Okuziyiza okukuba abakazi mu busiraamu

Okuziyiza okukuba abakazi mu busiraamu

Okuziyiza okukuba abakazi mu busiraamu

تحريم ضرب النساء في الإسلام باللغة اللوغندية

 

 

Ahmad Al-Amiir   ne   tasaakuurah Fayifaan.

د. عبد الرحمن بن عبد الكريم الشيحة

 

 

Kivvunuddwa:

EUROPEAN ISLAMIC RESEARCH CENTER (EIRC)

المركز الأوروبي للدراسات الإسلامية

&Muhammad Ahmad Kaweesi

Nekikakasibwa:

Khalid Jemba

 

 

WWW.ISLAMLAND.COM

 

 

 

Okuziyiza okukuba abakazi mu busiraamu

Ennyanjula

Amatendo amalungi era amajjuvu ga Allah oyo eyatuma Muhammad nga musanyusa era nga mutiisa, omukoowoze okudda eri Allah olw'ekiragiro kye, era nga ttaala eyakaayakana. Era amatendo ga Allah oyo eyagulumiza ba swahaaba ba Nabbi n'abawa ekitiibwa ekyawaggulu ennyo. Tusaba Allah asse okusaasira n'emirembe ku Muhammad, n'abantu be, n'abagoberezi be, okusaasira n'emirembe ebigoberegana mu bungi.

Oluvannyuma lw'ebyo:

Obubaka buno (ekitabo) kiwandikiddwa nga kwanukula abo sitaane beyeeyinuza, n'ebabuza olubuza olunene ennyo, ensonga y'okukuba abakazi yakyaka nnyo mu busiraamu mu nkunngana nnyingi, era netulaba empapula ez'enjawulo ku mutimbagano gwe by'empuliziganya, nga waliwo abawa okulamula ku nsonga eno nga tebalina kumanya kumala, era bangi ku bakiikira obusiraamu ensingo nebabeera kwekyo, olw'o nebalimbira kwekyo buli kirimbo ekitalina nansibuko mu busiraamu. Nenjagala nsembereze omusomi ow'ekitiibwa, endaba y'obusiraamu ku kukuba omukyala, n'enjawulo ey'amanyi eriwo wakati w'endaba y'obusiraamu n'eddiini endala. Y'eddiini yokka eyayogera ku kuziyiza okukuba omukazi, k'abeere nga akyali mwana muto oba nga mukulu. Era eno y'ennambulula ku nsonga eyo, oluvannyuma mmwe mujja kusalawo oluvannyuma lw'okusoma n'okumanya obujulizi.

Omuwandiisi…….

Ahmad Al-Amiir.

 

 

Ennyingo esooka

OKUTEEKULULA EBIKOLWA OKUSINZIIRA KU MATEEKA G'OBUSIRAAMU

Ebikolwa by'abantu byonna n'emirimo gyabwe giteekululwamu emiteeko gino wa mmanga mu mateeka g'obusiraamu:

  1. Eby'obuwaze (eby'etteeka): era omuteeko guno gwegusembayo waggulu mu bibanjibwa omuntu, era by'ebikola /emirimo ebyalagirwa omuntu okubikolwa ewatali kwebuzaabuza kwonna, nga esswala, okusiiba, okusoma Kur'ane. Ebikolwa ebyo n'ebibifaanana byatteeka okubikola, abikola afuna empeera ennungi, ate abirese afuna omusango (abonerezebwa).
  2. Ebikubirizibwa okukolebwa (ebyakyeyagalire): buli kyonna ekyalagirwa okukolebwa mu busiraamu, nga singa omuntu abeera akikoze afuna empeera, era tafuna musango singa abeera akirese. Eky'okulabirako nga okusenya nga ogenda okusaala.
  3. Ekikkirizibwa okukolebwa (halaali): buli kyonna ekitaliiko mpeera mu kukikola, wadde omusango mu kukireka. Okugeza nga okutambula, okwebagala ekidduka, n'ebirala byonna omuntu byakkirizibwa okukola mu bulamu bwe obwabulijjo.
  4. Ekitamwa: buli kyonna amateeka g'obusiraamu kyebwaziyiza okukola, nga singa omuntu akireka afuna empeera ennungi, wabula tabonerezebwa yenna akikoze, newankubadde kikubirizibwa okukireka n'okukyewala n'ebiyinza okukyesembereza. Wabula okuddirinngana ekintu ekyo kiyinza okusembeza akikoze eri okusukka ensalo z'amateeka ga Allah, oba okumusembeza eri haram. N'ensonga enkulu emabega w'ekyo, kwekumanya nti: tafuna musango abeera akikoze, newankubadde kitamwa, olw'ensonga nti omuntu ayinza okukakibwa okukikola, era nga abantu bangi bakikola olw'obwetaavu obuliwo ate nga oluusi natteeka mu busiraamu. Eky'okulabirako; okugoba omukazi (talaka) Allah akitamwa, naye ate teyakiziyiza baddu kukikola, asobole okubanguyiza singa kibeera kyetaagisizza.
  5. Ekyaziyizibwa (haraamu): buli kintu kyonna Allah kyeyaziyiza, nga kuliko obujulizi obweyolefu, omuntu akikoze afuna omusango (abonerezebwa) sso nga akirese afuna empeera ennungi.

 

Enjawulo eri waakati wa halaali ne Haraamu.

Okumanya halaali n'okumwawula ku haraamu gwemuzimbo gw'obusiraamu, era ly'ekkubo ly'obukkiriza, era kikwatagana n'emirimu gy'omutima nga bwekikwatagana n'emirimu gy'ebiyungo. Era ensibuko ya buli kintu kibeera kikkirizibwa okukolebwa (kibeera kya halaali) okujjako ekiriko obujulizi obw'eyolefu obukiziyiza. Okuziyiza n'okukkiriza ekint mu mateeka keyawulidde eri Allah yekka, kubanga Ye Mutonzi, Omulabirizi wa buli kimu, ayanguyiriza abaddu be, era agabirira, abakkiriza bakole ky'ayagadde eri n'abaziyizaako ky'ayagadde. Wabula ol'wokusaasira kwa Allah n'obulungi bwe gyebali, yateekawo ensonga enneyolefu kwasinziira okuziyiza oba okukkiriza okukola ekintu, erabonna birina emigaso egidda eri abaddu be. N'olwekyo takkiriza okujjako ekirungi, era taziyiza okujjako ebibi.

 

Okujjulukuka kw'ekikolwa okuva mu muteeko okugenda mu mulala.

  1. Okujjulukuka kw'ekikolwa okuva mu halaali n'ekifuuka haraamu, n'ekyennyume:

Ekikolwa ekya halaali kisoboka okufuuka haraamu, singa wabeerawo ensonga ezikikyusa, mu kifo ky'okubeera ekirungi, ekisanyusa omuntu, nekifuuka ekibi ekimukosa, okugeza okutambula mu kkubo ensibuko yakyo kikkirizibwa (halaali), wabula kisoboka okufuuka haraamu okuyita mu kkubo, singa omukulembeze ayisa etteeka nti tekikkirizibwa kutambula luvannyuma lwa ssaawa nnya ez'ekiro mu makubo agamu, oba ebibuga ebimu, olw'embeera z'ebyokwerinda, ekiyinza okuviirako okuteeka obulamu bwe mu matigga.

  1. Okujjulukuka kwekikolwa eky'etteeka nekifuuka haraamu (ekyaziyizibwa) n'ekyennyume:

Ekikolwa eky'obuwaze kisoboka okufuuka haraamu, era nga bwekisoboka okujjulukuka n'ekiva mu haraamu nekifuuka eky'etteeka okukolebwa, mungeri yeemu nga bwolabye omuteeko oguvuddeko. Okugeza esswala yalaalikibwa, wabula esobola okufuuka haraamu singa abeera mu muzimbo nga musisi omungi ayita, nga akakasa bulungi nti musisi oyo tajja kulekawo kizimbe ekyo, era obulamu bwe buli mu matigga singa tafulamamu mu bunnambiro!! Oky'ekulabirako eky'obiri; okutemako okugulu kw'omuntu tekikkiirizibwa, kiri haraamu, wabula singa omusawo talina ngeri gyatasaamu mulwadde okujjako nga akutuddeko kugulu kwe, oba sikyo nga omulwadde agenda kufa, mu mbeera eno; kifuuka kyatteeka ku musawo okutemako okugulu kw'omulwadde okusobola okutaasa obulamu bw'omulwadde, bwatakikola abeera azzizza musango, era avunaanimbwa mu mbuga z'amateeka olw'okulagajjalira obulamu bw'omulwadde.

