuzadde, n'obusungu bwa Allah buli mu busungu bw'amuzadde."[54]

Okugondera abazadde nsonga eyingiza omuntu ejjana, n'okubannyiza n'okubajeemera nsonga eyingiza nannyini yo omuliro. Agamba Anasi nti omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yabuuzibwa nti: mazambi ki agasinga obunene? N'agamba nti: " Okugatta ekintu ku Allah, n'okujeemera abazadde, n'okutta omuntu, n'okuwa obujulizi ku bulimba."[55] Ne mu Hadithi eva ku Ibun Umaru agamba nti: yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti:" okusiima kwa Allah kuli mu kusiima kwa muzadde, n'obusngu bwa Allah buli mu busungu bwa muzadde."[56]

Ne mu hadithi eva ku Abii Dardaa agamba nti: Nnawulira omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga agamba nti: " omuzadde gwe mulyango gwe jjana ogusinga obulungi, wekumire kubazadde bo oba biveeko."[57]

  • Obusiraamu bukulembeza okugondera omuzadde ku kukukola emirimu egya ssunna nga okusaala ssuna n'ebirala. Abu Huraira agamba nti, omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yagamba nti: " Abaana abayogerera mu kibaya bali basatu bokka, Isa mutabani wa Mariyamu, ne mubaana ba izirayiri mwalimu omusajja nga ayitibwa Jurayiju, nga musanza Allah nnyo, yazimba akasiisira mwasinziza Allah, lumu Maama we yajja namuyita nga ali mu swala. N'agamba nti: Ayi Allah ndi mu swala ate Maama azze!! N'asigala mu swala ye. Enkeera Maama we n'akomawo n'amuyita era nga ali mu swala, naddayo. Olunaku olw'okusatu Maama we n'akomawo era nga ali mu swala, namuyita nga tayanukula. N'amusabira nti Ayi Allah tomutta okutuusa nga atunuddeko mu byenyi bya bamalaaya abeetunda… abantu nebayitiriza okwogera ku Jurayiju n'engeri gyasinzaamu Allah, waliyo malaaya nnalulungi eyali yetunda, n'agamba nti: bwemwagala nsobola okumubakemera, n'agenda gyali, Jurayiju namwewala wadde okumutunulako, najja n'ayenda ku mulaalo eyali abeera mu kasiisira ka Jurayiju n'amufunisa olubuto, bweyamala okuzaala n'agamba nti omwana wa Jurayiju. Nebajja nebamenya akasiisira ke nebamujjayo, nebatandika okumukuba: n'ababuuza nti lwaki mukola ekyo? Nebamugamba nti: wayenda ku malaaya ono n'omuzaalamu omwana. N'ababuuza omwana aliwa? Nebamuleeta. N'abagamba mundeke nsooke nsaale… n'asaala, bweyamala okusaala najja ku mwana, nafumita mu lubuto lw'omwna nga bwamubuza nti: mwana ggwe, ani kitaawo? Omwana n'agamba nti: gundi omulunzi. Nebajja ku Jurayiju nebamunywegera, nga bwebamusiimulako okufuna emikisa, nebamugamba nti: katukuzimbire akasiisira ko mu Zzaabu. N'agamba nti nedda, mukazzeewo nga kattaka nga bwekabadde. Nebkazzaawo." [58] era nga bwebwakulembeza okugondera omuzadde ku kulwana mu kkubo lya Allah. Abdullah bun Amri Bin al-Aaswi Allah asiime ku bombi yagamba nti: " omusajja yajja ewa Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye n'agamba nti: " nkuwa obweyamu nti nja kusenguka naawe, n'okulwana mu kkubo lya Allah nga nnonya mpeera okuva eri Allah. Nnabbi namubuuza nti olina omu ku bazadde bo akyali omulamu? Naddamu nti: ye bombi webali. Namubuuza nti oyagala empeera okuva eri Allah? Naddamu nti: ye. n'amugamba nti dda eri bazadde bo olongoose gyebali (obalabirire)."[59]
  • N'olwokwagala okukubiriza omusiraamu okufaayo eri bazadde be, Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yannyonnyola nti okugondera abazadde kimu kunsonga Allah kwasinziira okwanukula edduwa z'omuddu. Agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " Abasajja basatu mwabo abaabasookawo b'agenda nebeewogoma mu mpuku, olwazi neruyiringita okuva ku lusozi neluziba omumwa gwempuku. nebeegeya nebagamba nti: tewali kiyinza kubataasa nekijjawo olwazi luno okujjako nga mukoowodde Allah nga mukulembeza emirimu gyammwe emirungi. Omu kubo n'asaba nti: " Ayi Allah nnalina bazadde bange nga bakuze mumyaka, nnali ssikulembeza mukyala wange wadde abaana wadde emmaali ku bazadde bange, nenkerewa lumu nenzirayo nga beebase, nenngenda nenkama amata gaabwe gebanywa ekyeggulo, nensanga nga beebase, nessaagala kukulembeza bantu bange ku bbo, wadde emmaali, nensula nga nsitudde ekyonzi mu ngalo zange nenninda mpaka bwebanaazuukuka, mpaka emmambya bweyasala, nebazuukuka nebanywa ekyeggulo kyabwe... Ayi Allah bwembeera nga nnakikola kululwo tutaase mu kino kye tuliko otujjirewo ejjiji lino. Olwazi neluseseetuka naye nga tebasobola kuyitawo….. "[60]
  • Obusiraamu bwafuula okugondera abazadde nga nsonga esonyiyisa amazambi. Hadithi nga eva ku Abdullah bin Umari Allah abasiime bombi agamba nti: omusajja yajja ewa Nnabbi namubuuza nti: owange omubaka wa Allah, nakoze ezzambi eddene ennyo, nninayo omukisa gw'okwenenya? Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye n'amugamba nti: " olina bazadde bo?" naddamu nti nedda. N'amubuuza nti olinayo maama wo omuto (muganda wa maama wo)?" n'agamba ti: ye. Nnabbi n'amugamba nti: " oyo gwobera ogondera." Ibun Hibbaan (435). Olw'ensonga nti maama omuto ali mukifo kya maama, olw'ekigambo kya Nnabbi ekigamba nti: " Maama omuto ali mukifo kya Maama."[61]

Obusiraamu era okugondera abazadde nga nsonga ya lubeerera okutuusa n'oluvannyuma lw'okufa kwabwe. Abu Huraira agamba nti: yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " omuntu bwafa emirimu gye gyonna gikutukawo okujjako ebintu bisatu, saddaaka ekulukuta, oba okumanya okugasa abantu, oba omwana omulongoofu asigala nga amusabira." Musilimu.

 

 

Ebyetaago by'omukazi nga omu mubakazi.

Obusiraamu bwalaalika okuyisa obulungi omukazi, agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " omukkiriza eri mukkiriza munne balinga omuzimbo, buli omu agumya munne, nayingiza (n'agatta) engalo mu zinnaazo." [62]

  • Omukazi bwabeera senga oba maama omuto, oba nga wakumpi, abeera mu b'ennganda Allah beyalagira okuyunga, era neyewerera akutula oluganda okumubonereza n'ebibonerezo ebinene. Allah agamba nti: {Abaffe olwo musuubira nti bwemunaaba mwe muzze ku bukulu (mmwe mufuga) nti mujja kwonoona mu nsi mukutule n'ennganda zammwe?} Essuula Muhammad: 22.

Agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: " tagenda kuyingira Jjana omuntu yenna akutulawo oluganda."[63]

Era omusiraamu ayunga aluganda asasulwa empeera za mirundi ebiri, agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye:" okusaddaakira kateeyamba ebeera saddaaka ya mulundi gumu, ate okusaddaakira omuntu wo ow'okumpi saddaaka ya mirundi ebiri, ebeera saddaaka n'okuyunga oluganda."[64]

  • Ate omukazi bwabeera mulirwana abeera alina obuvunanyibwa bwa mirundi ebiri, obuvunayizibwa bw'okubeera musiraamu munno, n'obuvunayizibwa bw'okubeera mulirwana. Allah agamba nti: {Musinze Allah, era temumugattamga n'ekintu ekirala kyonna; n'eri abazadde bombiriri mwelongoose, ne ku b'oluganda, ne bamulekwa, n'abanaku, n'abemiriraano ab'ennganda, n'abemiriraano ab'ebbali (be muliraanya amayumba), ne munno ow'ebbali n'omutambuze oyo akutuse ku bantu b'ewaabwe, n'oyo gwe gya} Essuula Annisaa: 36.

Kikakata eri abeemiriraano okulongoosa eri omukazi oyo, n'okuyambagana olubeerera okumumalira ebyetaago bye n'okubeera mu nsonga ze, n'okumuyambako mubwetaavu bwe, agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: "Jibriilu teyalekayo kunnaamira mulirwano okutuusa bwennalowoza nti anaamuteeka mu basika."[65]

Era nga bwekikakata okumutaasa ebimukosa, tagambibwa bigambo bikosa, wadde okumuyisa obubi. Agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: " Ndayira Allah (wallahi) tayinza kubeera mukkiriza mujjuvu, wallahi tayinza kubeera mukkiriza mujjuvu, wallahi tayinza kubeera mukkiriza mujjuvu, nebamubuuza nti: ani owange ggwe omubaka wa Allah? N'agamba nti: " oyo mulirwana we gwatawona kumukosa."[66]

  • Obuvunanyizibwa bw'omukazi buli okukuumibwa, okuwereza n'okumala ebyetaago bye bibeere kibeere kuvuganya eri abasiraamu. Okunonya abakyala abeevaatu okubamalira ebyetaago byabwe kiri mu mirimu emirungi, agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " omuntu eyettanira okuyamba bannamwandu n'abeetaavu, afaananako nga atabaala mu kkubo lya Allah, oba omuntu asaala ekiro kyonna n'asiiba emisana." [67]

Abagoberezi ba Nnabbi Allah abasiime baali balondoola nnyo embeera ya balirwana baabwe okusingira ddala abeetaavu mubo naddala abakazi, Twalhat Allah amusiime yagamba nti: " Ekiro kimu Umaru nga mukulembeze w'abakkiriza yafuluma nemmugoberera, nayingira mu maka agamu oluvannyuma nayingira mu Malala, bwebwakeera nenngenda nennyingira mu nnyumba eyo nensanga mu omukazi omukadde nga muzibe na tasobola kutambula. Nemmubuuza omusajja eyayingidde wano ekiro yabadde akolaki? Nagamba nti omusajja oyo yandabirira mu buli kimu, okumala ebbanga bweriti nebweriti, yampa byenjagala, nayera enju yange, najjawo obukyafu bwange. Twalhat nagamba nti: " abaffe obumogo bwa Umaru bulondoolwa?"[68]

Oba olyawo tugezezzaako okulaza kubuvunayizibwa obukakata eri omukazi, newankubadde wansi wabwo ate waliyo ebirala bingi nnyo, tubilese lwakutya kuwanvuya… naye wano omusomi wange ow'ekitiibwa ebimu ku by'okulabirako ebitangaaza ekifo obusiraamu kyebwawa omukazi, tekibaangawo wadde tekiriiwo olwaleero ekitiibwa ekyo okujjako mu busiraamu mwokka.

 

 

EBIMU KU BYEKWASO KU BIKWATAGANA N'OMUKAZI MU BUSIRAAMU.

Nga bwetukyayogera ku mukazi mu busiraamu, kyetaagisa okulondayo ku bimu ebitambuzibwa nga babyekwasa nti obusiraamu tebwawa mukazi ddembe, nga bagendereramu okukkakkanya obusiraamu, n'okwonoona ekifaananyi kyabwo ekirungi, kyebwakuumira omukazi omusiraamu okuva bwebwalabikawo, wamu n'ekitiibwa kye, nensa…

Mazima ansonga ezekwasibwa kubikwata ku mukazi ne ddembe rye mubusiraamu nga bayita mu kawefube gwebakola mu kuteekateeka emisomo, n'okubangula abantu mu nsonga eyo birina ebigendererwa ebyekusifu byebiruubirira mu bbanga eppanvu.. era tebagendereramu kuwa mukazi ddembe nga bwebakyogera, era ssimanyi nsonga lwaki tebogera ku ddembe rya baana, wadde abalema, n'abatalina mirimu, nabwekityo abantu abalala abakkakkanyizibwa mu ddini zaabwe abakazi n'abasajja, oba abo abanyigirizibwa mu bulamu bwabwe, ssi nakindi ettaka lyabwe neribbibwa nebagobebwa ku lyo mu nsi yonna. Bateekateeka enkunngaana n'emisomo egiraalika baakanywa musaayi okubaddiza eddembe lyabwe eryabaggibwako, era lwaki bafaayo nnyo okwolesa ebyo byebakakasa nti abatamanyi baloworeza obusiraamu bubi mubyo, nebatafaayo kwolesa birungi bya busiraamu ebirambulukufu. Ebimu ku bireeta ekyo mu bufunze:

  • Okuwugula abantu abasiraamu n'abatali basiraamu nti kwebyo byebateekateeka okwekkusa n'okutuukiriza ebigendererwa byabwe bokka, era mubigendererwa byabwe mulimu okuwugulaza abantu okudda kunsonga zebagejjesa nti za nkizo nnyo, wabula nebaleka ensonga enkulu ezisinga ebyo. Ffe abasiraamu tukakasa nti ezo ensonga ssi zeezirina okusaasanyizibwa nga bwekikolebwa, kubanga obusiraamu bwazisomesa dda era bwazinnyonnyola bulungi, naye bbo beefuula ababuulirira abantu n'okubasomesa ensonga entuufu, era mbu bataasa ddembe lya mukazi basobole okumatiza omukazi awagire enkola yabwe, olwo omukazi afuuke nga bwolaba empiki za cheesi, nti bazitambuza nga bwebaagala, era basobole okufuula omukazi akatego ku buli gwebagala okuvuba, adde ku luuyi lwabwe.
  • Okwagala okusaasanya obwonoonefu mu bantu, kubanga ekitundu ekisaasanyemu obwonoonefu kyangu okufuga, n'okubba eby'obugagga byabwe, okukulaakulanya abalabe baabwe ne bakirimululu mu bbo, olw'ensonga nti ensa ezandibadde zibataasa okwedibaga zonna zibeera ziweddemu… omukenkufu Henry Makow agamba nti: " olutalo lwa bazungu ku bawarabu lwa byabufuzi, byankulakulana, nampisa (buwangwa), olw'nsonga nti luluubirira byabugagga bya basiraamu, mpozzi n'okubasuuza eky'obugagga kyabwe ekisinga nga nayo y'eddiini yabwe, obubangufu bwabwe, n'empisa zaabwe, n'okyusa abakyala abalina ensa naabo abayita obukunya n'abedibaga."[69]

Okufaayo eri omukyala bwebabeera boogera mazima tekikoma ku kusaba ddembe rye ku gy'obuvubuka, mabula bwagisukka nasuulibwa ttayo!! Kale batulage eddembe ly'omukyala ng'afuuse Maama, ne ddembe rye nga akaddiye mwasanidde okufiirwako ennyo. wabula bwo obusiraamu bufaayo okumulabirira naddala nga akuze mu myaka olw'okwenyagira empeera. y'ensonga lwaki olaba enyumba z'abateesobola abakazi ziri buli wamu mu nsi ezo ezeefuula nti zifaayo ku ddembe ly'abakazi. Ye buvunanyizibwa ki obusinga obwo Allah bweyateeka awo okusasulirako empeera ababutuukirizza, era n'okubonereza oyo abeera tabutuukirizza? Bw'obugerageranya kwobwo obunyakulwa obunyakuzi nga bayita mu mateeka amajingirire, singa amateeka gabulawo olwo tewabeera ddembe n'obuvunanyizibwa busuulibwa, nze era ssewunya lwaki ebifananyi by'abawala abalungi byebisaasanyizibwa mu mawulire nebeerabira oba nebeewussa, obutateekamu bakuliridde mu myaka oba abo abatali balungi, abaffe bonna ssi bakazi? Oba bakakozesa nga katego okukwasa bebaagala, oba kukola katale ku byettuunzi, naye nga bayita mu nngombo y'okutaasa ekitiibwa ky'omukazi??!!

  • Effutwa n'obukyayi obuli mu mitima gy'abagoberezi ba madiini amalala elyolekedde obusiraamu n'abasiraamu. Sameul Zoymery akulira ebibinja by'enjiri y'obukurisito yagamba mu Seminaliyo ya Kudusi eyaliwo mu mwaka 1935AD nti: " Enjiri y'obukulisito ekolebwa ensi z'abakulisitaayo mu mawanga agagoberera enkola ya Muhammad, tegenderera mu kukyusa bagoberezi ba Muhammad bafuuke abakulisito, kubanga okubakyusa tubeera tubawadde bingi n'ekitiibwa, wabula ekigendererwa kyammwe, kubajja ku busiraamu basigale ttayo, nga tebalina kakwate konna ku Allah… olwo basigale mukyangaala, nga tebalina mpisa za buntu, ezo eziyimirizaawo amawanga…. Eramwekyo mulafuubane mubeere abafuzi ba matwale mu matwaale g'obusiraamu.

Omulala yagamba nti: " singa tusobola okufulumya omukyala mu mikono gyabwe, oba singa tusobola okumufuna netumunyweza, tujja kusobola okutuuka kubigendererwa byaffe." Naye ekyebuuzibwa ekiruburirwa kyabwe kyekiriwa??? Tewali kirala kyonna okujjako okusaasanya obwononefu okusobola okufuga amatwale n'abantu, era ebyo byebasaasanya baagala kubijjisa kifaananyi kya busiraamu ekituufu, obusungu n'obulabe bwebakola tewali gwebabukolera okuleka abasiraamu n'obusiraamu. Era mazima Allah ayogera mazima bulijjo oyo eyagamba nti: {era tebajja kukusiima abayudaaya wadde abakristaayo okutuusa mpozzi nga ogoberedde ediini yaabwe. Bagambe nti: Mazima okulunngamya kwa Allah bwe bulunngamu (obutuufu). N'olwekyo bw'onooba ogoberedde okwagala kwabwe oluvannyuma lw'okumanya okukutuseeko, olwo on'oba tolina muyambi oba omutaasa eri Allah.} Essuula Bakarat: 120.

  • Ekiruubirirwa kyabwe mukusaasanya okwekwasa kwabwe kunsonga z'omukazi buli kaseera, kwekusobola okumujjako ekitiibwa kye n'ensa ze, n'okumukozesa ebyambyone n'okufuuka kirereesi, nga bayita mu kufuula omukazi omuzungu eky'okulabirako eri abalala, buli mukyala asoma ekitabo kino yebuuze era yesalirewo okusinziira ku ntegera ye, abeere musiraamu oba ssi musiraamu… Abaffe embeera y'omukazi mu bazungu olwaleero, yeyagaza oba enakuwaza?!

Omukenkufu Henry Makow agamba nti: " omuwala omumerika awangaala mu bulamu obutabangufu, nanti agenda okufumbirwa nga abasajja abasoba mu kumi nga bamumanyi akawonvu n'akagga, olwo natasigaza katiibwa konna ate nga bambi ekyo kyekisikiriza abasajja okuwasa abakazi, bambi n'asigalirawo ttayo nga tasobola kubeera na mukwano mutuufu… omukazi mu Amerika yesanga nga yeyisa mu mbeera z'ekisajja, ekyo nno kimufuula ow'obulabe, asobeddwa, atasobola kufuuka muka musajja, oba ssi kyo nafuuka ow'okumalirako obumalizi ekyetaago, ssi lwa mukwano wadde okuzaalira omusajja abaana. Mazima omukazi okubeera Maama y'ensibuko y'enkulakulana y'obuntu, era kkubo eritutaasa okutwalibwa eby'okweyagala netubeera abaddu ba Allah abatuufu… era ssomo erabulamu bupya, wabula yo enkola y'ensi kwetambulira olwaleero, twetwagaliza kutuuka mu bulamu obwettendo obwo, wabula eyagala buli omu asigale bwannamunigina, buli omu nga ali yekka, ne njala ye ey'obwagazi, olwo batukyuszeemu ebifaananyi eby'obuseegu ekifo k'okuwasa.

Mazima buli muntu alina amagezi akimanyi bulungi okuwebuula omukazi kyekitegeeza, ebbanga omukazi lyamala nga asigazza ensa obulungi bwe bumutuusa wangi, wabula bwasuula ensa n'obulungi bwe akasukibwa nga bwolaba omuntu arya ekibala nakasuka ensigo, mazima abajjira mu kifaananyi ky'okumutaasa baagala kumufuula kya ttunzi, agulwa era natundibwa mu mikutu gyebempuliziganya nga amawulire ne radiyo n'ebirabwako, asobole okusanyusa abasajja n'okubamalira obwetaavu bwabwe. Mazima abo beebasudde omwana ow'obuwala, nebakwenyakwenya omukyala, nebalemaza Maama, nebakotoggera omuwala mu buvuvuka bwe. Mazima abo bbo beebamenyewo eddembe ly'omukazi, nebamujjako ebyetaago bye, nebamusuula mu kuzikirira… abantu nga abo bayimirira wa ku kigamba kya Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye eyagamba nti: " mulaamire bakyala bammwe okulongoosa."