  1. Okujjulukuka kw'ekikolwa ekitamwa nekifuuka ekikubirizibwa okukolebwa, oba okujjuukuka ekikolwa ekya ssunna n'ekifuuka ekitamwa:

Ekikolwa ekitamwa okukolebwa kisobola okujjulukuka n'ekifuuka ekyagalibwa, ssi nakindi okufuuka eky'etteeka oba ekyalaalikibwa, okugeza nga talaka, mu kusooka kitamwa mu busiraamu, Allah akitamwa, wabula mu mbeera ezimu okulemera ku mukyala kisobola okubeera ensonga y'okukola ezzambi mu ddiini, nga telisobola kwewalibwa okujjako nga otalase omukyala oyo, okugeza singa abeera tamalaako, nga tekisoboka kujjanjabibwa. mu mbeera eno tugamba nti: ekisinga obulungi kutalaka. Nabwekityo ekikolwa ekitamwa ate kifuuse ekikubirizibwa okukolebwa.

Era ekikolwa kisobola okujjulukuka okuva mu muteeko ogukubirizibwa nekifuuka ekya haraamu, okugeza nga okusenya, kikubirizibwa okukola, wabula kisoboka okufuuka ekitamwa oba ekya haraamu, singa amannyo gabeera ganyeenya nga bw'onasenya gagenda kukuukamu, mu mbeera eno okusenya amannyo kikontana n'ensibuko ezimbirwako amateeka g'eddiini egamba nti: (tokosa balala era naawe teweekosa).

 

Okuwumba wumba ebikulembedde:

Okuwumbawumba ebikulembedde, mazima obusiraamu ssi ddiini nzibe ya maaso nti telaba, oba nti tepima mbeera z'abantu, wadde obusobozi bwabwe mu lunaku oba mu buwangaazi bwabwe, wabula okuzibe bwa maaso buli ku mitima gy'abalabe b'obusiraamu, abo abaagala okusaasanya obulimba n'ebibuzaabuza abantu, n'obulimba bagezeeko okuzikiza ekitangaala kya Allah, wabula ye Allah yeeyama okujjuliriza ekitangaala kye, abawakanyi nabwebabeera bakitamwa.

Oba oli awo, omusomi wange ow'ekitiibwa; oyinza okubeera okitegedde nti obusiraamu ssi ddiini y'abulyazaamanya, wabula ddiini ya bwenkanya, era obwenkanya kimu ku bitendo bya Allah era linnya lye. Ebyaziyzibwa n'ebyakkirizibwa mu busiraamu bizimbiddwa ku bwenkanya, so ssi ku butamanya. Era obulyazamanya bwonna gyebuliva nebulidda bwaziyizibwa mu busiraamu.

 

 

Ennyingo ey'okubiri

Enkwata y'omukyala okusinziira ku Kur'ane n'enkola ya Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye.

Okusinziira ku njogera ya Kur'ane, tulaba nga Allah Ow'ekitiibwa yalagira okulongoosa eri omukyala mu maka, n'okumugulumiza, era n'okuwangaala naye mu bulungi (okumuyisa obulungi) nebwobeera tomwagala mu mutima, Allah agamba nti: {Kyokka mukolaganenga nabo mu ngeri ennungi. Bwe muba nga mubatamiddwa (temubatanga), kubanga oba olyawo mwanditamwa ekintu, ate Allah n'akiteekamu obulungi bungi.} Essuula annisaa:19.

Ne Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye agamba nti: " omukkiriza tayawukananga na mukkiriza mukyala, bwatamwa omuze mu ye, asiimemu empisa endala." Muslim

Allah atunnyonnyola nti omukyala alina ebyetaago eri bba, nabwekityo omwami alina ebyetaago eri mukyalawe, Agamba Allah omugulumivu: {Era balina abakyala (bye bavunaana abasajja) okufaanana nga ebyo ebiri ku bo (abasajja bye babavunaana) naye babikola mu ngeri y'obuntubulamu,…} Essuula al-baqara: 228.

Era ekiramo kya Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga asemberedde okufa,yafaayo nnyo eri omukazi, n'okumugulumiza, n'obutamulyazamanya, wadde okubuzaabuza ebibye, yagamba nti: " mulaamire abakyala bulungi" Muslim.

Agamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: "omukkiriza asinga obujjuvu yooyo asinga empisa ennungi, era abasing obulungi, yooyo abasing okulongoosa eri bakyala be." Tirmithi ne Ibun Hibban.

Era muhadith eva ku Maama Aisha Allah asiime ku ye yagamba, yagamba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: "Abasinga obulungi yooyo abasinga obulungi eri bakyala be, era nze mbasinga obulungi eri bakyala bange." Ibun Hibbaan ne Tirmithi.

Era yalagiraokugumiikiriza obumogo bwa bakyala, n'ensobi zaabwe, n'okusonyiwa ensobi zaabwe, era nannyonnyola obutonde bw'omukyala Allah kweyamutondera, yagamba okusaasira n'emirembe bibeere ku ye:" omukazi yatondebwa mu lubiriizi, tajja kutereera nga bwomwagala, bw'osalawo okumunyumirwa, omunyumirwa nga mukendeevu, bwoyagala okumugolola ajja kwatika, era okwatika kwe kwe kumutalaka." Muslimu.

Ewalala yagamba nti: " mulamire abakyala okulongoosa, mazima bo batondebwa mu lubiriizi, ate olubiriizi olusinga obukyamu lwelwowaggulu, bwoyagala okulgolola, ogenda kulumenya, ate bwoluleka lusigala lukyamu, mulaamire abakyala okukola obulungi." Bukhari.

 

Abaffe nabbi yakubako kko ku mukyalawe noomu?

Nabbi kyekyokulabirako ky'abakkiriza, Allah yalagira okugoberera obuufu bwe, yagamba nti: {Mazima mwalina mmwe mu mubaka wa Allah eky'okulabirako ekirungi kw'oyo abeera nga asuubira (empeera) za Allah (n'okusisinkana) olunaku lw'enkomerero, n'ayitiriza okwogeraku Allah.} Essuula Ahzaabu: 21.

Nabbi ky'ekyokulabirako ekyawaggulu, Allah yamutuma n'eddiini busiraamu ennyangu ennyo, era n'amulera n'alongoosa empisaze, buli mpisa nnungi yeeyoleka mu ye. Allah agamba nti: {Era mazima ggwe oli ku mpisa engulumivu (ennungi ez'obuntu).} Essuula qalam: 4

Yayolesa empisa ennungi ku nsi, era zeeyoleka bulungi mu kigambo kye okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: " nnatumwa okujjuliriza empisa ennungi" Malik ne Bukhar mu Adab al-mufridu. Al-baan (swahiihat (45)).

Mukyala we Aisha Allah asiime ku ye, oyo asinga okumanya ebimukwatako mu nkolagana wakati we naye okusinga ba swahaabah be bonna yagamba nti: " empisa za Nabbi yali Kur'ane." Ahmad. Al-albaan (swahiihi aljamea:4811)

Kitegeeza nti Nabbi akoleraku biragiro bya Kur'ane era nga yeewala byonnna Kur'ane byeziyiza, tewali mpisa nnungi Kur'ane nga egikubiriza, okujjako nga Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yagikola mu bujjuvu bwayo okusinga abantu bonna. Era tewali muze mubi kura'ane gwegaana okujjako nga Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yasinga abantu bonna okugwewala.

Tewali wekyogerwa mu bimukwatako (siiratu) okusaasira n'emirembe bibeere ku ye wekyogerwa nti yakuba omukyala wadde omwana!!!!

Wabula agoberera ebyafaayo bye, eyekenneenya mu hadithi ze ez'ekitibwa alaba bulungi nti mazima nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yagaana okukuba abakyala, era nakyewaza ne ssekwewaza yenna, agamba mukyala we Aisha Allahasiime ku ye: " Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye teyakubako kintu kyonna namukono gwe, teyakubako mukazi, wadde omukozi, okujjako nga alwana mu kkubo lya Allah. Era teyakosebwako muntu yenna n'amwesasuza olw'ekyo kyakoze, okujjako nga akoze zzambi. Olwo yali awoolera ku lwa Allah." Muslimu.

Okutuusa nti ne balabe be abo abagezaako okutangira okukoowolakwe, tewali kyakakata kyawukana ku kyetwogedde.

Katulabe omuntu eyasinga okubeera naye kyagamba, tewali kubuusabuusa nti okubeera n'omuntu nga temutenngana kyolesa empisa z'omuntu oyo, yagamba Anasi bun Malik okusiima kwa Allah kube ku ye eyaweereza Nabbi emyaka kumi: " nnaweereza Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye emyaka kumi, teyamboggolera ko, era teyannenyako nti lwaki wakoze kino? Oba okumbuuza nti lwaki tewakoze kino? Yali Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye asinga abantu bonna empisa ennungi." Muslimu ne Tirimithiyyu.

 

 

Ennyingo ey'okusatu

Omusajja okukuba mukyalawe kiramulwa kitya mu busiraamu?

Ensibuko y'amateeka g'obusiraamu ye Kur'ane ne Sunnah z'omubaka ow'ekitiibwa okusaasira n'emirembe bibeere ku ye entuufu, era byetugenda okwesembesa, era okusinziira ku by'ombiriri tujja kutegeera okukuba omukyala kiramulwa kitya? Abaffe kikakata oba kirungi, oba kikkirizibwa, kitamwa, oba kyaziyizibwa. Okusinziira ku hadithi eva ku Iyaasi bun abdillah agamba nti yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: "temukuba bazaana ba Allah, Umaru najja ewa Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nagamba nti: abakazi bakikinadde ku ba bbaabwe. Nabbi nabaddiramu n'abakkiriza okukuba abakazi, nebajja abakazi bayitirivu nga baloopa ba bbaabwe olw'okubakuba, Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nagamba nti: abakazi bangi bazze eri bakyala bange nga baloopa ba bbaabwe okubakuba, wabula tebali abo abakuba bakyala baabwe, abasinga obulngi mu mmwe." AbuDawda ne Ibun Maajat. Al-Albaan yagamba nti ntuufu.

Bwetwekenneenya hadithi eyo eyogeddwaako waggulu bino byebyeyoleka:

Hadithi yonna teyayogerwa mulundi gumu, mu kifo kimu, wadde ssi mukiseera kyekimu, wabula Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yajoogerera mu biseera byamirundi esatu ebyawukana:

Ekiseera ekisooka:

Yagamba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: " temukuba bazaana ba Allah." Ekiseera ekisooka nekiggwaako.

Okusinziira ku kigambo ekyo, buli omu yavaawo nga akakasa bulungi nti okukuba abakyala mu busiraamu kiri haraamu, olw'ensonga nti Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yakigaana, era kyeyoleka bulungi nti buli akuba omukyala afuna omusango, era abeera mwonoonefu olw'okujeemera ekiragiro kya Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye.

 

Ekiseera eky'okubiri:

okujja kwa Umaru Allah asiime ku ye eri Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye mu kiseera ekirala ekitali kiseera Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye kyeyagambiramu nti: " Temukuba bazaana ba Allah." Neyeemulugunya eri Nabbi nagamba nti: " abakyala bakikinadde ku ba bbaabwe." Tebakyabagondera. Mukiseera kino Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yaddiramu ku kukuba abakazi nga asinziira ku kirowoozo kye nga omuntu okusinziira ku kiriwo n'ekyetaagisa mu kaseera ako, nga singa tekikolebwa bwekityo obulamu buyinza okukalubirira abasajja, wabula balina kukuba batya? Ekyo tugenda kukirambulula gyebujjako katono.

 

Ekiseera oky'okusatu:

oluvannyuma Nabbi okukkiriza abasajja okukuba bakyala baabwe ababeera bakikinadde ku basajja baabwe, abakyala bajja bayitirivu nga baloopera Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye ba bbaabwe olw'okubakuba, mukiseera ekyo Nabbi yagamba nti: " abakyala bangi bazze eri bakyala bange nga baloopa ba bbaabwe olw'okubakuba, naye abo abakuba bakyala baabwe ssi beebasinga obulungi mu mmwe."

Ekiseera kino ky'ekisembayo, era okukuba abakyala mu busiraamu kyeyoleka bulungi omulundi guno, nga nakyo kitamwa, oba kisobola n'okutuuka okufuuka haraamu singa omusajja asukka ensalo za Allah, era tugenda kwongera okukinnyonnyola oluvannyuma. Abaffe ekitegeerwa mu kigambo kya Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye kubeera nti yakubiriza abasajja okukuba abakazi? Abaffe yawaana abasajja abakuba bakyala baabwe? Oba mu kigambo kya Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye mulimu okwewaza, n'okulaga obubi bwabo abakuba bakyala baabwe?!!!

Bo baswahaaba Allah asiime ku bo baategeera ekinyusi ky'ebigambo bya Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, era baakimanya bulungi nti omuntu akuba mukyalawe tajja kufuna kusiimibwa kwa Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye olubeerera, era tewali kubuusabuusa nti ekintu kyonna Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye kyatasiimye kibeera kitamwa nnyo, sinakidi kiyinza n'okutuuka ku bwa haraamu.

Okw'ongereza kwekyo, Fatuma bint kayisi bweyagobebwa okuva ewa bba, abasajja abasatu nebamwogereza Mu-awiya, abu Jaham, ne Usaama bun Zayid, bweyeebuuza ku Nabbi namugamba nti: " Mu-awiya musajja mwavu talina maali, ate Abu Jaham akuba nnyo bakazi be, fumbirwa Usaama Bun zayid" fatuma n'alaza n'omukono gwe bwati: " Usaama! Usaama!" Musilimu.

 

Kisoboka okujjulukuka kw'ennamula y'okukuba omukazi okuva mu kitamwa nekifuuka haraamu?

Tulabe ennamula y'okukuba abakazi mu busiraamu, okulamula okwasooka kwali haraamu, oluvannyuma nelufuuka lukusa, nemukusembayo netitamwa okusinziira kumbeera ez'enjawulo ezasinzirwako. Naye twebuuza nti, okukuba omukazi kifuuka ddi haram? Okuddibwamu kuli nti; okukuba omukazi kiri haraamu singa wabeera tewali nsonga nnambulukufu, era nga buli kulumbagana kwonna bwekutakkirizibwa mu busiraamu bwekubeera okw'obulyazamanya. Allah agamba mukitabo kye eky'ekitibwa nga atiisa obulyazamanya obwa buli kika nti: {Omuntu yenna analyazaamaanya mu mmwe (n'agatta Katonda n'ebintu ebirala) tuli mukombesa ku bibonyobonyo ebinene.} Essuula Furkaanu: 19.

Era Nabbi agamba nti: " mwewale obulyazamanya, mazima obulyazamanya bujja kubeera kizikiza ku lunaku lw'enkomerero." Muslimu.

Era mu hadithi nga eva ku Anasi bun Maliki Allah asiime ku ye yagamba, yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye:" mwewale nnyo edduwa y'alyazaamanyiziddwa nebwabeera mukafiiri, mazima yo terina jjiiji ligiziyiza (kutuuka wa Allah." Ahmad. Al-baan (Ntuufu).

Obusiraamu buziyiza okukosa abalala kwonna nebwekubeera kigambo, olw'ekigambo kya Allah ky'agamba nti: {Abo abawaayiriza abakyala ab'ensa, abakkiriza, abagayaavu abatamanyi byabwenzi, bakolimirwa mu nsi ne mu bulamu obw'oluvannyuma. Era balina ebibonyoobonyo ebinene.} Essuula Annuur: 23.

Nebwekubeera okukosebwa nga kulabwako, oba okufaana ebyo mu kukosa kwonna abalala, singa tekubeera mu mateeka. Allah agamba nti: {N'abo abanakuwaza abakkiriza abasajja n'abakkiriza abakyala awatali kye bakoze, mazima baba beetisse okuwaayiriza n'ekibi ekyeyolefu.} Essuula Ahzaabu: 58.

Nebwekubeera okukosa okwo nga kulya mmaali ya balala. Allah agamba nti: {Era temulyanngananga emmaali yammwe mu ngeri eteri ntuufu…} Esuula al-bakara: 188.

Era abantu bonna benkanankana mwekyo, abasajja n'abakazi, omuto n'omukulu, omusiraamu n'atali musiraamu, hadithi nga eva ku Abi Huraira agamba, yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye:" omusiraamu omutuufu yooyo atakosa bantu, nalulimi lwe wadde n'omukono gwe, ate omukkiriza omutuufu yooyo abantu gwebawona obutatambaala misaayi gyabwe, wadde emmaali yaabwe." Annasae. Al-Albaan (Ntuufu).

Omuntu yenna agamba nti obusiraamu bukubiriza okulumbagana oba okukuba omukyala abeera akonjedde eddiini ya Allah okukonjera okwamanyi ennyo.