Omukyala watuuse mu bazungu mu ddembe eritalina kkomo kyava ku nkola y'ekkanisa mu mirembe egy'omumasekkati bweyali nga eryazamaanya abakazi n'ebajjako eddemde lyabwe, n'okukkakkanya obuntu bwe, olwo baakirimululu nebakozesa akakisa ako okulwanisa abantu n'obukulembeze bwe ddiini bagunjeewo omulembe omupya ogutalina bigendererwa basobole okuguvuga nga bwebaagala. Naye bwo obusiraamu tebulyazaamanya era tebukotoggera byetaago bya mukazi, wabula yenkanankana n'omusajja mu buli kimu okuleka ebyo obusiraamu byebwasukkulumyamu omusajja, nabwekityo okusinngana okuli wakati w'abakazi n'abasajja, nga buli omu bwakakasa nti omusajja ayakuwukana n'omukazi mu butonde nabwekityo okusinngana kunsinziira ku nsibuko eyo.

Dr. G. Lebon agamba mu kitabo kye (enkulakulana y'abawarabu): " bwetubeera twagala okulaba butya Kur'ane bweyakyusa embeera y'omukazi, tuteekeddwa kutunuulira ekiseera enkulakulana y'abawarabu weyakyakira, kyeyoleka bulungi nga abawandiisi b'ebyafaayo bwebatugamba nti baalina ekitiibwa olwareero kyolaba nga bannabwe mu bulaaya bakyegattako, era mazima bulaaya yakoppa ku bawarabu entandikwa y'okuwonga embalaasi n'ebifaana ebyo nga mwemuli n'okuwa omukyala ekitiibwa, n'olwekyo obusiraamu bwebwasitula ekitiibwa ky'omukazi so ssi bukulisitaayo, nebumujja wansi gyeyali okwawukana ko neppokoppoko atambuzibwa. Bw'otunuulira embeera y'abakurisitaayo abaasooka mu myaka egy'ommasekkati tebaafaayo ku kitiibwa kya mukazi, bwotunula mu bitabo by'ebiseera ebyo onokolayo ekimalawo okubuusabuusa ku nsonga eyo, era omanya nti mu biseera byenkola ya federo, baali bakambwe nnyo ku bakazi nga abakurisitu tebannaba nakuyiga nkwata y'abakyala bulungi..."

Omuntu alinamu akatoola takkiriza kitiibwa kye kufuuka kya ttunzi emisege (abantu ab'emirulu) gyekigenda okutaaguula, abantu abo abatalina kiruubirirwa okujjako okwekkusa okufaananako nga ebisolo, nabwekityo buli mukazi alinamu akategeera, nga alina ensa tasobola kukkiriza kufuulibwa kya ttuunzi, atundibwe atyo, oba okufuuka ekimuli buli ayagala awunyako n'agenda, yegabangule eri buli ayagala oluvannyuma asuulibwe nga olugoye oluyulifu, mazima ensomesa y'obusiraamu nnambulukufu era njerufu, ekwatagana n'obutonde wamu n'amagezi ag'obuntu mu kukuuma buli kinnoomu. Enjigiriza eyo esomesa buli muntu okwelondoola okuzimbiddwa ku kwagarizagana ebirungi, obusiraamu bulera abagoberezi baabwo okwekuuma, obuyonjo, n'okwewa ekitiibwa, era bubasomesa ensomesa ennunnggamu ezimbibwa nga bwetugambye ku kwelondoola okwa buli kinnoomu, munkola eyo busobola okutereeza empisa zaabwe, kulw'okwagala kwa Allah. Ono swahaaba omuvubuka eyajja ewa Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nagamba Nnabbi nti: Owange omubaka wa Allah, nze mpa olukusa (onzikirize) okukola obwenzi!!! Abantu nebamukambuwalira nga bamugamba nti; ssirika, ssirika. Nnabbi nagamba nti: "mumusembeze wano" bweyasembera waali n'atuula Nnabbi n'amugamba nti: oyagala kikolebwe ku nnyoko? Naddamu nti: nedda wallahi Allah anfuuleomusingo gwo owange omubaka wa Allah. Namugamba nti: " nabwekityo abantu tebakisiima ku ba nnyabwe" n'agamba nti

: oyagala kikolebwe ku muwalawo? Naddamu nti: nedda wallahi Allah anfuule omusingo gwo owange omubaka wa Allah. Namugamba nti: " nabwekityo abantu tebakisiima ku bawala baabwe", n'agamba nti

: oyagala kikolebwe ku mwannyoko? Naddamu nti: nedda wallahi Allah anfuule omusingo gwo owange omubaka wa Allah. Namugamba nti: " nabwekityo abantu tebakisiima ku bannyinaabwe", n'agamba nti

: oyagala kikolebwe ku sengawo? Naddamu nti: nedda wallahi Allah anfuule omusingo gwo owange omubaka wa Allah. Namugamba nti: " nabwekityo abantu tebakisiima ku basengaabwe", n'agamba nti

: oyagala kikolebwe ku maamawo omuto? Naddamu nti: nedda wallahi Allah anfuule omusingo gwo owange omubaka wa Allah. Namugamba nti: " nabwekityo abantu tebakisiima ku bamaama baabwe abato", agamba nti oluvannyuma Nnabbi yakwata mu kifuba kye n'amusabira nti: Ayi Allah sonyiwa ezzambi rye, omutukuze omutimagwe, okuume n'obwerere bwe, okuva olwo omuvubuka teyaddamu kumaggamagga. [70]

 

 

Ebimu ebibuzaabuza (byebekwasa) ebisaasanyizibwa

1- Okuwasa abakazi abasukka omu:

okuwasa abakazi abangi tteeka lya Katonda, omuntu yenna akkiriza Allah n'ebitabo ebyava mu ggulu tasaanidde kuliwakanya oba okulilwanisa. Okuwasa abakyala abasukka omu nkola ya Nnabbi era ngabwekiri mu ddiini ezaasookawo, tekisookedde mu busiraamu mwokka, wabula nkola emanyikiddwa n'eri abakkiririza mu bitabo ebyasooka nga Tawuraati ne Injiiri. Bangi ba Nnabbi abatumwa okukulembera Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, nga bawasa abakyala bangi oluusi nga tewali na kukomeka muwendo, Ono Ibrahiimu okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yawasa abakyala babiri (2), Yakubu okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yalina abakazi bana (4), Sulaiman okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yalina abakazi bangi nnyo, n'abalala. N'olwensonga eyo okuwasa abakazi abasukka omu kyava dda nnyo…

 

Mu Tawraat:

ndagaano enkadde mu kitabo ekitukuvu eri abayudaaya;

Omukazi tagattibwa na muganda we mu ddya, alame kuzuula bubi bwe mu bulamu bwe. Tawraat teyaziyiza kuwasa bakazi bangi, wabula yagaana kugatta mukazi na muganda we mu ddya.

Mu samweri kyayogerwa nti Nnabbi Dawuda okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yawasa abakazi bangi nga ojjeeko abazaana.

Ne mu Bassekabaka, Sulaiman okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yalina abakazi lusanvu (700) n'abazaana bisatu (300).

Musa okusaasira n'emirembe bibeere ku ye bweyatumwa yasomesa abasajja okuwasa abakazi bangi era teyakomeka muwendo gw'abakazi okutuusa abaana ba Israeli mu muzikiti okutukuzibwa bwebeekomeka omuwendo ogumanyikiddwa, newankubadde abamanyi abamu mubo baagaana okuwasa abakazi abangi, abalala nebakikkiriza olw'obulwadde bw'omukazi obugumba bwe.

 

Injiil:

Isa (yesu) okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yajja kujjuliriza ddiini ya Musa okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, era mu injiili temwalimu tteeka ligaana kuwasa bakazi basukka kw'omu.

Era kabaka Erilander dither Met yalina abakyala babiri (2), nga Wester Mark bweyawandiika. Ne kabaka Fredrick II yalina abakazi babiri (2) era ekkanisa yakkiriza obufumbo obwo, nekituuka ekiseera nga emizizo n'ebiragiro tebikyali bya ddiini ya bukurisitaayo wabula nga biri mu mukono gya buweereza bwaa kkanisa.

Martin Luther omujamani eyatandikawo enzikiriza y'obuporostante yakitwala nti okuwasa abakazi abasukka omu tekikontana na Maeeka ga bukurisitaayo, era nga akubiriza abantu ku buli mukolo bawase abakazi abasukka omu. Yagamba ku nsonga eyo: " kituufu Katonda yakkiriza abamu ku basajja mu ndagaano enkadde mu mbeera ezeeyawulidde, wabula omukurisito ayagala okugoberera enkola yaabwe alina eddembe okukikola singa akakasa nti ddala embeera efaanagana n'embeera yaabali, era tewali kubuusabuusa nti okuwasa abakazi abasukka omu kisingira wala nnyo okugoba omukazi."[71]

Mazima okuziyiza okuwasa abakazi abasukka omu mu bukurisitaayo kyava kumateeka agagunjibwaawo abaweereza be kkanisa, wabula tekiri mu nsibuko y'enzikiriza y'ekikurisitaayo. Ekyokulabirako ekkanisa ekulirwa Papa Rooma, eziyiza okuwasa abakazi abasukka omu;

  • Abasoddokisi tebakkiriza mufumbo kugenda mu bufumbo bwakubiri singa obusooka bukyaliwo.
  • Abasoddokisi Abe Arama tebakkiriza bufumbo bwakubiri okutuusa nga obusooka busaziddwamu.
  • Abasoddokisi beRooma bakitwala nti okubeerawo kw'obufumbo kiziyiza okuyimirizaawo obufumbo obupya.

 

Abawarabu Nga Nnabbi tannaba kutumwa (mu kiseera ky'obubuyabuya).

Okuwasa abakazi abangi kwali kwasaasaana mu bika by'abawarabu mu kiseera ky'obubuyabuya nga tekuliiko kkomo, wabula nga omusajja awasa omuwendo gw'abakazi bonna baayagadde.

N'emisiri okuwasa abakazi abangi kyaliyo kuva dda, nabwekityo mu bufalisaawo, mu bashuuriya, n'abajapani, n'abayindi, era nga bwekyali mu barasha, ne mubika b'abajurumaan, so nga n'abamu ku bakakaba ba buyonaan byakikola nga. N'olwensonga ezo kyeyuleka bulungi nti okuwasa abakazi abangi ssi kintu kipya mu busiraamu bwokka, wabula kyakolebwa okuva edda mu mirembe mingi egyayita, obusiraamu bwakitwala mu maaso, wabula nebuteekako obulombolombo n'amateeka, nga obumu mu bulombolombo mulimu bino wammanga:

  1. Obutasukka bakazi bana (4), olwa hadithi eva ku Ghayilaani bin salamat athakafi, yasilamuka nga alina abakyala kumi (10) Nnabbi n'amugamba: " sigazaako bana mu bo."[72]
  2. Okwenkanya wakati w'abakyala: Allah bweyakkiriza okuwasa abakazi abangi yalagira okwenkanyankaya era n'aziyiza okulyazaamanaya nekyekubira wakati w'abakyala. Agamba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: " omusajja bw'awasa abakazi babiri natenkanya wakati wabwe, agenda kujja ku lunaku lw'enkomerero nga oludda lwe lulema."[73]

Okwenkanyankaya kigendererwamu ebintu ebiwebwa omukazi, n'okulabirira, n'ebisulo. so si mukwano, n'okwagala kw'omutima kubanga ebyo temuli zzambi kubanga omuntu takifuga, wabula talina kukigenderako n'alemwa okuwa abakazi abalala ebyetaago byabwe. Nga Aisha Allah asiime ku ye nga bweyagamba nti: " Nabbi yali agabanya ebisulo wakati wa bakyala be mu bwenkanya, ate oluvannyuma n'asaba n'agamba nti: " Ayi Allah bwentyo bwengabanyizza ku kyenfuga, nkusaba tonvunaana kwekyo kyofuga nze kyessifuga."[74]

  1. Okubeera n'obusobozi okulabira omukyala ow'okubiri wamu n'abaana be. Bwakimanya nti talina busobozi obwo tekimugwanira mu mbeera eyo kwongera kuwasa.

Katulage mu bufunze embeera ezimu ezitabula mu bantu mu kitundu yonna gyebawangaalira, era oluvannyuma tulabe oba okuwasa abakazi abangi kyamugaso oba kikosa ebitundu gyetuwangaalira?!

  1. Obugumba. Omukyala okubeera omugumba wabula nga omusajja ayagala okuzaala abaana. Abaffe ekisinga obulungi eri omukazi kyekiriwa? Kumwongerako mu mbeera eyo oba kumugoba nga talina kyakoze asobole okufuna omulala anaamuzaalira abaana?
  2. Omukazi alwadde okusannyalala nga takyasobola kutuukiriza buvunanyizibwa bwa bufumbo, ekisinga obulungi gyali kyekiriwa? Abaffe okumuwasizaako abalala n'akumibwa ekitiibwa kye, oba agobebwe, oba omusajja afuneyo abakazi ebbali?
  3.  Abasajja abamu balina amaanyi, nga omukazi omu tabakkusa, oba nembeera z'abakyala eza buli mwezi, ne nifaasi asukka ebbanga erimanyikiddwa, oba okubeera ow'olunnyu nga tasobola kukkusa bba, ekisinga obulungi gy'ali kyekiriwa? Amuwasizeeko oba afuneyo baakiyambi ebbali?
  4. Era tewali kubuusabuusa nti entalo n'emitawaana egigwawo mu bintu mwetuwangaalira abasajja bebasinga okutwalibwa mu mbeera ezisinga, n'ekiyinza okutumanyisa ekyo ye ssematalo eyasooka, n'owokubiri ezatwalizaamu abasajja abasukka obukadde abiri, singa abasajja basigala nga buli omu awasa omukazi omu omu, abakyala abasigadde bagenda kukola batya? Abaffe tubaleke bonna baggwere mu bwezi!! Oba bawebwe akakisa okufuna essanyu mu makubo amatuufu, mwebakuumirwa ekitiibwa kyabwe, n'okuba ebyetaago byabwe, era bazaale n'abaana mu makubo akakkirizibwa singa bakkiriza nebasiima okuwasa abakazi abangi? Era tewali kubuusabuusa nti obungi bw'abakazi abeerere kiretera abasajja okugwa mu bwenzi.
  5. Okuyitirira kw'abannamwandu, n'abakyala abagobeddwa okuva mu bufumbo, nabwekityo abawala abeerere abatuuse okufumbirwa, mu mbeera eyo, abaffe eno yeesinga obulungi eri omukazi? Okusigala nga talina musajja oba kubeera wansi w'omusajja akuuma ekitibwa kye, n'amumalira en\byetaago bye, nga afumba n'omulala.

 

Abaffe okuwasa abakazi abangi kikyaliwo olwaleero mu bantu:

Yye kituufu okuwasa abakazi abangi weekiri olwaleero, lwakuba nti mu mawanga agatali g'abasiraamu bakozesa ba kiyambi abatali mu mateeka (abatali bakyala ba mpeta), era ekyo tekirina kkomo… era tekirina mateeka gakifuga. Era nga omusajja tavunanyizibwa ku bakyala abo abebbali wabula amalirako kyetaago kye kyoka, mpozzi n'okuttattannya ekitiibwa ky'oyo gwayenzeeko, n'amutikka olubuto n'ebizibu ebirala… era nga omukyala bwatavunanibwa kuzza baana eri kitaabwe eyamwenda. Wabula okuwasa abakazi abasukka omu nkola y'obusiraamu kikomeke ku bakazi bana bokka, era balina kubeera nga bali mu mateeka, omusajja akakatibwako buli mukyala okumuwa amahare ge, nabwekityo abaana abazaaliddwa mu bufumbo obwo, omusajja talina kubeewakana, era avunanyizibwako okubalabirira na buli mukyala abazaala.

Omuntu ayinza okubuuza nti; bwetuba tukkiriza abasajja okuwasa abakazi abangi, lwaki omukyala naye takkirizibwa kubeeera n'abasajja basukka omu?

Okuddibwamu: okwenkanyankanya omukazi n'omusajja mu bungi bwennamba y'abakazi baalina okuwasa tekisoboka mu butonde, ne'mbeera.

Mu butonde tekisoboka: olw'ensonga omusajja mu buli kitundu alina obuyinza okukulina amaka, olw'ensonga nti gwe mutwe omukulu mu maka… nga tulese abatono mu bakazi abalina amanyi, singa omukazi abeera n'abasajja babiri, ani abeera akulira amaka? Era alina kugondera ani anaatuukiriza ebyetaago bye? Kubasajja bonna ekyo tekisoboka olw'ensonga nti byebagaala byawukana, n'olwekyo bajja kunyiiga!

Ate okusinziira ku mbeera y'omukyala: obutonde bw'omukyala afuna olubuto, eggi lyalurwa omulundi gumu gwokka mu mwaka omulamba, era lyalulwa omusajja omu yekka okwawukanako n'omusajja asobola okubeera n'abaana ab'enjawulo mu bakazi ab'enjawulo mu kiseera kimu. singa omukazi bamukkiriza okubeera n'abasajja babiri, omwana anaabeera waani?

 

Bakafumba magezi abamu mu bazungu babanja okuwa abakazi abasukka kw'omu:

Kyetaagisa okuleetayo ku bigambo b'abazungu bakafumba magezi ababanja okuta okuwasa abakazi abasukka kw'omu, era nga bakiraba nti lye kkubo lyokka erisobola okubbulula eggwanga n'okulitaasa emize egisaasanye mu bo.

  • Filosofa ayitibwa Jostafu Lobon, mu kitabo kye " enkulakulana y'abawarabu" yagamba nti: okuwasa abakazi abasukka omu kitangira obakazi abebbali era nekigema okufuna abaana abatalina ba kitaabwe. Abaana abasuulibwa.

Mukyala Annie Besant mu kitabi kye " amadiini agaasaasana mu buyindi (136) nti: " nsoma mu nndagaana enkadde mukwano gwa mukamaoy ajjudde okwagala Katonda yali alina abakyala abasukka omu. Okwongereza kw'ekyo, endagaano empya teziyiza kuwasa bakazi bangi, okuleka ba kabona n'abakulu b'ebika, abo bebateekwa okukoma ku mukazi omu. Nabwekityo nsoma okuwasa abakazi abangi mu bitabo by'abahindu ebikadde. N'olwekyo ebyo byebagweketa ku busiraamu kiri nti kyangu okulondoola obumago obuli mu nzikiriza z'abalala n'okubwolesa, naye ekyebuuzibwa ssimanyi lwaki abazungu bafuna obuvumu okulwanisa okuwasa abakazi abangi mu buva njuba (mu buwarabu) so nga ate obwamalaaya y'enngombo eri mu nsi zaabwe? Omuntu eyekennenya tajja kusanga bagaana kuwasa bakazi bangi okujjako nga bebatono mu basajja abatukuvu, tekisanidde kugamba nti abantu bekitundu bawasa omukazi omu omu, ate nga balina abakazi eb'ebbali emabega w'olutimbe, era bwetugerageranya embeera n'obwenkanya twesanga nti okuwasa abakazi abasukka omu ekikolebwa mu busiraamu, kikuuma nekitaasa nekiriisa nekyambaza abakyala ensa, era kisingira wala nnyo obwamalaaya obukolebwa mu bazungu, abo abakkiriza omusajja okunayo omukazi nga yye wakumumalira bumalizi kyetaago, oluvannyuma n'amusuula ku kkubo wonna wamalira ekyetaago kye, bakyogera kaati nti ebyo byombi bibi! (137) wabula temukkiriza mukurisitu kunenya munne omusiraamu olw'ensonga bombi gyebakola.

 

 

2. Obujulizi omukazi bw'awa:

Ensonga ey'okubiri ku byebeekwasa, nti omukazi awa obujulizi bwankuggu. Allah agamba nti: {era mujulize abajulizi abasajja babiri nga bava mu mmwe (Abasiraamu) bwe baba nga ssi basajja babiri, omujulizi omusajja n'abakazi babiri mw'abo be muba musiimye okujuliza, kale singa singa abula omu ku bombirir, omulala ajjukize oyo ayeerabidde…} Essuula Bakara 282.

Allah atulaga mu tteeka eryo ery'ekitiibwa nti obujulizi ku bwannanyini tebuyimirirawo okujjako nga abasajja babiri bajulidde oba ssi kyo, omusajja omu n'abakazi babiri.

Okulamula kwa Katonda kulimu okulaga embeera y'omukyala nti nzibu okufuga n'okubeera nti akyuka mangu n'embeera obwo nno bwebutwa obukosa obuntu bwe, n'embeera zayitamu okusobola okutuukiriza obuvunanyizibwa obw'obutonde bwe ng okufuna olubuto, n'okuyonsa, ebyetaagisa omutima omugonvu, n'obutayagala kukosa balala, n'okufa ku muntu ennyo.

Okutandikira ddala ku kubeera nti obutonde bwe afaayo nnyo ekyo nno kyeyoleka nnyo mu byakola, ekyo kiyinza oumuziyiza okwetegereza ebigendamu maaso, n'ebikwata ku nsonga ezeetaaga okuwaako obujulizi… n'olwekyo obwenkanya bwa Katonda n'ateeka wo etteeka eriyinza okunyweza obujulizi bwe, era obujulizi bwe nebuteekebwa wala nnyo n'ensonga ez'akabenje nga okuyiwa omusaayi, kubanga mu mbeera z'okukayagana eziyinza okuvaako okuttinngana oba okwetema embale omukazi tasobola kwefuga kumalako nga atunula mpaka okutta bwekuggwa, wabula ajja kugezaako okudduka n'okukyebalama nga bwekisoboka, ekyo bwekiatasoboka, ajja kuzibiriza aleke kulaba kikangabwa ekiyinza okugwawo, olw'ensonga zetwogeddeko waggulu, era nga ekyo kiva ku butonde bwe era kikakafu kijja kunafuya obujulizi.

Newankubadde obusiraamu bwenkanya omukazi n'omusajja mu byenfuna, wabula obutonde bwe n'obubaka okuva mu ggulu bulaga nti alina kubeera waka ebiseera ebisinga obungi okusobola okuyambako omusajja okukwataganya emirimu gye, mpozzi n'okutuukiriza obuvunanyibwa bwe mu maka, ekintu ekitwala ebiseera ebingi ennyo. N'olwekyo alwawo okugenda mu bifo by'obusuubuzi era nga mwemubeera enkayana n'ennyombo ebiseera ebisinga. Era n'ennyombo wamu n'enkaayana ezibeerawo, omukazi tezimumalira biseera era tafaayo nnyo kuzijjukira nakuzimalirako birowoozo, singa abeera asabiddwa obujulizi ku zo okwerabira kusuubirwa nnyo oba okusobya mu bujulizi obwo, y'ensonga lwaki Allah yannyonnyola ensonga lwaki abakazi balina kubeera babiri mu kifo ky'omusajja. Allah agamba nti: {Abasiraamu) bwe baba nga ssi basajja babiri, omujulizi omusajja n'abakazi babiri mw'abo be muba musiimye okujuliza, kale singa singa abula omu ku bombirir, omulala ajjukize oyo ayeerabidde…} Essuula bakara:282

Ol'wokutya nti omu ayinza okusobya oba neyeerabira, naye omukazi omulala bw'awa obujilizi najjukira, ebyo byebigendererwa mu nsonga eyo so ssi nga bali bwebasuubira nti kubeera kukkakkanya mukazi, nakumunyooma. Singa kyali bwekityo obujulizi bwe bwandibadde tebutwalibwa mu nsonga ezibakwatako nga abakazi, oba ensonga ezitalabwa okujjako abakazi ebiseera ebisinga. Obujulizi bw'omukazi bukkirizibwa yekka nga tekuli mujulizi mulala ku kubeera emberera, n'okujulira ku kuzaala, n'obumogo bw'ekikazi, n'ebifanana ebyo. Wabula ate ekyewunyisa omusajja obujulizi bwe tebukkirizibwa nga ali yekka mu mbeera zonna, nebwekibeera kuwa bujulizi ku buntu obutono ennyo, eratusobola okugamba nti omukazi yasukkulumizibwa ku musajja olw'okuwa obujulizi yekka mu nsonga ezisinga okubeera enkulu ennyo n'okusinga emmaali, era obujulizi bwe buyimirirwako okubaga amateeka g'eddiini.

Omusajja obujulizibwe tebuyimirarawo bwokka okutuusa nga waliwo omusajja omulala awa naye obujulizi, era tewaliiwo n'omu yali akyasanguzza nti omusajja obutakkiriza bujulizibwe yekka kubeera kumukkakkanya, nakumunyooma.

Okw'ongereza kwekyo, okuwa obujulizi ssi kya ttunzi nti abantu basindana mu kuwa obujulizi, wabula kubeera kwetikka kazito, abantu bakyewala nnyo. Y'ensonga lwaki Allah yalagira obutadduka buvunanyizibwa bwakuwa bujulizi, yagamba Allah nti: {Era tebagaananga abajulizi bwebabanga bayitiddwa (okuwa obujulizi)…} Essuula bakara: 282.

Etteeka eryo libuna abasajja n'abakazi. Bwetumanya nti okuwa obujulizi mutawaana abantu gwebeewala ennyo olwebyo ebiyinza okuvaamu mu mitawaana, n'olwokuba nti awa abujulizi alina okubeera mu lutuula lwa kkooti, luyinza okuwanvuwa oba ekintu kyonna ekyekuusa kwekyo, mu kuzitowererwa kw'omubiri, oba obufunda bw'ensawo, obusiraamu mu ndaba yaabwo bwagala kugondeza mukazi nakumujjako mitawaana okuva mu bulamu bwe nga bwekisoboka, era nga bwebwamujjako obuvunanyizibwa obumu nga okulabirira amaka asobole okutuukiriza obuvunanyizibwa bwe obwasibwa mu nsingo ye, ebyo byonna mulimu kugulumiza mukazi so ssi kumukkakkanya.

Okwongereza kw'ekyo, omukyala obujulizi bwe bwenkanyizibwa n'obwomusajja gamba nga okusazaamu obujulizi bw'omusajja mu birayiro ebikubibwa wakati w'abafumbo, singa omusajja akasuukiridde mukyala we n'obwenzi nga talina bujulizi. Allah agamba nti: {Era n'abo abawaayiriza bakyala baabwe (obwenzi) naye ne bataba na bujulizi (bwa balala babawagira) wabula (obwabwe) bo bokka; obujulizi bw'omu ku bo (omwami oba omukyala bukkirizibwanga) bajulira (nga balayira) Allah emirundi ena, nga akakasa nti mazima ye wa boogera mazima; 7. N'omulundi ogw'okutaano (n'alayira n'agamba nti) mazima ekikolimo kya Katonda kibe ku ye bw'aba mu balimba. 8. N'ekimuggyako (omukyala) ekibonerezo kwe kulayira Allah emirundi ena nti mazima ye bba wa mu balimba (mwekyo kyamwogeddeko); 9. Ku mulundi ogw'okutaano (n'alayira ng'agamba nti): mazima obusungu bwa Allah bube ku ye bw'aba bbaawe nga wa mu boogera amazima, (ye omukazi nga alimbye).} Essuula annuur: 6-9.

 

 

3. Okwetikka obuvunanyizibwa (mu bukulembeze, oba okukulira amaka).

Allah agamba nti: {Abasajja be bayimiridde ku kulabirira abakyala ku lw'ebyo Allah bye yasinza abamu ku bannaabwe….} Essuula Annisaa: 34

Ekitegezebwamu kwe kwetikka obuvunanyizibwa mu mbeera yonna, era buno buvunanyizibwa bwa musajja bokka, kubanga enkula y'omubiri, n'entegeera y'abasajja bibasobozesa okwetikka obuvunanyizibwa, ekyo nno kya butonde, newankubadde kisobola okufunibwa mu kubangulwa mu kiseera kyekimu, olw'ensonga nti omusajja yatikkibwa obuvunanyizibwa bw'okuyimirizaawo omukazi, okumuliisa, n' okumulabirira mu buli nsonga yonna yonna nga okumukuuma, n'okumulera, nabwekityo okumuwa buli kyeyetaaga mu bulamu bwe, kubanga omusajja mulunzi ku maka ge, era ajja kugabuuzibwako, era nga Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye bweyagamba.

Naye omukazi munafu mu nkula y'omubiri gwe, olw'ensonga zayitamu ennyingi, nga ensonga zabuli mwezi, n'olubuto, n'okuyonsa omwana, tasobola mu mbeera ezisinga obungi n'obuvunanyizibwa obwo kutuukiriza bukulembeze nga bwekyetaagisa.

Haidhi (ensonga za buli mwezi): kikyusa empulira (embeera) y'abakazi, nabwekityo omubiri gwabwe, era nezinafuya omubri gwe olw'omusaayi ogumuvaamu buli mwezi.

Olubuto: omukazi afuna ensonga nyingi nga ali lubuto, gamba nga obulumi obuva ku kukula kw'omwana mu nda, olw'okuba nti omwana amunywa nnyo ebiriisa bye, naabeera mukoowu nnyo n'akantu akatono ennyo kamukosa. Oba okutya kwabeera nakwo ku mwana we ali mu lubuto, n'okwelaliikirira ebiyinza okumukosa, n'okutya ebinagwawo nga agenze mu leeba, ebyo byonna bikosa obulamu bwe, nekituuka n'okukosa enneyisa ye.

Okuzaala n'ebigwawo nga azadde: obulumi bwabeeramu, kimwetaagisa okuwummula nga tewali kantu konna kamusumbuwa, okumala akaseera akagere era nga kaawukana okusinziira ku njawulo eziriwo wakati w'abakazi.

Okuyonsa: omukazi okuyonsa omwana kitegeeza kugabana mmere gyalya n'omwana, ekitundu kigenda mu mabeere omwana ganaayonka, ekyo tewali kubuusabuusa kikosa omukazi ku bulamu bwe, wesanga nga abakazi abamu bakutuka enviiri, oba nebapeeruuka, oba nebafuna kammunguluze, oba okusinduukirira emmeeme, bwebabeera bayonsa.

Okulera omwana: okulera omwana n'ebikugoberera, n'okufaayo okumulabirira kitwala obudde bungi nnyo.

Abbaasi Mahmood Akkaadi yagamba: "omukazi yatondebwa nga alina obukwata mpola ekitali ku musajja, mazima okubeera n'omwana kyetaagisa okufuna enkwatagana wakati wabwe, n'okutwataganya entegeera y'omwana n'eyomukazi, n'enjawulo wakati w'emibiri gyabwe, era nga eyo y'ensibuko y'entegeera y'ekikazi kimuleetera okwanguwa okukyuka n'embeera mu bwangu nnyo, n'olwekyo kimukaluubirira ekyo ekyanguyira abasajja okufuga amagezi gaabwe, n'okulwanisa ebirowoozo ebibaggidde, n'okunywerera ku nsonga."[75]

Era nga omukenkufu (kabona Kuriilu) eyawangula ekirabo kya "nobel" agamba nga alaga enjawulo eri wakati w'enkula y'omukazi n'omusajja nti: " ebintu ebyawula wakati w'omusajja n'omukazi, tekoma ku njawulo eri wakati w'ankula y'amubiri nti omukazi alina omusajja byatalina, enda, n'okufuna olubuto, era tekoma ku ngeri buli omu gyalina okubangulwamu, wabula enjawulo nnyingi wakati waabwe mu mbeera z'obutonde, nga ensengeka y'emibiri gyabwe, nabwekityo baawuka mu birungo by'emibiri gyabwe bombi gyebifulumya, era nga omukazi bwayawukana ku musajja mu birungo by'omubiri ebifuluma okuva mu nsawo y'amagi ge, era mazima abasaba omwenkanonkano wakati w'omwoyo omunafu n'omusajja zino enjawulo tebazimanyi, bagamba nti bonna balina kufuna kyenkanyi mu kusomesebwa, n'obuvunanyizibwa, n'emirimu… naye omukyala mu butuufu ayawukanira ddala ku musajja. Buli kimu ku mubiri gwe kyakikazi, nabwekityo ebiyungo bye byonna. N'okusukka kwekyo enkula y'omubiri gwe, emirimu gyalina okukola nkomeke, era nga bwolaba enkola y'obwengula, omuntu talina kyasobola kukyusa kuntambula y'abwengula nebwayagala atya, nabwekityo bwetulina okukkiriza omukazi kyali tuleme kukaka kintu kyawukana na butonde bwabwe, era nabo bakkirize bewale okwefananyiriza abasajja.[76]

Wabula byo ebiyungo by'omusajja by'amanyi, okugerageranya ku by'abakyala, ekyo buli omu akiraba era tekibuusabuusibwa, abasajja bakola emirimu emizito, egikooya egyo omukyala gyatasobola ebiseera ebisinga. N'olwekyo okusinziira ku byogeddwako waggulu, kyeyoleka bulungi lwaki obukulembeze bulekerwa basjja okuleka abakazi.

 

 

  1. omugabo gw'omukazi mu by'obusika:

obusiraamu webwajja, bwawa omukazi omutemwa gwe mu by'obusika, oluvannyuma lw'okubeera nga talina mutwemwa gwonna mu byo. Eby'obusika n'olwekyo byali bya basajja abo abasobola okulwanirira ebika, n'okubitaasa kwabo abalumbaganyi… kale singa kyakoma okwo kwokka, naye baali basikirwa nga eby'obugagga ebirala, Hadith nga eva ku Ibun Abbas nga annyonnyola ekigambo kya Allah akeigamba nti: {Abange mmwe abakkiriza! Temukkirizibwa mmwe okusikiranga abakazi (bannamwandu b'abennganda zammwe) olw'empaka. Era temabaziyizanga mulyoke mugende n'ebimu kw'ebyo bye mwabawa…} Essuula annisaa: 19. Yagamba nti: baali nga omusajja bw'afa, abantu be nga beebakwatibwako mukyalawe, abamwagadde nga bamuwasa, oba nebamufumbiza, oba nebamuleka awo nga tebamufumbizza, nanti beebamulinako obuvununyizibwa n'okusinga abantu be, Allah kwekussa etteeka eryo.

Era n'amuwa omutemwa gwe mu by'obusika, Allah agamba nti: {Abasajja balina omugabo mwebyo ebirekeddwa abazadde ababiri n'abennganda, n'abakazi balina omugabo mwebyo ebirekeddwa abazadde ababiri n'abennganda, ebitoniwadde mu byo n'ebiyingiwadde, nga mutemwa omugereke} Essuula Annisa: 7

Agamba Sayyid Kutub Allah amusaasire mu kuvvunula etteeka eryo waggulu nti: "eyo y'ensibuko ebuna obusiraamu mwebwawera omukazi omutemwa gwe okufaanaka n'omusajja kati wayise ebyasa kumi n'abina (14), era nga bwe bwamukuumira bamulekwa abawala abaali balyazaamanyizibwa nga baliibwako ebyabwe, kubanga mu kiseera ky'obubuze, baali batunuulira kitiibwa kifo kya muntu mu lutalo, n'emukupakasa. Wabula bwo obusiraamu bwajja n'enkola y'obwaKatonda etunuulira omuntu nga ye, okusookera ddala ekitiibwa kye eky'obuntu era nga kyekisinga obukulu kubanga kyo tekimweyambulula mu mbeera yonna, oluvannyuma nebumutunuulira okusinziira kubuvunanyizibwa obumwetolodde mu maka, ne mu bantu okutwaliza awamu.

Agamba Allah: {Allah yabalaamira (engabanya y'emmaali y'obusika ku) baana bammwe; alina omusajja ekyenkanyi ky'omugabo gw'abakazi ababiri,…} Essuula Annisaa: 11

Kisoboka okujja mu bwongo bw'omuntu atategedde kigendererwa kya busiraamu mu kusoma etteeka lino, nti obusiiraamu bwakendeeza omutemwa gw'omuwala, era lwaki omukazi afuna kimu kya kubiri (1/2) eky'omusajja?!

Allah yalambulula okusika kw'omukazi mu bujjuvu, n'afuula obusika bwe nga bwa mitendera esatu:

  • Omutemwa gwe nga gwenkanankana nogw'omusajja.
  • Omutemwa gwe nga gwenkanankana oba nga gukkako wansi wogw'omusajja.
  • Omutemwa gwe nga gwenkana kimu kyakubiri eky'omutemwa gw'musajja.
  • Oba oli awo ayagedde okugaziwa mu nsonga eyo ayinza okutunulako mu bitabo ebirambulura eby'obusika ebigaziwa mu nsonga eyo okusingawo.

Wabula nga tetunnaba kulamula nti obusiraamu bwalyazaamanya omugabo gw'omukazi mu by'obusika oba nedda, katufuneyo eky'okulabirako ekiyinza okunnyonnyola lwaki obusiraamu bwawa omukazi kitundu kya mugabo gwa musajja:

Omusajja bwafa n'aleka omwana omulenzi n'omuwala, n'aleka emmaali, katugambe nti riyale enkumi ssatu (3000SR), omulenzi n'afuna enkumi bbiri (2000SR), omuwala n'asigaza lukumi (1000SR),.

Tutunuulire ssente ezo kyezigenda okukola oluvannyuma lwa kaseera, ku luuyi lw'omusajja n'olwomukazi; ku ludda lw'omusajja, ssente zafunye zigenda kukendeera olw'ensonga balina okumusaba Amahare (okusasula) ga mukaziwe gw'agenda okuwasa, era alina okutegeka amaka, n'okugula ebntu by'omumaka, okujjanjaba n'okulabirira omukazi n'abaana n'okubawa byebeetaaga, wabula ye omukazi tasabibwa ebyo byonna, nebwabeera mugagga nga omusajja mwavu, oba nga mulamu nga bba mugonvu.

Wabula ye omukazi yagulumizibwa, alina kwagalibwa na kulabirirwa, Teyeetikka mutawaana gwa kulabirira, nabwekityo tasabibwa kwelabirira nga ye, n'olwekyo ssente z'asikidde agenda kw'ongerezebwako bwongerezebwa, agenda kufuna amahare okuva eri bba agenda okumuwasa, nebwebabeera bawukanye omusajja alagirwa okusasula okulabirira abaana omukazi baazadde, n'okubawa buli kimu, era asobola okuzaaza ssente ze mu busuubuzi oba okukozesa amakubo amalala gonna agazaaza ssente.

N'olwekyo kyeyoleka bulungi nti omutemwa gw'omukyala gusigalawo mu bujjuvu, bwagwo nga gugwe, asobola okugukozesa singa obufumbo bubeera buganye. Naye omusajja kyagabanye kigenda kuggwawo kyonna, era kigenda kukozesebwa olw'ebizibu byagenda okwennganga.

 Amateeka g'obusiraamu gaawukana ku mateeka amapaatiike munsi yonna, ago omuli omusajja okwewakana omwana we ow'obuwala bwaweza emyaka egimanyiddwa, ate wayaggirayaggira okunonya eky'okulya nga ayita mu makubo ag'enjawulo, wabula mu busiraamu omwana ow'obuwala akakata ku kutaawe okumuliisa mpaka bwafumbirwa, olwo bba nakwatibwako ensonga ze zonna, n'ebyetaago bye n'abaana be bwebatyo. Wabula go amateeka agenkanya wakati w'omusajja n'omukazi mu busika, bwebatyo era babenkanyankanya mu kusitula obuzito bw'obuvunanyizibwa, wabula bbo abasaba omukazi yenkanenkane n'omusajja mu busika wabula omusajja n'asigala nga yeeyetikka obuvunanyizibwa yekka tekibeera kya bwenkanya, kubanga mulimu okulyazamanya omusajja nekyekubira obusiraamu kyebutakkanya nakyo.

N'olwekyo kyabwenkanya omusajja okumusukkulumya ku mukazi mu busika, wabula ye omukazi najjibwako okwetikka obuvunanyizibwa obulimu okusasanya ensimbi, ku maka n'abaana n'ebifaana ebyo. N'okwongereza kw'ekyo, tulaba nti obusiraamu bwagulumiza omukazi okumujjako obuvunayizibwa bw'okusaasanya ensimbi, nebukwasibwa omusajja, wabula ate nga tebumummye byabusika, bwamuwa kimu kyakubiri eky'omusajja, mazima ddala obwo ssi bwenkanya?

Era mu bimu ebirina okukonebwako, nti buli muntu abeere mukazi oba musajja yaweebwa omutemwa mu by'obusika, tewali asobola kumumma mutemwa gwe, n'olwensonga eyo, eddaame teririna kusukka kimu kyakusatu ku by'obugagga omufu byalese, ekyo kyakolebwa bwekityo waleke kubeerawo lukujjukujju lwonna lummisa basika eby'obugagga by'omufu wabwe, wadde obubakina. Hadith nga eva ku Amiri bun Saedi, nga eva ku kitaawe Allah asiime ku ye yagamba nti: " omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yannambulanga mu Hijja y'akasiibulo mu bulwadde obwampitirirako, nemmugamba nti:" obulumi nga bumpitiriddeko, nnina emmaali nnyingi naye tewali agisikira okuleka muwala wange omu yekka, nemmubuuza nti nsaddaakeko ebibiri byakusatu? Naddamu nti: nedda. Nenngamba: nsaddaake kimu kyakubiri? Naddamu nti: nedda. Oluvannyuma nanngamba nti: "saddaaka kimu kyakusatu, naye nakyo ndaba kinene oba kingi, mazima okuleka absika bo nga bagagga kirungi okusinga okubaleka nga baavu abasabiriza abantu, mazima buli kyowaayo nga oyagla kusiimisa Allah okisasulwa, olaba n'entongi gy'oteeka mu kamwa ka mukyala wo (nakyo osasulwa)." Bukhari (1233).

Nabbi ow'ekitiibwa n'akuumira omukazi omutemwa gwe nga ayita mu kuwabula okwo.

Okwongereza kw'ekyo kimanyiddwa omutango ab'oluganda gwebatikkibwa teguvunanyizibwa ku mukazi, wadde okusasanya ensimbi ku muntu omulala yenna, era okuliwa kwonna abasajja bebakwetikka okuleka abakazi.