 

Omusajja akuba mukyalawe alamulwa atya mu busiraamu:

Ennamula y'obusiraamu ku musajja akuba mukyala we, oba amukosa kisinziira kukulaba kwa mulamuzi era n'amusalira ekibonerezo ekigwanira obulyazaamanya bwe, n'okulumbaga kwakoze eri mukyalawe, era nakimusalira singa omukyala abeera amukubye mu mbuga z'amateeka, eky'okulabirako mu musango guno wammanga:

  1. Eggulire lya Riyadh lyasasanya ku mukutu gwalyo ku mutimbagano gw'ebyempuliziganya, ennaku z'omwezi nga 12/12/2012 amawulire gano wammanga:

Ekkooti ento mu kibuga kye Katwiifu mu bwakabaka bwa Saudi Arabia yasalidde omusajja eyakoze obulabe ku mukyalawe bwe yamukubye emiggo, okubeera nga bamuligita kibooka makumi asatu (30) mu kifo eky'olukale abeere eky'okulabirako eri abasajja abalala abakuba bakyala baabwe, era yamusalidde asomesebwe ennaku kkumi nnambirira mu gamu ku masomero agasomesa enkwata y'omukazi n'ebifa ku maka, era abeere nga aweebwa ekigezo eky'okuwandiika ekigenda n'okusigala mu fayilo eyeebyamateeka.

Era okufaananako n'ensala eyo, kkooti ez'enjawulo mu nsi z'obusiraamu zizze sisalira (zibonereza) abasajja abakola obulumbaganyi ku bakyala baabwe nga babaligita kibooko, okutuusa nti abakyala abamu batuuka nekuddaala ly'okutiisatiisa ba bbaabwe, era nebabakomekkereza, nebakolera ba bbaabwe enkwe, nebeetuusaako ebiwundu ebitonotono oluvannyuma nebagenda nebaloopa ba bbaabwe ku poliisi nga babalanga bweemage, nga bo tebakimanyi nako.

Ekigendereddwa mwekyo kwekulaga nti omusiraamu agoberera amateeka g'obusiraamu, tayinza kusiima kutuntuza mukazi, wadde okumukolako obulabe bwonna. Era nga eddiini yaffe bwetatusomesa kukuba bakazi, era ekigaana n'ekibalira mu kulyazaamanya omukazi, wabula etulagira okusonyiwa, n'okuddiramu abakoze ensobi, nabwekityo okugumiikiriza n'okuyisa obulungi akusobezza, era kirina okumanyibwa nti obusiraamu tebukkiriza kukuba bakazi, wabula bwakifuula ekyeyawulidde mu mbeera nga obufumbo buganye okujjako nga omukyala bamubonerezzaamu, era kwateekebwako obulombolombo obufuula ekitalabikalabika, olw'okutuukiriza ekigendererwa ekikulu okukuuma obufumbo, n'empisa mu maka, n'ensi yonna okutwaliza awamu.

 

 

Ennyingo ey'okuna

Amateeka g'obusiraamu agakwatagana n'okwekuza (okujeema) kw'omukyala.

Omuntu ayinza okugamba nti, abaffe ekisinga obulungi ssi musajja kubuulirira mukyala we amukikinaddeko okusinga okumukuba emiggo, ffe tugamba ddala bwekityo bwekirina okubeera, kubanga yennamula ya Allah Ow'ekitiibwa oyo eyagamba mu kitabo kye ekitukuvu nti: {N'abo abakyala bemutya okujeema kwabwe mubabuulirirenga, eramubasengukenga mu buliri, era mubakube; kyokka bwe babanga babagondedde; temubanoonyangako kkubo (lya kubabonyabonya). Mazima Allah Ye, y'ali owa waggulu, Ow'ekitiibwa.} Essuula annasae:34

Era Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yalaamira abasiraamu mu Hijja yakasibuulo nti: " mubuulirire abakyala okukola obulungi, mazima bbo bayambi gyemuli, temulina kusukka kwekyo, okujjako singa babeera babalize mu bufumbo, bwebabeera basobezza mubasenguke mu kisenge, kwekigaana mubakube olukuba olutakosa mibiri gyabwe, bwebabeera babagondedde, temubakijjanya, mazima mulina ebyetaago eri bakyala bammwe, nabo balina ebyetaago byabwe gyemuli." Tirimithiyyu. Al-Abaan (nnungi).

Nabwekityo tulaba okulamula kwa Allah Ow'ekitiibwa ataddibwa mu nnamulaye, amanyi byonna ebyekwese abaddu byebakola, n'omubaka we ow'ekitiibwa lyekkubo okujjanjaba ekizibu ekiri mu mukyala akikinadde ku musajja we, era yakifuula nga omusajja ayita mu mitendera esatu:

  1. Omutendera ogusooka:

Omusajja asooka kubuulirira mukyala we, mukufaayo okulunngamya, singa abeera omujeemedde, nga tannaba kumusenguka, era ekkubo eryo likakata ku musajja okusinziira ku nnamula y'abamanyi abasinga obungi, era omusajja alina okukozesa olulimi olulungi, n'okusembeza mukyalawe n'okumukwata empola nga akozesa ebigambo ebigonza omutima gwe, era amulage obukulu bwe, era nga bwayagala okulungoosa n'okumubuulirira, era akozese obukodyo bwonna mukumulunngamya, era akimanye nti okubuulirira okuvaamu ebibala tekuva ku mutima mukakanyavu, wadde okukozesa ebigambo ebikakakanyavu n'okuboggoka, wabula olulimi olulungi, n'enkwata ennungi, okugeza nga okumugulira obulabo, asobole okuwuliriza ebigambo byamubuulirira, n'omutima omusiimu, mu mbeera ennungi, esobozesa omukyalina alina amagezi okusobola okwebuulirira n'ebigambo bya bba, nga akulembeza okukuuma amaka, n'okukuza abaana obulungi. Naye omukazi bwabeera nga ssi mulungi, nga tagasibwa na kubuulirirwa kwa bba, wadde okulunngamizibwa, omusajja n'amalayo obukodyo bwe bwonna, olwo omusajja akwata ekkubo ery'okubiri, nga Allah bweyatulagira nakwo kwekusenguka omukazi mu kisenge.

 

  1. Omutendera ogw'okubiri:

Omusajja okusenguka mukyalwe mu buliri, amukube omugongo, agaane okubeera naye mu nsonga z'obufumbo, obutasukka nnaku ssatu, olw'ekigamba kya Nabbi ekigamba nti: " omusiraamu talina kusenguka munne kumala nnaku ssatu." Malik, yeetattibwako Bukhari ne Musilimu.

Amulage nti ssi musiimu kwebyo byakola, ako nno keekakisa ak'okubiri omusajja kalina okukozesa akusobozesa omukazi okweddako, amuweemu akadde yeerowooze, kubanga bwamusenguka okusukka ennaku essatu okwo kubeera kumubonereza sso ssi ku mulunngamya, omukyala bwabeera yezzeeko, nadda mu mbeera, kikakata ku musajja okulekayo okumusenguka, amusonyiwe era amuddiremu, wabula bwabeera akakanyadde, neyeekuza, n'agubira ddala olwo omusajja akwata ekkubo ery'okusatu.

 

  1. Omutendera ogw'okusatu:

Omusajja bwagezaako okulunngamya mukyalawe asiiwuse empisa nga akozesa okumubuulirira, n'ebigambo ebirungi, n'obulabo nebigaana, n'agezaako ekkubo ly'okumusenguka mu buliri, n'okumulaga nti ssi musiimu kubyakola, nalyo nerigwa butaka, olwo omusajja akkirizibwa okubonereza mukyala we olukuba olutali lwamanyi era olutasala mbale. Abamanyi bonna beegatta kukigambo ekigamba nti, kikataka omusajja okugoberera emitendera egyo waggulu, okubuulirira, okusenguka mu buliri, oluvannyuma okubonereza. Atwa-u yabuuza Ibun Abbaasi okukuba okutakosa kwekuliwa? N'addamu nti kukozesa kaswaki, n'ekifaana ekyo!! Hassan Albaswriyyi yagamba nti: kitegeeza okukuba okutaluma mukazi.

Nkulayirira Allah ggwe asoma ebigambo bino; ddala bulumi ki omukazi bwafuna singa akubibwa n'akaswaki? (Akaswaki kati katono nnyo tekasukka na kalaamu nkalu buwanvu), abaffe omuntu akubye mukyalawe nakaswaki ako abaffe ekyo kibalibwa mu bukambwe mu maka?

Bwekibeera nga okukuba omukazi n'akaswaki kibalibwa mu bukambwe mu maka, jangu twekennenye ffenna obutambi bwa firimu ez'abazungu ezikolebwa mu Holand n'ebitundu ebitali bimu, ebigambo ebinyiiza wakati w'abasajja n'abasajja, oba wakati w'abasajja n'abakazi, oba wakati w'omukyala nnankulu n'abakozi be babiri, wakati mu mboozi ezo, nga omu kubo asonga nekkalaamu mukifuba kya munne nga amulabula, oba n'akozesa ennwe ye, oba ekkalaamu enkalu nagisonga mu kifuba kya munne, era mu mbeera ezisinga omu akuba munne oluyi, oba mu firimu zaabwe kituuka n'okubeera nti omukyala akuba bba oluyi olwamanyi ku ttama, oba omusajja n'akuba mukyala we oluyi olwamanyi ku ttama n'atambula n'amuviira, ebyo byonna abazungu tebabibala mu bukambwe obwekitalo mu maka, wabula ebeera mbeera aleetedde omusajja oba omukazi okukuba munne oluyi, ssi nakindi bakitwala nti omusajja oyo oba omukazi mugunjufu, naye tebamanyi nti okukuba omuntu mu kyenyi kibeera haraamu mu busiraamu, wabula basasaanya bulimba ku busiraamu nti buwagira okutulugunya mu maka.

Newankubadde obusiraamu bwakkiriza omusajja akozesezza amakubo agasooka negalema okukuba omukyala, wabula era bwawa omukyala okusaba okuteebwa (khulu-u) singa embeera egaana nga ensonga y'okukuba tennaba kutuukibwako, mu mbeeraeno omukyala yeesalirawo ngabwetujja okulaba mu maaso, tusaba Allah atusobozese.

Ensonga ezo ezogeddwako, emitendera omusajja mwayita okugolola omukyala, tegikozesebwa mu busonga songa obwabulijjo mu maka, wabula ebyo bikola ku mbeera ez'amanyi ezigwaawo wakati w'abafumbo, okugeza singa omusajja agamba mukyalawe nti nfumbira olwaleero mukyere na ngege, omukyala neyeerabira n'afumba mukyere na nnyama, abaffe omusajja asinziire kwekyo akozese emitendera gyetulabye waggulu? Amubuulirire, amusenguke mu buliri oba amukube?!!!

Nedda ssi bwekirina okubeera, ezo nsonga zigwawo bulijjo, n'olwekyo olina kwefuula nga atazirabye, naye bwabeera omukyala nga wa mpisa mbi, nga omutwe mugumu, omusajja n'alaba embeera z'obwononefu mu ye, n'okumujeemera, n'okweraba nti wakitalo!!! Mu mbeera eyo omusajja alina okukozesa emitendera gye tulabye okulongoosa omukazi kubanga yetaaga okulunngamizibwa era nga omulwadde bweyetaaga eddagala okujjanjabwa obulwadde bwalina.

Lowoozamu owange ggwe asoma bino singa omukyala oyo agenda mumaaso n'emize gye, n'okwekuza nga yeelaba nti wakitalo, ebiyinza okwonoona amaka, ssi nakindi n'ekituuka okukutulawo obufumbo nga bamuwadde talaka, nga amalidde omusajja ebiseera bingi okumubuulirira n'okumulunngamya, ssaako okumusenguka mu buliri, byonna nebimuyita ku mutwe, abaffe mbuuza ekisinga kumugoba (bamuwe talaka) oba omusajja amubonerezeemu olubonereza olutamukosa?!! Bwekibeera nga okukuba omukazi kifaananako n'owettulu, awo okugoba omukyala (talaka) muzibe, ate ow'ettulu kabaka ku muzibe, singa omukyala alekebwa bwatyo buli omu nagoba bugobi, amaka gajja kusaanawo, olwo n'ensi yonna esaanewo!!!

Ennyingo ey'okutaano

Amakulu n'ekigendererwa mu kukuba omukyala mu busiramu

Nga ebibiina ebilwanirira eddembe ly'obuntu nga tebinnaba kuvaayo kutaasa mukyala n'abaana ebikolwa eby'obukambwe mu maka, obusiraamu bwebwasooka okulikuuma era nebuziyiza okudibaga eddembe lyabwe era nebukifuula nga musango gwa nnaggommola singa omuntu akikola abonerezebwa ku duniya ne kunkomerero, era tebwakoma kubikolwa byokka wabula bwaziyiza n'ebigambo ebitasaana, mwekyo nno obusiraamu busingira wala amateeka amakolerere ago agakoma ku bibonerezo bye dduniya byokka, okuva emyaka 1400 nnabbi yagamba nti: " omusiraamu yooyo abantu gwebawona olulimi lwe n'omukono gwe, ate omukkirizza yooyo abantu gwebawona abutayiwa musaayi gwabwe, wadde okulya emmaali yaabwe." Annasae. Al-Abaan (nnungi).

Era Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yagamba nti: " omukkiiriza tasojjala banne, eratakolima kolima, era tabeera muwemuzi, wadde omuvumi." Bukhari mu Adabul- mufridu. Albaan (Ntuufu).

Omuntu ayinza okubuuza nti obusiraamu bwagaana butya obukambwe ate nga bwebulagira mu kiseera kyekimu nebukkiriza okukuba omukazi?!

Okwanukula ekibuuzo ekyo tulina okulambika okukuba kyekki mu bulamu obwabulijjo, n'ewakati w'okukuba mu busiraamu. Mubulamu obwabulijjo omuntu bwawulira nti omusajja okubye mukyalawe ekimujjira mu bwongo kusanga mbale n'ankwagulo nga ez'ebisolo ebikambwe, omusajja byatuusizza ku mukazi, eraafuna okusaasira eri omukazi omunaku alyazaamanyiziddwa, akubiddwa nalekebwa mu kkubiro, nga omubiri gwe gwonna kusigaddeko embale n'enkwagulo, ekyokyekitegerebwa mu kukuba mu bulamu obwabulijjo, era nga bwetulabye bangi mu basajja abakuba bakyala baabwe. Abaffe bwenkugamba nti nkubye akade, ekikujjira nti oluggi ndwasizzayasizza?! Yye abaffe bwenkugamba nti ngenda kukukubira ekifananyi, otegeeramu nti nngenda kukikuba nkiyuzeeyuze?! N'olwekyo ekigambo kukuba kikyukakyuka okusinziira ku nkozesa yakyo mu lulimi, n'okusinziira ani akikozesezza era ddi? Tulina kyetutegeera mwebyo byonna okusinziira ku nkozesa y'ekigambo ekyo, nabwekityo amakulu g'okukuba mu busiraamu gaawukanira ddala n'okukuba mu mbeera ezabulijjo, okukubwa okwabulijjo tekukkirizibwa mu busiraamu era musango munene mu busiraamu, era amakulu gombi tegalina wegakwataganira, era okufunza ebigambo, mu busiraamu temuli kukuba mukazi, era tebukikkiriza, era obusiraamu bwagaana okukkakkanya omukazi n'okumukosa okwengeri zonna nebwebibeera bigambo bugambo, wabula okukuba mu busiraamu kubeera kukoonako bukonyi nga bwetwalabye okukuba akade, era ekigendererwa kwekulaga omukazi nti musobya, era okulaga nti omusajja akwatibwaako okumulunngamya, n'okumulaga ekituufu. Obusiraamu bwateerawo a mwalina okuyita okulunngamya omukazi abeera asiiwuse empisa, era emitendera egyo gyegisooka okukuba omukazi, eraomutendera gw'okukuba gwegusembayo, singa egisooka gibeera tegimuyambye, era obusiraamu bwateekawo ensalo singa omusajja azisukka abeera musobya era abeera asusse ensalo za Allah, era abeera agwanira okusalibwa ekibonerezo ku nsi, nekunkomerero, era emitendera egyo gyegino wammanga:

 

Amateeka agafuga okubonereza nga okozesa okuuba:

  1. Okugoberera emitendera gy'okugonjoola obutakwatagana obubeera mu maka, akole kyonna kyasobola mu mitenderaa ebiri egikulembera okukuba, omuli okubuulirira wamu n'okumusenguka.
  2. Okukuba nga akozesa omuswaki, oba ekigwenkana. Omuswaki kaggo tekasukka buwanvu bwa Kalaamu nkalu, buwanvu n'obunene.
  3. Obutakuba mu kyenyi wadde ebifo eby'obulabe ku mubiri kubanga obusiraamu buziyiza okukuba mu kyenyi, abeere nga akuba musajja oba mukazi, kale nebwobeera okuba kisolo tokuba mu kyenyi. Kubanga ekyenyi kyakitiibwa era okukosa ekyenyi kyonoona empuliziganya y'ebiyungo, nabwekityo ebifo eby'obulabe ku mubiri. Era obusiraamu bukigaana ne ssekugaana yenna. Era ezo zensalo za Allah, omuntu yenna asukka ensalo za Allah abeera musobya.
  4. Takuba mukyala nga waliwo abantu abalaba, mu mbeera zonna. Tekikkirizibwa musajja kukuba mukyala we nga waliwo abalaba, n'okusingira ddala abaana be, kubanga okusookera ddala mulimu okukkakkanya omukyala, n'ekyokubiri kikosa endera y'abaana. Nkuza ki eyo enaakuzibwamu abaana nga nnyaabwe akubibwa balaba oba nga bawulira?!!
  5. Okukuba tekulina kubeera nga kukosa omubiri, munda n'ebweru, kiringa bwanasigaza ebiwundu, oba emisalo gya kibooko, oba okumenya ebiyungo bye. Omusajja atuusa ebyo ku mukyalwe abeera musobya, oyo ye muntu nsolo, amanyenya abantu, era abeera tagenderera kulongoosa wabula ayagala kwesasuza ku mukazi nakumulemaza. N'olwekyo okusinziira ku mateeka g'obusiraamu ag'obwenkanya, omusajja oy'ewekikula bwekityo alina okubuuzibwa n'okukangavvulwa mu mateeka.