 

 

  1. Omutango ogusasulwa:

Mu mateeka g'obusiraamu omutango ogusasulwa ku mukazi kimu kyakubiri kya mutango oguwebwa ku musajja ekyo nno kibeerawo mu mbeera emu yokka, singa attiddwa mu butanwa, nga temuli kuwolera ggwanga. Wabula singa attibwa mu bugenderevu omuli okuwoolera eggwanga ku mussi, singa bannannyini musaayi tebamusonyiwa, etteeka likwata ku buli mussi kyenkanyi abeere musajja oba mukazi, kabeere nga attiddwa musajja oba mukazi, kubanga bonna bantu.

Wabula okutta mu butanwa, omutakakata mutango oba olyawo ensonga lwaki omukazi asasulwa kimu kyakubiri eky'omusajja ndowooza kiva kubuzibu abalekwa bwebafuna oluvannyuma lw'okuttibwa kw'omuntu wabwe, musajja oba mukazi. Singa ssemaka attibwa mu butanwa, gagenda kufiirwa agalabirira, n'agawa ebyetaago byago, babeera bafiiriddwa buli kimu, era amaka ago geraliikiriza nnyo okusinga singa Maama yattiddwa.

Wabula ggo amaka agafiiridwa maama, kafiirwa okufiibwako kwa maama mu mbeera y'omukwano, obukwatampola, n'ensonga ezikwatagana ku mukazi abasajja byebatasobola kukola, nga nebwonasasula obuwanana bwa ssente tosobola kusasula kwagala kwa maama.

Newankubadde omutango ogwo, tegwenkana kusasula muntu afudde wabula kugezaako kugerageranya bwetaavu bw'aka nga omuntu wabwe attiddwa, awo nno kyeoleka bulungi lwaki omutango oguweebwa ku musajja kusinga ogw'omukazi.

 

 

  1. Okukola kw'omukazi:

Mazima Allah Ow'ekitiibwa yatonda omusajja n'omukazi, nateeka wakati waabwe omukwano, n'okusaasiragana, basobole okukulalulanya ensi eno. Era nga Allah bweyasukkulumya omusajja n'amuwa amanyi, n'obusobozi, okwennganga emitawaana, ekyo nno kimusobozesa okutambula munsi, nga apakasa. Era Allah yawa omukazi obusobozi bwokwetikka olubuto, n'okuluzaala, n'okuyonsa n'okulera omwana, nekimuyamba okukola ebyo nga obukwatampola n'obusaasizi, n'obugonvu bw'omutima, omukwano. Okusinziira kungabanya eyo ey'obwakatonda, kiwa omusajja akutakabana ebweru, ate ye omukazi nekumuwa okulabirira amaka ga bba.

Mazima obusiraamu tebugaana mukazi kukola, wabula bumuwa ebbeetu okuyimirizaawo emirimu gye egivaamu ensimbi, nabwekityo okugula n'okutunda nga bwayagala, era byonna okusalawo kwe kutuufu era kukakasibwa nga tekuli kalombolombo kamuntu yenna kabeere bba. Wabula obusiraamu bwakiteekako amateeka agakikugira, singa amateeka ago tegagobereddwa, kireeta omukazi okugaanibwa emirimu egyo, mu bumu kubulombolombo mulimu;

  • Emirimu gy'omukazi tegirina kukontana nabuvunanyizibwa bwe obw'amaka, ekitegeeza nti tekulina kumugaana kutuukiriza obuvunanyizibwa bwa bba, n'abaana, wadde okumulemesa okulabira amaka, kubanga omukazi mu busiraamu alina ebyetaago byalina okutuukiriza eri bba, era nga bba naye bwalina ebyetaago byatuukiriza eri mukyala we, n'abaana nabo balina ebyetaago byabwe gyali… agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeereku ye nti: " n'omukazi mulunzi mu maka ga bba, era ajja kubuuzibwa kwebyo byalunda.." [77]

Emirimu gye girina kubeera mu bakazi banne, nga yeesudde ku mugotteko n'abasajja, kisobole okumukuumira ewala n'okutyoboola ekitiibwa kye, n'okumwesembereza emisege mu basajja. Agamba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " omusajja tayinza kweyawula n'amukazi okujjako nga sitaane ebeera yakusatu (okubakema).." [78]

Mukyala Cook Omuwandiisi omungereza mumwawulire agayitibwa ECO nti: " okwetabika abasajja n'abakazi kinyumira nnyo abasajja, y'ensonga lwaki omukyala alulunkanira ekyo ekyawukana ku butonde bwe, era kimanyibwe nti, abakazi gyebakoma okwetabika n'abasajja, abaana bebbali (b'obwenzi) gyebakoma okuyitirira, ogwo nno mutawaana munene nnyo." [79]

Sayyid Qutub Allah amusaasire yagamba nti: " ekigwanira abasajja nabw'ekityo abakazi buli omu atebenkerere ku munne, aleke kumuleetera kukemebwa okuyinza okumuleetera okuwabya omukwano gwa munne, bwekiba nga tekimuleetedde kuseerera kugwa mu kibi, ekireeta obulabe eri obufumbo obutukuvu, okwesiganngana n'okutebenkera eri munne kuggwewo, okuseerera okwo, nabwekityo okugwa mu kibi, bigwawo buli lunaku, era buli kaseera mu bitundu ebirimu okwetabika wakati w'abasajja n'abakazi, omukyala ekeera n'agenda nga amansudde nga yekozeeko (yebyudde), olwo sitaane n'ebikemo nebimugoberera. Vva ku bulimba obusaasanyizibwa kasuku ezikwata ebikwate nti; okwetabika wakati w'abasajja n'abakazi kizzamu amanyi emirimu, era nti kizuukusa ebitone ebyeveera, nekisomesa abantu ab'engeri ebbiri empisa z'okwogera, n'okuwangaala, mbu era kireeta okumanyiiragana abantu baleme kugwa mu nsobi, mbu era enkwatagana wakati w'omusajja n'omukazi abaagala okufumbirigana eva mu kumanyagana okwo kwebafuna nga bali bonna mukwegezesa, era mbu n'akawaayiri k'ekibi kaleeta buli omu okugumiikiriza munne kubanga buli omu yasiima munne oluvannyuma lw'okugezesa… nze nngamba nti ezo nngambo bugambo, ekiriwo olwareelo kiziwakanya, okukyawagana okwentankira okutalina nsibuko mu maka, nabwekityo amaka agasasise, mugoba abakazi n'ebirala, nabwekityo okubaliga okungi mu maka mu bitundu ebyo. Kyegamba nti kirongoosa enneyisa wakati w'abalenzi n'abawala, munjonera nemukusisinkana bakibuuze abawala abafunye embuto mu masomero g'Amerika, ssinakindi okubalirira oluusi kwatuuka ne mubitundu 48%, ate essanyu erijjuvu lyebawoza balibuuze amaka agasattulukuse abasajja mwebagobye abakazi mu Amerika, era nago geeyongera buli kwetabika wakati w'abasajja n'abakazi gyekukoma, n'okwelonderawo buli omu kyayagala.

2. omuimu omukyala gwakola gulina okubeera nga gukkirizibwa mu buisraamu, era nga gugya mu mbeera y'omukyala. Omukyala talina kukola mirimu gitamugwanira kukola, nga okuweesa ebintu ebizito, obwa okulwana entalo, oba emirimu egimutyoboola, nga okuyoola kasasiro ku makubo, okwera ku ngundo, ebye amateeka g'obusiraamu byegagaana omukazi okukola.

Wano nno waliwo ekibuuzo ekigamba nti; biki ebireetera omukazi okola?

Bwabeera ayagala kukola kufuna kyakulya, nakweyimirizaawo, obusiraamu ekyo bwakimuwa mu bujjuvu, okuliisa n'okulabirira amaka buvunanyizibwa bwa taata, okulabirira muwala we okutuusa bwafumbirwa, ate bwamala okufumbirwa kikakata ku bba okumulabirira n'abaana bonna baazadde, bba bwafa, obuvunanyizibwa bw'okumuliisa n'okumulabirira buddayo eri kitaawe, bwabeera nga talina kitaawe, abaana beebalina okumulabirira, abaana bwebabeera bakyali bato, bannyina balina okumulabirira, olwo olunnyiriri nelugoberegana asinga okumi mpaka gyebakoma. Omukyala okuva bwazaalibwa okutuusa lw'afa, alabirirwa bulabirirwa, tewali nsonga lwaki alina okukola olw'okunonya eky'okulya, ekyo nno kiri kityo kimusobozese okutuukiriza obuvunanyizibwa bwe obumkwatibwako ensalwa, mu bujjuvu; omuli okuteekateeka amaka, n'okulera omugi omuto nga mulongoofu; ekyo nno kirya ebiseera bye biyitirivu nnyo, n'obwongo.

Omumanyi omungereza ayitibwa Samuel smiles era nga omu ku nkoge mu nkulakulana y'abungereza yagamba nti: " enkola eragira okukozesa omukyala mu mirimu egyenjawulo, okwekalakaasa munsi nebwekunayitirira, enkomerero yaakyo kimementula ettofaali erizimba amaka, kubanga kimenya omuzimbo gw'amaka, erakimenya empagi enkulu mu kuzimba amaka, n'ekikutulawo obwasseluganda, olw'ensonga nti okujja omukazi ku bba, n'abaana be nga lweluryo lwe, eko kyokka kimalira omukyala okunaabuuka empisa, olw'ensonga nti omulimu omukulu ogwa buli mukazi kwekuteekateeka amaka, n'okukuza abaana, n'okuteekateeka ebikola awaka, n'okuyimirizaawo emirimu gy'awaka, wabula emirimu gyakola Gimusuuza obuvunaanyizibwa obwo bwonna, amaka negasigala nga ssi maka, abaana nebakula nga tebalina ndabirira, nebwasuulibwa ttayo, omukwano mu maka negukwata ekizikiza, omukyala n'ava kukubeera omwagalwa, ow'okumwanjo ayagala bba, n'afuuka omuntu gwasanga ku mulirimu, agumiikirizibwa obugumiikirizibwa nga tewali mukwano, nayigirira enneyisa ezisangula obwetowaze bwonna, ate nga mubwetowaze mwemuli okukuuma ekitiibwa." 153

 

 

  1. Talaka okubeera nga eri mu kusalawo kwa musajja:

Talaka mukiseera ky'obutamanya teyalina mateeka gagifuga, omusajja agoba omukazi ekiseera wonna wayagalidde, era naddiramu gwayagadde ekiseera kyonna wayagalidde, obusiraamu nebujja n'amateeka akataasa omukyala obutalyamanyizibwa, n'obutanyigirizibwa, n'obutamuzanyirako nga bwekyali kikolebwa. Mu kiseera ky'obubuze abantu nga n'omusajja agoba mukazi we ebbanga lyabeera ayagadde okumugoba, era nga abeera mukazi we ebbanga lyamala nga amuddiza mu bbanga lya Idda, nebwabeera amugobye emirundi egiwera ekikumi. Okutuusa omusajja bweyagamba mukyala we nti nkulayirira Allah, siyinza kukugoba n'ofumbirwa omusajja omulala, ate siyinza kukugoba ne mmala nenkuzza. Mukazi we n'amugamba nti: kisoboka kitya ekyo? N'agamba nti: nkugoba bwobeera osemberedde ekiseera kya idda okuggwako nenkuzza, ate nga mmala era nga nkugoba. Kur'ane nekka nga erambika ensonga eyo. Allah agamba nt: {okugoba okw'okuzza omukazi kwa mirundi ebiri, okuzza kubeere mu ngeri ennungi oba kwawukana mu ngeri ennungi} Essuula bakara: 229

Era obusiraamu bwafuula Talaka nga ekkirizibwa singa wabeerawo obwetaavu n'embeera enyigiriza omuntu mu bulamu, era nebukkiriza talaka mu mbeera nga obulamu tebusobola kuyimirirawo okujjako nga omusajja atalase omukazi.

Era amateeka g'obusiraamu galuubirira nnyo okutabaganya abafumbo baleke kukola ttalaka, Alah agamba nti: {bw'aba omukyala ng'atidde bbaawe okumuyisa obubi oba okumusuulirira, tewali kibi ku bombiriri okuteesaganya wakati waabwe bokka. N'okuteesaganya okwo kwe kulungi, wadde nga omwoyo gw'abantu gwasemberera omutuube (omulugube).} Essuula annisaa: 128

Lwaki talaka yateekebwa mu mikono gya musajja? Embeera y'obotonde n'endowooza eyabulijjo eraga nti ddala talaka erina kuba ya musajja okuleka omukazi, olw'obuvunanyibwa bwalina obw'ensasanya eri omukazi n'amaka, bwabeera nga yagaba amahare, era neyeetikka obuvunanyizibwa bw'okutegeka, n'ateekateeka amaka, era n'agalabirira, kulina kubeera mu mikono gye, okusazaamu obufumbo obwo, bwabeera nga yeewaddeyo okusalwa byonna byatadde mu maka, mu ssente, n'ebiseera, ebyonooneddwa okuwa omukazi talaka, kubanga abeera amanyi bulungi okusalwa talaka kwegenda okumutuusaako, gamba nga okufiirwa amahare geyateekamu, n'ensimbi zeyateekamu mukukola embaga n'okutegeka amaka. Era mukubisasulira byonna, agenda kutekamu ensimbi endala nkumu, oluvannyuma lw'okubeerawo kwa talaka ate okuwasa omukazi omulala.

Okwongereza kwekyo, kimanyikiddwa nti omusajja yefuga mu busungu, n'okwekomako obutakola kintu kya bulabe oluvannyuma lw'ennyombo, n'enjawukana wakati we n'e mukazi we. Era omusajja tamala gasalawo talaka nga ekisembayo, okujjako nga ajjeeyo essuubi obutafuna mirembe mu bufumbo obwo nemukazi we.

N'ensonga ezo zonna era omukazi tebamummira ddala mukisa gwa kusazaamu bufumbo, wabula alinayo omukisa gw'okusalawo okusazaamu obufumbo, singa omukazi ateekako akakwakkurizo nti yalina okusalawo talaka.

N'olwensonga nti obusiraamu mateeka agakwatagana n'embeera y'obutonde, obusiraamu bumanyi bulungi omwoyo gw'omuntu, n'ebigwetolodde mu kubuzaabuzibwa, n'okwagala, n'enneyisa, era nga bwebwawa omusajja obuyinza bw'okutalaka omukazi singa amwetamwa, nabwekityo bwawa omukazi obuyinza bw'okweyambulura omusajja (khulu-u) singa abeera yeetamiddwa bba mumbeera y'okumuyisa obubi, mu kukozesa ebigambo ebisongovu, oba okumuligita emiggo, oba singa abeerako akamogo okugeza singa abeera yatomerwa endiga (tasobola kwegatta n'amukazi), oba singa agaana okubeera ne mukazi we mu nsonga z'obufumbo, oba singa abeera afunye obulwadde obwannamuzisa oluvannyuma lw'okufumbirigana nga ebigenge, oba olukuku, oba nkumuunye, oba cholera, oba obulwadde obulala bwonna obwesambajjibwa, omukazi nafuna okukosebwa, alina omukisa okweyambulula omusajja,ekiyitibwa Khulu-u, era omukazi kwekusasula amahare omsajja geyamuwa, oba n'ensimbi zeyateekamu mu kumuwasa, oba ekyo kyonna kyebabeera bakkaanyizzaako. Era ekyo kiraga eddala eryawaggulu ennyo mu bwenkanya, kubanga yye yasazeewo okwabulira obufumbo, singa omusanja yeerema n'agaana okuta omukazi, omukazi alina ebeetu okutwala okuwaaba mu kkooti asobole okuweebwa omukisa gwe ogwo.

 

 

  1. Omukazi obutakkirizibwa kugaba mukazi munne:

Mazima omulimu gw'omusajja okulonda omukazi ow'okuwasa ssi nsonga nzibu nnyo, ate ekisinga ekyo obuzibu kwekulonda omukazi asaanira omusajja, kubanga omusajja bwawasa omukazi atamugwanira asobola okukyusamu omulala, wabula olw'okuba nti omukazi lweludda olunafu mu buli mpangaala y'abantu, obusiraamu bwafaayo nnyo okumutangira n'okumutaasa ku buli kabenje konna, nga bukubiriza omukazi okwengera n'okwetegereza mu kulonda omusajja amugwanira gwanafumbirwa, aleme kugwa mu kitimba kya bufumbo bukyamu, sso nga yagenda okusinga okukosebwa, y'ensonga lwaki obusiraamu bwateekawo akalombolombo mu kutuuka kw'obufumbo okubeerawo omusajja okwatibwako ensonga z'omukazi, oba omusajja yenna ayimirira mu bigere bye, era endagaano y'obufumbo tekolebwa, okujjako yye. Yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " tewali bufumbo butuufu okujjako nga waliwo omusajja akwatibwako ensonga z'omukazi, n'abajulizi babiri, singa obufumbo bwonna bubeera tebulina bulombolombo obwo, bubeera bufu. Singa bakaayagana, omukulembeze w'abakkiriza y'akwatibwako ensonga z'abo abatalina babatwala."[80]

Era nga amateeka g'obusiraamu bwebwesigamiza okutuuka kw'obufumbo okubeerawo kw'omusajja akwatibwako ensonga z'omukazi, era bwekityo bwateekawo akalombolombo k'okukkiriza kw'omukazi n'okuwa omusajja amutwala okuyimiirizaawo obufumbo. Singa omukazi akakibwa obufumbo, waddembe okuwaaba ensonga ye mu kkooti, obufumbo obwo nebusazibwamu, olwa hadithi eyava ku khanisa Bint Juzham, yagamba nti kitaawe yamufumbiza, oluvannyuma lw'okumala okufumbirwa ewalala n'atakisiima, najja ewa Nnabbi okusaasia n'emirembe bibeere ku ye naloopa, Nnabbi n'asazaamu obufumbo obwo.[81]

Ensonga lwaki obufumbo bwesigamizibwa ku kubaawo kw'omusajja akwatibwako ensonga z'omuwala, olw'enonga nti abeera afaayo nnyo okulaba nga omuntu wabwe tafuna buzibu bwonna. Oyo yenna asuubira nti mwekyo mulimu okukotoggera eddembe ly'omukyala obuteesalirawo musajja gwalina kufumbirwa ayanukulwa nti: mazima obusiraamu bwawa omuwala akuze k'abeere mberera oba nga yafumbirwako, omukisa gw'okukkiriza oba okugaana omusajja avaayo okumwogereza, era obusiraamu tebukkiriza amulinako buvunanyizibwa kumukaka mu mbeera yonna mu ngeri y'okumukkirizisa omusajja gwamusiimidde, olw'ekigamba kya Nnabbi ekigamba nti: " omukazi eyafumbirwako tafumbizibwa okujjako nga yeebuuziddwako, ate omuwala embeerera tafumbizibwa okujja nga asabiddwa olukusa, nebabuuza nti; akkiriza atya owange omubaka wa Allah? Nagamba nti: bwasirika abeera akkiriza"[82]

Mazima amateeka g'obusiraamu bwegaakubiriza obufumbo, tegaagenderera kweyagalamu kaseera katono wadde okusomoka obusomosi, wabula bwagenderera okuzimba enkwatagana mu bufumbo ey'olubeerera, n'olwekyo omukyala bwabeera nga lwe luuyi olw'okubiri mu bufumbo, obusiraamu bwabaga abeere nga afumbirwa nga yeesimidde. Naye olw'okuba nti omukyala mwangu okutwalibwa embeera, akyuka mangu n'embeera emwetolodde, awangulwa mangu mu nneyisa ye, alimbibwa mangu, obusiraamu y'ensonga lwaki bwateekawo omusajja akwatibwako ensonga ze, okugoba abo abavuddeyo okuwasa omukazi oyo nga tebalina busobozi oba nga tebamusaanira, kubanga omusajja ebiseera ebisinga amanyi basajja banne okusinga omukazi, olwensonga nti baakikula kimu. Wabula omusajja asaanidde era eyeesobola bwayogereza omukazi, abamutwala nebamulemesa olw'okwekuza, bajjibwako obuvunanyizibwa obwo, nebuwebwa ab'ennganda abalala abasaanidde nga bwebagoberegana. Bwabeera omukazi nga talina bangganda basajja, omulamuzi amufumbiza.

Obusiraamu bwagaana omukazi okufumbirwa omusajja atamugwanira era n'atalina busobozi kumulabirira n'amaka ge era abantu be banyooma nnyo omusajja atasaanidde ku muwasa, era ekyo kibeera nga kibakkakkanya bombiriri nekibavumaganya. Omukazi okufumbirwa omusajja abamutwala gwebatasiimye wadde abennganda ze kireeta okukutulawo oluganda Allah lweyalagira okuyunga, era n'obusobozi obulina okubeera mu musajja Nnabbi bweyayogerako n'agamba nti: "bwabajjira oyo gwemusiimye eddiini n'empisa, mumuwe omukazi amuwase, bwemutaakikole, kikenda kubeera kikemo mu nsi, nabwonoonefu obw'amanyi." [83]

Kubanga omusajja alina eddiini n'empisa, bwayagala mukyala we amugulumiza, ate bwatamwagala tamukkakkanya wadde okumulinnyirira, wabula atya Allah mu mukyala oyo.