 

 

 

Ennyingo ey'omukaaga

Okukuba abakazi mu ddiini endala

Okukuba abakazi ssi nsonga eyeeyawulidde ekiseera wadde ekifo ekyenjawulo, wabula kibaddewo okuviira ddala edda ewatali kwawula, ayagala okumanya butya omukazi bweyakwatibwanga mu biseera ebyayita, ebitabo ebyogera kwekyo gyebiri biyitirivu, OKUGEZA eby'ogera ku mukazi mu buyonaani, mu burooma, mu china, buyindi enkadde … n'ebirala, era nabutya abayudaaya bwebeeyisangamu, n'abakurisitaayo mu kukuba abakazi. Era yali nsonga yaabulabe nnyo, era yasaasaana nnyo mu biseera ebyayita, n'emubiseera bya Masiya yennyini. Abaffe kyebuuzibwa Isa Masiya okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yagaana okukuba abakazi nebweguba mulundi gumu gwokka?!! Era abaffe mu bayibuli, mu ndagaano empya oba enkadde mulimu ekyawandiikibwa kyonna nga kyogera ku kuziyiza okukuba abakazi ?!! okusinziira kukunonyereza kwaffe twesanga nga temuli lunyiriri lwonna lw'ogera kwekyo.

Abaffe omukurisitaayo bwakuba omukazi afuna omusango? Era aweebwa kibonerezo ki okusinziira ku bayibuli? Ekituufu nti talina musango gwafuna kubanga tewali lunyiriri luky'ogerako, ssi mundagaano empya, wadde enkadde!!

Nabwekityo mu mateeka tekigaanibwa, era omusajja tavunaanibwa kukuba mukazi okujjako nga asigazza obuufu bw'obulumbaganyi, okugeza nga okusala olubale, oba emisale, oba okuzimba, n'ebirala… ewatali ekyo omukyala anaakakasa atya kkooti nti baamukubye!! Ekitegeeza nti okukuba okutakosa tekuvunaanibwa mu ddiini wadde mu mateeka.

Tutunuleko mu bayudaaya n'ababuda, nabo balina ebyawandiikibwa ebibagaana okukuba abakazi?!!

Tewali kyayawandiikibwa kyonna, mu ddiini zonna kigaana kukuba mukazi okujjako mu busiraamu mwokka!!!

N'oluvannyuma lw'okujjulukuka kw'okukuba omukazi okuva mu haraamu nekufuuka okutamwa, era obusiraamu bwokka bwebutamwa ekikolwa ky'okukuba abakazi!! Wabula zzo eddiini endala tezaayogera kunsonga eyo, ssi kugigaana wadde okugitamwa.

Era tewali ddiini yonna eyogera ku bukwakkulizo bwa kukuba mukazi, wadde okwogera ku ngeri y'okumukuba. Ekitegeeza nti singa omusajja omukurisitaayo singa teyeekomako n'akuba mukazi we, alina kukoma wa? Abaffe obukurisitaayo bwakyogerako okugeza obutakuba mu kyenyi, oba obutasala mbale ku mubiri gwe …. N'ebirala? Mubutuufu tewali.

Omuntu eyekkeneenya embeera gyetuwangaaliramu olwaleero ajja kwesanga nti eriyo ennamba y'abakazi nnene nnyo mu kugeraageranya abakubibwa ba bbaabwe, nga mwotwalidde abakurisitaayo, abayudaaya, oba abalala bonna okuleka abasiraamu, naawe osobola okwenonyeza ku ppliisi ez'enjawulo, n'emisango egiwozebwa mu kkooti, mu Amerika, ne bulaaya, ojja kusanga ennamba y'abasajja gy'otasuubira abakola obulabe ku bakazi baabwe n'abaana baabwe!!!

Ne mukiseera ky'obutamanya mu bawarabu, baakuba nga bakyala baabwe nga abaddu, era kyali kintu kyabulijjo nnyo, nga ssi musango mu ddiini yonna, naye Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye bweyatumibwa, yavumirira ekikolwa ekyo nessekuvumirira yenna nga bweyagamba mu hadith nti: " omu kummwe akkakkana ku mukyala we n'amuligita emiggo nga omuddu, sso nga ayinza okumwetaaga mu nsonga z'obufumbo olunaku gyelunaggweera!!" Bukhari ne Musilimu ago amakulu gali mu kitabo kya Bukhari.

Mu hadithi eyo Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye avumirira omusajja akuba mukyala we ate emisana, najja ekiro nga ayagala kwegatta naye!! Oyinza otya okubeera omukambwe bwotyo emisana, ate nga ojja kwetaaga okukubikka ekiro?!!

 

Ennyiriri ez'ogera ku kifo ky'omukazi mu bayibuli, mundagaano zombi:

Ab'eddiini y'obukurisitaayo batulaga nti Isa Masiya Okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yeeyekka alwanirira eddembe ly'obuntu, mbu era yeeyawa omukazi eddembe rye, eddiini endala yonna lyetaamuwa. Era mbu ekitabo ekitukuvu kyafaayo nnyo okuwanika ekitiibwa ky'omukyala!! Naye ekyebuuzibwa kigamba nti: ebyo eby'ogerwa ddala bikwatagana n'ekikolebwa olwaleero?!!!

Buli omu akimanyi bulungi nti ekitabo ekitukuvu tekikkiriza mukazi kuyingira kifo kisabirwamu mu kkanisa, era nti yo yeetukuza abatukuvu, kabeere mukadde, muvubuka oba muto nga tebaawudde myaka, era tekirina wekyogerwa mu ndagaano empya wadde enkadde nti omukazi akkirizibwa okuyingira mu ssinzizo ekkulu, era tekikkirizibwa mukyala yenna kukuba kabona kaama. Omukyala takkrizibwa kwogera mu ssinzizo oba okumanya omuntu yenna mu kkanisa, era takkrizibwa kukola bwa kabona bwonna, okulekaa okufuuka omusisita aweereza ba kabona sso si ddaala mu buweereza bwa kkanisa!!!!

Era ekitabo ekitukuvu kirambika bulungi emitendera gy'obuwereza bwa Katonda naye bwonna obuweereza bwabasajja, okugeza nga bajjajja abatolooka nga Noowa, youb, Abraham, Izaaka, Yakubu. Oba bakabona abakulu, oba bassekabaka, oba abatume n'abasigirwa baabwe, mu baakabona, bwonna obuweereza bwa basajja. Singa waaliwo omukazi yenna asobola okufna obuweereza mu kkanisa teyandibadde mulala okuleka bikira Maria, era yandibadde musaale nnyo mu kufuna obuweereza bwa kkanisa, naye ekyennaku entaputa y'eddiini yekikulisitaayo omukazi talina kufuna buweereza obwo!!!!

Kale nno katunokoleyo ku nnyriri okuva mu kitabo ekitukuvu tulabe omukazi otunuulirwa atya mu kyo:

  1. Omukazi abonerezebwa kyekimu n'omusajja:

Mu yeerimiya 23:34: "Ne nnabbi ne kabona n'abantu abalyogera nti Omugugu gwa Mukama, ndibonereza omuntu oyo n'ennyumba ye."

  1. Okuyokya omukazi akoze obwenzi:

Ebyabaleevi 21:9 "Era muwala wa kabona yenna, bw'aneevumisanga nga yeefuula omwenzi, ng'avumisa kitaawe: anaayokebwaaga omuliro. "

  1. Okutemako omukono gw'omukazi mu nsonga ezitaliimu.

Ekyamateeka 25: 11-12: "Abasajja bwe babanga balwana bokka na bokka, mukazi w'omu n'asembera okulokola bba mu mukono gw'oyo amukuba, n'agolola omukono gwe, n'amukwata wamberi: 12. omutemangako omukono, eriiso lyo terisaasiranga."

  1. Omukazi agobeddwa, oba nnamwandu, bafaanana kyekimu n'omwenzi.

Ekyabaleevi 25: 7: " Tebawasanga mukazi mwenzi, oba aliko empitambi; so tebawasanga mukazi eyagobebwa bba: kubanga mutukuvu eri Katonda we."

  1. Omukazi agabeddwa okugondera bba amugobye:

Abaefeeso 5:22 " Abakazi, muwulirenga babbammwe, nga bwe muwulira Mukama waffe."

  1. Omukyala okubunira nga ali mu kkanisa:

Abakoliinso1 14:34-35 " Abakazi basirikenga mu kkanisa: kubanga tebalagirwa kwogera; naye bafugibwenga, era nga n'amateeka bwe googera. 35 Era bwe baagalanga okuyiga ekigambo, babuulizenga babbaabwe eka: kubanga kya nsonyi omukazi okwogeranga mu kkanisa."

  1. Omukazi y'ensibuko y'ekibi:

Timoseewo1, 2:11-15 " Omukazi ayigenga mu bukkakkamu mu kugonda kwonna. 12. Naye omukazi mmugaanyi okuyigirizanga, newakubadde okufuganga omusajja, naye okubeeranga mu bukkakkamu. 13. Kubanga Adamu ye yasooka okutondebwa, oluvannyuma Kaawa; 14. era Adamu si ye yalimbibwa, naye omukazi oli ye yalimbibwa n'aba mu kwonoona: 15. naye anaalokokanga mu kuzaala, bwe banaanyiikiranga mu kukkiriza n'okwagala n'obutukuvu awamu n'okwegendereza."

  1. Omusajja yaayimirizaawo omukazi:

Petero1, 3:1-6 " 1. Bwe mutyo, abakazi, mugonderenga babbammwe bennyini; era bwe wabangawo abatakkiriza kigambo, balyoke bafunibwenga awatali kigambo olw'empisa z'abakazi baabwe; 2. bwe balaba empisa zammwe ennongoofu ez'okutya. 3. Obuyonjo bwammwe tebubanga bwa kungulu, obw'okuluka enviiri n'okunaanika ezaabu n'okwambala engoye; 4. naye omuntu ow'omwoyo atalabika, mu kyambalo ekitayonooneka, gwe mwoyo omuwombeefu omuteefu, gwe gw'omuwendo omungi mu maaso ga Katonda. 5. Kubanga bwe batyo edda era n'abakazi abatukuvu, abaasuubiranga Katonda, bwe beeyonjanga, nga bagondera babbaabwe bennyini: 6. nga Saala bwe yawulira Ibulayimu, ng'amuyita omwami: nammwe muli baana b'oyo, bwe mukola obulungi ne mutatiisibwa ntiisa yonna yonna."

Oluberyeberye 3:16 " N'agamba omukazi nti Okwongera nnaakwongerangako obulumi bwo n'okubeeranga kwo olubuto; mu bulumi mw'onoozaaliranga abaana; n'okwegomba kwo kunaabanga eri musajja wo, naye anaakufuganga."

  1. Okukuba omukazi ayenze amayinja okutuusa bwafa:

Ekyamateeka 22: 21-24 "awo ne bafulumya omuwala oyo mu mulyango gw'ennyumba ya kitaawe, abasajja ab'omu kibuga kyabwe ne bamukuba amayinja ne bamutta: kubanga yakola obusirusiru mu Isiraeri, okwendera mu nnyumba ya kitaawe: bw'onoggyanga bw'otyo obubi wakati mu ggwe. 22. Bwe basanganga omusajja ng'asula n'omukazi eyafumbirwa bba, bombi bafenga omusajja eyasula n'omukazi, n'omukazi: bw'otyo bw'onoggyanga obubi mu Isiraeri. 23. Bwe wabangawo omuwala atamanyanga musajja ayogerezebwa omusajja, omusajja n'amusanga mu kibuga n'asula naye; 24. bombi munaabafulumyanga eri wankaaki w'ekibuga ekyo, ne mubakuba amayinja n'okufa ne bafa; omuwala kubanga teyakuba nduulu, ng'ali mu kibuga; n'omusajja kubanga yatoowaza mukazi wa munne: bw'otyo bw'onoggyanga obubi wakati mu ggwe."

  1. Omukazi wa wansi ku musajja:

Abakkolinso1, 11:3-10 " Naye njagala mmwe okumanya ng'omutwe gwa buli musajja ye Kristo; n'omutwe gw'omukazi ye musajja; n’omutwe gwa Kristo ye Katonda. 4. Buli musajja bw'asaba oba bw'abuulira, omutwe gwe nga gubikkiddwako, aswaza omutwe gwe. 5. Naye buli mukazi bw'asaba oba bw'abuulira, omutwe gwe nga tegubikkiddwako, aswaza omutwe gwe: kubanga bwe bumu ddala ng'amwereddwa. 6. Kuba oba ng'omukazi tabikkibwako, era asalibwenga enviiri: naye oba nga kya nsonyi omukazi okusalibwanga enviiri oba okumwebwanga, abikkibwengako. 7. Kubanga omusajja tekimugwanira kubikkibwanga ku mutwe, kubanga oyo kye kifaananyi n'ekitiibwa kya Katonda: naye omukazi kye kitiibwa ky'omusajja. 8. Kubanga omusajja teyava mu mukazi; wabula omukazi ye yava mu musajja: 9. era kubanga omusajja teyatondebwa lwa mukazi; wabula omukazi olw'omusajja: 10. kyekiva kigwanira omukazi okubangako akabonero ak'okufugibwa ku mutwe gwe olwa bamalayika."

  1. Ensomesa ya didasikaliya ku mukazi:

Omulyango ogw'okusatu mu didasikaliya: omutwe gugamba nti: (Abakyala balina okwewaayo eri ba bbaabwe) agamba nti: " omukazi yeewengayo eri bba, kubanga omutwe gw'omukazi ye balo…, tya nnyo mukazi gwe balo, omukwatibwe n'ensonyi, eri soiimise ye yekka oluvannyuma lwa Katonda, era nga bwetwagambye, muwereze omukkakkanye asobole okukusembeza gyali… bwoyagala okubeera omukkiriza era Katonda akusiime, teweewunda kusiimisa basajja beebweru, era tewegomba kwambala nkunamyo wadde obugoye obutangaavu obutagwanira okujjako abenzi, baleke kukugoberera abo abayigga abeeyisa batyo. Nebwobeera tokoze bikolwa byabuwemu kufuna kibi, okwewunda kwokka kukusembeza kwekyo, kubanga osikiriza abakulaba okukugoberera n'okukwegwanyiza, lwaki teweekuuma mukazi ggwe, aleke kugwa mu kibi, oba oleme kuleetera muntu yenna kukubuusabuusa oba okukwatibwa ebbuba olw'ebikolwa byo, bwokola ensobi olw'okulemera ku kikolwa ekyo, naawe ojja kuseerera ogwe, olwokuba obeera nsonga y'okuzikirira kw'omyo gwo musajja oyo. Singa okola ensobi kw'omu n'ekikolwa ekyo omulundi gumu, ebeera nsonga ey'okusobyako kubalala balala bangi, era essuubi lyo ttono, era nga ekitabo ekitukuvu bwekigamba mu engero 18:3 " Omubi bw'ajja, n'okunyooma kujja, Era awamu n'okuswazibwa ne wajja n'okuvumibwa." Buli mukazi yenna akola ekyo ajja kuzikirira n'ekibi, era ajja kugoberera abasirisiru mu bujeemu. Tegeera ekitabo ekitukuvu byekyogera ku mukazi yenna alimba abasajja bwebatyo, bayibuli egamba nti: " omukazi omwonoonefu mubi okusinga okufa, oyo nno keekatego k'abasirusiru." Era egamba ewalala nti: " nga ekiwuka bwekirwa okiti, nabwekityo omukazi omubi bwazikiriza bba." Era egamba nti: " abeera bulungi asula mu kasolya okusinga okusula n'omukazi omwonoonefu munju". Tomubeera nga abo abakazi mwe mwe abakazi abakurisitaayo, bwemuba mwagala okubeera abakkiriza. Bwotambula mu kkubo, weebikke omutwe n'essuuka yo, bwonebikka nga oyagala kwekuuma ojja kuwona okulabibwa abakyamu. Towunda kyenyi kyo Katonda kyeyakuwa, kubnga temuli kamogo koobuzaabuza, kubanga buli Katonda kyeyatonda kirungi nnyo, era tekyetaaga kumala kukiwunda. Nabuli ekisukka ku bulungi Katonga bwewakuwa kubeera kukyusa kyengera kya Katonda. tamubula nga otunudde wansi, nga weebisse buli luuyi, weewale buli mukwano gwo atali mulungi, oyo eyegwanyiza abasajja, bangi abakyala abawangaala n'abakazi abagwenyufu, omukazi omulongoofu tanaaba na basajja. Bwobikka ekyenyi kyo weewale nnyo obutatunuulirwa masajja abagwira bootamanyi) … ekikukakatako bw'obeera mukkiriza weewale buli kintu ekisusse, n'okwalabibwa kw'amaaso agasinga obungi… (okubeera mu nsiko kisinga okubeera n'omukazi omubi alasana."