  1. Olugendo lw'omukazi nga talina musajja o'wokumpi (o'woluganda lwe).

Omukazi mu busiraamu kyabugagga ekikuumibwa obutiribiri, tekikkirizibwa kukwatibwako wadde, okujjako akkirizibwa okumukwatako, era naye alina okwekengera kubanga okugema kusinga okujjanjaba, n'olwensonga eyo, obusiraamu bwagaana omukyala okutambula nga talina musajja gwali naye, okugeza bba, oba kitaawe, oba mwannyina, oba ow'oluganda amuzira mu busiraamu, olw'ekigambo kya Nnabbi kyeyagamba nti: " omukazi tatambulanga lugeno okujjako nga ali n'omusajja omukwatibwako, era omusajja takkirizibwa kuyingira gyali okujjako nga ali n'omusajja amukwatibwako. Omusajja n'agamba nti: owange omubaka wa Allah, mukyala wange agenda mu Hijja? Namuddamu nti: fuluma naye"[84]

Omuntu ayinza okugamba nti okukomeka omukazi obutatambula yekka kityoboola eddembe rye. Kubanga ekyo kyekisooka mu kutegeera naye omuntu bwamanya ensoga lwaki kyakolebwa bwekityo, era netumanya ensonga nga endowooza eyo yandibadde evaawo, era netumanya nti obusiraamu nga buyita mu kumanya kwabo okwawaggulu kwayagala kukuuma mukazi, nakutaasa kitiibwa kye, wabula so ssi nga bwekilowoozebwa nti kumuvvoola, wadde okuvvoola eddembe lye. Enngendo nga bwekimanyiddwa zirimu ebizibu bingi nnyo, ate nga bwetwalaba obutonde bw'omukazi omubirigwe munafu, olw'ensonga z'ayitamu okugenza nga okulwala okwa buli mwezi, n'embuto, n'okuyonsa, eranga omutima gwe bweguli omunafu, awangulwa mangu embeera n'okwagala kwe, mu bikolwa bye, era akosebwa mangu ebintu ebimwetolodde. Newankubadde ako ssi kamogo, era Nabbi abakazi yabayita magiraasi okulaga obunafu bwabwe nti balina kukwatibwa mpola. Hadithi nga eve ku Anasi bun Maliki anyumya n'agamba nti: "omubaka wa Allah akusaasia n'emirembe bibeere ku ye yali mu lugendo, yalina omuvuvuka amuwereza omuddugavu, nga ayitibwa Anjashatu nga alina obuyimba bwayimba, Nnabbi namugamba nti: " lekeraawo owange Anjashat, saasira amagiraasi." [85] kwata mpola amagiraasi, yabayita magiraasi kubanga bagonda mangu emitima.

Omukazi mu lugendo lwonna lwabeeramu yeetaaga omukuumi amukuuma kwabo abayinza okwagala okumwegwanyiza mu basajja ab'emitima emibi mukwagala okumuwambako emmaali ye, oba ekitiibwa kye, ate bambi ye ebiseera ebisinga tasobola kwelwanako, olw'obunafu bw'omubiri gwe. Era nga bweyetaaga omuntu amuweereza byeyetaaga, era amumalira ebyetaago bye, era asobola okumuwa obwangu mu buli kimu. Era omusajja akwatibwako ensonga z'omukyala (maharamu) mu busiraamu ateekeddwa okukola ebyo byonna eby'ogeddwako, aleke kwegomba musajja w'ebweru ayinza okubikolera. Maharamu w'omukazi mu kulaba okutuufu abeera muwereza we, era omukuumi we amutaasa abantu abayinza okumukosa, oba abaagala okumwewuttalizaako, kati mbuuza: omwo mulimu kunyomebwa ki eri omukazi?! Mubutuufu omwo mulimu kumuwa kitiibwa, era kumufunira amukwatibwa bbuba erilungi, era akulembeza ekitiibwa kye, amukuuma, okumutaasa emyoyo emibi, era abeerewo ku lulwe amuweereze byayagala n'ebyetaago bye.

 

 

 

  1. Okuziyiza okukuba abakazi mu busiraamu

Ahmad Al-Amiir   ne   tasaakuurah Fayifaan.

Ennyanjula

Amatendo amalungi era amajjuvu ga Allah oyo eyatuma Muhammad nga musanyusa era nga mutiisa, omukoowoze okudda eri Allah olw'ekiragiro kye, era nga ttaala eyakaayakana. Era amatendo ga Allah oyo eyagulumiza ba swahaaba ba Nabbi n'abawa ekitiibwa ekyawaggulu ennyo. Tusaba Allah asse okusaasira n'emirembe ku Muhammad, n'abantu be, n'abagoberezi be, okusaasira n'emirembe ebigoberegana mu bungi.

Oluvannyuma lw'ebyo:

Obubaka buno (ekitabo) kiwandikiddwa nga kwanukula abo sitaane beyeeyinuza, n'ebabuza olubuza olunene ennyo, ensonga y'okukuba abakazi yakyaka nnyo mu busiraamu mu nkunngana nnyingi, era netulaba empapula ez'enjawulo ku mutimbagano gwe by'empuliziganya, nga waliwo abawa okulamula ku nsonga eno nga tebalina kumanya kumala, era bangi ku bakiikira obusiraamu ensingo nebabeera kwekyo, olw'o nebalimbira kwekyo buli kirimbo ekitalina nansibuko mu busiraamu. Nenjagala nsembereze omusomi ow'ekitiibwa, endaba y'obusiraamu ku kukuba omukyala, n'enjawulo ey'amanyi eriwo wakati w'endaba y'obusiraamu n'eddiini endala. Y'eddiini yokka eyayogera ku kuziyiza okukuba omukazi, k'abeere nga akyali mwana muto oba nga mukulu. Era eno y'ennambulula ku nsonga eyo, oluvannyuma mmwe mujja kusalawo oluvannyuma lw'okusoma n'okumanya obujulizi.

Omuwandiisi…….

Ahmad Al-Amiir.

 

 

Ennyingo esooka

OKUTEEKULULA EBIKOLWA OKUSINZIIRA KU MATEEKA G'OBUSIRAAMU

Ebikolwa by'abantu byonna n'emirimo gyabwe giteekululwamu emiteeko gino wa mmanga mu mateeka g'obusiraamu:

  1. Eby'obuwaze (eby'etteeka): era omuteeko guno gwegusembayo waggulu mu bibanjibwa omuntu, era by'ebikola /emirimo ebyalagirwa omuntu okubikolwa ewatali kwebuzaabuza kwonna, nga esswala, okusiiba, okusoma Kur'ane. Ebikolwa ebyo n'ebibifaanana byatteeka okubikola, abikola afuna empeera ennungi, ate abirese afuna omusango (abonerezebwa).
  2. Ebikubirizibwa okukolebwa (ebyakyeyagalire): buli kyonna ekyalagirwa okukolebwa mu busiraamu, nga singa omuntu abeera akikoze afuna empeera, era tafuna musango singa abeera akirese. Eky'okulabirako nga okusenya nga ogenda okusaala.
  3. Ekikkirizibwa okukolebwa (halaali): buli kyonna ekitaliiko mpeera mu kukikola, wadde omusango mu kukireka. Okugeza nga okutambula, okwebagala ekidduka, n'ebirala byonna omuntu byakkirizibwa okukola mu bulamu bwe obwabulijjo.
  4. Ekitamwa: buli kyonna amateeka g'obusiraamu kyebwaziyiza okukola, nga singa omuntu akireka afuna empeera ennungi, wabula tabonerezebwa yenna akikoze, newankubadde kikubirizibwa okukireka n'okukyewala n'ebiyinza okukyesembereza. Wabula okuddirinngana ekintu ekyo kiyinza okusembeza akikoze eri okusukka ensalo z'amateeka ga Allah, oba okumusembeza eri haram. N'ensonga enkulu emabega w'ekyo, kwekumanya nti: tafuna musango abeera akikoze, newankubadde kitamwa, olw'ensonga nti omuntu ayinza okukakibwa okukikola, era nga abantu bangi bakikola olw'obwetaavu obuliwo ate nga oluusi natteeka mu busiraamu. Eky'okulabirako; okugoba omukazi (talaka) Allah akitamwa, naye ate teyakiziyiza baddu kukikola, asobole okubanguyiza singa kibeera kyetaagisizza.
  5. Ekyaziyizibwa (haraamu): buli kintu kyonna Allah kyeyaziyiza, nga kuliko obujulizi obweyolefu, omuntu akikoze afuna omusango (abonerezebwa) sso nga akirese afuna empeera ennungi.

 

Enjawulo eri waakati wa halaali ne Haraamu.

Okumanya halaali n'okumwawula ku haraamu gwemuzimbo gw'obusiraamu, era ly'ekkubo ly'obukkiriza, era kikwatagana n'emirimu gy'omutima nga bwekikwatagana n'emirimu gy'ebiyungo. Era ensibuko ya buli kintu kibeera kikkirizibwa okukolebwa (kibeera kya halaali) okujjako ekiriko obujulizi obw'eyolefu obukiziyiza. Okuziyiza n'okukkiriza ekint mu mateeka keyawulidde eri Allah yekka, kubanga Ye Mutonzi, Omulabirizi wa buli kimu, ayanguyiriza abaddu be, era agabirira, abakkiriza bakole ky'ayagadde eri n'abaziyizaako ky'ayagadde. Wabula ol'wokusaasira kwa Allah n'obulungi bwe gyebali, yateekawo ensonga enneyolefu kwasinziira okuziyiza oba okukkiriza okukola ekintu, erabonna birina emigaso egidda eri abaddu be. N'olwekyo takkiriza okujjako ekirungi, era taziyiza okujjako ebibi.

 

Okujjulukuka kw'ekikolwa okuva mu muteeko okugenda mu mulala.

  1. Okujjulukuka kw'ekikolwa okuva mu halaali n'ekifuuka haraamu, n'ekyennyume:

Ekikolwa ekya halaali kisoboka okufuuka haraamu, singa wabeerawo ensonga ezikikyusa, mu kifo ky'okubeera ekirungi, ekisanyusa omuntu, nekifuuka ekibi ekimukosa, okugeza okutambula mu kkubo ensibuko yakyo kikkirizibwa (halaali), wabula kisoboka okufuuka haraamu okuyita mu kkubo, singa omukulembeze ayisa etteeka nti tekikkirizibwa kutambula luvannyuma lwa ssaawa nnya ez'ekiro mu makubo agamu, oba ebibuga ebimu, olw'embeera z'ebyokwerinda, ekiyinza okuviirako okuteeka obulamu bwe mu matigga.

  1. Okujjulukuka kwekikolwa eky'etteeka nekifuuka haraamu (ekyaziyizibwa) n'ekyennyume:

Ekikolwa eky'obuwaze kisoboka okufuuka haraamu, era nga bwekisoboka okujjulukuka n'ekiva mu haraamu nekifuuka eky'etteeka okukolebwa, mungeri yeemu nga bwolabye omuteeko oguvuddeko. Okugeza esswala yalaalikibwa, wabula esobola okufuuka haraamu singa abeera mu muzimbo nga musisi omungi ayita, nga akakasa bulungi nti musisi oyo tajja kulekawo kizimbe ekyo, era obulamu bwe buli mu matigga singa tafulamamu mu bunnambiro!! Oky'ekulabirako eky'obiri; okutemako okugulu kw'omuntu tekikkiirizibwa, kiri haraamu, wabula singa omusawo talina ngeri gyatasaamu mulwadde okujjako nga akutuddeko kugulu kwe, oba sikyo nga omulwadde agenda kufa, mu mbeera eno; kifuuka kyatteeka ku musawo okutemako okugulu kw'omulwadde okusobola okutaasa obulamu bw'omulwadde, bwatakikola abeera azzizza musango, era avunaanimbwa mu mbuga z'amateeka olw'okulagajjalira obulamu bw'omulwadde.

  1. Okujjulukuka kw'ekikolwa ekitamwa nekifuuka ekikubirizibwa okukolebwa, oba okujjuukuka ekikolwa ekya ssunna n'ekifuuka ekitamwa:

Ekikolwa ekitamwa okukolebwa kisobola okujjulukuka n'ekifuuka ekyagalibwa, ssi nakindi okufuuka eky'etteeka oba ekyalaalikibwa, okugeza nga talaka, mu kusooka kitamwa mu busiraamu, Allah akitamwa, wabula mu mbeera ezimu okulemera ku mukyala kisobola okubeera ensonga y'okukola ezzambi mu ddiini, nga telisobola kwewalibwa okujjako nga otalase omukyala oyo, okugeza singa abeera tamalaako, nga tekisoboka kujjanjabibwa. mu mbeera eno tugamba nti: ekisinga obulungi kutalaka. Nabwekityo ekikolwa ekitamwa ate kifuuse ekikubirizibwa okukolebwa.

Era ekikolwa kisobola okujjulukuka okuva mu muteeko ogukubirizibwa nekifuuka ekya haraamu, okugeza nga okusenya, kikubirizibwa okukola, wabula kisoboka okufuuka ekitamwa oba ekya haraamu, singa amannyo gabeera ganyeenya nga bw'onasenya gagenda kukuukamu, mu mbeera eno okusenya amannyo kikontana n'ensibuko ezimbirwako amateeka g'eddiini egamba nti: (tokosa balala era naawe teweekosa).

 

Okuwumba wumba ebikulembedde:

Okuwumbawumba ebikulembedde, mazima obusiraamu ssi ddiini nzibe ya maaso nti telaba, oba nti tepima mbeera z'abantu, wadde obusobozi bwabwe mu lunaku oba mu buwangaazi bwabwe, wabula okuzibe bwa maaso buli ku mitima gy'abalabe b'obusiraamu, abo abaagala okusaasanya obulimba n'ebibuzaabuza abantu, n'obulimba bagezeeko okuzikiza ekitangaala kya Allah, wabula ye Allah yeeyama okujjuliriza ekitangaala kye, abawakanyi nabwebabeera bakitamwa.

Oba oli awo, omusomi wange ow'ekitiibwa; oyinza okubeera okitegedde nti obusiraamu ssi ddiini y'abulyazaamanya, wabula ddiini ya bwenkanya, era obwenkanya kimu ku bitendo bya Allah era linnya lye. Ebyaziyzibwa n'ebyakkirizibwa mu busiraamu bizimbiddwa ku bwenkanya, so ssi ku butamanya. Era obulyazamanya bwonna gyebuliva nebulidda bwaziyizibwa mu busiraamu.

 

 

Ennyingo ey'okubiri

Enkwata y'omukyala okusinziira ku Kur'ane n'enkola ya Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye.

Okusinziira ku njogera ya Kur'ane, tulaba nga Allah Ow'ekitiibwa yalagira okulongoosa eri omukyala mu maka, n'okumugulumiza, era n'okuwangaala naye mu bulungi (okumuyisa obulungi) nebwobeera tomwagala mu mutima, Allah agamba nti: {Kyokka mukolaganenga nabo mu ngeri ennungi. Bwe muba nga mubatamiddwa (temubatanga), kubanga oba olyawo mwanditamwa ekintu, ate Allah n'akiteekamu obulungi bungi.} Essuula annisaa:19.

Ne Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye agamba nti: " omukkiriza tayawukananga na mukkiriza mukyala, bwatamwa omuze mu ye, asiimemu empisa endala." Muslim

Allah atunnyonnyola nti omukyala alina ebyetaago eri bba, nabwekityo omwami alina ebyetaago eri mukyalawe, Agamba Allah omugulumivu: {Era balina abakyala (bye bavunaana abasajja) okufaanana nga ebyo ebiri ku bo (abasajja bye babavunaana) naye babikola mu ngeri y'obuntubulamu,…} Essuula al-baqara: 228.

Era ekiramo kya Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga asemberedde okufa,yafaayo nnyo eri omukazi, n'okumugulumiza, n'obutamulyazamanya, wadde okubuzaabuza ebibye, yagamba nti: " mulaamire abakyala bulungi" Muslim.

Agamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: "omukkiriza asinga obujjuvu yooyo asinga empisa ennungi, era abasing obulungi, yooyo abasing okulongoosa eri bakyala be." Tirmithi ne Ibun Hibban.

Era muhadith eva ku Maama Aisha Allah asiime ku ye yagamba, yagamba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: "Abasinga obulungi yooyo abasinga obulungi eri bakyala be, era nze mbasinga obulungi eri bakyala bange." Ibun Hibbaan ne Tirmithi.

Era yalagiraokugumiikiriza obumogo bwa bakyala, n'ensobi zaabwe, n'okusonyiwa ensobi zaabwe, era nannyonnyola obutonde bw'omukyala Allah kweyamutondera, yagamba okusaasira n'emirembe bibeere ku ye:" omukazi yatondebwa mu lubiriizi, tajja kutereera nga bwomwagala, bw'osalawo okumunyumirwa, omunyumirwa nga mukendeevu, bwoyagala okumugolola ajja kwatika, era okwatika kwe kwe kumutalaka." Muslimu.

Ewalala yagamba nti: " mulamire abakyala okulongoosa, mazima bo batondebwa mu lubiriizi, ate olubiriizi olusinga obukyamu lwelwowaggulu, bwoyagala okulgolola, ogenda kulumenya, ate bwoluleka lusigala lukyamu, mulaamire abakyala okukola obulungi." Bukhari.

 

Abaffe nabbi yakubako kko ku mukyalawe noomu?

Nabbi kyekyokulabirako ky'abakkiriza, Allah yalagira okugoberera obuufu bwe, yagamba nti: {Mazima mwalina mmwe mu mubaka wa Allah eky'okulabirako ekirungi kw'oyo abeera nga asuubira (empeera) za Allah (n'okusisinkana) olunaku lw'enkomerero, n'ayitiriza okwogeraku Allah.} Essuula Ahzaabu: 21.

Nabbi ky'ekyokulabirako ekyawaggulu, Allah yamutuma n'eddiini busiraamu ennyangu ennyo, era n'amulera n'alongoosa empisaze, buli mpisa nnungi yeeyoleka mu ye. Allah agamba nti: {Era mazima ggwe oli ku mpisa engulumivu (ennungi ez'obuntu).} Essuula qalam: 4

Yayolesa empisa ennungi ku nsi, era zeeyoleka bulungi mu kigambo kye okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: " nnatumwa okujjuliriza empisa ennungi" Malik ne Bukhar mu Adab al-mufridu. Al-baan (swahiihat (45)).

Mukyala we Aisha Allah asiime ku ye, oyo asinga okumanya ebimukwatako mu nkolagana wakati we naye okusinga ba swahaabah be bonna yagamba nti: " empisa za Nabbi yali Kur'ane." Ahmad. Al-albaan (swahiihi aljamea:4811)

Kitegeeza nti Nabbi akoleraku biragiro bya Kur'ane era nga yeewala byonnna Kur'ane byeziyiza, tewali mpisa nnungi Kur'ane nga egikubiriza, okujjako nga Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yagikola mu bujjuvu bwayo okusinga abantu bonna. Era tewali muze mubi kura'ane gwegaana okujjako nga Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yasinga abantu bonna okugwewala.

Tewali wekyogerwa mu bimukwatako (siiratu) okusaasira n'emirembe bibeere ku ye wekyogerwa nti yakuba omukyala wadde omwana!!!!

Wabula agoberera ebyafaayo bye, eyekenneenya mu hadithi ze ez'ekitibwa alaba bulungi nti mazima nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yagaana okukuba abakyala, era nakyewaza ne ssekwewaza yenna, agamba mukyala we Aisha Allahasiime ku ye: " Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye teyakubako kintu kyonna namukono gwe, teyakubako mukazi, wadde omukozi, okujjako nga alwana mu kkubo lya Allah. Era teyakosebwako muntu yenna n'amwesasuza olw'ekyo kyakoze, okujjako nga akoze zzambi. Olwo yali awoolera ku lwa Allah." Muslimu.

Okutuusa nti ne balabe be abo abagezaako okutangira okukoowolakwe, tewali kyakakata kyawukana ku kyetwogedde.

Katulabe omuntu eyasinga okubeera naye kyagamba, tewali kubuusabuusa nti okubeera n'omuntu nga temutenngana kyolesa empisa z'omuntu oyo, yagamba Anasi bun Malik okusiima kwa Allah kube ku ye eyaweereza Nabbi emyaka kumi: " nnaweereza Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye emyaka kumi, teyamboggolera ko, era teyannenyako nti lwaki wakoze kino? Oba okumbuuza nti lwaki tewakoze kino? Yali Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye asinga abantu bonna empisa ennungi." Muslimu ne Tirimithiyyu.

 

 

Ennyingo ey'okusatu

Omusajja okukuba mukyalawe kiramulwa kitya mu busiraamu?

Ensibuko y'amateeka g'obusiraamu ye Kur'ane ne Sunnah z'omubaka ow'ekitiibwa okusaasira n'emirembe bibeere ku ye entuufu, era byetugenda okwesembesa, era okusinziira ku by'ombiriri tujja kutegeera okukuba omukyala kiramulwa kitya? Abaffe kikakata oba kirungi, oba kikkirizibwa, kitamwa, oba kyaziyizibwa. Okusinziira ku hadithi eva ku Iyaasi bun abdillah agamba nti yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: "temukuba bazaana ba Allah, Umaru najja ewa Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nagamba nti: abakazi bakikinadde ku ba bbaabwe. Nabbi nabaddiramu n'abakkiriza okukuba abakazi, nebajja abakazi bayitirivu nga baloopa ba bbaabwe olw'okubakuba, Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nagamba nti: abakazi bangi bazze eri bakyala bange nga baloopa ba bbaabwe okubakuba, wabula tebali abo abakuba bakyala baabwe, abasinga obulngi mu mmwe." AbuDawda ne Ibun Maajat. Al-Albaan yagamba nti ntuufu.

Bwetwekenneenya hadithi eyo eyogeddwaako waggulu bino byebyeyoleka:

Hadithi yonna teyayogerwa mulundi gumu, mu kifo kimu, wadde ssi mukiseera kyekimu, wabula Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yajoogerera mu biseera byamirundi esatu ebyawukana:

Ekiseera ekisooka:

Yagamba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: " temukuba bazaana ba Allah." Ekiseera ekisooka nekiggwaako.

Okusinziira ku kigambo ekyo, buli omu yavaawo nga akakasa bulungi nti okukuba abakyala mu busiraamu kiri haraamu, olw'ensonga nti Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yakigaana, era kyeyoleka bulungi nti buli akuba omukyala afuna omusango, era abeera mwonoonefu olw'okujeemera ekiragiro kya Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye.

 

Ekiseera eky'okubiri:

okujja kwa Umaru Allah asiime ku ye eri Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye mu kiseera ekirala ekitali kiseera Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye kyeyagambiramu nti: " Temukuba bazaana ba Allah." Neyeemulugunya eri Nabbi nagamba nti: " abakyala bakikinadde ku ba bbaabwe." Tebakyabagondera. Mukiseera kino Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yaddiramu ku kukuba abakazi nga asinziira ku kirowoozo kye nga omuntu okusinziira ku kiriwo n'ekyetaagisa mu kaseera ako, nga singa tekikolebwa bwekityo obulamu buyinza okukalubirira abasajja, wabula balina kukuba batya? Ekyo tugenda kukirambulula gyebujjako katono.

 

Ekiseera oky'okusatu:

oluvannyuma Nabbi okukkiriza abasajja okukuba bakyala baabwe ababeera bakikinadde ku basajja baabwe, abakyala bajja bayitirivu nga baloopera Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye ba bbaabwe olw'okubakuba, mukiseera ekyo Nabbi yagamba nti: " abakyala bangi bazze eri bakyala bange nga baloopa ba bbaabwe olw'okubakuba, naye abo abakuba bakyala baabwe ssi beebasinga obulungi mu mmwe."

Ekiseera kino ky'ekisembayo, era okukuba abakyala mu busiraamu kyeyoleka bulungi omulundi guno, nga nakyo kitamwa, oba kisobola n'okutuuka okufuuka haraamu singa omusajja asukka ensalo za Allah, era tugenda kwongera okukinnyonnyola oluvannyuma. Abaffe ekitegeerwa mu kigambo kya Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye kubeera nti yakubiriza abasajja okukuba abakazi? Abaffe yawaana abasajja abakuba bakyala baabwe? Oba mu kigambo kya Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye mulimu okwewaza, n'okulaga obubi bwabo abakuba bakyala baabwe?!!!

Bo baswahaaba Allah asiime ku bo baategeera ekinyusi ky'ebigambo bya Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, era baakimanya bulungi nti omuntu akuba mukyalawe tajja kufuna kusiimibwa kwa Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye olubeerera, era tewali kubuusabuusa nti ekintu kyonna Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye kyatasiimye kibeera kitamwa nnyo, sinakidi kiyinza n'okutuuka ku bwa haraamu.

Okw'ongereza kwekyo, Fatuma bint kayisi bweyagobebwa okuva ewa bba, abasajja abasatu nebamwogereza Mu-awiya, abu Jaham, ne Usaama bun Zayid, bweyeebuuza ku Nabbi namugamba nti: " Mu-awiya musajja mwavu talina maali, ate Abu Jaham akuba nnyo bakazi be, fumbirwa Usaama Bun zayid" fatuma n'alaza n'omukono gwe bwati: " Usaama! Usaama!" Musilimu.

 

Kisoboka okujjulukuka kw'ennamula y'okukuba omukazi okuva mu kitamwa nekifuuka haraamu?

Tulabe ennamula y'okukuba abakazi mu busiraamu, okulamula okwasooka kwali haraamu, oluvannyuma nelufuuka lukusa, nemukusembayo netitamwa okusinziira kumbeera ez'enjawulo ezasinzirwako. Naye twebuuza nti, okukuba omukazi kifuuka ddi haram? Okuddibwamu kuli nti; okukuba omukazi kiri haraamu singa wabeera tewali nsonga nnambulukufu, era nga buli kulumbagana kwonna bwekutakkirizibwa mu busiraamu bwekubeera okw'obulyazamanya. Allah agamba mukitabo kye eky'ekitibwa nga atiisa obulyazamanya obwa buli kika nti: {Omuntu yenna analyazaamaanya mu mmwe (n'agatta Katonda n'ebintu ebirala) tuli mukombesa ku bibonyobonyo ebinene.} Essuula Furkaanu: 19.

Era Nabbi agamba nti: " mwewale obulyazamanya, mazima obulyazamanya bujja kubeera kizikiza ku lunaku lw'enkomerero." Muslimu.

Era mu hadithi nga eva ku Anasi bun Maliki Allah asiime ku ye yagamba, yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye:" mwewale nnyo edduwa y'alyazaamanyiziddwa nebwabeera mukafiiri, mazima yo terina jjiiji ligiziyiza (kutuuka wa Allah." Ahmad. Al-baan (Ntuufu).

Obusiraamu buziyiza okukosa abalala kwonna nebwekubeera kigambo, olw'ekigambo kya Allah ky'agamba nti: {Abo abawaayiriza abakyala ab'ensa, abakkiriza, abagayaavu abatamanyi byabwenzi, bakolimirwa mu nsi ne mu bulamu obw'oluvannyuma. Era balina ebibonyoobonyo ebinene.} Essuula Annuur: 23.

Nebwekubeera okukosebwa nga kulabwako, oba okufaana ebyo mu kukosa kwonna abalala, singa tekubeera mu mateeka. Allah agamba nti: {N'abo abanakuwaza abakkiriza abasajja n'abakkiriza abakyala awatali kye bakoze, mazima baba beetisse okuwaayiriza n'ekibi ekyeyolefu.} Essuula Ahzaabu: 58.

Nebwekubeera okukosa okwo nga kulya mmaali ya balala. Allah agamba nti: {Era temulyanngananga emmaali yammwe mu ngeri eteri ntuufu…} Esuula al-bakara: 188.

Era abantu bonna benkanankana mwekyo, abasajja n'abakazi, omuto n'omukulu, omusiraamu n'atali musiraamu, hadithi nga eva ku Abi Huraira agamba, yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye:" omusiraamu omutuufu yooyo atakosa bantu, nalulimi lwe wadde n'omukono gwe, ate omukkiriza omutuufu yooyo abantu gwebawona obutatambaala misaayi gyabwe, wadde emmaali yaabwe." Annasae. Al-Albaan (Ntuufu).

Omuntu yenna agamba nti obusiraamu bukubiriza okulumbagana oba okukuba omukyala abeera akonjedde eddiini ya Allah okukonjera okwamanyi ennyo.

 

Omusajja akuba mukyalawe alamulwa atya mu busiraamu:

Ennamula y'obusiraamu ku musajja akuba mukyala we, oba amukosa kisinziira kukulaba kwa mulamuzi era n'amusalira ekibonerezo ekigwanira obulyazaamanya bwe, n'okulumbaga kwakoze eri mukyalawe, era nakimusalira singa omukyala abeera amukubye mu mbuga z'amateeka, eky'okulabirako mu musango guno wammanga:

  1. Eggulire lya Riyadh lyasasanya ku mukutu gwalyo ku mutimbagano gw'ebyempuliziganya, ennaku z'omwezi nga 12/12/2012 amawulire gano wammanga:

Ekkooti ento mu kibuga kye Katwiifu mu bwakabaka bwa Saudi Arabia yasalidde omusajja eyakoze obulabe ku mukyalawe bwe yamukubye emiggo, okubeera nga bamuligita kibooka makumi asatu (30) mu kifo eky'olukale abeere eky'okulabirako eri abasajja abalala abakuba bakyala baabwe, era yamusalidde asomesebwe ennaku kkumi nnambirira mu gamu ku masomero agasomesa enkwata y'omukazi n'ebifa ku maka, era abeere nga aweebwa ekigezo eky'okuwandiika ekigenda n'okusigala mu fayilo eyeebyamateeka.

Era okufaananako n'ensala eyo, kkooti ez'enjawulo mu nsi z'obusiraamu zizze sisalira (zibonereza) abasajja abakola obulumbaganyi ku bakyala baabwe nga babaligita kibooko, okutuusa nti abakyala abamu batuuka nekuddaala ly'okutiisatiisa ba bbaabwe, era nebabakomekkereza, nebakolera ba bbaabwe enkwe, nebeetuusaako ebiwundu ebitonotono oluvannyuma nebagenda nebaloopa ba bbaabwe ku poliisi nga babalanga bweemage, nga bo tebakimanyi nako.

Ekigendereddwa mwekyo kwekulaga nti omusiraamu agoberera amateeka g'obusiraamu, tayinza kusiima kutuntuza mukazi, wadde okumukolako obulabe bwonna. Era nga eddiini yaffe bwetatusomesa kukuba bakazi, era ekigaana n'ekibalira mu kulyazaamanya omukazi, wabula etulagira okusonyiwa, n'okuddiramu abakoze ensobi, nabwekityo okugumiikiriza n'okuyisa obulungi akusobezza, era kirina okumanyibwa nti obusiraamu tebukkiriza kukuba bakazi, wabula bwakifuula ekyeyawulidde mu mbeera nga obufumbo buganye okujjako nga omukyala bamubonerezzaamu, era kwateekebwako obulombolombo obufuula ekitalabikalabika, olw'okutuukiriza ekigendererwa ekikulu okukuuma obufumbo, n'empisa mu maka, n'ensi yonna okutwaliza awamu.

 

 

Ennyingo ey'okuna

Amateeka g'obusiraamu agakwatagana n'okwekuza (okujeema) kw'omukyala.

Omuntu ayinza okugamba nti, abaffe ekisinga obulungi ssi musajja kubuulirira mukyala we amukikinaddeko okusinga okumukuba emiggo, ffe tugamba ddala bwekityo bwekirina okubeera, kubanga yennamula ya Allah Ow'ekitiibwa oyo eyagamba mu kitabo kye ekitukuvu nti: {N'abo abakyala bemutya okujeema kwabwe mubabuulirirenga, eramubasengukenga mu buliri, era mubakube; kyokka bwe babanga babagondedde; temubanoonyangako kkubo (lya kubabonyabonya). Mazima Allah Ye, y'ali owa waggulu, Ow'ekitiibwa.} Essuula annasae:34

Era Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yalaamira abasiraamu mu Hijja yakasibuulo nti: " mubuulirire abakyala okukola obulungi, mazima bbo bayambi gyemuli, temulina kusukka kwekyo, okujjako singa babeera babalize mu bufumbo, bwebabeera basobezza mubasenguke mu kisenge, kwekigaana mubakube olukuba olutakosa mibiri gyabwe, bwebabeera babagondedde, temubakijjanya, mazima mulina ebyetaago eri bakyala bammwe, nabo balina ebyetaago byabwe gyemuli." Tirimithiyyu. Al-Abaan (nnungi).

Nabwekityo tulaba okulamula kwa Allah Ow'ekitiibwa ataddibwa mu nnamulaye, amanyi byonna ebyekwese abaddu byebakola, n'omubaka we ow'ekitiibwa lyekkubo okujjanjaba ekizibu ekiri mu mukyala akikinadde ku musajja we, era yakifuula nga omusajja ayita mu mitendera esatu:

  1. Omutendera ogusooka:

Omusajja asooka kubuulirira mukyala we, mukufaayo okulunngamya, singa abeera omujeemedde, nga tannaba kumusenguka, era ekkubo eryo likakata ku musajja okusinziira ku nnamula y'abamanyi abasinga obungi, era omusajja alina okukozesa olulimi olulungi, n'okusembeza mukyalawe n'okumukwata empola nga akozesa ebigambo ebigonza omutima gwe, era amulage obukulu bwe, era nga bwayagala okulungoosa n'okumubuulirira, era akozese obukodyo bwonna mukumulunngamya, era akimanye nti okubuulirira okuvaamu ebibala tekuva ku mutima mukakanyavu, wadde okukozesa ebigambo ebikakakanyavu n'okuboggoka, wabula olulimi olulungi, n'enkwata ennungi, okugeza nga okumugulira obulabo, asobole okuwuliriza ebigambo byamubuulirira, n'omutima omusiimu, mu mbeera ennungi, esobozesa omukyalina alina amagezi okusobola okwebuulirira n'ebigambo bya bba, nga akulembeza okukuuma amaka, n'okukuza abaana obulungi. Naye omukazi bwabeera nga ssi mulungi, nga tagasibwa na kubuulirirwa kwa bba, wadde okulunngamizibwa, omusajja n'amalayo obukodyo bwe bwonna, olwo omusajja akwata ekkubo ery'okubiri, nga Allah bweyatulagira nakwo kwekusenguka omukazi mu kisenge.

 

  1. Omutendera ogw'okubiri:

Omusajja okusenguka mukyalwe mu buliri, amukube omugongo, agaane okubeera naye mu nsonga z'obufumbo, obutasukka nnaku ssatu, olw'ekigamba kya Nabbi ekigamba nti: " omusiraamu talina kusenguka munne kumala nnaku ssatu." Malik, yeetattibwako Bukhari ne Musilimu.

Amulage nti ssi musiimu kwebyo byakola, ako nno keekakisa ak'okubiri omusajja kalina okukozesa akusobozesa omukazi okweddako, amuweemu akadde yeerowooze, kubanga bwamusenguka okusukka ennaku essatu okwo kubeera kumubonereza sso ssi ku mulunngamya, omukyala bwabeera yezzeeko, nadda mu mbeera, kikakata ku musajja okulekayo okumusenguka, amusonyiwe era amuddiremu, wabula bwabeera akakanyadde, neyeekuza, n'agubira ddala olwo omusajja akwata ekkubo ery'okusatu.

 

  1. Omutendera ogw'okusatu:

Omusajja bwagezaako okulunngamya mukyalawe asiiwuse empisa nga akozesa okumubuulirira, n'ebigambo ebirungi, n'obulabo nebigaana, n'agezaako ekkubo ly'okumusenguka mu buliri, n'okumulaga nti ssi musiimu kubyakola, nalyo nerigwa butaka, olwo omusajja akkirizibwa okubonereza mukyala we olukuba olutali lwamanyi era olutasala mbale. Abamanyi bonna beegatta kukigambo ekigamba nti, kikataka omusajja okugoberera emitendera egyo waggulu, okubuulirira, okusenguka mu buliri, oluvannyuma okubonereza. Atwa-u yabuuza Ibun Abbaasi okukuba okutakosa kwekuliwa? N'addamu nti kukozesa kaswaki, n'ekifaana ekyo!! Hassan Albaswriyyi yagamba nti: kitegeeza okukuba okutaluma mukazi.

Nkulayirira Allah ggwe asoma ebigambo bino; ddala bulumi ki omukazi bwafuna singa akubibwa n'akaswaki? (Akaswaki kati katono nnyo tekasukka na kalaamu nkalu buwanvu), abaffe omuntu akubye mukyalawe nakaswaki ako abaffe ekyo kibalibwa mu bukambwe mu maka?

Bwekibeera nga okukuba omukazi n'akaswaki kibalibwa mu bukambwe mu maka, jangu twekennenye ffenna obutambi bwa firimu ez'abazungu ezikolebwa mu Holand n'ebitundu ebitali bimu, ebigambo ebinyiiza wakati w'abasajja n'abasajja, oba wakati w'abasajja n'abakazi, oba wakati w'omukyala nnankulu n'abakozi be babiri, wakati mu mboozi ezo, nga omu kubo asonga nekkalaamu mukifuba kya munne nga amulabula, oba n'akozesa ennwe ye, oba ekkalaamu enkalu nagisonga mu kifuba kya munne, era mu mbeera ezisinga omu akuba munne oluyi, oba mu firimu zaabwe kituuka n'okubeera nti omukyala akuba bba oluyi olwamanyi ku ttama, oba omusajja n'akuba mukyala we oluyi olwamanyi ku ttama n'atambula n'amuviira, ebyo byonna abazungu tebabibala mu bukambwe obwekitalo mu maka, wabula ebeera mbeera aleetedde omusajja oba omukazi okukuba munne oluyi, ssi nakindi bakitwala nti omusajja oyo oba omukazi mugunjufu, naye tebamanyi nti okukuba omuntu mu kyenyi kibeera haraamu mu busiraamu, wabula basasaanya bulimba ku busiraamu nti buwagira okutulugunya mu maka.

Newankubadde obusiraamu bwakkiriza omusajja akozesezza amakubo agasooka negalema okukuba omukyala, wabula era bwawa omukyala okusaba okuteebwa (khulu-u) singa embeera egaana nga ensonga y'okukuba tennaba kutuukibwako, mu mbeeraeno omukyala yeesalirawo ngabwetujja okulaba mu maaso, tusaba Allah atusobozese.

Ensonga ezo ezogeddwako, emitendera omusajja mwayita okugolola omukyala, tegikozesebwa mu busonga songa obwabulijjo mu maka, wabula ebyo bikola ku mbeera ez'amanyi ezigwaawo wakati w'abafumbo, okugeza singa omusajja agamba mukyalawe nti nfumbira olwaleero mukyere na ngege, omukyala neyeerabira n'afumba mukyere na nnyama, abaffe omusajja asinziire kwekyo akozese emitendera gyetulabye waggulu? Amubuulirire, amusenguke mu buliri oba amukube?!!!

Nedda ssi bwekirina okubeera, ezo nsonga zigwawo bulijjo, n'olwekyo olina kwefuula nga atazirabye, naye bwabeera omukyala nga wa mpisa mbi, nga omutwe mugumu, omusajja n'alaba embeera z'obwononefu mu ye, n'okumujeemera, n'okweraba nti wakitalo!!! Mu mbeera eyo omusajja alina okukozesa emitendera gye tulabye okulongoosa omukazi kubanga yetaaga okulunngamizibwa era nga omulwadde bweyetaaga eddagala okujjanjabwa obulwadde bwalina.

Lowoozamu owange ggwe asoma bino singa omukyala oyo agenda mumaaso n'emize gye, n'okwekuza nga yeelaba nti wakitalo, ebiyinza okwonoona amaka, ssi nakindi n'ekituuka okukutulawo obufumbo nga bamuwadde talaka, nga amalidde omusajja ebiseera bingi okumubuulirira n'okumulunngamya, ssaako okumusenguka mu buliri, byonna nebimuyita ku mutwe, abaffe mbuuza ekisinga kumugoba (bamuwe talaka) oba omusajja amubonerezeemu olubonereza olutamukosa?!! Bwekibeera nga okukuba omukazi kifaananako n'owettulu, awo okugoba omukyala (talaka) muzibe, ate ow'ettulu kabaka ku muzibe, singa omukyala alekebwa bwatyo buli omu nagoba bugobi, amaka gajja kusaanawo, olwo n'ensi yonna esaanewo!!!

Ennyingo ey'okutaano

Amakulu n'ekigendererwa mu kukuba omukyala mu busiramu

Nga ebibiina ebilwanirira eddembe ly'obuntu nga tebinnaba kuvaayo kutaasa mukyala n'abaana ebikolwa eby'obukambwe mu maka, obusiraamu bwebwasooka okulikuuma era nebuziyiza okudibaga eddembe lyabwe era nebukifuula nga musango gwa nnaggommola singa omuntu akikola abonerezebwa ku duniya ne kunkomerero, era tebwakoma kubikolwa byokka wabula bwaziyiza n'ebigambo ebitasaana, mwekyo nno obusiraamu busingira wala amateeka amakolerere ago agakoma ku bibonerezo bye dduniya byokka, okuva emyaka 1400 nnabbi yagamba nti: " omusiraamu yooyo abantu gwebawona olulimi lwe n'omukono gwe, ate omukkirizza yooyo abantu gwebawona abutayiwa musaayi gwabwe, wadde okulya emmaali yaabwe." Annasae. Al-Abaan (nnungi).

Era Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yagamba nti: " omukkiiriza tasojjala banne, eratakolima kolima, era tabeera muwemuzi, wadde omuvumi." Bukhari mu Adabul- mufridu. Albaan (Ntuufu).

Omuntu ayinza okubuuza nti obusiraamu bwagaana butya obukambwe ate nga bwebulagira mu kiseera kyekimu nebukkiriza okukuba omukazi?!