 

 

Ennyinggo ey'omusanvu

Okukuba abakazi mu bitundu byabulaaya eby'abakulisitaayo.

Abalabe b'obusiraamu bangi bagezezzaako okusaasanya ebibuzaabuza okujja abantu ku busiraamu, nga mwemuli n'ensonga y'okukuba abakazi, nga bakozesa olulimi lwabwe olw'okumatiza abantu olumanyikiddwa, era nebaleka obujulizi okuva mu Kur'ane, ne hadithi z'omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye ebiwakanya endowooza zaabwe, nebeerippa kwebyo ebiwagira endowooza zaabwe. Ekyekulabirako ensonga y'okukuba abakazi mu busiraamu ey'ogerwa nga telina mutwe namagulu, basobole okusaasanya obulimba ku busiraamu, nga bakozesa enkwe envundu, so nga bali wala nnyo n'ekituufu, nabwekityo ennambulula y'omulamwa ogubeera gutunuulirwa, tebayogera ku mulamwa mu bujjuvu, wabula balombojjayo kyebagala, ekireetera okulowoozesa abantu obubi n'okubatabika, nga baagala obulimba bwabwe ku busiraamu, nga beefuula abalina enkolagana ennungi wakati w'abakazi ne ba bbaabwe, naye nga mubutuufu bali wala nnyo n'amazima gano wammanga:

Ekisooka: obusiraamu y'eddiini yokka eyayogera ku nkolagana ey'okusasiragana n'omukwano wakati w'abafumbo ababiri, era y'eddiini yokka eyaziyiza okunyiiza omukazi mu bikolwa n'ebigambo. Agamba Allah ow'ekitiibwa: {era ne mu bubonero Bwe (ebyengera bya Katonda eri mmwe abantu) kwe kubatondera mmwe nga aggya mu mmwe mwennyini abakyala mulyoke mutebenkere gye bali, era yassa wakati wammwe okwagalana n'okusaasiragana. Mazima mwebyo mulimu obubonero eri ekibiina ekifumiitiriza} Essuula Arruum: 21.

Ekirina okumanyibwa nti okusaasirigana n'omukwano tebibeerawo okujjako nga obufumbo butuufu mu ddiini.

Eky'okubiri: obusiraamu y'eddiini yokka eyavumiriraokukuba omukazi, n'okumukkakkanya, n'okumunyooma, okuva emyaka 1400, era ako kabeera kamogo ku musajja. Nebwetunoonya mu kitabo ekitikuvu eky'abakurisitaayo, mundagaano enkadde n'empya, tetujja kusangamu lunyiriri lwonna lwogera wadde olulaza ku kugaana okukuba omukazi.

Eky'okusatu: mazima obusiraamu bwakubiriza okuyisa bulungi omukazi, zonna Ayaatu za Kur'ane, ne hadithi z'omubaka ez'ekitiibwa ezikwatagana ku nk'olagana wakati w'abafumbo zikubiriza enkolagana ennungi, n'okweyisa obulungi ku bafumbo ababiri buli omu eri munne. Agamba Allah Omugulumivu: {Era balina abakyala (bye bavunaana abasajja) okufaanana nga ebyo ebiri ku bo (abasajja bye babavunaana) naye babikola mu ngeri y'obuntubulamu…} Essuula bakara: 228.

Eky'okuna: mazima obusiraamu bwafuula enkolagana wakati w'abantu, okusingira ddala wakati w'abafumbo ababiri nga kiriko empeera nnyingi. Agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: " toyinza kusaddaaka kintu kyonna nga onoonya mpeera okuva ewa Allah okujjako nga Allah akusasula empeera, nebwebeera ntongi gyoteeka mu kamwa ka mukyalawo mulimu empeera." Bukhari ne Musilimu.

Eky'okutaano: obusiraamu bwakkiriza okukuba omukyala nga tekyebereka, wabula ssi nsibuko. Era okukuba kwateekebwako obukwakkurizo, ekitasobozesa musajja kukuba okujjako nga akakiddwa bukakibwa, era nga lye kkubo erisembayo okusobola okutangira ekizibu ekisinga ekyo obunene, olw'ensonga abakazi baawukana, okusinziira ku mirembe, n'enitundu mwebawangaalira. Ekirongoosa abamu ate tekikola walala, sso nga ate kiyinza n'okwongera okwonoona obwononyi. Oba ekkuba erilongoosa omukazi mukiseera ekimu tekisobola kulongoosa mulala mu mulembe omulala, ekyo nno kiraga bugazi bwa busiraamu, era nti bufaayo okutuukana na buli mbeera yonna.

Eky'omukaaga: obukambwe mu maka busaasannye nnyo mu nsi ezaakulakulana ezisinga obungi ensangi zino, bameka mubasajja abazungu abakurisitaayo abakoze obulabe obweyolefu ku bakyala baabwe mu lujjudde, ku bisaawe bye nnyonyi, ne mu wooteri ewatundibwa emmere, ne mumakubo mumaaso g'abantu abatambula. Bino byenjogerako ssi byama wabula bisaasana ku mikutu gy'ebyempuliziganya egirabwako ebifananyi ne gy'amaloboozi.

Bameka mu bakyala abakurisitaayo abazungu mu Amerika ne Kanada, nebulaaya okutwaliza awamu, ne mu Istrereliya abagenze ku poliisi nga baloopa ba bbaabwe olw'okubakolako obulabe nga babakuba, era emisango gino tegitunuulirwa okujjako nga omukazi alina obujulizi obweyolefu nga bwetwakirabye, kisoboka okubeera embale, oba okumenyeka, omusaayi ogwekutte mu maaso, oba mumaaso olw'okukubibwa, asobola okulondoola okubalirirakwa poliisi mu Amerika, oba bulaaya, oba Isitureeliya ajja kuzuula obulambulukufu bwakyo.

 

Okusaasaana kw'omuze gw'okukuba abakazi mu bulaaya:

Ekisobola okunnyonnyola okusaasana kw'ebikolwa ebikambwe mu maka mu bulaaya abo abeefuula abakulembeddemu enkulakulana (enkulakulana y'obuntu sso si olw'ebyo byebalina) byebimu ku bino wammanga:

  1. Okusaasaana kw'ebibiina ebya gavumenti nebitali bya gavumenti, ebilwanisa obukambwe obukolebwa ku bakazi, wadde nga tebisobodde kukilwanisa.
  2. Ebirango ebikubibwa entakira ku mikutu gye'byempuliziganya ebikubiriza abemirirwano okuloopa omuntu yenna akola obulabe ku mukazi we mbagirawo.
  3. Ebibuuzo ebibuuzibwa abantu mu mbeera ez'enjawulo mu bulaaya nga nabyo mulimu bino wammanga:

Wali okubyeko mukazi wo nebwegubeera mulundi gumu gwokka?

Wali olabyeko, oba wali owuliddeko kitaawo nga akuba Nnyoko?

Wali owuliddeyo omuntu yenna mubantu nti yali akubye mukazi we?

Wali owulidde mulirwana wo nga akuba mukazi we?

Ekigendererwa mu bibuuzo ebyekikula bwekityo, kukakasa okubeerawo kw'omuze gw'abasajja okukuba abakazi mu ddiini y'abakuristaayo, mu bulaaya ne Amerika, ne Kanada, ne Austria, era omuze ogwo gusaasanye nnyo mu bitindu ebyo olusaasaana olw'amanya.

Oluvannyuma lw'ebyo byonna, buli muntu omwenkanya ku bulungi bw'obusiraamu bwebulina eri omukazi, n'okubeera nti y'eddiini yokka eyagulumiza omukyala n'emuwa ekitiibwa kye, n'emutaasa ku buli yenna ayagala okutyoboola ekitiibwa kye, na buli aziimuula okwekuuma kwe, era bwewaza ne ssekwewaza yenna okulyazaamanya omukazi, nga bweyagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: " mbeewaza nessekwewaza yenna ebintu bya

Abanafu ababiri, mulekwa n'omukazi." Ahmad ne Nnassae, Albaan (aljaamea 2447)

 

 

WWW.ISLAMLAND.COM