Okwanukula ekibuuzo ekyo tulina okulambika okukuba kyekki mu bulamu obwabulijjo, n'ewakati w'okukuba mu busiraamu. Mubulamu obwabulijjo omuntu bwawulira nti omusajja okubye mukyalawe ekimujjira mu bwongo kusanga mbale n'ankwagulo nga ez'ebisolo ebikambwe, omusajja byatuusizza ku mukazi, eraafuna okusaasira eri omukazi omunaku alyazaamanyiziddwa, akubiddwa nalekebwa mu kkubiro, nga omubiri gwe gwonna kusigaddeko embale n'enkwagulo, ekyokyekitegerebwa mu kukuba mu bulamu obwabulijjo, era nga bwetulabye bangi mu basajja abakuba bakyala baabwe. Abaffe bwenkugamba nti nkubye akade, ekikujjira nti oluggi ndwasizzayasizza?! Yye abaffe bwenkugamba nti ngenda kukukubira ekifananyi, otegeeramu nti nngenda kukikuba nkiyuzeeyuze?! N'olwekyo ekigambo kukuba kikyukakyuka okusinziira ku nkozesa yakyo mu lulimi, n'okusinziira ani akikozesezza era ddi? Tulina kyetutegeera mwebyo byonna okusinziira ku nkozesa y'ekigambo ekyo, nabwekityo amakulu g'okukuba mu busiraamu gaawukanira ddala n'okukuba mu mbeera ezabulijjo, okukubwa okwabulijjo tekukkirizibwa mu busiraamu era musango munene mu busiraamu, era amakulu gombi tegalina wegakwataganira, era okufunza ebigambo, mu busiraamu temuli kukuba mukazi, era tebukikkiriza, era obusiraamu bwagaana okukkakkanya omukazi n'okumukosa okwengeri zonna nebwebibeera bigambo bugambo, wabula okukuba mu busiraamu kubeera kukoonako bukonyi nga bwetwalabye okukuba akade, era ekigendererwa kwekulaga omukazi nti musobya, era okulaga nti omusajja akwatibwaako okumulunngamya, n'okumulaga ekituufu. Obusiraamu bwateerawo a mwalina okuyita okulunngamya omukazi abeera asiiwuse empisa, era emitendera egyo gyegisooka okukuba omukazi, eraomutendera gw'okukuba gwegusembayo, singa egisooka gibeera tegimuyambye, era obusiraamu bwateekawo ensalo singa omusajja azisukka abeera musobya era abeera asusse ensalo za Allah, era abeera agwanira okusalibwa ekibonerezo ku nsi, nekunkomerero, era emitendera egyo gyegino wammanga:

 

Amateeka agafuga okubonereza nga okozesa okuuba:

  1. Okugoberera emitendera gy'okugonjoola obutakwatagana obubeera mu maka, akole kyonna kyasobola mu mitenderaa ebiri egikulembera okukuba, omuli okubuulirira wamu n'okumusenguka.
  2. Okukuba nga akozesa omuswaki, oba ekigwenkana. Omuswaki kaggo tekasukka buwanvu bwa Kalaamu nkalu, buwanvu n'obunene.
  3. Obutakuba mu kyenyi wadde ebifo eby'obulabe ku mubiri kubanga obusiraamu buziyiza okukuba mu kyenyi, abeere nga akuba musajja oba mukazi, kale nebwobeera okuba kisolo tokuba mu kyenyi. Kubanga ekyenyi kyakitiibwa era okukosa ekyenyi kyonoona empuliziganya y'ebiyungo, nabwekityo ebifo eby'obulabe ku mubiri. Era obusiraamu bukigaana ne ssekugaana yenna. Era ezo zensalo za Allah, omuntu yenna asukka ensalo za Allah abeera musobya.
  4. Takuba mukyala nga waliwo abantu abalaba, mu mbeera zonna. Tekikkirizibwa musajja kukuba mukyala we nga waliwo abalaba, n'okusingira ddala abaana be, kubanga okusookera ddala mulimu okukkakkanya omukyala, n'ekyokubiri kikosa endera y'abaana. Nkuza ki eyo enaakuzibwamu abaana nga nnyaabwe akubibwa balaba oba nga bawulira?!!
  5. Okukuba tekulina kubeera nga kukosa omubiri, munda n'ebweru, kiringa bwanasigaza ebiwundu, oba emisalo gya kibooko, oba okumenya ebiyungo bye. Omusajja atuusa ebyo ku mukyalwe abeera musobya, oyo ye muntu nsolo, amanyenya abantu, era abeera tagenderera kulongoosa wabula ayagala kwesasuza ku mukazi nakumulemaza. N'olwekyo okusinziira ku mateeka g'obusiraamu ag'obwenkanya, omusajja oy'ewekikula bwekityo alina okubuuzibwa n'okukangavvulwa mu mateeka.

 

 

 

Ennyingo ey'omukaaga

Okukuba abakazi mu ddiini endala

Okukuba abakazi ssi nsonga eyeeyawulidde ekiseera wadde ekifo ekyenjawulo, wabula kibaddewo okuviira ddala edda ewatali kwawula, ayagala okumanya butya omukazi bweyakwatibwanga mu biseera ebyayita, ebitabo ebyogera kwekyo gyebiri biyitirivu, OKUGEZA eby'ogera ku mukazi mu buyonaani, mu burooma, mu china, buyindi enkadde … n'ebirala, era nabutya abayudaaya bwebeeyisangamu, n'abakurisitaayo mu kukuba abakazi. Era yali nsonga yaabulabe nnyo, era yasaasaana nnyo mu biseera ebyayita, n'emubiseera bya Masiya yennyini. Abaffe kyebuuzibwa Isa Masiya okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yagaana okukuba abakazi nebweguba mulundi gumu gwokka?!! Era abaffe mu bayibuli, mu ndagaano empya oba enkadde mulimu ekyawandiikibwa kyonna nga kyogera ku kuziyiza okukuba abakazi ?!! okusinziira kukunonyereza kwaffe twesanga nga temuli lunyiriri lwonna lw'ogera kwekyo.

Abaffe omukurisitaayo bwakuba omukazi afuna omusango? Era aweebwa kibonerezo ki okusinziira ku bayibuli? Ekituufu nti talina musango gwafuna kubanga tewali lunyiriri luky'ogerako, ssi mundagaano empya, wadde enkadde!!

Nabwekityo mu mateeka tekigaanibwa, era omusajja tavunaanibwa kukuba mukazi okujjako nga asigazza obuufu bw'obulumbaganyi, okugeza nga okusala olubale, oba emisale, oba okuzimba, n'ebirala… ewatali ekyo omukyala anaakakasa atya kkooti nti baamukubye!! Ekitegeeza nti okukuba okutakosa tekuvunaanibwa mu ddiini wadde mu mateeka.

Tutunuleko mu bayudaaya n'ababuda, nabo balina ebyawandiikibwa ebibagaana okukuba abakazi?!!

Tewali kyayawandiikibwa kyonna, mu ddiini zonna kigaana kukuba mukazi okujjako mu busiraamu mwokka!!!

N'oluvannyuma lw'okujjulukuka kw'okukuba omukazi okuva mu haraamu nekufuuka okutamwa, era obusiraamu bwokka bwebutamwa ekikolwa ky'okukuba abakazi!! Wabula zzo eddiini endala tezaayogera kunsonga eyo, ssi kugigaana wadde okugitamwa.

Era tewali ddiini yonna eyogera ku bukwakkulizo bwa kukuba mukazi, wadde okwogera ku ngeri y'okumukuba. Ekitegeeza nti singa omusajja omukurisitaayo singa teyeekomako n'akuba mukazi we, alina kukoma wa? Abaffe obukurisitaayo bwakyogerako okugeza obutakuba mu kyenyi, oba obutasala mbale ku mubiri gwe …. N'ebirala? Mubutuufu tewali.

Omuntu eyekkeneenya embeera gyetuwangaaliramu olwaleero ajja kwesanga nti eriyo ennamba y'abakazi nnene nnyo mu kugeraageranya abakubibwa ba bbaabwe, nga mwotwalidde abakurisitaayo, abayudaaya, oba abalala bonna okuleka abasiraamu, naawe osobola okwenonyeza ku ppliisi ez'enjawulo, n'emisango egiwozebwa mu kkooti, mu Amerika, ne bulaaya, ojja kusanga ennamba y'abasajja gy'otasuubira abakola obulabe ku bakazi baabwe n'abaana baabwe!!!

Ne mukiseera ky'obutamanya mu bawarabu, baakuba nga bakyala baabwe nga abaddu, era kyali kintu kyabulijjo nnyo, nga ssi musango mu ddiini yonna, naye Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye bweyatumibwa, yavumirira ekikolwa ekyo nessekuvumirira yenna nga bweyagamba mu hadith nti: " omu kummwe akkakkana ku mukyala we n'amuligita emiggo nga omuddu, sso nga ayinza okumwetaaga mu nsonga z'obufumbo olunaku gyelunaggweera!!" Bukhari ne Musilimu ago amakulu gali mu kitabo kya Bukhari.

Mu hadithi eyo Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye avumirira omusajja akuba mukyala we ate emisana, najja ekiro nga ayagala kwegatta naye!! Oyinza otya okubeera omukambwe bwotyo emisana, ate nga ojja kwetaaga okukubikka ekiro?!!

 

Ennyiriri ez'ogera ku kifo ky'omukazi mu bayibuli, mundagaano zombi:

Ab'eddiini y'obukurisitaayo batulaga nti Isa Masiya Okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yeeyekka alwanirira eddembe ly'obuntu, mbu era yeeyawa omukazi eddembe rye, eddiini endala yonna lyetaamuwa. Era mbu ekitabo ekitukuvu kyafaayo nnyo okuwanika ekitiibwa ky'omukyala!! Naye ekyebuuzibwa kigamba nti: ebyo eby'ogerwa ddala bikwatagana n'ekikolebwa olwaleero?!!!

Buli omu akimanyi bulungi nti ekitabo ekitukuvu tekikkiriza mukazi kuyingira kifo kisabirwamu mu kkanisa, era nti yo yeetukuza abatukuvu, kabeere mukadde, muvubuka oba muto nga tebaawudde myaka, era tekirina wekyogerwa mu ndagaano empya wadde enkadde nti omukazi akkirizibwa okuyingira mu ssinzizo ekkulu, era tekikkirizibwa mukyala yenna kukuba kabona kaama. Omukyala takkrizibwa kwogera mu ssinzizo oba okumanya omuntu yenna mu kkanisa, era takkrizibwa kukola bwa kabona bwonna, okulekaa okufuuka omusisita aweereza ba kabona sso si ddaala mu buweereza bwa kkanisa!!!!

Era ekitabo ekitukuvu kirambika bulungi emitendera gy'obuwereza bwa Katonda naye bwonna obuweereza bwabasajja, okugeza nga bajjajja abatolooka nga Noowa, youb, Abraham, Izaaka, Yakubu. Oba bakabona abakulu, oba bassekabaka, oba abatume n'abasigirwa baabwe, mu baakabona, bwonna obuweereza bwa basajja. Singa waaliwo omukazi yenna asobola okufna obuweereza mu kkanisa teyandibadde mulala okuleka bikira Maria, era yandibadde musaale nnyo mu kufuna obuweereza bwa kkanisa, naye ekyennaku entaputa y'eddiini yekikulisitaayo omukazi talina kufuna buweereza obwo!!!!

Kale nno katunokoleyo ku nnyriri okuva mu kitabo ekitukuvu tulabe omukazi otunuulirwa atya mu kyo:

  1. Omukazi abonerezebwa kyekimu n'omusajja:

Mu yeerimiya 23:34: "Ne nnabbi ne kabona n'abantu abalyogera nti Omugugu gwa Mukama, ndibonereza omuntu oyo n'ennyumba ye."

  1. Okuyokya omukazi akoze obwenzi:

Ebyabaleevi 21:9 "Era muwala wa kabona yenna, bw'aneevumisanga nga yeefuula omwenzi, ng'avumisa kitaawe: anaayokebwaaga omuliro. "

  1. Okutemako omukono gw'omukazi mu nsonga ezitaliimu.

Ekyamateeka 25: 11-12: "Abasajja bwe babanga balwana bokka na bokka, mukazi w'omu n'asembera okulokola bba mu mukono gw'oyo amukuba, n'agolola omukono gwe, n'amukwata wamberi: 12. omutemangako omukono, eriiso lyo terisaasiranga."

  1. Omukazi agobeddwa, oba nnamwandu, bafaanana kyekimu n'omwenzi.

Ekyabaleevi 25: 7: " Tebawasanga mukazi mwenzi, oba aliko empitambi; so tebawasanga mukazi eyagobebwa bba: kubanga mutukuvu eri Katonda we."

  1. Omukazi agabeddwa okugondera bba amugobye:

Abaefeeso 5:22 " Abakazi, muwulirenga babbammwe, nga bwe muwulira Mukama waffe."

  1. Omukyala okubunira nga ali mu kkanisa:

Abakoliinso1 14:34-35 " Abakazi basirikenga mu kkanisa: kubanga tebalagirwa kwogera; naye bafugibwenga, era nga n'amateeka bwe googera. 35 Era bwe baagalanga okuyiga ekigambo, babuulizenga babbaabwe eka: kubanga kya nsonyi omukazi okwogeranga mu kkanisa."

  1. Omukazi y'ensibuko y'ekibi:

Timoseewo1, 2:11-15 " Omukazi ayigenga mu bukkakkamu mu kugonda kwonna. 12. Naye omukazi mmugaanyi okuyigirizanga, newakubadde okufuganga omusajja, naye okubeeranga mu bukkakkamu. 13. Kubanga Adamu ye yasooka okutondebwa, oluvannyuma Kaawa; 14. era Adamu si ye yalimbibwa, naye omukazi oli ye yalimbibwa n'aba mu kwonoona: 15. naye anaalokokanga mu kuzaala, bwe banaanyiikiranga mu kukkiriza n'okwagala n'obutukuvu awamu n'okwegendereza."

  1. Omusajja yaayimirizaawo omukazi:

Petero1, 3:1-6 " 1. Bwe mutyo, abakazi, mugonderenga babbammwe bennyini; era bwe wabangawo abatakkiriza kigambo, balyoke bafunibwenga awatali kigambo olw'empisa z'abakazi baabwe; 2. bwe balaba empisa zammwe ennongoofu ez'okutya. 3. Obuyonjo bwammwe tebubanga bwa kungulu, obw'okuluka enviiri n'okunaanika ezaabu n'okwambala engoye; 4. naye omuntu ow'omwoyo atalabika, mu kyambalo ekitayonooneka, gwe mwoyo omuwombeefu omuteefu, gwe gw'omuwendo omungi mu maaso ga Katonda. 5. Kubanga bwe batyo edda era n'abakazi abatukuvu, abaasuubiranga Katonda, bwe beeyonjanga, nga bagondera babbaabwe bennyini: 6. nga Saala bwe yawulira Ibulayimu, ng'amuyita omwami: nammwe muli baana b'oyo, bwe mukola obulungi ne mutatiisibwa ntiisa yonna yonna."

Oluberyeberye 3:16 " N'agamba omukazi nti Okwongera nnaakwongerangako obulumi bwo n'okubeeranga kwo olubuto; mu bulumi mw'onoozaaliranga abaana; n'okwegomba kwo kunaabanga eri musajja wo, naye anaakufuganga."

  1. Okukuba omukazi ayenze amayinja okutuusa bwafa:

Ekyamateeka 22: 21-24 "awo ne bafulumya omuwala oyo mu mulyango gw'ennyumba ya kitaawe, abasajja ab'omu kibuga kyabwe ne bamukuba amayinja ne bamutta: kubanga yakola obusirusiru mu Isiraeri, okwendera mu nnyumba ya kitaawe: bw'onoggyanga bw'otyo obubi wakati mu ggwe. 22. Bwe basanganga omusajja ng'asula n'omukazi eyafumbirwa bba, bombi bafenga omusajja eyasula n'omukazi, n'omukazi: bw'otyo bw'onoggyanga obubi mu Isiraeri. 23. Bwe wabangawo omuwala atamanyanga musajja ayogerezebwa omusajja, omusajja n'amusanga mu kibuga n'asula naye; 24. bombi munaabafulumyanga eri wankaaki w'ekibuga ekyo, ne mubakuba amayinja n'okufa ne bafa; omuwala kubanga teyakuba nduulu, ng'ali mu kibuga; n'omusajja kubanga yatoowaza mukazi wa munne: bw'otyo bw'onoggyanga obubi wakati mu ggwe."

  1. Omukazi wa wansi ku musajja:

Abakkolinso1, 11:3-10 " Naye njagala mmwe okumanya ng'omutwe gwa buli musajja ye Kristo; n'omutwe gw'omukazi ye musajja; n’omutwe gwa Kristo ye Katonda. 4. Buli musajja bw'asaba oba bw'abuulira, omutwe gwe nga gubikkiddwako, aswaza omutwe gwe. 5. Naye buli mukazi bw'asaba oba bw'abuulira, omutwe gwe nga tegubikkiddwako, aswaza omutwe gwe: kubanga bwe bumu ddala ng'amwereddwa. 6. Kuba oba ng'omukazi tabikkibwako, era asalibwenga enviiri: naye oba nga kya nsonyi omukazi okusalibwanga enviiri oba okumwebwanga, abikkibwengako. 7. Kubanga omusajja tekimugwanira kubikkibwanga ku mutwe, kubanga oyo kye kifaananyi n'ekitiibwa kya Katonda: naye omukazi kye kitiibwa ky'omusajja. 8. Kubanga omusajja teyava mu mukazi; wabula omukazi ye yava mu musajja: 9. era kubanga omusajja teyatondebwa lwa mukazi; wabula omukazi olw'omusajja: 10. kyekiva kigwanira omukazi okubangako akabonero ak'okufugibwa ku mutwe gwe olwa bamalayika."

  1. Ensomesa ya didasikaliya ku mukazi:

Omulyango ogw'okusatu mu didasikaliya: omutwe gugamba nti: (Abakyala balina okwewaayo eri ba bbaabwe) agamba nti: " omukazi yeewengayo eri bba, kubanga omutwe gw'omukazi ye balo…, tya nnyo mukazi gwe balo, omukwatibwe n'ensonyi, eri soiimise ye yekka oluvannyuma lwa Katonda, era nga bwetwagambye, muwereze omukkakkanye asobole okukusembeza gyali… bwoyagala okubeera omukkiriza era Katonda akusiime, teweewunda kusiimisa basajja beebweru, era tewegomba kwambala nkunamyo wadde obugoye obutangaavu obutagwanira okujjako abenzi, baleke kukugoberera abo abayigga abeeyisa batyo. Nebwobeera tokoze bikolwa byabuwemu kufuna kibi, okwewunda kwokka kukusembeza kwekyo, kubanga osikiriza abakulaba okukugoberera n'okukwegwanyiza, lwaki teweekuuma mukazi ggwe, aleke kugwa mu kibi, oba oleme kuleetera muntu yenna kukubuusabuusa oba okukwatibwa ebbuba olw'ebikolwa byo, bwokola ensobi olw'okulemera ku kikolwa ekyo, naawe ojja kuseerera ogwe, olwokuba obeera nsonga y'okuzikirira kw'omyo gwo musajja oyo. Singa okola ensobi kw'omu n'ekikolwa ekyo omulundi gumu, ebeera nsonga ey'okusobyako kubalala balala bangi, era essuubi lyo ttono, era nga ekitabo ekitukuvu bwekigamba mu engero 18:3 " Omubi bw'ajja, n'okunyooma kujja, Era awamu n'okuswazibwa ne wajja n'okuvumibwa." Buli mukazi yenna akola ekyo ajja kuzikirira n'ekibi, era ajja kugoberera abasirisiru mu bujeemu. Tegeera ekitabo ekitukuvu byekyogera ku mukazi yenna alimba abasajja bwebatyo, bayibuli egamba nti: " omukazi omwonoonefu mubi okusinga okufa, oyo nno keekatego k'abasirusiru." Era egamba ewalala nti: " nga ekiwuka bwekirwa okiti, nabwekityo omukazi omubi bwazikiriza bba." Era egamba nti: " abeera bulungi asula mu kasolya okusinga okusula n'omukazi omwonoonefu munju". Tomubeera nga abo abakazi mwe mwe abakazi abakurisitaayo, bwemuba mwagala okubeera abakkiriza. Bwotambula mu kkubo, weebikke omutwe n'essuuka yo, bwonebikka nga oyagala kwekuuma ojja kuwona okulabibwa abakyamu. Towunda kyenyi kyo Katonda kyeyakuwa, kubnga temuli kamogo koobuzaabuza, kubanga buli Katonda kyeyatonda kirungi nnyo, era tekyetaaga kumala kukiwunda. Nabuli ekisukka ku bulungi Katonga bwewakuwa kubeera kukyusa kyengera kya Katonda. tamubula nga otunudde wansi, nga weebisse buli luuyi, weewale buli mukwano gwo atali mulungi, oyo eyegwanyiza abasajja, bangi abakyala abawangaala n'abakazi abagwenyufu, omukazi omulongoofu tanaaba na basajja. Bwobikka ekyenyi kyo weewale nnyo obutatunuulirwa masajja abagwira bootamanyi) … ekikukakatako bw'obeera mukkiriza weewale buli kintu ekisusse, n'okwalabibwa kw'amaaso agasinga obungi… (okubeera mu nsiko kisinga okubeera n'omukazi omubi alasana."

 

 

Ennyinggo ey'omusanvu

Okukuba abakazi mu bitundu byabulaaya eby'abakulisitaayo.

Abalabe b'obusiraamu bangi bagezezzaako okusaasanya ebibuzaabuza okujja abantu ku busiraamu, nga mwemuli n'ensonga y'okukuba abakazi, nga bakozesa olulimi lwabwe olw'okumatiza abantu olumanyikiddwa, era nebaleka obujulizi okuva mu Kur'ane, ne hadithi z'omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye ebiwakanya endowooza zaabwe, nebeerippa kwebyo ebiwagira endowooza zaabwe. Ekyekulabirako ensonga y'okukuba abakazi mu busiraamu ey'ogerwa nga telina mutwe namagulu, basobole okusaasanya obulimba ku busiraamu, nga bakozesa enkwe envundu, so nga bali wala nnyo n'ekituufu, nabwekityo ennambulula y'omulamwa ogubeera gutunuulirwa, tebayogera ku mulamwa mu bujjuvu, wabula balombojjayo kyebagala, ekireetera okulowoozesa abantu obubi n'okubatabika, nga baagala obulimba bwabwe ku busiraamu, nga beefuula abalina enkolagana ennungi wakati w'abakazi ne ba bbaabwe, naye nga mubutuufu bali wala nnyo n'amazima gano wammanga:

Ekisooka: obusiraamu y'eddiini yokka eyayogera ku nkolagana ey'okusasiragana n'omukwano wakati w'abafumbo ababiri, era y'eddiini yokka eyaziyiza okunyiiza omukazi mu bikolwa n'ebigambo. Agamba Allah ow'ekitiibwa: {era ne mu bubonero Bwe (ebyengera bya Katonda eri mmwe abantu) kwe kubatondera mmwe nga aggya mu mmwe mwennyini abakyala mulyoke mutebenkere gye bali, era yassa wakati wammwe okwagalana n'okusaasiragana. Mazima mwebyo mulimu obubonero eri ekibiina ekifumiitiriza} Essuula Arruum: 21.

Ekirina okumanyibwa nti okusaasirigana n'omukwano tebibeerawo okujjako nga obufumbo butuufu mu ddiini.

Eky'okubiri: obusiraamu y'eddiini yokka eyavumiriraokukuba omukazi, n'okumukkakkanya, n'okumunyooma, okuva emyaka 1400, era ako kabeera kamogo ku musajja. Nebwetunoonya mu kitabo ekitikuvu eky'abakurisitaayo, mundagaano enkadde n'empya, tetujja kusangamu lunyiriri lwonna lwogera wadde olulaza ku kugaana okukuba omukazi.

Eky'okusatu: mazima obusiraamu bwakubiriza okuyisa bulungi omukazi, zonna Ayaatu za Kur'ane, ne hadithi z'omubaka ez'ekitiibwa ezikwatagana ku nk'olagana wakati w'abafumbo zikubiriza enkolagana ennungi, n'okweyisa obulungi ku bafumbo ababiri buli omu eri munne. Agamba Allah Omugulumivu: {Era balina abakyala (bye bavunaana abasajja) okufaanana nga ebyo ebiri ku bo (abasajja bye babavunaana) naye babikola mu ngeri y'obuntubulamu…} Essuula bakara: 228.

Eky'okuna: mazima obusiraamu bwafuula enkolagana wakati w'abantu, okusingira ddala wakati w'abafumbo ababiri nga kiriko empeera nnyingi. Agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: " toyinza kusaddaaka kintu kyonna nga onoonya mpeera okuva ewa Allah okujjako nga Allah akusasula empeera, nebwebeera ntongi gyoteeka mu kamwa ka mukyalawo mulimu empeera." Bukhari ne Musilimu.

Eky'okutaano: obusiraamu bwakkiriza okukuba omukyala nga tekyebereka, wabula ssi nsibuko. Era okukuba kwateekebwako obukwakkurizo, ekitasobozesa musajja kukuba okujjako nga akakiddwa bukakibwa, era nga lye kkubo erisembayo okusobola okutangira ekizibu ekisinga ekyo obunene, olw'ensonga abakazi baawukana, okusinziira ku mirembe, n'enitundu mwebawangaalira. Ekirongoosa abamu ate tekikola walala, sso nga ate kiyinza n'okwongera okwonoona obwononyi. Oba ekkuba erilongoosa omukazi mukiseera ekimu tekisobola kulongoosa mulala mu mulembe omulala, ekyo nno kiraga bugazi bwa busiraamu, era nti bufaayo okutuukana na buli mbeera yonna.

Eky'omukaaga: obukambwe mu maka busaasannye nnyo mu nsi ezaakulakulana ezisinga obungi ensangi zino, bameka mubasajja abazungu abakurisitaayo abakoze obulabe obweyolefu ku bakyala baabwe mu lujjudde, ku bisaawe bye nnyonyi, ne mu wooteri ewatundibwa emmere, ne mumakubo mumaaso g'abantu abatambula. Bino byenjogerako ssi byama wabula bisaasana ku mikutu gy'ebyempuliziganya egirabwako ebifananyi ne gy'amaloboozi.

Bameka mu bakyala abakurisitaayo abazungu mu Amerika ne Kanada, nebulaaya okutwaliza awamu, ne mu Istrereliya abagenze ku poliisi nga baloopa ba bbaabwe olw'okubakolako obulabe nga babakuba, era emisango gino tegitunuulirwa okujjako nga omukazi alina obujulizi obweyolefu nga bwetwakirabye, kisoboka okubeera embale, oba okumenyeka, omusaayi ogwekutte mu maaso, oba mumaaso olw'okukubibwa, asobola okulondoola okubalirirakwa poliisi mu Amerika, oba bulaaya, oba Isitureeliya ajja kuzuula obulambulukufu bwakyo.

 

Okusaasaana kw'omuze gw'okukuba abakazi mu bulaaya:

Ekisobola okunnyonnyola okusaasana kw'ebikolwa ebikambwe mu maka mu bulaaya abo abeefuula abakulembeddemu enkulakulana (enkulakulana y'obuntu sso si olw'ebyo byebalina) byebimu ku bino wammanga:

  1. Okusaasaana kw'ebibiina ebya gavumenti nebitali bya gavumenti, ebilwanisa obukambwe obukolebwa ku bakazi, wadde nga tebisobodde kukilwanisa.
  2. Ebirango ebikubibwa entakira ku mikutu gye'byempuliziganya ebikubiriza abemirirwano okuloopa omuntu yenna akola obulabe ku mukazi we mbagirawo.
  3. Ebibuuzo ebibuuzibwa abantu mu mbeera ez'enjawulo mu bulaaya nga nabyo mulimu bino wammanga:

Wali okubyeko mukazi wo nebwegubeera mulundi gumu gwokka?

Wali olabyeko, oba wali owuliddeko kitaawo nga akuba Nnyoko?

Wali owuliddeyo omuntu yenna mubantu nti yali akubye mukazi we?

Wali owulidde mulirwana wo nga akuba mukazi we?

Ekigendererwa mu bibuuzo ebyekikula bwekityo, kukakasa okubeerawo kw'omuze gw'abasajja okukuba abakazi mu ddiini y'abakuristaayo, mu bulaaya ne Amerika, ne Kanada, ne Austria, era omuze ogwo gusaasanye nnyo mu bitindu ebyo olusaasaana olw'amanya.

Oluvannyuma lw'ebyo byonna, buli muntu omwenkanya ku bulungi bw'obusiraamu bwebulina eri omukazi, n'okubeera nti y'eddiini yokka eyagulumiza omukyala n'emuwa ekitiibwa kye, n'emutaasa ku buli yenna ayagala okutyoboola ekitiibwa kye, na buli aziimuula okwekuuma kwe, era bwewaza ne ssekwewaza yenna okulyazaamanya omukazi, nga bweyagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: " mbeewaza nessekwewaza yenna ebintu bya

Abanafu ababiri, mulekwa n'omukazi." Ahmad ne Nnassae, Albaan (aljaamea 2447)

 

 

 

Okufundikira

Mazima obusiraamu y'eddiini ya Allah eyoolubeerera gyeyasiimira abantu nga agiyisa ku lulimi lwa Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, era obubaka buno obwa Katonda bwayolesa okuviira ddala ku ntandikwa y'okukka ekitiibwa omuntu kyalina okukira ebitonde byonna Allah byeyatonda. Allah agamba nti: {mazima twawa ekitiibwa omwaana w'omuntu ne tubawa eby'okubasaabaza ku lukalu ne mu nnyanja. era ne tubagabira mu birungi ne tubasukkulumya olusukkulumya ku bingi mw'ebyo bye twatonda} Essuula al-israai:71.

Era oluvannyuma lwa Allah okulaga omuntu ekitiibwa kye nti y'asinga ebitonde byonna ekitiibwa, era yabategeeza nga abantu bonna bwebenkanankana mu ntandikwa, ne mu kutondebwa, n'agamba Allah nti: {Abange mmwe abantu! Mutye Mukama wammwe oyo ayabatonda ng'abaggya mu mwoyo ogumu (Jjajjamwe Adamu), era n'atonda nga aggya mu ye mukyala we (Haawa), n'assaasaanya nga aggya mu bo bombiriri abasajja bangi n'abakazi. Era mutye Allah oyo gwe musabagana naye (ebyetaago byammwe wakati wammwe), (era mutye) n'oluganda. Mazima ye Allah yali (okuva edda nedda) omulondoozi (omukuumi) ku mmwe (alaba buli kamu kemukola)} Essuula Annisaa:1

Okuviira ddala ku nsibuko eyo, buli muntu yenkana ne munne ebbeeyi ey'obuntu, era buli omu aweebwa omukisa okwolesa ekirowoozo kye, n'okuganyurwa mwebyo ebyengera Allah byeyassa kuno ku nsi, newankubadde waliwo enjawulo wakati waabwe mu langi, n'endyo, n'embeera z'okuwangaala, sso ssi kusinziira mu njawukana wakati w'okutondebwa kwabwe, era Allah tasukkulumya wakati w'abantu kusiinziira ku kikula kya muntu musajja oba mukazi, oba elangi, wadde olulyo, wabula bonna ewa Allah bali kyekimu, omusajja n'omukazi, omugagga n'omwavu, omukungu n'omuntu w'abulijjo, wabula ye Allah ow'ekitiibwa era ali okumpi naye yooyo, asinga okuteeka mu nkola amateeka ga Allah, n'obulunngamu ku kkubo eggolokofu, era Allah agamba nga annyonnyola abantu ensibuko eyo nti:{Abange mmwe abantu! Ddala ffe twabatonda nga tubaggya mu musajja omu (yekka Adam) n'omukazi (Haawa), ne tubafuula okuba amawanga n'ebika mulyoke mumanyagane musobole okuyambagana (sso ssi kunyoomagana n'okunenenngana). Mazima abasinga ekitiibwa mu maaso ga Allah y'abasinga okutya (Katonda ng'alongoosa ebikolwa bye). Mazima Allah amanyi, alaba (ebyama tewali kimwekweka).} Essuula Hujraat: 13

Ensomesa y'obusiraamu yenkanyankanya omuntu ne munne mu nsibuko yaabwe, n'omuwendo gw'obuntu, era bwafuula omukazi nga yenkana omusajja mu buli kimu, okujjako mumbeera eteebeereka. Allah agamba nti: {N'abakkiriza abasajja n'abakkiriza abakazi, abamu mu bo mikwano gya bannabwe;} Esuula Attawuba: 71.

Era agamba Allah omugulumivu nti: {N'abaanukula Mukama waabwe (okusaba kwanbwe ng'agamba nti:) Mazima nze Siyonoona mulimu gwa mukozi yenna mu mmwe, k'abe musajja oba mukazi kubanga abamu bava mu bannaabwe.} Essuula Aal- Imraan:195.

Kisaanira mu bufunze okumenyayo ebirowoozo bino wammanga:

  • Mu bimu ku byenkakasa nti bituufu nngamba nti, omukazi tafuna ddembe, era tajja kufuna ddemberye mu bujjuvu okujjako mu busiraamu, olw'ensonga nti ddiini yava mu ggulu, eyagituwa ye nannyini kutonda muntu, omusajja n'omukazi, era yaasinga okumanya ekibasaanira ku nsi ne kunkomerero.
  • Tetulina kulamula busiraamu nga tukozesa ebikolwa by'abasiraamu abamu, kubanga bangi abeeyita abasiraamu nga mubwo tebalinaamu kifo, kubanga obusiraamu ssi kwatula Ashihadu yokka, wabula yo nzikiriza nakukola. Eky'okulabirako weesanga abasiraamu bangi nga balimba, bakumpanya, era nga bakola emirimu emibi, naye ekyo tekitegeeza nti olwo obusiraamu bubeera bulagira ebikolwa ebyo, wadde okubikkiriza!!! Ekirina okumanyibwa nti obusiraamu lugo lunene olwetoloodde abasiraamu bangi nnyo, mubo mulimu abatuukiriza amateeka nga basemberera okubeera abatuukirivu, era mubo mulimu abeekina, nga bakola ebibi ebibakakasaako ebibonerezo ku nsi ne ku nkomerero, naye nga tebibafulumya mu lugo lwa busiraamu. Abo beebayitibwa abasiraamu aboononefu, oba abajeemu.
  •  Nkowoola abatali basiraamu bonna okwetongoola mu ndowooza nga tebeemalira ku balala mu ndowooza zaabwe, wadde okubuulirira kwabwe, era mbakubiriza basome ku busiraamu okuva mu bitabo ebyesigibwa asobole okumanya ekifaananyi ekituufu ku busiraamu n'enkola yaabwo, n'olwensonga nti ddiini ya Katonda, buli agisomako nga talina kyekubira yenna nga ddala ayagala kumanya mazima, nkikakasa bulungi nti, Allah ajja kumulaga ekituufu, era Allah ajja kumulunngamya eri ekitangaala, era Ajja kumulunngamya eri ekkubo eggolokofu, eryabo beyayagaliza ebirungi.

Omuwandiisi ayitibwa L. Veccia Vaglieri[86] mu kitabo kye (okulwanirira obusiraamu), newankubadde si musiraamu agamba nti: "olw'okwewala obutayinulwa mize mibi, n'olwokuziyiza ebivaamu kikakata ku mukazi okubikka omubiri gwe gwonna nga akozesa Hijaabu, erekawo ebiyungo byokka ebimuwa eddembe rye ng'amaaso n'ebigere, ekyo si kutyoboola bakazi, wadde okubakugira ebirowoozo, wabula tubatangira amaddu g'abasajja. Era ensibuko eyo enkulu ennyo, n'ennamula y'okukuumira abakazi ewala n'abasajja, n'obulamu obw'ensa obujjudde empisa mwakulidde, byebifudde ensi z'ebuva njuba okubeera nga tezimanyi bakazi beetunda okujjako mu bitundu abwagwira mwebeegazanyiza. Bwewabeera nga tewali muntu yenna ayinza kwewussa ku muwendo gwebyo, kitukakatako ffe okukkiriza nti ensibuko y'okulaalika hijaabu erina emigaso egitamanyiddwa muwendo gwajo eri mu bitundu by'abasiraamu.

 

 

WWW.ISLAMLAND.COM

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

2) bwekitaba bwekityo eddembe ly'abo bebatugumbula nebawamba ensi zaabwe nebagobaganyizibwa, eby'obugagga byabwe nebibbibwa. Kale okubanja eddembe erisembayo okumpi eryabayala n'abalwadde mu nsi ezimu enjavu nga ffe abasiraamu tusaba baleme kutelemesa tubawe obuyambi nga Allah bweyatulagira okudduukirira abeetaavu olw'okunoonya empeera gyali.

[2]) The debuchery of Amerikan Womanhoot Bikini vs. Burka (مجلة المستقبل الإسلامي العدد العدد 146)

[3] Yayogerwa Bukhar (2/882).

[4] biri mu kitabo ekiyitibwa okusalawo n'okugera kwa Allah ekya Sheikh Muhammad Mutawallah Asha'araawi 130 -132.

[5] Engero entukuvu mu Diini ezaasooka pg 168 (الأسفار المقدسة في الأديان السابقة د/ علي عبدالواحد وافي ص 168)

[6] Biki ensi byewafiirwa olw'okukkakkanya abasiraam. (ماذا خسر العالم بانحطاط المسلمين. للندوي)

[7] Omukyala mu China Dr. Durant

[8] engero z'enkulakulana, Omukyala mu China ekitundu 4/1

[9] enkulakulana y'abawarabu Dr. G. Lebon (حضارة العرب ص 407)

[10] enkulakulana y'abawarabu Dr. G. Lebon (حضارة العرب ص 408)

[11]mu kitabo; okugerageranya amadiini Dr. G. Lebon (مقارنة الأديان د/ أحمد شبلي ص 186

[12] engero z'enkulakulana W. Durant (قصة الحضارة 7/ 117-118)

[13] Amateeka g'abayudaaya n'enkola yabwe.. Haakham Raay Sulaiman jaaz Fareid (pg 22)

[14] Abudawuud 1/61 (hadith eya 236).

[15] musilimu 2/1108 (1479).

[16] swahiihi Ibin Hibbaan 9/483 (4176) hadithi ntuufu kunnamula ya Albaan (swahiihi sunani Abii Dawuda).

[17] Bukhari 3/1160 (3008)

[18] Bukhari 1/ 141 (350).

[19] Tirmizhi 4/141 (1579) (hadithi ntuufu kunnamula ya Albaan, swahiihi aljaami (1945).

[20] Ibun Hibbaan 10/51 (4240) (Hadithi ntuufu ku nnamua ya Albaan mu kitabo kya Abu Dawuda).

[21] Bukhari 1/304 (853).

[22] Abu dawuda 2/283 (2276).

[23] Bukhari 5/2235 (5651).

[24] Ibun Maajat 1/81 (ntuufu kunnamula ya Albaan; swahiihu aljaamiu: 3913).

[25] Bukhari 5/1955.

[26] Bukhari 6/2546 (6546).

[27] Ibun Hibbaani 2/189.

[28] yayogerwa Bazzarnmu kashifu astaari (1893).

[29] Mustadriku 1/131 (ntuufu: Albaani; aswahiihat (1015).

[30] Bukhaari 5/ 2032 (4998).

[31] Attabaraani (swahiihi aljamiu (80)

[32] Bukhari (2334)

[33] Ibun Hibbaan 10/7 (4207) (ntuufu: Albaan. Assilsilatu asswahiihat: 2077)

[34] Muslim (1218).

[35] Bukhari (5049).

[36] Bukhari (1867).

[37] Muswannafu AbduRrazaake (12594)

[38] Muslim (1437).

[39] Bukhari (3153).

[40] Muslimu (1469).

[41] Ibun Hibbaani (4176) (ntuufu: albaani, swahiihi aljamiu).

[42] Ibun Hibbaan (4691) Ntuufu: Albaani: Al-irwaa (1502).

[43] Annasae ne Twabaraani.

[44] Bukhari (644).

[45] Bukhari (4947).

[46] Abu Dawuda (2142) Ntuufu Albaani.

[47] Bukhari.

[48] Almustadriku (244).

[49] Musilimu (2761).

[50] Ibun Maaja (1996). Ntuufu Al-albaani sahiihi abi Dawuda.

[51] AlMustadrik (7248).

[52] Bukhari (5626).

[53] Bukhari (5630).

[54] Ibun Hibbaan (429).

[55] Muslimu.

[56] Bukhari (Al-adab al-mufridu).

[57] Tirmithiyyu.

[58] Bukhari (3253).

[59] Musilimu (2549).

[60] Bukhari (2152).

[61] Bukhari (2552).

[62] Bukhari (467).

[63] Musilimu (2556).

[64] Ibun Huzaima (2067).

[65] Bukhari (5668).

[66] Bukhari (5670).

[67] Bukhari (5038).

[68] Abu Nuayimu yajoogera mu kitabo ((Al-hilyat)).

[69] The Documentary of Amerikan womanhood.

[70] Ahmad (22265).

[71] omukazi mu Kur'ane, kyawandiikibwa Abbas Mahmood al-Akkaad.

[72] Ibun Hibbaan (4156)

[73] Ahmad ne Tirimithi (Albaan yagamba nti ntuufu).

[74] Umdat Tafsiir (Ahmad Shakir).

[75] omukyala mu kuraane (المرأة في القرآن الكريم).

[76] Man The Unknown P.93

[77] - swahihi Albukhali  v1 p304 hadith 853

[78] - swahihi sunani bin maja: 2363

[79] - amalu almar-ati fi almizaani dr \Abdul Llahi Bin Wakil Alsheikh

[80] Ibun Hibbaani (4075) Hadith ntuufu – Albaani ne Alnaa-uut.

[81] Bukhari (6546).

[82] Bukhari (4843).

[83] almustadriku (2695), hadith nnungi – Al-baan.

[84] Bukhaari (1763).

[85] Bukhar.

[86] omukyala ono munna Italy, ow'omulembe guno, ataddennyo amanyi mu kumanya ebyafaayo by'obusiraamu ebiriwo kati, n'ebyedda.